Abakristaayo Basinza mu Mwoyo n’Amazima
“Katonda gwe Mwoyo: n’abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n’amazima.”—YOKAANA 4:24.
1. Kusinza kwa ngeri ki okusanyusa Katonda?
OMWANA wa Yakuwa eyazaalibwa omu yekka, Yesu Kristo, yalaga bulungi okusinza okusanyusa Kitaawe ow’omu ggulu bwe kulina okuba. Bwe yali abuulira omukyala Omusamaliya ku luzzi okumpi n’ekibuga ky’e Sukali, Yesu yagamba: “Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi; kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya. Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza ab’amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n’amazima: kubanga Kitaffe anoonya abali ng’abo okubeera ab’okumusinzanga. Katonda gwe Mwoyo: n’abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n’amazima.” (Yokaana 4:22-24) Ebigambo ebyo birina makulu ki?
2. Abasamaliya okusinza kwabwe baali bakwesigamya ku ki?
2 Abasamaliya baalina endowooza enkyamu ez’eby’eddiini. Era baali bakkiriza nti ebitabo bitaano byokka ebisooka mu Baibuli bye byaluŋŋamizibwa—ebyo byokka ebyali mu nkyusa yaabwe emanyiddwa ng’Ebitabo ebitaano eby’Abasamaliya. Wadde nga Abasamaliya baali tebamanyi Katonda mu bujjuvu, bo Abayudaaya baali baweereddwa okumanya kw’Ebyawandiikibwa. (Abaruumi 3:1, 2) Kyali kisoboka, Abayudaaya abeesigwa n’abantu abalala okusiimibwa Yakuwa. Naye, ekyo kyali kibeetaagisa kukola ki?
3. Kiki ekyetaagisa okusobola okusinza Katonda mu “mwoyo n’amazima”?
3 Okusobola okusanyusa Yakuwa, Abayudaaya, Abasamaliya n’abantu abalala abaaliwo edda kyali kibeetaagisa kukola ki? Kyali kibeetaagisa okumusinza mu “mwoyo n’amazima.” Era naffe bwe tusaanidde okukola. Wadde ng’okuweereza Katonda kitwetaagisa okubeera abamalirivu oba abanyiikivu, era nga tukubirizibwa omutima ogujjudde okwagala n’okukkiriza, okusinza Katonda mu mwoyo okusingira ddala kitwetaagisa okubeera n’omwoyo gwe omutukuvu era tugoberere obulagirizi bwagwo. Tulina okutuukanya endowooza yaffe n’eya Katonda okuyitira mu kuyiga Ekigambo kye n’okukigoberera. (1 Abakkolinso 2:8-12) Era okusinza kwaffe okusobola okusiimibwa Yakuwa, kulina okubeera nga kwa mazima. Kulina okutuukagana n’ebyo Ekigambo kya Katonda, Baibuli, bye kitutegeeza ku Yakuwa era n’ebigendererwa bye.
Amazima Gayinza Okuzuulibwa
4. Abamu amazima bagatunuulira batya?
4 Abayizi abamu abasoma obufirosoofo balowooza nti tekisoboka omuntu okutegeerera ddala amazima gennyini. Mu butuufu, omuwandiisi w’ekitabo omu Omuswideni ayitibwa Alf Ahlberg yawandiika: “Si kyangu kuddamu bibuuzo bingi eby’obufirosoofo.” Wadde ng’abamu bagamba nti tewaliiwo mazima gennyini wabula ekyekuusa obwekuusa ku mazima, ddala bwe kiri bwe kityo? Yesu Kristo teyalowooza bw’atyo.
5. Lwaki Yesu yajja mu nsi?
5 Ka tuteebereze nti weetuli mu kiseera ekyo ng’emboozi eno eddirira egenda mu maaso: Kati ntandikwa y’omwaka ogwa 33 C.E., era Yesu ayimiridde mu maaso ga Gavana Pontiyo Piraato. Yesu agamba Piraato: “Nze nnazaalirwa ekyo, n’ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima.” Piraato abuuza: “Amazima kye ki?” Naye talinda Yesu kwongerako birala.—Yokaana 18:36-38.
6. (a) “Amazima” gannyonnyolwa gatya? (b) Mulimu ki Yesu gwe yawa abagoberezi be?
