LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 12/1 lup. 18-22
  • Yagala Katonda Akwagala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yagala Katonda Akwagala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obukulu bw’Okwagala
  • Tuyinza Tutya Okulaga Yakuwa Okwagala
  • Ensonga Lwaki Twandyagadde Yakuwa
  • Okweyongera Okwagala Katonda
  • “Oteekwa Okwagala Yakuwa Katonda Wo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Muzimbibwe Okwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Tokkiriza Kwagala Kwo Kuwola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • “Mutambulirenga mu Kwagala”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 12/1 lup. 18-22

Yagala Katonda Akwagala

“N’amugamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.”​—MATAYO 22:37.

1, 2. Kiki ekyaviirako okubuuza ekibuuzo ekikwata ku tteeka erisinga obukulu?

KIRABIKA ekibuuzo ekyabuuzibwa kyabobbya omutwe Abafalisaayo abaaliwo mu kiseera kya Yesu. Mu mateeka ga Musa agasukka mu 600, liriwa eryali lisinga obukulu? Lyali teeka erikwata ku kuwaayo ebiweebwayo? Mazima ddala ebiweebwayo ebyo byasobozesanga omuntu okusonyiyibwa ebibi bye n’okwebaza Katonda. Oba eteeka erisinga obukulu lyali likwata ku kukomola? Ekyo nakyo kikulu okuva okukomola bwe kaali akabonero ak’endagaano Yakuwa gye yakola ne Ibulayimu.​—Olubereberye 17:9-13.

2 Ku luuyi olulala, abo abaali bagoberera obutiribiri empisa ez’obuwangwa baagamba nti, buli teeka lya Katonda kkulu nnyo​—wadde nga agamu gaalabika ng’agatali makulu​—kyali kikyamu okukitwala nti eteeka erimu lisinga amalala obukulu. Abafalisaayo baasalawo okubuuza Yesu ekibuuzo ekyo ekyali kibabobbya omutwe. Oboolyawo baasuubira nti yandyogedde ekintu ekyandireetedde abantu okumuggyamu obwesige. Omu ku bo yatuukirira Yesu n’amubuuza nti: “Ekiragiro ekikulu mu mateeka kiruwa?”​—Matayo 22:34-36.

3. Tteeka ki Yesu lye yagamba nti lye lisinga obukulu?

3 Ekyo Yesu kye yaddamu, kikulu nnyo gye tuli leero. Ekyo kye yaddamu, kyawumbawumbako ensonga enkulu ekwata ku kusinza okw’amazima. Ng’ajuliza Ekyamateeka 6:5, Yesu yagamba: “‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ Kino kye kiragiro ekikulu eky’olubereberye.” Wadde nga Omufalisaayo yali ayagala okumanya etteeka limu, Yesu yamuwa n’eddala. Ng’ajuliza Eby’Abaleevi 19:18, yagamba: “N’eky’okubiri ekikifaanana kye kino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe yeeyagala wekka.” Awo Yesu n’alaga nti okusinza okw’amazima kwesigamiziddwa ku mateeka gano abiri. Ng’ayagala okumuziyiza aleme kumugamba agamenye nga bwe gagenda gaddiriŋŋana mu bukulu, Yesu yawunzika bw’ati: “Mu biragiro bino byombi amateeka gonna mwe gasinziira, era ne bannabbi.” (Matayo 22:37-40) Mu kitundu kino, tujja kwekenneenya erisinga obukulu ku mateeka gano abiri. Lwaki tuteekwa okwagala Katonda? Tuyinza tutya okulaga nti tumwagala? Era tuyinza tutya okulaakulanya okwagala ng’okwo? Kikulu okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo bino kubanga okusobola okusanyusa Yakuwa tuteekwa okumwagala n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna n’amagezi go gonna.

Obukulu bw’Okwagala

4, 5. (a) Lwaki Omufalisaayo teyeewuunya ekyo Yesu kye yamuddamu? (b) Kiki Katonda ky’atwala nga kya muwendo okusinga ssaddaaka n’ebiweebwayo?

