Abavubuka Muluubirire Ebyo Ebiweesa Katonda Ekitiibwa
“Weemanyiizenga okutya Katonda.”—1 TIMOSEEWO 4:7.
1, 2. (a) Lwaki Pawulo yayogera bulungi ku Timoseewo? (b) Leero abavubuka ‘beemanyiiza batya okutya Katonda’?
“SIRINA muntu mulala alina emmeeme eyenkana n’ey’oyo, aligenderera ebyammwe mu mazima. . . . Yaweerezanga wamu nange olw’enjiri, ng’omwana eri kitaawe.” (Abafiripi 2:20, 22) Omutume Pawulo yakozesa ebigambo ebyo ebiraga okusiima bwe yali awandiikira Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka ab’e Firipi. Yali ayogerako ku ani? Yali ayogera ku Timoseewo, gwe yatambulanga naye ku ŋŋendo ze. Teeberezaamu Timoseewo bwe yawulira nga Pawulo amwogeddeko ebigambo ebirungi bye bityo!
2 Abavubuka abaagala ennyo eby’omwoyo nga Timoseewo ba muwendo nnyo mu bantu ba Yakuwa. (Zabbuli 110:3) Leero, mu kibiina kya Katonda mulimu abavubuka bangi abaweereza nga payoniya, abaminsani, bannakyewa abazimbi, n’Ababeseri. N’abo abeenyigira mu mirimu gy’ekibiina ng’ate balina obuvunaanyizibwa obulala bakola omulimu gwa kitalo. Abantu ng’abo bafuna essanyu erya nnamaddala eriva mu kuba n’ebiruubirirwa ebiweesa Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa, ekitiibwa. Mazima ddala baba ‘beemanyiiza okutya Katonda.’—1 Timoseewo 4:7, 8.
3. Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?
3 Ng’omuvubuka, weeteereddewo ebiruubirirwa eby’omwoyo? Oyinza kuggya wa obuyambi okusobola okubituukako? Oyinza otya okuziyiza omwoyo gw’okwagala ebintu oguliwo mu nsi eno? Mikisa ki gy’ojja okufuna singa weeteerawo ebiruubirirwa ebiweesa Katonda ekitiibwa? Ka tufune eby’okuddamu mu bibuuzo bino nga twetegereza engeri Timoseewo gye yakozesaamu obulamu bwe.
Ebikwata ku Timoseewo
4. Mu bufunze yogera ku buweereza bwa Timoseewo.
4 Timoseewo yakulira mu kabuga akayitibwa Lusitula ak’omu ssaza ly’e Ggalatiya. Kirabika yamanya ebikwata ku Bukristaayo ng’akyali muvubuka, Pawulo we yabuulirira mu Lusitula awo nga mu 47 C.E. Timoseewo yafuna mangu erinnya eddungi mu Bakristaayo ab’omu kitundu kye. Pawulo bwe yakomawo mu Lusitula oluvannyuma lw’emyaka ebiri era n’akitegeera nti Timoseewo yali akulaakulanye, yamulonda baweerereze wamu ng’abaminsani. (Ebikolwa 14:5-20; 16:1-3) Timoseewo bwe yagenda akula, yaweebwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi, omwali n’okukyalira ab’oluganda okubazzaamu amaanyi. Pawulo bwe yali mu kkomera e Ruumi n’awandiikira Timoseewo awo nga mu 65 C.E., Timoseewo yali aweereza ng’omukadde mu kibiina ky’e Efeso.
5. Okusinziira ku 2 Timoseewo 3:14, 15, bintu ki ebibiri ebyayamba Timoseewo okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo?
5 Kirabika nti Timoseewo yasalawo okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo. Naye kiki ekyamuyamba okukola bw’atyo? Mu bbaluwa ye eyokubiri eri Timoseewo, Pawulo yayogera ku bintu bibiri ebikulu. Yawandiika nti: ‘Beeranga mu ebyo bye wayiga n’otegeerera ddala, ng’omanyi abaakuyigiriza bwe bali; era ng’okuva mu buto wamanyanga ebyawandiikibwa ebitukuvu.’ (2 Timoseewo 3:14, 15) Ka tulabe engeri Abakristaayo abalala gye baayambamu Timoseewo okusobola okusalawo bw’atyo.
