Yobu—Omusajja Eyagumiikiriza era Eyakuuma Obugolokofu
“Olowoozezza ku muddu wange Yobu? kubanga tewali amufaanana mu nsi, omusajja eyatuukirira era ow’amazima, atya Katonda ne yeewala obubi.”—YOBU 1:8.
1, 2. (a) Bizibu ki ebyali bitasuubirwa Yobu bye yafuna? (b) Yobu yali mu bulamu ki nga tannafuna bizibu?
WAALIWO omusajja eyalabika ng’ali obulungi—nga mugagga, nga assibwamu ekitiibwa, nga mulamu bulungi, era ng’alina amaka amasanyufu. Kyokka, omusajja oyo yafuna ebizibu eby’amaanyi bisatu eby’omuddiriŋŋanwa. Obugagga bwe bwaggwaawo mbagirawo. Oluvannyuma, embuyaga ey’amaanyi yatta abaana be bonna. Nga wayiseewo akaseera katono, yafuna obulwadde obw’amaanyi era omubiri gwe gwonna gwajjula amayute. Oyinza okuba ng’okitegedde nti omusajja oyo ye Yobu, omuntu ayogerwako ennyo mu kitabo kya Baibuli ekiyitibwa erinnya lye.—Yobu, essuula 1 ne 2.
2 Yobu yagamba nti: “Singa mbadde nga bwe nnali mu myezi egyayita.” (Yobu 3:3; 29:2) Ani afuna ekizibu eky’amaanyi n’atalowooza ku biseera eby’emabega bwe yali obulungi? Yobu, yatambulira mu kkubo eggolokofu, era ng’alinga akuumiddwa obutatuukibwako bizibu. Abantu abatutumufu baamusangamu ekitiibwa era baamwebuuzangako. (Yobu 29:5-11) Yali mugagga, naye yalina endowooza entuufu ku ssente. (Yobu 31:24, 25, 28) Yayambanga bannamwandu ne bamulekwa abaalinga mu buzibu. (Yobu 29:12-16) Era yali mwesigwa eri mukazi we.—Yobu 31:1, 9, 11.
3. Yakuwa yatwala atya Yobu?
3 Yobu teyaliiko kya kunenyezebwa olw’okuba yali asinza Katonda. Yakuwa yagamba: ‘Tewali eyali amufaanana ku nsi, omusajja ataliiko kya kunenyezebwa era ow’amazima, atya Katonda ne yeewala obubi.’ (Yobu 1:1, 8) Wadde nga Yobu yali musajja ow’empisa ennungi, ebizibu bye yafuna byagootaanya obulamu bwe obwali obulungi. Byonna bye yalina byasaanawo, era obulumi, ennaku n’okumalibwamu amaanyi byamugezesa nnyo.
4. Lwaki kya muganyulo okwekenneenya ebizibu ebyatuuka ku Yobu?
4 Kya lwatu, Yobu si ye muweereza wa Katonda yekka eyali afunyeeko ebizibu eby’amaanyi. Abakristaayo bangi leero nabo boolekaganye n’ebizibu ebifaananako n’ebyo. N’olw’ensonga eyo, kiba kirungi okwekenneenya ebibuuzo bibiri: Okwejjukanya ebizibu Yobu bye yayitamu kiyinza kitya okutuyamba nga twolekaganye n’ekizibu eky’amaanyi? Era kiyinza kitya okutuyamba okulumirirwa abalala ababonaabona?
Ensonga Ekwata ku Bwesigwa n’Okugezesa Obugolokofu Bwaffe
5. Okusinziira ku Setaani, lwaki Yobu yali aweereza Katonda?
5 Yobu yayolekagana n’embeera etaali ya bulijjo. Nga tamanyi, Omulyolyomi yabuusabuusa obanga Yobu yali aweereza Katonda ng’alina ekiruubirirwa ekituufu. Ebitonde eby’omwoyo bwe byali bikuŋŋaanye mu ggulu, Yakuwa yayogera ku ngeri za Yobu ennungi, era Setaani n’amuddamu ng’agamba nti: “Tomukomedde lukomera okumwetooloola ye n’ennyumba ye ne byonna by’alina, enjuyi zonna?” Mu kwogera bw’atyo yali ategeeza nti Yobu aweereza Katonda olw’okwenoonyeza ebibye ku bubwe—era nti n’abaweereza ba Katonda abalala nabo bamuweereza olw’okwenoonyeza ebyabwe ku bwabwe. Awo Setaani n’alyoka agamba Yakuwa nti: “Kaakano golola omukono gwo okome ku byonna by’alina, kale, alikwegaanira mu maaso go.”—Yobu 1:8-11.
