LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 9/1/07 lup. 18-22
  • Tusobola Okuganyulwa bwe Tugumira Okubonaabona

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tusobola Okuganyulwa bwe Tugumira Okubonaabona
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okubonaabona Kutandika
  • Yakuwa Yekka y’Alina Obuyinza Okufuga
  • Okuganyulwa mu Kubonaabona
  • Essanyu ly’Abo Abalina Essuubi ery’Okubeera ku Nsi
  • Yakuwa Ajja Kusasula
  • Okubudaabuda Abo Ababonaabona
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Okubonaabona Kwonna Kunaatera Okukoma!
    Okubonaabona Kwonna Kunaatera Okukoma!
  • Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Lwaki Waliwo Ebintu Ebibi n’Okubonaabona?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 9/1/07 lup. 18-22

Tusobola Okuganyulwa bwe Tugumira Okubonaabona

“Tubayita basanyufu abo abaagumiikiriza.”​—YAKOBO 5:11, NW.

1, 2. Kiki ekiraga nti abantu okubonaabona tekyali kigendererwa kya Yakuwa?

TEWALI muntu ayagala kubonaabona era n’Omutonzi waffe, Yakuwa Katonda, tayagala kulaba bantu nga babonaabona. Kino tusobola okukiraba bwe twekenneenya Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa ne tulaba ekyaliwo ng’amaze okutonda omusajja n’omukazi. Okusooka, Katonda yakola omusajja. “Mukama Katonda n’abumba omuntu n’enfuufu y’ensi, n’amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw’obulamu; omuntu n’afuuka omukka omulamu.” (Olubereberye 2:7) Adamu yali atuukiridde mu mubiri ne mu birowoozo, era teyali wa kulwala wadde okufa.

2 Ate bulamu bwa ngeri ki Adamu bwe yalimu? “Mukama Katonda n’asimba olusuku mu Adeni ku luuyi olw’ebuvanjuba; n’ateeka omwo omuntu gwe yabumba. Mukama Katonda n’ameza mu nsi buli muti ogusanyusa amaaso, omulungi okulya.” (Olubereberye 2:8, 9) Yee, Adamu yalina amaka malungi nnyo. Mu Adeni tewaaliyo kubonaabona.

3. Bulamu bwa ngeri ki abantu ababiri abaasooka bwe bandibaddemu?

3 Olubereberye 2:18 watugamba nti: “Mukama Katonda n’ayogera nti Si kirungi omuntu okubeeranga yekka; n’amukolera omubeezi amusaanira.” Yakuwa yatondera Adamu omukazi atuukiridde ne baba nga basobola okutandika obulamu bw’amaka obw’essanyu. (Olubereberye 2:21-23) Era Baibuli etugamba nti: “Katonda n’abawa omukisa: Katonda n’abagamba nti Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye.” (Olubereberye 1:28) Abantu ababiri abaasooka bandibadde n’enkizo ey’ekitalo ey’okugaziya Olusuku Adeni okutuusa ensi yonna lwe yandifuuse olusuku lwa Katonda. Era bandizadde abaana abasanyufu, abatandibonyeebonye. Ng’entandikwa eyo yali nnungi nnyo!​—Olubereberye 1:31.

Okubonaabona Kutandika

4. Kiki ekyeyoleka obulungi bwe tutunuulira ebyafaayo by’olulyo lw’omuntu?

4 Kyokka, bwe twetegereza obulamu abantu bwe bazze bayitamu, kyeyoleka bulungi nti waliwo ekyasoba. Wabaddewo ebizibu bingi era olulyo lw’omuntu lubonyeebonye nnyo. Okumala emyaka mingi nnyo, bazzukulu ba Adamu ne Kaawa bonna babadde balwala, bakaddiwa, era ne bafa. Ensi kati si lusuku lwa Katonda omujjudde abantu abasanyufu. Embeera ensi gy’erimu ennyonnyolwa bulungi mu Abaruumi 8:22 awagamba nti: “Ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano.”

5. Bazadde baffe abaasooka baakola ki ekyaviirako olulyo lw’omuntu okubonaabona?

5 Yakuwa si y’anenyezebwa olw’okubonaabona okungi ennyo okubaddewo ebbanga lino lyonna. (2 Samwiri 22:31) Ebizibu ebimu bivudde ku bantu. “[Boonoonese], bakoze ebikolwa eby’obugwagwa.” (Zabbuli 14:1) Ku ntandikwa, bazadde baffe abaasooka baaweebwa buli kintu ekirungi. Okusobola okusigala nga bali bulungi, kyali kibeetaagisa okuba abawulize eri Katonda, naye Adamu ne Kaawa baasalawo okwewaggula ku Yakuwa. Olw’okuba bazadde baffe abaasooka beewaggula ku Yakuwa, baali tebasobola kusigala nga batuukiridde. Bandigenze banafuwa mu mubiri okutuusa lwe bandifudde. Baatusikiza obutali butuukirivu bwabwe.​—Olubereberye 3:17-19; Abaruumi 5:12.

