LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 6/1 lup. 5-8
  • Okwekkenneenya Endowooza Enkyamu Ezikwata ku Kufa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okwekkenneenya Endowooza Enkyamu Ezikwata ku Kufa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okusumululwa Okuva mu Kutya
  • Omuliro Ogutazikira Kye Kimu Ku Bintu Ebyoleka Obwenkanya Bwa Katonda?
    Omuliro Ogutazikira Kye Kimu Ku Bintu Ebyoleka Obwenkanya Bwa Katonda?
  • Kiki Ekituuka ku Baagalwa Baffe Abafa?
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Okutya Okufa​—Oyinza Otya Okukuvvuunuka?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Abafu Bali Ludda Wa?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 6/1 lup. 5-8

Okwekkenneenya Endowooza Enkyamu Ezikwata ku Kufa

MU BYAFAAYO byonna, okufa kuleetedde omuntu okweraliikirira n’okusoberwa. Era ekisingidde ddala okuleetera abantu okutya ennyo, ze njigiriza z’eddiini ez’obulimba, obulombolombo, n’endowooza ezaabwe ku bwabwe. Omuntu bw’ayitiriza okutya okufa kiyinza okumuviirako obutanyumirwa bulamu era n’aggwaamu essuubi, ng’abuusabuusa obanga ddala obulamu bulina amakulu.

Amadiini amaatiikirivu ge gasinga okunenyezebwa olw’okuyigiriza endowooza enkyamu ezikwata ku kufa. Nga twekenneenya ezimu ku ndowooza zino nga tweyambisa Baibuli, weetegereze oba onooyambibwa ku ngeri gy’obadde otunuuliramu okufa.

Endowooza Enkyamu Esooka: Twatondebwa nga tulina okufa.

Ekitabo Death​—The Final Stage of Growth kigamba nti: “Okufa . . . kulina bubeezi okubeerawo.” Ebigambo nga bino byoleka endowooza egamba nti okufa kintu kya bulijjo, era nti buli kiramu kyonna kirina okulega ku kufa. Endowooza ng’eyo ereetedde bangi okwefaako bokka n’okwenoonyeza ebyabwe ku bwabwe.

Naye ddala twatondebwa nga tulina okufa? Abanoonyereza bonna tebakkiriziganya na ndowooza eno. Ng’ekyokulabirako, munnasayansi ayitibwa Calvin Harvey eyeekenneenya okukaddiwa kw’abantu, yagamba nti takkiriza nti abantu “baakolebwa nga balina okutuuka ekiseera bafe.” Omusawo ayitibwa William Clark yagamba: “Si tteeka nti okufa kulina bubeezi okubeerawo.” Ate ye Seymour Benzer ow’omu Ttendekero lya Tekinologiya ery’e California agamba nti, “waliwo ekiyinza okukolebwa okuziyiza okukaddiwa kw’abantu.”

Bannasayansi bwe baba beekenneenya engeri omuntu gye yakolebwamu, basoberwa. Bakizudde nti obusobozi abantu bwe balina busingira wala nnyo obwo bwe beetaaga mu bbanga ery’emyaka 70 oba 80 gye bawangaala. Ng’ekyokulabirako, bannasayansi bakizudde nti obwongo bw’omuntu bulina obusobozi bw’okujjukira bwa nsusso. Omunoonyereza omu yateebereza nti obwongo bwaffe buyinza okutereka eby’okuyiga “ebijjuza ebitabo ng’obukadde amakumi abiri, nga bino byenkana n’ebyo ebisangibwa mu materekero g’ebitabo agasingayo obunene mu nsi yonna.” Abakugu ku bikwata ku bwongo bakkiriza nti mu bbanga omuntu ly’amala nga mulamu, akozesa akatundu katono nnyo ddala ku busobozi bw’obwongo bwe. Kiba kituufu okwebuuza nti, ‘Lwaki tulina obwongo obulina obusobozi obwenkanidde awo, ng’ate tuyinza kukozesaako katono nnyo ddala mu kiseera eky’obulamu bwaffe?’

