LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 10/1/05 lup. 27-32
  • Abazadde—Biseera bya Ngeri Ki eby’Omu Maaso Bye Mwagaliza Abaana Bammwe?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abazadde—Biseera bya Ngeri Ki eby’Omu Maaso Bye Mwagaliza Abaana Bammwe?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okulonda Ekisingayo Obulungi
  • Okweteekerateekera Ebiseera eby’Omu Maaso
  • Ebirina Okulowoozebwako ng’Osalawo Okutwala Omwana ku Yunivasite
  • Masomero Ki Amalala g’Oyinza Okutwalamu Abaana Bo?
  • Obuyigirize Obwa Waggulu ne Ssente Binaakuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 10/1/05 lup. 27-32

Abazadde​—Biseera bya Ngeri Ki eby’Omu Maaso Bye Mwagaliza Abaana Bammwe?

“Abavubuka n’abawala . . . batendereze erinnya lya Mukama.”​—ZABBULI 148:12, 13.

1. Bintu ki ebitera okweraliikiriza abazadde?

ERIYO omuzadde yenna atafaayo ku biseera by’abaana be eby’omu maaso? Okuva omwana lw’azaalibwa​—oba nga tannaba na kuzaalibwa​—abazadde batandika okweraliikirira ebiseera by’omwana oyo eby’omu maaso. Beebuuza, anaaba mulamu bulungi? Anaakula bulungi? Ate omwana bw’agenda akula, wabaawo n’ebirala ebibeeraliikiriza. Kumpi buli muzadde ayagaliza omwana we birungi byereere.​—1 Samwiri 1:11, 27, 28; Zabbuli 127:3-5.

2. Lwaki abazadde bangi leero baagala abaana baabwe okuba obulungi nga bakuze?

2 Mu nsi y’akakyo kano, si kyangu abazadde okufunira abaana baabwe ekisingayo obulungi. Abazadde bangi bayise mu bizibu gamba ng’entalo, obusambattuko bw’eby’obufuzi, ebizibu by’eby’enfuna, n’ebirala bingi. Muli bawulira nga tebaagala baana baabwe kutuukibwako bizibu ng’ebyo. Mu nsi engagga, abazadde bwe balaba abaana ba bannaabwe nga bafunye emirimu emirungi, era nga bali bulungi, kibaleetera okukola kyonna kye basobola okulaba nti n’abaana baabwe baba bulungi nga bakuze.​—Omubuulizi 3:13.

Okulonda Ekisingayo Obulungi

3. Kiki Abakristaayo kye basazeewo okukola?

3 Ng’abagoberezi ba Yesu Kristo, Abakristaayo basazeewo okuwaayo obulamu bwabwe eri Yakuwa. Bakoledde ku kubuulirira kwa Yesu okugamba nti: “Omuntu bw’ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikkenga [omuti] gwe buli lunaku, angoberere.” (Lukka 9:23; 14:27) Yee, obulamu bw’Ekikristaayo buzingiramu okwefiiriza. Kyokka, kino tekitegeeza nti omuntu alina kuba mu bulamu bwa kwerumya. Okuva bwe kiri nti buzingiramu okugaba, buleeta essanyu era bumatiza kubanga Yesu yagamba nti, ‘mu kugaba mulimu essanyu okusinga okutoola.’​—Ebikolwa 20:35.

4. Kiki Yesu kye yakubiriza abagoberezi okukola?

4 Mu biseera bya Yesu embeera yali nzibu nnyo. Ng’oggyeko okuba nti tekyali kyangu kweyimirizaawo, abantu baalina okugumiikiriza effuga bbi ly’Abaruumi n’emigugu bannaddiini gye baabatikkanga mu kiseera ekyo. (Matayo 23:2-4) Wadde kyali kityo, bangi bwe baawulira ebikwata ku Yesu, baaleka ebyabwe byonna ne bamugoberera. (Matayo 4:18-22; 9:9; Abakkolosaayi 4:14) Abayigirizwa abo baali boonoonye ebiseera byabwe eby’omu maaso? Weetegereze Yesu kye yagamba: “Buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba ba luganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba byalo, olw’erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.” (Matayo 19:29) Yesu yakakasa abagoberezi be nti Kitaabwe ow’omu ggulu yali amanyi bye beetaaga. N’olwekyo yabakubiriza nti: “Musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe; era ebyo byonna mulibyongerwako.”​—Matayo 6:31-33.