6. Nsonga ki enkulu Setaani gye yaleetawo?
6 Ensonga eyo yali nkulu nnyo. Setaani yabuusabuusa engeri Yakuwa gy’afugamu. Ddala kisoboka Katonda okufuga ensi yonna mu kwagala? Oba nga Setaani bwe yagamba, abantu bajja kuweereza Katonda olw’okwenoonyeza ebyabwe ku bwabwe? Yakuwa yaleka Omulyolyomi okugezesa Yobu ng’ayagala kibeere ekyokulabirako eri abaweereza be nti basobola okukuuma obugolokofu bwabwe. Era yali mukakafu nti Yobu ajja kusigala nga mwesigwa. Bwe kityo, Setaani kennyini ye yaleetera Yobu ebizibu bye yafuna omuddiriŋŋanwa. Setaani bwe yalemererwa okumenya obugolokofu bwa Yobu okuyitira mu bizibu bye yasooka okumutuusaako, yamuleetera obulwadde obw’amaanyi. Setaani yagamba nti: “Eddiba olw’eddiba, weewaawo, byonna omuntu by’alina alibiwaayo olw’obulamu bwe.”—Yobu 2:4.
7. Mu ngeri ki abaweereza ba Katonda gye bayinza okufuna ebizibu ebifaananako ebyo Yobu bye yafuna?
7 Wadde ng’Abakristaayo abasinga obungi leero tebabonaabona nga Yobu bwe yabonaabona, nabo batuukibwako ebizibu ebitali bimu. Bangi bayigganyizibwa oba balina ebizibu mu maka. Ebizibu mu by’enfuna oba obulwadde biyinza okuleetera omuntu okwennyamira. Abamu battiddwa olw’okukkiriza kwabwe. Kyokka, tetulina kukitwala nti Setaani y’atuleetera buli kizibu kye tufuna. Mu butuufu ebizibu ebimu biyinza okujjawo olw’ensobi zaffe oba olw’obulwadde bwe twafuna okuva ku bazadde baffe. (Abaggalatiya 6:7) Ffenna tusobola okukaddiwa era n’okutuukibwako obutyabaga bw’omu butonde. Baibuli ekiraga bulungi nti mu kiseera kino Yakuwa takuuma baweereza be mu ngeri ey’eky’amagero ne batatuukibwako bizibu.—Omubuulizi 9:11.
8. Setaani ayinza atya okukozesa ebizibu bye tuba nabyo?
8 Wadde kiri kityo, Setaani asobola okukozesa ebizibu bye twolekagana nabyo okunafuya okukkiriza kwaffe. Omutume Pawulo yagamba nti, ‘yalina eriggwa mu mubiri Setaani lye yakozesa okumukuba.’ (2 Abakkolinso 12:7) Ka kibe nti eriggwa eryo bwali bulemu ku mubiri gwe, gamba ng’obutalaba bulungi oba kintu kirala, Pawulo yakitegeera nti Setaani yali ayinza okukozesa ekizibu ekyo okumumalako essanyu n’okumenya obugolokofu bwe. (Engero 24:10) Leero, Setaani ayinza okukozesa ab’omu maka gaffe, bayizi bannaffe, oba gavumenti eza bannakyemalira okuyigganya abaweereza ba Katonda mu ngeri emu oba endala.
9. Lwaki ebizibu oba okuyigganyizibwa tebyanditwewunyisizza?
9 Tuyinza tutya okwaŋŋanga ebizibu bino? Nga tubitwala ng’omukisa gwe tuba tufunye okulaga nti okwagala kwaffe n’obuwulize bwaffe eri Yakuwa biviira ddala ku mutima. (Yakobo 1:2-4) Ka kibe ki ekituviiriddeko okubonaabona, bwe tutegeera nti kikulu okubeera abeesigwa eri Katonda kituyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo. Omutume Peetero yawandiikira bw’ati Abakristaayo: ‘Abaagalwa temwewuunyanga olw’okwokebwa okuli mu mmwe, okujja gye muli ne muba nga abatuukiddwako ekitali kya bulijjo.’ (1 Peetero 4:12, NW) Era Pawulo yannyonnyola nti: “Bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez’okutya Katonda banaayigganyizibwanga.” (2 Timoseewo 3:12) Setaani akyabuusabuusa obwesigwa bw’Abajulirwa ba Yakuwa nga bwe yakola ku Yobu. Mu butuufu, Baibuli ekiraga nti Setaani yeeyongedde okulumba abantu ba Katonda mu biseera bino eby’enkomerero.—Okubikkulirwa 12:9, 17.
