LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w07 10/1/07 lup. 23-27
  • Okutuukana n’Ekigendererwa kya Katonda Leero

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okutuukana n’Ekigendererwa kya Katonda Leero
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ebyetaagisa Okusobola Okukulaakulana
  • Yiga Obutagwa Lubege
  • Okuluubirira Okuweereza Katonda Ekiseera Kyonna
  • Obulamu obw’Amakulu
  • Okunoonya Ekigendererwa Ekituufu mu Bulamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Abavubuka—Munaakozesa Mutya Obulamu Bwammwe?
    Abavubuka—Munaakozesa Mutya Obulamu Bwammwe?
  • Jjukira Abo Abali mu Buweereza obw’Ekiseera Kyonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Okufuna Essanyu mu Buweereza Obupya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 10/1/07 lup. 23-27

Okutuukana n’Ekigendererwa kya Katonda Leero

“[Kristo] yafiirira bonna, abalamu balemenga okubeera abalamu nate ku bwabwe bokka.”​—2 ABAKKOLINSO 5:15.

1. Yogera ebyaliwo mu kitundu omuminsani omu gye yali agenze.

OMUMINSANI ayitibwa Aarona agamba nti: “Ng’olutalo lw’omunda luwedde, emmotoka yaffe ye mmotoka eteri ya magye eyasooka okugenda mu kyalo ky’omu Afirika ekimu ekyali ewala ennyo. Twali tetumanyi bifa ku ba luganda mu kibiina ekitono ekyali mu kitundu ekyo, ate nga twalina okubatwalira obuyambi. Ng’oggyeko emmere, eby’okwambala, n’ebitabo ebinnyonnyola Baibuli, twabatwalira vidiyo eyitibwa Jehovah’s Witnesses​—The Organization Behind the Name.b Abantu bajja bangi nnyo okugiraba mu nsiisira ennene ab’oku kyalo mwe balabira emizannyo ne kiba nti twalina okugiraga emirundi ebiri. Oluvannyuma lw’okulaga vidiyo eno abantu bangi bakkiriza okutandika okuyiga Baibuli. Kyeyoleka bulungi nti okufuba kwaffe kwali kuvuddemu ebirungi bingi.”

2. (a) Lwaki Abakristaayo bamaliridde okukozesa obulamu bwabwe okuweereza Katonda? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

2 Lwaki Aaron ne banne baasalawo okutindigga olugendo olutaali lwangu? Olw’okusiima ekinunulo kya Yesu Kristo, baawaayo obulamu bwabwe eri Katonda era baagala okubukozesa mu ngeri etuukana n’ekigendererwa kya Katonda. Mu ngeri y’emu, Abakristaayo bonna abeewaayo bamaliridde ‘obutaba balamu ku bwabwe bokka’ naye okukola kyonna kye basobola “olw’enjiri.” (2 Abakkolinso 5:15; 1 Abakkolinso 9:23) Bakimanyi nti enkomerero y’omulembe guno bw’eneetuuka, essente n’ebitiibwa by’ensi eno tebijja kuba na mugaso. N’olwekyo, obulamu bwabwe baagala okubukozesa mu ngeri etuukana n’ekigendererwa kya Katonda. (Omubuulizi 12:1) Kino tusobola ku kikola tutya? Obuvumu n’amaanyi ebyetaagisa tusobola kubijja wa? Era ngeri ki ez’enjawulo mwe tusobola okuweerereza Katonda?

Ebyetaagisa Okusobola Okukulaakulana

3. Biki ebizingirwa mu kukola Katonda by’ayagala?

3 Abakristaayo ab’amazima bakimanyi balina okukola Katonda by’ayagala obulamu bwabwe bwonna. Kino batera okutandika okukikola nga bayingira Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, basoma Baibuli buli lunaku, beenyigira mu kubuulira, era nga bakulaakulana ne babatizibwa. Omuntu bw’agenda akulaakulana, kitujjukiza ebigambo bya Pawulo bino: “Ebyo obirowoozenga, obeerenga mu ebyo; okuyitirira kwo kulabikenga eri bonna.” (1 Timoseewo 4:15) Okukulaakulana ng’okwo kuba kulaga nti tuli bamalirivu okukola Katonda by’ayagala n’omutima gwaffe gwonna so si kwagala kwegulumiza. Bwe tukola bwe tutyo tuba tulaga nti twagala Katonda atuwe obulagirizi mu bulamu, era kino akikola mu ngeri ya waggulu nnyo okutusinga.​—Zabbuli 32:8.

