LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 7/1/07 lup. 7-10
  • “Twogera Ennimi za Njawulo, Naye Okwagala Kutugatta”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Twogera Ennimi za Njawulo, Naye Okwagala Kutugatta”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okuteekateeka
  • Okuyita Abantu
  • Programu ey’Ebyomwoyo Enkuukutivu
  • Oluganda olw’Ensi Yonna Olwa Nnamaddala
  • Okulaga Okusiima
  • Abalabi bye Baayogera
  • Bangi Bamaze Okununulibwa!
  • Yakuwa Akuŋŋaanya Abantu Be Abasanyufu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Enkuŋŋaana Zaffe eza Disitulikiti, Ziwa Obujulirwa obw’Amaanyi ku Mazima
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 7/1/07 lup. 7-10

“Twogera Ennimi za Njawulo, Naye Okwagala Kutugatta”

Okununulibwa. Okulokolebwa. Abantu bamaze ebyasa bingi nga baagala okufuna obuweerero okuva mu bizibu. Tusobola tutya okugumira ebizibu ebibaawo mu bulamu? Ekiseera kirituuka ne biggwawo? Bwe kiba bwe kityo, kirisoboka kitya?

EBYO bye bimu ku byali mboozi ezaaweebwa mu nkuŋŋaana za Disitulikiti ez’ennaku essatu, ezaategekebwa Abajulirwa ba Yakuwa, ezaali mu bifo ebitali bimu okuva mu Maayi 2006. Omutwe gwali “Okununulibwa Kuli Kumpi!”

Mwenda ku nkuŋŋaana zino zaaliko enkumi n’enkumi z’abagenyi okuva mu mawanga ag’enjawulo. Zaaliwo mu Jjulayi ne Agusito 2006, mu Prague, ekibuga ekikulu ekya Czech Republic; mu Bratislava, ekya Slovakia; mu Chorzow ne Poznan, eby’omu Poland;a ne mu bibuga bya Bugirimaani bitaano​—Dortmund, Frankfurt, Hamburg, Leipzig, ne Munich. Abaaliwo mu nkuŋŋaana ezo zonna baasoba 313,000.

Enkuŋŋaana zaali zitya? Abalabi baayogera ki? Era abo abaazirimu baawulira batya nga ziwedde?

Okuteekateeka

Ab’oluganda abagenyi n’ab’omu kitundu awaali enkuŋŋaana zino bonna baazesunga nnyo olw’okuba zaali za njawulo era nga baali bajja kulwawo nga bakyazijjukira. Okuteekerateekera abagenyi abo bonna aw’okusula gwali mulimu gwa maanyi. Ng’ekyokulabirako mu lukuŋŋaana olwali e Chorzow, Abajulirwa ab’omu Poland baasuza abagenyi kumpi 13,000 abaava mu Buvanjuba bwa Bulaaya. Abagenyi abajja mu lukuŋŋaana olwo baava mu Armenia, Belarus, Estonia, Georgia, Kazakhstan, Kyrgyzstan, Latvia, Lithuania, Moldova, Russia, Tajikistan, Turkmenistan, Ukraine, Amerika, ne mu Uzbekistan.

Abagenyi bangi baatandika okweteekerateekera olugendo ng’ekyabulayo myezi. Tatiana, omubuulizi ow’ekiseera kyonna ow’omu Kamchatka, ekitundu kya Russia ekiri okumpi ne Japan, yatandika okutereka ssente z’olugendo ng’ebula omwaka mulamba. Yalina okutambula olugendo lwa mayiro nga 6,500. Okusooka, yatambulira mu nnyonyi okumala essaawa ttaano, n’adda mu ggaali y’omukka okumala ennaku ssatu, n’oluvannyuma n’amala essaawa 30 mu bbaasi eyamutuusa e Chorzow.

Bannakyewa nkumi na nkumi beenyigira mu kulongoosa ebisaawe bisobole okubaamu enkuŋŋaana. (Ekyamateeka 23:14) Ng’ekyokulabirako, mu Leipzig Abajulirwa b’omu kitundu baalongoosa bulungi nnyo ekisaawe, era ne basuubiza okukirongoosa nate ng’olukuŋŋaana luwedde. N’ekyavaamu, omutemwa omunene ogw’okuyonja ekisaawe ogulina okusasulwa abo abakipangisa, abakungu abaddukanya ekisaawe tebaagubasasuza.

