LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 7/1/07 lup. 28-32
  • “Wangulanga Obubi olw’Obulungi”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Wangulanga Obubi olw’Obulungi”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Asunguwala n’Abaako Ekiruyi Kingi”
  • ‘Tujja Kubatta’
  • ‘Jjangu Tulabagane’
  • Okulangirira Amawulire Amalungi Wadde nga Tuziyizibwa
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Nekkemiya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Bbugwe wa Yerusaalemi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Bbugwe wa Yerusaalemi
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Nekkemiya Yali Ayagala Okuweereza So Si Okuweerezebwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 7/1/07 lup. 28-32

“Wangulanga Obubi olw’Obulungi”

“Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw’obulungi.”​—ABARUUMI 12:21.

1. Lwaki tuli bakakafu nti tusobola okuwangula obubi?

KISOBOKA okunywerera ku kusinza okw’amazima nga waliwo okuyigganyizibwa okw’amaanyi? Ddala kisoboka okuziyiza ekintu kyonna ekitusikiriza okuddayo mu nsi ey’abatatya Katonda? Eky’okuddamu mu bibuuzo byombi kiri nti yee! Tusinziira ku ki okugamba bwe tutyo? Tusinziira ku ebyo omutume Pawulo by’ayogera ng’awandiikira Abaruumi. Agamba nti: “Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw’obulungi.” (Abaruumi 12:21) Bwe twesiga Yakuwa era ne tuba bamalirivu obutawangulwa nsi eno, obubi bwayo tebujja kutuwangula. Ate era, ebigambo “wangulanga obubi” biraga nti bwe tweyongera okulwanyisa obubi tusobola okubuwangula. Abo bokka abateerwanako be bajja okuwangulwa ensi eno n’omufuzi waayo, Setaani Omulyolyomi.​—1 Yokaana 5:19.

2. Lwaki tugenda kulaba ebimu ku bintu ebyatuuka ku Nekkemiya?

2 Ng’ebula emyaka nga 500 okutuuka mu kiseera Pawulo we yabeererawo, omuweereza wa Katonda omu eyali abeera mu Yerusaalemi yalaga obutuufu bw’ebigambo bya Pawulo ebikwata ku kulwanyisa obubi. Omusajja wa Katonda oyo, Nekkemiya, yasigala nga munywevu bwe yali aziyizibwa abantu abatatya Katonda, era yawangula obubi olw’obulungi. Bizibu ki bye yayolekagana nabyo? Kiki ekyamuyamba okubivvuunuka? Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kye? Okusobola okuddamu ebibuuzo bino, ka tulabe ebimu ku bintu ebyatuuka ku Nekkemiya.a

3. Bantu ba ngeri ki Nekkemiya be yali abeeramu, era mulimu ki ogwewuunyisa gwe yakola?

3 Nekkemiya yali aweereza mu lubiri lwa Kabaka Alutagizerugizi owa Buperusi. Wadde nga Nekkemiya yali abeera mu bantu abataali bakkiriza, ‘teyeefaananya’ bantu ba ‘mulembe’ ogwo. (Abaruumi 12:2) Bwe wajjawo obwetaavu mu Yuda, yeefiiriza obulamu obweyagaza, n’atindigga olugendo lw’e Yerusaalemi, era n’ayambalagana n’omulimu gw’okuzimba bbugwe w’ekibuga. (Abaruumi 12:1) Wadde nga ye yali gavana wa Yerusaalemi, buli lunaku Nekkemiya yakoleranga wamu ne Baisraeri banne okuva “obudde we bwakeereranga [okutuusa] emmunyeenye lwe zaalabikanga.” Bwe kityo, mu myezi ebiri gyokka, omulimu ogwo gwali guwedde! (Nekkemiya 4:21; 6:15) Kino kyali kyewuunyisa kubanga Abaisiraeri baayolekagana n’okuziyizibwa okutali kumu nga bakola omulimu ogwo. Baani abaali baziyiza Nekkemiya, era baalina kigendererwa ki?

4. Abalabe ba Nekkemiya baalina kigendererwa ki?

4 Sanubalaati, Tobiya, ne Gesemu be baali abalabe abakulu, nga basajja ba buyinza era nga babeera kumpi ne Yuda. Olw’okuba baali balabe b’abantu ba Katonda, ‘kyabanakuwaza nnyo okulaba Nekkemiya ng’azze okuyamba abaana ba Isiraeri.’ (Nekkemiya 2:10, 19) Abalabe ba Nekkemiya baatuuka n’okukola enkwe okumulemesa okuzimba bbugwe. Nekkemiya yandikkirizza ‘okuwangulwa obubi’?

