LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w04 11/1 lup. 25-30
  • Basanyufu Wadde nga Bayigganyizibwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Basanyufu Wadde nga Bayigganyizibwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okubonaabona olw’Obutuukirivu
  • Bavumibwa Olwa Kristo
  • Basanyufu Okuyigganyizibwa nga Bannabbi
  • Ensonga Enkulu kwe Tusinziira Okuba Abasanyufu
  • Mujaguze Nnyo olw’Empeera
  • Okuyigganyizibwa olw’Obutuukirivu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Ekyetaagisa Okusobola Okubeera Omusanyufu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Musanyuke nga Muyigganyizibwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Osobola Okugumira Okuyigganyizibwa
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 11/1 lup. 25-30

Basanyufu Wadde nga Bayigganyizibwa

“Mmwe mulina essanyu bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayiranga buli kigambo kibi, okubavunaanya nze.”​—MATAYO 5:11, NW.

1. Yesu yakakasa atya abagoberezi be ku bikwata ku ssanyu n’okuyigganyizibwa?

YESU lwe yasooka okutuma abatume be okugenda okubuulira Obwakabaka, yabalabula nti bandiyigganyiziddwa. Yagamba: “Munaakyayibwanga abantu bonna okubalanga erinnya lyange.” (Matayo 10:5-18, 22) Kyokka, emabegako mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, yakakasa abatume be era n’abalala abaaliwo nti, okuyigganyizibwa okwo tekwandibamazeeko ssanyu. Mu butuufu, Yesu yakwataganya okubeera n’essanyu n’okuyigganyizibwa ng’Abakristaayo. Okuyigganyizibwa kwandireese kutya essanyu?

Okubonaabona olw’Obutuukirivu

2. Okusinziira ku Yesu n’omutume Peetero, kubonaabona kwa ngeri ki okuleeta essanyu?

2 Ng’awa ekintu eky’omunaana ekiviirako omuntu okuba omusanyufu, Yesu yagamba: ‘Balina essanyu abayigganyizibwa olw’obutuukirivu: kubanga abo obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe.’ (Matayo 5:10) Okuyigganyizibwa ku bwakwo tekusanyusa. Omutume Peetero yawandiika: “Bwe mukola obubi ne mukubibwa empi, bwe muligumiikiriza, ttendo ki? [N]aye bwe mukola obulungi ne mubonyaabonyezebwa bwe muligumiikiriza, ekyo kye kisiimibwa eri Katonda.” Ate era yayongera n’agamba: “[Kyokka], omuntu yenna ku mmwe tabonyaabonyezebwanga nga mussi, oba mubbi, oba aketta ebya banne: naye omuntu yenna bw’abonyaabonyezebwanga ng’Omukristaayo, takwatibwanga nsonyi; naye atenderezenga Katonda mu linnya eryo.” (1 Peetero 2:20; 4:15, 16) Okusinziira ku bigambo bya Yesu, okuyigganyizibwa kuleeta essanyu singa omuntu akugumiikiriza olw’obutuukirivu.

3. (a) Kitegeeza ki okuyigganyizibwa olw’obutuukirivu? (b) Okuyigganyizibwa kwakola ki ku Bakristaayo abaasooka?

3 Obutuukirivu obwa nnamaddala buva ku kukola Katonda by’ayagala n’okugondera amateeka ge. N’olwekyo, okubonaabona olw’obutuukirivu kitegeeza nti omuntu abonaabona olw’okugaana okumenya amateeka ga Katonda. Abatume baayigganyizibwa abakulembeze b’Abayudaaya kubanga baagaana okulekera awo okubuulira mu linnya lya Yesu. (Ebikolwa 4:18-20; 5:27-29, 40) Ekyo kyabamalako essanyu oba kyabalemesa okubuulira? N’akatono! ‘Baava mu maaso g’olukiiko nga basanyuka kubanga baasaanira okubonyaabonyezebwa olw’Erinnya lya Yesu. Buli lunaku mu yeekaalu ne nnyumba ku nnyumba tebaayosanga kuyigiriza n’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Yesu Kristo.’ (Ebikolwa 5:41, 42) Okuyigganyizibwa okwo kwabaleetera essanyu era ne kubaviirako okunyiikirira omulimu gw’okubuulira. Oluvannyuma, Abakristaayo abaasooka, baayigganyizibwa Abaruumi olw’okuba baagana okusinza kabaka.

