LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 1/1 lup. 14-17
  • Baibuli Ekkiriza nti Ebintu Byajjawo Byokka?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Baibuli Ekkiriza nti Ebintu Byajjawo Byokka?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bwe Waali Waliwo Omuntu Omu
  • Omuntu Afuuka Atatuukiridde
  • Omukristaayo Asobola Okukkiriza nti Ebintu Byajjawo Byokka?
  • Lwaki Endowooza nti Ebintu Byajjawo Byokka Esikiriza Abantu?
  • Okukkiriza Okuliko Obukakafu nti Eriyo Omutonzi
  • Ddala Katonda Yakozesa Enkola ey’Ebintu Okujja nga Bifuukafuuka Okutonda Ebintu eby’Enjawulo?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Nnandikkirizza nti Ebintu Byajjawo Byokka?
    Ebibuuzo 10 Abavubuka Bye Beebuuza Biddibwamu
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 1/1 lup. 14-17

Baibuli Ekkiriza nti Ebintu Byajjawo Byokka?

KISOBOKA okuba nti Katonda yakola abantu ng’abajja mu nsolo? Kituufu nti Katonda yakola ebyennyanja okuva mu buwuka obutono ennyo ne bigenda nga bivaamu ebiramu ebitali bimu, n’oluvannyuma ne muvaamu enkobe ezaafuuka abantu? Bannasayansi abamu n’abakulembeze b’amaddiini bagamba nti bakkiririza mu ndowooza eyo era ne mu Baibuli. Bagamba nti ebiri mu kitabo kya Baibuli eky’Olubereberye lugero bugero. Oboolyawo naawe weebuuza, ‘Endowooza nti abantu baava mu bisolo ekwatagana ne Baibuli ky’egamba?’

Okusobola okutegeera kye tuli, gye tulaga, ne kye tusaanidde okukola mu bulamu, tuteekwa okumanya gye twava. Bwe tukimanya, olwo tuba tusobola okutegeera lwaki Katonda aleseewo okubonaabona ne ky’ayagaliza abantu mu biseera by’omu maaso. Tetusobola kusiimibwa Katonda bwe tuba tetwekakasa nti ye Mutonzi waffe. N’olwekyo, ka twetegereze Baibuli ky’egamba ku nsibuko y’omuntu, embeera gy’alimu kati, n’ebiseera bye eby’omu maaso. Olwo tujja kulaba obanga endowooza nti ebintu byonna byajjawo byokka ekwatagana ne Baibuli.

Bwe Waali Waliwo Omuntu Omu

Abakkiririza mu ndowooza eno bagamba nti ensolo ze zaagenda zifuuka abantu, era tebakkiriza nti mu kusooka waaliwo omuntu omu yekka. Kyokka, yo Baibuli eyogera ekintu kirala nnyo. Egamba nti twava mu muntu omu, Adamu. Baibuli eraga nti Adamu yali muntu wa ddala. Etubuulira erinnya lya mukazi we era n’aga abaana be abamu. Etutegeeza bingi bye yakola, bye yayogera, ekiseera we yabeererawo, ne we yafiira. Ebikwata ku Adamu Yesu teyabitwala nga lugero bugero olunyumira abantu abatali bayigirize. Yagamba abakulembeze b’eddiini abaali abayivu ennyo nti: “Temusoma nti oyo eyabakola olubereberye nga yabakola omusajja n’omukazi?” (Matayo 19:3-5) Era Yesu yajuliza ebigambo ebiri mu Olubereberye 2:24 ebikwata ku Adamu ne Kaawa.

Lukka, omuwandiisi wa Baibuli era munnabyafaayo, alaga nti Adamu yali muntu owa ddala nga Yesu. Lukka yalondoola olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu okutuukira ddala ku Adamu. (Lukka 3:23-38) Era n’omutume Pawulo bwe yali ayogera n’abantu omwali abafirosoofo abaasomera mu masomero g’Abayonaani amaatiikirivu, yabagamba nti: ‘Katonda eyakola ensi n’ebirimu byonna yakola okuva ku muntu omu buli ggwanga ly’abantu okutuulanga ku nsi enjuyi zonna.’ (Ebikolwa 17:24-26) Kya lwatu, Baibuli eyigiriza nti twava mu ‘muntu omu.’ Baibuli ky’eyogera ku mbeera omuntu gye yalimu ku ntandikwa kikwatagana n’endowooza nti ebintu byonna byajjawo byokka?