Ganyulwa mu Kukolagana n’Abantu Abalungi
6. Timoseewo yatendekebwa atya, era okutendekebwa okwo yakutwala atya?
6 Timoseewo yakuzibwa abazadde abaalina enzikiriza ez’enjawulo. Kitaawe yali Muyonaani, ng’ate nnyina Ewuniike ne jjajjaawe Looyi bo Bayudaaya. (Ebikolwa 16:1) Ewuniike ne Looyi baayigiriza Timoseewo amazima okuva ku Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya okuviira ddala nga muwere. Bwe baamala okufuuka Abakristaayo, bateekwa okuba nga bamuyamba okukkiriza enjigiriza z’Ekikristaayo. Tewali kubuusabuusa nti Timoseewo yaganyulwa nnyo mu kutendekebwa kuno. Pawulo yagamba nti: “Nnajjukizibwa okukkiriza okutali kwa bukuusa okuli mu ggwe; okwabeeranga olubereberye mu jjajjaawo Looyi ne mu nnyoko Ewuniike, era ntegeeredde ddala nga kuli ne mu ggwe.”—2 Timoseewo 1:5.
7. Mukisa ki abavubuka bangi gwe balina, era kino kiyinza kitya okubaganyula?
7 Leero, abaana bangi balina abazadde ne bajjajjaabwe abatya Katonda nga Looyi ne Ewuniike, abamanyi obukulu bw’okuba n’ebiruubirirwa eby’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, Samira ajjukira ebintu bingi nnyo bazadde be bye baamubuliranga ng’akyali mutiini. Agamba nti “Maama ne Taata banjigiriza okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira n’okuteeka omulimu gw’Obwakabaka mu kifo ekisooka. Bankubirizanga okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.” Samira yakolera ku magezi ga bazadde be era kati aweereza mu maka ga Beseri mu nsi ye. Bazadde bo bwe bakukubiriza okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, kyandibadde kya magezi okubawuliriza. Okukola bwe batyo baba bakwagaliza birungi byereere.—Engero 1:5.
8. Okuba n’emikwano egizimba mu kibiina kyaganyula kitya Timoseewo?
8 Ate era kikulu okukola omukwano n’ab’oluganda abasobola okukuzimba mu by’omwoyo. Timoseewo yali amanyiddwa bulungi abakadde b’omu kibiina kye n’ab’omu Ikonio, ekyali kyesudde mayiro 20. (Ebikolwa 16:1, 2) Yafuna enkolagana ey’oku lusegere ne Pawulo, omusajja omunyiikivu. (Abafiripi 3:14) Ebbaluwa ya Pawulo eraga nti Timoseewo yawulirizanga amagezi ge babanga bamuwadde era nga akoppa mangu ebyokulabirako by’abalala ebirungi. (1 Abakkolinso 4:17; 1 Timoseewo 4:6, 12-16) Pawulo yawandiika nti: “Ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, empisa zange, okuteesa kwange, okukkiriza kwange, okugumiikiriza kwange, okwagala kwange, okulindirira kwange.” (2 Timoseewo 3:10) Yee, Timoseewo yakoppera ddala ekyokulabirako kya Pawulo. Mu ngeri y’emu, singa okola omukwano n’abo abakuze mu by’omwoyo mu kibiina, kijja kukuyamba okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo.—2 Timoseewo 2:20–22.
Soma “Ebyawandiikibwa Ebitukuvu”
9. Ng’oggyeko okubeera n’emikwano emirungi, oteekwa kukola ki okusobola ‘okwemanyiiza okutya Katonda’?
9 Okutuuka ku biruubirirwa eby’omwoyo kiva ku kubeera bubeezi na mikwano mirungi kyokka? Nedda. Okufaananako Timoseewo, naawe weetaaga okwekenneenya “ebyawandiikibwa ebitukuvu.” Okwesomesa kuyinza okuba nga kukukaluubirira, naye jjukira nti Timoseewo yalina ‘okwemanyiiza okutya Katonda.’ Abaddusi batendekebwa ebbanga ddene okusobola okutuuka ku kigendererwa kyabwe. Mu ngeri y’emu, okusobola okutuuka ku biruubirirwa eby’omwoyo kyetaagisa okwefiiriza n’okufuba ennyo. (1 Timoseewo 4:7, 8, 10) Oyinza okwebuuza nti ‘okwesomesa Baibuli kuyinza kunnyamba kutya okutuuka ku biruubirirwa byange?’ Ka twetegerezeeyo engeri ssatu.
