“Mwawulira Okugumiikiriza kwa Yobu”
“Mwawulira okugumiikiriza kwa Yobu, era mwalaba Mukama ku nkomerero bw’akola, nga Mukama wa kisa kingi n’okusaasira.”—YAKOBO 5:11.
1, 2. Bizibu ki abafumbo abamu ab’omu Poland bye baayolekagana nabyo?
AMAGYE ga Hitler we gaawambira ekibuga Danzig (kati ekiyitibwa Gdańsk) eky’omu bukiika kkono bwa Poland, Harald Abt yali tannaweza myaka ebiri bukya afuuka Mujulirwa wa Yakuwa. Embeera Abakristaayo ab’amazima gye baalimu mu kibuga ekyo yali nzibu nnyo. Abaserikale ba Hitler baagezaako okukaka Harald okussa omukono ku kiwandiiko ekiraga nti takyali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, naye yagaana. Oluvannyuma lwa wiiki eziwerako ng’ali mu kkomera, Harald yasindikibwa mu nkambi y’abasibe eyitibwa Sachsenhausen, gye baamukubiranga era n’atiisibwatiisibwa enfunda n’enfunda. Omuserikale omu yasonga ku kituli ekifulumya omukka ekyali ku kizimbe mwe bookera emirambo, n’agamba Harald nti, “Singa ennaku 14 ziyitawo ng’okyanyweredde ku kukkiriza kwo, bw’otyo bw’ojja okugenda eri Yakuwa wo ng’oyitira mu kituli ekyo.”
2 Harald bwe yakwatibwa, mukyala we, Elsa yali akyayonsa muwala waabwe ow’emyezi ekkumi. Elsa naye Abaserikale ba Hitler baamukwata era oluvannyuma lw’akaseera katono baamusindika mu nkambi eyitibwa Auschwitz, oluvannyuma lw’okuggyibwako omwana we. Wadde baamala emyaka mingi mu nkambi, Harald ne mukyala we baawonawo. Oyinza okusoma ebisingawo ku ngeri gye baagumiikirizaamu mu The Watchtower aka Apuli 15, 1980. Harald agamba: “Emyaka gyonna gye nnamala mu kkomera nga nsibiddwa olw’enzikiriza yange gyali 14. Eriyo abambuuzizza nti: ‘Mukyala wo yakuyamba okugumiikiriza ebizibu ebyo byonna?’ Awatali kubuusabuusa yannyamba nnyo! Nnakimanya okuva ku ntandikwa nti mukyala wange yali tayinza kwekkiriranya era kino kyannyamba nange okubeera omunywevu. Nnakimanya nti yandyagadde waakiri nfe nga ndi mwesigwa mu kifo ky’okuteebwa olw’okwekkiriranya. . . . Elsa yagumiikiriza ebizibu bingi bye yayolekagana nabyo emyaka gyonna gye yamala mu nkambi z’abasibe mu Bigirimaani.”
3, 4. (a) Byakulabirako ki ebiyinza okuyamba Abakristaayo okugumiikiriza? (b) Lwaki Baibuli etukubiriza okwekenneenya ebyatuuka ku Yobu?
3 Abajulirwa bangi bagamba nti si kyangu okugumira okubonyaabonyezebwa. N’olwensonga eyo, Baibuli ekubiriza bw’eti Abakristaayo: “Mutwale ekyokulabirako, ab’oluganda, eky’okubonyaabonyezebwa n’okugumiikiriza, [ekya] bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama.” (Yakobo 5:10) Okumala ebyasa bingi abaweereza ba Katonda bangi bayigganyiziddwa awatali nsonga. Ekyokulabirako ‘ky’olufulube lw’abajulirwa’ abo kiyinza okutuyamba okweyongera okudduka n’obugumiikiriza mu mbiro z’Ekikristaayo.—Abaebbulaniya 11:32-38; 12:1.
4 Mu ebyo bye tusoma mu Baibuli, Yobu yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo ekikwata ku bugumiikiriza. Yakobo yagamba nti: “Laba, tubayita ba mukisa abaagumiikirizanga: mwawulira okugumiikiriza kwa Yobu, era mwalaba Mukama ku nkomerero bw’akola, nga Mukama wa kisa kingi n’okusaasira.” (Yakobo 5:11) Ebyatuuka ku Yobu bituyamba okutegeera empeera ejja okuweebwa abeesigwa, Yakuwa baawa omukisa. Ekisinga n’obukulu, bitusobozesa okumanya ebiyinza okutuyamba nga twolekaganye n’ebizibu. Ekitabo kya Yobu kituyamba okuddamu ebibuuzo bino: Nga tugezesebwa, lwaki tuteekwa okugezaako okutegeera ensonga enkulu ezingirwamu? Ngeri ki na ndowooza ki ebiyinza okutuyamba okugumiikiriza? Tuyinza tutya okuzzaamu amaanyi Bakristaayo bannaffe ababonaabona?
