LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 9/1/07 lup. 8
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Similar Material
  • ‘Omuddu Omwesigwa’ Asiimibwa mu Kiseera eky’Okukeberebwa!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • “Omuddu” Omwesigwa era nga wa Magezi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Omuddu Omwesigwa era ow’Amagezi y’Ani?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • “Bagoberera Omwana gw’Endiga”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 9/1/07 lup. 8

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti omuddu we omwesigwa yandibadde wa ‘magezi’?

Yesu yabuuza nti: “Aluwa nate omuddu oyo omwesigwa ow’amagezi, mukama we gwe yasigira ab’omu nju ye, okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyayo?” (Matayo 24:45) “Omuddu” oyo agaba “emmere” ey’eby’omwoyo kye kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Lwaki Yesu yabayita ab’amagezi?a

Yesu bye yayogera bisobola bulungi okutuyamba okutegeera kye yali agamba bwe yakozesa ekigambo “ow’amagezi.” Ng’ekyokulabirako, bwe yali ayogera ku ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi,’ Yesu yagera olugero lw’abawala ekkumi abaali balindirira omugole. Abawala bano batujjukiza Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaali balindirira okutuuka kw’Omugole omukulu, Yesu Kristo, ng’omwaka 1914 tegunnatuuka. Omugole yagenda okutuuka, ng’abataano ku bawala abo ekkumi tebalina mafuta gabamala, era ne basubwa embaga. Ate abataano abalala bo baali ba magezi. Baaleeta amafuta agabamala era ettabaza zaabwe zaali zaaka omugole we yatuukira, bakkirizibwa okuba ku mbaga.​—Matayo 25:10-12.

Yesu bwe yafuuka Kabaka mu 1914, bangi ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta baali basuubira okugenderawo mu ggulu okumwegattako. Kyokka, baali bakyalina omulimu ogw’okukola, naye ng’abamu baali tebagwetegekedde. Okufaananako abawala abasirusiru, baali tebeenywezezza mu by’omwoyo, era nga tebeetegese kweyongera kumulisa ttabaaza zaabwe. Kyokka, abasinga obungi baayoleka amagezi era baalengera wala ne beenyweza mu by’omwoyo. Bwe baakitegeera nti baali bakyalina omulimu ogw’okukola, baagenda mu maaso ne bagukola n’essanyu. Mu ngeri eno, kyeyoleka bulungi nti be baali ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’

Ate era weetegereze engeri Yesu gye yakozesaamu ekigambo “ow’amagezi” mu Matayo 7:24. Yagamba nti: “Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo n’amala abikola, kyaliva afaananyizibwa n’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi.” Omusajja ow’amagezi azimba ku lwazi ng’amanyi nti wayinza okubaawo omuyaga. Ate ye omusajja omusirusiru azimba ku musenyu era ennyumba ye egwa. N’olwekyo, omugoberezi wa Yesu ow’amagezi y’oyo alengera akabi akali mu kugoberera amagezi g’abantu. Ategeera ensonga era azikwata n’amagezi ne kimuleetera okwesigamya okukkiriza kwe, ebyo by’akola n’eby’ayigiriza ku bigambo bya Yesu. ‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ naye bw’atyo bw’akola.

Era weetegereze engeri ekigambo “ow’amagezi” gye kikozesebwamu mu nnyiriri ez’enjawulo mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Ng’ekyokulabirako, Falaawo yalonda Yusufu okugaba emmere mu Misiri. Eno yali nteekateeka ya Yakuwa ey’okuyamba abantu be okufuna emmere. Lwaki Yusufu yalondebwa? Falaawo yamugamba nti: “Tewali mukabakaba era ow’amagezi nga gwe.” (Olubereberye 41:33-39; 45:5) Mu ngeri y’emu, Baibuli egamba nti Abbigayiri yali “mutegeevu.” Yawa Dawudi, Yakuwa gwe yafukako amafuta, awamu ne basajja be emmere. (1 Samwiri 25:3, 11, 18) Yusufu ne Abbigayiri bayinza okuyitibwa ab’amagezi kubanga baategeera Katonda ky’ayagala, ensonga baazikwata mu ngeri eyoleka amagezi n’okulengera ewala.

N’olwekyo, Yesu bwe yagamba nti omuddu omwesigwa yandibadde wa magezi, yali alaga nti abo abakiikirirwa omuddu oyo bandibadde bategeera ensonga, bazikwata mu ngeri y’amagezi era nga balengera wala kubanga okukkiriza kwabwe, bye bakola ne bye bayigiriza byesigamye ku Kigambo kya Katonda eky’amazima.

[Obugambo obuli wansi]

a Ekigambo “ow’amagezi” kiva mu ky’Oluyonaani phroʹni·mos. Ekitabo Word Studies in the New Testament, ekyakubibwa M. R. Vincent, kigamba nti ekigambo kino kitera kutegeeza okumanya okw’omugaso n’okulengera ewala.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share