10, 11. Lwaki Ebyawandiikibwa bisobola okukuleetera okutuuka ku biruubirirwa eby’omwoyo? Waayo ekyokulabirako.
10 Ekisooka, Ebyawandiikibwa bijja kukuleetera okubaako ky’okolawo. Biraga engeri za Kitaffe ow’omu ggulu ez’ekitalo, okwagala okw’ekitalo kwe yatulaga, n’emikisa egy’olubeerera gy’aterekedde abaweereza be abeesigwa. (Amosi 3:7; Yokaana 3:16; Abaruumi 15:4) Gy’onookoma okweyongera okumanya Yakuwa, gy’onookoma okweyongera okumwagala, n’okwagala okwewaayo gy’ali.
11 Abavubuka bangi Abakristaayo bagamba nti okwesomesa Baibuli obutayosa kibayambye nnyo okufuula amazima agaabwe. Ng’ekyokulabirako, Adele, yakulira mu maka Amakristaayo naye yali teyeeterangawo biruubirirwa bya mwoyo. Agamba nti “Nnali seesomesa Baibuli era nga bazadde bange bwe bantwala mu nkuŋŋaana mu kizimbe ky’Obwakabaka sissaayo mwoyo.” Oluvannyuma lwa muganda we okubatizibwa, Adele yatandika okufaayo ennyo ku by’omwoyo. “Nnasalawo okusoma Baibuli yonna. Nnasomangako ekitundu kitono era ne mpandiika bye nnabanga njizeemu. N’okutuusa kati bye nnawandiika nkyabirina. Nnasoma Baibuli yonna mu mwaka gumu.” Kino kyaleetera Adele okwewaayo eri Yakuwa. Wadde alina obulemu obw’amaanyi ku mubiri, kati aweereza nga payoniya oba omubuulizi ow’ekiseera kyonna.
12, 13. (a) Nkyukakyuka ki omuvubuka z’asobola okukola singa yeesomesa Baibuli, era anaazikola atya? (b) Waayo ebyokulabirako ebiraga nti amagezi agali mu Kigambo kya Katonda gakola.
12 Eky’okubiri, Baibuli ejja kukuyamba okukola enkyukakyuka ezeetagisa mu bulamu bwo. Pawulo yagamba Timoseewo nti “ebyawandiikibwa ebitukuvu” ‘bigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuulirira okuli mu butuukirivu: omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna, ng’alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.’ (2 Timoseewo 3:16, 17) Bw’ofumiitiriza ku Kigambo kya Katonda bulijjo era n’okolera ku misingi gyakyo, omwoyo gwa Katonda gujja kukuyamba okukyusa engeri zo. Ojja kufuna engeri ennungi ng’obuwombeefu, obugumiikiriza, obunyiikivu, n’okwagala okwa nnamaddala eri Bakristaayo banno. (1 Timoseewo 4:15) Timoseewo yalina engeri zino, era bwe kityo yali wa mugaso eri Pawulo n’ebibiina Timoseewo gye yaweerezanga.—Abafiripi 2:20-22.
13 Eky’okusatu, Ekigambo kya Katonda kijjuddemu amagezi agasobola okuyamba omuntu. (Zabbuli 1:1-3; 19:7; 2 Timoseewo 2:7; 3:15) Kijja kukuyamba okukozesa amagezi ng’olonda emikwano n’eby’okwesanyusaamu, kikuyambe n’okwaŋŋanga embeera endala nnyingi. (Olubereberye 34:1, 2; Zabbuli 119:37; 1 Abakkolinso 7:36) Okusalawo obulungi kati kijja kukusobozesa okutuuka ku biruubirirwa byo eby’omwoyo.
“Lwananga Okulwana Okulungi”
14. Lwaki okukulembeza ebiruubirirwa eby’omwoyo si kyangu?
14 Okukulembeza ebiruubirirwa ebiweesa Yakuwa ekitiibwa kye kintu ekisingayo okuba eky’amagezi wadde nga si kyangu. Ng’ekyokulabirako, bwe kituuka ku kusalawo omulimu gw’onookola, oyinza okupikirizibwa ab’eŋŋanda zo, mikwano gyo, abasomesa abalowooza nti obuyigirize obwa waggulu n’omulimu ogusasula ennyo bye bireetera omuntu okuba obulungi era omusanyufu. (Abaruumi 12:2) Okufaananako Timoseewo, kijja kukwetaagisa ‘okulwana okulwana okulungi okw’okukkiriza’ okusobola ‘okunyweza obulamu obutaggwaawo’ Yakuwa bw’akwagaliza.—1 Timoseewo 6:12; 2 Timoseewo 3:12.