Okuyita Abantu

Ebibiina okwetooloola ensi yonna byenyigira mu kaweefube ow’okuyita abantu okubaawo mu Nkuŋŋaana za “Okununulibwa Kuli Kumpi!” Abo abaali bagenda okubeera mu nkuŋŋaana ez’enjawulo, kaweefube ono bamukola na bugumu. Baayita abantu okutuusiza ddala ekiro ng’enkeera lwe lukuŋŋaana. Okufuba kwabwe kwavaamu ebirungi?

Bogdan Omujulirwa ow’omu Poland yasanga omusajja omukadde eyali ayagala okugenda mu lukuŋŋaana naye nga ssente z’alina tezimumala kugenda Chorzow, olugendo olw’e mayiro 75. Baakizuula nti bbaasi ekibiina kyabwe gye kyali kipangisizza mwali mukyalimu ekifo kimu. Bogdan agamba nti: “Omusajja twamugamba nti twali tusobola okumutwala ku bwereere singa atuuka ku ssaawa 11:30 ez’oku makya ze twali ab’okusimbula.” Omusajja yakkiriza era yaliyo mu lukuŋŋaana. Yawandiikira ab’oluganda ng’agamba nti: “Oluvannyuma lw’okubaawo mu lukuŋŋaana luno, ndi mumalirivu okukyusa enneeyisa yange.”

Mu Prague omusajja omu eyali asula mu emu ku wooteeri omwali abagenyi abaava mu Bungereza lumu yabagamba nga bavudde mu lukuŋŋaana nti naye ku olwo yali abaddeyo. Kiki ekyali kimuleetedde okugendayo? Omusajja oyo yagamba nti yawalirizibwa okugenda olw’ensonga nti ababuulizi ab’enjawulo kkumi ddamba baamusanga mu kkubo ne bamuyita! Yakwatibwako nnyo era n’ayagala okumanya ebisingawo.​—1 Timoseewo 2:3, 4.

Programu ey’Ebyomwoyo Enkuukutivu

Programu yalaga engeri y’okwaŋŋangamu ebizibu ebitali bimu. Ebyawandiikibwa byakozesebwa okulaga engeri y’okuvvuunukamu ebizibu bino oba okubigumira.

Abakaddiye, abalwadde, abaafiirwako abaagalwa baabwe, n’abalina ebizibu ebirala baazzibwamu amaanyi okuva mu Baibuli ku ngeri gye basobola okufuna essanyu mu bulamu wadde nga bali mu mbeera bw’etyo. (Zabbuli 72:12-14) Abafumbo n’abazadde bannyonnyolwa engeri gye basobola okunyumirwa obulamu bw’amaka n’okukuzaamu obulungi abaana baabwe. (Omubuulizi 4:12; Abaefeso 5:22, 25; Abakkolosaayi 3:21) Abakristaayo abato​—abapikirizibwa emikwano emibi ku ssomero naye ng’eka ne mu kibiina bayigirizibwa ebiva mu Kigambo kya Katonda​—baaweebwa amagezi agasobola okubayamba nga bapikirizibwa bannaabwe, n’engeri ‘y’okwewala okwegomba okw’omu buvubuka.’​—2 Timoseewo 2:22.

Oluganda olw’Ensi Yonna Olwa Nnamaddala

Abajulirwa ba Yakuwa bulijjo bafuna obulagirizi okuva mu Byawandiikibwa mu nkuŋŋaana zaabwe. (2 Timoseewo 3:16) Naye ekyaleetera enkuŋŋaana ennene zino okuba ez’enjawulo kwe kuba nti zaalimu abantu abaali bavudde mu nsi ezitali zimu. Enkuŋŋaana zino zonna ez’enjawulo zaalina programu y’emu naye ng’eweebwa mu nnimi eziwerako. Buli lunaku, ba mmemba b’Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa baawanga emboozi, era alipoota okuva mu nsi endala nazo zazzaamu bangi amaanyi. Emboozi zino ne alipoota byavvuunulwa okusobola okuyamba aboogera ennimi endala okuganyulwa.

Bonna baali beesunga nnyo okusisinkana baganda baabwe ne bannyinaabwe okuva mu nsi endala. Omugenyi omu yagamba nti: “Eky’okuba nti twali twogera ennimi za njawulo, tekyali kizibu kya maanyi. Mu butuufu kyayongera na bwongezi kunyumisa mukolo. Abagenyi baali bava mu mawanga ga njawulo, naye baali bumu olw’okuba ba nzikiriza emu.” Abo abaali mu lukuŋŋaana olwali e Munich baagamba bwe bati: “Twogera ennimi za njawulo, naye okwagala kutugatta.” Wadde ng’ensi zaabwe n’ennimi byali bya njawulo, abo abaali mu lukuŋŋaana baawulira nga baali mu mikwano gyabwe egya nnamaddala​—baganda baabwe ne bannyinaabwe ab’omwoyo.​—Zekkaliya 8:23.

