Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Obweyamo eri Katonda tebusobola kusazibwamu?
Mu Baibuli, obweyamo kye kisuubizo omuntu ky’akola eri Katonda ng’amulazaanya okubaako ky’akola, okuwaayo ekiweebwayo, okumuweereza mu ngeri ey’enjawulo, oba okwewala ebintu ebimu wadde nga si bikyamu ku bwabyo. Baibuli erimu ebyokulabirako eby’obweyamo abantu bwe beeyama eri Katonda nga bamulazaanya okubaako kye bakola singa abaako ne ky’asooka okubakolera. Ng’ekyokulabirako, Kaana, maama wa nnabbi Samwiri, “yeeyama obweyamo n’ayogera nti: “Ai Mukama ow’eggye, . . . bw’oteerabira muzaana wo, naye n’owa omuzaana wo omwana ow’obulenzi, awo ndimuwa Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwe, so n’akamwano tekaliyita ku mutwe gwe.” (1 Samwiri 1:11) Baibuli era eraga nti obweyamo bukolebwa kyeyagalire. Kyokka, obweyamo eri Katonda buleetawo buvunaanyizibwa ki ku muntu?
Sulemaani, Kabaka wa Isiraeri ow’edda yagamba bw’ati: “Bw’oneeyamanga obweyamo eri Katonda, tolwangawo okubusasula, kubanga [Yakuwa] tasanyukira basirusiru. Waakiri oleme okweyama, okusinga okweyama n’olema okusasula.” (Omubuulizi 5:4, 5) Amateeka agaaweebwa Abaisiraeri okuyitira mu Musa gagamba: “Bw’oneeyamanga obweyamo Mukama Katonda wo, totenguwanga kubusasula, kubanga Mukama Katonda wo talirema kububuuza gy’oli, era kyandibadde kibi muggwe.” (Ekyamateeka 23:21) Kya lwatu, obweyamo eri Katonda si kintu kya muzannyo. Bulina okukolebwa n’ekigendererwa ekirungi, era oyo abukola alina okuba nga yeekakasa nti ajja kutuukiriza buli kimu kye yeeyama. Awatali ekyo, kisingako obuteeyama. Naye obweyamo bwonna tebulina kusazibwamu oluvannyuma lw’okukolebwa?
Kiba kitya singa omuntu akizuula oluvannyuma nti obweyamo bwe yakola bukontana ne Katonda by’ayagala? Gamba, singa obweyamo obwo mu ngeri emu oba endala buleetera omuntu okugattika obugwenyufu mu kusinza okw’amazima? (Ekyamateeka 23:18) Kya lwatu, obweyamo ng’obwo tebuteekeddwa kusasulibwa. Mu Mateeka ga Musa, obweyamo obwakolebwanga omukazi bwasobolanga okusazibwamu bba oba kitaawe.—Okubala 30:3-15.
Era lowooza ku kyokulabirako ky’omuntu eyeeyama eri Katonda obutabeera mufumbo, kyokka oluvannyuma ne yeesanga mu mbeera enzibu ennyo. Muli awulira nti singa awaliriza okutuukiriza obweyamo bwe, kiyinza okumuleetera okumenya amateeka ga Katonda agakwata ku mpisa ennungi. Yandigenze mu maaso n’okufuba okutuukiriza obweyamo obwo? Tekyandimubeeredde kirungi singa asazaamu obweyamo bwe mu kifo ky’okugwa mu bwenzi ate oluvannyuma ne yeegayirira Katonda amusonyiwe? Ye kennyini y’alina okwesalirawo so si mulala.
Watya singa oluvannyuma omuntu akizuula nti yapapa okweyama? Yandigenze mu maaso n’okutuukiriza obweyamo bwe? Tekyali kyangu eri Yefusa okutuukiriza obweyamo bwe eri Katonda, naye yaguma n’abutuukiriza. (Ekyabalamuzi 11:30-40) Omuntu bw’alemererwa okutuukiriza obweyamo bwe, kisobola ‘okunyiiza’ Katonda n’asazaamu n’ebyo byonna omuntu oyo by’aba amukoledde. (Omubuulizi 5:6) Okutwala ensonga y’okutuukiriza obweyamo ng’ey’olubalaato, kiyinza okuviirako obutasiimibwa Katonda.
Yesu Kristo yagamba: ‘Leka ekigambo kyo nti Yee kibeerenga Yee, nti Nedda, kibeerenga Nedda.’ (Matayo 5:37) Omukristaayo talina kutuukiriza bweyamo bwe eri Katonda kyokka, naye era alina n’okubeera omwesigwa mu bigambo bye byonna eri Katonda ne bantu banne. Naye kiba kitya singa yeesanga mu buzibu olw’okukola endagaano n’omuntu omulala etaali y’amagezi? Ensonga eyo talina kugitwala ng’ey’olubalaato wabula alina okwogera n’omuntu gwe yakola naye endagaano oboolyawo ayinza okumuggyako obuvunaanyizibwa obw’okutuukiriza obweyamo obwo.—Zabbuli 15:4; Engero 6:2, 3.
Kiki ekyandibadde ekigendererwa kyaffe ekikulu mu kweyama? Ka tufubenga okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 30, 31]
Kaana teyalwawo kusasula bweyamo bwe
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 30, 31]
Wadde nga tekyali kyangu, Yefusa yatuukiriza obweyamo bwe