4. Bintu ki ebimu ebiviirako Abakristaayo okuyigganyizibwa?

4 Mu biseera bino, Abajulirwa ba Yakuwa bayigganyiziddwa olw’okugaana okulekera awo okubuulira ‘amawulire gano amalungi ag’obwakabaka.’ (Matayo 24:14) Enkuŋŋaana zaabwe bwe ziwerebwa, baba beetegefu okubonaabona mu kifo ky’okulekera awo okukuŋŋaana nga Baibuli bw’eragira. (Abaebbulaniya 10:24, 25) Bayigganyiziddwa olw’obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi, era n’olw’okugaana okuteekebwamu omusaayi. (Yokaana 17:14; Ebikolwa 15:28, 29) Kyokka, okunywerera ku butuukirivu, kuleetera abantu ba Katonda emirembe n’essanyu.​—1 Peetero 3:14.

Bavumibwa Olwa Kristo

5. Nsonga ki enkulu leero eviirako abantu ba Yakuwa okuyigganyizibwa?

5 Ekintu eky’omwenda ekituviirako okuba abasanyufu Yesu kye yayogera mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, kikwata ku kuyigganyizibwa. Yagamba: ‘Mmwe mulina essanyu bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayiranga buli kigambo kibi okubavunaanya nze.’ (Matayo 5:11) Ensonga enkulu lwaki abantu ba Yakuwa bayigganyizibwa eri nti tebali kitundu kya nsi. Yesu yagamba abagoberezi be: “Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo; naye kubanga temuli ba nsi, naye nze nnabalonda mu nsi, ensi kyeva ebakyawa.” (Yokaana 15:19) Mu ngeri y’emu, omutume Peetero yagamba: ‘Kibeewuunyisa kubanga temuddukira wamu nabo mu bukaba obutalabwanga bwe butyo, era kyebava babavuma.’​—1 Peetero 4:4.

6. (a) Lwaki Abakristaayo abaafukibwako amafuta abakyasigaddewo era ne bannaabwe, bavumibwa era ne bayigganyizibwa? (b) Okuyigganyizibwa ng’okwo kutumalako essanyu?

6 Tumaze okukiraba nti Abakristaayo abaasooka baayigganyizibwa olw’okuba baagana okulekera awo okubuulira mu linnya lya Yesu. Kristo yawa abagoberezi be omulimu ng’agamba nti: ‘Munaabanga bajulirwa bange okutuukira ddala ensi yonna gy’ekoma.’ (Ebikolwa 1:8) Ensigalira ya baganda ba Yesu abeesigwa abaafukibwako amafuta nga bayambibwako bannaabwe abeesigwa ‘ab’ekibiina ekinene,’ banyiikidde okukola omulimu ogwo. (Okubikkulirwa 7:9) N’olwekyo, Setaani alwanyisa ‘abakyasigaddewo ab’ezzadde ly’omukazi, ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Katonda, abakwata ebiragiro bya Katonda, era ababuulira ebikwata ku Kristo.’ (Okubikkulirwa 12:9, 17) Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tuwa obujulirwa ku Yesu, nga kati ye Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda obugenda okuzikiriza obufuzi bw’abantu obwekyise mu bufuzi bwa Katonda obugenda okufuga ensi empya. (Danyeri 2:44; 2 Peetero 3:13) Olw’ensonga eyo, tuvumibwa era tuyigganyizibwa, kyokka tusanyuka olw’okubonaabona ku lw’erinnya lya Kristo.​—1 Peetero 4:14.

7, 8. Abaali bayigganya Abakristaayo abaasooka, baaboogerako biki eby’obulimba?

7 Yesu yagamba nti abagoberezi be bandibadde basanyufu abantu ne bwe ‘bandibawaayirizza buli kigambo kibi,’ olw’erinnya lye. (Matayo 5:11) Bwe kityo ddala bwe kyali ku Bakristaayo abaasooka. Omutume Pawulo bwe yasibibwa mu Rooma awo nga mu 59-61 C.E., abakulembeze b’Abayudaaya baayogera bwe bati ku Bakristaayo: ‘Enzikiriza eno tumanyi nti [e]werebwa wonna wonna.’ (Ebikolwa 28:22) Pawulo ne Siira baavunaanibwa nti ‘bavuunika ensi,’ era nti baali ‘bajeemera amateeka ga Kayisaali.’​—Ebikolwa 17:6, 7.

