Amagezi Ageesigika Agakwata ku Kukuza Abaana
“NNALINA emyaka 19 egy’obukulu, era nnali sibeera wamu n’ab’eŋŋanda zange, era saali mwetegefu okwetikka obuvunaanyizibwa okubeera omuzadde ,” bw’atyo Ruth bwe yayogera bwe yafuna olubuto lwe olwasookera ddala. Okuva bwe yali omwana yekka bazadde be gwe baalina, eky’okubeera omuzadde yali takirowoozangako. Yandiggye wa amagezi ageesigika?
Ku luuyi olulala, ye Jan, taata alina abaana ababiri abakulu agamba nti: “Mu kusooka nnali nneekakasa. Naye waayita akaseera katono ne nkitegeera nti nnali simanyi ngeri ya kukuzaamu baana.” Ka kibe nti okuviira ddala ku ntandikwa abazadde baba tebamanyi ngeri ya kukuzaamu baana oba nga batuuka mu maaso eyo ne basoberwa, ludda wa gye bayinza okufuna obuyambi bwe beetaaga okukuza abaana baabwe?
Leero, abazadde bangi banoonyereza ku Internet amagezi ge bayinza okweyambisa okukuza abaana baabwe. Kyokka, oyinza okwebuuza obanga amagezi agasangibwa ku Internet geesigika. Waliwo ensonga ennungi lwaki twandibadde beegendereza. Ddala abo abakuwa amagezi ku Internet obamanyi? Bo basobodde okukuza abaana baabwe obulungi? Awatali kubuusabuusa oteekwa okuba omwegendereza ku nsonga ezikwata ku maka go. Ebiseera ebimu, nga bwe twalabye mu kitundu ekivuddeko, n’amagezi abakugu ge bawa gayinza obutayamba. Kati olwo, ludda wa gye tuyinza okujja amagezi ageesigika?
Yakuwa Katonda Eyatandikawo amaka ye Nsibuko y’amagezi ag’okukuza abaana. (Abaefeso 3:15) Ye yekka, ye mukugu ku nsonga y’okukuza abaana. Mu kigambo kye, Baibuli, awa amagezi ageesigika era ag’omuganyulo. (Zabbuli 32:8; Isaaya 48:17, 18) Buvunaanyizibwa bwaffe okugassa mu nkola.
Abafumbo bangi baasabibwa boogere ekyabayamba okukuza abaana baabwe basobole okubeera abantu abatya Katonda nga bakuze. Bagamba nti ekyabasobozesa okukuza obulungi abaana baabwe kwe kuteeka mu nkola emisingi gya Baibuli. Baakisanga nti amagezi agali mu Baibuli geesigika nnyo kati nga bwe kyali mu kiseera nga Baibuli yakawandiikibwa.
Waayo Ekiseera Obeere Nabo
Catherine, maama ow’abaana ababiri bwe yabuuzibwa amagezi agaasinga okumuyamba, mangu ddala yajuliza Ekyamateeka 6:7. Olunyiriri olwo lugamba nti: “Onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo [Emisingi gya Baibuli], era onoobyogerangako bw’onootuulanga mu nnyumba yo, era bw’onootambuliranga mu kkubo, era bw’onoogalamiranga, era bw’onoogolokokanga.” Catherine yakimanya nti okusobola okugoberera okubuulirira okwo yalina okuwaayo ebiseera okubeera n’abaana be.
Oyinza okugamba nti, ekyo ‘kyangu okukyogera naye si kyangu kukikola.’ Olw’okuba kyetaagisa omwami n’omukyala okukola okusobola okuyimirizaawo amaka, abazadde ng’abo basobola batya okuwaayo ebiseera ebisingawo okubeera n’abaana baabwe? Torlief, alina mutabani we kati naye alina abaana ababe ku bubwe, agamba nti ekintu ekikulu ekiyinza okukuyamba okukola ekyo kwe kugoberera amagezi agali mu Ekyamateeka. Genda n’abaana bo buli yonna gy’ogenda, era ojja kufuna akakisa okwogerako nabo. “Nze ne mutabani wange twakoleranga wamu emirimu gy’awaka,” bw’atyo Torlief bw’agamba. “Fenna wamu ng’amaka twagendanga okutambulako. Ate era twaliiranga wamu emmere.” Agamba nti n’ekyavaamu, “mutabani waffe yatandika okutubuulira ebyabanga ku mutima gwe.”
