Baazaalibwa mu Ggwanga Katonda Lye Yalonda
“Mukama Katonda wo yakulonda okuba eggwanga ery’envuma gyali.”—Ekyamateeka 7:6.
1, 2. Kiki Yakuwa kye yakola ku lw’abantu be, era nkolagana ki gye yatandikawo n’Abaisiraeri?
MU 1513 B.C.E., Yakuwa yatandikawo enkolagana empya n’abaweereza be ab’oku nsi. Mu mwaka ogwo yafeebya eggwanga kirimaanyi n’anunula Abaisiraeri okuva mu buddu. Mu kukola ekyo, yafuuka Omununuzi waabwe era Nnyini Bo. Nga tannabanunula, Katonda yagamba Musa nti: “[Buulira] abaana ba Isiraeri nti Nze Yakuwa, nange ndibaggyako emigugu egy’Abamisiri, ndibaggirawo obuddu bwabwe, ndibanunula n’omukono gwe ndigolola n’emisango eminene: era ndibeetwalira okuba eggwanga nange ndibabeerera Katonda.”—Okuva 6:6, 7; 15:1-7, 11.
2 Nga waakayita ekiseera kitono bukya bava e Misiri, Yakuwa Katonda yatandikawo enkolagana ey’enjawulo n’Abaisiraeri nga yeesigamiziddwa ku ndagaano. Mu kifo ky’okukolagana n’abantu kinnoomu, amaka, oba ebika, Yakuwa yatandika okukolagana n’abantu abategeke, kwe kugamba eggwanga limu lyokka, ku nsi. (Okuva 19:5, 6; 24:7) Yawa abantu be amateeka ge bandigoberedde mu bulamu bwabwe, n’okusingira ddala mu kusinza. Musa yabagamba: “Ggwanga ki eririna katonda abali okumpi nga Mukama Katonda waffe bw’ali bwe tumukoowoolanga? Era ggwanga ki ekkulu eririna amateeka n’emisango egy’ensonga ng’amateeka gano gonna bwe gali, ge ntadde mu maaso gammwe leero?”—Ekyamateeka 4:7, 8.
Baazaalibwa mu Ggwanga ly’Abajulirwa
3, 4. Ensonga enkulu lwaki Abaisiraeri baakolebwamu eggwanga y’eruwa?
3 Oluvannyuma lw’ebyasa bingi, ng’ayitira mu nnabbi we Isaaya, Yakuwa yajjukiza Abaisiraeri ensonga enkulu lwaki yabakolamu eggwanga. Isaaya yagamba: “Bw’atyo bw’ayogera Mukama eyakutonda, ggwe Yakobo, era eyakubumba, ggwe Isiraeri, nti Totya, kubanga nakununula; nakuyita erinnya lyo, oli wange. Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo, Omutukuvu wa Isiraeri, omulokozi wo. . . . Leeta batabani bange okubaggya ewala ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi; buli muntu eyatuumibwa erinnya lyange era gwe nnatondera ekitiibwa kyange; nze nnamubumba; weewaawo, namukola. Mmwe muli bajulirwa bange, bw’ayogera Mukama, n’omuweereza wange gwe nnalonda: . . . abantu be nneebumbira nzekka boolesenga ettendo lyange.”—Isaaya 43:1, 3, 6, 7, 10, 21.
4 Ng’abantu abayitibwa erinnya lye, Abaisiraeri bandibadde bawa obujulirwa ku bufuzi bwe eri amawanga. Bandibadde bantu ‘abaatonderwa ekitiibwa kya Yakuwa.’ Baali ‘ba kwolesanga ettendo lya Yakuwa,’ era boogere ku bikolwa bye eby’ekitalo ebikwata ku ngeri gye baanunulwamu era mu ngeri eyo bandiweesezza erinnya lye ettukuvu ekitiibwa. Mu ngeri endala, baali ba kubeera eggwanga eriwa obujulirwa ku Yakuwa.