Okutegeera Ensonga Zonna Ezizingirwamu
5. Nsonga ki enkulu gye twandijjukidde nga twolekaganye n’ebizibu oba ebikemo?
5 Okusobola okusigala nga tuli banywevu mu kukkiriza nga twolekaganye n’ebizibu, twetaaga okutegeera ensonga zonna ezizingirwamu. Bwe kitaba kityo, ebizibu bye tuba nabyo biyinza okutuleetera obutatunuulira bintu mu ngeri ey’eby’omwoyo. Ensonga ekwata ku kubeera abeesigwa eri Katonda nkulu nnyo. Kitaffe ow’omu ggulu, atukuutira bw’ati: “Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, Ndyokenga nziremu oyo anvuma.” (Engero 27:11) Eyo nga nkizo ya kitalo nnyo! Wadde nga tulina obunafu era nga tetutuukiridde tuyinza okusanyusa Omutonzi waffe. Ekyo tusobola okukikola singa okwagala kwaffe eri Yakuwa kutusobozesa okugumira ebizibu n’obutagwa mu bikemo. Okwagala kw’Abakristaayo ab’amazima kugumiikiriza ebintu byonna. Tekulemererwa.—1 Abakkolinso 13:7, 8.
6. Setaani asoomooza atya Yakuwa era amusoomozezza kutuuka wa?
6 Ekitabo kya Yobu kiraga bulungi nti Setaani y’asomooza Yakuwa. Ate era kiraga engeri embi ez’omulabe ono atalabika era nti omulabe ono ayagala okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda. Ng’ebikwata ku Yobu bwe biraga, Setaani agamba nti, abaweereza ba Yakuwa beenoonyeza byabwe era ayagala n’okulaga nti okwagala kwabwe kusobola okuddirira. Okumala enkumi n’enkumi z’emyaka bw’atyo bw’abadde alumiriza Katonda. Setaani bwe yagobwa mu ggulu eddoboozi okuva mu ggulu lyamwogerako nti “aloopa baganda baffe” era ne ligamba nti abaloopa “mu maaso ga Katonda waffe emisana n’ekiro.” (Okubikkulirwa 12:10) Bwe tugumiikiriza tuyinza okulaga nti by’ayogera si bituufu.
7. Tuyinza tutya okwaŋŋanga obunafu bwe tulina mu mubiri?
7 Tuteekwa okukijjukira nti Omulyolyomi ajja kukozesa ebizibu byonna bye twolekagana nabyo okugezaako okutuggya ku Yakuwa. Ddi lwe yakema Yesu? Yamukema oluvannyuma lw’okusiibira ennaku nnyingi era ng’enjala emuluma. (Lukka 4:1-3) Kyokka, olw’okuba Yesu yali munywevu mu by’omwoyo, teyekkiriranya ng’Omulyolyomi amukema. Bwe tubeera abanywevu mu by’omwoyo tuyinza okwaŋŋanga obunafu bwonna bwe tuba nabwo mu mubiri, gamba ng’obulwadde oba obukadde. Wadde ‘ng’omuntu waffe ow’okungulu aggwaawo’ tetulekulira kubanga “omuntu waffe ow’omunda afuuka omuggya bulijjo bulijjo.”—2 Abakkolinso 4:16.
8. (a) Endowooza ezimalamu amaanyi ziyinza zitya okutuleetera okuddirira mu by’omwoyo? (b) Ndowooza ki Yesu gye yalina?
8 Okugatta ku ekyo, endowooza ezimalamu amaanyi ziyinza okutuleetera okuddirira mu by’omwoyo. Omuntu ayinza okwebuuza, ‘Lwaki kino Yakuwa akireka ne kibaawo?’ Ate omulala ayisiddwa mu ngeri etali ya kisa ayinza okubuuza nti ‘Ow’oluganda ayinza atya okumpisa bw’ati?’ Endowooza ng’ezo ziyinza okutuviirako okubuusa amaaso ensonga enkulu ne tumalira ebirowoozo byaffe ku mbeera gye tulimu. Ebigambo banne ba Yobu abasatu bye baamwogerako byamuyisa bubi ng’obulwadde bwe yalina. (Yobu 16:20; 19:2) Mu ngeri y’emu, omutume Pawulo yakiraga nti omuntu bw’alwawo nga munyiivu ‘kiwa Omulyolyomi ebbanga,’ oba akakisa. (Abaefeso 4:26, 27) Mu kifo ky’okunyiigira omuntu oba okulowooza ennyo ku butali bwenkanya obubaawo, kiba kirungi Abakristaayo ne bakoppa Yesu ‘eyeewaayo eri oyo asala omusango ogw’ensonga,’ Yakuwa Katonda. (1 Peetero 2:21-23) Okubeera ‘n’endowooza’ ng’eya Yesu kijja kutuyamba nnyo okwerwanako nga Setaani atulumbye.—1 Peetero 4:1.