5. Abazadde abamu bawulira batya bwe basoma ebigambo bya Yesu ebikakasa nti Katonda ajja kulabirira abaweereza be?

5 Embeera bw’etyo bw’eri ne mu kiseera kyaffe. Yakuwa amanyi bulungi bye twetaaga, era abo abasoosa Obwakabaka, naddala abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, bakakafu nti ajja kukola ku byetaago byabwe. (Malaki 3:6, 16; 1 Peetero 5:7) Kyokka, abazadde abamu babuusabuusa obanga ddala ekyo kisoboka. Ku luuyi olumu, bayinza okuba baagala abaana baabwe baweereze Yakuwa, oboolyawo, bayingire ne mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Kyokka, bwe balowooza ku mbeera y’eby’enfuna n’okuba nti abaana baabwe bayinza obutafuna mirimu mirungi, bawulira nti kikulu nnyo abaana baabwe okusooka okufuna obuyigirize obunaabasobozesa okufuna emirimu emirungi oba obunaabasobozesa okubaako kye beekolera. Abazadde ng’abo bakitwala nti obuyigirize obulungi, bwe buyigirize obwa waggulu.

Okweteekerateekera Ebiseera eby’Omu Maaso

6. Mu kitundu kino “obuyigirize obwa waggulu” bugenda kutegeeza ki?

6 Mu buli nsi, obuyigirize obusookerwako butwala emyaka gya njawulo. Ng’ekyokulabirako, mu Amerika obuyigirize obwo butwala emyaka 12. Oluvannyuma abayizi bayinza okusalawo okugenda mu yunivasite okusomerera diguli esookerwako ey’emyaka ena oba okweyongerayo ne basomerera diguli endala ezibasobozesa okukuguka ennyo mu by’ekisawo, eby’amateeka, obwa yinginiya oba mu mirimu emirala. Obuyigirize ng’obwo mu kitundu kino bugenda kwogerwako ‘ng’obuyigirize obwa waggulu.’ Ku luuyi olulala, waliwo n’amatendekero agayigiriza emirimu gy’emikono oba emirala, era nga mu bbanga ttono omuntu asobola okufuna ebbaluwa oba dipuloma mu mulimu gw’aba asomeredde.

7. Kiki abaana ba siniya kye bakubirizibwa okukola?

7 Mu nnaku zino, amasomero ga siniya galina ekigendererwa eky’okuteekateeka abaana basobole okugenda ku yunivasite. N’olwekyo, mu kifo ky’okussa essira ku masomo aganaasobozesa abaana okufuna emirimu, amasomero agasinga obungi essira galitadde ku masomo agasobozesa abaana okuyita obulungi basobole okugenda ku yunivasite. Abasomesa ba siniya bakubiriza abaana okusoma ennyo basobole okugenda mu yunivasite ezisingayo obulungi, gye bayinza okufunira diguli ezibasobozesa okufuna emirimu egisasula ssente nnyingi.

8. Kiki abazadde Abakristaayo kye bayinza okulowoozako nga basalawo okutwala abaana baabwe ku yunivasite?

8 Kati olwo, kiki abazadde Abakristaayo kye bayinza okukola? Kya lwatu, nabo baagala abaana baabwe basome bulungi era bafune emirimu eginaabasobozesa okweyimirizaawo. (Engero 22:29) Naye, bandirese abaana baabwe okutwalirizibwa omwoyo gw’okuvuganya olw’okwagala okugaggawala? Biruubirirwa bya ngeri ki bye banditeereddewo abaana baabwe? Abazadde abamu bakola nnyo basobole okuweerera abaana ku yunivasite. Abalala batuuka n’okwewola ssente. Kyokka, abazadde bwe baba basalawo okutwala abaana baabwe ku yunivasite, waliwo ebintu ebirala bye balina okulowoozaako ng’oggyeko ssente ezinaaweerera omwana. Bye biruwa ebyo?​—Lukka 14:28-33.