5. Mu ngeri ki Isiraeri gye yali eggwanga eryewaddeyo eri Yakuwa?
5 Mu kyasa 11 B.C.E., Kabaka Sulemaani yakiraga nti Yakuwa yali ayawuddewo Isiraeri ng’eggwanga. Mu kusaba kwe eri Yakuwa yagamba: “Wabaawula mu mawanga gonna ag’oku nsi okuba obusika bwo.” (1 Bassekabaka 8:53) Abaisiraeri kinnoomu nabo baalina enkolagana ey’enjawulo ne Yakuwa. Emabegako, Musa yali abagambye nti: “Mmwe muli baana ba Mukama Katonda wammwe. . . . Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo.” (Ekyamateeka 14:1, 2) N’olwekyo, abaana abato Abaisiraeri kyali tekibeetaagisa kwewaayo eri Yakuwa. Baali bazaaliddwa mu ggwanga eryali lyewaddeyo eri Katonda. (Zabbuli 79:13; 95:7) Buli mulembe ogwaddawo gwayigirizibwanga amateeka ga Yakuwa era nga bavunaanyizibwa okugakwata olw’endagaano Yakuwa gye yakola ne Isiraeri.—Ekyamateeka 11:18, 19.
Baali ba Ddembe Okwesalirawo
6. Abaisiraeri kinnoomu baalina kusalawo ki?
6 Wadde ng’Abaisiraeri baazaalibwa mu ggwanga eryewaddeyo eri Yakuwa, buli muntu kinnoomu yalina okwesalirawo okuweereza Katonda. Nga tebannayingira Ensi Ensuubize, Musa yabagamba: “Mpita eggulu n’ensi okuba abajulirwa gye muli leero, nga ntadde mu maaso go obulamu n’okufa, omukisa n’okukolimirwa: kale weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n’ezzadde lyo: okwagalanga Mukama Katonda wo, okugonderanga eddoboozi lye, n’okwegattanga naye: kubanga oyo bwe bulamu bwo, era kwe kuwangaala ennaku zo: olyoke otuulenga mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, okubawa.” (Ekyamateeka 30:19, 20) Bwe kityo, Abaisiraeri kinnoomu baalina okusalawo okwagala Yakuwa, okumuwuliriza, n’okumunywererako. Okuva Abaisiraeri bwe baalina eddembe ery’okwesalirawo, baalina okwolekagana n’ebyo byonna ebyandivudde mu kye basazeewo.—Ekyamateeka 30:16-18.
7. Kiki ekyaliwo oluvannyuma lw’abantu abaali ku mulembe gwa Yoswa okufa?
7 Ekiseera ky’Abalamuzi kyalaga bulungi ebiva mu kuba omwesigwa n’obutaba mwesigwa. Ng’ekiseera ekyo tekinnatandika, Abaisiraeri baagoberera ekyokulabirako ekirungi ekya Yoswa era baaweebwanga omukisa. “Abantu ne baweerezanga Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n’ennaku zonna ez’abakadde abaawangaala okusinga Yoswa, abaalaba omulimu gwonna ogwa Mukama omunene gwe yakolera Isiraeri.” Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera nga Yoswa amaze okufa, ‘waddawo emirembe emirala egitaamanya Mukama newakubadde omulimu gwe yakolera Isiraeri. Abaana ba Isiraeri ne bakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi.’ (Ekyabalamuzi 2:7, 10, 11) Kyokka, omulembe ogwaddawo omwali Abaisiraeri abato abataalina bumanyirivu, tebaasiima busika bwabwe obw’okubeera mu ggwanga eryewaddeyo, Yakuwa Katonda lye yakolera ebikolwa eby’amaanyi mu biseera eby’emabega.—Zabbuli 78:3-7, 10, 11.
Okutuukiriza Okwewaayo Kwabwe
8, 9. (a) Nteekateeka ki eyasobozesa Abaisiraeri okutuukiriza okwewaayo kwabwe eri Yakuwa? (b) Abo abaawangayo ebiweebwayo kyeyagalire baafunanga ki?
