Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Isaaya—II
ISAAYA akola omulimu gwe ogw’obwannabbi n’obwesigwa. Emisango gye yalangirira ku bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi gimaze okutuukirira. Kati alina by’agenda okulangirira ebijja okutuuka ku Yerusaalemi mu kiseera eky’omu maaso.
Ekibuga Yerusaalemi kijja kuzikirizibwa, era abantu baamu bajja kutwalibwa mu buwambe. Naye tekijja kusigala matongo lubeerera. Oluvannyuma lw’ekiseera, okusinza okw’amazima kujja kuzzibwawo. Buno bwe bubaka obukulu obuli mu Isaaya 36:1–66:24.a Tujja kuganyulwa mu kwekenneenya essuula zino kubanga obunnabbi bungi obuzirimu butuukirizibwa ku kigera ekinene mu kiseera kyaffe oba bunaatera okutuukirizibwa. Essuula zino ez’ekitabo kya Isaaya zirimu n’obunnabbi obukwata ku Masiya.
“LABA, ENNAKU ZIJJA”
Mu mwaka 14 ogw’obufuzi bwa Kabaka Keezeekiya (732 B.C.E.), Bwasuli alumba Yuda. Yakuwa asuubiza okulwanirira Yerusaalemi. Obulumbaganyi buno bukomezebwa nga malayika wa Yakuwa omu yekka atta abaserikale ba Bwasuli 185,000.
Keezeekiya alwala. Yakuwa addamu okusaba kwe n’amuwonya, era amwongerayo emyaka 15. Kabaka wa Babulooni bw’asindika ababaka okumukulisa obulwadde, Keezeekiya akola ekintu ekitali kya magezi n’abalaga eby’obugagga bye byonna. Isaaya aleetera Keezeekiya obubaka okuva eri Yakuwa ng’agamba nti: “Laba, ennaku zijja byonna ebiri mu nnyumba yo n’ebyo bakitaawo bye baaterekanga okutuusa leero lwe biritwalibwa e Babulooni.” (Isaaya 39:5, 6) Nga waakayita emyaka egisukka mu 100, obunnabbi buno butuukirizibwa.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
38:8—“Madaala” ki ekisiikirize kwe kyakkira okuddayo emabega? Okuva bwe kyali nti ebipimo by’essawa byali bikozesebwa mu Misiri ne Babulooni mu kyasa eky’omunaana B.C.E., amadaala gano gayinza okutegeeza ebipimo by’essawa Akazi kitaawe wa Keezeekiya by’ayinza okuba nga yafuna. Oba kiyinzika okuba nga waliwo amadaala munda mu lubiri. Empagi eyalinga ku madaala ago yagendanga egakubako ekisiikirize kyayo okwasinziirwanga okupima ebiseera.
Bye Tuyigamu:
36:2, 3, 22. Wadde nga yagobebwa ku buwanika, Sebuna yakkirizibwa okusigala nga aweereza kabaka ng’omuwandiisi we. (Isaaya 22:15, 19) Singa tuggibwako obuvunaanyizibwa mu kibiina kya Yakuwa olw’ensonga ezitali zimu, tunnakkiriza okweyongera okuweereza Katonda mu kifo ekirala kyonna ky’atuwadde?
37:1, 14, 15; 38:1, 2. Mu biseera ebizibu, kiba kya magezi okutuukirira Yakuwa mu kusaba era ne tumussaamu obwesige bwaffe bwonna.
37:15-20; 38:2, 3. Bwasuli bwe yatiisatiisa okulumba Yerusaalemi, Keezeekiya kye yasinga okulowoozaako kwe kuba nti okuwambibwa kwakyo kwandireese ekivume ku linnya lya Yakuwa. Keezeekiya bwe yakitegeera nti obulwadde obwali bumukutte bwali bwa kumutta, kyamuluma nnyo okulaba nti yali agenda kufa nga talina musika, ekintu ekyandikomezza olunyiriri lwa Dawudi olw’obwakabaka. Ate era yali tamanyi ani yali agenda kuduumira ggye eryali ligenda okwaŋŋanga Bwasuli. Okufaananako Keezeekiya, naffe tutwala okutukuzibwa kw’erinnya lya Yakuwa n’okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kye nga bikulu okusinga obulokozi bwaffe.
