Ba Mukisa Abo Abawa Katonda Ekitiibwa
“Amawanga gonna ge wakola galijja, galisinza mu maaso go ai Mukama; era galigulumiza erinnya lyo.”—ZABBULI 86:9.
1. Lwaki tusobola okuwa Katonda ekitiibwa mu ngeri esinga ku y’ebitonde ebitalina bulamu?
EBITONDE byonna biggwanidde okutendereza Yakuwa. Wadde ng’ebitonde bye ebitalina bulamu bimuwa ekitiibwa mu kasirise, ffe abantu tutegeera, era tusobola okumusiima n’okumusinza. N’olwekyo, omuwandiisi wa Zabbuli aba agamba ffe nti: ‘Muleete eddoboozi ery’essanyu eri Katonda, ensi yonna: muyimbire waggulu ekitiibwa eky’erinnya lye: Mugulumize ettendo lye libe n’ekitiibwa.’—Zabbuli 66:1, 2.
2. Baani abagondedde ekiragiro ky’okuwa erinnya lya Katonda ekitiibwa, era lwaki?
2 Abantu abasinga obungi tebakkiririza mu Katonda era tebamuwa kitiibwa. Kyokka, Abajulirwa ba Yakuwa abassuka mu bukadde omukaaga mu nsi 235, balaba ‘engeri za Katonda ezitalabika’ okuyitira mu ebyo by’akoze era ‘bawulidde’ n’obujulirwa obw’omu kasirise obutonde bwe buwa. (Abaruumi 1:20; Zabbuli 19:2, 3) Ate era, olw’okwesomesa Baibuli, bategedde Yakuwa era bamwagala. Zabbuli 86:9, 10 zaalagula bwe ziti: “Amawanga gonna ge wakola galijja, galikusinza mu maaso go ai Mukama; era galigulumiza erinnya lyo. Kubanga gwe mukulu era okola eby’ekitalo: gwe Katonda wekka.”
3. Mu ngeri ki ‘ab’ekibiina ekinene’ gye ‘baweerezaamu Katonda emisana n’ekiro’?
3 Ate era, Okubikkulirwa 7:9, 15 zoogera ku ‘b’ekibiina ekinene’ nga ‘abaweereza Katonda emisana n’ekiro mu yeekaalu ye.’ Kino tekitegeeza nti Katonda akaka abaweereza be okumutendereza awatali kuwummulamu, wabula kiri bwe kityo olw’okuba abaweereza be basangibwa mu nsi yonna. N’olwekyo, obudde bwe buziba mu nsi ezimu, abaweereza ba Katonda mu nsi endala baba bawa obujulirwa. Bwe kityo, kiyinza okugambibwa nti emisana n’ekiro bawa Katonda ekitiibwa. Mu biseera ebitali bya wala, “buli ekirina omukka” kijja kutendereza Yakuwa. (Zabbuli 150:6) Kyokka mu kiseera kino, ffe kinnoomu twandikoze ki okuwa Katonda ekitiibwa? Buzibu ki bwe tuyinza okwolekagana nabwo? Era mikisa ki egirindiridde abo abawa Katonda ekitiibwa? Nga tuddamu ebibuuzo ebyo, ka twetegereza ebyawandiikibwa ebikwata ku kika ekya Isiraeri ekya Gaadi.
Obuzibu Obwaliwo mu Kiseera eky’Edda
4. Ab’ekika kya Gaadi baali boolekanye na buzibu ki?
4 Nga tebannayingira Nsi Nsuubize, Abaisiraeri ab’ekika kya Gaadi baasaba bakkirizibwe okubeera ebugwanjuba wa Yoludaani, ekitundu ekyali ekirungi okulundiramu ebisibo. (Okubala 32:1-5) Ekifo kino kye baasalawo okubeera, kyandibaviiriddeko okwolekagana n’obuzibu obw’amaanyi. Ebika ebyali ebuvanjuba w’omugga byandifunye obukuumi okuva ku Kiwonvu kya Yoludaani—kyandiziyizza obulumbaganyi bw’abalabe. (Yoswa 3:13-17) Kyokka, ku bikwata ku nsi eyali ebugwanjuba wa Yoludaani, ekitabo ekiyitibwa The Historical Geography of the Holy Land, ekyawandiikibwa George Adam Smith, kigamba: “Ensi eyo ya museetwe, era nga kyenkana tewali kiyinza kuziyiza mulabe. N’olw’ensonga eyo, baalinga basobola okulumbibwa ebika ebirala era ng’ebimu ku byo byabalumbanga buli mwaka nga binoonya omuddo gw’ebisibo byabwe.”
