LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 6/1/07 lup. 24-28
  • Okubala Ebibala eby’Omwoyo mu Bukadde

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okubala Ebibala eby’Omwoyo mu Bukadde
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘Teyayosanga Kugenda mu Yeekaalu’
  • Weeyongere Okukozesa Obwongo Bwo
  • Baasigala Beesigwa Wadde Bakaddiye
  • Obugumiikiriza mu Kuweereza Katonda
  • Abakristaayo Abakaddiye—Yakuwa Abasiima olw’Obwesigwa Bwe Mwolese
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Weereza Yakuwa ng’Ennaku Embi Tezinnajja
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Bannamukadde—Ba Muwendo Nnyo mu Luganda Lwaffe olw’Ekikristaayo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Yakuwa Afaayo ku Baweereza Be Abakaddiye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 6/1/07 lup. 24-28

Okubala Ebibala eby’Omwoyo mu Bukadde

“Abasimbirwa mu nnyumba ya Mukama . . . baliba nga bakyabala ebibala nga bakaddiye.”​—ZABBULI 92:13, 14.

1, 2. (a) Obukadde butera kwogerwako butya? (b) Ebyawandiikibwa bisuubiza ki ekinaatuuka ku bizibu bye tufuna olw’ekibi kya Adamu kye twasikira?

OBUKADDE​—kiki ky’olowooza bw’owulira ekigambo ekyo? Olowooza ku nkanyanya? Matu butawulira? Magulu kunafuwa? Oba ekimu ku ebyo ebibaawo mu ‘nnaku embi’ ebyogerwako mu Omubuulizi 12:1-7? Bwe kiba bwe kityo, kikulu okukijjukira nti ebyo ebiri mu Omubuulizi essuula 12 byogera ku kukaddiwa, si ng’ekintu ekyajjawo olw’ekigendererwa ky’Omutonzi waffe Yakuwa Katonda, wabula byajjawo olw’ekibi kya Adamu.​—Abaruumi 5:12.

2 Okukaddiwa ku bwakyo si kibi, kubanga omuntu okusobola okusigala nga mulamu alina okukula mu myaka. Mu butuufu, buli omu yandyagadde okukula. Ebizibu ebivudde mu kibi n’okuba nti tetutuukiridde ebibaddewo okumala emyaka akakaaga egiyise binaatera okukoma, era abantu bonna abawulize bajja kunyumirwa obulamu obwa nnamaddala, omutali kulumwa, kukaddiwa wadde okufa. (Olubereberye 1:28; Okubikkulirwa 21:4, 5) Mu kiseera ekyo, ‘tewali alyogera nti Ndi mulwadde.’ (Isaaya 33:24) Abaliba bakaddiye balidda mu “nnaku z’obuto” bwabwe era emibiri gyabwe ‘giridda buggya okusinga egy’abaana abato.’ (Yobu 33:25) Kyokka ng’ebyo tebinnabaawo, abantu bonna balina okwolekagana n’ebizibu ebiva mu kibi kya Adamu kye baasikira. Wadde kiri kityo, abaweereza ba Yakuwa bo bafuna emikisa egy’enjawulo bwe bagenda bakaddiwa.

3. Mu ngeri ki Abakristaayo gye basobola okweyongera ‘okubala ebibala nga bakaddiye’?

3 Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti “abasimbibwa mu nnyumba ya Mukama . . . baliba nga bakyabala ebibala nga bakaddiye.” (Zabbuli 92:13, 14) Mu lulimi olw’akabonero, omuwandiisi wa zabbuli yakiraga nti abaweereza ba Katonda abeesigwa basobola okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo wadde ng’emibiri gyabwe gigenda gikaddiwa. Ebyokulabirako bingi okuva mu Baibuli ne mu kiseera kyaffe biraga bulungi nti kino kituufu.

