Abavubuka, Musalewo ku Lwamwe Okuweereza Yakuwa
“Mulonde leero gwe munaaweerezanga.”—YOSWA 24:15.
1, 2. Kubatiza kwa ngeri ki okukyamu okuli mu Kristendomu?
“MULEKE [abaana] bafuuke Abakristaayo nga bategedde Kristo.” Omuwandiisi ayitibwa Tertullian yawandiika ebigambo ebyo ng’ekyasa eky’okubiri kinaatera okuggwako. Yali awakanya eky’okubatiza abaana abawere, ekikolwa ekyali kisimbye amakanda mu Bukristaayo obw’obulimba bw’omu kiseera kye. Ng’awakanya Tertullian ne Baibuli, Father Augustine yagamba nti okubatiza kuggyawo ekibi era nti abaana abawere abafa nga tebabatiziddwa bagenda mu muliro ogutazikira. Ekyo kyaviirako okubatiza abaana amangu ddala nga baakazaalibwa.
2 Amakanisa ga Kristendomu gakyabatiza abaana abawere. Ate era mu biseera eby’edda, abafuzi n’abakulembeze b’amaddiini mu nsi ezigamba nti zikkiririza mu Kristo, baabatizanga lwa mpaka “abakaafiiri” be baawambanga. Naye okubatiza abaana abawere n’okukaka abantu abakulu okubatizibwa tebyesigamiziddwa ku Baibuli.
Leero Abantu Beewaayo Kyeyagalire
3, 4. Kiki ekiyinza okuyamba abaana abalina abazadde abeewaddeyo eri Katonda, okwewaayo kyeyagalire?
3 Baibuli eraga nti Katonda atwala abaana abato okuba abatukuvu ne bwe kiba nti omu ku bazadde baabwe ye Mukristaayo omwesigwa. (1 Abakkolinso 7:14) Ekyo kifuula abaana ng’abo okuba abaweereza ba Yakuwa abeewaddeyo? Nedda. Kyokka, abaana abakuzibwa abazadde abeewaayo eri Yakuwa, bafuna okutendekebwa okuyinza okubayamba okwewaayo kyeyagalire eri Yakuwa. Kabaka ow’amagezi Sulemaani yagamba: “Mwana wange, okwatanga ekiragiro kya kitaawo, So tolekanga tteeka lya nnyoko. . . . Bw’onootambulanga, linaakukulemberanga; Bw’oneebakanga, linaakukuumanga: Era bw’onoozuukukanga, linaayogeranga naawe. Bw’onootambulanga, linaakukulemberanga; Bw’oneebakanga, linaakukuumanga: Era bw’onoozuukukanga, linaayogeranga naawe. Kubanga etteeka ttabaaza; ekiragiro musana; N’okunenya kw’oyo akuyigiriza lye kkubo ery’obulamu.”—Engero 6:20-23.
4 Obulagirizi bw’abazadde Abakristaayo busobola okukuuma abaana baabwe singa baba beetegefu okubugoberera. Sulemaani naye yagamba: “Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe: Naye omwana omusirusiru anaakuwaza nnyina.” “Mwana wange, wulira obeerenga n’amagezi, oluŋŋamyenga omutima gwo mu kkubo.” (Engero 10:1; 23:19) Okusobola okuganyulwa mu kutendekebwa kw’abazadde baabwe, abaana mulina okuba abeetegefu okukkiriza amagezi, okubuulirira, n’okukangavuula kwe babawa. Temuzaalibwa nga muli bagezi, naye musobola ‘okufuuka abagezi’ era ne musalawo kyeyagalire okugoberera ‘ekkubo ery’obulamu.’
Kitegeeza Ki Okuteeka Endowooza ya Yakuwa mu Baana?
