Abakaddiye ba Muganyulo Nnyo eri Abato
“Bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, ai Katonda, tondekanga; okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, n’obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.”—ZABBULI 71:18.
1, 2. Kiki abaweereza ba Katonda abakaddiye kye basaanidde okumanya, era byakulabirako ki bye tugenda okwekenneenya?
OMUKADDE Omukristaayo mu Bugwanjuba bwa Afirika yakyalira ow’oluganda eyafukibwako amafuta akaddiye n’amubuuza nti, “Obulamu buli butya?” Yamuddamu nti, “Nsobola okudduka, nsobola okukongojja, era nsobola n’okubuukabuuka.” Yaggatako nti, “Naye sisobola kubuuka nga kinyonyi.” Mu ngeri endala yali agamba nti, ‘Kye nsobola okukola nkikola, naye kye sisobola nkireka.’ Omukadde eyakyalira ow’oluganda oyo kati atemera mu gy’obukulu 80, era bw’ajjukira obwesigwa bw’ow’oluganda oyo n’engeri gye yasaagasaagangamu kimuwa essanyu.
2 Engeri ez’okutya Katonda abakaddiye ze boolesa ziyinza okukwata ennyo ku balala. Naye kino tekitegeeza nti buli akaddiye abeera n’amagezi era ayoleka engeri eziringa eza Kristo. (Omubuulizi 4:13) Baibuli egamba nti: “Omutwe oguliko envi ngule ya kitiibwa, [bwe gulabika] mu kkubo ery’obutuukirivu.” (Engero 16:31) Bw’oba omu ku bakaddiye, okimanyi nti by’oyogera ne by’okola biyinza okuganyula abalala? Lowooza ku byokulabirako ebimu ebiri mu Baibuli ebiraga engeri abakaddiye gye bayambyemu abo abakyali abato.
Okukkiriza Okuganyudde Ennyo Abalala
3. Okukkiriza kwa Nuuwa kuganyudde kutya abantu bonna abali ku nsi leero?
3 Okukkiriza kwa Nuuwa n’obwesigwa bwe yalina bikyaganyula abantu n’okutuusa kati. Nuuwa we yazimbira eryato, n’akuŋŋaanya ensolo, era n’abuulira n’abantu, yali akunuukiriza emyaka 600 egy’obukulu. (Olubereberye 7:6; 2 Peetero 2:5) Olw’okuba yali atya Katonda, Nuuwa n’ab’omu maka ge baawonawo Yakuwa bwe yaleeta Amataba, era abantu bonna abali ku nsi leero baava mu ye. Kituufu nti okutwalira awamu mu kiseera kya Nuuwa abantu baali bawangaala nnyo. Naye, ne bwe yali nga akaddiye nnyo, yasigala nga mwesigwa, era ekyo kyavaamu emikisa mingi. Mu ngeri ki?
4. Obwesigwa bwa Nuuwa buganyudde butya abaweereza ba Katonda leero?
4 Nuuwa yalina emyaka nga 800 Nimuloodi we yatandikira okuzimba Omunaala gwa Baberi ng’ajemedde ekiragiro kya Yakuwa ‘eky’okujjuza ensi.’ (Olubereberye 9:1; 11:1-9) Kyokka, Nuuwa teyegatta ku Nimuloodi mu kujeemera Katonda. N’olwekyo, kyandiba nti ennimi za bakyewaggula bwe zaakyusibwa, olulwe yalusigaza. Abaweereza ba Katonda bonna abato n’abakulu ddala basaana okukoppa okukkiriza n’obwesigwa Nuuwa bye yalaga, si mu bukadde bwe mwokka naye ne mu bulamu bwe bwonna.—Abaebbulaniya 11:7.
Engeri Ab’Omu Maka gye Baganyulwa
5, 6. (a) Ibulayimu bwe yali aweza emyaka 75, kiki Yakuwa kye yamugamba okukola? (b) Ibulayimu bwe yagambibwa yakola ki?