38:9-20. Oluyimba lwa Keezeekiya lutuyigiriza nti ekisinga obukulu mu bulamu kwe kutendereza Yakuwa.
“KIRIZIMBIBWA”
Amangu ddala ng’amaze okulagula okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi n’okutwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni, Isaaya alagula nti kijja kuddamu okuzimbibwa. (Isaaya 40:1, 2) Isaaya 44:28 Iugamba nti Yerusaalemi “kirizimbibwa.” Ebifaananyi bya Babulooni bijja kwetikkibwa ‘ng’emigugu.’ (Isaaya 46:1) Babulooni kijja kuzikirizibwa. Bino byonna bituukirira nga wayiseewo ebyasa bibiri.
Yakuwa ajja kuwaayo omuddu we “okuba omusana eri amawanga.” (Isaaya 49:6) “Eggulu” lya Babulooni, oba abafuzi baakyo, “lirivaawo ng’omukka” era abantu baakyo “balifa bwe batyo”; naye ‘muwala wa Sayuuni eyanyagibwa ajja kwesumulula enjegere ez’omu bulago bwe.’ (Isaaya 51:6; 52:2) Abo abajja eri Yakuwa okumuwuliriza abagamba: “Nange nnaalagaana nammwe endagaano eteriggwaawo, kwe kusaasira kwa Dawudi okw’enkalakkalira.” (Isaaya 55:3) Okutambulira ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu kireetera omuntu “okusanyukira Mukama.” (Isaaya 58:14) Ku luuyi olulala, ensobi z’abantu ‘zibaleetera okwawukana ne Katonda waabwe.’—Isaaya 59:2.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
40:27, 28—Lwaki Isiraeri yagamba nti: “Ekkubo lyange likwekeddwa Mukama, n’omusango gwange guyise ku Katonda wange”? Abayudaaya abamu abaali mu Babulooni bayinza okuba nga bawulira nti Yakuwa yali tafaayo ku kubonaabona kwabwe. Bajjukizibwa nti wadde nga baali Babulooni, Omutonzi w’ensi atakoowa yali asobola okubayamba.
43:18-21—Lwaki abaali bakomawo okuva mu buwaŋŋanguse bagambibwa ‘obutajjukira ebyasooka okubaawo’? Kino kyali tekitegeeza nti baalina okwerabira ebikolwa bya Yakuwa eby’edda eby’obununuzi. Wabula Yakuwa yali ayagala bamutendereze nga basinziira ku ‘kintu ekiggya’ kye bandyerabiddeko gamba ng’okutuuka emirembe nga bakomawo e Yerusaalemi, oboolyawo nga bakozesa ekkubo eryayitanga obutereevu mu ddungu. ‘Ab’ekibiina ekinene’ abava mu “kibonyoobonyo ekinene” nabo bajja kulaba ekintu ekipya ekijja okubaleetera okutendereza Yakuwa.—Okubikkulirwa 7:9, 14.
49:6—Mu ngeri ki Masiya gyali “omusana eri amawanga,” wadde nga obuweereza bwe ku nsi bwakoma mu Isiraeri mwokka? Kino kiri bwe kityo olw’ekyo ekyaliwo oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu. Baibuli eraga nti ebiri mu Isaaya 49:6 byatuukirizibwa ku bayigirizwa be. (Ebikolwa 13:46, 47) Leero, Abakristaayo abaafukibwako amafuta, nga bayambibwako ab’ekibiina ekinene, baweereza ‘ng’omusana eri amawanga’ nga bayamba abantu “okutuusa ku nkomerero y’ensi.”—Matayo 24:14; 28:19, 20.