5. Kubuulirira ki Pawulo kwe yawa bataata n’abaana?
5 Omutume Pawulo yagamba: “Abaana abato, muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe: kubanga kino kye kirungi. Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko (lye tteeka ery’olubereberye eririmu okusuubiza), olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi. Nammwe, bakitaabwe, temusunguwazanga baana bammwe: naye mubalerenga mu kukangavvulanga [“era mubateekamu endowooza ya Yakuwa,” NW].”—Abaefeso 6:1-4.
6, 7. Kiki ekizingirwa mu ‘kuteeka endowooza ya Yakuwa’ mu baana, era lwaki kino tekitegeeza nti abazadde baba bawaliriza abaana baabwe?
6 Abazadde Abakristaayo baba bakaka abaana baabwe okukkiriza enzikiriza zaabwe bwe ‘babakangavvula era ne babateekamu endowooza ya Yakuwa’? Nedda. Ani ayinza okuvumirira abazadde bwe bayigiriza abaana baabwe kye batwala nga kye kituufu era nga kibayamba okuba n’empisa ennungi? Abo abagamba nti Katonda taliiyo tebavumirirwa bwe bayigiriza abaana baabwe nti Katonda taliiyo. Abakatoliki bayigiriza abaana baabwe enzikiriza z’Ekikatoliki, naye tebavumirirwa nga bakikoze. Mu ngeri y’emu, Abajulirwa ba Yakuwa tebasaanidde kuvunaanibwa nti baba bakyamya abaana baabwe, bwe babayamba okufuna endowooza ya Yakuwa nga babayigiriza enjigiriza enkulu ez’omu Baibuli era n’emitindo gy’empisa ennungi.
7 Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa Theological Dictionary of the New Testament, ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okuteeka endowooza” mu Abaefeso 6:4, kikwataganyizibwa “n’okutereeza endowooza, okutereeza ekikyamye, n’okulongoosa endowooza omuntu gy’aba nayo ku bintu eby’omwoyo.” Watya singa omwana agaana okutendekebwa kw’abazadde be olw’okupikirizibwa banne oba olw’okwagala okukola ebyo banne bye bakola? Ani anenyezebwa olw’okupikiriza omwana oyo—bazadde be oba baana banne? Bwe kiba nti banne bamupikiriza okunywa enjaga, okunywa ennyo omwenge oba okwenyigira mu bikolwa eby’obukaba, abazadde bandinenyezeddwa olw’okugezaako okutereeza endowooza y’omwana waabwe n’okumuyamba okutegeera ebibi ebiva mu nneeyisa ng’eyo?
8. Kiki ekyazingirwa mu ‘kusendasenda Timoseewo okukkiriza’?
8 Omutume Pawulo yawandiikira omuvubuka Timoseewo nti: “Beeranga mu ebyo bye wayiga [“era bye wasendebwasendebwa okukkiriza,” NW], ng’omanyi abakuyigiriza bwe bali; era ng’okuva mu buto wamanyanga ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza okuyingira mu bulokovu olw’okukkiriza okuli mu Kristo Yesu.” (2 Timoseewo 3:14, 15) Okuviira ddala nga Timoseewo akyali muto, maama we ne jjajja we baanyweza okukkiriza kwe nga bamuyigiriza Ebyawandiikibwa. (Ebikolwa 16:1; 2 Timoseewo 1:5) Oluvannyuma bwe baafuuka Abakristaayo, tebaakaka Timoseewo kukkiriza bye baali bamuyigiriza, wabula “baamusendasenda” nga beeyambisa Ebyawandiikibwa.
Yakuwa Ayagala Osalewo
9. (a) Yakuwa yawa atya abantu be ekitiibwa, era lwa nsonga ki? (b) Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka yakozesa atya eddembe lye ery’okwesalirawo?
