LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 3/1 lup. 13-17
  • Okukuŋŋaanya Ebiri mu Ggulu n’Ebiri ku Nsi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okukuŋŋaanya Ebiri mu Ggulu n’Ebiri ku Nsi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Ebiri mu Ggulu”
  • Batandika Okukuŋŋaanyizibwa
  • Yakuwa Akola Endagaano y’Obwakabaka
  • Okulya ku Bubonero
  • Okukuŋŋaanya ‘Ebiri ku Nsi’
  • Eky’Ekiro kya Mukama Waffe Kirina Makulu Ki gy’Oli?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Ensonga Lwaki Tukwata Eky’Ekiro kya Mukama Waffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Tujja Kugenda Nammwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Ekisibo Kimu, Omusumba Omu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 3/1 lup. 13-17

Okukuŋŋaanya Ebiri mu Ggulu n’Ebiri ku Nsi

“Yasiima yekka . . . okugattira awamu byonna mu Kristo, ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.”​—ABAEFESO 1:9, 10.

1. Yakuwa ‘ayagala’ wabeewo ki mu ggulu ne ku nsi?

YAKUWA, “Katonda ow’emirembe,” ayagala wabeewo emirembe ku nsi ne mu ggulu. (Abaebbulaniya 13:20) Yaluŋŋamya omutume Pawulo okuwandiika nti, ‘ayagala okugattira awamu byonna mu Kristo, ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.’ (Abaefeso 1:9, 10) Ebigambo “okugattira awamu” ebiri mu kyawandiikibwa kino, bitegeeza ki? Omwekenneenya wa Baibuli omu ayitibwa Jonn B. Lightfoot yagamba nti: “Ebigambo ebyo bitegeeza nti wajja kubaawo obumu mu butonde bwonna, nga tewali kintu kyonna kireetawo njawukana, wabula nga byonna biri bumu mu Kristo. Tewajja kubaawo kibi, kufa, ennaku oba okubonaabona.”

“Ebiri mu Ggulu”

2. “Ebiri mu ggulu” ebirina okukuŋŋaanyizibwa be baani?

2 Omutume Peetero yawandiika bw’ati ku ssuubi Abakristaayo lye balina: “Nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n’ensi empya, obutuukirivu mwe butuula.” (2 Peetero 3:13) “Eggulu eriggya” eryogerwako wano ye gavumenti empya oba Obwakabaka bwa Masiya. “Ebiri mu ggulu” Pawulo bye yayogerako mu bbaluwa ye eri Abaefeso bya kukuŋŋaanyizibwa “mu Kristo.” Bano be Bakristaayo abaalondebwa okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. (1 Peetero 1:3, 4) Abakristaayo bano abaafukibwako amafuta abawerera ddala 144,000, ‘baagulibwa mu nsi’ era ‘baagulibwa mu bantu’ okufugira awamu ne Kristo mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu.​—Okubikkulirwa 5:9, 10; 14:3, 4; 2 Abakkolinso 1:21; Abaefeso 1:11; 3:6.

3. Mu ngeri ki gye kiri nti abaafukibwako amafuta ‘batudde mu bifo eby’omu ggulu’ wadde nga bakyali ku nsi?

3 Abakristaayo abaafukibwako amafuta baazaalibwa omwoyo omutukuvu ne bafuuka abaana ba Yakuwa ab’omwoyo. (Yokaana 1:12, 13; 3:5-7) Olw’okuba Yakuwa aba abafudde ‘baana’ be, bafuuka baganda ba Yesu. (Abaruumi 8:15; Abaefeso 1:5) N’olwekyo, ne bwe baba bakyali ku nsi, babanga ‘abazuukiziddwa wamu naye, ne batuuzibwa wamu mu bifo eby’omu ggulu mu Kristo Yesu.’ (Abaefeso 1:3; 2:6) Bwe kityo baba n’enkizo ey’ekitalo ey’eby’omwoyo, kubanga baba ‘baateekebwako akabonero n’[o]mwoyo [o]mutukuvu eyasuubizibwa nga gwe musingo ogw’obusika’ obwabateekerwateekerwa mu ggulu. (Abaefeso 1:13, 14; Abakkolosaayi 1:5) Bano be boogerwako nga “ebiri mu ggulu,” Yakuwa be yagamba nti baalina okukuŋŋaanyizibwa.