4 Kirabika Omufalisaayo eyabuuza Yesu teyasoberwa wadde okwewuunya olw’ekyo Yesu kye yaddamu. Yakimanya nti okwagala Katonda kyali kintu kikulu nnyo mu kusinza okw’amazima wadde nga bangi baali baalemererwa okukwoleka. Mu makuŋŋaaniro, yali mpisa okudiŋŋana mu ddoboozi eriwulikika essaala y’Abayudaaya, era yalimu ebigambo ebisangibwa mu Ekyamateeka 6:4-9, Yesu bye yajuliza. Okusinziira ku bigambo ebifaanaganako n’ebyo ebiri mu Makko, Abafalisaayo baagamba Yesu nti: “Omuyigiriza, oyogedde bulungi nga Katonda ali omu. So tewali mulala wabula ye: n’okumwagala n’omutima gwonna, n’okutegeera kwonna, n’amaanyi gonna, n’okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka kusinga nnyo ebiweebwayo byonna ebiramba ebyokebwa ne ssaddaaka.”​—Makko 12:32, 33.

5 Mazima ddala wadde nga ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka byali byetaagibwa mu Mateeka, ekintu ekyali kisinga obukulu eri Katonda gwe mutima gw’abaweereza be ogukubirizibwa okwagala. Enkazaluggya eyaweebwangayo n’okwagala eri Katonda, yali ya muwendo nnyo okusinga enkumi n’enkumi z’endiga ezaaweebwangayo n’ekiruubirirwa ekikyamu. (Mikka 6:6-8) Jjukira nnamwandu Yesu gwe yeetegereza mu yeekaalu y’omu Yerusaalemi. Obusente obubiri bwe yasuula mu ggwanika bwali tebusobola kugula wadde enkazaluggya emu. Kyokka, ekyo kye yawaayo eri Yakuwa n’omutima ogukubirizibwa okwagala, kyali kya muwendo nnyo okusinga ekinene abagagga kye baawaayo ku bibafikkiridde. (Makko 12:41-44) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti okwagala ffenna kwe tuyinza okumulaga ka tubeere mu mbeera ki, Yakuwa kwasinga okutwala nga kwa muwendo!

6. Kiki Pawulo kye yawandiika ku bikwata ku bukulu bw’okwagala?

6 Ng’alaga obukulu bw’okwagala, omutume Pawulo yagamba: “Bwe njogera n’ennimi z’abantu n’eza bamalayika, naye ne ssiba na kwagala, nga nfuuse ekikomo ekivuga n’ebitaasa ebisaala. Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna n’okutegeera kwonna; era bwe mba n’okukkiriza kwonna, n’okuggyawo n’enziggyawo ensozi; naye ne ssiba na kwagala, nga ssiri kintu. Era bwe ngabira abaavu bye nnina byonna okubaliisanga, era bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye ne siba na kwagala, nga siriiko kye ngasizza.” (1 Abakkolinso 13:1-3) Kya lwatu, kyetaagisa okuba n’okwagala okusinza kwaffe bwe kuba okw’okusanyusa Katonda. Kyokka, tuyinza tutya okulaga Yakuwa okwagala?

Tuyinza Tutya Okulaga Yakuwa Okwagala

7, 8. Tuyinza tutya okulaga Yakuwa okwagala?

7 Bangi balowooza nti okwagala nneewulira gye tutasobola kufuga mu bujjuvu; abantu bagamba nti muli oyinza okuwulira ng’otandise okwagala omuntu. Kyokka, okwagala okwa nnamaddala, si nneewulira bwewulizi gye tuba nayo. Kuzingiramu okwoleka ebikolwa. Baibuli eyogera ku kwagala nga ‘ekkubo erisingira ddala obulungi’ era ng’ekintu kye tuyinza ‘okuluubirira.’ (1 Abakkolinso 12:31; 14:1) Abakristaayo bakubirizibwa okwagala, si ‘mu bigambo ne mu lulimi, wabula mu bikolwa ne mu mazima.’​—1 Yokaana 3:18.

8 Okwagala Katonda kutukubiriza okukola ebimusanyusa n’okuwagira obufuzi bwe mu bigambo ne mu bikolwa. Kutukubiriza okwewala okwagala ensi n’amakubo gaayo ag’obutatya Katonda. (1 Yokaana 2:15, 16) Abo abaagala Katonda bakyawa ekibi. (Zabbuli 97:10) Okwagala Katonda era kuzingiramu okwagala muliraanwa ekintu kye tujja okwogerako mu kitundu ekiddako. Ate era, okwagala Katonda kutwetaagisa okuba abawulize. Baibuli egamba: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye.”​—1 Yokaana 5:3.

