Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Ekyamateeka
OMWAKA gwa 1473 B.C.E., era kati waakayitawo emyaka amakumi ana bukya Yakuwa anunula abaana ba Isiraeri okuva mu buddu e Misiri. Wadde nga bamaze emyaka gino gyonna mu ddungu, Abaisiraeri tebanafuna nsi yaabwe ku bwabwe. Kulwa ddaaki, batuuka ku njegoyego z’Ensi Ensuubize. Kiki ekigenda okubaawo nga batwala ensi eyo? Bizibu ki bye bagenda okwolekagana nabyo era banaabyaŋŋanga batya?
Ng’Abaisiraeri tebannasomoka Mugga Yoludaani kuyingira mu nsi ya Kanani, Musa abateekateeka okukola omulimu ogw’amaanyi gye bujjako awo. Kino akikola atya? Ng’abawa emboozi eziwerako ezizzaamu amaanyi, era nga zirimu okulabula. Ajjukiza Abaisiraeri nti Yakuwa Katonda gwe bagwanidde okwemalirako era nti tebateekwa kugoberera mpisa z’amawanga agabeetoolodde. Ekitundu ekisinga obunene eky’ekitabo kya Baibuli eky’Ekyamateeka kirimu ebyo bye yayogera gye bali. Era okubuulirira okusangibwa mu kwogera okwo, kwe twetaagira ddala leero kubanga naffe tukisanga nga kizibu okwemalira ku Yakuwa.—Abaebbulaniya 4:12.
Ng’ogyeko essuula esembayo, ekitabo kino eky’Ekyamateeka kyawandiikibwa Musa, ng’era ebikirimu byaliwo mu bbanga lya myezi ng’ebiri oba n’okusingawo.a (Ekyamateeka 1:3; Yoswa 4:19) Ka tulabe engeri okubuulirira okwo gye kuyinza okutuyamba okwagala Yakuwa Katonda n’omutima gwaffe gwonna era n’okumuweereza n’obwesigwa.
‘TEWEERABIRA EBYO AMAASO GO BYE GALABYE’
Mu kwogera kwe okusooka, Musa attottola ebimu ku ebyo ebyaliwo nga bali mu ddungu naddala ebyo ebijja okuba eby’omugaso eri Abaisiraeri nga beeteekerateekera okuyingira Ensi Ensuubize. Ebikwata ku kulonda abalamuzi biteekwa okuba nga byabajjukiza nti Yakuwa ateekateeka abantu be mu ngeri eraga nti abafaako era nti abaagala nnyo. Musa era ababuulira nti alipoota embi ey’abakessi ekkumi ye yalemesa bajjajjaabwe okuyingira mu nsi ensuubize. Lowooza ku ngeri kino gye kyakwata ku abo abaali bawuliriza Musa mu kiseera ekyo nga balengera ensi eyo.
Okubajjukiza obuwanguzi Yakuwa bwe yali awadde abaana ba Isiraeri nga tebannasomoka Yoludaani, kulina okuba nga kwabazzaamu nnyo amaanyi mu kiseera ekyo nga beeteekerateekera okuwamba ensi. Ensi gye baali banaatera okuyingira yalimu nnyo okusinza ebifaananyi. Nga kyali kituukirawo Musa okubalabula okwewala okusinza ebifaananyi!
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
2:4-6, 9, 19, 24, 31-35; 3:1-6—Lwaki Abaisiraeri baazikiriza abantu abamu abaali ebuvanjuba wa Yoludaani naye abamu ne batabazikiriza? Yakuwa yagaana Abaisiraeri okulwana ne batabani ba Esawu. Lwaki? Kubanga baali bazzukulu ba muganda wa Yakobo. Abaisiraeri tebaalina kuyisa bubi oba okulwanyisa Abamowaabu oba Abamoni, kubanga baali bazzukulu ba Lutti, omwana wa muganda wa Ibulayimu. Kyokka, Bakabaka Abamoli Sikoni ne Ogi tebaalina luganda lwonna ku Baisiraeri era olw’ensonga eno, baali tebalina kubeera mu nsi eyo. N’olwekyo, Sikoni bwe yagaana okukkiriza Abaisiraeri okuyita mu nsi ye era ne Ogi n’ajja okubalwanyisa, Yakuwa yalagira Abaisiraeri okuzikiriza ebibuga byabwe obutalekaawo muntu n’omu.