Watya singa temuba na mpuliziganya nnungi? Oluusi kino kiyinza okubaawo abaana bwe bagenda bakula. Okuwaayo ebiseera ebimala okubeerako nabo kiyinza okukuyamba. Ken omwami wa Catherine agamba nti muwala waabwe bwe yayingira mu myaka egy’obutiini, yagambanga nti kitaawe yali tamuwuliriza. Abatiini bangi batera okugamba bwe batyo. Kiki Ken kye yali ayinza okukola? Agamba: “Nnasalawo okwongera ku biseera bye nnamalanga naye, nsobole okumanya by’alowooza, enneewulira ze n’ebyo ebimumalamu amaanyi. Ekyo kyali kya muganyulo nnyo.” (Engero 20:5) Kyokka, Ken agamba nti ensonga lwaki ekyo kyayamba eri nti baalinanga empuliziganya mu maka gaabwe. Agamba nti: “Twalina enkolagana ennungi ne muwala wange n’olwekyo tekyamuzibuwalira kwogera nange.”
Okunoonyereza okwakakolebwa kulaga nti, eky’abazadde obutabeera na baana baabwe kiseera kimala kikosa nnyo abatiini okusinga abazadde baabwe. Kati olwo, lwaki togoberera kubuulirira kwa Baibuli? Waayo ebiseera bingi nga bwe kisoboka okubeerako n’abaana bo—mu biseera byo eby’eddembe, ku mulimu, ng’oli waka oba nga mulina gye mugenda, ku makya nga muzuukuse n’ekiro nga tonnagenda kwebaka. Bwe kiba kisoboka, genda nabo buli wonna gy’olaga. Nga Ekyamateeka 6:7 bwe lulaga, kikulu nnyo okuwaayo ebiseera okubeerako n’abaana bo.
Bayigirize Emitindo gy’Empisa Ennungi
Mario, taata ow’abaana ababiri naye agamba bw’ati: “Mwagale nnyo abaana era mubasomere.” Kyokka, kino tekikoma ku kukubiriza baana bo kuba na busobozi bwa kulowooza kyokka, naye era olina okubayigiriza engeri y’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. Mario ayongera n’agamba nti: “Soma nabo Baibuli.”
N’olwekyo, Baibuli ekubiriza bw’eti abazadde: “Mulemenga kunyiizanga baana bammwe wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama.” (Abaefeso 6:4, Baibuli y’oluganda eya 2003) Mu maka mangi leero, tebateeka ssira ku kuyigiriza mpisa. Abamu balowooza nti abaana bwe bagenda bakula bajja kusobola okwesalirawo empisa ze banaagobereranga. Ekyo okiraba nga kya magezi? Ng’abaana bwe beetaaga emmere erimu ekiriisa okusobola okukula obulungi, era beetaaga n’okuweebwa obulagirizi obw’eby’omwoyo. Singa abaana bo tobayigiriza mitindo gya mpisa awaka, bajja kugoberera endowooza ya bayizi bannaabwe n’abasomesa baabwe oba ezo eziba ku mikutu gy’empuliziganya.
Baibuli esobola okuyamba abazadde okuyigiriza abaana baabwe engeri y’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. (2 Timoseewo 3:16, 17) Jeff, omukadde alina obumanyirivu era alina abaana ababiri, agamba nti kirungi okukozesa Baibuli okuyigiriza abaana emitindo gy’empisa. Ayongera n’agamba nti: “Okukozesa Baibuli kiyamba abaana okutegeera endowooza Omutonzi gy’alina ku nsonga emu so si ekyo maama ne taata kye balowooza. Bwe twakola bwe tutyo, twalaba engeri Baibuli gye yakwata ku birowoozo ne ku mitima gy’abaana baffe. Okusobola okukola ku nneeyisa oba endowooza enkyamu, twawaayo ebiseera okunoonya ekyawandiikibwa ekituukirawo. Oluvannyuma lw’okufuna ekyawandiikibwa ekyo, twayitanga omwana ne tumusaba okukisoma nga tuli naye ffeka. Emirundi mingi yakulukusanga amaziga. Kyatwewuunyisa nnyo. Baibuli yatuyamba nnyo okusinga ekintu kyonna kye twandirowoozezaako oba kye twandikoze.”
