Tufuna Obulokozi, Si lwa Bikolwa Byokka, Wabula lwa Kisa Ekitatusaanira
“Mwalokolebwa lwa kukkiriza . . . So si lwa bikolwa, omuntu yenna aleme okwenyumiriza.”—ABAEFESO 2:8, 9, NW.
1. Abakristaayo baawukana batya ku bantu ku bikwata ku ebyo bye baba batuuseeko, era lwaki?
ENNAKU zino abantu beenyumiriza nnyo era ne beewaana olw’ebyo bye baba batuuseeko. Abakristaayo tebalina kukikola. Tebasaanidde kwewaana, ne bwe kiba nti balina kye batuuseeko mu kusinza okw’amazima. Wadde nga basanyuka olw’ebyo ebiba bikoleddwa abaweereza ba Yakuwa, buli omu teyeenyumiririza mu ebyo by’aba akoze. Bakimanyi nti mu kuweereza Yakuwa, okuba n’ebiruubirirwa ebirungi kye kisinga obukulu so si ebyo bye tuba tukoze. Buli muntu ajja kuweebwa obulamu obutaggwaawo, si lwa kuba nti alina bingi bye yakola, wabula lwa kukkiriza n’olw’ekisa kya Katonda ekitatusaanira.—Lukka 17:10; Yokaana 3:16.
2, 3. Pawulo yeenyumiriza mu ki, era lwaki?
2 Ekyo omutume Pawulo yali akimanyi bulungi. Oluvannyuma lw’okusaba emirundi esatu ng’ayagala okuggibwamu “eriggwa mu mubiri,” Yakuwa yamuddamu: “Ekisa kyange kikumala; kubanga amaanyi gange gatuukirira mu bunafu.” Ng’akkiriza ekyo Yakuwa kye yali amugambye, Pawulo yagamba: “Kyennaavanga nneenyumiriza n’essanyu eringi olw’eby’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze.” Twandyagadde okukoppa Pawulo mu kwoleka obwetoowaze.—2 Abakkolinso 12:7-9.
3 Wadde nga Pawulo yakola bingi mu buweereza obw’Ekikristaayo, yakimanya nti teyabikola mu maanyi ge. Mu bwetoowaze yagamba: “Nze, omuto okusinga abato ab’omu batukuvu bonna, nnaweebwa ekisa kino, okubuuliranga ab’amawanga obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka.” (Abaefeso 3:8) Mu kwogera ebyo Pawulo yali teyeewaana oba okwetwala nti wa waggulu okusinga abalala. ‘Katonda akyawa ab’amalala, naye abawombeefu abalaga ekisa.’ (Yakobo 4:6; 1 Peetero 5:5) Naffe tukoppa Pawulo ne tukitwala nti baganda baffe batusinga?
‘Okutwala Abalala nti Batusinga’
4. Lwaki oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu okukitwala nti abalala batusinga?
4 Omutume Pawulo yabuulirira Abakristaayo nti: “Temukolanga kintu kyonna olw’okuyomba newakubadde olw’ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka.” (Abafiripi 2:3) Kino kiyinza obutatubeerera kyangu naddala singa tuba tulina ekifo eky’obuvunaanyizibwa. Oboolyawo kiyinza okuva ku mwoyo gw’okuvuganya ogucaase ennyo mu nsi leero. Kyandiba nga bwe twali tukyali bato, twayigirizibwa okuvuganya ne bato bannaffe awaka oba ne bayizi bannaffe ku ssomero. Ate era kyandiba nti buli kiseera twakubirizibwanga okukola ennyo tusobole okukwata ekifo ekisooka mu by’emizannyo ne mu kibiina. Kya lwatu, okufuba okukola ekisingayo obulungi ku bwakyo si kibi. Kyokka, Abakristaayo bafuba okukola ekisingayo obulungi si lwa kweraga, wabula baba n’ekigendererwa eky’okuganyulwa bo bennyini awamu n’okuganyula abalala. Ate era, okuluubirira okusinga abalala kiyinza okuba eky’akabi. Mu ngeri ki?
5. Kiki ekiyinza okuvaamu singa omuntu teyeggyamu mwoyo gwa kuvuganya?
5 Singa omuntu teyeggyamu mwoyo gwa kuvuganya ayinza okufuna amalala n’atuuka n’okunyooma abalala. Ayinza okukwatirwa abalala obuggya olw’ebyo bye baba bakoze n’enkizo ze baba bafunye. Engero 28:22 wagamba: “Alina eriiso ebbi ayanguwa okugoberera obugagga, so tamanyi ng’okwetaaga kulimutuukako.” Ayinza n’okwetulinkiriza n’atwala obuvunaanyizibwa obutali bubwe. Asobola n’okutandika okwemulugunya oba okuvumirira ebyo abalala bye bakola—ekintu Abakristaayo kye basaanidde okwewala. (Yakobo 3:14-16) Mu kukola bw’atyo, aba akulaakulanya omwoyo gw’okwerowoozaako.