6 Ekigambo “amazima” gannyonnyolwa nga “ekintu ekikakafu ekiriwo ddala oba ekituufu.” (Webster’s Ninth New Collegiate Dictionary) Naye, Yesu yali ayogera ku “mazima” mu bugazi bw’ekigambo ekyo, nga talina kintu kyonna kikakafu ky’asimbyeko mannyo? Nedda. Waaliwo amazima amakakafu ge yali ayogerako. Yalagira abagoberezi be okubuulira amazima ago kubanga yabagamba: “Mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.” (Matayo 28:19, 20) Nga ‘enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu’ tennaba, abagoberezi ba Yesu ab’amazima bandibuulidde “amazima agakwata ku mawulire amalungi” mu nsi yonna. (Matayo 24:3; Abaggalatiya 2:14, NW) Kino kyandibadde kituukiriza ebigambo bya Yesu: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa mu mawanga gonna, awo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14, NW) N’olwekyo, kikulu okumanya baani abayigiriza amawanga gonna amazima nga babuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka.
Engeri Gye Tuyinza Okuyigamu Amazima
7. Oyinza otya okukakasa nti Yakuwa ye Nsibuko y’amazima?
7 Yakuwa ye Nsibuko y’amazima ag’eby’omwoyo. Mu butuufu, omuwandiisi wa Zabbuli, Dawudi, yayita Yakuwa “Katonda ow’amazima.” (Zabbuli 31:5; 43:3) Yesu yalaga nti ekigambo kya Kitaawe ge mazima, era naye yagamba: “Kyawandiikibwa mu bannabbi nti, ne bonna baliyigirizibwa Katonda. Buli eyawulira Kitange n’ayiga, ajja gye ndi.” (Yokaana 6:45; 17:17; Isaaya 54:13) N’olwekyo, abo bonna abanoonya amazima bateekwa okuyigirizibwa Yakuwa, Omuyigiriza Omukulu. (Isaaya 30:20, 21) Abo abanoonya amazima beetaaga okufuna ‘okumanya okukwata ku Katonda.’ (Engero 2:5) Era, Yakuwa ayigirizza oba atuusizza ku bantu amazima mu ngeri ez’enjawulo.
8. Katonda atuyigirizza atya oba atutuusizzaako atya amazima?
8 Ng’ekyokulabirako, Katonda yawa Abaisiraeri Amateeka ge okuyitira mu bamalayika. (Abaggalatiya 3:19) Okuyitira mu birooto, yasuubiza okuwa Ibulayimu ne Yakobo emikisa. (Olubereberye 15:12-16; 28:10-19) Era Katonda yayogera ng’asinziira mu ggulu nga Yesu yaakamala okubatizibwa, era bye yayogera byawulirwa ku nsi: “Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.” (Matayo 3:17) Era tusobola okubeera abasanyufu nti Katonda yatutuusaako amazima ng’aluŋŋamya abawandiisi ba Baibuli. (2 Timoseewo 3:16, 17) N’olwekyo, bwe tuyiga Ekigambo kya Katonda, tusobola okubeera “n’okukkiriza n’amazima.”—2 Abasessaloniika 2:13.
Amazima n’Omwana wa Katonda
9. Katonda akozesezza atya Omwana we okubikkula amazima?
9 Okusingira ddala Katonda akozesezza Omwana we, Yesu Kristo, okubikkula amazima eri abantu. (Abaebbulaniya 1:1-3) Mu butuufu, Yesu yayogera amazima okusinga omuntu omulala yenna. (Yokaana 7:46) N’oluvannyuma ng’amaze okugenda mu ggulu, yabikkula amazima agakwata ku Kitaawe. Ng’ekyokulabirako, omutume Yokaana yafuna ‘okubikkulirwa okwamuweebwa Yesu Kristo okulaga abaddu be ebyali biri okumpi okubaawo.’—Okubikkulirwa 1:1-3.
10, 11. (a) Amazima Yesu ge yategeeza abantu, gakwataganyizibwa na ki? (b) Yesu amazima yagooleka atya?
10 Yesu yategeeza Pontiyo Piraato nti yali Azze mu nsi okutegeeza amazima. Mu kiseera eky’obuweereza bwe, Yesu yakibikkula nti amazima ago gaali gakwatagana n’okugulumiza obufuzi bwa Yakuwa okuyitira mu Bwakabaka bwe nga Kristo ye Kabaka. Kyokka, okusobola okutegeeza amazima, Yesu kyali kimwetaagisa okukola ekisingawo ku kubuulira n’okuyigiriza. Amazima ago Yesu yagooleka bwe yagatuukiriza. Mu ngeri y’emu, omutume Pawulo yawandiika: “Omuntu yenna tabanenyanga mu by’okulya oba mu by’okunywa, oba olw’embaga oba olw’omwezi oguboneka oba olwa ssabbiiti ebyo kye kisiikirize ky’ebyo ebigenda okujja; naye omubiri gwe gwa Kristo.”—Abakkolosaayi 2:16, 17.
