LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w04 1/1 lup. 14-19
  • Mweteekereteekere Olunaku lwa Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mweteekereteekere Olunaku lwa Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Weewale Omwoyo gw’Obuteefiirayo
  • Weewale Okusumagira mu by’Omwoyo
  • Weewale Engeri z’Obulamu Ezoonoona mu by’Omwoyo
  • Kola Kyonna ky’Osobola Okweteekateeka
  • ‘Beera Bulindaala’—Ekiseera eky’Okusala Omusango Kituuse!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • ‘Mutunulenga’!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Kikulu Nnyo Okutunula Kati Okusinga Bwe Kyali Kibadde
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Beera Mwetegefu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 1/1 lup. 14-19

Mweteekereteekere Olunaku lwa Yakuwa

“Mweteeketeeke: kubanga mu kiseera kye mutalowoolezaamu Omwana w’omuntu ky’ajjiramu.”​—MATAYO 24:44.

1. Lwaki twandifuddeyo ku lunaku lwa Yakuwa?

LUJJA kuba lunaku lwa lutalo era olw’okulaga obusungu, lwa kubonaabona n’okulaba ennaku, lwa kizikiza n’okuzikiriza. Ng’Amataba bwe gaasaanyawo ensi embi ey’omu kiseera kya Nuuwa, bwe lutyo ‘n’olunaku lwa Yakuwa olukulu era olw’entiisa’ lujja kusaanyawo enteekateeka eno embi ey’ebintu. Mazima ddala lujja. Kyokka, ‘buli alikoowoola erinnya lya Yakuwa alirokoka.’ (Yoweeri 2:30-32; Amosi 5:18-20) Katonda ajja kuzikiriza abalabe be anunule abantu be. Nnabbi Zeffaniya ayogera bw’ati: “Olunaku olukulu olwa Mukama luli kumpi, luli kumpi era lwanguwa mangu nnyo.” (Zeffaniya 1:14) Kyokka, okuzikkiriza okwo kunaabaawo ddi?

2, 3. Lwaki kikulu nnyo ffe okweteekerateekera olunaku lwa Yakuwa?

2 “Eby’olunaku luli n’ekiseera tewali abimanyi, newakubadde bamalayika ab’omu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka,” bw’atyo Yesu bwe yagamba. (Matayo 24:36) Okuva bwe tutamanyidde ddala kiseera kyennyini, kikulu nnyo okussaayo omwoyo ku bigambo ebiri mu kyawandiikibwa kyaffe eky’omwaka 2004: ‘Mutunulenga era mweteeketeeke.’​—Matayo 24:42, 44.

3 Ng’alaga engeri ey’embagirawo abo abeeteeseteese gye baliwonyezebwawo ate abalala ne bazikirizibwa, Yesu yagamba: “Mu biro ebyo abasajja babiri baliba mu kyalo; omu alitwalibwa, n’omulala alirekebwa: abakazi babiri baliba nga bassa ku lubengo; omu alitwalibwa n’omulala alirekebwa.” (Matayo 24:40, 41) Mu kiseera ekyo ekya kanaayokya ani, buli omu ku ffe anaasangibwa mu mbeera ki? Tunaaba tweteeseteese oba olunaku olwo lunaatusangiriza nga tetulwetegekedde? Ekyo kijja kwesigama nnyo ku ekyo kye tukolawo kati. Okulaga nti tweteekeddeteekedde olunaku lwa Yakuwa waliwo omwoyo ogucaase ennyo mu nsi gwe tulina okwewala, embeera embi mu by’omwoyo gye tulina okwekuuma, era n’engeri z’obulamu ze tusaanidde okwesamba.

Weewale Omwoyo gw’Obuteefiirayo

4. Abantu b’omu kiseera kya Nuuwa baayoleka mwoyo ki?

4 Lowooza ku kiseera kya Nuuwa. ‘Olw’okukkiriza, Nuuwa bwe yalabulwa Katonda ku bigambo ebyali bitannalabika, n’azimba eryato olw’okulokola ennyumba ye,’ bw’etyo Baibuli bw’egamba. (Abaebbulaniya 11:7) Eryato eryo lyali ddene nnyo era nga lisobola okulabibwa buli muntu. Ate era, Nuuwa yali ‘mubuulizi wa butuukirivu.’ (2 Peetero 2:5) Kyokka, Nuuwa bwe yazimba eryato era n’abuulira, abantu tebalina kye baakolawo. Lwaki? Olw’okuba baali “balya nga banywa, nga bawasa nga bawayiza.” Abo Nuuwa be yabuulira baali beemalidde nnyo ku bintu ebibakwatako bokka era n’amasanyu “ne batamanya okutuusa amataba lwe gajja, ne gabatwala bonna.”​—Matayo 24:38, 39.