Ebirina Okulowoozebwako ng’Osalawo Okutwala Omwana ku Yunivasite

9. Kiki ekiyinza okwogerwa ku ssente eziweerera omwana ku yunivasite mu kiseera kino?

9 Emirundi mingi bwe tulowooza ku kutwala omwana ku yunivasite, tusooka kulowooza ku ssente ezinaamuweerera. Mu nsi ezimu, gavumenti ze ziweerera abaana abali ku yunivasite. Kyokka mu nsi ezisinga obungi, omuzadde y’alina okuweerera omwana mu yunivasite era nga kimwetaagisa ssente nnyingi. Olupapula lw’amawulire oluyitibwa New York Times lwagamba nti: “Edda abantu baakitwalanga nti obuyigirize obwa waggulu bwe busobozesa omuntu okufuna emirimu. Kyokka, ennaku zino obuyigirize obwa waggulu kw’omanyira omugagga n’omwavu.” Kino kiri bwe kityo kubanga abagagga be bokka abasobola okuweerera abaana mu yunivasite nabo ne basobola okufuuka bannagagga era batutumuke mu nteekateeka y’ebintu eno. Ekyo kye kiruubirirwa abazadde Abakristaayo kye banditeereddewo abaana baabwe?​—Abafiripi 3:7, 8; Yakobo 4:4.

10. Mu ngeri ki obuyigirize obwa waggulu gye bulina akakwate n’okukulaakulanya enteekateeka y’ebintu eno?

10 Ne mu nsi ezimu abaana gye basomera obwereere ku yunivasite, waliwo ebintu ebirala abazadde bye balina okulowoozaako. Ng’ekyokulabirako, olupapula lw’amawulire oluyitibwa The Wall Street Journal lwagamba nti mu nsi emu ey’omu Asia, gavumenti erondamu abaana abakoze obulungi ennyo, n’ebatwala mu yunivasite ezisingayo obulungi. Yunivasite zino mwe muli Oxford ne Cambridge ez’omu Bungereza, Ivy League ez’omu Amerika, ne yunivasite endala. Lwaki gavumenti eyo ekola bw’etyo? Olupapula lw’amawulire lwagamba nti: “Kino ekikola esobole okwongera amaanyi mu by’enfuna by’eggwanga.” Wadde abaana bayinza okuba nga basomera bwereere, kijja kubeetaagisa okukola ennyo basobole okukulaakulanya enteekateeka y’ebintu eno. Wadde ng’ekyo abantu abasinga obungi kye baluubirira, abazadde Abakristaayo nabo kye bandyagalizza abaana baabwe?​—Yokaana 15:19; 1 Yokaana 2:15-17.

11. Okunoonyereza okukoleddwa mu baana ba yunivasite kulaze ki ku bikwata ku bugwenyufu n’okwekamirira omwenge?

11 Ate lowooza ku mpisa z’abo be basoma nabo. Yunivasite zitera nnyo okubaamu empisa embi gamba ng’okwekamirira amalagala n’omwenge, obwenzi, okubba ebigezo, n’ebikolwa ebirala bingi. Lowooza ku ky’okwekamirira omwenge. Ng’eyogera ku butamiivu magazini emu eyitibwa New Scientist yagamba nti: “Kumpi abaana 44 ku kikumi ku abo abali mu [yunivasite z’omu Amerika], batamiira omulundi gumu buli luvannyuma lwa wiiki bbiri.” Mu Australia, Bungereza, Russia, n’awalala, abavubuka bakola kye kimu. Ng’oggyeko ekyo, abaana ba yunivasite boogera nnyo ku ‘by’okwetaba.’ Okusinziira ku katabo akayitibwa Newsweek ‘emboozi zaabwe ziba zikubiriza bannaabwe okwenyigira mu bikolwa eby’okwetaba, waakiri omulundi gumu gwokka, wadde nga tebalina kigendererwa kya kufumbiriganwa.’ Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa, abayizi abali wakati 60 ne 80 ku kikumi be beenyigira mu bikolwa ng’ebyo. Omukyala omu yagamba nti: “Singa omuyizi wa yunivasite omu aba teyeenyigidde mu bikolwa ng’ebyo banne bakitwala nti aliko ekikyamu.”​—1 Abakkolinso 5:11; 6:9, 10.