Omuntu Afuuka Atatuukiridde

Okusinziira ku Baibuli, Yakuwa yakola omuntu eyasooka ng’atuukiridde. Katonda tayinza kukola kintu kyonna kitatuukiridde. Baibuli egamba nti: “Katonda n’atonda omuntu mu ngeri ye . . . Katonda n’alaba buli ky’akoze; era, laba kirungi nnyo.” (Olubereberye 1:27, 31) Omuntu atuukiridde abeera atya?

Omuntu atuukiridde aba yeesalirawo era aba asobola bulungi okukoppa engeri za Katonda mu bujjuvu. Baibuli egamba nti: “Katonda yakola abantu nga bagolokofu; naye bo ne banoonya bingi bye baagunja.” (Omubuulizi 7:29) Adamu yasalawo okujeemera Katonda. Olw’obujeemu, Adamu yafiirwa obulamu obutuukiridde era n’abufiiriza n’ezzadde lye lyonna. Okuba nti tetutuukiridde ye nsonga lwaki oluusi ne bwe twagala okukola ebirungi, tukola ebitatusanyusa. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Kye njagala si kye nkola; naye kye nkyawa kye nkola.”​—Abaruumi 7:15.

Okusinziira ku Baibuli, omuntu atuukiridde yandibaddewo emirembe gyonna nga talwala. Katonda kye yayogera kiraga bulungi nti singa Adamu teyamujeemera teyandifudde. (Olubereberye 2:16, 17; 3:22, 23) Yakuwa teyandigambye nti buli ky’akoze “kirungi nnyo” singa omuntu oyo yalimu obujeemu oba ng’asobola okulwala. Olw’okuba tetutuukiridde, emibiri gyaffe kye giva gikwatibwa obulwadde wadde nga gyakolebwa bulungi. N’olwekyo, endowooza nti ebintu byonna byajjawo byokka tekwatagana na Baibuli. Okusinziira ku ndowooza eyo omuntu abeera nsolo etuuse ku ddaala ly’obulamu obwa waggulu. Baibuli yo egamba nti omuntu yali atuukiridde naye oluvannyuma n’afuuka atatuukiridde.

Endowooza nti Katonda ye yakola enteekateeka ebintu bigende nga bikyukakyuka oluvannyuma muveemu omuntu tekwatagana n’ekyo Baibuli ky’eyogera ku Katonda. Bwe kiba nti Katonda bw’atyo bwe yakola, kiba kitegeeza nti ye yaleetera abantu okuba mu mbeera eno embi. Kyokka, Baibuli eyogera bw’eti ku Katonda: “Lwazi, omulimu gwe gwatuukirira; kubanga amakubo ge gonna musango: Katonda ow’obwesigwa atalina bubi, wa mazima oyo era wa nsonga. Baakolanga ebitali bya butuukirivu eri ye, si baana be, lye bbala lyabwe.” (Ekyamateeka 32:4, 5) N’olwekyo, okubonaabona kw’abantu tekwava ku kuba nti Katonda yakola enteekateeka ebintu bigende nga bikyukakyuka. Kwava ku muntu omu okujeemera Katonda n’afiirwa obulamu obutuukiridde era n’abufiiriza n’ezzadde lye lyonna. Kati nga bwe tumaze okwekenneenya ebikwata ku Adamu, ka tulabe ebikwata ku Yesu. Abantu okuba nti baava mu nsolo kikwatagana ne Baibuli ky’eyogera ku Yesu?

Omukristaayo Asobola Okukkiriza nti Ebintu Byajjawo Byokka?

“Kristo yafa olw’ebibi byaffe.” Oboolyawo okimanyi nti eyo y’emu ku njigiriza enkulu mu Bukristaayo. (1 Abakkolinso 15:3; 1 Peetero 3:18) Okusobola okutegeera lwaki endowooza nti ebintu byonna byajjawo byokka tekwatagana na njigiriza eyo, tulina okusooka okutegeera lwaki Baibuli egamba nti tuli boonoonyi n’engeri ekibi gye kitukosaamu.