6. Baibuli eyogera ki ku mwoyo ogw’okuvuganya?
6 N’olw’ensonga eyo, Baibuli ekubiriza Abakristaayo: “Tuleme okwenyumiririzanga obwereere, nga twesunguwaza fekka na fekka, nga tukwatibwa obuggya fekka na fekka.” (Abaggalatiya 5:26) Omutume Yokaana yayogera ku Mukristaayo eyeeyisa mu ngeri eyo. Yokaana yagamba: “Nnawandiikira ekkanisa ekigambo: naye Diyotuleefe ayagala okubeera omukulu waabwe tatukkiriza. Bwe ndijja kyendiva njijukiza abantu ebikolwa bye by’akola ng’ayogera ku ffe ebigambo ebibi ebitaliimu.” Nga kiba kibi nnyo Omukristaayo okukola bw’atyo!—3 Yokaana 9, 10.
7. Kiki Omukristaayo ky’asaanidde okwewala ku mirimu?
7 Kya lwatu, si kyangu Omukristaayo okwewala okuvuganya okwa buli ngeri. Ng’ekyokulabirako, omulimu gw’akola guyinza okubaamu okuvuganya n’abantu abalala oba ng’ebintu by’atunda n’abalala bye batunda. Ne mu mbeera ng’eyo, Omukristaayo alina okukola bizineesi ye ng’awa abalala ekitiibwa, ng’abalaga okwagala, era ng’abafaako. Ajja kwewala okukola ekintu kyonna ekimenya emisingi gy’Ekikristaayo era yeewale okumanyibwa ng’omuntu ayagala okuvuganya n’abalala. Tajja kuba na ndowooza nti okusinga abalala kikulu nnyo mu bulamu. Bwe kiba nti endowooza eyo yeetaagisa ku mirimu, tekyandisinzeewo nnyo bwe kituuka ku kusinza okw’amazima!
‘Nga Tetwegeraageranya na Balala’
8, 9. (a) Lwaki abakadde Abakristaayo tebasaanidde kuvuganya na bannaabwe? (b) Lwaki 1 Peetero 4:10 lukwata ku buli muweereza wa Katonda?
8 Endowooza Abakristaayo gye basaanidde okuba nayo bwe kituuka ku kusinza eyogerwako mu bigambo bino ebyaluŋŋamizibwa: “Buli muntu akemenga omulimu gwe ku bubwe, alyoke abeere n’okwenyumiriza ku bubwe yekka so si ku bwa mulala.” (Abaggalatiya 6:4) Olw’okuba abakadde mu kibiina tebavuganya na bannaabwe, bakolera wamu ng’akakiiko k’abakadde. Basanyufu olw’ebyo bannaabwe bye bakola ku lw’obulungi bw’ekibiina. Mu ngeri eyo, beewala omwoyo gw’okuvuganya ne bateerawo ekibiina ekyokulabirako ekirungi.
9 Olw’okuba balina emyaka gya njawulo, obumanyirivu bwa njawulo, n’ebitone bya njawulo, abakadde abamu bayinza okuddukanya obulungi emirimu egimu okusinga abalala, oba nga bamanyi bingi okusinga abalala. N’olw’ensonga eyo, abakadde balina obuvunaanyizibwa bwa njawulo mu kibiina kya Yakuwa. Mu kifo ky’okwegeraageranya n’abalala, bajjukira okubuulirira kuno: “Nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, nga mukiweereza mwekka na mwekka bwe mutyo, ng’abawanika abalungi ab’ekisa kya Katonda ekitali kimu.” (1 Peetero 4:10) Mu butuufu, ekyawandiikibwa kino kikwata ku baweereza ba Yakuwa bonna kubanga bonna bafunye okumanya okutuufu era balina enkizo ey’okwenyigira mu buweereza obw’Ekikristaayo.