9. Bukakafu ki Katonda bw’atuwa ku bikwata ku bizibu n’ebikemo bye twolekagana nabyo?
9 N’ekisinga byonna, tetulina kukitwala nti bwe tufuna ebizibu kiba kiraga nti Katonda tatusiima. Endowooza ng’eyo yalumya nnyo Yobu mu kiseera abo abaali beegamba nti bazze okumubudaabuda we baamwogerera ebigambo ebisongovu. (Yobu 19:21, 22) Baibuli etukakasa nti: “Katonda takemeka na bubi, era ye yennyini takema muntu yenna.” (Yakobo 1:13) Kyokka, Yakuwa atusuubiza nti ajja kutuyamba okugumira ekizibu kyonna kye tuyinza okufuna era n’okutuyamba obutagwa mu bikemo. (Zabbuli 55:22; 1 Abakkolinso 10:13) Bwe tuneesiga Yakuwa nga tuli mu biseera ebizibu, tetujja kugwa lubege era tujja kusobola okuziyiza Omulyolyomi.—Yakobo 4:7, 8.
Ebiyamba Okugumiikiriza
10, 11. (a) Kiki ekyayamba Yobu okugumiikiriza? (b) Okubeera n’omuntu ow’omunda omulungi kyayamba kitya Yobu?
10 Wadde nga Yobu yali mu mbeera mbi nnyo, nga mw’otwalidde n’okuvumibwa ‘abo abeegamba nti baali bazze okumubudaabuda’ era nga tamanyi nsonga lwaki abonaabona, yasigala mwesigwa. Kiki kye tuyinza okuyigira ku bugumiikiriza bwe? Awatali kubuusabuusa ensonga enkulu eyamusobozesa okutuuka ku buwanguzi kwe kuba nti yali mwesigwa eri Yakuwa. ‘Yatya Katonda era ne yeewalanga obubi.’ (Yobu 1:1) Bw’atyo bwe yeeyisanga mu bulamu. Yobu teyeegaana Yakuwa wadde nga yali tategeera lwaki ebintu bimwonoonekedde. Yobu yakkiriza nti asaanidde okuweereza Katonda mu bulungi ne mu bubi.—Yobu 1:21; 2:10.
11 Okubeera n’omuntu ow’omunda omulungi nakyo kyabudaabuda Yobu. Mu kiseera we yawulirira ng’anaatera okufa, yabudaabudibwa bwe yamanya nti akoze kyonna ky’asobola okuyamba abalala, akuumye emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu era nga yeewaze okusinza kwonna okw’obulimba.—Yobu 31:4-11, 26-28.
12. Yobu yatwala atya obuyambi obwamuweebwa Eriku?
12 Kyo kituufu nti Yobu yali yeetaaga okuyambibwa okusobola okutereeza endowooza ye ku bintu ebimu. Era yakkiriza obuyambi obwamuweebwa—ekintu ekirala ekyamuyamba okugumiikiriza. Yobu yawuliriza bulungi okubuulirira kwa Eriku era yakkiriza obulagirizi obwamuweebwa okutereeza endowooza ye. Yagamba nti ‘n’ayatula ebyo bye saategeera.’ Era yayongerezaako nti ‘nneemenye ne nneenenya mu nfuufu n’evvu.’ (Yobu 42:3, 6) Wadde ng’obulwadde bwali bukyamuluma, Yobu yasanyuka kubanga enkyukyuka gye yakola mu ndowooza yamusobozesa okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. Yobu yagamba: “Mmanyi nga ggwe [Yakuwa] oyinza byonna.” (Yobu 42:2) Olw’okuba Yakuwa yamunnyonnyola bulungi ekitiibwa Kye, Yobu yategeera bulungi nti Omutonzi yali wa waggulu nnyo okumusinga.