5. Mu ngeri ki Yakobo gye yakubirizaamu bazzukulu be ab’ekika kya Gaadi okubaako kye bakolawo nga balumbiddwa?
5 Ab’ekika kya Gaadi bandyaŋŋanze batya obuzibu obwo obwabangawo entakera? Emyaka mingi emabega, jjajjaabwe Yakobo bwe yali ng’anaatera okufa yalagula: “Gaadi ekibiina kirimunyigiriza: naye alinyigiriza ekisinziiro kyabwe.” (Olubereberye 49:19) Mu kusooka, ebigambo ebyo biyinza okulabika ng’ebimalamu amaanyi. Kyokka, ebigambo ebyo byali biraga nti ab’ekika kya Gaadi baali basobola okwerwanako nga balumbiddwa abalabe baabwe. Yakobo yabakakasa nti bwe bandyerwanyeko, abalabe baabwe bandidduse era ab’ekika kya Gaadi bandibawondedde.
Obuzibu bwe Tusanga mu Kusinza Kwaffe
6, 7. Embeera y’Abakristaayo leero efaanana etya n’ey’ekika kya Gaadi?
6 Okufaananako ekika kya Gaadi, Abakristaayo leero bayinza okwolekagana n’ebizibu ebiva mu nteekateeka ya Setaani, olw’okuba tebakuumibwa mu ngeri ey’ekyamagero obutatuukibwako bizibu ebyo. (Yobu 1:10-12) Bangi ku ffe tulina okwaŋŋanga ebizibu ku ssomero, ku mulimu era ne mu kukuza abaana. Ate era, tetusaanidde kubuusa maaso ebizibu bye tufuna kinnoomu. Abamu balina okugumira “eriggwa mu mubiri” nga lino liyinza okuba obulemu mu mubiri oba obulwadde. (2 Abakkolinso 12:7-10) Abamu beewulira nti tebalina mugaso. “Ennaku embi” ez’emyaka gy’obukadde ziyinza okukugira Abakristaayo bannamukadde okuweereza Yakuwa n’amaanyi nga bwe baamuweerezanga edda.—Omubuulizi 12:1.
7 Ate era omutume Pawulo atujjukiza nti ‘tumeggana na magye ag’emyoyo emibi egy’omu bbanga.’ (Abaefeso 6:12) Bulijjo twolekagana ‘n’omwoyo gw’ensi,’ kwe kugamba, obwewagguzi n’okwonooneka kw’empisa ebikubirizibwa Setaani ne badayimooni be. (1 Abakristaayo 2:12; Abaefeso 2:2, 3) Okufaananako Lutti eyali atya Katonda, naffe leero tunakuwala olw’engeri ez’obugwenyufu ez’abantu abatwetoolodde. (2 Peetero 2:7) Ate era Setaani asobola okutulumba butereevu. Setaani alwanyisa ensigalira y’abaafukibwako amafuta “abakwata ebiragiro bya Katonda, era abalina okutegeeza kwa Yesu.” (Okubikkulirwa 12:17) ‘Ab’endiga endala’ nabo boolekagana n’obulumbaganyi bwa Setaani nga bawerebwa oba nga bayigganyizibwa.—Yokaana 10:16.
Tulekulire oba Twerwaneko?