“Asunguwala n’Abaako Ekiruyi Kingi”

5, 6. (a) Abalabe ba Nekkemiya baakola ki nga bbugwe azimbibwa? (b) Lwaki Nekkemiya teyakkiriza kutiisibwatiisibwa balabe?

5 N’obuvumu, Nekkemiya yakubiriza abantu be nti: “Tuzimbe bbugwe wa Yerusaalemi.” N’abo baddamu nti: “Tugolokoke tuzimbe.” Nekkemiya agamba nti: “Ne banyweza emikono gyabwe olw’omulimu ogwo omulungi,” naye abalabe “ne batusekerera nnyo, ne batunyooma ne boogera nti Kigambo ki kino kye mukola? Mwagala okujeemera kabaka?” Okutiisatiisa kuno n’okuwaayiriza Nekkemiya teyabiganya kumulemesa. Yagamba abalabe bano nti: “Katonda w’eggulu ye alituwa omukisa; ffe abaddu be kyetuliva tugolokoka ne tuzimba.” (Nekkemiya 2:17-20) Nekkemiya yali mumalirivu okweyongera okukola “omulimu ogwo omulungi.”

6 Sanubalaati, omu ku balabe abo, ‘yasunguwala n’abaako ekiruyi kingi’ era n’ayongera okwogera ebisongovu bingi. Yabajerega nti: “Abayudaaya bano abanafu bakola ki? . . . Baagala kuzuukiza amayinja okugaggya mu bifunvu eby’ebisasiro?” Ne Tobiya yabajerega n’agamba nti: “N’ekyo kye bazimba ekibe bwe kinaalinnyayo kinaasuula bbugwe waabwe ow’amayinja.” (Nekkemiya 4:1-3) Nekkemiya yakola ki?

7. Nekkemiya yakola ki ng’abalabe bamujereze?

7 Eby’okujerega Nekkemiya teyabifaako. Yakolera ku kiragiro kya Katonda era teyagezaako kwesasuza. (Eby’Abaleevi 19:18) Wabula ensonga yazirekera Yakuwa ng’asaba nti: “Wulira, ai Katonda waffe; kubanga tunyoomeddwa: era zza ekivume kyabwe ku mutwe gwabwe bo.” (Nekkemiya 4:4) Nekkemiya yakkiririza mu Yakuwa kye yasuubiza nti: “Okuwalana kwange, n’okusasula.” (Ekyamateeka 32:35) Ate era, Nekkemiya n’abantu be ‘beeyongera okuzimba bbugwe.’ Tebakkiriza kuwugulibwa. Mu butuufu, “bbugwe yenna n’agattibwa wamu okutuusa we yenkana obugulumivu: kubanga abantu bassaayo omwoyo eri omulimu.” (Nekkemiya 4:6) Abalabe b’okusinza okw’amazima baalemererwa okuyimiriza omulimu guno ogw’okuzimba! Tuyinza tutya okukoppa Nekkemiya?

8. (a) Tusobola tutya okukoppa Nekkemiya ng’abalabe batwogerako ebitali bituufu? (b) Waayo ekyokulabirako, ekikukwatako oba kye wawulirako, ekiraga nti kya magezi obuteesasuza.

8 Leero, abalabe baffe ku ssomero, ku mulimu, oba oluusi n’awaka bayinza okutujerega oba okutwogerako ebitali bituufu. Bwe kiba kityo, oluusi kiba kirungi okukolera ku musingi gw’Ebyawandiikibwa guno: ‘Wabaawo ekiseera eky’okusirikiramu.’ (Omubuulizi 3:1, 7) N’olw’ekyo, okufaananako Nekkemiya, naffe twewala okwesasuza nga tukozesa ebigambo ebirumya. (Abaruumi 12:17) Tutuukirira Katonda mu kusaba nga tulina obwesige olw’okuba atukakasa nti: “Nze ndisasula.” (Abaruumi 12:19; 1 Peetero 2:19, 20) Mu ngeri eyo, tetuganya balabe baffe kutuwugula kuva ku mulimu ogulina okukolebwa leero​—okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda n’okufuula abalala abayigirizwa. (Matayo 24:14; 28:19, 20) Bwe tutakkiriza balabe baffe kutulemesa kwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, tuba tulaga obumalirivu ng’obwa Nekkemiya.