Okutegeera Obubi Ensonga n’Amagezi Amakyamu
10. Kiki Yobu ky’ataamanya?
10 Waliwo ekintu Yobu kye yali tamanyi ffe kye tumanyi. Yali tamanyi nsonga lwaki abonaabona. Mu bukyamu yagamba nti ‘Katonda y’awa era y’aggyawo.’ (Yobu 1:21) Oboolyawo, Setaani mu bugenderevu yayagala Yobu alowooze nti Katonda ye yali amuleetedde okubonaabona.
11. Yobu yayogera ki ng’afunye ebizibu?
11 Wadde nga Yobu yaggwaamu amaanyi, teyeegaana Katonda nga mukazi we bwe yali amukubiriza. (Yobu 2:9, 10) Yagamba nti: ‘Kirabika ababi bali bulungi okunsinga.’ (Yobu 21:7-9) Ateekwa okuba yeebuuza nti: ‘Lwaki Katonda ambonereza?’ Waliwo ebiseera ebimu bwe yayagala afe. Yagamba nti: “Singa onkwese mu magombe, singa onkisa kyama okutuusa obusungu bwo lwe buliyita.”—Yobu 14:13.
12, 13. Ebigambo ebyayogerwa banne ba Yobu abasatu byamuyisa bitya?
12 Banne ba Yobu abasatu baamukyalira “okumukaabirako n’okumukubagiza.” (Yobu 2:11) Wadde kyali kityo, baali “basanyusa [“ababudaabuda,” NW] abatagasa.” (Yobu 16:2) Yobu yandifunye okubudaabudibwa okuva mu b’emikwano be yanditegeezezza ebizibu bye, naye banne abo abasatu baayongera kumubuzaabuza na kumunakuwaza.—Yobu 19:2; 26:2.
13 Kiyinzika okuba nti Yobu yeebuuza: ‘Lwaki bino bituuka ku nze? Kiki kye nkoze ndyoke nfune ebizibu bino byonna?’ Mikwano gye baamunnyonnyola mu ngeri eyali ebuzaabuza. Baakitwala nti Yobu yali yeereeseeko ebizibu ebyo ng’akola ebibi eby’amaanyi. Erifaazi yabuuza: “Ani eyali abuze [“asaanyewo,” NW] nga taliiko musango?” Ate era yayongerezaako nti: “Nga bwe nnalaba, abo abakabala obujeemu ne basiga obuyinike, era bye bakungula.”—Yobu 4:7, 8.
14. Lwaki tetwandyanguyiriza kugamba nti omuntu abonaabona olw’ekintu ekibi kye yakola?
14 Kyo kituufu nti, tusobola okufuna ebizibu singa tusigira omubiri mu kifo ky’okusigira omwoyo. (Abaggalatiya 6:7, 8) Kyokka, mu nteekateeka y’ebintu eno, ebizibu biyinza okujjawo ka tube nga tweyisa bulungi oba bubi. Ate era, tekiba kituufu kugamba nti abatalina musango bayinza okukuumibwa ne batatuukibwako kabi. Yesu Kristo, “ataliiko bbala, eyayawulibwa eri abo abalina ebibi,” yafiira mu bulumi ku muti ogw’okubonyaabonyezebwako era n’omutume Yakobo yattibwa olw’okukkiriza kwe. (Abaebbulaniya 7:26; Ebikolwa 12:1, 2) Endowooza enkyamu eya Erifaazi ne banne ababiri yaleetera Yobu okwerwanako asobole okuggya enziro ku linnya lye eddungi n’okubalaga nti talina musango. Wadde kyali kityo, bwe baakalambira nti Yobu yali agwanidde okubonaabona olw’okuba alina ekibi kye yakola, ekyo kirina kye kyakola ku ngeri gye yatunuuliramu obwenkanya bwa Katonda.—Yobu 34:5; 35:2.
