Obufumbo Busobola Okubeera Obulungi mu Nsi ey’Akakyo Kano
‘Mwambale okwagalana, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.’—ABAKKOLOSAAYI 3:14.
1, 2. (a) Kiki kye tulaba mu kibiina Ekikristaayo ekituzzaamu amaanyi? (b) Obufumbo obulungi bwe buluwa?
BWE tutunuulira ekibiina Ekikristaayo, tekitusanyusa okulaba nga mulimu abafumbo bangi ababadde abeesigwa eri bannaabwe okumala emyaka 10, 20, 30, oba n’okusingawo? Banyweredde ku bannaabwe mu bufumbo ne mu biseera ebizibu ennyo.—Olubereberye 2:24.
2 Abafumbo bangi bakkiriza nti obufumbo bwabwe bubaddengamu ebizibu. Omwekenneenya omu yagamba: “Obufumbo ne bwe buba bulungi butya, tebubulamu bizibu. Wabaawo ebiseera ebirungi n’ebibi . . . Naye wadde kiri kityo, . . . abafumbo basigadde nga beesigwa eri bannaabwe mu bufumbo.” Abafumbo abayize engeri y’okugonjoolamu ebizibu ebibalukawo, naddala bwe baba nga balina abaana, bafunye essanyu. Ebyo bye bayiseemu mu bulamu, bibayambye okutegeera nti okwagala okwa nnamaddala “tekuggwaawo.”—1 Abakkolinso 13:8.
3. Okunoonyereza okukoleddwa ku bufumbo n’okugattululwa kulaga ki, era ekyo kireetawo bibuuzo ki?
3 Okwawukana ku ekyo, obufumbo bungi nnyo busasise. Alipoota emu egamba: “Kisuubirwa nti kimu kya kubiri eky’abafumbo abali mu Amereka bajja kugattululwa. Era kisuubirwa nti kimu kya kubiri eky’abafumbo bano bajja kugattululwa nga baakamala emyaka nga 7 gyokka mu bufumbo . . . Mu bantu 75 ku buli kikumi eky’abo abaddamu okuyingira obufumbo, 60 ku bo bajja kuddamu okugattululwa.” Ne mu nsi gye kitabadde kya bulijjo okugattulula obufumbo, kati nayo kyeyongedde. Ng’ekyokulabirako, mu Japaani okugattulula obufumbo kumpi kukubisiddwamu emirundi ebiri mu myaka egyakayita. Ebimu ku bizibu ebiviiriddeko embeera eyo okubaawo ng’ate oluusi bibaawo ne mu kibiina Ekikristaayo, bye biruwa? Kiki ekyetaagisa okusobola okubeera n’obufumbo obulungi wadde nga Setaani ayagala nnyo okubutabangula?
Ebizibu Ebirina Okwewalibwa
4. Ebimu ku bintu ebiyinza okwonoona obufumbo bye biruwa?
4 Ekigambo kya Katonda kituyamba okutegeera ebintu ebiyinza okwonoona obufumbo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo by’omutume Pawulo ebikwata ku mbeera eyandibaddewo mu nnaku ez’oluvannyuma: “Mu nnaku ez’oluvannyuma ebiro eby’okulaba ennaku birijja. Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, abeenyumiriza, ab’amalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, abatali batukuvu, abatayagala ba luganda, abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi, ab’enkwe, abakakanyavu, abeegulumiza, abaagala essanyu okusinga Katonda; nga balina ekifaananyi ky’okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo: era nabo obakubanga amabega.”—2 Timoseewo 3:1-5.
5. Lwaki omuntu ‘eyeeyagala yekka’ aviirako ebizibu mu bufumbo bwe, era Baibuli ewa kubuulirira ki ku nsonga eno?
5 Bwe twekenneenya ebigambo bya Pawulo, tulaba nti bingi ku bintu bye yayogerako biyinza okuviirako obufumbo okusasika. Ng’ekyokulabirako, abo “[a]beeyagala bokka” baba tebafaayo ku balala. Abaami oba abakyala abeeyagala bokka, baba balowooza nnyo ku ekyo bo kye baagala. Tebaba beetegefu kukola nkyukakyuka eziyinza okuganyula munnaabwe mu bufumbo. Endowooza ng’eyo esobola okuviirako obufumbo okubeera obw’essanyu? N’akatono! Omutume Pawulo bw’ati bwe yabuulirira Abakristaayo nga mw’otwalidde n’abafumbo: “Temukolanga kintu kyonna olw’okuyomba newakubadde olw’ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka; temutunuuliranga buli muntu ebibye yekka, era naye buli muntu n’eby’abalala.”—Abafiripi 2:3, 4.
