Ekitiibwa kya Yakuwa Kyakira Abantu Be
“Yakuwa y’anaabanga ekitangaala kyo ekitaliggwaawo.”—ISAAYA 60:20, NW.
1. Yakuwa akolera ki abantu be abeesigwa?
“MUKAMA asanyukira abantu be: aliwonya abawombeefu n’obulokozi.” (Zabbuli 149:4) Bw’atyo omuwandiisi wa Zabbuli bwe yayogera, era ebyafaayo biraze amazima agali mu bigambo bye. Abantu ba Yakuwa bwe babeera abeesigwa, abafaako, abayamba okufuna ebibala era abakuuma. Mu biseera eby’edda yabayamba okuwangula abalabe baabwe. Leero, abayamba okubeera abanywevu mu by’omwoyo era n’abasuubiza okubawa obulokozi okusinziira ku ssaddaaka ya Yesu. (Abaruumi 5:9) Akola bw’atyo olw’okuba basiimibwa mu maaso ge.
2. Wadde nga baziyizibwa, abantu ba Katonda bakakafu ku ki?
2 Kya lwatu nti, mu nsi ebuutikiddwa ekizikiza, abo ‘abatya Katonda’ baziyizibwa. (2 Timoseewo 3:12) Wadde kiri kityo, Yakuwa yeetegereza abaziyiza era n’abalabula: “Eggwanga eryo n’obwakabaka abatalikkiriza kukuweereza baliggwaawo; weewaawo, amawanga ago galizikiririzibwa ddala.” (Isaaya 60:12) Leero, okuziyizibwa kweyoleka mu ngeri nnyingi. Mu nsi ezimu, abaziyiza bagezaako okukugira oba okuwera okusinza kw’abaweereza ba Yakuwa. Mu ndala, bannalukalala bakuba abasinza ba Yakuwa era ne bookya ebintu byabwe. Kyokka, kijjukire nti Yakuwa yasalawo dda ekirituuka ku abo abaziyiza okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kye. Abaziyiza bajja kulemererwa. Abo abalwanyisa Sayuuni, ekiikirirwa abaana be ku nsi, tebayinza kutuuka ku buwanguzi. Ebigambo ebyo ebiva eri Yakuwa, Katonda waffe ow’ekitalo, tebizzaamu nnyo maanyi?
Baaweebwa Omukisa mu Ngeri Gye Batasuubira
3. Kyakulabirako ki ekiraga nti abasinza ba Yakuwa basiimibwa era babala ebibala?
3 Amazima gali nti mu nnaku ez’oluvannyuma ez’embeera y’ebintu bino, Yakuwa awadde abantu be omukisa mu ngeri gye batasuubira. Mpolampola agulumizizza ekifo kye eky’okusinzizzaamu era n’abo abeeyita erinnya lye. Okusinziira ku bunnabbi bwa Isaaya, agamba bw’ati Sayuuni: “Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira, enfugo n’omuyovu ne namukago wamu; okuwoonya ekifo eky’awatukuvu wange, era ndigulumiza ekifo eky’ebigere byange.” (Isaaya 60:13) Ensozi eziriko ebibira zifaanana bulungi nnyo. N’olwekyo, emiti egibala obulungi kabonero akalaga nti abasinza ba Yakuwa basiimibwa era babala ebibala.—Isaaya 41:19; 55:13.
4. “Awatukuvu” ne “ekifo eky’ebigere [bya Yakuwa]” kye ki, era bino bigulumiziddwa bitya?