Batandika Okukuŋŋaanyizibwa

4. Ddi era mu ngeri ki “ebiri mu ggulu” lwe byatandika okukuŋŋaanyizibwa?

4 Nga kituukana ‘n’entegeka’ ya Yakuwa oba engeri gy’atuukirizaamu ebigendererwa bye, “ebiri mu ggulu” byatandika okukuŋŋaanyizibwa mu “bir[o] ebituukirivu.” (Abaefeso 1:10) Ekyo kyaliwo ku Pentekoote 33 C.E. Ku lunaku olwo omwoyo omutukuvu gwakka ku batume n’abayigirizwa. (Ebikolwa 1:13-15; 2:1-4) Kino kyalaga nti endagaano empya yali etandise okukola, era eyo ye yali entandikwa y’ekibiina Ekikristaayo n’eggwanga eppya ery’eby’omwoyo, “Isiraeri wa Katonda.”​—Abaggalatiya 6:16; Abaebbulaniya 9:15; 12:23, 24.

5. Lwaki Yakuwa yatondawo “eggwanga” eppya okudda mu kifo kya Isiraeri ow’omubiri?

5 Eggwanga lya Isiraeri teryavaamu ‘bwakabaka bwa bakabona na ggwanga ttukuvu’ eryandifuze mu ggulu nga bwe kyali kisuubirwa mu ndagaano y’Amateeka. (Okuva 19:5, 6) Eno ye nsonga lwaki Yesu yagamba abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya nti: “Obwakabaka bwa Katonda bulibaggibwako mmwe, buliweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo.” (Matayo 21:43) Eggwanga eryo, Isiraeri ow’omwoyo, be Bakristaayo abaafukibwako amafuta abali mu ndagaano empya. Ng’awandiikira Abakristaayo abo, omutume Peetero yagamba: “Mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by’oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kutangaala kwe okw’ekitalo: edda abataali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda.” (1 Peetero 2:9, 10) Isiraeri ow’omubiri yamenya endagaano Yakuwa gye yali akoze naye. (Abaebbulaniya 8:7-13) N’olw’ensonga eyo, nga Yesu bwe yali alagudde, enkizo ey’okubeera bakabaka mu Bwakabaka bwa Masiya yabaggyibwako n’eweebwa Isiraeri ow’omwoyo, nga bano be bantu 144,000.​—Okubikkulirwa 7:4-8.

Yakuwa Akola Endagaano y’Obwakabaka

6, 7. Ndagaano ki ey’enjawulo Yesu gye yakola ne baganda be abaazaalibwa omwoyo, era egenda kubasobozesa kukola ki?

6 Mu kiro Yesu kye yatandikiramu omukolo gw’Ekijjukizo ky’okufa kwe, yagamba abatume be abeesigwa nti: “Mmwe muumuno abaagumiikirizanga awamu nange mu kukemebwa kwange; nange mbaterekera obwakabaka, nga Kitange bwe yanterekera nze, mulyoke mulye era munywere ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange; era mulituula ku ntebe ez’ekitiibwa, nga musalira emisango ebika ekkumi n’ebibiri eby’Abaisiraeri.” (Lukka 22:28-30) Wano Yesu yogera ku ndagaano ey’enjawulo gye yakola ne baganda be 144,000 abandisigadde nga ‘beesigwa okutuusa okufa’ era ne batuuka ku ‘buwanguzi.’​—Okubikkulirwa 2:10; 3:21.

7 Abo abali mu ndagaano eno beefiiriza essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. Bajja kufugira wamu ne Kristo mu ggulu, nga batudde ku ntebe z’obwakabaka okulamula abantu. (Okubikkulirwa 20:4, 6) Kati ka twekenneenye ebyawandiikibwa ebirala ebyogera ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta bokka era ebiraga ensonga lwaki ‘ab’endiga endala’ tebasaanidde kulya ku bubonero.​—Yokaana 10:16.