6. Okwagala ssente kusobola kutya okwonoona obufumbo?
6 Okwagala ssente kusobola okuleetawo enjawukana wakati w’omwami n’omukyala. Pawulo yalabula: “Abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n’okwegomba okungi okw’obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n’okuzikirira. Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky’ebibi byonna: waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n’ennaku ennyingi.” (1 Timoseewo 6:9, 10) Eky’ennaku kiri nti, ebintu Pawulo bye yayogerako bituuse ku bafumbo bangi leero. Olw’okuba banoonya okufuna obugagga, basuula muguluka ebyetaago bya bannaabwe mu bufumbo, gamba ng’okufaayo ku nneewulira zaabwe n’okubeerako awamu nabo.
7. Mu mbeera ezimu, nneeyisa ki eviiriddeko abamu obutabeera beesigwa mu bufumbo?
7 Ate era Pawulo yagamba nti abamu mu kiseera kino eky’enkomerero tebandibadde ‘batukuvu, nga tebaagala ba luganda, era nga tebatabagana.’ Obweyamo bw’obufumbo bukulu nnyo era bulina okukubiriza abafumbo okubeera awamu olubeerera. (Malaki 2:14-16) Kyokka, abamu balaga ebikolwa ebyoleka omukwano eri omuntu omulala atali munnaabwe mu bufumbo. Omukyala omu atemera mu myaka 30 egy’obukulu yagamba nti mwami we bwe yali nga tannamwabulira, yalinanga enkolagana ey’oku lusegere n’abakazi abalala era ng’abalaga ebikolwa ebyoleka omukwano. Yalemererwa okweyisa ng’omusajja omufumbo. Omukyala oyo yalumwa nnyo bwe yalaba ng’omwami we yeeyisa bw’atyo era mu ngeri ey’amagezi n’agezaako okumulabula ku kabi akandivuddemu. Wadde nga kyali kityo, mwami we yamala n’agwa mu bwenzi. Newakubadde ng’omusajja oyo yali alabuddwa mu ngeri ey’ekisa, teyassaayo mwoyo. Yaggwa mu kyambika.—Engero 6:27-29.
8. Kiki ekiyinza okuviirako obwenzi?
8 Baibuli ng’ewa okulabula okutegeerekeka obulungi ku bwenzi! Egamba: “Ayenda ku mukazi talina kutegeera: ayagala okuzikiriza obulamu bwe ye ye akola bw’atyo.” (Engero 6:32) Emirundi mingi, omuntu okugwa mu bwenzi, tekibaawo mu butanwa. Ng’omuwandiisi wa Baibuli Yakobo bwe yagamba, omuntu okuggwa mu kibi gamba ng’obwenzi, asooka kukirowoozaako era ebirowoozo ebyo ne bisimba amakanda mu mutima gwe. (Yakobo 1:14, 15) Oyo aba yeenyigidde mu bwenzi aba yatandika dda obutaba mwesigwa eri munne mu bufumbo gwe yeeyama okubeera naye obulamu bwe bwonna. Yesu yagamba: “Mwawulira bwe baagambibwa nti Toyendanga: naye nange mbagamba nti buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng’amaze okumwendako mu mutima gwe.”—Matayo 5:27, 28.
9. Kubuulirira ki okuli mu Engero 5:18-20?
9 N’olwekyo, eky’amagezi okukola kyekyo ekisangibwa mu kitabo ky’Engero: “Ensulo yo ebeerenga n’omukisa; era sanyukiranga omukazi ow’omu buvubuka bwo. Ng’ennangaazi ekwagala n’empeewo ekusanyusa, amabeere ge gakumalenga mu biro byonna; era osanyukirenga bulijjo okwagala kwe. Kubanga lwaki ggwe okusanyukiranga omukazi omugenyi, mwana wange, n’ogwa mu kifuba ky’atali wuwo?”—Engero 5:18-20.