Okulaga Okusiima

Embeera y’obudde yagezesa obugumiikiriza bw’abagenyi abaali ku nkuŋŋaana ezaali mu Poland. Ng’oggyeko okuba nti enkuba yali etonnya buli kiseera, obudde nabwo bwali bunnyogovu nnyo. Ow’oluganda okuva mu Amerika yagamba nti: “Luno lwe lukuŋŋaana lwe nnali mbaddemu ng’obudde bubi nnyo bwe butyo, era nnaganyulwa kitono nnyo mu programu. Naye kino twakibuusa amaaso olw’okuba twali basanyufu nnyo okuba n’ab’oluganda abaali bavudde mu nsi ezitali zimu, n’olw’engeri gye twalabirirwamu. Olukuŋŋaana luno tetuyinza kulwerabira!”

Ab’oluganda ab’omu Poland kye batasobola kwerabira kwe kufulumizibwa kw’ekitabo Insight on the Scriptures mu lulimi lwabwe, nga kino kyali kirabo kya maanyi oluvannyuma lw’okugumira empewo n’enkuba. Okufulumizibwa kw’ekitabo ekipya Live With Jehovah’s Day in Mind n’akyo kyaleetera essanyu abo abaali mu Nkuŋŋaana zonna eza “Okununulibwa Kuli Kumpi!”

Bangi ku baaliwo baalina ensonga endala lwaki bajja kulwawo nga bakyajjukira olukuŋŋaana olwo. Kristina, mwannyinaffe ow’omu Czech eyawerekera ku baali mu bbaasi abaali bavudde emitala w’amayanja, agamba nti: “Bwe twali tusiibulagana muganda wange omu yangwa mu kifuba n’aŋŋamba nti Mutulabiridde bulungi nnyo! Emmere n’amazzi mubadde mubitusanza we tutudde. Mwebale nnyo okwefiiriza ne mutulaga okwagala okwenkanidde awo.” Kye yali ayogerako kye ky’okuba nti abagenyi abaali bavudde emitala w’amayanja baaweebwa eky’emisana. Ow’oluganda omu yagamba nti “Kino kye kintu kye twali tetukolangako. Kyali kitwetaagisa okuliisa bantu kumpi 6,500 buli lunaku. Kyali kirungi okulaba ab’oluganda bangi, omuli n’abaana abato, nga beewaayo okuyamba.”

Mwannyinaffe ow’omu Ukraine eyagenda mu lukuŋŋaana e Chorzow yagamba nti: “Twakwatibwako nnyo olw’okwagala, okufaayo n’omutima omugabi basinza bannaffe bye baatulaga. Tetulina bigambo bye tusobola kukozesa kubeebaza.” Annika ow’emyaka omunaana ow’omu Finland yawandiikira ofiisi y’ettabi ry’Abajulirwa ba Yakuwa ery’omu Poland n’agamba nti: “Olukuŋŋaana lwali lulungi nnyo okusinga ne bwe nnali nsuubira. Kirungi okubeera mu kibiina kya Yakuwa olw’okuba obeera n’emikwano okwetooloola ensi yonna!”​—Zabbuli 133:1.

Abalabi bye Baayogera

Ng’enkuŋŋaana tezinnatandika, abagenyi abamu baakolerwa enteekateeka okulambula. Mu byalo by’e Bavaria, abagenyi baatuukako ku Bizimbe by’Obwakabaka, Abajulirwa b’omu kitundu gye baabaaniririza. Omukyala ataali Mujulirwa eyali alambuza ekibinja ekimu yakwatibwako nnyo olw’omukwano ogwali mu b’oluganda. Omugenyi omu yagamba nti: “Bwe twali mu bbaasi nga tukomawo ku wooteeri gye twali tusula, omukyala oyo eyatulambuza yagamba nti twali ba njawulo ku balambuzi abalala. Twali twambadde bulungi, era nga tukolagana bulungi n’abo abaali bakulembera ekibinja. Tewaaliwo akukozesa lulimi lubi wadde atabulatabula. Kyamwewuunya nnyo okulaba abantu abatamanyiganye nga baafuuka ab’omukwano mu kaseera obuseera.”