8. Abaafukibwako amafuta bwe balya ku mugaati kiba kyoleka ki? (Laba akasanduuko ku lupapula 15)

8 Okufaananako Kristo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta nabo bajja kuyigganyizibwa era beetegefu okusigala nga beesigwa okutuusa okufa. Ng’omu ku Bakristaayo abo, Pawulo yagamba nti yali mwetegefu okwefiiriza buli kimu asobole ‘okufuna Kristo ng’amagoba alyoke amutegeere ye n’obuyinza obw’okuzuukira kwe n’okussa ekimu okw’ebibonoobono bye.’ Yee, Pawulo yali mwetegefu ‘okufa nga Yesu.’ (Abafiripi 3:8, 10) Okufaananako Pawulo, Abakristaayo bangi abaafukibwako amafuta bagumiikirizza mu mibiri gyabwe ‘okuttibwa ng’okwa Yesu.’​—2 Abakkolinso 4:10.

9. Omugaati ogukozesebwa ku Kijjukizo gukiikirira ki?

9 Bwe yali atandikawo omukolo ogw’Ekijjukizo ky’okufa kwe, Yesu yatoola omugaati n’agamba nti: “Guno gwe mubiri gwange.” (Makko 14:22) Omugaati ogutaliimu kizimbulukusa kaali kabonero akatuukirawo akakiikirira omubiri gwa Yesu. Lwaki? Kubanga mu Baibuli ekizimbulukusa kikiikirira ekibi oba obubi. (Matayo 16:4, 11, 12; 1 Abakkolinso 5:6-8) Yesu yali mutuukirivu, era omubiri gwe tegwalina kibi. N’olwekyo, yali agenda kuwaayo omubiri gwe ogwo ogutuukiridde ng’omutango olw’ebibi by’abantu. (Abaebbulaniya 7:26; 1 Yokaana 2:2) Okufa kwe kwandiganyudde Abakristaayo bonna abeesigwa ka babe nga balina essuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi emirembe gyonna.​—Yokaana 6:51.

10. Mu ngeri ki abo abanywa ku kikompe gye ‘bassa ekimu n’omusaayi gwa Kristo’?

10 Ng’ayogera ku nviinyo Abakristaayo abaafukibwako amafuta gye banywako ku mukolo gw’Ekijjukizo, Pawulo yawandiika nti: ‘Ekikompe eky’omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kussa ekimu n’omusaayi gwa Kristo?’ (1 Abakkolinso 10:16) Mu ngeri ki abo abanywa ku nviinyo gye ‘bassa ekimu n’omusaayi gwa Kristo’? Mu ngeri nti nabo balina okuwaayo obulamu bwabwe nga ssaddaaka kubanga nabo beetaaga okununulibwa. Bwe bakkiririza mu ssaddaaka ya Kristo, basonyiyibwa ebibi byabwe era baweebwa obutuukirivu basobole okugenda mu ggulu. (Abaruumi 5:8, 9; Tito 3:4-7) Okuyitira mu musaayi gwa Kristo ogwayiibwa, abo abanaafugira awamu ne Kristo, 144,000 ‘batukuzibwa’ ne baggibwako ebibi, era ne bafuuka ‘abantu abatukuvu.’ (Abaebbulaniya 10:29; Danyeri 7:18, 27; Abaefeso 2:19) Okuyitira mu musaayi gwe ogwayiibwa, Kristo ‘yagulira Katonda abantu okuva mu buli kika n’olulimi n’abantu n’eggwanga, n’abafuula eri Katonda waffe obwakabaka era bakabona; era bafuga ku nsi.’​—Okubikkulirwa 5:9, 10.

11. Abaafukibwako amafuta bwe banywa ku nviinyo ku mukolo gw’Ekijjukizo, kiba kiraga ki?

11 Bwe yaali ng’atandikawo omukolo ogw’Okujjukira Okufa kwe, Yesu yawa abagoberezi be ekikompe n’abagamba nti: “Munywe ku kino mwenna; kubanga kino gwe musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi olw’okuggyawo ebibi.” (Matayo 26:27, 28) Ng’omusaayi gw’ente ennume n’embuzi bwe gwakozesebwa okutangirira ebibi mu ndagaano y’Amateeka Katonda gye yali akoze n’eggwanga lya Isiraeri, n’omusaayi gwa Yesu gwe gwalina okutangirira ebibi mu ndagaano empya Yakuwa gye yakola ne Isiraeri ey’omwoyo eyateekebwa mu kukola ku Pentekoote 33 C.E. (Okuva 24:5-8; Lukka 22:20; Abaebbulaniya 9:14, 15) Abaafukibwako amafuta bwe banywa ku nviinyo ekiikirira ‘omusaayi gw’endagaano,’ kiba kiraga nti bayingidde mu ndagaano empya era nti batandise okugiganyulwamu.