15. Kuziyizibwa ki Timoseewo kw’ayinza okuba nga yayolekagana nakwo?
15 Kiyinza okugezesa okukkiriza kwo singa ab’omu maka go abatali bakkiriza tebasanyukira ekyo ky’osazeewo okukola. Oboolyawo Timoseewo naye yalina okuvvuunuka ekizibu ng’ekyo. Okusinziira ku kitabo ekimu, ab’omu maka ga Timoseewo bayinza okuba nga “baali bayivu ate nga bagagga.” Kitaawe ayinza okuba nga yali amusuubira okusoma ennyo asobole okuddukanya bizineesi yaabwe.a Kuba akafaananyi kitaawe wa Timoseewo bwe yawulira bwe yakimanya nti Timoseewo asazeewo okuweereza ng’omuminsani ne Pawulo ekintu ekyanditadde obulamu bwe mu kabi era n’obutaba bulungi mu bya nfuna!
16. Omuvubuka omu yavvuunuka atya okuziyizibwa kwe yafuna okuva mu bazadde be?
16 Abavubuka Abakristaayo leero boolekagana n’embeera efaananako ng’eyo. Matayo, aweereza ku ttabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa agamba nti: “Bwe nnatandika okuweereza nga payoniya, kitange yawulira bubi nnyo. Yawulira nti nnali ‘nnyonoonye’ ebiseera bye nnamala nga nsoma bwe nnasalawo okukola ng’omupakasi okusobola okweyimirizaawo mu buweereza. Yanvumiriranga, ng’aŋŋamba nti nnandibadde bulungi nnyo singa nnalina omulimu ogw’ekiseera kyonna.” Matayo yasobola atya okwaŋŋanga embeera eyo? “Nneeteerawo enteekateeka ey’okusoma Baibuli obutayosa, ssaako n’okusaba bulijjo okusingira ddala buli lwe baayogeranga ebintu ebinnyiiza.” Obumalirivu bwa Matayo bwavaamu emiganyulo. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, enkolagana ye ne kitaawe yalongooka. Era Matayo yafuna enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa. Matayo agamba nti: “Yakuwa andabiridde, anzizizzaamu amaanyi, era annyambye okusalawo obulungi. Bino byonna sandibituuseeko singa nnali seeteereddeewo biruubirirwa bya mwoyo.”
Kulembeza Ebiruubirirwa eby’Omwoyo
17. Mu butamanya, abamu bayinza batya okumalamu amaanyi abo ababa baagala okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna? (Matayo 16:22)
17 Bwe tuteegendereza, bakkiriza bannaffe nabo bayinza okutulemesa okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo. Abamu bayinza okukubuuza nti ‘Lwaki ofuuka payoniya? Ndaba ne bw’oba mu bulamu obwa bulijjo osobola bulungi okubuulira. Weefunire omulimu ogusasula obulungi osobole okuba obulungi mu by’enfuna.’ Amagezi ago gayinza okulabika ng’amalungi, naye ganaakuyamba okwemanyiiza okutya Katonda singa ogagoberera?
18, 19. (a) Tuyinza tutya okussa essira ku biruubirirwa eby’omwoyo? (b) Gwe ng’omuvubuka nnyonnyola ebintu bye weefiirizza ku lw’Obwakabaka.
18 Abakristaayo abamu mu biseera bya Timoseewo baalina endowooza y’emu. (1 Timoseewo 6:17) Okusobola okuyamba Timoseewo okukuumira amaaso ge ku biruubirirwa eby’omwoyo, Pawulo yamukubiriza nti: “Siwali mulwanyi bw’atabaala eyeeyingiza mu mitawaana egy’obulamu buno, alyoke asiimibwe eyamuwandiika okuba omulwanyi.” (2 Timoseewo 2:4) Omuserikale ali ku mulimu tasobola kukola mirimu egy’abantu egya bulijjo. Obulamu bwe n’obw’abalala bwesigamye ku kukolera ku biragiro bya mukama we. Ng’omuserikale ali wansi wa Kristo, oteekwa okuba ng’olowooza ku kintu kimu era ne weewala okumalira ebiseera byo mu kunoonya ebintu ebitagasa ebiyinza okukuziyiza okutuukiriza obuweereza bwo obw’okuwonya obulamu bw’abantu.—Matayo 6:24; 1 Timoseewo 4:16; 2 Timoseewo 4:2, 5.