Abaebbulaniya 4:12 wagamba nti: “Ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi . . . era kyangu okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima.” N’olwekyo, obubaka obuli mu Baibuli si ndowooza bulowooza y’abantu oba ebyo abantu Katonda be yakozesa okugiwandiika bye baayitamu. Wabula erimu endowooza Katonda gy’alina ku nsonga ezikwata ku mpisa. Kino kifuula amagezi agagirimu okuba ag’enjawulo ku magezi amalala gonna agaweebwa. Bw’okozesa Baibuli okuyigiriza abaana bo, oba obayamba okufuna endowooza Katonda gy’alina ku nsonga. Okutendeka kwo kulina kinene nnyo kye kuyinza okukola, era ggwe ng’omuzadde osobola bulungi nnyo okutuuka ku mutima gw’omwana wo.
Catherine, gwe twayogeddeko waggulu akkiriziganya n’ensonga eyo. Agamba: “Embeera gye yakoma okuba enzibu, naffe gye twakoma okunoonya obulagirizi mu Kigambo kya Katonda—era kyatuyamba nnyo!” Osobola okweyongera okukozesa Baibuli ng’oyigiriza abaana bo engeri y’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu?
Tobeera Mukakanyavu
Omutume Pawulo ayogera ku musingi omulala omukulu oguyamba mu kukuza abaana. Yakubiriza Bakristaayo banne bw’ati: “Obutali bukakanyavu bwammwe bulabikenga eri abantu bonna.” (Abafiripi 4:5, NW) Mazima ddala ekyo kizingiramu okuleka abaana baffe okukitegeera nti tetuli bakakanyavu. Ate era kijjukire nti obutaba mukakanyavu kyoleka “amagezi agava waggulu.”—Yakobo 3:17.
Kati olwo obutaba mukakanyavu kikwatagana kitya n’okutendeka abaana baffe? Wadde nga tubawa obuyambi bwonna bwe tusobola, si ffe tubasalirawo buli kimu kye balina okukola. Ng’ekyokulabirako, Mario, eyayogeddwako waggulu era ng’ali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa agamba nti: “Twakubirizanga abaana baffe okubatizibwa, okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna n’okweteerawo ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo. Naye twakibalaga bulungi nti be baalina okwesalirawo ng’ekiseera kituuse.” Biki ebyavaamu? Abaana baabwe bombi kati baweereza ng’ababuulizi ab’ekiseera kyonna.
Mu Abakkolosaayi 3:21 Baibuli erabula bataata nti: “Temunyiizanga baana bammwe, balemenga okuddirira omwoyo.” Catherine omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, olunyiriri olwo alutwala nga lwa muwendo. Singa omuzadde alekera awo okuba omugumiikiriza, kiba kyangu nnyo okunyiiga oba okusuubira abaana okukola bye batasobola. Naye agamba, “abaana bo tobasuubira kukola ebyenkanankana n’ebyo ggwe by’okola.” Ayongera n’agamba nti: “Okuweereza Yakuwa kufuule ekintu eky’essanyu.”
Jeff, gwe twayogeddeko waggulu, agamba bw’ati: “Mukwano gwaffe yatugamba nti emirundi mingi yagaananga abaana be bye baamusabanga. Kino kyanyiizanga nnyo abaana be era ne bawulira nga banyigirizibwa. Okusobola okwewala ekyo, yatugamba nti tulina okunoonya engeri y’okukkirizzaangamu bye baba batusabye.”
Jeff era agamba nti “ago gaali magezi malungi. Twakubiriza abaana baffe okukola ebintu n’abantu abalala mu mbeera ze twalaba nga nnungi. N’olwekyo, twabatuukiriranga era ne tubagamba nti: ‘Mubadde mukimanyi nti gundi akola ekintu kino? Lwaki nammwe temugenda ne mukikolera wamu naye?’ Oba abaana bwe baatusaba okubaako we tubatwala, twewalirizanga okugenda ne bwe twabanga tukooye. Kino twakikolanga okusobola okwewala okugaana kye batusabye.” Ekyo kye kitegeeza obutaba mukakanyavu—okuba omwenkanya, okufaayo ku balala, n’obutakalambira ku nsonga kyokka nga tewekkiriranya misingi gya Baibuli.
Emiganyulo Egiva mu Magezi Ageesigika
Kati bangi ku bafumbo abo bajjajja. Basanyuka nnyo okulaba ng’abaana baabwe bagoberera emisingi gya Baibuli gye gimu nga bakuza abaana baabwe. Osobola okuganyulwa mu magezi agaweebwa mu Baibuli?