5. Mu kiseera kya Lutti, abantu b’omu Sodomu baayoleka mwoyo ki?

5 Embeera bw’etyo bwe yali ne mu kiseera kya Lutti. Ebyawandiikibwa bitugamba: “Baali nga balya, nga banywa, nga bagula, nga batunda, nga basiga, nga bazimba; naye ku lunaku luli Lutti lwe yava mu Sodomu, omuliro n’ekibiriiti ne bitonnya okuva mu ggulu ne bibazikiriza bonna.” (Lukka 17:28, 29) Oluvannyuma lwa bamalayika okutegeeza Lutti ku kuzikiriza okwali kubindabinda, Lutti yabuulira bakoddomi be ekyo ekyali kigenda okubaawo. Kyokka, gye bali ‘yalinga omuntu asaaga.’​—Olubereberye 19:14.

6. Mwoyo gwa ngeri ki gwe tusaanidde okwewala?

6 Ng’ennaku za Nuuwa n’eza Lutti bwe zaali, “bwe kutyo bwe kuliba okujja kw’Omwana w’omuntu,” bw’atyo Yesu bwe yagamba. (Matayo 24:39; Lukka 17:30) Kyokka, leero abantu bangi booleka omwoyo gw’obuteefiirayo. Tulina okwegendereza tuleme okutwalirizibwa omwoyo ng’ogwo. Si kikyamu okulya emmere ennungi n’okunywaako katono ku mwenge. Ate n’obufumbo nabwo nteekateeka ya Katonda. Kyokka, singa tukulembeza ebintu ebyo mu bulamu bwaffe ne tulagajjalira eby’omwoyo, ddala tuba twetegekedde olunaku lwa Yakuwa olw’entiisa?

7. Kibuuzo ki ekikulu kye twandyebuuzizza nga tetunnabaako kye tukola, era lwaki?

7 “Ebiro biyimpawadde,” bw’atyo omutume Pawulo bwe yagamba. “[N’olwekyo, abo] abalina abakazi babe ng’abatalina.” (1 Abakkolinso 7:29-31) Tusigazzaayo ekiseera kitono nnyo eky’okutuukiririzaamu omulimu ogw’okubuulira Obwakabaka Katonda gw’atukwasizza. (Matayo 24:14) Pawulo yakubiriza n’abafumbo obuteemalira nnyo ku bibakwatako bokka ne kiba nti eby’Obwakabaka babissa mu kifo eky’okubiri. Kya lwatu, wano Pawulo atukubiriza okwewala omwoyo gw’obuteefiirayo. Yesu yagamba: “Musooke munoonye obwakabaka [bwa Katonda] n’obutuukirivu bwe.” (Matayo 6:33) Bwe tubaako ne kye tusalawo kyonna oba nga tetunnabaako kye tukola, ekibuuzo ekikulu kye twandyebuuzizza kiri nti, ‘Kino kinansobozesa okukulembeza eby’Obwakabaka mu bulamu bwange?’

8. Bwe tuba nga twenyigidde nnyo mu bintu ebya bulijjo, kiki kye tusaanidde okukola?

8 Kiba kitya singa tukizuula nti twenyigidde nnyo mu bintu ebya bulijjo ne kiba nti tulagajjalidde eby’omwoyo? Enneeyisa yaffe eyawukana kitono nnyo ku ya baliraanwa baffe abatalina kumanya kutuufu okw’Ebyawandiikibwa era abatali babuulizi ba Bwakabaka? Bwe kiba bwe kityo, tulina okusaba Katonda. Yakuwa asobola okutuyamba okubeera n’endowooza entuufu. (Abaruumi 15:5; Abafiripi 3:15) Asobola okutuyamba okukulembeza eby’Obwakabaka, okukola ekituufu, era n’okutuukiriza by’atwetaagisa.​—Abaruumi 12:2; 2 Abakkolinso 13:7.