Topapa Kuyingira Bufumbo
10. Lwaki kikulu okuwaayo ebiseera okutegeera obulungi oyo gw’oyagala okufumbiriganwa naye?
10 Ebizibu biyinza okubaawo singa abantu bapapa okuyingira obufumbo. Bayinza okuba nga bakyali bato era nga tebalina bumanyirivu. Oba bayinza okuba nga tebaawaayo biseera bimala buli omu okusobola okutegeera munne obulungi, kwe kugamba, buli omu okumanya munne by’ayagala ne by’atayagala, ebiruubirirwa bye, n’ebyo ebikwata ku maka gy’ava. Kiba kirungi obutapapa, osobole okutegeera obulungi oyo gw’oyagala okufumbiriganwa naye. Lowooza ku Yakobo, mutabani wa Isaaka. Nga tannaweebwa Laakeeri, yalina okusooka okukolera oyo eyali agenda okufuuka omukadde amuzaalira omukyala okumala emyaka musanvu. Ekyo yali mwetegefu okukikola olw’okuba yalina okwagala okwa nnamaddala eri Laakeeri, so si okutwalirizibwa endabika ye ey’okungulu yokka.—Olubereberye 29:20-30.
11. (a) Kiki obufumbo kye bugatta awamu? (b) Lwaki kikulu okwogera mu ngeri ey’amagezi mu bufumbo?
11 Obufumbo tebukoma ku kwoleka bwolesi bikolwa bya mukwano. Obufumbo bugatta wamu abantu babiri abaakulira mu maka ag’enjawulo era abalina engeri ez’enjawulo, enneewulira, era oluusi n’obuyigirize obw’enjawulo. Oluusi obuwangwa bwabwe n’ennimi biba bya njawulo. Ate era obufumbo bubaamu abantu babiri abalina endowooza ez’enjawulo ku bintu ebitali bimu. Endowooza zaabwe bombi ziba nkulu nnyo mu bufumbo. Abantu abo ababiri bayinza okuba nga baneneŋŋana olutatadde, oba bayinza okuba nga bazimbagana era nga bazziŋŋanamu amaanyi. Mazima ddala, ebigambo byaffe bisobola okulumya oba okuzimba munnaffe mu bufumbo. Okumala gakubawo bigambo kiyinza okuviirako ebizibu mu bufumbo.—Engero 12:18; 15:1, 2; 16:24; 21:9; 31:26.
12, 13. Ndowooza ki ennuŋŋamu ekwata ku bufumbo gye tukubirizibwa okuba nayo?
12 N’olwekyo, kya magezi okuwaayo ebiseera okutegeera obulungi oyo gw’oyagala okufumbiriganwa naye. Lumu mwannyinaffe omu aludde nga mufumbo yagamba: “Bw’ozuula oyo gwe wandyagadde okufumbiriganwa naye, sooka olowooze ku bintu nga kkumi ebikulu bye wandyagadde okulaba mu muntu oyo. Singa olabako musanvu byokka, weebuuze, ‘Ndi mwetegefu okubuusa amaaso ebisatu bye siraba? Nnaasobola okubigumiikiriza?’ Bw’oba teweekakasa, ddamu weerowooze.’ Kya lwatu, tewandisuubidde ekyo ekitasoboka. Bw’oba ng’oyagala kuyingira obufumbo, kitegeere nti tosobola kufuna muntu atakola nsobi.—Lukka 6:41.
13 Obufumbo bwetaagisa okwerekereza. Kino Pawulo yakiggumiza bwe yagamba: “Njagala mmwe obuteeraliikiriranga. Atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama waffe, bw’anaasanyusanga Mukama waffe: naye omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, bw’anaasanyusanga mukazi we. Era waliwo enjawulo ku mufumbo n’omuwala. Atafumbirwa yeeraliikirira bya Mukama waffe, abeerenga mutukuvu omubiri n’omwoyo: naye afumbirwa yeeraliikira bya mu nsi, bw’anaasanyusanga musajja we.”—1 Abakkolinso 7:32-34.