4. Tusobola tutya okwewala okutya ekitasaana?

4 Kyokka singa tulonzalonza oba twetya ekisukkiridde, tetujja kukulaakulana mu buweereza bwaffe eri Katonda. (Omubuulizi 11:4) N’olwekyo, okusobola okufuna essanyu mu kuweereza Katonda n’abalala kiyinza okutwetaagisa okusooka okweggyamu okutya. Ng’ekyokulabirako, Erik yalina ekirowoozo eky’okuweereza mu kibiina ekyogera olulimi olugwira naye nga yeebuuza: ‘Nnaasobola okubabeeramu? Ab’oluganda abo nnaasobola okubaagala? Ye bo banaanjagala?’ Agamba nti: “Oluvannyuma nnakiraba nti nnina okufaayo ku b’oluganda mu kifo ky’okwefaako. Eby’okutya nnabivaako era ne nsalawo okukola kyonna kye nsobola okuyamba abalala. Nnasaba Katonda okunnyamba era ne ŋŋenda mu maaso n’enteekateeka zange. Kati nnina essanyu lingi nnyo mu buweereza bwange.” (Abaruumi 4:20) Yee, gye tunaakoma okuweereza Katonda n’abalala n’omutima gwaffe gwonna, gye tujja okukoma okufuna essanyu n’obumativu.

5. Lwaki kyetaagisa okukola enteekateeka ennungi okusobola okutuukana n’ekigendererwa kya Katonda? Waayo ekyokulabirako.

5 Okusobola okutuukana obulungi n’ekigendererwa kya Katonda kyetaagisa n’okukola enteekateeka ennungi. Twewala okuba n’amabanja amangi agayinza okutuleetera okuba abaddu b’omulembe guno ne gatulemesa okukola omulimu gwa Katonda. Baibuli etujjukiza nti: “Eyeewola aba muddu w’awola.” (Engero 22:7) Bwe twesiga Yakuwa era ne tussa eby’omwoyo mu kifo ekisooka, kituyamba obutawugulwa. Ng’ekyokulabirako, mu kitundu Guoming ne bannyina babiri gye babeera ne nnyaabwe, ebisale by’amayumba biri wa ggulu era si kyangu kufuna mulimu gwa nkalakkalira. Olw’okuba bakwata bulungi ssente era nga buli omu aliko ky’agula awaka, basobola okwetuusaako bye beetaaga wadde ng’oluusi abamu baba tebakola. Guoming agamba nti: “Oluusi abamu tuyinza okuba nga tetulina mulimu, naye tusobola okweyongera okubuulira nga bapayoniya, n’okulabirira obulungi maama waffe. Tuli basanyufu nti Maama tayagala tuve ku bwapayoniya tusobole okumutuusaako buli kalungi.”​—2 Abakkolinso 12:14; Abaebbulaniya 13:5.

6. Kyakulabirako ki ekiraga engeri gye tuyinza okutuukanya obulamu bwaffe n’ekigendererwa kya Katonda?

6 Bw’oba nga weemalidde mu bintu by’ensi eno gamba ng’okunoonya ssente oba ekintu ekirala, kiyinza okukwetaagisa okukola enkyukakyuka ez’amaanyi okusobola okukulembeza Katonda by’ayagala. Okukola enkyukakyuka ng’ezo kitera okutwala ekiseera, era mu kusooka ebintu bwe biba tebigenda nga bw’oyagala tokitwala nti olemereddwa. Lowooza ku Koichi, eyamaliranga ebiseera bye mu kwesanyusaamu. Koichi yali yasomako Baibuli mu myaka gye egy’obutiini, naye yamala ebbanga ddene ng’ebiseera bye ebisinga abimalira mu mizannyo gya vidiyo. Lumu Koichi yeebuuza nti: ‘Ndi ku ki? Kati nsussa mu myaka 30, naye sirina kintu kya makulu kye nkola mu bulamu!’ Koichi yaddamu okuyiga Baibuli era n’akkiriza obuyambi okuva mu kibiina. Wadde tekyamwanguyira kukola nkyukakyuka, teyaggwamu maanyi. Olw’okusaba ennyo n’abalala okumuzzaamu amaanyi, yasobola okuvvuunuka ekizibu ekyo. (Lukka 11:9) Koichi kati musanyufu era akola ng’omuweereza mu kibiina.