8 Ng’awandiika ku Bakristaayo abaaliwo mu biseera by’Obwakabaka bwa Rooma, munnabyafaayo K. S. Latourette, yagamba: “Baabawaayirizanga ebintu ebitali bimu. Olw’okuba baagaana okwenyigira mu mikolo egy’ekikaafiiri, Abakristaayo baagambibwa nti tebakkiririza mu Katonda. Olw’obuteenyigira mu bintu ebisinga obungi eby’omu kitundu mwe baabeeranga, gamba ng’embaga ez’ekikaafiiri, n’ebikujjuko, . . . baagambibwanga nti bakyawa abantu. . . . Kyagambibwanga nti Abakristaayo abakazi n’abasajja baasisinkananga ekiro . . . ne beenyigira mu bwenzi. . . . Olw’okuba abakkiriza bokka be baabeerangawo ku mukolo [ogw’okujjukira okufa kwa Yesu], eŋŋambo zaasaasaana nti Abakristaayo baasaddakanga omwana era ne banywa omusaayi gwe ko n’okulya ennyama ye.” Ate era, olw’okuba Abakristaayo abaasooka baagaana okusinza kabaka, baatwalibwa okuba abalabe b’Eggwanga.

9. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakola ki nga baboogeddeko eby’obulimba, era embeera eri etya leero?

9 Eby’obulimba ebyo ebyayogerwa ku Bakristaayo abaasooka, tebyabalemesa kukola mulimu gwabwe ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Wakati wa 60-61 C.E., Pawulo yasobola okwogera ku ‘njiri’ nti, ‘mu nsi zonna yali ebala ebibala era ng’ekula,’ era nti yali ‘ebuuliddwa mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.’ (Abakkolosaayi 1:5, 6, 23) Bwe kityo bwe kiri ne leero. Abajulirwa ba Yakuwa boogerwako eby’obulimba nga bwe kyali ku Bakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka. Kyokka, leero omulimu gw’okubuulira Obwakabaka gweyongera mu maaso era guleetera essanyu abo abagwenyigiramu.

Basanyufu Okuyigganyizibwa nga Bannabbi

10, 11. (a) Yesu yamaliriza atya okwogera ku kintu eky’omwenda ekireeta essanyu? (b) Lwaki bannabbi baayigganyizibwa? Waayo ebyokulabirako.

10 Yesu bwe yali amaliriza okwogera ku kintu eky’omwenda ekireeta essanyu, yagamba: ‘Musanyuke kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaabasookawo.’ (Matayo 5:12) Bannabbi Yakuwa be yasindikanga okulabula Abaisiraeri abataali beesigwa tebaasanyukirwanga era emirundi mingi baayigganyizibwa. (Yeremiya 7:25, 26) Kino omutume Pawulo yakikakasa bwe yawandiika nti: “Njogere ki nate? Kubanga ebbanga linanzigwako bwe nnaayogera ku . . . bannabbi [abalala], olw’okukkiriza . . . ba[a]kemebwa nga baduulirwa era nga bakubibwa era nate nga basibibwa ne bateekebwa mu kkomera.”​—Abaebbulaniya 11:32-38.

11 Mu bufuzi bwa Akabu, Kabaka omubi ne mukazi we, Yezeberi, bannabbi ba Yakuwa bangi battibwa n’ekitala. (1 Bassekabaka 18:4, 13; 19:10) Nnabbi Yeremiya yateekebwa mu nvuba ate oluvannyuma n’asuulibwa mu bunnya omwali ettosi. (Yeremiya 20:1, 2; 38:6) Nnabbi Danyeri yasuulibwa mu mpuku y’empologoma. (Danyeri 6:16, 17) Bannabbi abo bonna abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo baayigganyizibwa olw’okuba baawagira okusinza okulongoofu. Bannabbi bangi baayigganyizibwa abakulembeze b’eddiini Abayudaaya. Yesu yayita abawandiisi n’Abafalisaayo ‘abaana b’abo abatta bannabbi.’​—Matayo 23:31.

12. Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa bagitwala nti nkizo okuyigganyizibwa nga bannabbi ab’edda?