12. Buzibu ki abaana ba yunivasite bwe batera okusanga?

12 Ng’oggyeko eky’okuba nti abo be basoma nabo ba mpisa mbi, abaana baba n’eby’okusoma bingi mu biseera by’ebigezo ate oluusi wabaawo ne bye babawa okusomera awaka. Kyo kituufu nti, okusobola okuyita ebigezo beetaaga okusoma ennyo n’okukola ebyo ebiba bibaweereddwa okusomera awaka. Ate abamu bakola ng’eno bwe basoma. Bino byonna okusobola okubikola kibeetaagisa okufuba ennyo n’okuwaayo ebiseera ebiwerako. Kati olwo, biseera byenkana wa bye banaaba basigazza okusobola okukola ku byetaago byabwe eby’eby’omwoyo? Abaana bwe baba n’eby’okusoma ebingi ennyo, kiki kye banaateeka mu kifo ekisooka? Banaasobola okukulembeza eby’Obwakabaka, oba bye bajja okusembyayo? (Matayo 6:33) Baibuli ekubiriza bw’eti Abakristaayo: “Kale mutunule nnyo bwe mutambulanga, si ng’abatalina magezi, naye ng’abalina amagezi; nga mweguliranga ebbanga, kubanga ennaku zino mbi.” (Abaefeso 5:15, 16) Nga kya nnaku nnyo nti abamu bavudde mu kukkiriza olw’okuba baalina eby’okukola bingi oba olw’okuba beenyigira mu bikolwa ebimenya emisingi gy’Ebyawandiikibwa!

13. Bibuuzo ki abazadde Abakristaayo bye balina okulowoozako ennyo?

13 Kya lwatu nti ebikolwa eby’obugwenyufu n’empisa embi tebiri mu yunivasite mwokka. Wadde kiri kityo, abavubuka bangi ab’omu yunivasite bakitwala nti kya bulijjo okwenyigira mu bikolwa ng’ebyo. Kyandibadde kya magezi abazadde Abakristaayo okutwala abaana baabwe okubeera mu bavubuka ng’abo ne babeera nabo okumala emyaka ena oba okusingawo? (Engero 22:3; 2 Timoseewo 2:22) Wanditadde omwana wo mu kabi olw’emiganyulo gy’ayinza okufuna? N’ekisinga byonna, biki abaana ba yunivasite bye bayigirizibwa okusoosa mu bulamu?a (Abafiripi 1:10; 1 Abasessaloniika 5:21) Abazadde basaanidde okulowooza ennyo ku nsonga ezo, n’okulowooza ku kabi akali mu kutwala abaana baabwe mu masomero ag’ewala oba ag’omu nsi endala.

Masomero Ki Amalala g’Oyinza Okutwalamu Abaana Bo?

14, 15. (a) Wadde ng’abasinga obungi balina endowooza ya njawulo, kubuulirira ki Baibuli kw’ewa okuyinza okutuyamba? (b) Bibuuzo ki abavubuka bye bayinza okwebuuza?

14 Leero, bangi balowooza nti obuyigirize bwa yunivasite bwe bwokka obuyinza okuyamba omuvubuka okuba obulungi mu biseera eby’omu maaso. Kyokka, mu kifo ky’okugoberera endowooza y’abasinga obungi, Abakristaayo bagoberera okubuulira kwa Baibuli okugamba nti: “Temufaananyizibwanga ng’emirembe gino: naye mukyusibwenga olw’okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by’ayagala, ebirungi, ebisanyusa, ebituufu.” (Abaruumi 12:2) Kiki Katonda ky’ayagala abantu be, abato n’abakulu, bakole mu kiseera kino eky’enkomerero? Pawulo yakubiriza bw’ati Timoseewo: “[Beeranga bulindaala] mu byonna, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, tuukirizanga okuweereza kwo.” Okubuulirira okwo kutukwatako leero.​—2 Timoseewo 4:5.

15 Mu kifo ky’okutwalirizibwa omwoyo gw’ensi ogw’okwagala okugaggawala, fenna twetaaga ‘okuba obulindaala’ oba okutunula mu by’omwoyo. Bw’oba ng’oli muvubuka, weebuuze: ‘Nfuba nga bwe nsobola okutuukiriza obuweereza bwange’ nsobole okuba omubuulizi w’Ekigambo kya Katonda? Nkoze nteekateeka ki ezinaansobozesa “okutuukiriza” obuweereza bwange? Nnina ekiruubirirwa eky’okukola ng’omuweereza ow’ekiseera kyonna?’ Ebibuuzo bino bisoomooza, naddala bw’olaba ng’abavubuka abalala beemalidde ku ‘kunoonya ebikulu’ bye balowooza nti bye bijja okubagaggawaza. (Yeremiya 45:5) N’olwekyo, abazadde Abakristaayo bafuba okulaba nti abaana baabwe babeera n’abantu ab’eby’omwoyo okuviira ddala mu buto.​—Engero 22:6; Omubuulizi 12:1; 2 Timoseewo 3:14, 15.