Ate era weetegereze engeri etali ya bulijjo abantu gye beeyisaamu ng’omuntu afudde! Eri abantu abasinga obungi, okufa kw’omukyala, omwami, oba omwana kuleetawo entiisa ya maanyi. Oluvannyuma lw’okufa kw’omwagalwa waabwe oyo, abantu babeera mu kiyongobero okumalira ddala ebbanga ddene. Wadde n’abo abagamba mbu twatondebwa nga tulina okufa, bakisanga nga kizibu okukkiriza nti bwe bafa eyo y’eba enkomerero ya byonna. Magazini eyitibwa British Medical Journal yagamba nti “buli omu ayagala okuwangaala ebbanga ddene nnyo nga bwe kisoboka.”

Okusinziira ku ngeri omuntu gye yeeyisaamu ng’afiiriddwa, ssaako obusobozi bw’obwongo obw’ekitalo obw’okujjukira n’okuyiga, n’okuba nti omuntu ayagala nnyo okuwangaala emirembe n’emirembe, tekyeyoleka lwatu nti ddala teyatondebwa kufa? Mu butuufu, Katonda teyatonda bantu nga balina okufa, wabula yabatonda okuwangaala emirembe n’emirembe. Weetegereze Katonda kye yagamba abantu ababiri abaasooka: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye; mufugenga eby’omu nnyanja n’ebibuuka waggulu na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.” (Olubereberye 1:28, 29) Nga yali abategekedde ebiseera eby’olubeerera ebirungi!

Endowooza Enkyamu Eyokubiri: Abantu bwe bafa Katonda y’aba abayise basobole okubeera naye.

Maama ow’emyaka 27 eyali agenda okufa aleke abaana be basatu, yagamba omubiikira Omukatuliki: “Toŋŋamba nti Katonda bw’ati bw’ayagadde. . . . Kimpisa bubi nnyo omuntu okuŋŋamba bw’atyo.” Kyokka, amadiini mangi gayigiriza bwe gatyo ku kufa, nti Katonda atwala abantu babeere naye.

Katonda wa ttima nnyo era tatulumirirwa n’akatono ne kiba nti atuleetera okufa, ng’ate akimanyi bulungi nti kutulumya nnyo? Nedda, Katonda ayogerwako mu Baibuli teyeeyisa bw’atyo. Okusinziira ku 1 Yokaana 4:8, “Katonda kwagala.” Weetegereze nti tewagamba nti Katonda alina okwagala oba nti Katonda wa kwagala, wabula nti, Katonda kwagala. Okwagala kwa Katonda kwa maanyi nnyo era engeri ze n’ebikolwa bye byonna bijjudde okwagala ne kiba nga kituufu okumwogerako nti ayoleka okwagala mu buli ngeri yonna. Ono si ye Katonda atwala abantu mbu basobole okubeera naye.

Eddiini ez’obulimba zirese bangi nga tebategedde wa abafu gye balaga era na mbeera ki gye balimu. Ebifo nga eggulu, omuliro ogutazikira, puligaatooli n’ebirala bingi abafu gye bagambibwa mbu bagenda, tebikoma ku kubuzaabuza kyokka, naye era n’okutiisa bitiisa. Ku luuyi olulala, Baibuli etugamba nti abafu tebaliiko kye bamanyi; bali mu mbeera egeraageranyizibwa n’okwebaka. (Omubuulizi 9:5, 10; Yokaana 11:11-14) N’olwekyo, tetulina kweraliikirira ekyo ekitutuukako oluvannyuma lw’okufa, nga bwe tutayinza kweraliikirira bwe tulaba omuntu eyeebase. Yesu yayogera ku kiseera “bonna abali mu ntaana” lwe ‘balivaamu,’ ne bakomawo nga balamu mu lusuku lwa Katonda ku nsi.​—Yokaana 5:28, 29; Lukka 23:43.

Endowooza Enkyamu Eyokusatu: Katonda atwala abaana abato n’abafuula bamalayika.