4 “Awatukuvu” ne “ekifo eky’ebigere [bya Yakuwa]” ebyogerwako mu Isaaya 60:13 kye ki? Ebigambo bino bitegeeza empya za yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo, ng’eyo y’enteekateeka ey’okumusinza okuyitira mu Yesu Kristo. (Abaebbulaniya 8:1-5; 9:2-10, 23) Yakuwa amanyisizza ekigendererwa kye eky’okugulumiza yeekaalu eyo ey’eby’omwoyo ng’aleeta abantu okuva mu mawanga gonna okujja okuzisinzizaamu. (Kaggayi 2:7) Emabegako, Isaaya kennyini yalaba ebibiina by’abantu okuva mu mawanga gonna nga byekuluumulira eri okusinza kwa Yakuwa okugulumiziddwa. (Isaaya 2:1-4) Nga wayiseewo ebikumi n’ebikumi by’emyaka, omutume Yokaana yalaba mu kwolesebwa “ekibiina ekinene omuntu yenna ky’atayinza kubala, mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi.” Baali “bayimiridde mu maaso g’entebe [ya Katonda] . . . , [nga] bamuweerezanga emisana n’ekiro mu yeekaalu ye.” (Okubikkulirwa 7:9, 15) Okuva obunnabbi buno bwe butuukiriziddwa mu kiseera kyaffe, ennyumba ya Yakuwa egulumiziddwa nga tulaba.
5. Nkyukakyuka ki ennungi abaana ba Sayuuni gye baafuna?
5 Eyo nga nkyukakyuka nnungi nnyo eri Sayuuni! Yakuwa agamba: “Kubanga walekebwa n’okyayibwa ne wataba muntu ayita mu ggwe, ndikufuula [ekintu eky’okwenyumirizaamu ekitaliggwaawo], essanyu ery’emirembe emingi.” (Isaaya 60:15) Ku nkomerero ya ssematalo eyasooka, “Isiraeri wa Katonda” yayita mu kiseera ekizibu ennyo. (Abaggalatiya 6:16) Yawulira nga ‘alekeddwa,’ kubanga abaana be ku nsi baali tebategeera bulungi Katonda kye yali ayagala bakole. Naye, mu 1919, Yakuwa yazza obuggya abaweereza be abaafukibwako amafuta, era okuva ku olwo abayambye okukulaakulana mu by’omwoyo. Okugatta ku ekyo, ekisuubizo ekiri mu lunyiriri olwo waggulu tekizzaamu nnyo amaanyi? Yakuwa ajja kutunuulira Sayuuni nga ‘ekintu eky’okwenyumirizaamu.’ Yee, abaana ba Sayuuni, ne Yakuwa kennyini, bajja kwenyumiriza mu Sayuuni. Ajja kubeera ekintu ekireeta ‘essanyu’ eppitirivu. Ate ekyo tekijja kumala kiseera kitono. Embeera ya Sayuuni esiimibwa, ekiikirirwa abaana be ku nsi, ejja kubaawo “emirembe emingi.” Terikoma.
6. Abakristaayo ab’amazima bakozesa batya eby’obugagga by’amawanga?
6 Kati wuliriza ekisuubizo kya Katonda ekirala. Ng’ayogera ku Sayuuni, Yakuwa agamba: “N’okuyonka oliyonka amata ag’amawanga, era oliyonka amabeere ga bakabaka: era olimanya nga nze Mukama ndi mulokozi wo era mununuzi wo, [ow’a]maanyi owa Yakobo.” (Isaaya 60:16) Sayuuni alinywa atya “amata ag’amawanga” era n’ayonka “[n’]amabeere ga bakabaka”? Mu ngeri nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ‘ab’endiga endala’ bakozesa eby’obugagga by’amawanga okukulaakulanya okusinza okulongoofu. (Yokaana 10:16) Ssente eziweebwayo kyeyagalire ziwagira omulimu gw’ensi yonna ogw’okubuulira n’okuyigiriza. Okukozesa obulungi tekinologiya ali ku mulembe, kisobozesa okukuba Baibuli n’ebitabo ebigyesigamiziddwako mu bikumi n’ebikumi by’ennimi. Leero, amazima ga Baibuli gatuuse ku bantu bangi okusinga bwe kyali kibadde mu byafaayo by’omuntu. Abatuuze mu mawanga mangi bayiga nti Yakuwa, eyagula abaweereza be abaafukibwako amafuta okuva mu buddu bw’eby’omwoyo, ddala ye Mununuzi waabwe.