9 Yakuwa teyakola bantu nga kompyuta ezitasobola kwesalirawo kyakukola. Wabula yabassaamu ekitiibwa ng’abawa eddembe ery’okwesalirawo. Katonda ayagala abantu bamuweereze kyeyagalire. Ayagala abantu be abato n’abakulu bamuweereze olw’okuba bamwagala. Ekyokulabirako ekisingirayo ddala obulungi eky’oyo eyaweereza Katonda kyeyagalire ye Mwana we eyazaalibwa omu yekka, Yakuwa gwe yayogerako nti: “Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.” (Matayo 3:17) Omwana oyo omubereberye yagamba bw’ati Kitaawe: “Nsanyuka okukola by’oyagala, ai Katonda wange; weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda.”—Zabbuli 40:8; Abaebbulaniya 10:9, 10.
10. Twandiweereza tutya Yakuwa?
10 Yakuwa asuubira abo abamuweerereza wansi w’obulagirizi bw’Omwana we okumuweereza kyeyagalire ng’Omwana we bw’akola. Mu ngeri ey’obunnabbi, omuwandiisi wa zabbuli yagamba: “Abantu bo beewaayo n’omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw’obuyinza bwo: Mu bulungi obw’obutukuvu, olina omusulo ogw’obuvubuka bwo, oguva mu lubuto lw’enkya.” (Zabbuli 110:3) Bonna abali mu kibiina kya Yakuwa, mu ggulu ne ku nsi, bamuweereza kyeyagalire.
11. Abaana abakuziddwa abazadde abeewaddeyo eri Yakuwa, balina kusalawo ki?
11 N’olwekyo abato mulina okukitegeera nti bazadde bammwe oba abakadde mu kibiina tebajja kubakaka kubatizibwa. Mwe mulina okwesalirawo okuweereza Yakuwa. Yoswa yagamba Abaisiraeri nti: ‘Muweerezanga Yakuwa mu mazima awatali bukuusa. Mulonde leero gwe munaaweereza.’ (Yoswa 24:14-22) Bwe kityo, nammwe mulina okwesalirawo okwewaayo eri Yakuwa n’okwemalira ku kukola by’ayagala.
Okukkiriza Obuvunaanyizibwa Bwo
12. (a) Wadde ng’abazadde basobola okutendeka abaana baabwe, kiki kye batayinza kubakolera? (b) Ddi omuvubuka lw’aba ng’avunaanyizibwa eri Yakuwa olw’ebyo by’asalawo?
12 Ekiseera kituuka abaana ne baba nga tebakyatwalibwa nga batukuvu olw’obwesigwa bwa bazadde baabwe. (1 Abakkolinso 7:14) Omuyigirizwa Yakobo yagamba: “Kale amanya okukola obulungi n’atakola, kye kibi eri oyo.” (Yakobo 4:17) Abazadde tebasobola kuweereza ku lw’abaana baabwe nga n’abaana bwe batasobola kuweereza ku lw’abazadde baabwe. (Ezeekyeri 18:20) Muyize ebikwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye? Mutegeera bulungi bye muyize, era mutandise okufuna enkolagana ennungi naye? Tekyandibadde kya magezi kulowooza nti Katonda akitwala nti musobola okwesalirawo okumuweereza?
13. Bibuuzo ki abavubuka abatannabatizibwa bye bayinza okwebuuza?
13 Oli muvubuka atannaba kubatizibwa alina abazadde abatya Katonda, abeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo era nga weenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka? Bwe kiba bwe kityo, weebuuze nti: ‘Lwaki ebintu ebyo mbikola? Mbaawo mu nkuŋŋaana era nneenyigira mu mulimu gw’okubuulira olw’okuba bazadde bange bansuubira okukikola oba mbikola olw’okusanyusa Yakuwa?’ Otegeeredde ddala ebyo “Katonda by’ayagala, ebirungi, ebisanyusa, ebituufu”?—Abaruumi 12:2.
Lwaki Olonzalonza Okubatizibwa?