‘Teyayosanga Kugenda mu Yeekaalu’

4. Nnabbi omukazi Anna eyali akaddiye yalaga atya nti ayagala nnyo Katonda, era yafuna mikisa ki?

4 Lowooza ku Anna, nnabbi omukazi. Wadde nga yalina emyaka 84, ‘teyayosanga kugenda mu yeekaalu, nga yeenyigira mu buweereza obutukuvu emisana n’ekiro, ng’asiiba, era nga yeegayirira Katonda.’ Olw’okuba yali mukazi ow’omu “kika kya Aseri” era nga kitaawe si Muleevi, Anna yali tasobola kusula ku yeekaalu. Lowooza ku ngeri gye yafubangamu okusobola okubeerawo ku yeekaalu buli lunaku nga bawaayo ekiweebwayo eky’okumakya okutuusa lwe baawangayo ekiweebwayo eky’olweggulo! Olw’obunyiikivu obwo, Anna yaweebwa emikisa mingi. Yafuna enkizo ey’okulaba Yesu nga muwere, Yusufu ne Malyamu bwe bamuleeta mu yeekaalu okumwanjula eri Yakuwa nga bwe kyali kiragibwa mu Mateeka. Bwe yalaba Yesu mu yeekaalu, Anna “n’atandika okwebaza Katonda, era n’ayogera ebikwata ku mwana eri abo bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi.”​—Lukka 2:22-24, 36-38, NW; Okubala 18:6, 7.

5, 6. Abakaddiye bangi leero balaga batya omwoyo ng’ogwa Anna?

5 Mu ffe mulimu abakaddiye bangi abalinga Anna nga teboosa kubeerawo mu nkuŋŋaana, nga basaba nnyo okusinza okw’amazima kugende mu maaso, era nga banyiikirira okubuulira amawulire amalungi. Ow’oluganda omu atemera mu myaka 80 atayosa kubeerawo mu nkuŋŋaana ne mukyala we yagamba nti: “Twagifuula mpisa yaffe okubeerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Tewali walala wonna we twagala kubeera. Awali abantu ba Katonda, naffe we twagala okuba, kubanga we tuwulirira emirembe.” Nga kino kyakulabirako kirungi nnyo eri bonna!​—Abaebbulaniya 10:24, 25.

6 “Bwe wabaawo ekintu kyonna ekikwata ku by’omwoyo nga nkisobola, njagala ne nkyenyigiramu.” Eyo ye ŋŋombo ya Jean, nnamwandu Omukristaayo atemera mu gy’obukulu 80. Yeeyongera okugamba nti: “Awatali kubuusabuusa, wabaawo ekiseera lwe siba musanyufu, naye lwaki nnandirese ekyo okuleetera abalala ennaku?” Nga yenna ajjudde essanyu, agamba nti anyumirwa nnyo okukyalako mu nsi endala okwenyigira mu programu ez’eby’omwoyo. Emabegako awo bwe yali akyaddeko mu nsi emu, yagamba be yali ayise nabo nti, “Mpulira nkooye okulambula; njagala kugendako mu kubuulira!” Wadde nga Jean yali tamanyi lulimi lwogerwa mu kitundu ekyo, yasobola okubaako b’atusaako obubaka bwa Baibuli. Ng’oggyeko ekyo, yamala emyaka egiwerako ng’aweereza mu kibiina awaali obwetaavu obusingako, wadde nga kyali kimwetaagisa okuyiga olulimi olulala n’okutambulanga essaawa nnamba okutuuka mu nkuŋŋaana.

Weeyongere Okukozesa Obwongo Bwo

7. Mu myaka gye egy’obukadde, Musa yalaga atya nti yali ayagala nnyo okunyweza enkolagana ye ne Katonda?

7 Omuntu bw’akula afuna obumanyirivu mu bulamu. (Yobu 12:12) Kyokka, okuba omukulu mu myaka tekitegeeza nti oba mukulu mu by’omwoyo. N’olwekyo, mu kifo ky’okulowooza nti bye baayiga emabega bibamala, abaweereza ba Katonda abeesigwa bafuba ‘okweyongera okuyiga’ emyaka bwe gigenda giyitawo. (Engero 9:9) Yakuwa we yamutumira, Musa yalina emyaka 80. (Okuva 7:7) Mu biseera ebyo tekyali kya bulijjo omuntu okuwangaala myaka egyo olw’okuba Musa yagamba nti: “Ennaku z’emyaka gyaffe gye myaka nsanvu, naye olw’amaanyi ag’enjawulo giba emyaka kinaana.” (Zabbuli 90:10, NW) Wadde kyali bwe kityo, Musa teyawulira nti takyasobola kuyiga olw’okuba yali mukadde nnyo. Oluvannyuma lw’emyaka mingi ng’aweereza Katonda, era ng’afunye enkizo nnyingi n’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi, yeegayirira Yakuwa ng’agamba nti: “Ondage amakubo go, nkumanye.” (Okuva 33:13) Musa yayagalanga nnyo okunyweza enkolagana ye ne Yakuwa.