8. Twandikoze ki nga tulumbiddwa Setaani?
8 Twandikoze ki nga tulumbiddwa Setaani? Okufaananako ekika kya Gaadi eky’edda, naffe twandyerwanyeeko nga tufuba okuba abanywevu mu by’omwoyo era nga tugoberera obulagirizi bwa Katonda. Eky’ennaku, abamu batandise okuggwaamu amaanyi olw’ebizibu by’omu bulamu, ne balagajjalira obuvunaanyizibwa bwabwe obw’eby’omwoyo. (Matayo 13:20-22) Ow’oluganda omu yayogera bw’ati ng’awa ensonga lwaki omuwendo gw’ababeerawo mu nkuŋŋaana mu kibiina kye gwali gukendedde: “Mazima ddala ab’oluganda bakoowu. Mu butuufu banyigirizibwa nnyo.” Kyo kituufu nti leero waliwo ebintu bingi ebireetera abantu okukoowa. N’olwekyo, kyangu nnyo okutunuulira okusinza Katonda ng’ekintu ekinyigiriza, era ng’omugugu ogw’amaanyi. Naye endowooza eyo ntuufu?
9. Mu ngeri ki okwetikka ekikoligo kya Kristo gye kiwummuza?
9 Lowooza ku ebyo Yesu bye yagamba ebibiina by’abantu mu kiseera kye, abaali bakooye olw’ebizibu by’omu bulamu: “Mujje gyendi mmwe mmwena abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.” Yesu yali ategeeza nti bandifunye obuweerero nga bakendeeza ku buweereza bwabwe eri Katonda? Nedda, wabula yabagamba: “Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’omu myoyo gyammwe.” Ekikoligo guba muggo oba omutayimbwa oguyamba omuntu oba ensolo okwetikka omugugu omuzito. Kati olwo lwaki omuntu yenna yandikkirizza okwetikka ekikoligo ng’ekyo? Tewaliiwo bye twetisse ‘ebituzitooweredde’? Weebiri, naye, okusinziira ku byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ebigambo bya Yesu ebyo obutereevu bigamba: “Mwetikkire wamu nange ekikoligo kyange.” Kirowoozeeko: Yesu atusuubiza okutuyamba okusitula emigugu gyaffe! Tetulina kugisitula mu maanyi gaffe.—Matayo 9:36; 11:28, 29; 2 Abakkolinso 4:7.
10. Biki ebivaamu bwe tufuba okuwa Katonda ekitiibwa?
10 Bwe twetikka ekikoligo ky’okuba abayigirizwa, tuba tulwanyisa Setaani. Yakobo 4:7, lugamba: ‘Mulwanyisenga Setaani naye anaabaddukanga.’ Kino tekitegeeza nti kyangu okulwanyisa Setaani. Okuweereza Katonda kyetaagisa okufuba okw’amaanyi. (Lukka 13:24) Naye Baibuli esuubiza bw’eti mu Zabbuli 126:5: “Abasiga nga bakaaba amaziga balikungula nga basanyuka.” Yee, tusinza Katonda asiima. “Ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya,” era awa emikisa abo abamuwa ekitiibwa.—Abaebbulaniya 11:6.
Okuwa Katonda Ekitiibwa ng’Ababuulizi b’Obwakabaka
11. Obuweereza bw’ennimiro butuyamba butya okulwanyisa obulumbaganyi bwa Setaani?
11 Yesu yalagira: “Mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa.” Omulimu ogw’okubuulira y’engeri enkulu ey’okuwa Katonda “ssaddaaka ey’ettendo.” (Matayo 28:19; Abaebbulaniya 13:15) Era, ‘okunaanika mu bigere enjiri ey’emirembe,’ ‘kya kulwanyisa’ kikulu nnyo mu kuziyiza obulumbaganyi bwa Setaani. (Abaefeso 6:11-15) Okutendereza Katonda mu buweereza bw’ennimiro ngeri nnungi etuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe. (2 Abakkolinso 4:13) Kutuyamba obutalowooza bintu bibi. (Abafiripi 4:8) Okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro kitusobozesa okubeera awamu ne bakkiriza bannaffe.
12, 13. Okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro obutayosa kiganyula kitya amaka? Waayo eky’okulabirako.