8 Yakuwa yawa abantu omukisa okutuukiriza okwewaayo kwabwe ng’eggwanga. Ng’ekyokulabirako, amateeka gaalimu enteekateeka ey’okuwaayo ebiweebwayo. Ebimu ku byo byali biteekwa buteekwa okuweebwayo ate ng’ebirala biweebwayo kyeyagalire. (Abaebbulaniya 8:3) Ebiweebwayo ng’ebyo byali bizingiramu ebiweebwayo ebyokebwa, ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo olw’emirembe ebyaweebwangayo kyeyagalire. Ebyo byonna byaweebwangayo basobole okusiimibwa Yakuwa era n’okumwebaza.—Eby’Abaleevi 7:11-13 .
9 Ebiweebwayo ebyaweebwangayo kyeyagalire byasanyusanga Yakuwa. Kyagambibwa nti ekiweebwayo ekyokebwa n’ekiweebwayo eky’obuta byalinga ‘evvumbe eddungi eri Yakuwa.’ (Eby’Abaleevi 1:9; 2:2) Mu kiweebwayo olw’emirembe, omusaayi n’amasavu byaweebwangayo eri Yakuwa, ate ennyama emu yaliibwanga bakabona n’oyo eyabanga aleese ekiweebwayo ekyo. Bwe kityo, ekijjulo ekyo kyali kyoleka enkolagana ey’emirembe ne Yakuwa. Etteeka lyagamba: ‘Bwe munaawangayo ssaddaaka olw’emirembe eri Mukama munaagiwangayo era musiimibwe.’ (Eby’Abaleevi 19:5) Wadde nga buli Muisiraeri yazaalibwa nga yeewaddeyo eri Yakuwa, abo abaalondawo Yakuwa okuba Katonda waabwe nga bawaayo ebiweebwayo kyeyagalire, ‘baasiimibwanga’ era ne baweebwa emikisa.—Malaki 3:10.
10. Yakuwa yalaga atya nti yali tasiima ebyo ebyaweebwangayo mu kiseera kya Isaaya ne Malaki?
10 Kyokka, emirundi mingi, eggwanga lya Isiraeri eryali lyewaddeyo eri Yakuwa teryakuuma bwesigwa. Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yabagamba: “Tondeteranga nsolo ntono ey’ebibyo ebiweebwayo ebyokebwa; so tonzissamu kitiibwa na ssaddaaka zo. Sikuweerezesanga n’ebiweebwayo.” (Isaaya 43:23) Okugatta ku ebyo, ebiweebwayo ebitaaweebwangayo kyeyagalire era nga tebiweereddwayo lwa kwagala, Yakuwa teyabisiimanga. Ng’ekyokulabirako, ebyasa bisatu nga Isaaya amaze okufa, mu nnaku za nnabbi Malaki, Abaisiraeri baawangayo ebisolo ebirema. Bwe kityo, Malaki yabagamba nti: “Sibasanyukira n’akatono, bw’ayogera Mukama ow’eggye so sikkirize ekiweebwayo eri omukono gwammwe. . . . Muleese ekyo ekyanyagibwa olw’amaanyi, n’ekiwenyera, n’ekirwadde; bwe mutyo bwe muleeta ekiweebwayo: nnandikkiriza ekyo mu mukono gwammwe? bw’ayogera Mukama.”—Malaki 1:10, 13; Amosi 5:22.
Eggwanga Eryewaddeyo Ligaanibwa
11. Mukisa ki ogwaweebwa Abaisiraeri?
11 Mu kiseera Abaisiraeri we baafuukira eggwanga eryewaddeyo eri Yakuwa, yabasuubiza nti: “Kaakano, bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna: kubanga ensi yonna yange. Nammwe mulibeerera obwakabaka bwa bakabona, n’eggwanga ettukuvu.” (Okuva 19:5, 6) Masiya eyasuubizibwa yali wakulabikira mu ggwanga eryo era yandisoose kuwa bo omukisa ogw’okubeera mu gavumenti ya Katonda ey’Obwakabaka. (Olubereberye 22:17, 18; 49:10; 2 Samwiri 7:12, 16; Lukka 1:31-33; Abaruumi 9:4, 5) Naye Abaisiraeri abasinga obungi tebaatuukiriza kwewaayo kwabwe eri Katonda. (Matayo 22:14) Baagaana Masiya era oluvannyuma ne bamutta.—Ebikolwa 7:51-53.