Okukulaakulana mu Ntegeka ya Yakuwa
7. Abaana ba Sayuuni bakulaakulanye mu ngeri ki ey’ekitalo?
7 Era Yakuwa agulumiza abantu be mu ngeri endala. Abayambye okuleetawo okukulaakulana mu ntegeka ye. Mu Isaaya 60:17 tusoma: “Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu ne mu kifo ky’ekyuma ndireeta ffeeza, ne mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky’amayinja ndireeta kyuma: era ndifuula abaami bo okuba emirembe n’abakusolooza okuba obutuukirivu.” Okukozesa zaabu mu kifo ky’ekikomo kyoleka okukulaakulana, era bwe kiri eri ebintu ebirala ebyogeddwako. Nga kituukagana n’ekyo, Isiraeri wa Katonda akulaakulanye mu nnaku ez’enkomerero. Weetegereze ebyokulabirako ebiddirira.
8-10. Yogera ku nkyukakyuka ezibaddewo mu ntegeka ya Yakuwa okuva mu 1919.
8 Ng’omwaka 1919 tegunnatuuka, ebibiina by’abantu ba Katonda byakubirizibwanga abakadde n’abaddikoni abaalondebwanga ekibiina. Okutandikira mu mwaka ogwo, ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ yalondanga omukubiriza w’obuweereza mu buli kibiina okulabirira obuweereza bw’ennimiro. (Matayo 24: 45-47) Kyokka, mu bibiina bingi enkola eyo teyakola bulungi kubanga abakadde abamu abaalondebwanga tebaawagiranga mu bujjuvu omulimu gw’okubuulira. Bwe kityo, mu 1932, ebibiina byalagirwa okulekera awo okulonda abakadde n’abaddikoni. Mu kifo ky’ekyo, baali baakulonda abantu ab’okuweereza ku kakiiko k’obuweereza okukolera awamu n’omukubiriza w’obuweereza. Ekyo kyalinga ‘ekikomo’ okudda mu kifo ‘ky’omuti’—okukulaakulana okw’amaanyi!
9 Mu 1938, ebibiina mu nsi yonna byakkiriza enteekateeka erongooseddwamu, eyali ekwatagana n’Ebyawandiikibwa. Omulimu gw’okulabirira ekibiina gwakwasibwa omuweereza w’ekibiina ng’ayambibwako abaweereza abalala, bonna nga balondebwa wansi w’obulagirizi bw’omuddu omwesigwa era ow’amagezi. Okulonda nga bakuba akalulu kwali tekukyaliwo! Bwe kityo, abaweereza bonna mu kibiina baalondebwa mu nkola y’obufuzi bwa Katonda. Ekyo kyalinga “ekyuma” okudda mu kifo ‘ky’amayinja’ oba ‘zaabu’ okudda mu kifo ‘ky’ekikomo.’
10 Okuva ku olwo, okukulaakulana kweyongedde. Ng’ekyokulabirako, mu 1972 baakiraba nti ekibiina ekirabirirwa akakiiko k’abakadde abalondeddwa mu nkola ya teyokulase, nga tewali mukadde n’omu alina buyinza ku balala, kyali kyefaanaanyiriza engeri ebibiina by’omu kyasa ekyasooka gye byalabirirwamu. Era, emyaka ebiri egiyise, waaliwo okukulaakulana okulala. Enkyukakyuka yakolebwa mu bulabirizi bw’ebibiina bya Sosayate eby’amateeka, ne kisobozesa Akakiiko Akafuzi okwemalira ku bintu ebikulu eby’eby’omwoyo ebikwata ku bantu ba Katonda, mu kifo ky’okuwugulibwa buli kiseera ensonga ezikwata ku mateeka.