‘Tujja Kubatta’

9. Abalabe ba Nekkemiya basalawo kukola ki okumulemesa, era ye Nekkemiya yakolawo ki?

9 Abalabe b’okusinza okw’amazima mu kiseera kya Nekkemiya bwe baawulira nti “omulimu ogw’okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi gugenda gweyongera,” ne bakwata ebitala “okulwana ne Yerusaalemi.” Eri Abayudaaya, kyalabika nga tewaali buddukiro bwonna. Mu bukiika kkono waaliyo Abasamaliya, ebuvanjuba ng’eriyo Abamoni, mu bukiika ddyo ng’eriyo Abawalabu, ate ebugwanjuba ng’eriyo Abasudodi. Yerusaalemi kyali kyetooloddwa; nga kirabika nti abazimbi tebalina we bawonera! Baali bagenda kukola ki? Nekkemiya agamba nti: “Ne tusaba okusaba kwaffe eri Katonda waffe.” Abalabe baabatiisatiisa nti: ‘Tujja kubatta tubalekeseeyo n’omulimu.’ Nekkemiya yalagira abazimbi balwanirire ekibuga “[n’]ebitala byabwe n’amafumu gaabwe n’emitego gyabwe.” Mu ndaba ey’obuntu, Abayudaaya abatono ennyo bwe batyo baali tebasobola kuwangula ggye ddene era ery’amaanyi bwe lityo, naye Nekkemiya yabagumya nti: “Temubatya: mujjukire Mukama omukulu ow’entiisa.”​—Nekkemiya 4:7-9, 11, 13, 14.

10. (a) Kiki ekyaleetera abalabe ba Nekkemiya okukyusa ekirowoozo amangu gatyo? (b) Kiki Nekkemiya kye yakola?

10 Wajjawo ekyukakyuka ey’amangu. Abalabe eby’okulumba baabivaako. Lwaki? Nekkemiya agamba nti: ‘Katonda yatta okuteesa kwabwe.’ Kyokka, Nekkemiya yakiraba nti abalabe bano baali bakyali ba kabi. N’olw’ekyo, yasala amagezi n’akyusa engeri abazimbi gye baali bakolamu. Okuva olwo, “buli muntu ng’akola omulimu n’omukono gwe gumu, n’ogw’okubiri nga gukutte eky’okulwanyisa kye.” Nekkemiya yassaawo n’omusajja ‘ow’okufuuwa ekkondeere’ okulabula abazimbi singa baba balumbiddwa abalabe. Naye okusingira ddala, Nekkemiya yakakasa abantu nti: “Katonda waffe ye anaatulwaniriranga.” (Nekkemiya 4:15-20) Nga bamaze okuguma n’okwetegekera abalabe, abazimbi baagenda mu maaso n’omulimu gwabwe. Biki bye tuyigira ku bintu bino ebyaliwo?

11. Kiki ekisobozesa Abakristaayo ab’amazima okugumira okuyigganyizibwa mu nsi omulimu gw’Obwakabaka gye guwereddwa, era bawangula batya obubi olw’obulungi?

11 Oluusi Abakristaayo ab’amazima boolekagana n’okuziyizibwa okw’amaanyi. Mu butuufu, mu nsi ezimu abalabe b’okusinza okw’amazima baba ba maanyi nnyo. Mu ndaba y’obuntu, basinza bannaffe mu nsi ezo balabika nga tebalina we basobola kuwonera mulabe. Wadde kiri kityo, Abajulirwa abo bakakafu nti ‘Katonda ajja kubalwanirira.’ Era abo abayigganyizibwa olw’enzikiriza yaabwe bakirabye emirundi n’emirundi nti Yakuwa addamu okusaba kwabwe ‘n’atta okuteesa’ kw’abalabe ab’amaanyi ennyo. Ne mu nsi omulimu gw’Obwakabaka gye guwereddwa, Abakristaayo basala amagezi okusobola okugenda mu maaso n’okubuulira amawulire amalungi. Ng’abazimbi b’omu Yerusaalemi bwe baakyusa mu nkola yaabwe, Abajulirwa ba Yakuwa nabo bakyusa mu ngeri zaabwe ez’okubuulira bwe baba bayigganyizibwa. Kimanyiddwa bulungi nti tebakozesa kyakulwanyisa kyonna. (2 Abakkolinso 10:4) Ne bwe kiba nti okukola omulimu gw’okubuulira kiteeka obulamu bwabwe mu kabi, tebasobola kugulekayo. (1 Peetero 4:16) Mu kifo ky’ekyo, ab’oluganda abo abavumu beeyongera ‘okuwangula obubi olw’obulungi.’

‘Jjangu Tulabagane’

12, 13. (a) Kakodyo ki abalabe ba Nekkemiya ke baagezaako okukozesa? (b) Lwaki Nekkemiya yagaana okusisinkana n’abalabe?