9. Yesu yalaga atya nti ayagala Katonda?

9 Yesu yalaga bulungi nnyo kye kitegeeza okwagala Katonda. Okwagala kwamukubiriza okuleka amaka ge ag’omu ggulu n’ajja n’abeera ku nsi ng’omuntu. Kwamukubiriza okugulumiza Kitaawe okuyitira mu bintu bye yakola era ne bye yayigiriza. Okwagala kwamukubiriza okuba ‘omuwulize okutuusa okufa.’ (Abafiripi 2:8) Obuwulize obwo​—ekikolwa ekyoleka okwagala​—bwaggulirawo abeesigwa ekkubo ery’okuba n’ennyimirira ennungi ne Katonda. Pawulo yawandiika: “Olw’obutawulira bw’omuntu omu oli [Adamu] abangi bwe bafuuka ababi, bwe kityo n’olw’okuwulira kw’oyo omu [Kristo Yesu] abangi balifuuka abatuukirivu.”​—Abaruumi 5:19.

10. Lwaki okwagala Katonda kuzingiramu obuwulize?

10 Okufaananako Yesu, twoleka okwagala kwaffe nga tuba bawulize eri Katonda. Yokaana, omutume wa Yesu omwagala yawandiika: “Kuno kwe kwagala [kye kutegeeza,] okutambuliranga mu biragiro bye.” (2 Yokaana 6) Abo abaagala Yakuwa baagala okugoberera obulagirizi bwe. Nga bakimanyi nti tebasobola kuluŋŋamya bigere byabwe, beesiga amagezi ga Katonda era ne bagoberera obulagirizi bwe. (Yeremiya 10:23) Balinga ab’omu Beroya eky’edda ab’emitima emirungi, abakkiriza obubaka bwa Katonda “n’omwoyo omwangu,” nga baagala okukola Katonda by’ayagala. (Ebikolwa 17:11) Beekenneenya Ebyawandiikibwa okusobola okutegeera Katonda by’ayagala mu bujjuvu, ekintu ekyabayamba okwongera okwoleka okwagala okuyitira mu bikolwa ebirala eby’obuwulize.

11. Kitegeeza ki okwagala Katonda n’omutima gwaffe gwonna, amagezi gaffe gonna, obulamu bwaffe bwonna n’amaanyi gaffe gonna?

11 Yesu yagamba nti okwagala Katonda kuzingiramu okumwagala n’omutima gwaffe gwonna, n’amagezi gaffe gonna, n’obulamu bwaffe bwonna n’amaanyi gaffe gonna. (Makko 12:30) Okwagala ng’okwo kusibuka mu mutima​—kuzingiramu enneewulira yaffe, bye twagala n’ebirowoozo byaffe​—era twagala nnyo okusanyusa Yakuwa. Tukozesa obusobozi bwaffe obw’okulowooza mu kwoleka okwagala. Tekiri nti okwagala kwaffe tekwesigamiziddwa ku kumanya; tutegedde Yakuwa​—engeri ze, emitindo gye n’ebigendererwa bye. Tukozesa obulamu bwaffe bwonna okumuweereza n’okumutendereza. Era tukozesa n’amaanyi gaffe okumuweereza n’okumutendereza.

Ensonga Lwaki Twandyagadde Yakuwa

12. Lwaki Katonda ayagala tumwagale?

12 Ensonga emu lwaki twandyagadde Yakuwa eri nti ayagala twoleke engeri ze. Katonda ye nsibuko y’okwagala era kye kyokulabirako ekisingirayo ddala eky’okwagala. “Katonda kwagala,” bw’atyo omutume Yokaana eyaluŋŋamizibwa bwe yagamba. (1 Yokaana 4:8) Abantu baatondebwa mu kifaananyi kya Katonda; twakolebwa nga tusobola okwoleka okwagala. Mu butuufu, obufuzi bwa Yakuwa bwesigamiziddwa ku kwagala. Ayagala abo banaafuga okumuweereza olw’okuba bamwagala era nga baagala engeri ennungi gy’afugamu. Mazima ddala, okwagala kwetaagisa nnyo ebitonde bye bwe biba eby’okuba mu mirembe era obumu.