11 Engeri emu amazima gye geeyolekamu, kwe kutuukirizibwa kw’okuzaalibwa kwa Kristo okwalagulwa. (Mikka 5:2; Lukka 2:4-11) Amazima era geeyoleka mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Danyeri obukwata ku kulabika kwa Masiya ku nkomerero ya ‘ssabbiiti 69 ez’emyaka.’ Ekyo kyaliwo Yesu bwe yeeyanjula eri Katonda ng’ayitira mu kubatizibwa era n’afukibwako omwoyo omutukuvu mu kiseera kyennyini ekyali kiraguddwa, mu 29 C.E. (Danyeri 9:25; Lukka 3:1, 21, 22) Amazima era geeyoleka okuyitira mu kuyigiriza kwa Yesu ng’Omulangirizi w’Obwakabaka. (Isaaya 9:1, 2, 6, 7; 61:1, 2; Matayo 4:13-17; Lukka 4:18-21) Era amazima geeyongera okweyoleka, bwe yafa era n’azuukira.—Zabbuli 16:8-11; Isaaya 53:5, 8, 11, 12; Matayo 20:28; Yokaana 1:29; Ebikolwa 2:25-31.
12. Lwaki Yesu yali asobola okugamba nti ‘nze mazima’?
12 Okuva Yesu Kristo bwe yalina ekifo ekikulu mu kutegeeza amazima, yali asobola okugamba: “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng’ayita mu nze.” (Yokaana 14:6) Abantu bafuna eddembe mu by’omwoyo bwe babeera “ku ludda lw’amazima” nga bakkiriza ekifo Yesu ky’alina mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda. (Yokaana 8:32-36; 18:37, NW) Olw’okuba abo abalinga endiga bakkiriza amazima era ne bagoberera Kristo, bajja kufuna obulamu obutaggwaawo.—Yokaana 10:24-28.
13. Bintu ki ebisatu ebikwata ku mazima g’omu Byawandiikibwa bye tujja okwekenneenya?
13 Amazima Yesu n’abayigirizwa be abaaluŋŋamizibwa ge baayigiriza abantu ge gakola enzikiriza z’Ekikristaayo. N’olwekyo, abo ‘abagondera okukkiriza’ baba ‘batambulira mu mazima.’ (Ebikolwa 6:7; 3 Yokaana 3, 4) Kati olwo, baani abatambulira mu mazima leero? Baani abayigiriza amawanga gonna amazima? Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, tujja kwetegereza Abakristaayo abaasooka twekenneenye amazima g’omu Byawandiikibwa agakwata ku (1) nzikiriza, (2) engeri y’okusinzaamu, ne (3) enneeyisa.
Amazima n’Enzikiriza
14, 15. Oyinza kwogera otya ku ndowooza Abakristaayo abaasooka n’Abajulirwa ba Yakuwa gye balina ku Byawandiikibwa?
14 Abakristaayo abaasooka bassa nnyo ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda ekyawandiikibwa. (Yokaana 17:17) Era kye beesigamyangako enzikiriza zaabwe n’enneeyisa. Clement ow’e Alexandria ow’omu kyasa eky’okubiri n’eky’okusatu yagamba: “Abo abaagala okufuna ekisingirayo ddala obulungi tebajja kulekera awo kunoonya mazima, okutuusa nga bamaze okufuna obukakafu nti kye bakkiriza kisangibwa mu Byawandiikibwa.”
15 Okufaananako Abakristaayo abaasooka, Abajulirwa ba Yakuwa bassa nnyo ekitiibwa mu Baibuli. Bakkiriza nti ‘buli kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda era kigasa mu kuyigiriza.’ (2 Timoseewo 3:16) Kati ka twekenneenye ezimu ku nzikiriza z’Abakristaayo abaasooka era tuzigeraageranye n’ekyo abaweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino kye bayize olw’okuba Baibuli kye kitabo ekikulu kye bakozesa.