12. Biki Yesu bye yayogera ebiraga nti Isiraeri, eggwanga eryali lyewaddeyo eri Yakuwa lyali ligaaniddwa?
12 Ng’ebulayo ennaku ntono attibwe, Yesu yagamba abakulembeze b’eddiini nti: “Temusomangako mu byawandiikibwa nti Ejjinja abazimbi lye baagana Lye lyafuuka omutwe gw’ensonda: Kino kyava eri Mukama, Era kya kitalo mu maaso gaffe? Kyenva mbagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bulibaggibwako mmwe, buliweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo.” (Matayo 21:42, 43) Ng’alaga nti Yakuwa yali agaanyi eggwanga eryali lyewaddeyo gy’ali, Yesu yagamba nti: “Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akasuukirira amayinja abantu abatumibwa gyali! emirundi emeka gye nnayagalira ddala okukuŋŋaanya abaana bo, ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo munda w’ebiwaawaatiro byayo, ne mutayagala! Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa.”—Matayo 23:37, 38.
Eggwanga Eppya Eryewaddeyo
13. Bunnabbi ki Yakuwa bwe yawa mu biseera bya Yeremiya?
13 Mu kiseera kya nnabbi Yeremiya, Yakuwa yayogera ku kintu ekippya ekyali kikwata ku bantu be. Yagamba nti: “Laba, ennaku zijja, bw’ayogera Mukama, lwe ndiragaana endagaano empya n’ennyumba ya Isiraeri n’ennyumba ya Yuda: si ng’endagaano bwe yali gye nnalagaana ne bajjajjaabwe ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubajja mu nsi y’e Misiri; endagaano yange eyo ne bagimenya newakubadde nga nnali mbawasizza, bw’ayogera Mukama. Naye eno ye ndagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isiraeri oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama; nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby’omunda, era mu mutima gwabwe mwendigawandiikira; nange nnabanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange.”—Yeremiya 31:31-33.
14. Ddi era musingi ki ogwasinziirwako okutandikawo eggwanga lya Yakuwa eppya eryewaddeyo gy’ali? Eggwanga eryo lye liruwa?
14 Okufa kwa Yesu n’okuwaayo omuwendo gw’omusaayi gwe eri Kitaawe mu mwaka 33 C.E. byateekawo omusingi ogwandisinziddwako okukola endagaano eyo empya. (Lukka 22:20; Abaebbulaniya 9:15, 24-26) Kyokka, omwoyo omutukuvu bwe gwafukibwa ku lunaku lwa Pentekoote 33 C.E. era n’eggwanga eppya, “Isiraeri wa Katonda” ne lizaalibwa, endagaano eyo empya yatandika okukola. (Abaggalatiya 6:16; Abaruumi 2:28, 29; 9:6; 11:25, 26) Bwe yali awandiikira Abakristaayo abaafukibwako amafuta, omutume Peetero yagamba: “Naye mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by’oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kutangaala kwe okw’ekitalo: edda abataali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda.” (1 Peetero 2:9, 10) Enkolagana ey’enjawulo eyaliwo wakati wa Yakuwa ne Isiraeri ey’omubiri yakoma. Mu 33 C.E., emikisa gya Yakuwa gyaggibwa ku Isiraeri ow’omubiri ne giweebwa Isiraeri ey’omwoyo, ekibiina Ekikristaayo, ‘eggwanga eribala ebibala’ eby’Obwakabaka bwa Masiya.—Matayo 21:43.