6. Kiki Setaani kye yakola mu kutandikawo okubonaabona?

6 Ate omulala eyaviirako okubonaabona okuva ku lubereberye kye kitonde eky’omwoyo ekyafuuka Setaani Omulyolyomi. Yaweebwa eddembe ery’okwesalirawo. Kyokka, yakozesa bubi eddembe eryo ng’ayagala okusinzibwa, ng’ate Yakuwa yekka y’asaanidde okusinzibwa, so si bitonde bye. Setaani ye yasendasenda Adamu ne Kaawa okwewaggula ku Yakuwa, ng’agamba nti basobola “okuba nga Katonda okumanyanga obulungi n’obubi.”​—Olubereberye 3:5.

Yakuwa Yekka y’Alina Obuyinza Okufuga

7. Ebyo ebivudde mu kujeemera Yakuwa byoleka ki?

7 Ebizibu ebivudde mu bujeemu biraga bulungi nti Yakuwa ye yekka, Omufuzi w’Obutonde byonna, asaanidde okufuga era nti obufuzi bwe bwokka bwe butuukiridde. Mu myaka gyonna egiyise kyeyolese bulungi nti Setaani, eyafuuka “omufuzi w’ensi eno,” ye yaleetawo obufuzi obubi omuli ebikolwa ebitali bya butuukirivu n’eby’obukambwe. (Yokaana 12:31, NW) Mu bbanga eddene abantu lye bamaze nga bafugira wansi w’obukulembeze bwa Setaani, kyeyolese bulungi nti tebalina busobozi bwa kufuga mu butuukirivu. (Yeremiya 10:23) N’olwekyo, okuggyako obufuzi bwa Yakuwa, tewali bufuzi bulala bwonna busobola kufuga mu ngeri ematiza. Ebyafaayo biraze bulungi nti kino kituufu.

8. Kiki Yakuwa ky’anaakolera obufuzi bw’abantu, era kino agenda kukikola atya?

8 Olw’okuba Yakuwa alese abantu ne bagezaako obufuzi obw’enjawulo okumala ebbanga ddene, aba mutuufu okuggyawo obufuzi obwo bwonna ku nsi n’ateekawo gavumenti ye. Obunnabbi obukwata ku kino bugamba nti: “Mu mirembe gya bakabaka abo [obufuzi bw’abantu], Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka [gavumenti ye ey’omu ggulu eri mu mikono gya Kristo], obutalizikirizibwa emirembe gyonna, . . . naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.” (Danyeri 2:44) Obufuzi bwa badayimooni n’obw’abantu bujja kuzikirizibwa, era Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu bwokka bwe bujja okufuga ensi. Kristo y’ajja okuba Kabaka, era abantu abeesigwa 144,000 okuva mu nsi bajja kufuga wamu naye.​—Okubikkulirwa 14:1.

Okuganyulwa mu Kubonaabona

9, 10. Okubonaabona Yesu kwe yayitamu kwamuganyula kutya?

9 Kirungi okwetegereza ebisaanyizo by’abo abagenda okufuga mu Bwakabaka obw’omu ggulu. Okusooka, Kristo Yesu yalaga nti ddala asaanidde okubeera Kabaka. Yali amaze emyaka butabalika ne Yakuwa Kitaawe ng’akola by’ayagala, era yali ‘mukoza’ We. (Engero 8:22-31) Yakuwa bwe yamutuma ku nsi, Yesu yakkiriza awatali kuwalirizibwa. Ng’ali ku nsi, Yesu yeemalira ku kubuulira abalala ebikwata ku bufuzi bwa Yakuwa n’Obwakabaka Bwe. Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’obuwulize mu mbeera zonna eri obufuzi obwo.​—Matayo 4:17; 6:9.

10 Yesu yayigganyizibwa, era oluvannyuma n’attibwa. Mu buweereza bwe, yeetegereza bulungi ebizibu byonna ebiruma abantu. Okulaba ebizibu bino n’okuba nti naye kennyini yabonaabona kirina engeri yonna gye kyamuganyula? Yee. Abaebbulaniya 5:8 wagamba nti: “Newakubadde nga Mwana [wa Katonda], naye yayiga okugonda olw’ebyo bye yabonaabona.” Ebizibu Yesu bye yayitamu ng’ali ku nsi byamwongera okuba ow’ekisa. Yeerabirako kennyini ebizibu abantu bye boolekagana nabyo. Yali asobola okutegeera obulungi okubonaabona era n’ensonga lwaki kyali kimwetaagisa okubayamba. Weetegereze engeri kino omutume Pawulo gye yakyogerako mu kitabo ky’Abaebbulaniya: “Kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga kabona asinga obukulu ow’ekisa omwesigwa mu bigambo ebiri eri Katonda, olw’okutangirira ebibi by’abantu. Kubanga olw’okubonyaabonyezebwa ye yennyini ng’akemebwa, kyava ayinza okubayamba abo abakemebwa.” “Tetulina kabona asinga obukulu atayinza kulumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe; naye eyakemebwa mu byonna bumu nga ffe, songa nga ye talina kibi. Kale tusemberenga n’obuvumu eri entebe ey’ekisa, tulyoke tuweebwe okusaasirwa, era tufune ekisa olw’okubeerwa bwe tukwetaaga.”​—Abaebbulaniya 2:17, 18; 4:14-16; Matayo 9:36; 11:28-30.