Okufuna Obuyambi nga Twolekaganye n’Ebizibu
15. Ndowooza ki ejja okutuyamba okugumira okubonaabona?
15 Waliwo kye tuyigira ku Yobu? Kiyinza okulabika ng’ekitali kya bwenkanya ffe okufuna ebizibu, obulwadde oba okuyigganyizibwa. Abantu abalala bayinza okulabika ng’abatatuukibwako bizibu ng’ebyo. (Zabbuli 73:3-12) Ebiseera ebimu, tuyinza okwebuuza ebibuuzo nga bino ebikulu: ‘Ddala okwagala kwe nnina eri Katonda kunkubiriza okumuweereza ka kibe kiki ekiyinza okubaawo? Njagala okuwa Yakuwa eky’okuddamu eri oyo Amuvuma?’ (Engero 27:11; Matayo 22:37) Tetwandikkirizza ebigambo ebitaliimu abantu bye boogera okutuleetera okubuusabuusa obanga Kitaffe ow’omu ggulu ajja kutuyamba. Omukristaayo omu omwesigwa eyalina obulwadde obw’olukonvuba okumala emyaka mingi, olumu yagamba: “Nkimanyi nti ekintu kyonna Yakuwa ky’akkiriza okubaawo nja kukigumira. Nkimanyi nti ajja kumpa amaanyi ge nneetaaga. Era bulijjo abaddenga agampa.”
16. Ekigambo kya Katonda kiyamba kitya abo ababa boolekaganye n’ebizibu?
16 Tutegeera bulungi obukoddyo bwa Setaani okusinga Yobu. “Kubanga tetuli ng’abatategeera nkwe ze,” oba obukoddyo bwe. (2 Abakkolinso 2:11) Ate era, tulina bingi ebiyinza okutuyamba. Baibuli eyogera ku bakazi n’abasajja abeesigwa abaagumiikiriza ebizibu ebitali bimu. Omutume Pawulo, eyabonaabona okusinga ku Bakristaayo banne yagamba: “Byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, tulyoke tubeerenga n’okusuubira olw’okugumiikiriza n’olw’okusanyusa kw’ebyawandiikibwa.” (Abaruumi 15:4) Omujulirwa omu okuva mu Bulaaya eyasibibwa olw’okukkiriza kwe mu ssematalo ow’okubiri, yeefiiriza emmere ya nnaku satu asobole okufuna Baibuli. Yagamba nti: “Ekyo nga kyali kya muganyulo nnyo!” Ayongera n’agamba nti: “Wadde nga nnalumwa enjala, nnafuna emmere ey’eby’omwoyo eyanyweza awamu n’abalala nga twolekaganye n’ebizibu mu kiseera ekyo ekizibu ennyo. N’okutuusa kati, Baibuli eyo ngirina.”
17. Nteekateeka ki Katonda z’atukoledde eziyinza okutuyamba okugumiikiriza?
17 Ng’oggyeko okubudaabudibwa okuli mu Byawandiikibwa, tulina ebitabo bingi ebinnyonnyola Baibuli ebisobola okutuwa obulagirizi ku ngeri y’okugumiramu ebizibu. Singa okebera mu Watch Tower Publications Index, oyinza okusangamu ekyokulabirako ekya Mukristaayo munno eyalina ekizibu ng’ekikyo. (1 Peetero 5:9) Ate era, oyinza okuganyulwa singa otegeeza abakadde ekizibu kyo oba Abakristaayo abalala abakuze mu by’omwoyo. Okusinga byonna, osobola okufuna obuyambi bwa Yakuwa n’obw’omwoyo gwe omutukuvu okuyitira mu kusaba. Pawulo yasobola atya okuguma nga Setaani ‘amukuba’? Ekyamuyamba kwe kwesiga amaanyi ga Katonda. (2 Abakkolinso 12:9, 10) Yagamba nti: “Nnyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi.”—Abafiripi 4:13.