19 Mu kifo ky’okuba n’ebiruubirirwa eby’okufuula obulamu bwo obwangu, beera n’omwoyo ogw’okwefiiriza. “Beera mwetegefu okuba mu bulamu obutaali bwangu, ng’omu ku baserikale ba Kristo Yesu.” (2 Timoseewo 2:3, The English Bible in Basic English) Bwe yali ne Pawulo, Timoseewo yayiga okuba omumativu ne mu biseera ebizibu. (Abafiripi 4:11, 12; 1 Timoseewo 6:6-8) Naawe osobola okukola ekintu kye kimu. Oli mwetegefu okwefiiriza ku lw’Obwakabaka?
Emikisa gye Tufuna Kati ne mu Biseera eby’Omu Maaso
20, 21. (a) Nnyonnyola egimu ku mikisa egiva mu kweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo. (b) Kiki ky’omaliridde okukola?
20 Okumala emyaka nga 15, Timoseewo yakolera wamu ne Pawulo. Timoseewo yaliwo ng’ebibiina ebipya bitandikibwawo, amawulire amalungi bwe gaali gabunyisibwa kumpi mu bitundu byonna eby’obukiika kkono bw’ennyanja Mediterranean. Yali musanyufu nnyo era nga mumativu okusinga bwe yandibadde mu bulamu “obwa bulijjo.” Singa oba n’ebiruubirirwa eby’omwoyo, naawe ojja kufuna emikisa mingi. Ojja kufuna enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa era Bakristaayo banno bajja kukwagala. Ojja kwewala ebizibu ebiva mu kwenoonyeza ebintu, era ofune essanyu erya nnamaddala eriva mu kuweereza abalala. Ekisinga byonna okuba eky’omuwendo, ojja ‘kunyweza obulamu obwa nnamaddala’—obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi.—1 Timoseewo 6:9, 10, 17-19; Ebikolwa 20:35.
21 Singa kiba nti tonnakikola, tukukubiriza okutandikirawo okulowooza ku ngeri gy’oyinza okwemalira ku kuweereza Katonda. Kola omukwano mu kibiina n’abo abasobola okukuyamba okuteekawo ebiruubirirwa eby’omwoyo era beebuuzeeko. Okwesomesa Ekigambo kya Katonda obutayosa kitwale nga kikulu nnyo mu bulamu bwo. Beera mumalirivu okuziyiza omwoyo gw’ensi ogw’okwagala ebintu. Era bulijjo jjukira nti Katonda “atuwa byonna olw’obugagga tulyoke twesanyusenga n’ebyo” akusuubiza nti osobola okufuna emikisa mingi kati n’emu biseera eby’omu maaso singa weeteerawo ebiruubirirwa ebimuweesa ekitiibwa.—1 Timoseewo 6:17.
[Obugambo obuli wansi]
a Abayonaani baali bassa nnyo essira ku buyigirize obwa waggulu. Plutarch eyaliwo mu biseera bya Timoseewo, yawandiika nti: “Okuba omuyigirize ennyo, ye nsibuko ya buli kintu ekirungi. . . . Ŋŋamba nti kino kye kireetera omuntu okuba ow’empisa ennungi n’okuba omusanyufu. . . . Ebirala byonna si bikulu era tebisaanidde kutumalira nnyo biseera.”—Moralia, I, “Okusomesa Abaana.”
Ojjukira?
• Abavubuka basobola kuggya wa ebinaabayamba okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo?
• Lwaki okwesomesa obulungi Baibuli kikulu nnyo?
• Abavubuka bayinza batya okuziyiza omwoyo gw’ensi ogw’okwagala ebintu?
• Mikisa ki egiva mu kweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Timoseewo yalubirira eby’omwoyo
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 29]
Baani abaayamba Timoseewo?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Weeteereddewo ebiruubirirwa eby’omwoyo?