16. Abazadde Abakristaayo basobola batya okuyamba abaana baabwe okubeera n’abantu ab’eby’omwoyo?

16 “Maama waffe yafaangayo nnyo okulaba nti tubeera n’emikwano emirungi,” bw’atyo omu ku bavubuka abasatu abalina maama abadde akola ng’omuweereza ow’ekiseera kyonna okumala emyaka mingi bw’agamba. Yeeyongera n’agamba: “Tetwalina mikwano ku ssomero, wabula mikwano gyaffe baali abo abali mu kibiina abaakolanga obulungi mu by’omwoyo. Maama waffe yakyazanga abaweereza ab’ekiseera kyonna​—gamba ng’abaminsani, abalabirizi abatambula, Ababeseri, ne bapayoniya. Bwe baatunyumizanga ku ebyo bye basanga mu nnimiro, n’essanyu lye balina, kyatuleetera okwegomba obuweereza obw’ekiseera kyonna.” Nga kya ssanyu nnyo okulaba abavubuka bano abasatu nga bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna​—omu ng’aweereza ku Beseri, omulala yagendako mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza, ate ng’omulala aweereza nga payoniya!

17. Abazadde basobola batya okuyamba abaana baabwe okulonda amasomo n’emirimu gye basaanidde okukola? (Laba akasanduuko ku lupapula 31.)

17 Ng’oggyeko eky’okubayamba okubeera n’abantu ab’eby’omwoyo, abazadde basaanidde okuyamba abaana baabwe okulonda n’obwegendereza amasomo, n’emirimu gye basaanidde okukola. Omuvubuka omulala aweereza ku Beseri yagamba: “Bazadde baffe baatandika obuweereza bw’obwapayoniya nga tebannafumbiriganwa era baatukubirizanga naffe okufuuka bapayoniya. Buli lwe twabanga tulonda amasomo oba nga tulina bye tusalawo ebikwata ku biseera byaffe eby’omu maaso, baatukubirizanga okulonda ebyo ebinaatusobozesa okufuna emirimu egitali gya kiseera kyonna tusobole okuweereza nga bapayoniya.” Mu kifo ky’okulonda amasomo agabatwala ku yunivasite, abazadde n’abaana baabwe beetaaga okulowooza ku mirimu eginaasobozesa abaana baabwe okuluubirira obuweereza obw’ekiseera kyonna.b

18. Mirimu gya ngeri ki abavubuka gye bayinza okulowoozaako?

18 Okunoonyereza okukoleddwa kulaga nti mu nsi nnyingi abantu abasobola okukola emirimu egy’emikono oba egya lejjalejja beetaagibwa nnyo n’okusinga abo abalina obuyigirize bwa yunivasite. Olupapula oluyitibwa USA Today lugamba nti “gye bujja abakozi 70 ku buli kikumi tekijja kubeetaagisa kusooka kusomerera diguli ya myaka ena, wabula kijja kubeetaagisa okuba n’ebbaluwa mu mirimu egimu okuva mu matendekero aga wansi.” Waliwo amatendekero mangi agatendeka abaana mu mirimu gya ofiisi, okukanika, okulongoosa kompyuta, okusiba n’okukola enviiri, n’emirimu gy’emikono emirala mingi. Emirimu gino mirungi? Awatali kubuusabuusa! Oboolyawo giyinza okuba tegisikiriza ng’abamu bwe balowooza, naye gisobozesa omuntu okufuna ebiseera okuweereza Yakuwa.​—2 Abasessaloniika 3:8.

19. Kiki ekisinga okuleeta essanyu mu bulamu?

19 Baibuli ekubiriza ‘abavubuka n’abawala okutendereza erinnya lya Mukama; kubanga erinnya lye yekka lye ligulumizibwa: ekitiibwa kye kiri kungulu ku nsi ne ku ggulu.’ (Zabbuli 148:12, 13) Awatali kubuusabuusa, okuweereza Yakuwa ekiseera kyonna kireeta essanyu n’okusinga omulimu omulungi omuntu gw’ayinza okuba nagwo. Lowooza ku bigambo bya Baibuli bino: “Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza, so tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.”​—Engero 10:22.