12 Ate era omulimu gw’okubuulira gusobola okuganyula amaka. Kyo kituufu nti abato beetaga okusanyukamu mu ngeri esaanidde. Kyokka, ekiseera ab’omu maka kye bamala mu buweereza bw’ennimiro tekisaanidde kuba mugugu. Abazadde basobola okufuula ekiseera ekyo okuba eky’essanyu nga batendeka abaana baabwe okubuulira mu ngeri ennungi mu buweereza. Si kituufu nti abaana abato batera okunyumirwa ebintu bye baba bakola obulungi? Abazadde basobola okuyamba abaana baabwe okufuna essanyu mu buweereza nga tebabeetaaza kukola bye batasobola.—Olubereberye 33:13, 14.
13 Ate era, amaka agatenderereza awamu Katonda gaba n’enkolagana ey’oku lusegere. Ng’ekyokulabirako, mwannyina ffe omu yasigala n’abaana bataano nga bbaawe ataali mukkiriza amuleseewo. Olw’embeera eyo, yawalirizibwa okutandika okukola okusobola okuyimirizaawo abaana be. Obuvunaanyizibwa obwo bwali bwa maanyi nnyo ne kiba nti teyafaayo ku mbeera y’abaana be ey’eby’omwoyo? Agamba: “Nnafuba okwesomesa Baibuli n’ebitabo ebigyesigamiziddwako era ne ngezaako okussa mu nkola bye nnayiga. Ssayosanga kutwala baana mu nkuŋŋaana ne mu kubuulira nnyumba ku nnyumba. Biki ebyava mu kufuba kwange? Abaana bonna abataano baabatizibwa.” Okwenyigira mu buweereza obutayosa naawe kuyinza okukuyamba okukuza abaana bo mu ‘kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa.’—Abaefeso 6:4.
14. (a) Abavubuka basobola batya okuwa Katonda ekitiibwa ku ssomero? (b) Kiki ekiyinza okuyamba abavubuka ‘obutakwatibwa nsonyi okubuulira amawulire amalungi’?
14 Abavubuka, bwe muba nga muli mu nsi amateeka gye gatakugira mulimu gwa kubuulira, muwa Katonda ekitiibwa nga mubuulira ku ssomero, oba temubuulira olw’okutya abantu? (Engero 29:25) Omujulirwa omu ow’emyaka 13 okuva mu Puerto Rico agamba: “Sikwatibwangako nsonyi kubuulira ku ssomero kubanga mmanyi nti gano ge mazima. Bulijjo mu kibiina mpanika omukono ne njogera ku kye mba njize mu Baibuli. Bwe nfuna ebiseera, ŋŋenda mu tterekero ly’ebitabo ne nsoma akatabo Young People Ask.”a Yakuwa awadde mwannyinaffe ono emikisa olw’okufuba kwe? Agamba bw’ati: “Oluusi bayizi bannange bambuuza ebibuuzo era ne bansaba n’obutabo.” Bw’oba ng’obadde otya okubuulira, oboolyawo weetaaga gwe kennyini ‘okumanya ebyo Katonda by’ayagala’ ng’ofuba okwesomesa Baibuli. (Abaruumi 12:2) Bw’oba okakasa nti ddala by’oyize ge mazima, ‘amawulire amalungi tegajja kukukwasa nsonyi.’—Abaruumi 1:16.
‘Oluggi olw’Emirimu Olugguddwawo’
15, 16. ‘Luggi ki olunene olw’emirimu’ Abakristaayo abamu lwe bayingidde, era mikisa ki gye bafunye?
15 Omutume Pawulo yawandiika nti ‘oluggi olunene olw’emirimu’ lwali lumugguliddwawo. (1 Abakkolinso 16:9) Embeera zo ziyinza okukusobozesa okuyingira mu luggi olw’emirimu? Ng’ekyokulabirako, okuweereza nga payoniya owa bulijjo oba omuwagizi, kyetaagisa okumala essaawa 70 oba 50 buli mwezi mu mulimu gw’okubuulira. Mu butuufu bapayoniya basiimibwa Bakristaayo bannaabwe olw’obuweereza bwabwe. Naye, eky’okuba nti bamala essaawa nnyingi mu buweereza tekibaleetera kulowooza nti ba waggulu ku baganda baabwe ne bannyinaabwe. Mu kifo ky’ekyo, bakulaakulanya endowooza eno Yesu gye yakubiriza: “Tuli baddu abatasaana; ebyatugwanira okukola bye tukoze.”—Lukka 17:10.