Weewale Okusumagira mu by’Omwoyo

9. Okusinziira ku Okubikkulirwa 16:14-16, lwaki kikulu okwewala okusumagira mu by’omwoyo?

9 Obunnabbi obwogera ku kujja ‘kw’olutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna’ ku Kalumagedoni era bulaga nti abamu bayinza okulemererwa okusigala nga batunula. “Laba njija ng’omubbi,” bw’atyo Mukama waffe Yesu Kristo bw’agamba. “Aweereddwa omukisa atunula, n’akuuma ebyambalo bye, aleme okugenda obwereere, era baleme okulaba ensonyi ze.” (Okubikkulirwa 16:14-16) Ebyambalo ebyogeddwako wano bikiikirira ebintu ebitwawulawo ng’Abakristaayo Abajulirwa ba Yakuwa. Bino bizingiramu omulimu gwaffe ng’abalangirizi b’Obwakabaka n’enneeyisa yaffe ey’Ekikristaayo. Singa tulagajjalira ebintu eby’omwoyo, kiyinza okutuviirako okwambulwa ebyambalo byaffe eby’Ekikristaayo. Ekyo kireeta ensonyi era kya kabi. Tusaanidde okwewala okusumagira mu by’omwoyo oba okubeera abagayaavu. Tuyinza tutya okwewala embeera ng’eyo?

10. Lwaki okusoma Baibuli buli lunaku kituyamba okusigala nga tuli bulindaala mu by’omwoyo?

10 Enfunda n’enfunda Baibuli etukubiriza okutunula n’okubeera obulindaala. Ng’ekyokulabirako, ebiri mu Njiri bitujjukiza: ‘Kale mutunulenga’ (Matayo 24:42; 25:13; Makko 13:35, 37); “nammwe mweteeketeeke” (Matayo 24:44); “mwekuumenga, mutunulenga” (Makko 13:33); “mweteeketeekenga” (Lukka 12:40). Oluvannyuma lw’okugamba nti olunaku lwa Yakuwa lugenda kutuuka ku nsi eno nga terusuubirwa, omutume Pawulo akubiriza bakkiriza banne: “Kale nno tulemenga okwebaka ng’abalala, naye tutunulenga tulemenga okutamiira [“tubeere bulindaala,” NW].” (1 Abasessaloniika 5:6) Mu kitabo kya Baibuli ekisembayo, Yesu Kristo eyagulumizibwa alaga obwangu bw’ajjirako ng’agamba: “Njija mangu.” (Okubikkulirwa 3:11; 22:7, 12, 20) Bannabbi Abebbulaniya bangi nabo baayogera era ne balabula ku kujja kw’olunaku lwa Yakuwa olukulu olw’omusango. (Isaaya 2:12, 17; Yeremiya 30:7; Yoweeri 2:11; Zeffaniya 3:8) Okusoma Ekigambo kya Katonda Baibuli buli lunaku era n’okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma kijja kutuyamba okusigala nga tuli bulindaala mu by’omwoyo.

11. Lwaki kikulu okwesomesa Baibuli bwe tuba ab’okusigala nga tutunula mu by’omwoyo?

11 Mazima ddala, okweyigiriza Baibuli nga tukozesa ebitabo ebigyesigamiziddwako ebituweebwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ kituyamba nnyo okutunula mu by’omwoyo. (Matayo 24:45-47) Kyokka, okusobola okuganyulwa mu kwesomesa ffekka, tulina okunyiikira okweyigiriza obutayosa. (Abaebbulaniya 5:14–6:3) Tusaanidde okulya emmere enkalubo ey’eby’omwoyo buli lunaku. Kyokka, mu nnaku zino ze tulimu okufuna ekiseera okweyigiriza si kyangu. (Abaefeso 5:15, 16) Wadde kiri kityo, okusoma Baibuli n’ebitabo ebigyesigamiziddwako awo wokka we tuba tufunye akadde tekimala. Kikulu nnyo okwesomesa obutayosa bwe tuba ab’okusigala nga tuli ‘balamu mu kukkiriza’ era nga tutunula.​—Tito 1:13.

12. Mu ngeri ki enkuŋŋaana z’Ekikristaayo ennene n’entono gye zituyamba obutasumagira mu by’omwoyo?

12 Enkuŋŋaana ennene ez’Ekikristaayo nazo zituyamba obutasumagira mu by’omwoyo. Mu ngeri ki? Okuyitira mu bye tuyigirizibwa. Nga tuli mu nkuŋŋaana zino, tetujjukizibwa entakera nti olunaku lwa Yakuwa lusembedde? Era n’enkuŋŋaana ez’Ekikristaayo ezibaawo buli wiiki nazo zitusobozesa ‘okukubirizigana okwagala n’okukola emirimu emirungi.’ Okukubiriza ng’okwo kuyamba omuntu okusigala ng’atunula mu by’omwoyo. N’olw’ensonga eyo, tulagirwa obutayosa kukuŋŋaana wamu nga ‘bwe tulaba olunaku luli nga lweyongera okusembera.’​—Abaebbulaniya 10:24, 25.