[Obugambo obuli wansi]

a Soma The Watchtower, aka Maayi 1, 1982, empapula 3-6; Apuli 15, 1979, empapula 5-10; Awake! aka Jjuuni 8, 1978, empapula 15; ne Agusito 8, 1974, empapula 3-7 olabe ebyokulabirako by’abo abaakulembeza eby’omwoyo mu kifo ky’obuyigirize obwa waggulu.

b Laba Awake aka Okitobba 8, 1998, ekitundu ekirina omutwe: “In Search of a Secure Life,” (Nga Nnoonya Obulamu Obumatiza) empapula 4-6, ne Maayi 8, 1989, ekitundu ekirina omutwe: “What Career Should I Choose?” (Mirimu Ki gye Nsaanidde Okukola?) empapula 12-14.

Osobola Okunnyonnyola?

• Kiki Abakristaayo kye balina okukola okusobola okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi?

• Buzibu ki abazadde Abakristaayo bwe balina bwe balowooza ku biseera by’abaana baabwe eby’omu maaso?

• Kiki omuzadde ky’alina okulowoozaako ng’asalawo okutwala omwana ku yunivasite?

• Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okweteerawo ekiruubirirwa eky’okuweereza Yakuwa ekiseera kyonna?

[Akasanduuko akali ku lupapula 31]

Miganyulo Ki Egiri mu Kufuna Obuyigirize Obwa Waggulu?

Abantu abasinga obungi abagenda mu yunivasite beesunga okufuna diguli ezinaabasobozesa okufuna emirimu emirungi era nga gisasula ssente ennyingi. Kyokka, alipoota eziva mu gavumenti y’Amerika ziraga nti kumpi kimu kya kuna eky’abayizi abagenda ku yunivasite be bafuna diguli mu myaka mukaaga. Wadde kiri kityo, omuntu bw’afuna diguli kitegeeza nti ajja kufuna omulimu omulungi? Weetegereze ebyava mu kunoonyereza okwakakolebwa.

“Okugenda mu yunivasite y’e Harvard oba ey’e Duke tekitegeeza nti omuntu ajja kufuna omulimu ogusingayo obulungi oba omusaala ogwa waggulu. . . . Kampuni zisinga kufaayo ku busobozi bw’oyo asaba omulimu. Omuntu ayinza okulowooza nti kya waggulu nnyo okuba ne diguli gamba ng’ey’omu yunivasite za Ivy League. Naye oyo gw’osaba omulimu ajja kusinga kutunuulira busobozi bwo.”​—Newsweek, Noovemba 1, 1999.

“Leero, wadde ng’emirimu egimu gyetaagisa obumanyirivu okusinga bwe kyabanga edda . . . , emirimu gino gyetaagisa omuntu okuba n’obuyigirize obusookerwako ng’asobola okubala, okusoma n’okuwandiika . . . , so si oyo alina obuyigirize obwa waggulu. . . . Abayizi tekibeetaagisa kugenda mu yunivasite okusobola okufuna emirimu emirungi wabula kibeetaagisa kuba na buyigirize busookerwako.”​—American Educator, Ttoggo wa 2004.

“Yunivasite ezisinga obungi tezitendeka baana mu mirimu gya mikono. Kati abayizi abasinga bagenda mu matendekero ag’emirimu gy’emikono. Okuva mu 1996 okutuuka mu 2000, omuwendo gw’abayizi abayingira mu matendekero ag’emirimu gy’emikono gweyongedde ebitundu 48 ku buli kikumi. Ku luuyi olulala, abo abasomerera diguli ez’emyaka emingi era ezitwala ssente ennyingi tekikyabanguyira kufuna mirimu nga bwe kyabanga edda.”​—Time eya Jjanwali 24, 2005.

“Ekitongole ekikola ku by’emirimu mu Amerika kyateebereza nti, mu 2005, kimu kya kusatu eky’abayizi abaasomerera diguli ey’emyaka ena mu yunivasite tebajja kufuna mirimu gituukana na buyigirize bwabwe.”​—The Futurist, Jjulaayi/Agusito 2000.

Abavunaanyizibwa ku by’enjigiriza bwe batunuulira bino byonna babuusabuusa oba nga ddala obuyigirize obwa waggulu bukyalina omugaso. Akatabo akayitibwa Futurist kaagamba nti: “Tuyigiriza abaana okuluubirira ebintu ebitagasa.” Lowooza ku ekyo Baibuli ky’eyogera ku Katonda: “Bw’atyo bw’ayogera Mukama, omununuzi wo, Omutukuvu wa Isiraeri, nti Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu. Singa wawulira amateeka gange! Kale emirembe gyo gyandibadde ng’omugga, n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja.”​—Isaaya 48:17, 18.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Baaleka ebyabwe byonna ne bagoberera Yesu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share