Ffenna tuli boonoonyi mu ngeri nti tetusobola kukoppa mu bujjuvu ngeri za Katonda, ng’okwagala n’obwenkanya. Ye nsonga lwaki Baibuli egamba nti: “Bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.” (Abaruumi 3:23) Baibuli eyigiriza nti ekibi kye kivaako okufa. Abakkolinso ekisooka 15:56 wagamba nti: “Okuluma kw’okufa kye kibi.” Ekibi kye twasikira kye kituviirako n’okulwala. Yesu yalaga nti waliwo akakwate wakati w’okulwala n’okuba nti tuli boonoonyi. Yagamba eyali akoozimbye nti, “Ebibi byo bikuggiddwako,” era omusajja oyo n’awona.​—Matayo 9:2-7.

Okufa kwa Yesu kutuganyula kutya? Ng’egeraageranya Adamu ne Yesu Kristo, Baibuli egamba: “Bonna nga bwe baafiira mu Adamu, era bwe batyo mu Kristo bonna mwe balifuukira abalamu.” (1 Abakkolinso 15:22) Mu kuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka, Yesu yasasula ebbanja ly’ekibi kye twasikira okuva ku Adamu. N’olwekyo, abo bonna abakkiririza mu Yesu era ne bamugondera bajja kuweebwa Adamu kye yafiirwa​—obulamu obutaggwawo.​—Yokaana 3:16; Abaruumi 6:23.

Kati okiraba lwaki endowooza nti ebintu byonna byajjawo byokka eba tekwatagana na Bukristaayo? Bwe tuba tetukkiriza nti ‘bonna baafiira mu Adamu,’ tuyinza tutya okuba n’essuubi nti ‘mu Kristo bonna balifuuka balamu’?

Lwaki Endowooza nti Ebintu Byajjawo Byokka Esikiriza Abantu?

Baibuli eraga lwaki endowooza eziringa ezo ziganja mu bantu. Egamba nti: “Ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa, balikuŋŋaanya abayigiriza ng’okwegomba kwabwe bo be kuli; baliziba amatu okulekanga amazima, balikyama okugobereranga enfumo obufumo.” (2 Timoseewo 4:3, 4) Wadde ng’endowooza nti ebintu byonna byajjawo byokka etwalibwa ng’eya sayansi, mu butuufu ekwata ku ddiini. Eyigiriza engeri abantu gye balina okutunuuliramu obulamu ne Katonda. By’esomesa bisikiriza abantu abeerowoozaako ennyo era abalimu obwa kyetwala. Bangi abakkiririza mu ndowooza eyo bagamba nti bakkiririza ne mu Katonda. Kyokka, bagamba nti Katonda si ye yatonda ebintu, teyeeyingiza mu nsonga za bantu, era nti tajja kubasalira musango. Ebyo ebiri mu ndowooza eyo abantu bye baagala okuwulira.

Abo abayigiriza nti ebintu byonna byajjawo byokka tebalina bukakafu bwe bawa, wabula basinziira ku ‘kwegomba kwabwe’​—oboolyawo basobole okuganja mu bantu abakuliriza ennyo sayansi abakkiririza mu ndowooza eyo. Profesa Michael Behe, amaze ekiseera ky’obulamu bwe ekisinga nga yeekebejja engeri ey’ekitalo obutoffaali bw’ebintu ebiramu gye bukolamu, agamba nti abo abayigiriza nti obutoffaali obw’ekika ekimu busobola okufuuka obw’ekika ekirala tebalina kwe basinziira kugamba batyo. Obutoffaali bw’ekintu ekimu buyinza okufuukamu obw’ekintu ekirala? Yawandiika nti: “Sayansi alaga nti obutoffaali bw’ekintu ekimu tebuyinza kufuukamu bwa kintu kya kika kirala.” “Teri kitabo kya sayansi kyonna kinnyonnyola ngeri butoffaali bw’ekintu ekimu gye bwali bufuuse obw’ekintu ekirala oba engeri kino gye kiyinza okubaawo. . . . Ebyo Darwin by’agamba nti obutoffaali bw’ekintu ekimu busobola okufuuka obw’ekintu ekirala bya kwagala kwekolera linnya.”

Bwe kiba nti abawagira endowooza eyo tebalina bukakafu, lwaki bagibunyisa mu bantu? Behe annyonnyola nti: “Abantu bangi, omuli ne bannasayansi abayivu ennyo, tebaagala bwagazi kukkiriza nti ebintu biriko eyabitonda.”