13. Obuweereza obw’Ekikristaayo butuyamba butya okusigala nga tutunula mu by’omwoyo?

13 Ate era tuyambibwa okusigala nga tutunula mu by’omwoyo bwe twenyigira mu bujjuvu mu buweereza obw’Ekikristaayo. Okubuulira abalala ye ngeri esingayo obulungi mwe tusobolera okujjukira akabonero akakwata ku biseera bye tulimu n’amakulu gaabyo. Era bwe tulaba abo be tuyiga nabo Baibuli nga bakulaakulana era ne batandika okukolera ku ebyo bye bayiga, tweyongera okuba abanyiikivu. Omutume Peetero yagamba: ‘Musibenga ebimyu by’amagezi gammwe, mubeerere ddala bulindaala.’ (1 Peetero 1:13, NW) ‘Okubeera n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe,’ kituyamba obutasumagira mu by’omwoyo.​—1 Abakkolinso 15:58.

Weewale Engeri z’Obulamu Ezoonoona mu by’Omwoyo

14. Nga bwe kiragibwa mu Lukka 21:34-36, bintu ki Yesu by’alabulako?

14 Mu bunnabbi bwe obukulu obukwata ku kabonero ak’okubeerawo kwe, Yesu yawa okulabula okulala. Yagamba: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw’obuluvu n’okutamiiranga n’okweraliikiriranga eby’obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng’ekyambika; kubanga bwe lutyo bwe lulituuka ku bonna abali ku nsi yonna. Naye mutunulenga mu biro byonna musabenga musobole okudduka ebyo byonna ebigenda okubaawo n’okuyimirira mu maaso g’Omwana w’Omuntu.” (Lukka 21:34-36) Yesu yayogera ku ngeri abantu gye bandyeyisizzaamu: bandibadde baluvu, batamiivu, era nga balina bingi ebibeeraliikiriza mu bulamu.

15. Lwaki twandyewaze obuluvu n’okunywa ekisukkiridde?

15 Obuluvu n’okunywa ekisukkiridde bikontana n’emisingi gya Baibuli era birina okwewalibwa. “Tobanga ku muwendo gw’abo abeekamirira omwenge; mu abo abeevuubiika ennyama,” Baibuli bw’etyo bw’egamba. (Engero 23:20) Kyokka, omuntu asobola okusumagira mu by’omwoyo era n’anafuwa nga tannaba kutuuka ku ssa eryo. “Omugayaavu yeegomba,” bw’etyo Baibuli bw’egamba, ‘naye talina kintu.’ (Engero 13:4) Omuntu ng’oyo ayinza okwagala okukola Katonda by’ayagala naye n’alemererwa olw’obugayaavu.

16. Tuyinza tutya okwewala okweraliikirira ennyo ebikwata ku maka gaffe?

16 Ebyeraliikiriza mu bulamu Yesu bye yalabulako bye biruwa? Bizingiramu ebintu ebitukwatako kinnoomu, ng’okulabirira ab’omu maka gaffe n’ebirala ng’ebyo. Nga tekyandibadde kya magezi okuleka ebintu ng’ebyo okutweraliikiriza ekisukkiridde! Yesu yabuuza: ‘Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongera ku bulamu bwe akaseera akamu?’ Awo n’alyoka akubiriza abamuwuliriza: “Temweraliikiriranga nga mwogera nti Tulirya ki? oba tulinywa ki? oba tulyambala ki? Kubanga ebyo byonna amawanga bye ganoonya; kubanga Kitammwe ali mu ggulu amanyi nga mwetaaga ebyo byonna.” Okukulembeza eby’Obwakabaka mu bulamu bwaffe era ne tuba bakakafu nti Yakuwa ajja kutulabirira kijja kutuyamba obuteeraliikirira era n’okusigala nga tutunula.​—Matayo 6:25-34.

17. Okuluubirira okufuna eby’obugagga kiyinza kitya okuleeta okweraliikirira?

17 Ate era okweraliikirira kuyinza okujjawo olw’okululunkanira ennyo eby’obugagga. Ng’ekyokulabirako, abamu bakalubya obulamu bwabwe nga baluubirira okugula ebintu ebitagya mu nfuna yaabwe. Abalala batwaliriziddwa bizineesi ze balowooza nti zijja kuvaamu mangu amagoba. Ate abalala, okwagala okufuna obuyigirize nga balina ekiruubirirwa eky’okufuna obugagga kiyinza okubafuukira ekyambika. Kyo kituufu nti kyetaagisa okufuna obuyigirize obusaanira okusobola okufuna omulimu. Kyokka, ekituufu kiri nti abamu baddiridde mu by’omwoyo nga bafuba okufuna obuyigirize obwa waggulu obutwala ebiseera ebingi. Nga kiba kya kabi nnyo okubeera mu mbeera ng’eyo ng’olunaku lwa Yakuwa lugenda lusembera! Baibuli erabula: “[Abo] abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n’okwegomba okungi okw’obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n’okuzikirira.”​—1 Timoseewo 6:9.