53:10—Mu ngeri ki Yakuwa gye yasiima okubetenta Omwana we? Yakuwa, Katonda ow’ekisa, kirina okuba nga kyamuluma nnyo okulaba Omwana we ng’abonaabona. Wadde kyali kityo, Yakuwa yasiima ebyandituukiriziddwa olw’okwewaayo kwa Yesu okubonaabona n’okufa kwe.—Engero 27:11; Isaaya 63:9.
53:11—Kumanya kwa ngeri ki Masiya kwe yandikozesezza ‘okuweesa bangi obutuukirivu’? Kuno kwe kumanya Yesu kwe yafuna bwe yajja ku nsi, n’afuuka omuntu, n’abonyaabonyezebwa okutuusa okufa. (Abaebbulaniya 4:15) Bwe kityo yawaayo ssaddaaka esobozesa Abakristaayo abaafukibwako amafuta n’ab’ekibiina ekinene okufuna ennyimirira ennungi mu maaso ga Katonda.—Abaruumi 5:19; Yakobo 2:23, 25.
56:6—“Bannaggwanga” be baani, era “endagaano” ya Yakuwa ‘baginyweza’ batya? “Bannaggwanga” be bagoberezi ba Yesu ‘ab’endiga endala.’ (Yokaana 10:16) Banyweza endagaano empya mu ngeri nti bagondera amateeka gaayo, bakolera ku nteekateeka zaayo zonna ng’okulya ku mmere y’emu Abakristaayo abaafukibwako amafuta gye balyako, okuwagira omulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa.
Bye Tuyigamu:
40:10-14, 26, 28. Yakuwa wa maanyi era musaasizi, ye muyinza w’ebintu byonna era y’asinga amagezi, ate era okutegeera kwe kusingira wala nnyo okwaffe.
40:17, 23; 41:29; 44:9; 59:4. Emikago gy’eby’obufuzi n’ebifaananyi “si kintu.” Okubyesiga temuli mugaso n’akamu.
42:18, 19; 43:8. Bwe tugaana obulagirizi obuva mu Kigambo kya Katonda obutuweebwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ tuba tufuuse bamuzibe era bakiggala mu by’omwoyo.—Matayo 24:45.
43:25. Yakuwa aggyawo ebibi byaffe olw’erinnya lye. Erinnya lya Yakuwa okutukuzibwa kikulu okusinga okusumululwa kwaffe okuva mu kibi n’okufa era n’okuweebwa obulamu obutaggwaawo.
44:8. Tulina obuwagizi bwa Yakuwa, omunywevu ng’olwazi. Tetusaanidde kutya kubuulira balala nti ye Katonda yekka ow’amazima!—2 Samwiri 22:31, 32.
44:18-20. Okusinza ebifaananyi kiraga obwonoonefu bw’omutima gw’omuntu. Tetulina kukkiriza mitima gyaffe kusikirizibwa kusinza kintu kirala kyonna okuggyako Yakuwa.
46:10, 11. Olw’okuba Yakuwa asobola ‘okunyweza okuteesa kwe,’ oba okutuukiriza kigendererwa kye, kiraga nti ye Katonda ow’amazima.
48:17, 18; 57:19-21. Bwe twesiga Yakuwa okutununula, ne tuba n’enkolagana ennungi naye, era ne tukwata amateeka ge, emirembe gyaffe gijja kuba mingi ng’amazzi g’omugga n’ebikolwa byaffe eby’obutuukirivu bijja kuba bingi ng’amayengo g’ennyanja. Abo abatafaayo ku Kigambo kya Katonda balinga “ennyanja esiikuuka.” Tebalina mirembe.
52:5, 6. Abababulooni mu bukyamu baalowooza nti Katonda ow’amazima talina maanyi. Tebaakitegeera nti Yakuwa yaleka Abaisiraeri okutwalibwa mu buddu olw’okuba baali bamunyiizizza. Abalala bwe bafuna ebizibu, si kirungi kuteebereza mangu nsonga kwe bivudde.
52:7-9; 55:12, 13. Tulina ensonga nga ssatu lwaki twenyigira mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa. Eri abawombeefu abaagala eby’omwoyo ebigere byaffe biba birungi. Okulaba Yakuwa ‘liiso ku liiso’ kitegeeza okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Era tuli bulungi nnyo mu by’omwoyo.