12 Abalabe ba Nekkemiya bwe baalaba ng’eky’okumulwanyisa kibalemye, ne basalawo okukozesa obukodyo. Kino baagezaako okukikola mu ngeri ssatu. Ze ziruwa?

13 Esooka, abalabe ba Nekkemiya baagezaako okumulimbalimba. Baamugamba nti: “Jjangu tulabaganire mu kaalo akamu ak’omu lusenyi lwa Ono.” Ono kyali kisangibwa wakati wa Yerusaalemi ne Samaliya. Kati olwo abalabe abo baali baagala Nekkemiya abasisinkane mu kifo ekyo, mbu basobole okumalawo enjawukana. Nekkemiya yali akyayinza okulowooza nti: ‘Ekyo kiwulikika nga kya magezi. Kirungi okuteesa okusinga okulwana.’ Naye Nekkemiya ekyo yakigaana. Ng’awa ensonga yagamba nti: “Baalowooza okunkola obubi.” Yasobola okulaba akakodyo kaabwe n’atalimbibwa. Enfunda nnya yagamba abalabe be nti: “S[s]iyinza kuserengeta: omulimu gwandirekeddwayo ki, nze nga nguvuddeko ne nserengeta gye muli?” Nekkemiya yagaana okukola abalabe be kye baali baagala. Yasigala nga yeemalidde ku mulimu gw’okuzimba.​—Nekkemiya 6:1-4.

14. Nekkemiya yakola ki nga bamwogeddeko eby’obulimba?

14 Ey’okubiri, abalabe ba Nekkemiya baatandika okumwogerako eby’obulimba nti ‘ayagala kujeemera’ Kabaka Alutagizerugizi. Ne ku luno era baagamba Nekkemiya nti: “Jjangu tuteese fembi.” Nekkemiya era yagaana, kubanga yategeera ekigendererwa kyabwe. Yagamba nti: “Bonna banditutiisizza nga boogera nti Emikono gyabwe girifuuka minafu okuva ku mulimu guleme okukolebwa.” Kyokka ku luno, Nekkemiya yawakanya ebyo abalabe be bye baali bamwogeddweko, n’agamba nti: “Tewakolebwanga bigambo nga bw’oyogera naye obigunze mu mutima gwo ggwe.” N’ekirala, Nekkemiya yasaba Yakuwa amuyambe, ng’agamba nti: “Nyweza gwe emikono gyange.” Yali mukakafu nti Yakuwa ajja kumuyamba okuwona enkwe zino zonna era omulimu gw’okuzimba gugende mu maaso.​—Nekkemiya 6:5-9.

15. Magezi ki nnabbi ow’obulimba ge yawa Nekkemiya, era lwaki Nekkemiya teyagakkiriza?

15 Ey’okusatu, abalabe ba Nekkemiya baakozesa Semaaya, omusajja Omuisiraeri, baleetere Nekkemiya okumenya Etteeka lya Katonda. Semaaya yagamba Nekkemiya nti: “Tulabaganire mu nnyumba ya Katonda munda wa yeekaalu, era tuggalewo enzigi za yeekaalu: kubanga banajja okukutta.” Semaaya yagamba Nekkemiya nti waaliwo abaagala okumutta naye nti yali asobola okuwona singa yeekweka mu yeekaalu. Kyokka, Nekkemiya teyali kabona. Okwekweka mu nnyumba ya Katonda yandibadde akoze kibi. Yandimenye etteeka lya Katonda asobole okuwonya obulamu bwe? Nekkemiya yaddamu nti: “Ani eyenkana awo nga nze eyandiyingidde mu yeekaalu okuwonya obulamu bwe? Siiyingiremu!” Nekkemiya yasobola atya okubuuka akatego kano? Kubanga yali akimanyi nti wadde nga Semaaya naye yali Muisiraeri, ‘Katonda si yeeyali amutumye.’ Mu butuufu, nnabbi ow’amazima yali tasobola kumuwa magezi ga kumenya Tteeka lya Katonda. Ne ku mulundi guno, Nekkemiya teyaganya balabe be kumuwangula. Oluvannyuma yawandiika nti: “Bwe kityo bbugwe n’aggwa okukola ku lunaku olw’amakumi abiri mu ttaano olw’omwezi Eruli, mu nnaku amakumi ataano mu bbiri.”​—Nekkemiya 6:10-15; Okubala 1:51; 18:7.

16. (a) Twandikutte tutya abo abatwogerako ebikyamu, abeeyita ab’oluganda n’abeefuula mikwano gyaffe? (b) Oyinza otya obutekkiriranya ng’oli awaka, ku mulimu oba ku ssomero?