8. Danyeri yeeyongera atya okukozesa obwongo bwe ne bwe yali ng’atemera mu myaka 90, era biki ebyavaamu?

8 Ng’atemera mu myaka nga 90, nnabbi Danyeri yali akyasobola okwekenneenya ebyawandiikibwa ebitukuvu. Bye yazuula ng’asoma “ebitabo”​—nga muno muyinza okuba mwe mwali Eby’Abaleevi, Isaaya, Yeremiya, Koseya, ne Amosi​—byamuleetera okutuukirira Yakuwa mu kusaba. (Danyeri 9:1, 2) Okusaba okwo kwaddibwamu bwe yaluŋŋamizibwa okuwandiika ebikwata ku kujja kwa Masiya, ne ku kusinza okw’amazima okw’omu biseera eby’omu maaso.​—Danyeri 9:20-27.

9, 10. Kiki abamu kye bakoze okusobola okweyongera okukozesa obwongo bwabwe?

9 Okufaananako Musa ne Danyeri, tusobola okweyongera okukozesa obwongo bwaffe okwesomesa eby’omwoyo bwe tuba nga tukyasobola. Bangi bakola bwe batyo. Worth, omukadde Omukristaayo atemera mu myaka 80, afuba okusoma ebitabo byonna ebikubibwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Matayo 24:45) Agamba nti, “Njagala amazima n’omutima gwange gwonna, era mpulira essanyu lingi okulaba engeri ekitangaala ky’amazima gye kigenda kyeyongerayongera.” (Engero 4:18) Mu ngeri y’emu, Fred amaze emyaka egisukka mu 60 mu buweereza obw’ekiseera kyonna akisanze nga kizzaamu nnyo amaanyi okwogera ku by’omwoyo ne Bakristaayo banne. Agamba nti: “Nnina okufumiitiriza ku biri mu Baibuli. Singa ofumiitiriza ku biri mu Baibuli n’obiggyamu amakulu, era singa by’oyiga osobola okubikwataganya ‘n’ebigambo by’obulamu’ by’omanyi, olwo ojja kuba tomanyiiko bintu bimu na bimu ebitakwatagana. Wabula ojja kuba osobola bulungi okukwataganya buli kimu ne kinnewaakyo.”​—2 Timoseewo 1:13.

10 Omuntu okuba nti akaddiye tekitegeeza nti tasobola kuyiga bintu bipya oba ebizibu. Abantu abali mu myaka 60, 70, oba 80 bayize okusoma, okuwandiika n’okwogera ennimi endala. Abajulirwa ba Yakuwa abamu kino bakikoze okusobola okubuulira abantu aboogera ennimi endala amawulire amalungi. (Makko 13:10) Harry ne mukyala we bwe baali banaatera okuweza emyaka 70, baasalawo okugenda okubuulira abantu aboogera Olupotugo. Harry agamba nti: “Ekituufu kiri nti bw’ogenda okula buli kintu kyeyongera okuzibuwala.” Kyokka olw’okuba baafuba era ne bataggwamu maanyi, baasobola okuyigiriza abantu Baibuli mu lulimi lwo. Era Harry kati amaze emyaka mingi nga awa emboozi mu Lupotugo mu nkuŋŋaana za disitulikiti.

11. Lwaki tusaanidde okulowooza ku ebyo abakaddiye bye basobodde okukola?

11 Kya lwatu, tekiri nti buli omu embeera ye emusobozesa okukola ebintu nga bino. Kati olwo lwaki twandirowoozezza ku ebyo abamu ku bantu abakaddiye bye basobodde okukola? Tetugezaako kugamba nti abakaddiye bonna balina kukola kye kimu. Wabula, twagala okukola ekyo omutume Pawulo kye yayogerako bwe yali awandiikira Abakristaayo Abaebbulaniya ku bikwata ku balabirizi abeesigwa mu kibiina: “Nga mutunuulira enkomerero y’empisa zaabwe, mugobererenga okukkiriza kwabwe.” (Abaebbulaniya 13:7) Bwe tufumiitiriza ku bunyiikivu bw’abantu ng’abo abakaddiye, kituleetera okukoppa okukkiriza kwabwe okw’amaanyi okubakubiriza okuweereza Katonda. Ng’ayogera ku kimuleetera okukola bw’atyo, Harry, kati aweza emyaka 87 agamba nti, “Njagala okukozesa obulungi emyaka gyange egisigadde nga nkola kyonna kye nsobola mu kuweereza Yakuwa.” Fred, eyayogeddwako, alina essanyu lingi okuweereza ku Beseri. Agamba nti, “Weekebere olabe engeri esingayo obulungi gy’oyinza okuweerezaamu Yakuwa era oleme kuddirira.”