18. Mukristaayo munno ayinza atya okukuzaamu amaanyi?
18 N’olwekyo obuyambi weebuli era tolonzalonza kubweyambisa. Ekitabo ky’Engero kigamba: “Bw’ozirika [“bw’oggwaamu amaanyi,” NW] ku lunaku olw’okulabirako obuyinike, amaanyi go nga matono.” (Engero 24:10) Ng’enkuyege bwe ziyinza okulya emiti gy’ennyumba n’egwa, n’Omukristaayo bw’amalibwamu amaanyi ayinza obutakuuma bwesigwa bwe, n’addirira mu by’omwoyo. Okusobola okwewala akabi ako, Yakuwa atuwa obuwagizi okuyitira mu baweereza bannaffe. Malayika yalabikira Yesu n’amuzzaamu amaanyi mu kiro kye yakwatirwako. (Lukka 22:43) Bwe yali atwalibwa e Rooma nga musibe, Pawulo “yeebaza Katonda n’aguma omwoyo” bwe yasisinkana ab’oluganda mu Katale ka Apiyo ne mu Bisulo Ebisatu. (Ebikolwa 28:15) Omujulirwa omu Omugirimaani ajjukira obuyambi bwe yafuna nga yaakatuuka mu nkambi y’abasibe ey’omu Ravensbrück gye yasibirwa ng’akyali mu myaka gye egy’obutiini. Agamba nti: “Mukristaayo munnange yajja nnanyaniriza bulungi nnyo.” Ayongerezaako nti: “Mwannyinaffe omulala omwesigwa yandabirira bulungi era n’afuuka maama wange mu by’omwoyo.”
“Beeranga Mwesigwa”
19. Kiki ekyayamba Yobu okuziyiza Setaani?
19 Yakuwa yagamba nti Yobu yali musajja eyali ‘akyanywezezza obwesigwa bwe.’ (Yobu 2:3) Wadde nga yawulira ng’aweddemu amaanyi era nga tategeera nsonga lwaki abonaabona, Yobu yasigala mwesigwa eri Katonda. Yobu yagaana okwekkiriranya. Yagamba: “Okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange.”—Yobu 27:5.
20. Lwaki kya muganyulo okugumiikiriza?
20 Okubeera abamalirivu nga Yobu kijja kutuyamba okusigala nga tuli bagolokofu mu mbeera yonna gye tuba twolekaganye nayo—nga tukemebwa, nga tuziyizibwa oba nga tuli mu mbeera endala enzibu ennyo. Yesu yagamba ab’omu kibiina kya Sumuna nti: “Totya by’ogenda okubonaabona: laba, omulyolyomi oyo agenda okusuula abamu mu mmwe mu kkomera, mukemebwe; era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey’obulamu.”—Okubikkulirwa 2:10.
21, 22. Kiki ekiyinza okutubudaabuda nga tugumiikiriza okubonaabona?
21 Mu nsi eno efugibwa Setaani, obugumiikiriza bwaffe n’obugolokofu bijja kugezesebwa. Wadde kiri kityo, Yesu atukakasa nti tetulina kutya biseera bya mu maaso. Ekintu ekisinga obukulu kwe kusigala nga tuli beesigwa. Pawulo yagamba nti: ‘Okubonaabona kwaffe kwa kaseera buseera’ ate ‘ng’ekitiibwa’ oba ekirabo Yakuwa ky’atusuubiza, ‘tekigeraageranyizika era kya lubeerera.’ (2 Abakkolinso 4:17, 18) N’okubonaabona Yobu kwe yayitamu kwali kwa kaseera buseera bw’okugeraageranya n’emyaka gye yamala nga musanyufu bwe yali nga tannagezesebwa era ng’amaze n’okugezesebwa.—Yobu 42:16.
22 Wayinza okubaawo ebiseera mu bulamu, ng’okugezesebwa kulabika ng’okutakoma era ng’okutayinza kugumiikirizika. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri ebyo Yobu bye yayitamu gye biyinza okutuyamba okweyongera okugumiikiriza. Ate era tujja kulaba engeri gye tuyinza okuzzaamu abalala amaanyi nga boolekaganye n’ebizibu.
Wandizzeemu Otya?
• Nsonga ki enkulu Setaani ze yaleetawo ku bikwata ku bugolokofu bwa Yobu?
• Lwaki tekyanditwewunyisizza singa tufuna ebizibu?
• Yakuwa atuyamba atya okugumiikiriza?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]
Okunoonyereza, okwebuuza ku Bakristaayo abakuze mu by’omwoyo, n’okusaba bisobola okutuyamba okugumiikiriza