LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 8/1/05 lup. 3-4
  • Owulira nti Tolina Mugaso?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Owulira nti Tolina Mugaso?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Similar Material
  • Baibuli Esobola Okukuyamba Okufuna Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Toli Wekka, Yakuwa Ali Naawe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Lwaki Abantu Bangi Beenyooma?
    Zuukuka!—2024
  • Nnyinza Ntya Okugumira Ennaku Yange?
    Omwagalwa Wo bw’Afa
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 8/1/05 lup. 3-4

Owulira nti Tolina Mugaso?

OKUMALA emyaka nga 30, Lena abadde awulira nti talina mugaso. Agamba: “Olw’okuba nnakolwangako eby’obugwenyufu nga nkyali muto, kyakosa nnyo enneewulira yange. Nnatandika okuwulira ng’atalina mugaso.” Simone naye bw’ajjukira ebyamutuukako ng’akyali muvubuka, agamba: “Muli nnawuliranga nti ssirina mugaso.” Leero, abantu bangi mu nsi banakuwavu olw’okuba balina enneewulira ng’ezo. Ekibiina ekimu ekibuulirira abavubuka kigamba nti, kumpi kimu kya kubiri eky’abavubuka abakyebuuzaako “bawulira nti tebalina mugaso.”

Okusinziira ku basawo abamu, omuntu okuwulira nti talina mugaso kiva ku ngeri abalala gye bamuyisaamu. Kiyinza okuba nti bamukambuwalira buli kiseera, bamunyooma, oba nga bamutuntuza. Ka kibeere ki ekiba kiviiriddeko omuntu okufuna enneewulira ng’eyo, kimuleetera okuggwamu amaanyi kabe kasinge ne kikosa n’obulamu bwe. Okusinziira ku kunoonyereza kw’ekisawo okwakolebwa emabegako, abantu abawulira nti tebalina mugaso baba beenyooma era nga tebeesiga balala, ne beesanga nti tebalina mikwano gya ku lusegere. Lipoota egamba nti: “N’ekivaamu, beeteeka mu embeera bo bennyini gye batayagalira ddala.”

Abantu abalina enneewulira ng’eyo batera okufuna ekyo Baibuli ky’eyita ‘ennaku.’ (Zabbuli 94:19) Bawulira nti tewali kirungi kye basobola kukola. Bwe wabaawo ekisobye, bawulira nti be bavuddeko omutawaana. Wadde abalala bayinza okubeebaza olw’ebyo bye baba bakoze, muli bo bawulira nti babakiina bukiinyi. Olw’okuba bawulira nti tebasobola kufuna ssanyu, bangi beesuula mu bizibu bye batasobola kugonjoola. Olw’okuba Lena eyayogeddwako waggulu yali awulira nti talina mugaso, yatuuka n’okuba nti takyayagala kulya. Agamba: “nnali sikyasobola kukyusa mbeera yange.”

Kino kitegeeza nti abantu abalina ‘ennaku’ banaabeera mu mbeera eyo obulamu bwabwe bwonna? Waliwo ekiyinza okuyamba abantu ng’abo okweggyamu endowooza ng’ezo? Baibuli erimu emisingi n’amagezi agayambye abantu abawerako okweggyamu enneewulira ng’ezo. Egimu ku misingi gino gye giruwa, era giyambye gitya abalina ekizibu ekyo okufuna essanyu mu bulamu? Ekitundu ekiddako kijja kutunnyonnyola ensonga eyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share