5 Eky’okuba nti abakaddiye basobola okunyweza okukkiriza kw’ab’omu maka gabwe kyeyolekera mu bulamu bw’abasajja abakkiriza abaddirira Nuuwa. Ibulayimu yalina emyaka nga 75 Katonda we yamugambira nti: “Va mu nsi ya nnyo, era awali ekika kyo, n’ennyumba ya kitaawo, oyingire mu nsi gye ndikulaga: nange ndikufuula eggwanga eddene, era naakuwanga omukisa.”—Olubereberye 12:1, 2.
6 Teebereza okuleka amaka go, mikwano gyo, eggwanga mwe wazaalibwa, n’okuva awali ab’eŋŋanda zo n’ogende mu nsi gy’otomanyi. Bw’atyo Ibulayimu bwe yagambibwa okukola. Bw’atyo “n’agenda, nga Mukama bwe yamugamba,” era okuva olwo teyalina maka ga nkalakkalira wabula ng’asula mu weema ng’omugenyi mu nsi y’e Kanani. (Olubereberye 12:4; Abaebbulaniya 11:8, 9) Wadde nga Yakuwa yali amusuubizza okufuuka “eggwanga eddene,” Ibulayimu yafa ng’ezzadde lye terinnaba kwala. Saala, mukazi we, yamuzaalira omwana omu yekka, Isaaka, ate nga wayise emyaka 25 bukya Ibulayimu atandika kubeera ng’omugenyi mu nsi eyamusuubizibwa. (Olubereberye 21:2, 5) Kyokka, Ibulayimu teyaggwamu maanyi n’ajulira kuddayo mu kibuga gye yava. Nga kino kyakulabirako kirungi eky’okukkiriza n’okugumiikiriza!
7. Eky’okuba nti Ibulayimu yali mugumiikiriza kyayamba kitya mutabani we Isaaka, era abantu bonna baganyulwa batya?
7 Obugumiikiriza bwa Ibulayimu bulina kinene kye bwayigiriza Isaaka, eyamala obulamu bwe bwonna—emyaka 180—ng’abeera mu nsi y’e Kanani ng’omugenyi. Obugumiikiriza bwa Isaaka bwali buva ku kukkiriza kwe yalina mu kisuubizo kya Katonda, okukkiriza kwe yafuna okuva ku bazadde be abaali bakaddiye, n’oluvannyuma ne kunywezebwa olw’ebyo Yakuwa kennyini bye yamugamba. (Olubereberye 26:2-5) Obwesigwa bwa Isaaka bwakola kinene mu kutuukirizibwa kw’ekisuubizo kya Yakuwa nti “ezzadde” abantu bonna mwe bandiyitidde okufuna emikisa lyandivudde mu bazzukulu ba Ibulayimu. Nga wayiseewo emyaka mingi, Yesu Kristo, “ezzadde” ekkulu, yaggulawo ekkubo erisobozesa abo bonna abamukkiririzaamu okufuna enkolagana ne Katonda era n’obulamu obutaggwawo.—Abaggalatiya 3:16; Yokaana 3:16.
8. Yakobo yalaga atya okukkiriza okw’amaanyi, era biki ebyavaamu?
8 Isaaka naye yayamba mutabani we Yakobo okuba n’okukkiriza okw’amaanyi okwamuyamba okutuusiza ddala mu bukadde bwe. Yakobo yali wa myaka 97 we yamegganira ne malayika ekiro kyonna ng’ayagala omukisa. (Olubereberye 32:24-28) Bwe yali aweza emyaka 147, ng’anaatera okufa, Yakobo yeekakaba n’awa buli omu ku batabani be 12 omukisa. (Olubereberye 47:28) Ebigambo eby’obunnabbi bye yayogera ebiri mu Olubereberye 49:1-28 byatuukirira era bikyeyongera okutuukirira.