Endowooza nti ebintu byonna byajjawo byokka esikiriza abakulu b’eddiini abaagala okulabika ng’abagezi. Bafaananako abo Pawulo be yayogerako mu bbaluwa ye eri Abakristaayo b’e Ruumi. Pawulo yagamba nti: “Ebya Katonda ebimanyika birabika eri bo . . . ebibye ebitalabika okuva ku kutonda ensi birabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde, obuyinza bwe obutaggwawo n’obwakatonda bwe; babeere nga tebalina kya kuwoza: kubanga, bwe baamanya Katonda, ne batamugulumizanga nga Katonda newakubadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne guzikirizibwa. Bwe beeyita ab’amagezi, so nga baasiruwala.” (Abaruumi 1:19-22) Oyinza otya okwewala okulimbibwa abo abasomesa eby’obulimba?

Okukkiriza Okuliko Obukakafu nti Eriyo Omutonzi

Baibuli bw’eba ennyonnyola okukkiriza eraga nti obukakafu bwetaagisa. Egamba nti: “Okukkiriza kye kinyweza ebisuubirwa, kye kitegeereza ddala ebigambo ebitalabika.” (Abaebbulaniya 11:1) Okukkiriza okwa nnamaddala kulina okwesigamizibwa ku bukakafu obulaga nti eriyo Omutonzi. Baibuli eraga w’oyinza okusanga obukakafu obwo.

Dawudi omuwandiisi wa Baibuli eyaluŋŋamizibwa yagamba nti: “N[n]aakwebazanga; kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo.” (Zabbuli 139:14) Bwe tufumiitiriza ku ngeri ey’ekitalo emibiri gyaffe n’ebintu ebiramu ebirala gye byakolebwamu, tuwuniikirira olw’amagezi g’Omutonzi waffe. Buli katundu ka mubiri gwaffe kaakolebwa okutuyamba okubeera abalamu. Ebintu ebiri mu bwengula biwa obukakafu nti biriko eyabitegeka mu ngeri ey’ekika ekya waggulu ennyo. Dawudi yawandiika nti: “Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: n’ebbanga libuulira emirimu gy’emikono gye.”​—Zabbuli 19:1.

Baibuli yennyini erimu obukakafu bungi obulaga nti eriyo Omutonzi. Bwe weekenneenya engeri ebitabo byayo 66 gye bikwataganamu, emitindo gyayo egy’empisa egya waggulu, n’engeri obunnabbi obugirimu gye bwatuukirizibwamu, ojja kufuna obukakafu nti Omutonzi ye nnanyini kugiwandiika. Okutegeera obulungi enjigiriza za Baibuli nakyo kijja kukuyamba okulaba nti ddala Baibuli kye Kigambo ky’Omutonzi. Ng’ekyokulabirako, bw’otegeera Baibuli ky’eyigiriza ku nsibuko y’okubonaabona, ku Bwakabaka bwa Katonda, ku biseera by’abantu eby’omu maaso, ne ku ngeri y’okuzuulamu essanyu erya nnamaddala, ojja kulaba amagezi ga Katonda. Oyinza okukkiriziganya ne Pawulo eyagamba nti: “Obuziba bw’obugagga obw’amagezi n’obw’okumanya kwa Katonda tomanyi bwe buli! emisango gye nga tegikeberekeka, n’amakubo ge nga tegekkaanyizika!”​—Abaruumi 11:33.

Bw’onoogenda nga wekkaanya obukakafu obwo, nga n’okukkiriza kwo bwe kweyongera, ojja kuba mukakafu nti buli lw’osoma Baibuli, oba owuliriza Mutonzi yennyini. Agamba nti: “N[n]akola ensi ne ntondera abantu mu yo: nze, engalo zange, n[n]abamba eggulu, n’eggye lyalyo lyonna nze n[n]aliragira.” (Isaaya 45:12) Mazima ddala togenda kwejjusa nti wafuba okufuna obukakafu obulaga nti Yakuwa ye Mutonzi w’ebintu byonna.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 14]

Omutume Pawulo yagamba Abayonaani abayigirize nti: ‘Katonda yakola okuva ku muntu omu buli ggwanga ly’abantu’

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 15]

Endowooza nti ebintu byonna byajjawo byokka etwala omuntu ng’ensolo etuuse ku ddaala ly’obulamu obwa waggulu. Baibuli egamba nti omuntu yali atuukiridde naye oluvannyuma n’afuuka atatuukiridde

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 16]

“Sayansi alaga nti obutoffaali bw’ekintu ekimu tebuyinza kufuukamu bwa kintu kya kika kirala”

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 17]

Engeri ey’ekitalo Omutonzi waffe gye yakolamu ebintu ebiramu etuwuniikiriza olw’amagezi ge

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share