Ruth, eyayogeddwako mu ntandikwa, bwe yafuuka omuzadde, ye ne mwami we emirundi egimu baawulira ng’abatalina buyambi. Naye si bwe kyali. Baalina amagezi agasingirayo ddala obulungi okuva mu Kigambo kya Katonda, Baibuli. Abajulirwa ba Yakuwa bakubye ebitabo bingi nnyo ebirungi ebyesigamiziddwa ku Baibuli ebiyinza okuyamba abazadde. Bino bizingiramu Learn From the Great Teacher, Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli, Questions Young People Ask—Answers That Work, ne The Greatest Man Who Ever Lived. Torlief, omwami wa Ruth, agamba nti: “Leero abazadde basobola okufuna amagezi mangi ageesigamiziddwa ku Baibuli okuva mu bitabo ng’ebyo. Singa bakozesa amagezi ago, basobola okumanya engeri y’okuyambamu abaana baabwe nga bagenda bakula.”
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Abakugu kye boogera . . . Baibuli ky’eyogera
Ku Kulaga Okwagala:
Mu kitabo, The Psychological Care of Infant and Child (1928), Dr. John Broadus Watson akubiriza bw’ati abazadde: “Tonywegera era towambaatira” baana bo. “Tobakkirizanga kutuula ku mubiri gwo.” Kyokka, gye buvuddeko awo, Dr. Vera Lane ne Dorothy Molyneaux baagamba bwe bati mu magazini eyitibwa Our Children (eya Maaki 1999): “Okunoonyereza kulaga nti abaana bwe batalagibwa bikolwa bya kwagala tebakula bulungi.”
Okwawukana ku ekyo, Isaaya 66:12 lulaga nti Katonda alaga abantu be ebikolwa eby’okwagala. Mu ngeri y’emu, abayigirizwa ba Yesu bwe baali bagezaako okugaana abantu okuleeta abaana abato gy’ali, yabagamba nti: “Mukkirize abaana abato bajje gyendi; so temubagaana.” Bwe yamala okwogera ebyo, ‘yawambaatira abaana n’abawa omukisa era n’abassaako emikono.’—Makko 10:14, 16.
Ku Kuyigiriza Emitindo gy’Empisa Ennungi:
Mu kitundu ekyafulumira mu katabo akayitibwa New York Times Magazine akaafulumizibwa mu 1969, Dr. Bruno Bettelheim yakiggumiza nti omwana “wa ddembe okuba n’endowooza eyiye ku bubwe, nga tagifunye kuva [ku bazadde be] wabula ng’agifuna okuva mu ebyo by’ayiseemu mu bulamu.” Kyokka, oluvannyuma lw’emyaka nga 30, Dr. Robert Coles, eyawandiika akatabo akayitibwa The Moral Intelligence of Children (1997), yagamba nti: “Abaana beetaaga nnyo okuba n’ekigendererwa mu bulamu okufuna obulagirizi, n’okuba n’emitindo gy’empisa egy’okugoberera” egisiimibwa bazadde baabwe n’abantu abalala abakulu.
Engero 22:6 lukubiriza abazadde nti: “Manyiiza [“tendeka,” NW] omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.” Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “tendeka” era kitegeeza “okutandika” era wano kitegeeza okutandika okuyigiriza omwana omuwere. N’olwekyo, abazadde bakubirizibwa okutandika okuyigiriza abaana baabwe emitindo gy’empisa okuviira ddala mu buwere. (2 Timoseewo 3:14, 15) Ebyo abaana bye bayiga mu myaka egisooka, tebajja kubivaako.
Ku Kukangavvula:
Dr. James Dobson yawandiika bw’ati mu kitabo kye ekiyitibwa The Strong-Willed Child (1978): “Okukubibwa omuzadde omwagazi, eba ngeri ey’okuyigiriza omwana okwewala empisa embi.” Ku luuyi olulala, mu kitundu ekyaggyibwa mu kitabo ekiyitibwa Baby and Child Care (1998), Dr. Benjamin Spock yagamba: “Okukuba kuyigiriza abaana nti, omuntu omukulu era ow’amaanyi alina obuyinza okukola kyonna ky’ayagala k’abe nga mutuufu oba mukyamu.”
Ku bikwata ku kukangavvula, Baibuli egamba nti: “Omuggo n’okunenya bireeta amagezi.” (Engero 29:15) Kyokka, tekiri nti abaana bonna beetaaga okukubibwa. Engero 17:10 lutugamba nti: “Okunenya kuyingira nnyo mu nnyini kutegeera okusinga emiggo kikumi bwe giyingira mu musirusiru.”
[Ekifaananyi]
Kozesa Baibuli okutuuka ku mutima
Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7
Abazadde ab’amagezi bakola enteekateeka okusobola okusanyukirako awamu n’abaana baabwe