Ow’oluganda eyakola mu Kitongole ky’eby’Amawulire ku lukuŋŋaana olwali mu Prague agamba nti: “Ku Ssande ku makya, eyakulira abapoliisi abasindikibwa okukuuma olukuŋŋaana yajja gye tuli. Yagamba nti teyalina mulimu gwa kukola kubanga olukuŋŋaana lwali lwa mirembe myerere. Era yagamba nti abamu ku bantu b’omu kitundu baali bamutuukiridde nga baagala okumanya bantu ba ngeri ki abaali bagenda okukozesa ekisaawe. Bwe yabagambanga nti Bajulirwa ba Yakuwa, ne batakisanyukira, ng’omukungu wa poliisi abagamba nti: ‘Singa abantu baalina empisa ezifaananako ez’Abajulirwa ba Yakuwa, poliisi yandibadde teyetaagisa.’”

Bangi Bamaze Okununulibwa!

Ekigambo kya Katonda, Baibuli, kikola ng’olutindo olugatta Abakristaayo ab’amawanga ag’enjawulo ne baba mu ddembe era nga bali bumu. (Abaruumi 14:19; Abaefeso 4:22-24; Abafiripi 4:7) Kino kyeyoleka bulungi mu nkuŋŋaana zino ez’enjawulo eza “Okununulibwa Kuli Kumpi!” Abajulirwa ba Yakuwa banunuddwa okuva mu mitawaana gy’ensi eno mingi. Obukyayi, obusosoze mu mawanga n’okulwanagana​—ebimu ku bizibu ebitawaanya abantu​—kumpi bifumwa bufumwa , era beesunga ekiseera ensi yonna lwe liba nga tekyalimu bizibu ng’ebyo.

Abo abaaliwo ku nkuŋŋaana beerabirako n’agabwe obumu obuli mu Bajulirwa abaava mu nsi ez’enjawulo. Kino kyeyoleka bulungi nnyo ku nkomerero y’enkuŋŋaana zino ennene. Bonna baakuba mu ngalo n’essanyu lingi, ne bagwa mikwano gyabwe emipya mu bifuba era ne beekubya ebifaananyi ebisembayo. (1 Abakkolinso 1:10; 1 Peetero 2:17) Nga basanyufu era nga bakakafu nti okununulibwa okuva mu bizibu byonna kuli kumpi, abagenyi baddayo eka ne mu bibiina byabwe nga beeyongedde okuba abamalirivu okunyweza ‘ekigambo kya Katonda eky’obulamu.’​—Abafiripi 2:15, 16.

[Obugambo obuli wansi]

a Ebitundu ebimu ebya programu eno ey’enjawulo byatuusibwa ku abo abaali mu nkuŋŋaana endala mukaaga ezaali mu Poland n’olumu olwali mu Slovakia okuyitira ku mpewo.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Ennimi Abiri mu Ttaano mu Ddoboozi Limu

Mu nkuŋŋaana zonna omwenda, programu yaweebwa mu lulimi olw’ogerwa kitundu ekyo. Mu nkuŋŋaana ezaali mu Bugirimaani, emboozi zaaweebwa ne mu nnimi endala 18. Mu Dortmund emboozi zaaweebwa mu Luwalabu, Farsi, Olupotugo, Spanish, ne mu Russian; e Frankfurt mu Luzungu, Lufalansa, ne mu Serbian/Croatian; e Hamburg mu Danish, Dutch, Swedish, ne mu Tamil; e Leipzig mu Lukyayina, Polish, ne mu Turkish; ate e Munich mu Luyonaani, Luyitale, ne mu Lulimi lwa Bakiggala olw’e Bugirimaani. Olukuŋŋaana olwali e Prague emboozi zonna zaali mu Czech, Luzungu, ne Russian. Mu Bratislava programu yaweebwa mu Luzungu, Hungarian, Slovak, olulimi lwa bakiggala olw’e Slovakia. Mu Chorzow programu yali mu Polish, Russian, Ukrainian, n’Olulimi lwa Bakiggala mu Poland. Ate mu Poznan, yali Polish ne Finnish.

Ennimi zonna awamu zaali abiri mu ttaano! Mazima ddala, abaali mu nkuŋŋaana zino baali boogera ennimi za njawulo, naye ng’okwagala kubagatta.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Abagenyi abaava e Croatia abaali e Frankfurt baasanyuka nnyo okufuna “New World Translation” mu lulimi lwabwe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share