9. Abakaddiye abakulu mu by’omwoyo bayinza kuganyula batya ab’omu maka gaabwe?
9 Awatali kubuusabuusa, abaweereza ba Katonda abeesigwa abakaddiye baganyula nnyo ab’omu maka gaabwe. Okuyigiriza abato ebyawandiikibwa n’okubateerawo ekyokulabirako ekirungi mu kugumiikiriza kibayamba nnyo okukula nga balina okukkiriza okunywevu. (Engero 22:6) N’olwekyo, kirungi abakaddiye okukijjukira nti ekyokulabirako kyabwe kirina kinene nnyo kye kikola ku b’omu maka gaabwe.
Engeri Bakkiriza Bannaabwe gye Baganyulwa
10. Kiki Yusufu kye ‘yalagira ekikwata ku magumba ge,’ era kyaganyula kitya Abaisiraeri?
10 Okukkiriza kw’abo abakaddiye kusobola n’okuganyula bakkiriza bannaabwe. Bwe yali ng’akaddiye, Yusufu, mutabani wa Yakobo, alina ekikolwa eky’okukkiriza kye yakola ekyaganyula ennyo obukadde n’obukadde bw’abasinza ab’amazima. Yali wa myaka 110 bwe ‘yalagira ebya amagumba ge’ nti Abaisiraeri bagatwalanga nga bava e Misiri. (Abaebbulaniya 11:22; Olubereberye 50:25) Abaisiraeri bwe baali babonaabona mu buddu oluvannyuma lw’okufa kwa Yusufu, ekiragiro ekyo kyayongera okunyweza essuubi lyabwe nti ekiseera kyandituuse ne banunulibwa.
11. Musa eyali akaddiye yaganyula atya Yoswa?
11 Omu ku baaganyulwa mu kikolwa kya Yusufu kino eky’okukkiriza ye Musa. Bwe yali ng’aweza emyaka 80, yalina enkizo ey’okuggya amagumba ga Yusufu mu Misiri. (Okuva 13:19) Ekyo kye kiseera Musa we yamanyira Yoswa eyali omuto ddala ku ye. Emyaka 40 egyaddirira, Yoswa yakola ng’omuweereza wa Musa. (Okubala 11:28) Yaweerekera Musa ku Lusozi Sinaayi era yaliwo ng’akka n’ebipande ebibiri eby’Obujulirwa. (Okuva 24:12-18; 32:15-17) Nga Yoswa ateekwa okuba nga yafuna amagezi mangi n’okubuulirirwa okuva eri omusajja omukadde Musa!
12. Yoswa yaganyula atya eggwanga lya Isiraeri obulamu bwe bwonna?
12 Yoswa naye yazzaamu nnyo eggwanga lya Isiraeri amaanyi obulamu bwe bwonna. Ekyabalamuzi 2:7 watugamba nti: “Abantu ne baweereza Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n’ennaku zonna ez’abakadde abaawangaala okusinga Yoswa, abaalaba omulimu gwonna ogwa Mukama omunene gwe yakolera Isiraeri.” Kyokka, oluvannyuma lwa Yoswa n’abakadde abo okufa, mu myaka 300 egyaddirira okutuusiza ddala mu nnaku za nnabbi Samwiri, abantu baateranga okuva ku kusinza okw’amazima.
Samwiri Yayamba Abalala ‘Okukola eby’Obutuukirivu’