Amazima Agakwata ku Mmeeme
16. Amazima agakwata ku mmeeme ge galuwa?
16 Olw’okuba bakkirizza Ebyawandiikibwa kye byogera, Abakristaayo abaasooka baayigirizanga amazima agakwata ku mmeeme. Baali bakimanyi nti “omuntu yafuuka emmeeme ennamu” Katonda bwe yamutonda. (Olubereberye 2:7, NW) Ate era, baali bakkiriza nti emmeeme efa. (Ezeekyeri 18:4; Yakobo 5:20) Era baali bakimanyi nti abafu tebalina kye bamanyi.—Omubuulizi 9:5, 10.
17. Wandinnyonnyodde otya essuubi erikwata ku bafu?
17 Kyokka, abayigirizwa ba Yesu abaasooka baalina essuubi ekkakafu nti abafu Katonda b’ajjukira bajja kuzuukira. Pawulo naye yalaga bulungi nti alina okukkiriza ng’okwo bwe yagamba: “Nnina essuubi eri Katonda, . . . nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Era nga waayiseewo ekiseera, Minucius Felix eyali yeeyita Omukristaayo yagamba: “Ani ayinza okugamba nti Katonda eyatonda omuntu, tayinza kumuzzaawo buppya nate?” Okufaananako Abakristaayo abaasooka, Abajulirwa ba Yakuwa nabo bakkiriza amazima ge gamu ag’omu Byawandiikibwa agakwata ku mmeeme, okufa, n’okuzuukira. Kati ka twekenneenye ebikwata ku Katonda ne Kristo.
Amazima ne Tiriniti
18, 19. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Tiriniti si njigiriza ya mu Byawandiikibwa?
18 Abakristaayo abaasooka tebaatwala Katonda, Kristo n’omwoyo omutukuvu okuba Tiriniti. Ekitabo The Encyclopædia Britannica kigamba: “Ekigambo Tiriniti oba enjigiriza eyo, teriimu mu Ndagaano Empya, era Yesu Kristo n’abagoberezi be tebaalina kigendererwa kya kukontana [n’essaala y’Abebbulaniya] eri mu Ndagaano Enkadde egamba nti: ‘Wulira ggwe Isiraeri, Mukama Katonda waffe ye Mukama omu’ (Ma. 6:4).” Abakristaayo tebaasinza katonda w’Abaruumi eyali mu busatu oba bakatonda abalala. Bakkiriza ebigambo bya Yesu nti Yakuwa yekka y’alina okusinzibwa. (Matayo 4:10) Ate era bakkiriza ebigambo bya Kristo nti: “Kitange ansinga obukulu.” (Yokaana 14:28) Abajulirwa ba Yakuwa nabo balina endowooza y’emu leero.
19 Abayigirizwa ba Yesu abaasooka baali bamanyi bulungi nnyo enjawulo eriwo wakati wa Katonda, Kristo n’omwoyo omutukuvu. Mu butuufu, baabatizanga abayigirizwa mu (1) linnya lya Kitaffe, (2) mu linnya ly’Omwana, ne (3) mu linnya ly’omwoyo omutukuvu so si mu linnya lya Tiriniti. Abajulirwa ba Yakuwa nabo bayigiriza amazima g’omu Byawandiikibwa era bamanyi enjawulo eriwo wakati wa Katonda, Omwana we, era n’omwoyo omutukuvu.—Matayo 28:19.
Amazima n’Okubatizibwa
20. Abagenda okubatizibwa basaanidde kumanya ki?
20 Yesu yalagira abayigirizwa be okufuula abantu abayigirizwa nga babayigiriza amazima. Okusobola okubatizibwa, beetaaga okufuna okumanya okukwata ku Byawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, bateekwa okumanya ekifo n’obuyinza bwa Kitaffe n’Omwana we, Yesu Kristo. (Yokaana 3:16) Abo abagenda okubatizibwa era balina okumanya nti omwoyo omutukuvu si muntu, wabula maanyi ga Katonda agakola.—Olubereberye 1:2.
21, 22. Lwaki wandigambye nti okubatizibwa kwa bakkiriza bokka?
21 Abakristaayo abaasooka baabatizanga abo bokka abaali bamaze okwenenya era ne beeweerayo ddala eri Katonda okukola by’ayagala. Abayudaaya n’ab’amawanga amalala abaali bakyuse okudda mu ddiini y’Ekiyudaaya abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekoote 33 C.E., baali bamanyi bulungi Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Bwe baawulira ng’omutume Peetero ayogera ku Yesu Masiya, abantu nga 3,000 ‘bakkiriza ekigambo’ era ne “babatizibwa.”—Ebikolwa 2:41; 3:19–4:4; 10:34-38.