10. Obuweereza bwaffe bunaasobola butya okusanyusa Yakuwa?
10 Obuweereza bwaffe busobola okusanyusa Yakuwa singa tumuweereza lwa kwagala, so si lwa kwagala kusukkuluma ku balala. N’olwekyo, kikulu nnyo okuba n’endowooza ennuŋŋamu bwe kituuka ku mirimu gy’okuwagira okusinza okw’amazima. Wadde nga tewali ayinza kumanya biruubirirwa bya mulala, Yakuwa “apima emitima.” (Engero 24:12; 1 Samwiri 16:7) N’olw’ensonga eyo, kiba kirungi okwebuuza buli kiseera: ‘Nnina kiruubirirwa ki mu kwenyigira mu mulimu gwa Yakuwa?’—Zabbuli 24:3, 4; Matayo 5:8.
Engeri Gye Twanditunuuliddemu Obuweereza Bwaffe
11. Bibuuzo ki ebikwata ku buweereza bwaffe bye tuyinza okwebuuza?
11 Bwe kiba nti ekiruubirirwa kye tuba nakyo Yakuwa ky’asinziirako okutusiima, twandifuddeyo kyenkana wa ku buweereza bwaffe? Singa twenyigira mu buweereza nga tulina ebiruubirirwa ebirungi, kiba kitwetaagisa okukola lipoota ey’ebyo bye tuba tukoze? Ebibuuzo ebyo bikulu nnyo okuva bwe kiri nti tetwagala kutwala kya kuba na lipoota ennungi ng’ekintu ekikulu mu buweereza bw’Ekikristaayo.
12, 13. (a) Lwaki tuwaayo alipoota y’obuweereza bw’ennimiro? (b) Lwaki alipoota y’obuweereza mu nsi yonna etuzzaamu nnyo amaanyi?
12 Weetegereze ekyo ekitabo Organized to Do Jehovah’s Will kye kigamba: “Abagoberezi ba Yesu abaasooka baayagalanga nnyo okumanya engeri omulimu gw’okubuulira gye gwali gutambulamu. (Makko 6:30) Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kitubuulira nti omwoyo omutukuvu bwe gwafukibwa ku bayigirizwa ku Pentekoote waaliwo abantu nga 120. Mangu abayigirizwa beeyongera ne bafuuka 3,000 ate oluvannyuma ne batuuka mu 5,000. . . . (Ebikolwa 1:15; 2:5-11, 41, 47; 4:4; 6:7) Ng’amawulire ago agakwata ku kweyongerayongera gateekwa okuba nga gazzaamu nnyo abayigirizwa amaanyi!” Mu ngeri y’emu, Abajulirwa ba Yakuwa leero bakola lipoota ey’ebyo ebiba bikoleddwa mu nsi yonna nga batuukiriza ebigambo bya Yesu ebigamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14) Alipoota ng’ezo ziraga ebyo ebiba bikoleddwa mu nsi yonna mu buweereza bw’ennimiro. Ziraga wa aweetaaga obuyambi n’ebitabo ebyetaagisa okusobola okwongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira.
13 N’olwekyo, alipoota ekwata ku ebyo ebiba bikoleddwa mu kubuulira etuyamba okukola obulungi omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Ng’ogyeko ekyo, tekituzzaamu nnyo amaanyi bwe tuwulira ebyo baganda baffe bye bakola mu bitundu ebitali bimu eby’ensi? Amawulire agakwata ku kukulaakulana n’okweyongera mu nsi yonna gatusanyusa nnyo, gatuleetera okwongera amaanyi mu buweereza bwaffe, era gatukakasa nti tulina emikisa gya Yakuwa. Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okumanya nti alipoota yaffe nayo egattibwa ku lipoota y’ensi yonna! Wadde alipoota ya buli omu eba ntono nnyo bw’ogigeraageranya ku alipoota ey’ensi yonna, Yakuwa agitwala nga ya muwendo nnyo. (Makko 12:42, 43) Kijjukire nti bw’otowaayo lipoota yo, lipoota y’ensi yonna teba nzijuvu.
14. Ng’oggyeko okubuulira n’okuyigiriza, biki ebirala ebizingirwa mu kusinza Yakuwa?
14 Kya lwatu, ebisinga obungi ku ebyo buli Mujulirwa by’aba akoze tebiteekebwa ku alipoota. Ng’ekyokulabirako, alipoota tebaako biseera bye tumala nga twesomesa Baibuli, emirundi gye tugenda mu nkuŋŋaana n’okuzeenyigiramu, obuvunaanyizibwa bwe tulina mu kibiina, obuyambi bwe tuwa bakkiriza bannaffe nga bwe kiba kyetaagisa, ensimbi ze tuwaddeyo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka mu nsi yonna, n’ebirala. N’olwekyo, wadde ng’alipoota eraga ebyo bye tukoze mu buweereza bwaffe etuzzaamu amaanyi ne tweyongera okubuulira awatali kuddirira, tulina okugitunuulira mu ngeri entuufu. Si y’ejja okusinziirwako okuweebwa obulamu obutaggwaawo.