Elisabeth Kübler-Ross, eyeekenneenya abantu abalina endwadde ez’olukonvuba, yayogera ku ndowooza endala abantu abagoberera eddiini gye balina. Bwe yali ayogera ku ekyo ekyaliwo ddala yagamba bw’ati: “Si ky’amagezi okugamba omwana omuto afiiriddwa mwannyina nti Katonda ayagala nnyo abaana abato era kyavudde atwala Ssali omuto mu ggulu.” Enjogera ng’eyo eyonoona erinnya lya Katonda era tewa kifaananyi kituufu ekikwata ku ngeri ze oba empisa ze. Omusawo Kübler-Ross yeeyongera n’agamba: “Omuwala oyo bwe yakula n’afuuka omukazi, teyaggwaako busungu bwe yalina eri Katonda, era obusungu obwo bwamuviirako okwennyamira bwe yafiirwa katabani ke nga wayiseewo emyaka asatu.”

Lwaki Katonda bwe yandyagadde okufunayo malayika omulala yandinyakudde mwana, nga gy’oli nti y’asinga bazadde be okumwetaaga? Singa kituufu nti ddala Katonda atwala abaana, kino tekyandimufudde Omutonzi atalina kwagala era eyeefaako yekka? Okwawukana n’endowooza eyo, Baibuli egamba: “Okwagala kuva eri Katonda.” (1 Yokaana 4:7) Katonda ow’okwagala yandikoze ekikolwa ng’ekyo eky’okutwala abaana nga n’abantu obuntu abatatuukiridde tebandyeyisizza mu ngeri efaananako bw’etyo?

Kati olwo lwaki abaana bafa? Ekimu ku ebyo Baibuli by’eddamu kisangibwa mu kitabo ky’Omubuulizi 9:11: ‘Ebiseera n’ebitasuubirwa bibagwira bugwizi.’ Era Zabbuli 51:5 watugamba nti okuviira ddala bwe tuzaalibwa tuba tetuukiridde era tuba boonoonyi, nga fenna tuli ba kufa mu ngeri ez’enjawulo. Olumu abaana bazaalibwa bafudde. Ate olulala bafiira mu bubenje. Katonda si y’avunaanyizibwa ku kufa okw’engeri ng’eyo.

Endowooza Enkyamu Eyokuna: Abantu abamu babonyaabonyezebwa oluvannyuma lw’okufa.

Amadiini mangi gayigiriza nti aboonoonyi bajja kugenda mu muliro ogutazikira babonyaabonyezebwe emirembe n’emirembe. Enjigiriza eno ya makulu era yeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa? Omuntu awangaala emyaka nga 70 oba 80. Oli ne bw’aba nga yali mwonoonyi lukulwe ebbanga ery’obulamu bwe lyonna, kyandibadde kya bwenkanya okumubonereza ng’omubonyaabonya emirembe n’emirembe? Nedda. Tekyandibadde kya bwenkanya n’akatono okubonyaabonya omuntu emirembe n’emirembe olw’ebibi bye yakola mu kiseera ekitono kye yamala nga mulamu.

Katonda yekka y’asobola okututegeeza ekibeerawo oluvannyuma lw’okufa kw’abantu, era kino akitulaga mu Kigambo kye, Baibuli. Baibuli egamba bw’eti: “[Ng’ensolo] bw’efa, [n’omuntu] bw’afa bw’atyo; weewaawo, bonna balina omukka gumu. . . . Bonna bagenda mu kifo kimu; bonna baava mu nfuufu, era bonna badda mu nfuufu nate.” (Omubuulizi 3:19, 20) Wano tewali we boogerera ku muliro ogutazikira. Abantu bwe bafa badda mu nfuufu, oba mu ngeri endala, embeera ey’obutabeerawo.

Omuntu okusobola okubonyaabonyezebwa, alina okuba ng’ategeera. Abafu bategeera? Nate Baibuli etuwa eky’okuddamu: “Abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi, so nga tebakyalina mpeera; kubanga ekijjukizo kyabwe kyerabirwa.” (Omubuulizi 9:5) Tekisoboka abafu ‘abataliiko kye bamanyi,’ okulumwa obugigi obw’engeri yonna mu kifo kyonna.