4:15-20, 23, 24—Eteeka erigaana okukola ekifaananyi ekyole ligaana omuntu okukola ekifaananyi kyonna ng’alina ekigendererwa eky’okutimba? Nedda. Etteeka eryo lyali ligaana omuntu okukola ebifaananyi ng’alina ekigendererwa eky’okubikozesa mu kusinza, kwe kugamba, ‘okubivvunnamira n’okubiweereza.’ Ebyawandiikibwa tebigaana muntu kubajja, kubumba oba okusiiga ebifaananyi ng’alina ekigendererwa eky’okubitimba.—1 Bassekabaka 7:18, 25.
Bye Tuyigamu:
1:2, 19. Abaisiraeri baamala emyaka 38 mu ddungu wadde ng’okuva e Kolebu [ekitundu eky’ensozi okumpi n’Olusozi Sinaayi Amateeka Ekkumi gye gabaweerwa] okutuuka e Kadesubanea ng’oyitidde awali olusozi Seyiri, lwali “lugendo lwa nnaku kkumi na lumu” zokka. Ebyava mu kujeemera Yakuwa Katonda nga byali bibi nnyo!—Okubala 14:26-34.
1:16, 17. Emitindo Katonda gy’akozesa okusala emisango gye gimu ne leero. Abo ababeera ku kakiiko akawuliriza emisango mu kibiina tebateekwa kwekubiira oba kusaliriza.
4:9. Okusobola okutuuka ku buwanguzi Abaisiraeri baali balina ‘obuteerabira bintu bye baali balabye.’ Ng’ensi empya egenda esembera, kikulu nnyo naffe okulowoozanga ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo nga tunyiikirira okusoma Ekigambo kye.
YAGALA YAKUWA, ERA KWATA EBIRAGIRO BYE
Mu kwogera kwe okw’okubiri, Musa ayogera ku kuweebwa Amateeka ku Lusozi Sinaayi era addamu okubamenyera Ebiragiro Ekkumi. Abagamba nti amawanga musanvu ge galina okuzikirizibwa. Abaisiraeri bajjukizibwa eky’okuyiga ekikulu kye baafuna nga bali mu ddungu: “Omuntu taba mulamu na mmere yokka naye olwa buli ekiva mu kamwa ka Mukama omuntu kyava aba omulamu.” Nga batuuse mu mbeera empya, baalina ‘okukuuma ebiragiro byonna.’—Ekyamateeka 8:3; 11:8.
Nga batuuse mu nsi ensuubize, Abaisiraeri bajja kwetaaga amateeka agakwata ku kusinza, ku kusala emisango, ku kufuga, ku kulwana entalo, ne ku ngeri y’okukolaganamu n’abantu era n’agakwata ku bulamu bwabwe obwa bulijjo. Musa abajjukiza amateeka gano era n’aggumiza obwetaavu bw’okwagala Yakuwa n’okugondera amateeka ge.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
8:3, 4—Mu ngeri ki ebyambalo by’Abaisiraeri gye bitaakaddiwa n’ebigere byabwe gye bitaazimba nga batambula mu ddungu? Kino kyali kyamagero nga n’emmaanu bwe yaweebwanga mu ngeri ey’ekyamagero. Abaisiraeri baakozesa engatto n’ebyambalo bye bimu bye baalina nga batandika olugendo lwabwe, ng’era kirabika omwana bwe yakulanga oba omuntu bwe yafanga ng’ekyambalo kye kiweebwa omulala. Okuva okubala abantu okwaliwo ku ntandikwa ne ku nkomerero y’olugendo mu ddungu bwe kwalaga nti omuwendo gw’Abaisiraeri gwali tegweyongedde, ebyambalo bye baalina okuviira ddala ku ntandikwa byandibadde bibamala.—Okubala 2:32; 26:51.