16 Okuweereza nga payoniya kyetaagisa okwefuga, okuba n’enteekateeka ennungi, era n’okuba omwetegefu okwerekereza. Kyokka, emikisa egivaamu mingi ddala. Payoniya omu ayitibwa Tamika agamba: “Okuba ng’osobola okukozesa Ekigambo kya Katonda mu ngeri entuufu, nkizo ya maanyi. Bw’oba oweereza nga payoniya, oba okozesa nnyo Baibuli. Kati bwe ŋŋenda nju ku nju, nsobola okulowooza ku byawandiikibwa ebisobola okuganyula oyo gwe mba ntuukiridde.” (2 Timoseewo 2:15, NW) Payoniya ayitibwa Mica agamba: “Okulaba engeri amazima gye gakyusa obulamu bw’abalala, nagwo mukisa gwa maanyi.” Omuvubuka ayitibwa Matthew naye ayogera ku ssanyu erifunibwa “ng’omuyizi wa Baibuli ayize amazima. Tewali ssanyu liyinza kwenkana lino.”
17. Omukristaayo omu yavvuunuka atya endowooza embi gye yalina ku kuweereza nga payoniya?
17 Oyinza okulowooza ku kuweereza nga payoniya? Oboolyawo wandyagadde naye owulira nga tosobola. “Nnalina endowooza enkyamu ku kuweereza nga payoniya. Nneewuliranga nti sisobola. Nnali simanyi ngeri ya kutegekamu nnyanjula oba okunnyonnyola Ebyawandiikibwa,” bw’atyo payoniya omuto ayitibwa Kennyatte bw’agamba. Kyokka, abakadde baagamba payoniya akuze mu by’omwoyo okukola naye. Kennyatte agamba: “Nnanyumirwa nnyo. Era ekyo kyandeetera okwagala okuweereza nga payoniya.” Oboolyawo naawe ojja kwagala okuweereza nga payoniya singa banaakuyambako era ne bakutendeka.
18. Abo abayingira obuweereza obw’obuminsani bayinza kufuna mikisa ki?
18 Okukola nga payoniya kiyinza okukusobozesa okufuna enkizo endala ez’obuweereza. Ng’ekyokulabirako, abafumbo abamu bayinza okutendekebwa ng’abaminsani ne basindikibwa mu nsi endala. Abaminsani balina okumanyiira ensi endala, olulimi olulala, empisa z’ensi endala, era n’ebika by’emmere ebirala. Obuzibu obwo si bwa maanyi bw’obugeraageranya n’emikisa egivaamu. Mildred, amaze ekiseera ekiwanvu ng’aweereza ng’omuminsani mu Mexico agamba: “Sejjusangako kuweereza ng’omuminsani. Kye kintu kye nnali njagala okuva nga nkyali muwala muto.” Mikisa ki gy’afunye? Agamba: “Kyalinga kizibu nnyo okufuna omuyizi wa Baibuli mu nsi yange. Kyokka wano, waliwo ekiseera abayizi bange bana lwe baatandikira okumu okwenyigira mu buweereza!”
19, 20. Mikisa ki egifuniddwa abo abaweereza ku Beseri, mu nsi endala, era n’abo abagenda mu Ssomero Eritendeka Abaweereza n’Abakadde?
19 N’abo abaweereza ku Beseri ku ofiisi z’amatabi, nabo bafuna emikisa mingi. Sven, ow’oluganda omuto aweereza mu Germany, ayogera bw’ati ku mulimu gw’akola ku Beseri: “Mpulira nti nkola ekintu ekirina omuganyulo ogw’olubeerera. Obukugu bwe nnina nandibadde mbukozesa mu nsi. Naye kyandibadde ng’okutereka ssente mu banka enaatera okugwa.” Kyo kituufu nti okuweereza nga nnakyewa kizingiramu okwerekereza. Naye Sven agamba: “Bw’oddayo eka, oba omanyi nti buli kimu kyonna ky’oba okoze mu lunaku olwo, oba okikoledde Yakuwa. Era ekyo kikuwa enneewulira ‘ennungi.’”