22 Abakristaayo babatiza bantu abo bokka ababa bamaze okukkiriza. Abantu b’omu Samaliya bwe bakkiriza amazima, era “bwe bakkiriza Firipo ng’abuulira enjiri ey’obwakabaka bwa Katonda n’erinnya lya Yesu Kristo, ne babatizibwa abasajja n’abakazi.” (Ebikolwa 8:12) Ng’omuntu eyali agoberera okusinza kw’Abayudaaya era ng’amanyi Yakuwa, Omuwesiyopya omulaawe yasooka kukkiriza bigambo bya Firipo ebikwata ku Masiya n’oluvannyuma n’abatizibwa. (Ebikolwa 8:34-36) Oluvannyuma, Peetero yagamba Koluneeriyo n’Ab’amawanga abalala nti ‘omuntu atya Katonda n’akola obutuukirivu amukkiriza’ era nti omuntu yenna akkiriza Yesu Kristo asobola okusonyiyibwa ebibi bye. (Ebikolwa 10:35, 43; 11:18) Ebyo byonna bikwatagana bulungi nnyo n’ekiragiro kya Yesu ‘eky’okufuula abayigirizwa, okubayigiriza okukwata byonna bye yabalagira.’ (Matayo 28:19, 20; Ebikolwa 1:8) Abajulirwa ba Yakuwa bagoberera omusingi gwe gumu, nga babatiza abo bokka abamaze okufuna okumanya okw’omu Byawandiikibwa era ne beewaayo eri Katonda.
23, 24. Okubatizibwa okutuufu okw’Ekikristaayo, kubeera kutya?
23 Okunnyikibwa mu mazzi ye ngeri entuufu ey’okubatizaamu abakkiriza. Yesu bwe yali amaze okubatizibwa mu mugga Yoludaani, “amangu ago “yava mu mazzi.” (Makko 1:10) Omuwesiyopya omulaawe yabatizibwa “mu mazzi.” Ye ne Firipo ‘bakka mu mazzi’ ate ne ‘bagavaamu.’ (Ebikolwa 8:36-40) Ate era ebyawandiikibwa bwe bikwataganya okubatizibwa n’okuziikibwa okw’akabonero, ekyo nakyo kiraga nti okubatizibwa kulina kubeera kwa kunnyikibwa ddala mu mazzi.—Abaruumi 6:4-6; Abakkolosaayi 2:12.
24 Ekitabo ekiyitibwa The Oxford Companion to the Bible kigamba: “Engeri okubatizibwa gye kwogerwako mu Ndagaano Empya eraga nti omuntu yabatizibwanga ng’annyikibwa mu mazzi.” Okusinziira ku kitabo kya Abafalansa ekiyitibwa Larousse du XXe Siècle (Paris, 1928), “Abakristaayo abaasooka baabatizibwanga nga bannyikibwa mu mazzi wonna wonna we gaabanga.” Ate ekitabo ekiyitibwa After Jesus—The Triumph of Christianity kigamba: “Oyo eyalinga agenda okubatizibwa, kyali kimwetaagisa okwatula okukkiriza kwe, era oluvannyuma n’annyikibwa mu mazzi mu linnya lya Yesu.”
25. Kiki ekijja okwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako?
25 Ensonga ezoogeddwako waggulu ezikwata ku nzikiriza n’enneeyisa z’Abakristaayo abaasooka kubadde kunokolayo byakulabirako bitonotono. Kyandibadde kisoboka okulaga okufaanagana okulala okuliwo wakati w’enzikiriza zaabwe n’ez’Abajulirwa ba Yakuwa leero. Mu kitundu ekiddako tujja kwekenneenya engeri endala eyinza okutusobozesa okwawulawo abo abayigiriza abantu amazima.
Wandizzeemu Otya?
• Kusinza kwa ngeri ki Katonda kw’ayagala?
• Amazima geeyoleka gatya okuyitira mu Yesu Kristo?
• Ekituufu ekikwata ku mmeeme n’okufa kye kiruwa?
• Okubatizibwa kw’Ekikristaayo kukolebwa kutya, era abo abagenda okubatizibwa balina kukola ki?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]
Yesu yagamba Piraato: ‘Nze nnajja okutegeeza amazima’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Oyinza okunnyonnyola ensonga lwaki Yesu yagamba nti: ‘Nze mazima’?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Okubatizibwa okw’Ekikristaayo kusaanidde kubeera kutya?