Ebiviirako Obufumbo Obumu Okwonooneka
14, 15. Biki ebiviirako obufumbo okwonooneka?
14 Gye buvuddeko awo, omukyala omu Omukristaayo yafuna ekikangabwa mwami we bwe yamwabulira nga bamaze emyaka 12 mu bufumbo n’atandika okubeera n’omukazi omulala. Waliwo obubonero omukyala oyo bwe yali alaba ng’obufumbo bwabwe tebunnasasika? Agamba bw’ati: “Ekiseera kyatuuka mwami wange n’aba nga takyasaba. Yeekwasanga obusongasonga olw’obutabaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Oluusi yagambanga nti alina bingi eby’okukola oba nti mukoowu nnyo ne kiba nti tasobola kubeerako nange. Yalekera awo okunyumya nange. Era n’alekera awo okwogera ku bintu eby’omwoyo. Kyali kya nnaku nnyo okulaba nti yali akyuse nnyo bw’atyo. Yali takyali nga bwe yali nga twakafumbiriganwa.”
15 N’abalala abali mu mbeera efaananako n’ey’omukyala oyo, banokolayo obubonero bwe bumu, okulagajjalira okwesomesa Baibuli, okusaba, oba obutabeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Mu ngeri endala, bangi ku abo abaayabulira bannaabwe mu bufumbo baasooka kuleka nkolagana yaabwe ne Yakuwa okuddirira. N’ekyavaamu, baddirira mu by’omwoyo. Yakuwa baali tebakyamutwala nga Katonda owa ddala. Ensi empya eyasuubizibwa yali tekyali ya ddala gye bali. Abamu, okunafuwa mu by’omwoyo kuba kwatandika dda nga tebannafuna na nkolagana ya ku lusegere na muntu mulala atali munaabwe mu bufumbo.—Abaebbulaniya 10:38, 39; 11:6; 2 Peetero 3:13, 14.
16. Kiki ekireetera obufumbo okubeera obunywevu?
16 Okwawukana ku ebyo, omugogo gw’abafumbo abasanyufu ennyo bagamba nti ekibayambye kwe kubeera abanywevu mu by’omwoyo. Basabira wamu era basomera wamu. Omwami agamba: “Tusomera wamu Baibuli. Tubuulira ffembi. Tunyumirwa okukolera awamu ebintu.” Eky’okuyiga kitegeerekeka bulungi: Okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kireetera obufumbo okubeera obunywevu.
Mubeere n’Endowooza Ennuŋŋamu n’Empuliziganya
17. (a) Bintu ki ebibiri ebisobola okuleetera obufumbo okubeera obulungi? (b) Pawulo ayogera atya ku kwagala okw’Ekikristaayo?
17 Waliwo ebintu ebirala bibiri ebiviirako obufumbo okubeera obulungi: okwagala okw’Ekikristaayo n’empuliziganya. Abantu ababiri bwe baba nga baagalana, buli omu ku bo atera okubuusa amaaso ensobi za munne. Naye, abantu abamu bayinza okuyingira obufumbo nga balina endowooza egudde olubege, oboolyawo nga kiva ku ebyo bye basomye mu bitabo ebikwata ku mukwano oba ku ebyo bye balabye ku ttivi. Kyokka, oluvannyuma, abafumbo abo baba balina okwolekagana n’embeera yennyini ebeera mu bufumbo. Ekivaamu, obusonga obutonotono buyinza okufuuka ebizibu eby’amaanyi. Ekyo bwe kibaawo, Abakristaayo baba balina okwoleka ebibala by’omwoyo, gamba ng’okwagala. (Abaggalatiya 5:22, 23) Mazima ddala, okwagala kukulu nnyo, kwe kugamba, okwagala okw’Ekikristaayo, so si okwo okubeerawo wakati w’omusajja n’omukazi. Okwagala okwo okw’Ekikristaayo Pawulo yakwogerako bw’ati: “Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza, tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo; . . . kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriza byonna.” (1 Abakkolinso 13:4-7) Mazima ddala, okwagala okwa nnamaddala kuzibiikiriza ensobi z’abalala. Mu butuufu, tekuleetera muntu kusuubira nti munne mutuukirivu.—Engero 10:12.