Yiga Obutagwa Lubege

7. Lwaki kirungi okumanya obusobozi bwaffe we bukoma nga tukola omulimu gwa Katonda?

7 Okukola Katonda by’ayagala kitwetaagisa okufuba ennyo. Okusobola okukola ekyo, tetusaanidde kwesaasira oba kuba bagayaavu. (Abaebbulaniya 6:11, 12) Wadde kiri kityo, Yakuwa tayagala tukole nga tetwebalirira. Okukijjukira nti Katonda y’atusobozesa okutuukiriza omulimu gwe, kimuweesa ekitiibwa era ne kiraga nti tulina endowooza etegudde lubege. (1 Peetero 4:11) Yakuwa asuubiza okutuwa amaanyi ge twetaaga okukola by’ayagala, naye tatusuubira kukola kisukka ku busobozi bwaffe. (2 Abakkolinso 4:7) Okusobola okweyongera okuweereza Katonda nga tetwemenye, tuteekwa okumanya amaanyi gaffe we gakoma.

8. Kiki ekyaliwo Omukristaayo omu bwe yagezaako okukola ennyo ku mulimu ne mu buweereza bwe eri Yakuwa, era yakola nkyukakyuka ki?

8 Ng’ekyokulabirako, okumala emyaka ebiri mwannyinaffe Ji Hye, abeera mu Asiya ow’Ebuvanjuba, yalina omulimu ogwetaagisa ebiseera ebingi ng’ate aweereza nga payoniya. Agamba nti: “Nnagezaako okukola ennyo ku mulimu ne mu buweereza bwange eri Yakuwa, naye nga nneebaka essaawa ttaano zokka. Oluvannyuma nneesanga nga nkaluubirirwa okusoma n’okufumiitiriza ku by’omwoyo era nga sikyafuna ssanyu mu buweereza bwange.” Okusobola okuweereza Yakuwa ‘n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna, n’ebirowoozo bye byonna, n’amaanyi ge gonna,’ Ji Hye yanoonya omulimu ogwali gutamwetaagisa biseera bingi. (Makko 12:30) Agamba nti: “Wadde ab’eŋŋanda baali bankubiriza kukola ssente nnyingi, nnafuba okussa Katonda by’ayagala mu kifo ekisooka. Nfuna ssente ezinsobozesa okwetuusaako bye nneetaaga, gamba ng’engoye ezisaanira. Ate era mpulira bulungi okuba nti nneebaka ekimala! Nfuna essanyu mu buweereza bwange, era kati nneeyongedde okunywera mu by’omwoyo. Kino kivudde ku kuba nti sikyamalira nnyo biseera byange ku bintu bya mu nsi ebiyinza okunsikiriza oba okumpugula.”​—Omubuulizi 4:6; Matayo 6:24, 28-30.

9. Okufuba kwaffe kuyinza kutya okukwata ku bantu mu nnimiro?

9 Si buli omu nti asobola okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna. K’obe ng’okaddiye, otawaanyizibwa obulwadde, oba ng’olina obuzibu obulala, kijjukire nti Yakuwa asiima obwesigwa bwo n’okuba nti omuweereza n’omutima gwo gwonna. (Lukka 21:2, 3) N’olw’ensonga eyo tewali n’omu ku ffe asaanidde kwenyooma ng’alowooza nti ekitono ky’akola tekirina ngeri gye kikwata ku balala. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okubaako abantu abatonotono be tutuukirira mu maka gaabwe naye ne balabika ng’abatayagala kuwuliriza bubaka bwaffe. Bwe tumala okugenda, abantu abo, wadde abagaanyi okutwaniriza, basobola okusigala nga batwogerako okumala ekiseera! Tetwandisuubidde nti buli gwe tubuulira amawulire amalungi ajja kuwuliriza, naye abamu bajja kugasiima. (Matayo 13:19-23) Abalala bayinza okukkiriza amazima oluvannyuma lw’okubaawo enkyukakyuka mu nsi oba mu bulamu bwabwe. Mu buli ngeri, bwe tukola kyonna kye tusobola mu buweereza bwaffe, tuba tukola mulimu gwa Katonda. Ekikulu kiri nti “Katonda tuli bakozi banne.”​—1 Abakkolinso 3:9.