14:21—Lwaki Abaisiraeri baalinga basobola okuwa oba okuguza munnaggwanga ensolo eyabanga efudde nga teggiddwamu musaayi ng’ate bo baali tebakkirizibwa kugirya? Mu Baibuli, ekigambo “munnaggwanga” kyali kitegeeza omuntu ataali Muisiraeri eyali akyuse obukyusi oba omusenze eyagobereranga amateeka amakulu ag’omu nsi naye nga teyakyuka kufuuka musinza wa Yakuwa. Munnaggwanga eyali takyuse teyali wansi w’Amateeka era yali asobola kukozesa mu ngeri yonna ensolo eyabanga efudde nga teggiddwamu musaayi. Abaisiraeri bakkirizibwanga okubagabira oba okubaguza ensolo ng’ezo. Ku luuyi olulala, munnaggwanga eyalinga akyuse yalinga wansi w’endagaano y’Amateeka. Nga bwe kiragibwa mu Eby’Abaleevi 17:10, munnaggwanga ng’oyo yali takkirizibwa kulya musaayi.
24:6—Lwaki okusingirwa ‘olubengo n’enso’ kyalinga kigeraageranyizibwa n’okusingirwa ‘obulamu bw’omuntu’? Olubengo n’enso byakiikiriranga “obulamu” bw’omuntu oba ekyo mwe yajjanga eky’okulya okusobola okubaawo nga mulamu. Okusingirwa ekimu ku bino kyali kitegeeza nti amaka gonna gaggiddwako ekibayamba okufuna eky’okulya kyabwe ekya buli lunaku.
25:9—Makulu ki agali mu kunaanula engatto mu kigere n’okuwanda amalusu mu maaso g’oyo eyabanga agaanye okuwasa mukazi wa muganda we? Okusinziira ku ‘mpisa y’edda mu Isiraeri ey’okununula, omusajja yanaanulanga engatto ye n’agiwa munne.’ (Luusi 4:7) Omusajja eyabanga agaanye okuwasa muka muganda we bwe yanaanulanga engatto mu kigere, yabanga akakasa nti agaanye enkizo ey’okuzaalira muganda we omusika. Kino kyabanga kya buswavu. (Ekyamateeka 25:10) Okumuwandulira amalusu mu maaso kyabanga kikolwa kya kufeebezebwa.—Okubala 12:14.
Bye Tuyigamu:
6:6-9. Ng’Abaisiraeri bwe baali balagiddwa okukwata Amateeka, naffe tuteekwa okukwata ebiragiro bya Katonda, okubijjukira n’okubiyigirizanga abaana baffe. Tuteekwa ‘okubisiba ku mikono gyaffe’ ng’akabonero nga kino kitegeeza nti ebikolwa byaffe ebikiikirirwa emikono gyaffe biteekwa okulaga nti tugondera Yakuwa. Era okufaananako ‘ng’abagasibye ku byenyi byaffe,’ obuwulize bwaffe buteekwa okuba nga bulabika eri abantu bonna.
6:16. Ka tulemenga okukema Yakuwa ng’Abaisiraeri bwe baakola nga bali e Masa bwe beemulugunya nga tebalina mazzi.—Okuva 17:1-7.
8:11-18. Okwagala ebintu kuyinza okutwerabiza Yakuwa.
9:4-6. Tuteekwa okwewala okwetwala nti tuli batuukirivu.
13:6. Tuteekwa okwewala omuntu yenna ayinza okutuwugula okuva ku kusinza Yakuwa.
14:1. Okwesalaasala omubiri kiba kiraga obutaguwa kitiibwa, era kiyinza okuba n’akakwate n’eddiini ez’obulimba, n’olwekyo, kiteekwa okwewalibwa. (1 Bassekabaka 18:25-28) Olw’okuba tulina essuubi ery’okuzuukira, tekyetaagisa kukungubaga kisukkiridde nga tufiiriddwa.
20:5-7; 24:5. Abo ababa bali mu mbeera ezitabasobozesa kwenyigira mu mirimu egimu, balina okufiibwako ne bwe kiba nti omulimu ogulina okukolebwa mu kiseera ekyo mukulu nnyo.
22:23-27. Emu ku ngeri ezisingayo obulungi omukazi z’ayinza okukozesa okwetaasa ng’agenda okukwatibwa, kwe kukuba enduulu.
“WEEROBOZE OBULAMU”
Mu kwogera kwe okw’okusatu, Musa agamba Abaisiraeri nti oluvannyuma lw’okusomoka Yoludaani, bateekwa okuwandiika Amateeka ku mayinja amanene era boogere ebikolimo ebyandivudde mu kujeema n’emikisa egyandivudde mu buwulize. Okwogera okw’okuna kutandika n’okuzza obujja endagaano wakati wa Yakuwa ne Isiraeri. Musa era addamu okulabula abantu ku bujeemu era n’abakubiriza ‘okweroboza obulamu.’—Ekyamateeka 30:19.