Okwewaayo Kinnoomu
15. Ku lunaku lwa Pentekoote 33 C.E., Peetero yakubiriza abaali bamuwuliriza okubatizibwa mu linnya ly’ani?
15 Oluvannyuma lwa Pentekoote 33 C.E., buli muntu kinnoomu, k’abe Muyudaaya oba Munnaggwanga, yalina okwewaayo eri Katonda era n’abatizibwa “mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’omwoyo omutukuvu.”a (Matayo 28:19) Ku lunaku lwa Pentekoote, omutume Peetero yagamba Abayudaaya n’abakyufu abaamuwuliriza nti: “Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu mmwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo okuggibwako ebibi byammwe, munaaweebwa ekirabo gwe mwoyo omutukuvu.” (Ebikolwa 2:38) Abayudaaya n’abakyufu baalina okubatizibwa okusobola okulaga nti beewaddeyo eri Yakuwa era nti bakkiriza nti ayitira mu Yesu okubasonyiwa ebibi byabwe. Baalina okukkiriza nti Yesu ye Kabona wa Yakuwa Asinga Obukulu, ye Mukulembeze waabwe era nti ye Mukulembeze w’ekibiina Ekikristaayo.—Abakkolosaayi 1:13, 14, 18.
16. Mu kiseera kya Pawulo, abo abaali baagala amazima—Abayudaaya ne Bannaggwanga—baafuuka batya ekitundu kya Isiraeri ey’omwoyo?
16 Nga wayiseewo emyaka, omutume Pawulo yagamba: “Ab’omu Ddamasiko ne mu Yerusaalemi, era n’ensi yonna ey’e Buyudaaya n’ab’amawanga okwenenya n’okukyukira Katonda, nga bakolanga ebikolwa ebisaanidde okwenenya.” (Ebikolwa 26:20) Oluvannyuma lw’okumatiza Abayudaaya ne Bannaggwanga nti Yesu Kristo ye Masiya, Pawulo yabayamba okwewaayo n’okubatizibwa. (Ebikolwa 16:14, 15, 31-33; 17:3, 4; 18:8) Bwe bakkiriza Katonda, abayigirizwa abo abappya baafuuka ekitundu kya Isiraeri ey’omwoyo.
17. Kiki ekinaatera okukomekkerezebwa, era mulimu ki omulala ogugenda mu maaso?
17 Leero okukakasibwa kwa Isiraeri ey’omwoyo kunaatera okukomekkerezebwa. Bwe kunaakomekkerezebwa, “bamalayika bana” abakutte empewo ezizikiriza ‘ez’ekibonyoobonyo ekinene’ bajja kulagirwa okuzita. Ng’ekyo tekinnabaawo, okukuŋŋanya ‘ab’ekibiina ekinene’ abalina essuubi ery’okubeera ku nsi kugenda mu maaso. Abo ‘ab’endiga endala’ basalawo kyeyagalire okukkiririza mu “musaayi gw’Omwana gw’endiga” ne babatizibwa ng’akabonero akalaga nti beewaddeyo eri Yakuwa. (Okubikkulirwa 7:1-4, 9-15; 22:17; Yokaana 10:16; Matayo 28:19, 20) Mu bano muzingiramu abaana bangi abakuziddwa abazadde Abakristaayo. Bw’oba oli omu ku baana ng’abo, ojja kunyumirwa okusoma ekitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba Watchtower, aka Maayi 15, 2003, empapula 30-1.
Okwejjukanya
• Lwaki buli omu ku baana Abaisiraeri teyalina kwewaayo eri Yakuwa?
• Abaisiraeri bandiraze batya nti batuukiriza okwewaayo kwabwe eri Yakuwa?
• Lwaki Yakuwa yagaana Abaisiraeri, eggwanga eryali lyewaddeyo gy’ali era kiki ekyadda mu kifo kyalyo?
• Okuva ku Pentekoote 33 C.E. n’okweyongerayo, kiki Abayudaaya ne Bannaggwanga kye baalina okukola okusobola okufuuka ekitundu kya Isiraeri ey’omwoyo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Abaana Abaisiraeri baazaalibwa mu ggwanga Katonda lye yalonda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Buli Muisiraeri yalina okwesalirawo kennyini okuweereza Katonda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Ebiweebwayo ebyaweebwangayo kyeyagalire byawa Abaisiraeri omukisa okulaga nti baagala Yakuwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
Oluvannyuma lwa Pentekoote 33 C.E., abagoberezi ba Kristo baalina okwewaayo eri Katonda kinnoomu n’okwoleka okwewaayo kwabwe nga babatizibwa