10. Biki bye tuyinza okukola mu kibiina?

10 Okugatta ku ekyo, buli omu ku ffe asobola okuyamba ab’omu maka ge ne baganda baffe mu kibiina. (Abaggalatiya 6:10) Ebirungi bye tukola bisobola okukwata ennyo ku balala. (Omubuulizi 11:1, 6) Abakadde n’abaweereza bwe batuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe, kiviirako ab’oluganda okwongera okuba abanywevu mu by’omwoyo n’ekibiina okukulaakulana. Tuli bakakafu nti ‘bwe tweyongera bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe’ okufuba kwaffe ‘tekujja kuba kwa bwereere.’​—1 Abakkolinso 15:58.

Okuluubirira Okuweereza Katonda Ekiseera Kyonna

11. Biki ebirala bye tusobola okukola ng’oggyeko okuweerereza mu kibiina gye tukuŋŋaanira?

11 Ng’Abakristaayo, twagala obulamu era twagala okuweesa Katonda ekitiibwa mu byonna bye tukola. (1 Abakkolinso 10:31) Bwe tunyiikira okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okuyigiriza abalala okukwata byonna Yesu bye yalagira, tujja kukizuula nti waliwo obuweereza bwa ngeri nnyingi obusobola okutuleetera essanyu. (Matayo 24:14; 28:19, 20) Ng’oggyeko okuweerereza mu kibiina gye tukuŋŋaanira, tusobola okuweereza mu kibiina ekyogera olulimi olulala, mu bitundu oba mu nsi ewali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Abakadde n’abaweereza abalina ebisaanyizo abali obwa nnamunigina basobola okugenda mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza, era oluvannyuma ne baweereza mu bibiina ewali obwetaavu bw’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo mu nsi yaabwe oba mu nsi endala. Abafumbo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna abalina ebisaanyizo basobola okugenda mu ssomero lya Giriyaadi eritendeka abaminsani, n’oluvannyuma ne baweereza mu nsi endala. Era waliwo n’obwetaavu bwa bannakyewa mu maka ga Beseri ne mu kuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe eby’okusinzizaamu ne ofiisi z’amatabi.

12, 13. (a) Osalawo otya obuweereza bw’oyinza okuyingira? (b) Laga engeri obumanyirivu mu buweereza obw’engeri emu gye buyinza okuba obw’omugaso mu buweereza obw’engeri endala.

12 Buweereza bwa ngeri ki bw’osobola okuyigira? Ng’Omukristaayo eyeewaddeyo eri Yakuwa, bulijjo noonya obulagirizi okuva gy’ali n’okuva eri ekibiina kye. ‘Omwoyo gwe omulungi’ gujja kukuyamba okusalawo mu ngeri entuufu. (Nekkemiya 9:20) Enkizo z’obuweereza ze tufuna emirundi mingi zitutuusa ku ndala, era obumanyirivu n’obukugu bwe tufuna mu buweereza obw’engeri emu buyinza okuba obw’omugaso mu buweereza obw’engeri endala.

13 Ng’ekyokulabirako, Dennis ne mukyala we, Jenny, batera okwenyigira mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Baayamba mu kudduukirira abo abaali mu bwetaavu oluvannyuma lw’omuyaga Katrina okukuba ebitundu by’omu bukiikaddyo bw’Amerika. Dennis agamba nti: “Okukozesa obumanyirivu bwe twafuna mu kuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka okuyamba ab’oluganda kituwadde essanyu lingi. Engeri baganda baffe abo gye basiimamu etuzzaamu nnyo amaanyi. Ebibiina ebiyamba abagwiriddwako obutyabaga ebisinga tebirina nnyo kye bikoze kuzzaawo bizimbe ebyayonoonebwa. Abajulirwa ba Yakuwa bo basobodde okuddaabiriza oba okuddamu okuzimba amayumba agasukka mu 5,300 n’Ebizimbe by’Obwakabaka bingi nnyo. Kino kireetedde abantu okukkiriza obubaka bwaffe.”

14. Osobola kukola ki singa owulira nti oyagala okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna?

14 Osobola okutuukana n’ekigendererwa kya Katonda ng’oyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna? Bwe kiba kityo, ba mukakafu nti ojja kufuna emikisa mingi nnyo. Singa embeera zo ziba tezikusobozesa kukola ekyo, oboolyawo oyinza okukola enkyukakyuka. Saba nga Nekkemiya bwe yakola bwe yali agenda okwettika obuvunaanyizibwa obw’amaanyi: ‘Ayi Yakuwa nkwegayiridde wa omuddu wo omukisa leero.’ (Nekkemiya 1:11) Weesiga oyo ‘Awulira okusaba,’ era otuukanye by’okola n’okusaba kwo. (Zabbuli 65:2) Ekyo ky’olina okukola bw’oba oyagala Yakuwa akuwe omukisa osobole okumuweereza okusingawo. Bw’omala okusalawo okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, nywerera ku ky’osazeewo. Ekiseera bwe kinaagenda kiyitawo, ojja kufuna obumanyirivu era essanyu lyo lijja kweyongera.