11. Abo abanaaba bakabaka era bakabona bye bayiseemu ku nsi binaabaganyula bitya nga bafuga?

11 Ekintu kye kimu kiyinza okwogerwa ku 144,000 ‘abaagulibwa’ okuva mu nsi okugenda okufugira awamu ne Kristo Yesu mu Bwakabaka obw’omu ggulu. (Okubikkulirwa 14:4) Bonna baazaalibwa wano ku nsi, ne bakulira mu nsi ejjudde okubonaabona era nga nabo babonaabona. Bangi baayigganyizibwa, era abamu baatuuka n’okuttibwa olw’okukuuma obugolokufu bwabwe eri Yakuwa n’okugoberera Yesu. Naye ‘tebaakwatibwa nsonyi kuwa bujulirwa ku Mukama waabwe, nga babonyaabonyezebwanga olw’amawulire amalungi.’ (2 Timoseewo 1:8) Balina ebisaanyizo eby’okulamula olulyo lw’omuntu olw’ebyo bye bayiseemu ku nsi. Kibayigirizza okubeera ab’ekisa era abeetegefu okuyamba abantu.​—Okubikkulirwa 5:10; 14:2-5; 20:6.

Essanyu ly’Abo Abalina Essuubi ery’Okubeera ku Nsi

12, 13. Abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi baganyulwa batya mu kubonaabona?

12 Okubonaabona okuliwo kulina engeri yonna gye kuganyulamu abo abalina essuubi ery’okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi omutajja kuba kulwala, nnaku, n’okufa? Obulumi n’ennaku ebiva mu kubonaabona ku lwabyo tewali abyagala. Naye bwe tugumira okubonaabona ng’okwo, kituyamba okukulaakulanya engeri ennungi era kino kivaamu essanyu.

13 Lowooza ku ekyo Ekigambo kya Katonda kye kyogera ku nsonga eno: “Naye newankubadde nga mubonyabonyezebwa olw’obutuukirivu, mulina omukisa [“essanyu,” NW].” “Bwe muvumibwanga olw’erinnya lya Kristo, mulina omukisa [“essanyu,” NW].” (1 Peetero 3:14; 4:14) “Mulina essanyu abantu bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, era ne babawaayiriza ebintu ebibi ebya buli kika ku lwange. Musanyuke, mujaguze, kubanga empeera yammwe nnene mu ggulu.” (Matayo 5:11, 12, NW) “Alina essanyu omuntu agumiikiriza ng’agezesebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa, ajja kufuna engule ey’obulamu.”​—Yakobo 1:12, NW.

14. Kiki ekiri mu kubonaabona ekireetera abasinza ba Yakuwa essanyu?

14 Okubonaabona kwe tuyitamu ku bwako si kwe kutuleetera essanyu. Wabula essanyu n’obumativu, biva mu kumanya nti tubonaabona olw’okuba tukola Yakuwa ky’ayagala era tugoberera ekyokulabirako kya Yesu. Ng’ekyokulabirako, mu kyasa ekyasooka, abatume abamu baasibibwa mu kkomera ne baleetebwa mu maaso g’Olukiiko Olukulu olw’Ekiyudaaya era ne bavunaanibwa olw’okubuulira ebikwata ku Yesu Kristo. Baakubibwa era oluvannyuma ne bateebwa. Kino baakitwala batya? Baibuli egamba nti ‘baava mu maaso g’Olukiiko nga basanyufu kubanga baasaanira okuswazibwa ku lw’erinnya lya Yesu.’ (Ebikolwa 5:17-41) Baali basanyufu, si lwa kuba nti baakubibwa oba baalumizibwa, naye lwa kuba baakimanya nti bakubiddwa olw’okukuuma obwesige bwabwe eri Yakuwa n’olw’okutambulira mu bigere bya Yesu.​—Ebikolwa 16:25; 2 Abakkolinso 12:10; 1 Peetero 4:13.