12 Leero, ffe ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tutera okuyigganyizibwa olw’okuba tunyiikira okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Abalabe baffe batuwaayiriza nti ‘tukyusa abantu ku mpaka okuva mu nzikiriza zaabwe,’ naye tukimanyi nti abasinza ba Yakuwa abeesigwa abaatusooka nabo baawaayirizibwa mu ngeri y’emu. (Yeremiya 11:21; 20:8, 11) Tugitwala nti nkizo okubonaabona olw’ensonga y’emu eyaviirako bannabbi ab’edda abeesigwa okubonyaabonyezebwa. Omuyigirizwa Yakobo yawandiika: “Mutwale ekyokulabirako, ab’oluganda, eky’okubonyaabonyezebwa n’okugumiikiriza, bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama. Laba, tubayita ba mukisa abaagumiikiriza.”​—Yakobo 5:10, 11.

Ensonga Enkulu kwe Tusinziira Okuba Abasanyufu

13. (a) Lwaki okuyigganyizibwa tekutumalaamu maanyi? (b) Kiki ekitusobozesa okusigala nga tuli banywevu, era kino kitukakasa ki?

13 Mu kifo ky’okuggwaamu amaanyi olw’okuba tuyigganyizibwa, tubudaabudibwa bwe tukimanya nti tukoppa ekyokulabirako kya bannabbi n’Abakristaayo abaasooka era ne Yesu Kristo kennyini. (1 Peetero 2:21) Tuzzibwamu amaanyi okuva mu Byawandiikibwa, gamba g’ebigambo bino eby’omutume Peetero: “Abaagalwa, temwewuunyanga olw’okwokebwa okuli mu mmwe, okujja gye muli olw’okubakema, ng’abalabye eky’ekitalo: Bwe muvumibwanga olw’erinnya lya Kristo, mulina omukisa; kubanga [o]mwoyo ogw’ekitiibwa era ogwa Katonda [gu]tuula mu mmwe.” (1 Peetero 4:12, 14) Okusinziira ku bye tuyiseemu tukimanyi nti tusobola okusigala nga tuli banywevu nga tuyigganyizibwa olw’okuba omwoyo gwa Yakuwa gutuwa amaanyi. Obuyambi bw’omwoyo omutukuvu bwe tufuna bwe bukakafu obulaga nti Yakuwa atuwa emikisa gye, era na kino kituleetera essanyu lingi.​—Zabbuli 5:12; Abafiripi 1:27-29.

14. Nsonga ki ze tusinziirako okuba abasanyufu bwe tuyigganyizibwa olw’obutuukirivu?

14 Ensonga endala lwaki okuziyizibwa n’okuyigganyizibwa olw’obutuukirivu bituleetera essanyu, kwe kuba nti kikakasa nti tuli Bakristaayo ab’amazima abeemalidde ku Katonda. Omutume Pawulo yawandiika: “Bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez’okutya Katonda banaayigganyizibwanga.” (2 Timoseewo 3:12) Tufuna essanyu lya nsusso okumanya nti bwe tukuuma obugolokofu kyongera okukakasa nti Setaani bye yayogera nti abantu baweereza Yakuwa olw’okwenoonyeza ebyabwe ku bwabwe, bya bulimba. (Yobu 1:9-11; 2:3, 4) Tusanyuka olw’okuwagira obufuzi bwa Yakuwa obw’obutuukirivu, ka kibe nti kye tukola kitono kitya.​—Engero 27:11.

Mujaguze Nnyo olw’Empeera

15, 16. (a) Nsonga ki Yesu gye yawa etuviirako ‘okusanyuka n’okujaguza’? (b) Mpeera ki Abakristaayo abaafukibwako amafuta gye bajja okufuna mu ggulu, ate bo bannaabwe ‘ab’endiga endala’ banaaweebwa mpeera ki?

15 Yesu era yawa ensonga endala etuviirako okuba abasanyufu nga tuwaayiriziddwa era nga tuyigganyiziddwa nga bannabbi ab’edda. Ng’anaatera okumaliriza okwogera ku nsonga ey’omwenda etuviirako okufuna essanyu, yagamba: ‘Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu.’ (Matayo 5:12) Omutume Pawulo yawandiika: “Empeera y’ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.” (Abaruumi 6:23) Yee, empeera ‘ennene ennyo’ bwe bulamu, era tetubufuna olw’ebyo bye tuba tukoze, wabula kirabo bulabo. Yesu yagamba nti empeera eyo eri mu ggulu, kubanga eva eri Yakuwa.