Obulamu obw’Amakulu

15. (a) Tuganyulwa tutya bwe twogerako n’abo abamaze ebbanga eddene nga baweereza Katonda oba bwe tubasomako? (b) Waayo ekyokulabirako ekyakuzzaamu amaanyi.

15 Miganyulo ki egiva mu kukola Katonda by’ayagala? Yogerako n’abo abamaze ebbanga eddene nga baweereza Yakuwa naddala abo abamaze emyaka emingi mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Ng’obulamu bwabwe bwa makulu era bumatiza! (Engero 10:22) Bajja kukubuulira nti Yakuwa tabalekererangako era nti bafuna bye beetaaga wadde mu mbeera enzibu. (Abafiripi 4:11-13) Okuva mu 1955 okutuuka mu 1961, magazini ya Watchtower yafulumirangamu ebyokulabirako by’ab’oluganda abeesigwa wansi w’omutwe “Okutuukana n’Ekigendererwa Kyange mu Bulamu.” Okuva olwo, ebyokulabirako ebirala bingi nnyo bifulumiziddwa. Buli kimu ku byo kyoleka omwoyo gw’obunyiikivu n’essanyu ebitujjukiza ebyo ebisangibwa mu kitabo kya Baibuli eky’Ebikolwa. Okusoma ku byokulabirako ng’ebyo ebibuguumiriza kijja kukuleetera okugamba nti, ‘Obwo bwe bulamu nange bwe njagala!’

16. Kiki ekifuula obulamu bw’Omukristaayo obw’amakulu era obw’essanyu?

16 Aaron eyayogeddwako mu ntandikwa agamba: “Bwe nnali mu Afirika, nnateranga okusanga abavubuka abatambula nga banoonya okufuna ekigendererwa mu bulamu. Abasinga baalemwa okukifuna. Naye ate waaliwo abantu nga ffe abaali batuukanya obulamu n’ekigendererwa kya Katonda nga tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era nga tulina obulamu obw’amakulu n’eby’okukola bingi. Tukirabidde ddala mu bulamu bwaffe nti mu kugaba mulimu essanyu okusinga okutoola.”​—Ebikolwa 20:35.

17. Lwaki tusaanidde okutuukanya obulamu bwaffe n’ekigendererwa kya Katonda leero?

17 Ate gwe olina kigendererwa ki mu bulamu? Singa toba na kiruubirirwa kya mwoyo kyonna, ojja kwesanga ng’ebintu ebirala bikutwalirizza. Lwaki omalira obulamu bwo obw’omuwendo ku bintu by’ensi ya Setaani eno ebitaliimu nsa? Mu kiseera ekitali kya wala “ekibonyoobonyo ekinene” bwe kinaabalukawo, eby’obugagga n’ebitiibwa by’ensi eno bijja kuba tebikyalina mugaso gwonna. Enkolagana yaffe ne Yakuwa kye kintu kyokka ekijja okuba eky’omugaso. Nga kijja kutusanyusa nnyo okuba nti tuweerezza Katonda n’abalala n’okuba nti obulamu bwaffe tubutuukanyizza mu bujjuvu n’ekigendererwa kya Katonda!​—Matayo 24:21; Okubikkulirwa 7:14, 15.

[Obugambo obuli wansi]

a Amannya agamu gakyusiddwa.

b Yafulumizibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Osobola Okunnyonnyola?

• Yakuwa atwala atya obuweereza bwaffe?

• Okukozesa amagezi n’okuyiga obutagwa lubege biyinza bitya okutuyamba okuweereza Katonda n’abalala?

• Buweereza ki obw’enjawulo bwe tusobola okuyingira?

• Tuyinza tutya okuba n’obulamu obulina ekigendererwa?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]

Kyetaagisa okuyiga obutagwa lubege okusobola okweyongera okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]

Obuweereza obutukuvu bwa ngeri nnyingi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share