16 Okufaananako Nekkemiya, naffe tuyinza okwolekagana n’abalabe nga beefuula mikwano gyaffe, batwogerako ebitali bituufu, oba nga beeyita ab’oluganda. Abantu abamu bayinza okutusendasenda twekkiriranye mu ngeri emu oba endala. Bayinza okugezaako okutumatiza tuleme okwemalira nnyo mu kuweereza Yakuwa, tusobole okwefunira ku bintu ebirungi mu nsi eno. Kyokka, olw’okuba tukulembeza Obwakabaka bwa Katonda mu bulamu bwaffe, tetwekkiriranya. (Matayo 6:33; Lukka 9:57-62) Abalabe era batwogerako eby’obulimba. Mu nsi ezimu batuwaayiriza nti tuli ba kabi eri Eggwanga, nga bwe baagamba Nekkemiya nti ajeemedde kabaka. Emirundi egimu tusobodde okwejjeerera mu kkooti z’amateeka. Ka kibe ki ekiba kivuddemu, tusaba nga tuli bakakafu nti ebintu bijja kugenda nga Yakuwa bw’ayagala. (Abafiripi 1:7) Okuziyizibwa kuyinza n’okuva mu abo abeefuula abaweereza ba Yakuwa. Nga Nekkemiya Muyudaaya munne bwe yagezaako okumusendasenda awonye obulamu bwe ng’amenya Etteeka lya Katonda, n’abamu abaaliko Abajulirwa bayinza okugezaako okutusendasenda twekkiriranye mu ngeri emu oba endala. Kyokka, tetubawuliriza kubanga tukimanyi nti obulokozi bwaffe buva mu kukwata mateeka ga Katonda so si mu kugamenya! (1 Yokaana 4:1) Yee, Yakuwa atuyamba okuwangula obubi ka bube bwa ngeri ki.

Okulangirira Amawulire Amalungi Wadde nga Tuziyizibwa

17, 18. (a) Setaani n’abawagizi be balina kigendererwa ki? (b) Kiki ky’omaliridde okukola, era lwaki?

17 Nga kyogera ku baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta, Ekigambo kya Katonda kigamba nti: ‘Baawangula Setaani olw’ekigambo kye baategeeza abantu.’ (Okubikkulirwa 12:11) N’olw’ekyo, waliwo akakwate wakati w’okuwangula Setaani​—ensibuko y’obubi​—n’okulangirira obubaka bw’Obwakabaka. Tekyewuunyisa nti Setaani akola buli ky’asobola okuyigganya ensigalira y’abaafukibwako amafuta ne ‘ab’ekibiina ekinene’!​—Okubikkulirwa 7:9; 12:17.

18 Nga bwe tulabye, abalabe bayinza okutuziyiza nga batwogerako eby’obulimba, nga batiisatiisa okutukolako akabi, oba nga bakozesa engeri endala enneekusifu. Mu buli ngeri, ekigendererwa kya Setaani bulijjo kiri kimu​—kukomya mulimu gwa kubuulira. Kyokka, taggya kutuuka ku buwanguzi kubanga okufaananako Nekkemiya, abantu ba Katonda bamalirivu ‘okuwangulanga obubi olw’obulungi.’ Kino bajja kukikola nga beeyongera okubuulira amawulire amalungi okutuusa Yakuwa lw’aligamba nti omulimu guwedde!​—Makko13:10; Abaruumi 8:31; Abafiripi 1:27, 28.

[Obugambo obuli wansi]

a Okusobola okutegeera ebizibu gye byava, soma Nekkemiya 1:1-4; 2:1-6, 9-20; 4:1-23; 6:1-15.

Ojjukira?

• Kuziyizibwa kwa ngeri ki abaweereza ba Katonda ab’edda kwe baayolekagana nakwo era n’Abakristaayo kwe boolekagana nakwo leero?

• Abalabe ba Nekkemiya baalina kigendererwa ki, era abalabe ba Katonda balina kigendererwa ki leero?

• Leero tuyinza tutya okuwangula obubi olw’obulungi?

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Eby’Okuyiga Ebiri mu Kitabo kya Nekkemiya

Abaweereza ba Katonda boolekagana

• n’okusekererwa

• n’okutiisibwatiisibwa

• n’okulimbibwa

Abalabe bakozesa obukodyo nga

• beefula mikwano gyaffe

• batwogerako ebitali bituufu

• beeyita ab’oluganda

Abaweereza ba Katonda bawangula obubi nga

• banywerera ku mulimu Katonda gwe yabawa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Abakristaayo ab’amazima babuulira amawulire amalungi awatali kutya

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share