11. Ani aleeseewo enkyukakyuka mu bantu ba Yakuwa, era enkyukakyuka zino zivuddemu ki?
11 Ani ali aleeseewo enkyukakyuka zino? Yakuwa Katonda. Yagamba: “Ndireeta zaabu.” Era yeeyongera n’agamba: “Ndifuula abaami bo okuba emirembe n’abakusolooza okuba obutuukirivu.” Yee, Yakuwa y’awa abantu be obulagirizi. Okukulaakulana mu ntegeka ya Katonda okwalagulwa, ye ngeri endala Yakuwa mw’ayitira okugulumiza abantu. Era Abajulirwa ba Yakuwa bafunye emikisa mu ngeri nnyingi olw’ekyo. Mu Isaaya 60:18, (NW) tusoma: ‘Ettemu teririwulirwa nate mu nsi yo, newakubadde okuzika newakubadde okuzikirira mu nsalo zo; naye oliyita enkomera zo Bulokozi n’enzigi zo Kutendereza.’ Ebigambo ebyo nga birungi nnyo! Naye bituukiriziddwa bitya?
12. Abakristaayo ab’amazima basobodde batya okuba n’emirembe?
12 Abakristaayo ab’amazima batunuulira Yakuwa okubayigiriza n’okubawa obulagirizi, era ebivaamu by’ebyo Isaaya bye yalagula: “N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama; n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.” (Isaaya 54:13) Ate era, omwoyo gwa Yakuwa gukolera ku bantu be, era ekimu ku bibala by’omwoyo, gy’emirembe. (Abaggalatiya 5:22, 23) Emirembe gy’abantu ba Yakuwa gibafuula ensulo ezzaamu amaanyi mu nsi ejjuddemu ettemu. Emirembe gye balina, egyesigamye ku kwagala Abakristaayo ab’amazima kwe balina bokka na bokka, gyoleka engeri obulamu gye bulibeeramu mu nsi empya. (Yokaana 15:17; Abakkolosaayi 3:14) Mazima ddala, buli omu ku ffe ayagala emirembe ng’egyo era akola kyonna ekisoboka gisobole okubaawo. Emirembe egyo giviirako okutenderezesa n’okuweesa Kitaffe ekitiibwa, ekintu ekikulu ennyo mu lusuku lwaffe olw’eby’omwoyo!—Isaaya 11:9.
Ekitangaala kya Yakuwa Kijja Kweyongera Okwaka
13. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti ekitangaala kya Yakuwa tekiirekere awo kwakira bantu be?
13 Ekitangaala kya Yakuwa kineeyongera okwakira abantu be? Yee! Mu Isaaya 60:19, 20, tusoma: ‘Enjuba si yeeneebanga nate ekitangaala kyon emisana; so n’omwezi si gwe gunaakwakiranga olw’okumasamasa: naye Mukama y’anaabeeranga gy’oli omusana ogutaliggwaawo, era Katonda wo y’anaabanga ekitiibwa kyo. Enjuba yo terigwa nate lwa kubiri so n’omwezi gwo tegulyegendera: kubanga Mukama y’anaabanga ekitangaala kyo ekitaliggwaawo, n’ennaku ez’okukungubaga kwo ziriba nga ziweddewo.’ ‘Okukungubaga’ kw’abo abaali mu buddu obw’eby’omwoyo bwe kwakoma mu 1919, ekitangaala kya Yakuwa kyatandika okubaakira. Nga kati wayiseewo emyaka egisukka mu 80, bakyasiimibwa Yakuwa olw’okuba ekitangaala kye kyeyongera okubaakira era tekijja kulekera awo. Ku bikwata ku basinza be, Katonda waffe ‘taligwa’ ng’enjuba oba ‘okugenda’ ng’omwezi. Wabula, ajja kubawa ekitangaala emirembe n’emirembe. Ng’ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi ffe abaliwo mu nnaku zino ez’enkomerero, ez’ensi eno ejjuddemu ekizikiza!