13. Yobu yaganyulwa atya bwe yalaga abalala ekisa?
13 N’ekisembayo, Yobu assaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’okulaga abalala ekisa. Abo abeegamba okumubudaabuda bamulumya nnyo, naye Yakuwa bwe yamugamba okubasabira, yakikola. Oluvannyuma lw’ekyo, Yakuwa yawonya Yobu. (Yobu 42:8, 10) Mu butuufu, okusiba ekiruyi tekuyinza kutuyamba kugumiikiriza, wabula okwagala n’ekisa bye bijja okutuyamba. Obutasiba kiruyi kituleetera okubeera mu mbeera ennungi mu by’omwoyo era kitusobozesa okufuna emikisa gya Yakuwa.—Makko 11:25.
Abawi b’Amagezi Abalungi Batuyamba Okugumiikiriza
14, 15. (a) Kiki omuwi w’amagezi kye yandikoze ng’ayamba abalala? (b) Nnyonnyola lwaki Eriku yasobola okuyamba Yobu.
14 Ekirala kye tuyigira ku Yobu kiri nti kya muganyulo okubeera n’abawi b’amagezi abalungi. Abalinga abo, baba baluganda ‘abayambagana mu buyinike.’ (Engero 17:17) Kyokka, nga bwe kyali eri Yobu, abawi b’amagezi abamu bayinza okukulumya mu kifo ky’okukuzaamu amaanyi. Omuwi w’amagezi omulungi alina okukulumirirwa, okukussaamu ekitiibwa n’okukulaga ekisa nga Eriku bwe yakola. Abakadde n’Abakristaayo abalala abakuze mu by’omwoyo bayinza okuyamba ab’oluganda abalina ebizibu okukyusa endowooza zaabwe. Naye okusobola okukola ekyo obulungi, bayinza okweyambisa ebyo ebiri mu kitabo kya Yobu.—Abaggalatiya 6:1; Abaebbulaniya 12:12, 13.
15 Waliwo bingi bye tuyinza okuyigira ku ngeri Eriku gye yakwatamu ensonga. Yasooka kuwuliriza nga tannabaako ky’ayogera ku ndowooza enkyamu banne ba Yobu gye baalina. (Yobu 32:11; Engero 18:13) Eriku yakozesa erinnya lya Yobu era n’ayogera naye nga mukwano gwe. (Yobu 33:1) Okwawukana ku banne ba Yobu abeegamba okumubudaabuda, Eriku teyeetwala kuba wa waggulu ku Yobu. Eriku yagamba: “Era nange nabumbibwa okuva mu ttaka.” Teyayagala kwongera kunakuwaza Yobu ng’amala gakubawo bigambo. (Yobu 33:6, 7; Engero 12:18) Mu kifo ky’okuvumirira engeri Yobu gye yeeyisaamu emabega, Eriku yamusiima olw’obutuukirivu bwe. (Yobu 33:32) Ekisingawo n’obukulu, Eriku yatunuulira ebintu nga Katonda bw’abitunuulira era n’ayamba Yobu okutegeera nti Yakuwa tayinza kukola kitali kya bwenkanya. (Yobu 34:10-12) Yakubiriza Yobu okulindirira Yakuwa, mu kifo ky’okugezaako okulaga nti ye mutuukirivu. (Yobu 35:2; 37:14, 23) Mazima ddala, abakadde Abakristaayo n’abalala balina kye bayinza okuyigira ku ebyo.
16. Banne ba Yobu abasatu baakozesebwa batya Setaani?
16 Okubuulirira kwa Eriku okw’amagezi kwali kwa njawulo nnyo ku bigambo ebirumya ebya Erifaazi, Birudaadi, ne Zofali. Yakuwa yabagamba: ‘Temunjogeddeko bituufu.’ (Yobu 42:7) Wadde baagamba nti baalina ebiruubirirwa ebirungi, baali bakozesebwa Setaani so tebaali mikwano gya Yobu abeesigwa. Okuviira ddala ku ntandikwa, bonsatule baalowooza nti Yobu ye yali anenyezebwa olw’ebizibu ebyamutuukako. (Yobu 4:7, 8; 8:6; 20:22, 29) Okusinziira ku ebyo Erifaazi bye yayogera, Katonda teyeesiga baweereza be, era nti tafaayo oba tuli batuukirivu oba nedda. (Yobu 15:15; 22:2, 3) Ate era Erifaazi yavunaana Yobu ensobi z’ataakola. (Yobu 22:5, 9) Eriku, ku luuyi olulala yayamba Yobu mu by’omyoyo, era ekyo kye kyandibadde ekiruubirirwa ky’abawi b’amagezi abalungi.