Okugatta ku kwogera okwo okw’emirundi ena, Musa ayogera ku kukyusa obukulembeze era n’ayigiriza Abaisiraeri oluyimba olulungi olutendereza Yakuwa era olubalabula ku bibonyoobonyo ebiva mu butaba beesigwa. Oluvannyuma lw’okuwa ebika byonna omukisa, Musa afa ng’aweza emyaka 120 era aziikibwa. Ekiseera eky’okukungubaga kitwala ennaku 30 nga kino kimu kya kubiri eky’ekiseera ekitabo ky’Ekyamateeka kye kyatwala okuwandiikibwa.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
32:13, 14—Okuva Abaisiraeri bwe baali batakkirizibwa kulya masavu, kitegeeza ki okulya ‘amasavu g’endiga’? Ekigambo ‘amasavu’ wano kikozeseddwa mu ngeri ey’akabonero okutegeeza endiga ezisingayo okulabika obulungi mu kisibo. Okukozesa olulimi olw’akabonero ng’olwo kyeyolekera mu bigambo ebiri mu lunyiriri lwe lumu olwogera ku ‘ŋŋaano eya ssava ng’amasavu g’ensigo n’omwenge oguva mu musaayi gw’omuzabbibu.’
33:1-29—Lwaki Musa teyakoona ku Simyoni bwe yali awa ebika by’abaana ba Isiraeri omukisa? Ensonga yali nti Simyoni ne Leevi baali beeyisizza mu ngeri ‘ey’obusungu’ era ‘ey’obukambwe.’ (Olubereberye 34:13-31; 49:5-7) Obusika bwabwe bwali tebwenkanankana na bwa bika birala. Leevi yafuna ebibuga 48, ate ye Simyoni ekitundu kye kyali munda w’ekyo ekyaweebwa Yuda. (Yoswa 19:9; 21:41, 42) N’olwekyo, Simyoni, Musa teyamuwa mikisa gigye ku bubwe. Naye, emikisa gye gyazingirwa wamu n’egyo egyaweebwa Isiraeri yenna.
Bye Tuyigamu:
31:12. Abato basaanidde okutuula awamu n’abakulu mu nkuŋŋaana z’ekibiina era ne bafuba okuwuliriza n’okuyiga.
32:4. Ebikolwa bya Yakuwa byonna byatuukirira mu ngeri nti akozesa bulungi engeri ze, kwe kugamba, obwenkanya, okwagala, amagezi, n’amaanyi.
Kya Mugaso Nnyo Gye Tuli
Ekitabo ky’Ekyamateeka kiraga nti ‘Yakuwa ali omu.’ (Ekyamateeka 6:4) Ebikirimu byogera ku bantu abaalina enkolagana ey’enjawulo ne Katonda. Era ekitabo ky’Ekyamateeka kitulabula okwewala okusinza ebifaananyi era n’ekikkaatiriza obwetaavu bw’okwemalira ku Katonda ow’amazima.
Mazima ddala, ekitabo ky’Ekyamateeka kya muganyulo nnyo! Wadde nga tetukyali wansi wa Mateeka, tulina bingi bye tusobola okuyiga ebinaatuyamba ‘okwagala Yakuwa Katonda waffe n’omutima gwaffe gwonna, n’emmeeme yaffe yonna, era n’amaanyi gaffe gonna.’—Ekyamateeka 6:5.
[Obugambo obuli wansi]
a Essuula esembayo ekwata ku kufa kwa Musa, era ng’eyinza okuba yagattibwako Yoswa oba Eriyazaali Kabona Asinga Obukulu.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Ekitundu ekisinga eky’ekitabo ky’Ekyamateeka kirimu ebyo Musa bye yayogera
[Mmaapu ekiri ku lupapula 8]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
SEYIRI
Kadesu-banea
Olusozi Sinaayi (Korebu)
Ennyanja Emmyufu
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Based on maps copyrighted by Pictorial Archive (Near Eastern History) Est. and Survey of Israel
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Yakuwa okuwa Abaisiraeri emmaanu kituyigiriza ki?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Okusingirwa olubengo n’enso kyali kigeraageranyizibwa ku kusingirwa ‘obulamu bw’omuntu’