14, 15. (a) Abantu ba Katonda bonna ‘batuukirivu’ mu ngeri ki? (b) Okusinziira ku Isaaya 60:21, kiki ab’endiga endala kye beesunga okutuukirizibwa?
14 Kati ate wulira ekisuubizo ekirala Yakuwa ky’awa oyo akiikirira Sayuuni ku nsi, Isiraeri wa Katonda. Isaaya 60:21 lugamba: “N’abantu bo banaabanga batuukirivu bonna, balisikira ensi okutuusa emirembe gyonna; ettabi nze lye nnasimba, omulimu gw’engalo zange ndyoke mpeebwe ekitiibwa.” Mu 1919, Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwe baddamu okwenyigira mu mulimu gwabwe, baali kibiina kya bantu eky’enjawulo. Mu nsi ey’ekibi, ‘baaweebwa obutuukirivu’ olw’okukkiriza okw’amaanyi kwe baalina mu kinunulo kya ssaddaaka ya Kristo Yesu. (Abaruumi 3:24; 5:1) Olwo nno, okufaananako Abaisiraeri abaasumululwa mu buddu mu Babulooni, baasikira ‘ensi’ ey’eby’emwoyo, oba olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo. (Isaaya 66: 8) Embeera ennungi mu by’omwoyo mu nsi eyo tegenda kuggwaawo, kubanga obutafaanana Isiraeri ey’edda, Isiraeri wa Katonda ng’eggwanga tayinza kufuuka atali mwesigwa. Okukkiriza kwabwe, obugumiikiriza n’obunyiikivu tebigenda kulekera awo kuweesa linnya lya Katonda kitiibwa.
15 Bonna abali mu ggwanga eryo ery’eby’omwoyo bali mu ndagaano empya. Bonna amateeka ga Yakuwa gawandiikiddwa mu mitima gyabwe, era Yakuwa asonyiye ebibi byabwe okusinziira ku kinunulo kya ssaddaaka ya Yesu. (Yeremiya 31:31-34) Abawa obutuukirivu ‘ng’abaana’ era akolagana nabo ng’abantu abatuukiridde. (Abaruumi 8:15, 16, 29, 30) Bannaabwe ab’endiga endala nabo basonyiyiddwa ebibi byabwe okusinziira ku ssaddaaka ya Yesu, era okufaananako Ibulayimu, baweereddwa obutuukirivu nga mikwano gya Katonda olw’okukkiriza. ‘Boozezza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga.’ Era beesunga omukisa omulala ogw’enjawulo. Oluvannyuma lw’okuwonawo ‘mu kibonyoobonyo ekinene’ oba oluvannyuma lw’okuzuukizibwa, bajja kulaba okutuukirizibwa kw’ebigambo ebiri mu Isaaya 60:21, ng’ensi yonna efuuse olusuku lwa Katonda. (Okubikkulirwa 7:14; Abaruumi 4:1-3) Mu kiseera ekyo, “abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.”—Zabbuli 37:11, 29.
Okukulaakulana Kweyongera
16. Yakuwa yasuubiza ki eky’ekitalo, era kituukiriziddwa kitya?
16 Mu lunyiriri olusembayo mu Isaaya 60, tusoma ku kisuubizo kya Yakuwa ekisembayo mu ssuula eno. Agamba Sayuuni: “Omuto alifuuka lukumi n’omutono alifuuka ggwanga lya maanyi: nze Mukama ndikyanguya ebiro byakyo nga bituuse.” (Isaaya 60:1-22) Mu kiseera kyaffe, Yakuwa atuukiriza ekigambo kye. Abaafukibwako amafuta bwe bazzibwa obuggya mu 1919, baali batono nnyo, mazima ddala, “omutono.” Omuwendo gwabwe gweyongera ng’Abaisiraeri abalala ab’omwoyo bongerwako. Awo oluvannyuma n’ab’endiga endala baatandika okubeegattako mu bungi. Emirembe gy’abantu ba Katonda, olusuku olw’eby’omwoyo mu ‘nsi’ yaabwe, bisikiriza bangi nnyo eb’emitima emyesigwa ne kiba nti ddala “omuto” afuuse ‘eggwanga ery’amaanyi.’ Kampegaano, “eggwanga” lino, kwe kugamba, Isiraeri wa Katonda ne ‘bannaggwanga’ abeewaddeyo, basukka mu bukadde mukaaga—nga bangi okusinga abantu abali mu nsi ezimu. (Isaaya 60:10) Abatuuze baamu bonna booleka ekitangaala kya Yakuwa, era ekyo kibaleetera okusiimibwa mu maaso ge.