13. Samwiri yayamba atya abalala ‘okukola eby’obutuukirivu’?
13 Baibuli tetubuulira myaka Samwiri kwe yafiira, naye ebintu ebyogerwako mu kitabo kya Samwiri Ekisooka byatwala ebbanga lya myaka nga 102, ng’ate ebisinga ku byo byaliwo nga mulamu. Mu Abaebbulaniya 11:32, 33, abalamuzi ne bannabbi abalungi baayamba abantu ‘okukola eby’obutuukirivu.’ Yee, Samwiri yayamba abamu ku bantu b’omu kiseera kye okwewala oba okuleka ebikolwa ebibi. (1 Samwiri 7:2-4) Kino yakikola atya? Yali mwesigwa eri Yakuwa obulamu bwe bwonna. (1 Samwiri 12:2-5) Teyatyanga kuwabula muntu yenna ne bwe yabanga kabaka. (1 Samwiri 15:16-29) Okugatta ku ekyo, Samwiri, bwe yali nga ‘mukadde era ng’ameze envi,’ yassaawo ekyokulabirako ekirungi ng’asabira abalala. Yagamba nti kyali ‘tekiyinzika kwonoona mu maaso ga Yakuwa ng’alekayo okusabira’ Baisiraeri banne.—1 Samwiri 12:2, 23, NW.
14, 15. Abo akaddiye bayinza batya okukoppa ekyokulabirako kya Samwiri ku bikwata ku kusaba?
14 Bino byonna biraga engeri enkulu abakaddiye gye basobola okuyambamu bakkiriza bannaabwe mu buweereza bwabwe eri Yakuwa. Wadde nga bayinza okulemesebwa olw’obulwadde oba embeera endala, abakaddiye basobola okusabira abalala. Bannaffe abakaddiye, mukimanyi nti essaala zammwe ziganyula ekibiina? Olw’okuba mukkiririza mu kinunulo ky’omusaayi gwa Kristo, musiimibwa mu maaso ga Yakuwa, era olw’okuba mugumidde ebizibu bingi nga muweereza Yakuwa, mulina okukkiriza ‘okugezeseddwa.’ (Yakobo 1:3; 1 Peetero 1:7) Temwerabiranga nti: “Okusaba kw’omuntu omutuukirivu kuyinza nnyo mu kukola kwakwo.”—Yakobo 5:16.
15 Essaala ze musaba Yakuwa okuwa omukisa omulimu gw’Obwakabaka za mugaso nnyo. Baganda baffe abamu bali mu makomera olw’obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi. Abalala bakoseddwa obutyabaga, entalo n’obusambatuko. Ne mu bibiina byaffe mwennyini mulimu abayigganyizibwa oba abagezesebwa mu ngeri ezitali zimu. (Matayo 10:35, 36) Abo abatwala obukulembeze mu mulimu gw’okubuulira n’okulabirira ebibiina nabo beetaaga okusabirwa bulijjo. (Abaefeso 6:18, 19; Abakkolosaayi 4:2, 3) Nga kiba kirungi okusabira bakkiriza bannammwe nga Epafula bwe yakola!—Abakkolosaayi 4:12.
Okuyigiriza Omulembe Ogunaddawo
16, 17. Kiki ekyalagulwa mu Zabbuli 71:18, era kituukiridde kitya?
16 Okukolera awamu n’ab’oluganda abeesigwa ‘ab’ekisibo ekitono,’ abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu, kiyambye mu kutendeka ‘ab’endiga endala’ abalina essuubi ery’okuba ku nsi emirembe gyonna. (Lukka 12:32; Yokaana 10:16) Kino kyalagulwako mu Zabbuli 71:18, awagamba nti: “Bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, ai Katonda, tondekanga; okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, n’obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.” Ng’abaafukibwako amafuta tebannagenda mu ggulu kwegatta ku Yesu Kristo, banyiikidde okutendeka bannaabwe ab’endiga endala okwetikka obuvunaanyizibwa obusingawo.
17 Okutwalira awamu, ekyo Zabbuli 71:18 ky’eyogera ku kubuulira “buli muntu agenda okujja” kituukirizibwa ne ku b’endiga endala, abatendekeddwa abo abaafukibwako amafuta. Yakuwa awadde abakaddiye enkizo ey’okubuulira abo abaagala amazima ebimukwatako. (Yoweeri 1:2, 3) Ab’endiga endala bawulira nti bafunye emikisa mingi olw’ebyo abaafukibwako amafuta bye babayigirizza okuva mu Byawandiikibwa era kino kibaleetera okubibuulirako abalala abaagala okuweereza Yakuwa.—Okubikkulirwa 7:9, 10.