13. (a) Lwaki Abaisiraeri baagambibwa nti: ‘Mwagale Yakuwa Katonda wammwe’? (b) Lwaki kituukirawo nti Yakuwa atusuubira okumwagala?

13 Ensonga endala lwaki twagala Yakuwa eri nti tusiima ebyo by’atukoledde. Jjukira nti Yesu yagamba Abayudaaya: ‘Muteekwa okwagala Yakuwa Katonda wammwe.’ Baali tebasuubirwa kwagala katonda atafaayo era atamanyiddwa. Baali baakwagala Katonda eyali abalaze okwagala. Yakuwa yali Katonda waabwe. Ye yali abaggye mu Misiri n’abatwala mu Nsi Ensuubize, Ye yabakuuma, Ye yababeesawo, n’abalaga okwagala era n’abakangavvula mu kwagala. Era leero, Yakuwa ye Katonda waffe, eyawaayo Omwana we ng’ekinunulo tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo. Kituukirawo okuba nti Yakuwa atusuubira okumwagala! Tulaga okwagala olw’okuba naffe batulaze okwagala; tusabibwa okwagala Katonda atwagala. Twagala Oyo ‘eyasooka okutwagala.’​—1 Yokaana 4:19.

14. Mu ngeri ki okwagala kwa Yakuwa gye kufaananako okwagala kw’omuzadde ow’okwagala?

14 Okwagala kwa Yakuwa eri abantu kufaananako okw’omuzadde ayagala abaana be. Wadde nga tebatuukiridde, abazadde abalina okwagala, balafuubana okumala emyaka mingi nga balabirira abaana baabwe, nga beefiiriza ssente n’ebirala bingi. Abazadde bayigiriza, bazzaamu amaanyi, bawagira era bakangavvula abaana baabwe kubanga baagala babe basanyufu era batuuke ku buwanguzi. Kiki abazadde kye basuubira okuva eri abaana baabwe? Baagala abaana baabwe okubaagala n’okukolera ku bye babayigiriza basobole okuganyulwa. Kiba tekituukirawo okuba nti Kitaffe ow’omu ggulu atusuubira okumusiima olw’ebyo byonna by’atukoledde?

Okweyongera Okwagala Katonda

15. Kiki kye wandisoose okukola ng’oyagala okulaakulanya okwagala eri Katonda?

15 Tetulabanga ku Katonda wadde okuwulira eddoboozi lye. (Yokaana 1:18) Kyokka, ayagala tubeere n’enkolagana ennungi naye. (Yakobo 4:8) Kino tusobola tutya okukikola? Ekintu ky’osooka okukola ng’oyagala okwagala omuntu, kwe kumanya ebikwata ku muntu oyo; kizibu nnyo okwagala omuntu gw’otomanyi. Yakuwa atuwadde Ekigambo kye, Baibuli, tusobole okuyiga ebimukwatako. Eyo ye nsonga lwaki okuyitira mu kibiina kye, Yakuwa atukubiriza okusoma Baibuli obutayosa. Baibuli y’etuyigiriza ebikwata ku Katonda, engeri ze, awamu n’engeri gye yakolaganamu n’abantu be okumala enkumi n’enkumi z’emyaka. Bwe tufumiitiriza ku bintu ng’ebyo, tweyongera okumutegeera n’okumwagala.​—Abaruumi 15:4.

16. Okufumiitiriza ku buweereza bwa Yesu kwongera kutya ku kwagala kwe tulina eri Katonda?

16 Engeri enkulu mwe tuyinza okuyitira okweyongera okwagala Yakuwa, kwe kufumiitiriza ku bulamu n’obuweereza bwa Yesu. Mu butuufu, Yesu yakoppera ddala Kitaawe n’atuuka n’okugamba nti: “Alabye ku nze, ng’alabye ku Kitange.” (Yokaana 14:9) Tokwatibwako nnyo olw’ekisa Yesu kye yalaga bwe yazuukiza mutabani wa nnamwandu? (Lukka 7:11-15) Tekisanyusa nnyo okukimanya nti​—Omwana wa Katonda era omusajja eyasingirayo ddala okwatiikirira eyali abaddewo​—yanaaza ebigere by’abayigirizwa be? (Yokaana 13:3-5) Tokwatibwako nnyo bw’okimanya nti wadde yali mukulu era wa magezi okusinga omuntu omulala yenna, abantu bonna baali basobola okumutuukirira nga mw’otwalidde n’abaana? (Makko 10:13, 14) Bwe tufumiitiriza ku bintu bino, tufuuka ng’Abakristaayo Peetero be yawandiikira nti: ‘Wadde nga Yesu temwamulabako, mumwagala.’ (1 Peetero 1:8) Okwagala kwe tulina eri Yesu bwe kugenda kweyongera, n’okwo kwe tulina eri Yakuwa nakwo kugenda kweyongera.