‘Okunyiikirira Ebikolwa Ebirungi’
15. Wadde ng’ebikolwa ku bwabyo tebisobola kutuweesa bulokozi, lwaki byetaagisa?
15 Wadde ng’ebikolwa ku bwabyo tebisobola kutuweesa bulokozi, byetaagisa. Eno y’ensonga lwaki Abakristaayo bayitibwa “eggwanga ery’envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi,” era bakubirizibwa ‘buli omu okufaayo ku munne n’okukubiriziganya okukola ebirungi.’ (Tito 2:14; Abaebbulaniya 10:24) Ng’oggyeko ekyo, omuwandiisi wa Baibuli omulala, Yakobo, yagamba nti ‘ng’omubiri ogutalina bulamu bwe guba omufu, bwe kutyo n’okukkiriza okutalina bikolwa kuba kufu.’—Yakobo 2:26.
16. Kiki ekikulu okusinga ebikolwa, kyokka kiki kye tusaanidde okwewala?
16 Wadde nga kikulu okuba n’ebikolwa ebirungi, kikulu nnyo okuba n’ebiruubirirwa ebirungi. N’olwekyo, kiba kya magezi okukebera ebiruubirirwa byaffe entakera. Okuva abantu bwe batasobola kumanya biruubirirwa bya balala, tulina okwewala okusalira abalala omusango. Omutume Pawulo yabuuza: ‘Ggwe ani asalira omuweereza w’omulala omusango?’ Eky’okuddamu kyeyoleka kaati nti: ‘Mukama we ye asalawo oba akola bulungi oba bubi.’ (Abaruumi 14:4) Yakuwa, Mukama wa bonna, n’Omulamuzi gwe yalonda, Yesu Kristo, bajja kutusalira omusango nga basinziira ku bikolwa byaffe, ebiruubirirwa byaffe, obusobozi bwaffe, okwagala kwaffe, n’obunyiikivu bwaffe. Yakuwa ne Yesu Kristo be bokka abasobola okumanyira ddala obanga tukoze ekyo omutume Pawulo kye yakubiriza Abakristaayo okukola: ‘Okufubanga okusiimibwa Katonda n’okubeera abakozi abatakwatibwa nsonyi, era abakozesa obulungi ekigambo kya Katonda.’—2 Timoseewo 2:15; 2 Peetero 1:10; 3:14.
17. Nga tufuba okukola kye tusobola, lwaki twandijjukidde Yakobo 3:17?
17 Yakuwa tatusuubira kukola ekyo kye tutasobola. Okusinziira ku Yakobo 3:17, NW, ‘amagezi agava waggulu, si makakanyavu.’ Tekyandibadde kya magezi okukoppa Yakuwa mu nsonga eyo? N’olwekyo, tetusaanidde kweteerawo biruubirirwa bye tutasobola oba okusuubira mu baganda baffe ekyo kye batasobola.
18. Kiki kye tunaafuna singa tuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ebyo bye tukola mu buweereza bwaffe n’ekisa kya Yakuwa ekitatusaanira?
18 Singa tuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ebyo bye tukola mu buweereza n’ekisa kya Yakuwa ekitatusaanira, tujja kuba n’essanyu eryawulawo abaweereza ba Yakuwa ab’amazima. (Isaaya 65:13, 14) Tuli basanyufu nti Yakuwa awa abantu be emikisa nga tasinziira ku ebyo buli omu by’akoze mu buweereza. Ka tweyongere ‘okusaba n’okwegayirira’ Katonda atuyambe okukola kyonna kye tusobola. Olwo nno, ‘emirembe gya Katonda egisinga okutegeerwa kwonna, ginaakuumanga emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe mu Kristo Yesu.’ (Abafiripi 4:4-7) Yee, kituzzaamu amaanyi okumanya nti tusobola okufuna obulokozi, si lwa bikolwa byokka, wabula lwa kisa kya Yakuwa ekitatusaanira!
Osobola Okunnyonnyola Lwaki Abakristaayo
• tebeewaana olw’ebyo bye baba bakoze?
• beewala omwoyo gw’okuvuganya?
• baawaayo alipoota y’ebyo bye baba bakoze mu buweereza bw’ennimiro obw’Ekikristaayo?
• beewale okusalira Bakristaayo bannaabwe omusango?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26, 27]
Abakadde basanyufu olw’ebyo bannaabwe bye bakola ku lw’obulungi bw’ekibiina