Baasigala Beesigwa Wadde Bakaddiye

12, 13. Baluzirayi yalaga atya nti yali yeemalidde ku Katonda wadde nga yali akaddiye?

12 Enkyukakyuka ezijjawo omuntu bw’agenda akaddiwa ziyinza okuba enzibu okwolekagana nazo. Naye, kisoboka okusigala nga twemalidde ku Katonda wadde nga waliwo enkyukakyuka ng’ezo. Baluzirayi Omugireyaadi kyakulabirako kirungi mu nsonga eno. Ng’aweza emyaka 80, yayamba nnyo Dawudi n’abasajja be ng’abawa emmere n’aw’okusula bwe baali badduka Abusaalomu. Dawudi ne basajja be bwe yali addayo e Yerusaalemi, Baluzirayi yabawerekera n’abatuusa ku Mugga Yoludaani. Dawudi yasaba Baluzirayi agende abeere naye mu lubiri lwe. Yaddamu atya? “Leero naakamaze emyaka kinaana: nnyinza okwawulamu ebirungi n’ebibi? omuddu wo awoomerwa bye ndya oba bye nnywa? nkyayinza okuwulira eddoboozi ly’abasajja abayimba n’abakazi abayimba? . . . Laba, omuddu wo Kimamu; oyo ye aba asomoka ne mukama wange kabaka; era omukolanga ky’olisiima.”​—2 Samwiri 17:27-29; 19:31-40.

13 Newakubadde nga yali akaddiye, Baluzirayi yakola ky’asobola okuwagira kabaka Yakuwa gwe yali alonze. Wadde nga yali takyawomerwa bulungi bya kulya era nga takyawulira bulungi, ekyo tekyamuleetera kuba na mutima mubi. Baluzirayi yasalawo mu kifo kye kabaka atwalemu Kimamu, ekintu ekyalaga nti yali musajja wa mutima mulungi. Okufaananako Baluzirayi, abakaddiye bangi bafaayo nnyo ku balala era bagabi. Bakola kyonna kye basobola okuwagira okusinza okw’amazima, nga bakimanyi nti “ssaddaaka eziri ng’ezo zisanyusa nnyo Katonda.” Nga nkizo y’amaanyi okubeera n’abantu abeesigwa!​—Abaebbulaniya 13:16.

14. Eky’okuba nti Dawudi yali akaddiye kyongera kitya amakulu mu Zabbuli 37:23-25?

14 Wadde ng’embeera ya Dawudi yakyuka emirundi mingi mu bbanga ly’obulamu bwe, yasigala mukakafu nti Yakuwa tayinza kulekera awo kulabirira baweereza be abeesigwa. Ng’anaatera okufa, Dawudi yawandiika oluyimba leero olumanyiddwa nga Zabbuli 37. Kuba akafaananyi nga Dawudi ali mu kufumiitiriza, ng’akuba ennanga era nga bw’ayimba nti: “Olugendo olw’omuntu lunywezebwa Mukama; era asanyukira ekkubo lye. Newakubadde ng’agwa, talisuulirwa ddala wansi: kubanga Mukama amunyweza n’omukono gwe. Nali muto, kaakano nkaddiye; naye sirabanga mutuukirivu ng’alekeddwa, newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere.” (Zabbuli 37:23-25) Yakuwa yakiraba nga kisaana okwogera ku myaka gya Dawudi mu zabbuli eno eyaluŋŋamizibwa. Nga kino kyongera nnyo amakulu mu bigambo ebiri mu luyimba olwo!