Endowooza Enkyamu Eyokutaano: Bwe tufa tuba tetukyaddamu kubeera balamu nate.

Bwe tufa tulekera awo okuba abalamu, naye kino tekitegeeza nti eno y’enkomerero yaffe. Omusajja omwesigwa Yobu yakimanya nti bwe yandifudde yandigenze mu ntaana, emagombe. Naye wulira bwe yasaba Katonda: “Singa onkwese mu magombe, singa onkisa kyama okutuusa obusungu bwo lwe buliyita, singa onteekeddewo ekiseera ekiragiddwa, n’onjijukira! Omuntu bw’afa aliba mulamu nate? . . . Wandimpise, nange nandikuyitabye.”​—Yobu 14:13-15.

Yobu yali amanyi nti bwe yandisigadde nga mwesigwa okutuuka okufa, Katonda yandimujjukidde era yandimuzuukizza ekiseera bwe kyandituuse. Abantu ba Katonda ab’edda bonna bakkirizanga bwe batyo. Ne Yesu kennyini yakakasa essuubi lino era n’akiraga nti Katonda ajja kumukozesa okuzuukiza abaafa. Ebigambo bya Yesu byennyini bituwa obukakafu buno: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye [Yesu], ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n’abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.”​—Yokaana 5:28, 29.

Mangu ddala, Katonda ajja kumalawo obubi bwonna, ateekewo ensi empya eneebeera wansi w’obufuzi obw’omu ggulu. (Zabbuli 37:10, 11; Danyeri 2:44; Okubikkulirwa 16:14, 16) N’ekinaavaamu, ensi yonna ejja kufuuka olusuku lwa Katonda omutuula abantu abamuweereza. Tusoma bwe tuti mu Baibuli: “Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe nga lyogera nti Laba, eweema ya Katonda awamu n’abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe: naye alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

Okusumululwa Okuva mu Kutya

Okumanya essuubi ery’okuzuukira, nga kw’otadde n’Oyo asibukako essuubi eryo, kibudaabuda. Yesu yasuubiza: “Mulitegeera amazima n’amazima galibafuula ba ddembe.” (Yokaana 8:32) Ekyo kizingiramu okusumululwa mu kutya okufa. Yakuwa ye yekka asobola okukomya okukaddiwa n’okufa era n’atuwa n’obulamu obutaggwaawo. Osobola okukkiririza mu bisuubizo bya Katonda? Mazima ddala osobola, kubanga bulijjo ekigambo kya Katonda kituukirira. (Isaaya 55:11) Tukukubiriza okumanya ebisingawo ku bigendererwa bya Katonda eri omuntu. Era Abajulirwa ba Yakuwa bajja kusanyuka okukuyamba.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 6]

Omuntu bw’ayitirira okutya okufa, kiyinza okumuviirako obutanyumirwa bulamu

[Ekipande ekiri ku lupapula 7]

EZIMU KU NDOWOOZA ENKYAMU BYO EBYAWANDIIKIBWA

EZIKWATA KU KUFA BIGAMBA KI?

● Twatondebwa nga tulina okufa Olubereberye 1:28; 2:17; Abaruumi 5:12

● Abantu bwe bafa Katonda y’aba Yobu 34:15; Zabbuli 37:11, 29;

abayise basobole okubeera naye 115:16

● Katonda atwala abaana abato Zabbuli 51:5; 104:1, 4;

n’abafuula bamalayika Abaebbulaniya 1:7, 14

● Abantu abamu babonyaabonyezebwa Zabbuli 146:4; Omubuulizi 9:5, oluvaanyuma lw’okufa 10;Abaruumi 6:23

● Bwe tufa tuba tetukyaddamu Yobu 14: 14, 15; Yokaana 3:16; kubeera balamu nate 17:3; Ebikolwa 24:15

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Okumanya amazima agakwata ku kufa kitusumulula okuva mu kutya

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Barrators​—Giampolo/The Doré Illustrations For Dante’s Divine Comedy/Dover Publications Inc.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share