17. Okwekenneenya Isaaya 60, kukukuteko kutya?
17 Mazima ddala, kinyweza okukkiriza kwaffe okwekenneenya ensonga zino enkulu eziri mu Isaaya essuula 60. Kituzzaamu amaanyi okumanya nti Yakuwa yakitegeera dda nti abantu be bandigenze mu buddu obw’eby’omwoyo ate oluvannyuma n’abasumulula mu buddu obwo. Era kitwewuunyisa nti Yakuwa yakimanya dda nnyo nti wajja kubaawo okweyongera okw’amaanyi mu basinza ab’amazima mu kiseera kyaffe. Ate era, nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti Yakuwa tajja kutwabulira! Okugatta ku ekyo, nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti wankaaki ‘w’ekibuga’ ajja kusigala nga mugule abo ‘abaagala obulamu obutaggwaawo’ basobole okuyingira! (Ebikolwa 13:48) Yakuwa ajja kweyongera okuwa abantu be ekitangaala. Sayuuni ajja kweyongera okuba ekintu eky’okwenyumirizaamu ng’abaana be beeyongera okumulisa ekitangaala. (Matayo 5:16) Mazima ddala tuli bamalirivu okusinga bwe kyali kibadde okwoleka ekitangaala kya Yakuwa n’okukolagana ne Isiraeri wa Katonda!
Osobola Okunnyonnyola?
• Ku bikwata ku kuziyizibwa, tuli bakakafu ku ki?
• Abaana ba Sayuuni ‘banywedde batya amata g’amawanga’?
• Mu ngeri ki Yakuwa gy’aleeseemu ‘ekikomo mu kifo ky’omuti’?
• Ngeri ki ebbiri ezoogerwako mu Isaaya 60:17, 21?
• “Omuto” afuuse atya ‘eggwanga ery’amaanyi’?
[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 28]
OBUNNABBI BWA ISAAYA—Kitangaala eri Abantu Bonna
Ebibadde mu bitundu bino ebibiri byali mu kwogera okwaweebwa mu Lukuŋŋaana lwa District, olwa “Abayigiriza b’Ekigambo kya Katonda” olwaliwo mu mwaka 2001 ne 2002. Ku nkomerero y’okwogera okwo, mu bifo ebisinga obungi mu nsi, omwogezi yalangirira okufulumizibwa kw’ekitabo ekippya ekyalina omutwe Isaiah’s Prophecy—Light for All Mankind, Omuzingo ogw’Okubiri. Omwaka gumu emabega ng’ekyo tekinnabaawo Isaiah’s Prophecy—Light for All Mankind, Omuzingo Ogusooka, kyafulumizibwa. Oluvannyuma lw’okufulumizibwa kw’ekitabo kino ekippya, kati buli lunyiriri mu kitabo kya Isaaya lunnyonnyola. Emizingo gino gya muganyulo nnyo mu kutuyamba okutegeera n’okusiima ekitabo kya Isaaya eky’obunnabbi ekinyweza okukkiriza.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]
Mu kuziyizibwa okw’amaanyi, ‘Yakuwa agulumiza abantu be ng’abawa obulokozi’
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Abantu ba Katonda bakozesa eby’obugagga by’amawanga okutumbula okusinza okw’amazima
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
Yakuwa ayambye abantu be okukola enkyukakyuka mu ntegeka era n’okufuna emirembe