18, 19. (a) Bikulu ki abaweereza ba Yakuwa bangi abakaddiye bye basobola okutubuulira? (b) Kiki Abakristaayo abakaddiye kye basaanidde okumanya?
18 Abaweereza ba Yakuwa abakaddiye abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala balabye ebintu bingi ekibiina bye kizze kiyitamu. Wakyaliwo abatonotono abaalaba ku firimu eyitibwa “Photo-Drama of Creation” we yasookera okulagibwa. Abamu baali bamanyiganye bulungi n’ab’oluganda abaasibibwa mu 1918. Abalala baaweerezaako ku mukutu gwa radiyo ya Sosayate ogwayitibwanga WBBR. Bangi baaliwo ng’Abajulirwa ba Yakuwa balwanirira eddembe lyabwe ery’okusinza mu kkooti z’amateeka enkulu. Ate abalala bo baanywerera ku kusinza okw’amazima nga bali mu nsi ezifugibwa banaakyemarira. Yee, abakaddiye basobola okutubuulira engeri amazima gye gazze geeyongera okutegeerekeka obulungi. Baibuli etukubiriza okulaba nti tuganyulwa mu bumanyirivu bw’abantu nga bano.—Ekyamateeka 32:7.
19 Abakristaayo abakaddiye bakubirizibwa okuteerawo abo abakyali abato ekyokulabirako ekirungi. (Tito 2:2-4) Oyinza okuba nga kati tokiraba nti obugumiikiriza bwo, essaala zo, n’okubuulirira birina engeri gye biganyula balala. Nuuwa, Ibulayimu, Yusufu, Musa, n’abalala baali tebayinza kumanya ngeri bwesigwa bwabwe gye bwandiganyudde ab’omu mirembe egyandizzeewo. So ng’ate okukkiriza kwabwe n’obwesigwa biganyudde nnyo abalala; n’ekyokulabirako kyo kikola kye kimu.
20. Abo abanyweza essuubi lyabwe okutuusa ku nkomerero banaafuna mikisa ki?
20 K’obe ng’onoowonawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ oba ng’onoozuukizibwa, nga kijja kuba kya ssanyu nnyo okufuna ‘obulamu obwa nnamaddala’! (Matayo 24:21; 1 Timoseewo 6:19) Lowooza ku kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, Yakuwa bw’alizza abakaddiye obuto. Mu kifo ky’emibiri gyaffe okugenda nga gikaddiwa, buli lukya tujja kweyongera okuba n’amaanyi, okulaba obulungi, okuwulira obulungi, n’okulabika obulungi! (Yobu 33:25; Isaaya 35:5, 6) Abo abalifuna omukisa ogw’okubeera mu nsi ya Katonda empya bajja kusigala nga bato wadde nga bajja kuba beeyongera okukula mu myaka. (Isaaya 65:22) N’olwekyo, ka ffenna tunyweze essuubi lyaffe okutuukira ddala ku nkomerero era tweyongere okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna. Tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza byonna bye yasuubiza era nti by’anaakola bijja kusinga ne ku ebyo bye tusuubira.—Zabbuli 37:4; 145:16.
Wandizzeemu Otya?
• Obwesigwa bwa Nuuwa bwaviiramu butya abantu bonna emikisa?
• Okukkiriza kw’abasajja ab’edda kwaganyula kutya bazzukulu baabwe?
• Mu bukadde bwabwe, Yusufu, Musa, Yoswa ne Samwiri bazzaamu batya basinza bannaabwe amaanyi?
• Kyakulabirako ki abakaddiye kye basobola okuteerawo abo abakyali abato?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Obugumiikiriza bwa Ibulayimu bwaganyula nnyo Isaaka
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Abato baganyulwa mu bye bawulira okuva ku bakaddiye abeesigwa