20 Ab’oluganda abamu baweereza mu nsi endala nga bazimba ofiisi z’amatabi mu nsi ezo. Abafumbo abaweerezza mu nsi munaana baawandiika bwe bati: “Ab’oluganda bano balungi nnyo. Kijja kutusaaliza nnyo nga tubasiibula, era guno gujja kuba mulundi gwa munaana nga ‘tusaalirwa’ bwe tutyo. Nga tunyumiddwa nnyo okuweerereza awamu nabo!” Ate era waliwo Essomero Eritendeka Abaweereza n’Abakadde. Litendeka ab’oluganda abali obwa nnamunigina abalina ebisaanyizo. “Simanyi ngeri ki gye nnyinza kubeebazaamu olw’essomero eryo ery’amatendo. Kibiina ki ekirala ekyandifubye bwe kityo okutendeka abantu?”
21. Bizibu ki Abakristaayo bye boolekagana nabyo nga baweereza Katonda?
21 Yee, enzigi nnyingi ez’emirimu nzigule. Kyo kituufu nti abasinga obungi ku ffe tetusobola kuweereza ku Beseri oba mu nsi endala. Yesu kennyini yalaga nti Abakristaayo bandibadde babala ‘ebibala’ mu ngeri ez’enjawulo olw’embeera zaabwe ezitali zimu. (Matayo 13:23) N’olwekyo, ffe ng’Abakristaayo, tulina okukozesa obulungi embeera gye tubaamu, kwe kugamba, nga twenyigira mu bujjuvu mu buweereza bwaffe eri Yakuwa ng’embeera bwe zitusobozesa. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tuwa Katonda ekitiibwa era tuba bakakafu nti atusanyukira. Twala ekyokulabirako kya Ethel mwannyinaffe nnamukadde abeera mu maka gye balabiririra bannamukadde. Awa obujulirwa banne b’abeera nabo era n’abuulira ng’akozesa ssimu. Wadde ng’alina obunafu mu mubiri, aweereza n’omutima gwe gwonna.—Matayo 22:37.
22. (a) Ngeri ki endala mwe tuyinza okuweeramu Katonda ekitiibwa? (b) Kiseera ki eky’ekitalo kye twesunga?
22 Kyokka, jjukira nti okubuulira ngeri emu mwe tuyinza okuweera Yakuwa ekitiibwa. Bwe tussaawo ekyokulabirako ekirungi mu nneeyisa yaffe ne mu ndabika nga tuli ku mulimu, ku ssomero, n’awaka, tuba tusanyusa omutima gwa Yakuwa. (Engero 27:11) Engero 28:20 lusuubiza bwe luti: “Omuntu omwesigwa aliba n’okwebazibwa kungi.” N’olwekyo, tusaanidde ‘okusiga ensigo nnyingi’ mu buweereza bwaffe eri Katonda, nga tumanyi nti tujja kukungula emikisa mingi. (2 Abakkolinso 9:6) Bwe tukola bwe tutyo, tujja kubeerawo mu kiseera eky’ekitalo nga buli kiramu kiwa Yakuwa ekitiibwa ekimugwanidde!—Zabbuli 150:6.
[Obugambo obuli wansi]
a Akatabo Questions Young People Ask—Answers That Work kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Okyajjukira?
• Abantu ba Katonda bamuweereza batya “emisana n’ekiro”?
• Ab’ekika kya Gaadi baayolekagana na buzibu ki, era ekyo kiyigiriza ki Abakristaayo leero?
• Obuweereza bw’ennimiro butuyamba okwelwanako nga Setaani atulumbye?
• Luggi ki oluggule abamu lwe bayingidde, era mikisa ki gye gafunye?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Okuweereza nga payoniya, kiyinza okukutemera oluwenda okufuna enkizo endala nga zino:
1. Okuweereza mu nsi endala
2. Okuweereza ku Beseri
3. Obuminsani