17. Kiki kye tulina okumanya nga tugezesebwa?
17 Waliwo ekirala ekikwata ku bugumiikiriza kye tuyinza okuyiga okuva mu kitabo kya Yobu. Katonda waffe ow’okwagala amanyi bulungi embeera gye tulimu. Ayagala era asobola okutuyamba mu ngeri ezitali zimu. Emabegako twalabye ekyokulabirako kya Elsa Abt. Fumiitiriza ku bigambo bye yayogera ng’afundikira: “Nga tebannankwata, nnasoma ebbaluwa ya mwannyinaffe omu eyagamba nti bw’obeera mu mbeera enzibu ennyo, omwoyo gwa Yakuwa gukuyamba okukkakkana. Nnali ndowooza nti asavuwaza. Naye nange bwe nnayita mu bizibu, nnamanya nti kye yayogera kyali kituufu. Ddala bwe kityo bwe kibeera. Kizibu nnyo okukiteebereza nga tekinnakutuukako. Naye ddala ekyo kyennyini kye kyantuukako. Mazima ddala Yakuwa ayamba.” Elsa yali tayogera ku ebyo Yakuwa by’ayinza okukola oba bye yakola emyaka mingi egiyise emabega mu kiseera kya Yobu. Yali ayogera ku kiseera kyaffe. “Mazima ddala Yakuwa ayamba!”
Alina Essanyu Oyo Agumiikiriza
18. Yobu yaganyulwa atya olw’okubeera omugumiikiriza?
18 Batono ku ffe abajja okubonaabona nga Yobu. Naye ka bibe bizibu bya ngeri ki bye tujja okufuna mu nteekateeka y’ebintu eno, tulina ensonga ennywevu okukuuma obugolokofu bwaffe nga Yobu bwe yakola. Mu butuufu obugumiikiriza bwaganyula nnyo Yobu. Bwamuyamba okubeera n’engeri ezisingawo obulungi. (Yakobo 1:2-4) Bwanyweza enkolagana ye ne Katonda. Yobu yagamba: “Nnali nkuwuliddeko n’okuwulira okw’okutu; naye kaakano eriiso lyange likulaba.” (Yobu 42:5) Olw’okuba Yobu yakuuma obugolokofu bwe, kyalaga nti Setaani bye yayogera byali bya bulimba. Oluvannyuma lw’ebikumi n’ebikumi by’emyaka, Yakuwa yayogera ku kyokulabirako eky’obutuukirivu ekya Yobu. (Ezeekyeri 14:14) Ekyokulabirako kye eky’obugolokofu n’obugumiikiriza kizzaamu amaanyi abantu ba Katonda leero.
19. Lwaki owulira nti kya muganyulo okugumiikiriza?
19 Yakobo bwe yawandiikira Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka ebikwata ku bugumiikiriza, yayogera ku bumativu obuva mu kugumiikiriza. Era yakozesa ekyokulabirako kya Yobu okubajjukiza nti Yakuwa awa emikisa mingi abaweereza be abeesigwa. (Yakobo 5:11) Tusoma bwe tuti mu Yobu 42:12: “Awo Mukama n’awa omukisa enkomerero ya Yobu okukira entandikwa ye.” Katonda yakubisaamu emirundi ebiri Yobu bye yali afiiriddwa, era yawangaala ng’ali mu bulamu obw’essanyu. (Yobu 42:16, 17) Mu ngeri yemu, obulumi, okubonaabona n’ebizibu ebirala bye tuyinza okuba nga twolekagana nabyo mu kiseera kino eky’enkomerero, bijja kuggibwawo era byerabirwe mu nsi ya Katonda empya. (Isaaya 65:17; Okubikkulirwa 21:4) Tuwulidde okugumiikiriza kwa Yobu, era tuli bamalirivu, okukoppa ekyokulabirako kya Yobu nga tuyambibwako Yakuwa. Baibuli etusuubiza: “Alina omukisa omuntu agumiikiriza okukemebwa: kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu, Mukama waffe gye yasuubiza abamwagala.”—Yakobo 1:12.
Wandizzeemu Otya?
• Tuyinza tutya okusanyusa omutima gwa Yakuwa?
• Lwaki tetwandigambye nti ebizibu bye tufuna biraga nti Katonda tatusiima?
• Biki ebyayamba Yobu okugumiikiriza?
• Tuyinza tutya okukoppa Eriku nga tuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Omuwi w’amagezi omulungi alumirirwa abalala, abassaamu ekitiibwa, era abalaga ekisa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]
Elsa ne Harald Abt