12. Mu ngeri ki abaafukibwako amafuta gye babatizibwa okuyingira mu kufa kwa Kristo?

12 Ate era waliwo ekintu ekirala abaafukibwako amafuta kye bajjukizibwa. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Ekikompe nze kye nnywako mulinywako; n’okubatiza kwe mbatizibwamu nze mulibatizibwa.” (Makko 10:38, 39) Oluvannyuma lw’ekiseera, omutume Pawulo yagamba nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘babatizibwa okuyingira mu kufa kwa Kristo.’ (Abaruumi 6:3) Abakristaayo abo obulamu bwe babeeramu bwa kwefiiriza. Bwe bafa baba beefiirizza obulamu obutaggwaawo ku nsi, n’olwekyo, okufa kwabwe kuba kwa kwefiiriza. Abakristaayo abo babatizibwa okuyingira mu kufa kwa Kristo mu ngeri nti, oluvannyuma lw’okufa, bazuukizibwa n’emibiri egy’omwoyo ne bagenda ‘okufuga ne Kristo mu ggulu.’​—2 Timoseewo 2:10-12; Abaruumi 6:5; 1 Abakkolinso 15:42-44, 50.

Okulya ku Bubonero

13. Lwaki abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi tebalya ku bubonero, naye ate lwaki babeerawo ku mukolo gw’Ekijjukizo?

13 Okusinziira ku ebyo bye tulabye waggulu, kyeyoleka lwatu nti abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi tebasaanidde kulya ku bubonero obuyisibwa ku mukolo gw’Ekijjukizo. Bakimanyi nti si be bamu ku abo abafukibwako amafuta era nti tebali mu ndagaano empya Yakuwa gye yakola n’abo abagenda okufugira awamu ne Yesu Kristo. Okuva bwe kiri nti “ekikompe” kikiikirira endagaano empya, abo bokka abali mu ndagaano eyo be balya ku bubonero obwo. Abo abanaafuna obulamu obutaggwaawo ku nsi wansi w’Obwakabaka bwa Katonda, tebabatizibwa mu kufa kwa Yesu era tebaalondebwa kufuga naye mu ggulu. N’olwekyo, kiba kikyamu bwe balya ku bubonero. Wadde tebalya ku bubonero, okubeerawo kwabwe ku mukolo ogw’Ekijjukizo kulaga nti basiima ebyo byonna Yakuwa by’abakoledde okuyitira mu Mwana we. Nga mw’ebyo muzingiramu okubasonyiwa ebibi byabwe olw’omusaayi gwa Kristo ogwayiibwa.

14. Abaafukibwako amafuta bawulira batya buli lwe balya ku mugaati era ne banywa ne ku nviinyo?

14 Okukakasibwa kw’Abakristaayo abanaafugira awamu ne Kristo mu ggulu kunaatera okukomekkerezebwa. Bazzibwamu amaanyi mu by’omwoyo buli lwe balya era ne banywa ku bubonero. Bawulira nga bali bumu ne baganda baabwe abaafukibwako amafuta. Ate era, ekyo kibajjukiza nti balina okusigala nga beesigwa okutuusiza ddala ku kufa.​—2 Peetero 1:10, 11.

Okukuŋŋaanya ‘Ebiri ku Nsi’

15. Baani abawagira Abakristaayo abaafukibwako amafuta?

15 Okuva mu myaka gya 1930, ‘ab’endiga endala’ abatali ba mu ‘kisibo ekitono’ abalina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi, babaddenga bawagira Abakristaayo abaafukibwako amafuta. (Yokaana 10:16; Lukka 12:32; Zekkaliya 8:23) Okuviira ddala mu kiseera ekyo, babadde bakolaganira wamu ne baganda ba Kristo nga babayambako mu kubuulira ‘enjiri ey’obwakabaka’ mu mawanga gonna. (Matayo 24:14; 25:40) Mu kukola kino, beeraze okuba “endiga” Kristo z’anaateeka “ku mukono gwe ogwa ddyo” ng’azze okusalira amawanga omusango. (Matayo 25:33-36, 46) Olw’okuba bakkiririza mu musaayi gwa Kristo, bajja okukola “ekibiina ekinene,” abanaawonawo “mu kibonyoobonyo ekinene.”​—Okubikkulirwa 7:9-14.