15. Mu ngeri ki okugumira okubonaabona kati gye kunaatuyamba mu biseera eby’omu maaso?

15 Singa tuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kuziyizibwa n’okuyigganyizibwa, kijja kutuyamba okuyiga obugumiikiriza. Kino kijja kutuyamba okugumira okubonaabona mu biseera eby’omu maaso. Tusoma nti: “Mulowoozenga byonna okuba essanyu, baganda bange, bwe munaagwanga mu kukemebwa okutali kumu; nga mutegeera ng’okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe kuleeta okugumiikiriza.” (Yakobo 1:2, 3) Mu ngeri y’emu, Abaruumi 5:3-5, NW, watugamba nti: “Twenyumirizenga mu kubonaabona kwaffe, nga tumanyi nti okubonaabona kuvaamu okugumiikiriza, okugumiikiriza ne kuvaamu okusiimibwa Katonda, n’okusiimibwa Katonda ne kuvaamu okusuubira, era ng’ebisuubirwa bituukirira.” N’olwekyo, gye tukoma okugumira ebizibu bye tufuna olw’okutambulira mu kkubo ly’Ekikristaayo, gye tukoma okugumira ebizibu ebirala bye tufuna mu nsi eno embi.

Yakuwa Ajja Kusasula

16. Kiki Yakuwa ky’anaakolera abo abagenda okufuuka bakabaka era bakabona olw’okubonaabona kwe bayiseemu?

16 Ne bwe tufiirwa ebintu nga tuziyizibwa oba nga tuyigganyizibwa olw’okunywerera ku kkubo ly’Ekikristaayo, tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa empeera mu bujjuvu. Ng’ekyokulabirako, eri abamu ku abo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu, omutume Pawulo yawandiika nti: “Mwagumiikiriza n’essanyu okunyagibwako ebintu byammwe, nga mutegeera nga mulina mwekka ebintu ebisinga obulungi era eby’olubeerera” nga kwe kuba abafuzi mu Bwakabaka bwa Katonda. (Abaebbulaniya 10:34) Era teebereza essanyu lye baliba nalyo wansi w’obulagirizi bwa Yakuwa ne Kristo nga batuusa emikisa egy’ekitalo ku bantu abalibeera mu nsi empya. Omutume Pawulo yali mutuufu bwe yagamba Abakristaayo abeesigwa nti: “[Ndaba] ng’okubonaabona okw’omu biro bya kaakati nga [tekuyinza kugeraageranyizibwa] n’ekitiibwa ekigenda okutubikkulirwa ffe.”​—Abaruumi 8:18.

17. Kiki Yakuwa ky’ajja okukolera abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi abamuweereza n’obwesigwa?

17 Mu ngeri y’emu, abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi ka babe nga bafiiriddwa oba beerekereza ki olw’okuweereza Yakuwa, ajja kubawa empeera nnene nnyo mu biseera eby’omu maaso. Ajja kubawa obulamu obutuukiridde era nga tebuliiko kkomo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Mu nsi eyo empya, Yakuwa “alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa.” (Okubikkulirwa 21:4) Ekyo nga kisuubizo kya kitalo! Tewali kintu kyonna kye tuyinza kwefiiriza oba kufiirwa olw’erinnya lya Yakuwa kiyinza kugeraageranyizibwa ku bulamu obw’ekitalo obugenda okujja, bw’ajja okuwa abaweereza be abeesigwa abagumidde okubonaabona.

18. Kisuubizo ki ekizzaamu amaanyi Yakuwa ky’awa mu Kigambo kye?

18 Okubonaabona kwonna kwe tuyinza okugumira tekujja kutulemesa kunyumirwa bulamu butaggwawo mu nsi ya Katonda empya. Ebyo byonna bijja kwerabirwa olw’embeera ennungi ezinaabaawo mu nsi empya. Isaaya 65:17, 18 watugamba nti: “Ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo. Naye musanyuke mujagulize ennaku zonna ekyo kye ntonda.” N’olwekyo kyali kituufu Yakobo muganda wa Yesu okugamba nti: “Tubayita basanyufu abo abaagumiikiriza.” (Yakobo 5:11, NW) Yee, singa tugumira okubonaabona okuliwo n’obwesigwa, tujja kuganyulwa kati n’emu biseera eby’omu maaso.

Wandizzeemu Otya?

• Abantu bajja batya okutandika okubonaabona?

• Okubonaabona kunaaganyula kutya abo abagenda okufuga ensi n’abo abagenda okugibeeramu?

• Lwaki tusobola okuba abasanyufu kati wadde nga tubonaabona?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Bazadde baffe abaasooka baali bajja kunyumirwa obulamu obw’ekitalo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Okulaba abantu nga babonaabona kyateekateeka Yesu okufuuka Kabona Omukulu era Kabaka omulungi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Abatume ‘baasanyuka olw’okuba baasaanira okuswazibwa olw’okukkiriza kwabwe’

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share