16 Abaafukibwako amafuta bafuna ‘engule ey’obulamu’ obutasobola kuzikirizibwa, nga bali wamu ne Kristo mu ggulu. (Yakobo 1:12, 17) Ate bo ‘ab’endiga endala’ abalina essuubi ery’oku nsi, beesunga okufuna obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. (Yokaana 10:16; Okubikkulirwa 21:3-5) Ab’omu bibiina byombiriri, bafuna “empeera” si lwa kuba bagwanidde olw’ebyo bye bakola. Abaafukibwako amafuta ‘n’ab’endiga endala,’ bafuna empeera ‘olw’ekisa kya Yakuwa ekingi ennyo’ ekyaviirako omutume Pawulo okugamba nti: “Katonda yeebazibwe olw’ekirabo kye ekitayogerekeka.”​—2 Abakkolinso 9:14, 15.

17. Lwaki tusobola okuba abasanyufu nga tuyigganyizibwa era mu ngeri ey’akabonero ne ‘tujaguza’?

17 Ng’awandiikira Abakristaayo, ng’abamu ku bo baali banaatera okuyigganyizibwa Kabaka Nero mu ngeri ey’obukambwe, Pawulo yagamba: “Twenyumirizenga mu kubonaabona kwaffe, nga tumanyi ng’okubonaabona kuleeta okugumiikiriza; nate okugumiikiriza kuleeta okukemebwa; nate okukemebwa kuleeta okusuubira: nate okusuubira tekukwasa nsonyi.” Ate era yagamba: “Musanyukenga mu kusuubira; mugumiikirizenga mu [kubonaabona].” (Abaruumi 5:3-5; 12:12) Ka kibe nti essuubi lyaffe lya mu ggulu oba lya ku nsi, empeera gye tufuna esingira wala ekintu kyonna kye tugwanidde okufuna. Tulina essanyu lingi nnyo olw’essuubi lye tulina ery’okubeerawo emirembe gyonna nga tuweereza, era nga tutendereza Yakuwa Kitaffe omwagazi, wansi wa Kabaka waffe Yesu Kristo. Mu ngeri ey’akabonero, ‘tujaguza.’

18. Kiki ekisuubirwa okuva mu mawanga ng’enkomerero egenda esembera, era kiki Yakuwa ky’anaakola?

18 Mu nsi ezimu, Abajulirwa ba Yakuwa babadde bayigganyizibwa, era na kati bakyayigganyizibwa. Mu bunnabbi bwe yawa obukwata ku mafundikira g’embeera y’ebintu eno, Yesu yalabula Abakristaayo ab’amazima nti: ‘Mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange.’ (Matayo 24:9) Nga tusemberera enkomerero, Setaani ajja kuleetera amawanga okukyawa abantu ba Yakuwa. (Ezeekyeri 38:10-12, 14-16) Kino kijja kulaga nti ekiseera kituuse Yakuwa okubaako ky’akolawo. “Ndyegulumiza ne nneetu[ku]za, era ndyemanyisa mu maaso g’amawanga amangi; kale balimanya nga nze [Yakuwa].” (Ezeekyeri 38:23) N’olwekyo, Yakuwa ajja kutukuza erinnya lye ekkulu, era anunule abantu be okuva mu kuyigganyizibwa. N’olwekyo, “alina omukisa [“essanyu,” NW] omuntu agumiikiriza.”​—Yakobo 1:12.

19. Nga tulindirira ‘olunaku lwa Yakuwa olukulu,’ kiki kye tusaanidde okukola?

19 ‘Ng’olunaku lwa Yakuwa olukulu’ lusembera, ka tusanyuke ‘olw’okusaanyizibwa okukwatibwa ensonyi olw’erinnya’ lya Yesu. (2 Peetero 3:10-13; Ebikolwa 5:41) Okufaananako Abakristaayo abaasooka, ka tweyongere ‘okuyigirizanga awatali kuddirira, n’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Kristo’ n’Obwakabaka bwe nga bwe tulindirira empeera yaffe mu nsi ya Yakuwa empya ey’obutuukirivu.​—Ebikolwa 5:42; Yakobo 5:11.

Okwejjukanya

• Kitegeeza ki okubonaabona olw’obutuukirivu?

• Okuyigganyizibwa kwakola ki ku Bakristaayo abaasooka?

• Lwaki kiyinza okugambibwa nti Abajulirwa ba Yakuwa bayigganyizibwa nga bannabbi ab’edda?

• Lwaki tuyinza ‘okusanyuka ne tujaguza’ nga tuyigganyizibwa?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 28, 29]

‘Mmwe mulina essanyu bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga’

[Ensibuko y’ekifaananyi]

Group in prison: Chicago Herald-American

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share