16. ‘Ebiri ku nsi’ be baani, era banaafuuka batya ‘abaana ba Katonda’?

16 Nga 144,000 bamaze okukakasibwa, “empewo” zijja kuteebwa zizikirize enteekateeka ya Setaani eno embi. (Okubikkulirwa 7:1-4) Mu kiseera eky’Obufuzi bwa Kristo eky’Emyaka Olukumi ng’ali wamu ne banne b’anaafuga nabo, waliwo abantu bangi nnyo abanaazuukizibwa abajja okweyunga ku b’ekibiina ekinene. (Okubikkulirwa 20:12, 13) Abantu abo bajja kufuna enkizo ey’okufugibwa Masiya, Yesu Kristo. Ng’obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi bunaatera okuggwako, ebintu byonna ‘ebiri ku nsi,’ kwe kugamba, ab’ekibiina ekinene, bajja kugezesebwa omulundi ogusembayo. Abo abalisigala nga beesigwa bajja kufuuka ‘abaana ba Katonda’ ab’oku nsi.​—Abaefeso 1:10; Abaruumi 8:21; Okubikkulirwa 20:7, 8.

17. Yakuwa anaatuukiriza atya ekigendererwa kye?

17 Bwe kityo, ng’ayitira mu ‘ntegeka ye,’ Yakuwa ajja kutuukiriza ekigendererwa kye ‘eky’okugatta awamu byonna mu Kristo, ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.’ Ebitonde byonna ebitegeera, eby’omu ggulu n’eby’omu nsi, bijja kuba mu mirembe nga bigondera obufuzi obutuukiridde obw’oyo atuukiriza ebigendererwa bye, Yakuwa.

18. Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ab’endiga endala banaaganyulwa batya bwe banaabeerawo ku Kijjukizo ky’Okufa kwa Kristo?

18 Ng’Abakristaayo abaafukibwako, ne bannaabwe ab’endiga endala bajja kuzzibwamu nnyo amaanyi bwe banaakuŋŋaana nga Apuli 12, 2006! Ku lunaku olwo, bajja kukwata Ekijjukizo ky’Okufa kwa Kristo nga bwe yalagira nti: “Mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.” (Lukka 22:19) Bonna abanaabeerawo basaanidde okujjukira Yakuwa by’abakoledde okuyitira mu Mwana we Yesu Kristo.

Okwejjukanya

• Yakuwa alina kigendererwa ki ku bikwata ku bintu byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi?

• “Ebiri mu ggulu” be baani, era bakuŋŋaanyiziddwa mu ngeri ki?

• ‘Ebiri ku nsi’ be baani, era balina ssuubi ki?

[Akasanduuko akali ku lupapula 15]

“Omubiri gwa Kristo”

Mu 1 Abakkolinso 10:16, 17, Pawulo bwe yali ayogera ku mugaati baganda ba Yesu abaafukibwako amafuta gwe balyako, yakozesa ekigambo “omubiri.” Yagamba nti: “Ekikompe eky’omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kusseekimu omusaayi gwa Kristo? Kubanga ffe abangi tuli mugaati gumu, omubiri gumu: kubanga fenna tugabana omugaati gumu.” Abakristaayo bano, bwe balya ku mugaati, kiba kiraga nti bali bumu, nga Kristo gwe mutwe gwabwe.​—Matayo 23:10; 1 Abakkolinso 12:12, 13, 18.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]

Lwaki abaafukibwako amafuta be bokka abalya ku mugaati era ne banywa ne ku nviinyo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]

Ng’akozesa entegeka ye, Yakuwa ajja kusobozesa ebintu byonna ebiri mu ggulu ne ku nsi okuba obumu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share