14. Byakulabirako ki okuva mu Baibuli ebiraga nti omuntu teyandironzalonzezza kubatizibwa?
14 “Kiki ekindobera okubatizibwa?” Omusajja Omuwesiyopya eyabuuza Firipo omubuulizi ekibuuzo ekyo yali yakayiga nti Yesu ye Masiya. Naye Omuwesiyopya yali amanyi Ebyawandiikibwa ebimala ebyandimuyambye okutegeera nti tasaanidde kulonzalonza kulaga mu lujjudde nti atandise okuweereza Yakuwa ng’ali wamu n’ekibiina Ekikristaayo. Bwe yabatizibwa, yafuna essanyu ppitirivu. (Ebikolwa 8:26-39) Mu ngeri y’emu, omukazi ayitibwa Ludiya, omutima gwe ‘gwabikkulwa n’awuliriza Pawulo bye yayogera,’ era ye n’ab’omu maka ge ne ‘babatizibwa’ amangu ago. (Ebikolwa 16:14, 15) Ate era n’omukuumi w’ekkomera ow’omu Firipi yawuliriza Pawulo ne Siira nga ‘bamubuulira ekigambo kya Yakuwa,’ era ‘ye n’ab’omu maka ge ne babatizibwa amangu ago.’ (Ebikolwa 16:25-34) N’olwekyo, bw’oba omanyi ebyawandiikibwa ebimala ebikwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye, ng’oyagalira ddala okukola by’ayagala, era ng’oyogerwako bulungi mu kibiina era nga toyosa kujja mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, lwaki olonzalonza okubatizibwa?—Matayo 28:19, 20.
15, 16. (a) Ndowooza ki enkyamu eremesa abavubuka abamu okubatizibwa? (b) Okwewaayo n’okubatizibwa biyinza bitya okuba eky’obukuumi eri abavubuka?
15 Kyandiba nti olonzalonza okubatizibwa olw’okubanga otya nti bw’onookola ekibi bajja kukuvunaana? Bwe kiba bwe kityo, lowooza ku kino: Wandiganyi okufuna layisensi ey’okuvuga emmotoka kubanga otya nti lumu oyinza okukola akabenje? Kya lwatu nedda! Mu ngeri y’emu tewandironzalonzezza kubatizibwa singa otuukiriza ebisaanyizo. Mazima ddala bw’oneewaayo eri Yakuwa era n’okukkiriza okukola by’ayagala, kijja kukubiriza okufuba okukola kyonna ky’osobola okwewala okukola ekibi. (Abafiripi 4:13) Mwe abato, temulowooza nti bwe mulonzalonza okubatizibwa temujja kuvunaanibwa. Bwe mutuuka ku myaka nga musobola okwesalirawo, muba muvunaanyizibwa eri Yakuwa ka mube babatize oba nedda.—Abaruumi 14:11, 12.
16 Abajulirwa bangi okwetooloola ensi bawulira nti okusalawo okubatizibwa nga bakyali bato kyabayamba nnyo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Mujulirwa ow’emyaka 23 abeera mu Bulaaya ow’Ebugwanjuba. Agamba nti okubatizibwa ku myaka 13 kwamuyamba nnyo obutatwalirizibwa ‘kwegomba kw’omu buvubuka.’ (2 Timoseewo 2:22) Ng’akyali muto, yalina ekiruubirirwa eky’okufuuka omuweereza ow’ekiseera kyonna. Leero aweereza ku ofiisi y’ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa. Abavubuka abasalawo okuweereza Yakuwa nga naawe mw’oli, bajja kufuna emikisa ntoko.