18. Empuliziganya ennungi esobola etya okunyweza obufumbo?
18 Okubeera n’empuliziganya ennungi nakyo kikulu nnyo. Abafumbo ka babe nga bamaze emyaka emeka mu bufumbo, buli omu alina okwogera ne munne era n’okumuwuliriza ng’alina ky’agamba. Omwami omu agamba: “Buli omu ategeeza munne enneewulira ye naye ng’ekyo tukikola mu ngeri ey’omukwano.” Oluvannyuma lw’ekiseera, omwami oba omukyala ayiga okuwuliriza munne by’ayogera era n’okutegeera ensonga lwaki oluusi asalawo obutabaako ky’ayogera. Mu ngeri endala, emyaka bwe gigenda gyekulungulula, abafumbo abasanyufu bayiga okumanya ebirowoozo n’enneewulira za bannaabwe wadde nga tebabyolese mu bigambo. Abakyala abamu bagamba nti abaami baabwe tebabawuliriza. Abaami abamu beemulugunya nti bakyala baabwe baba baagala kwogera nabo mu kiseera ekikyamu. Empuliziganya ennungi ezingiramu okwoleka ekisa n’okutegeera. Kiba kya muganyulo singa omwami n’omukyala baba n’empuliziganya ennungi.—Yakobo 1:19.
19. (a) Lwaki kiyinza okubeera ekizibu okwetonda? (b) Kiki ekijja okutukubiriza okwetonda?
19 Oluusi empuliziganya ennungi ezingiramu okwetonda. Naye ekyo tekitera kuba kyangu. Kyetaagisa omuntu okubeera omuwombeefu okusobola okukkiriza ensobi ze. Naye ekyo nga kikulu nnyo mu bufumbo! Okwetonda mu bwesimbu kiziyiza embeera eyinza okuviirako obutakkaanya mu biseera eby’omu maaso era ne kisobozesa buli omu okusonyiwa munne n’okugonjoola ekizibu. Pawulo yagamba: ‘Muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw’abeeranga n’ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo: ku ebyo byonna era mwambale okwagalana, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.’ —Abakkolosaayi 3:13, 14.
20. Omukristaayo alina kuyisa atya munne mu bufumbo nga bali bokka oba nga bali n’abalala?
20 N’ekintu ekirala ekikulu ennyo mu bufumbo, kwe kuba nti buli omu afaayo ku munne. Omwami n’omukyala Abakristaayo balina okwesigaŋŋana. Tebasaanidde kunyoomagana. Abafumbo basaanidde okusiima bannaabwe mu kifo ky’okubavumirira. (Engero 31:28b) Mazima ddala, tebabamalaamu kitiibwa nga babajerega. (Abakkolosaayi 4:6) Okufaayo okw’engeri eyo kweyolekera mu bigambo ebyoleka omukwano. Munno bw’omukwatako oba n’okozesa ekigambo ekyoleka omukwano, oba nga agamba nti: “Nkyakwagala. Ndi musanyufu nnyo okuba nti oli nange.” Ebyo bye bimu ku bintu ebisobola okunyweza obufumbo era ne buba bulungi mu nsi ey’akakyo kano. Waliwo n’ebirala, era mu kitundu ekiddako tujja kwekenneenya Ebyawandiikibwa ebiwa obulagirizi obulala ku ngeri y’okufuulamu obufumbo obw’essanyu.a
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo, laba akatabo Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Osobola Okunnyonnyola?
• Bintu ki ebimu ebisobola okwonoona obufumbo?
• Lwaki si kya magezi okupapa okuyingira obufumbo?
• Okufaayo ku by’omwoyo kiyamba kitya obufumbo?
• Bintu ki ebisobola okuyamba mu kunyweza obufumbo?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kiyamba obufumbo okubeera obw’essanyu