17, 18. Bintu ki Yakuwa by’atuwadde bye tuyinza okufumiitirizaako ne tweyongera okumwagala?

17 Engeri endala mwe tuyinza okuyitira okweyongera okwagala Katonda, kwe kufumiitiriza ku bintu bye yatuwa ebitusobozesa okunyumirwa obulamu​—ebitonde ebirabika obulungi, ebika by’emmere ewooma ebingi ennyo, emikwano emirungi, awamu n’ebintu ebirala bingi nnyo ebisanyusa era ebimatiza. (Ebikolwa 14:17) Gye tukoma okuyiga ebikwata ku Katonda waffe, gye tukoma okusiima obulungi bwe obw’ekitalo n’obugabi bwe. Lowooza ku bintu byonna Yakuwa by’akukoledde kinnoomu. Tokkiriza nti tusaanidde okumulaga okwagala?

18 Mu birabo ebingi Katonda by’atuwadde, mwe muli n’eky’omutuukirira mu kusaba ekiseera kyonna, nga tukimanyi nti ‘oyo awulira okusaba’ awuliriza nga tumusaba. (Zabbuli 65:2) Yakuwa awadde Omwana we omwagala obuyinza obw’okufuga n’okusala omusango. Kyokka, obuvunaanyizibwa obw’okuwulira okusaba, tabuwadde muntu mulala yenna wadde Omwana we. Ye kennyini awuliriza okusaba kwaffe. Olw’okuba Yakuwa atwagala era nga atufaako, kituleetera okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere naye.

19. Bisuubizo ki ebya Yakuwa ebituleetera okumwagala?

19 Era tweyongera okwagala Yakuwa bwe tulowooza by’ateekeddeteekedde abantu mu biseera eby’omu maaso. Asuubiza okukomya obulwadde, ennaku n’okufa. (Okubikkulirwa 21:3, 4) Omuntu bw’aliddamu okubeera atuukiridde tewali n’omu ajja kuba mwennyamivu, okuggwaamu amaanyi, oba okutuukibwako akatyabaga. Waliba tewakyaliwo njala, bwavu n’entalo. (Zabbuli 46:9; 72:16) Ensi ejja kufuulibwa Olusuku lwa Katonda. (Lukka 23:43) Yakuwa ajja kutuwa emikisa egyo si lwa kuba ateekeddwa okukikola naye lwa kuba atwagala.

20. Kiki Musa kye yayogera ku muganyulo oguli mu kwagala Yakuwa?

20 N’olwekyo, tulina ensonga ennungi okweyongera okwagala Katonda. Oneeyongera okunyweza okwagala kwo eri Katonda era n’omuleka aluŋŋamye amakubo go? Kiri eri ggwe okusalawo eky’okukola. Musa yategeera emiganyulo egiri mu kwagala Yakuwa. Abaisiraeri ab’edda yabagamba bw’ati: ‘Weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n’ezzadde lyo: ng’oyagalanga Mukama Katonda wo, ng’ogonderanga eddoboozi lye, era ng’omunywererako: kubanga oyo bwe bulamu bwo, era kwe kuwangaala ennaku zo.’​—Ekyamateeka 30:19, 20.

Okyajjukira?

• Lwaki kikulu okwagala Yakuwa?

• Tuyinza tutya okulaga Katonda okwagala?

• Nsonga ki ezituleetera okwagala Yakuwa?

• Tuyinza tutya okukulaakulanya okwagala Katonda?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Yakuwa asiima nnyo ffenna kye tuyinza okwoleka​—okwagala kwe tumulaga

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]

“Alabye ku nze, ng’alabye ku Kitange.”​—Yokaana 14:9

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share