18. Okusobola okwewala okuluubirira eby’obugagga, busobozi ki bwe tulina okuba nabwo?

18 Ekintu ekikulu ennyo ekinaatuyamba obutalulunkanira bya bugagga kwe kukulaakulanya obusobozi bw’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu nga tulina bye tusalawo. Tuyinza okukulaakulanya obusobozi buno nga ‘tulya emmere enkalubo obutayosa,’ era nga ‘tukozesa amagezi mu kusalawo.’ (Abaebbulaniya 5:13, 14) Ate era ‘okumanya ebisinga obukulu’ kijja kutuyamba obutasalawo bubi.​—Abafiripi 1:10.

19. Twandikoze ki singa tumanya nti ebiseera bye tumala nga tukola ku bintu eby’omwoyo bitono ddala?

19 Okuluubirira eby’obugagga kiyinza okutuziba amaaso ne kitumalako obudde obw’okukola ku nsonga ez’eby’omwoyo. Tuyinza tutya okwekebera era ne twewala okuluubirira eby’obugagga? Tusaanidde okusaba Yakuwa era tulowooze nnyo ku ngeri gye tuyinza okugonzaamu obulamu bwaffe. Kabaka Sulemaani owa Isiraeri ey’edda yagamba: “Otulo otw’omukozi w’emirimu tumuwoomera, oba nga alya bitono oba nga bingi: naye omukkuto ogw’omugagga tegumuganya kwebaka.” (Omubuulizi 5:12) Tumala ebiseera bingi n’amaanyi nga tulabirira eby’obugagga ebiteetaagisa? Gye tukoma okuba n’ebintu ebingi, n’essente ez’okubiddaabiriza, eza insuwalensi era n’ez’okubikuuma gye zikoma okweyongera. Kiyinza okutubeerera eky’omuganyulo singa tugonza mu bulamu bwaffe nga tweggyako ebintu ebimu bye tuteetaaga?

Kola Kyonna ky’Osobola Okweteekateeka

20, 21. (a) Peetero atukakasa ki ku bikwata ku lunaku lwa Yakuwa? (b) Biki bye twandikoze okulaga nti tweteekeddeteekedde olunaku lwa Yakuwa?

20 Ensi ey’omu kiseera kya Nuuwa yazikirizibwa, era n’enteekateeka eno ey’ebintu ejja kuzikirizibwa. Omutume Peetero atukakasa: “Olunaku lwa [Yakuwa] lulijja nga mubbi; eggulu lwe lirivaawo n’okuwuuma okunene n’ebintu eby’obuwangwa birisaanuuka olw’okwokebwa okungi, n’ensi n’ebikolwa ebigirimu birisirikka.” Eggulu ery’akabonero​—gavumenti embi ez’ensi​—n’ensi ey’akabonero​—abantu abeeyawudde ku Katonda​—tebajja kusimattuka busungu bwa Katonda. Ng’ayogera ku ngeri gye tuyinza okulagamu nti tweteekeddeteekedde olunaku olwo, Peetero atukubiriza: “Ebyo byonna bwe bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde kubeeranga mutya mu mpisa entukuvu n’okutyanga Katonda, nga musuubira nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka?”​—2 Peetero 3:10-12.

21 Okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo obutayosa n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi bye bimu ku bikolwa ebyoleka okutya Katonda. Ka tubyenyigiremu n’omutima gwonna nga bwe tulindirira olunaku lwa Yakuwa olukulu. Ka ‘tufube okusangibwa Katonda nga tuli mu mirembe era nga tetulina bbala newakubadde omusango.’​—2 Peetero 3:14.

Ojjukira?

• Lwaki twandyeteekeddeteekedde olunaku lwa Yakuwa?

• Twandikoze ki singa tukizuula nti twenyigidde nnyo mu bintu ebya bulijjo?

• Kiki ekinaatuyamba obutasumagira mu by’omwoyo?

• Bintu ki ebyonoona bye tusaanidde okwewala, era tuyinza kubyewala tutya?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16, 17]

Abantu b’omu kiseera kya Nuuwa beesuulirayo gwa nnagamba ku kuzikiriza okwali kubindabinda​—ggwe okulowoozaako?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share