52:11, 12. Okuba nga tusaanira okusitula ‘ebintu bya Yakuwa’—ebikwatagana n’obuweereza obutukuvu—tuteekwa okuba nga tuli bayonjo mu by’omwoyo ne mu mpisa.
58:1-14. Okwolesa ebikolwa eby’okutya Katonda naye nga tetuli beesimbu tekigasa n’akatono. Ebikolwa by’abasinza ab’amazima birina okuba nga byoleka okwemalira ku Katonda n’okwagala ab’oluganda.—Yokaana 13:35; 2 Peetero 3:11.
59:15b-19. Yakuwa alaba abantu bye bakola era abaako ky’akolawo mu kiseera kye ekigereke.
‘ALIBA NGULE YA BULUNGI’
Nga lwogera ku kuzzibwawo kw’okusinza okw’amazima mu biseera eby’edda ne mu kiseera kyaffe, Isaaya 60:1 lugamba nti: “Golokoka, yaka; kubanga omusana gwo gutuuse, n’ekitiibwa kya Mukama kikuviiriddeyo.” Sayuuni ‘aliba ngule ya bulungi mu mukono gwa Yakuwa.’—Isaaya 62:3.
Isaaya asaba Yakuwa ku lw’abantu be abalyenenya nga bali mu buwaŋŋanguse e Babulooni. (Isaaya 63:15–64:12) Ng’amaze okugeraageranya abaweereza ab’amazima n’ab’obulimba, nnabbi alangirira nti Yakuwa ajja kuwa omukisa abaweereza Be.—Isaaya 65:1–66:24.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
61:8, 9—“Endagaano etaliggwaawo” y’eruwa, era “ezzadde” be baani? Eno ye ndagaano empya Yakuwa gye yakola n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. “Ezzadde” be ‘b’endiga endala’—obukadde bw’abantu abawuliriza obubaka bwabwe.—Yokaana 10:16.
63:5—Ekiruyi kya Katonda kimuwanirira kitya? Ekiruyi kya Katonda bwe busungu bwe obw’obutuukirivu. Kimuwanirira mu ngeri nti kimuleetera okussa mu nkola emisango gye egy’obutuukirivu.
Bye Tuyigamu:
64:6. Abantu abatatuukiridde tebasobola kwerokola. Tebasobola kweweerayo ssaddaaka kubanga ebikolwa byabwe eby’obutuukirivu biringa ebyambalo ebiddugala ennyo.—Abaruumi 3:23, 24.
65:13, 14. Yakuwa awa abaweereza be abeesigwa emikisa mingi, ng’abawa ebyetaago byabwe byonna eby’omwoyo.
66:3-5. Yakuwa akyawa obunnanfuusi.
“Musanyuke”
Ng’obunnabbi obwalaga Abayudaaya abaali mu Babulooni nti baali ba kudda ku butaka buteekwa okuba nga bwabazzaamu nnyo amaanyi! Yakuwa yagamba nti: “Musanyuke mujagulize ennaku zonna ekyo kye ntonda: kubanga, laba, ntonda Yerusaalemi okuba okusanyuka, n’abantu baamu okuba essanyu.”—Isaaya 65:18.
Naffe tuli mu ekiseera ng’ensi n’amawanga bibuutikiddwa ekizikiza eky’amaanyi. (Isaaya 60:2) Tuli mu ‘biro eby’okulaba ennaku.’ (2 Timoseewo 3:1) N’olwekyo, obubaka bwa Yakuwa obuli mu kitabo kya Isaaya obukwata ku bulokozi butuzzaamu nnyo amaanyi.—Abaebbulaniya 4:12.
[Obugambo obuli wansi]
a Ebikwata ku Isaaya 1:1–35:10, laba “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu—Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Isaaya—I” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maaki 1, 2007.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Omanyi ensonga enkulu eyaleetera Keezeekiya okusaba okulokolebwa mu mukono gwa Bwasuli?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
“Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta ebigambo ebirungi!”