15. Omutume Yokaana yateekawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kuba omwesigwa wadde nga yali akaddiye?

15 Omutume Yokaana naye yali kyakulabirako kirungi mu kuba omwesigwa wadde ng’embeera ye yali ekyuse era ng’akaddiye. Bwe yali yaakamala emyaka nga 70 ng’aweereza Katonda, Yokaana yawaŋŋangusibwa ku kizinga ky’e Patumo “olw’ekigambo kya Katonda era n’olw’okutegeeza kwa Yesu.” (Okubikkulirwa 1:9) Wadde kyali kityo, omulimu gwe gwali tegunnaba kuggwa. Mu butuufu byonna ebiri mu Baibuli ebyawandiikibwa Yokaana, yabiwandiika mu myaka gy’obulamu bwe egyasembayo. Bwe yali e Patumo, yafuna okwolesebwa era bye yalaba yabiwandiika mu kitabo eky’Okubikkulirwa. (Okubikkulirwa 1:1, 2) Kirowoozebwa nti yateebwa okuva mu buwaŋŋanguse mu kiseera ky’obufuzi bwa Nerva, empula wa Ruumi. Oluvannyumako awo nga mu 98 C.E., ng’aweza emyaka nga 90 oba 100, Yokaana yawandiika Enjiri era n’ebbaluwa ssatu eziyitibwa erinnya lye.

Obugumiikiriza mu Kuweereza Katonda

16. Abo abatakyasobola kwogera bulungi bayinza batya okulaga nti beemalidde ku Yakuwa?

16 Buli omu obukadde bumunafuya mu ngeri ya njawulo. Ng’ekyokulabirako, abamu batuuka ekiseera ne baba nga tebakyasobola na kwogera bulungi. Kyokka, basigala bakyajjukira ekisa kya Katonda n’okwagala kwe gye bali. Wadde baba tebakyayinza kukozesa bulungi mimwa gyabwe, mu mitima gyabwe baba bagamba Yakuwa nti: “Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde.” (Zabbuli 119:97) Yakuwa amanyi bulungi abo ‘abalowooza erinnya lye’ era abasiima olw’okuba ba njawulo ku bantu abasinga obungi abatafaayo ku makubo ge. (Malaki 3:16; Zabbuli 10:4) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa asanyukira okufumiitiriza kw’emitima gyaffe!​—1 Ebyomumirembe 28:9; Zabbuli 19:14.

17. Kintu ki eky’enjawulo abo abaweerezza Yakuwa n’obwesigwa okumala ebbanga eddene kye batuuseeko?

17 Ekitalina kubuusibwa maaso ky’ekyo nti abo abaweerezza Yakuwa n’obwesigwa okumala ebbanga eddene bafunye ekintu eky’enjawulo ekitayinza kutuukibwako mu ngeri ndala yonna​—obugumiikiriza mu kuweereza Katonda. Yesu yagamba nti: “Mu kugumiikiriza kwammwe mulifuna obulamu bwammwe.” (Lukka 21:19) Obugumiikiriza bwetaagisa okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo. Mmwe ‘abakoze Katonda by’ayagala’ era abamunywereddeko mu bulamu bwammwe mwesunge okuweebwa “ekyasuubizibwa.”​—Abaebbulaniya 10:36.

18. (a) Kiki ekisanyusa Yakuwa ku ekyo abakaddiye kye bakola? (b) Kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekinaddako?

18 Ka kibe nti ky’okola mu buweereza kinene oba kitono, Yakuwa akitwala nga kya muwendo bw’okikola n’omutima gwo gwonna. Wadde ‘ng’omuntu ow’okungulu’ agenda akaddiwa, ‘omuntu ow’omunda’ asobola okuzzibwa obuggya buli lunaku. (2 Abakkolinso 4:16) Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa asiima obuweereza bwo obw’emabega, naye era n’ebyo by’okola kati olw’erinnya lye abisiima nnyo. (Abaebbulaniya 6:10) Mu kitundu ekinaddako, tujja kwekenneenya emiganyulo egiri mu kuweereza n’obwesigwa.

Wandizzeemu Otya?

• Kyakulabirako ki ekirungi Ana kye yateerawo Abakristaayo abakaddiye leero?

• Lwaki omuntu okuba nti akaddiye tekitegeeza nti aba takyalina ky’asobola kukola?

• Abakaddiye basobola batya okweyongera okulaga nti beemalidde ku Katonda?

• Yakuwa atwala atya obuweereza bw’abo abakaddiye?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]

Abakaddiye bangi bateekawo ekyokulabirako ekirungi mu butayosa nkuŋŋaana, mu kunyiikirira okubuulira, n’okwesomesa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share