17. Mu bintu ki mwe kyetaagisa okumanya ‘ebyo Yakuwa by’ayagala’?
17 Bwe twewaayo era ne tubatizibwa tuba tutandise okutambulira mu bulamu, nga mu byonna bye tukola, tusooka kulowooza ku ebyo Yakuwa by’ayagala. Okutuukiriza okwewaayo kwaffe kutwaliramu ‘okugula ebiseera.’ Ekyo tukikola tutya? Ng’ebiseera bye tubadde tumalira ku bintu ebitaliimu tubikozesa okwesomesa Baibuli, okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira “amawulire amalungi ag’obwakabaka” nga bwe kisoboka. (Abaefeso 5:15, 16; Matayo 24:14) Okwewaayo kwaffe eri Yakuwa n’okwagala okukola by’ayagala bijja kutuganyula nnyo mu bulamu bwaffe ne mu ngeri gye tukozesaamu ebiseera byaffe eby’eddembe, era ne ku kubikwata ku by’okulya n’eby’okunywa era n’ennyimba ze tuwuliriza. Lwaki tolondawo engeri y’okwesanyusaamu gy’ojja okunyumirwa emirembe gyonna? Enkumi n’enkumi z’Abajulirwa abavubuka bajja kukugamba nti waliwo okwesanyusaamu kwa ngeri nnyingi okuzimba ate nga tekukuleetera kusuula muguluka ebyo ‘Yakuwa by’ayagala.’—Abaefeso 5:17-19.
“Tuligenda Nammwe”
18. Kibuuzo ki abavubuka kye basaanidde okwebuuza?
18 Okuva mu 1513 B.C.E. okutuuka ku Pentekoote 33 C.E., Yakuwa abadde n’abantu abategeke ku nsi be yalonda okumusinza n’okuba abajulirwa be. (Isaaya 43:12) Abavubuka Abaisiraeri baazaalibwa mu ggwanga eryo. Okuva ku Pentekoote, Yakuwa abadde ‘n’eggwanga eppya’ ku nsi, Isiraeri ey’omwoyo, ‘abantu ab’erinnya lye.’ (1 Peetero 2:9, 10; Ebikolwa 15:14; Abaggalatiya 6:16) Omutume Pawulo agamba nti Kristo yeerongosezza ‘abantu ab’envuma abanyiikirira ebikolwa ebirungi.’ (Tito 2:14) Mmwe abavubuka kiri eri mmwe okunoonya abantu abo. B’ani leero abali mu “ggwanga ettuukirivu erikwata amazima,” erigoberera emisingi gy’omu Baibuli, eriwa obujulirwa ku Yakuwa, era erirangirira nti Obwakabaka bwe bwokka obunaayamba abantu? (Isaaya 26:2-4) Weekenneenye ebikolwa bya Kristendomu n’eby’amadiini amalala obigeraageranye ne Baibuli ky’egamba era n’empisa z’abaweereza ba Katonda ab’amazima.
19. Obukadde n’obukadde bw’abantu mu nsi yonna bakakafu ku ki?
19 Obukadde n’obukadde bw’abantu okwetooloola ensi yonna nga mw’otwalidde n’abavubuka bangi, bakakafu nti ensigalira y’abaafukibwako amafuta be bakola “eggwanga ettuukirivu.” Bagamba bwe bati Abaisiraeri bano ab’eby’omwoyo: “Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.” (Zekkaliya 8:23) Tusuubira era tusaba nti mmwe abavubuka mujja kusalawo okubeera mu bantu ba Katonda era bwe kityo “mweroboze obulamu” —obulamu obutaggwaawo mu nsi ya Yakuwa empya.—Ekyamateeka 30:15-20; 2 Peetero 3:11-13.
Okwejjukanya
• Kiki ekizingirwa mu kuteeka endowooza ya Yakuwa mu baana?
• Buweereza bwa ngeri ki obusiimibwa Yakuwa?
• Abavubuka bonna abakuzibwa abazadde abeewaayo eri Yakuwa balina kusalawo ki?
• Lwaki abavubuka tebandironzalonzezza kubatizibwa?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 28]
Ani gwe munaawuliriza
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Okwewaayo n’okubatizibwa biyinza bitya okubakuuma?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Kiki ekikulemesa okubatizibwa?