LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 2/15 lup. 12-16
  • Yesu Kristo—Omuminsani Eyasinga Bonna

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yesu Kristo—Omuminsani Eyasinga Bonna
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Yali Mwetegefu Okuweereza mu Kifo Ekipya
  • Yali Muyigiriza Omutendeke Obulungi
  • Engeri Yesu gye Yayigirizaamu
  • Engeri Ezaaleetera Yesu Okwagalibwa Abantu
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Yesu Kristo y’Ani?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • ‘Mbateereddewo Ekyokulabirako’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Lwaki Tusaanidde Okugoberera “Kristo”?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 2/15 lup. 12-16

Yesu Kristo​—Omuminsani Eyasinga Bonna

“Nnava gy’ali okumukiikirira, era Oyo ye yantuma.”​—YOK. 7:29, NW.

1, 2. Okuba omuminsani kitegeeza ki, era ani ayinza okuyitibwa Omuminsani eyasinga bonna?

KIKI ekikujjira mu birowoozo bw’owulira ekigambo “omuminsani”? Abamu balowooza ku baminsani ba Kristendomu, nga bangi ku bo beenyigira mu by’obufuzi ne mu byenfuna by’amawanga gye baweereza. Kyokka, ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, oyinza okuba ng’olowooza ku baminsani abasindikibwa Akakiiko Akafuzi okubuulira amawulire amalungi mu mawanga agatali gamu okwetooloola ensi. (Mat. 24:14) Abaminsani abo bawaayo ebiseera byabwe n’amaanyi gaabwe okukola omulimu ogw’ekitiibwa okuyamba abantu okusemberera Yakuwa Katonda n’okufuna enkolagana ennungi naye.​—Yak. 4:8.

2 Mu New World Translation of the Holy Scriptures, ebigambo “omuminsani” ne “abaminsani” tebisangibwa mu nnyiriri mwennyini. Kyokka mu bugambo obwa wansi obwogera ku Abaefeso 4:11, Reference Bible egamba nti ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusibwa “ababuulizi” era kiyinza okutegeeza “abaminsani.” Yakuwa ye Mubuulizi asinga bonna, naye tayinza kuyitibwa Muminsani eyasinga bonna kubanga tewali n’omu yamutuma. Kyokka, ng’ayogera ku kitaawe ow’omu ggulu, Yesu Kristo yagamba nti: “Nnava gy’ali okumukiikirira, era oyo ye yantuma.” (Yok. 7:29, NW) Ng’alaga okwagala okungi eri olulyo lw’omuntu, Yakuwa yatuma Omwana we eyazaalibwa omu yekka ku nsi. (Yok. 3:16) Yesu ayinza okuyitibwa Omuminsani eyasinga bonna kubanga emu ku nsonga ezaamutumya ku nsi kwe ‘kutegeeza amazima.’ (Yok. 18:37) Yatuukiriza bulungi omulimu gwe ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, era ne leero tukyaganyulwa mu buweereza bwe. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okukoppa engeri gye yayigirizangamu ka tube nga tuweereza ng’abaminsani oba nedda.

3. Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

3 Omulimu Yesu gwe yakola ng’omulangirizi w’Obwakabaka gutuleetera okwebuuza ebibuuzo nga bino: Biki Yesu bye yayitamu ng’ali ku nsi? Lwaki engeri gye yayigirizangamu yali nnungi? Kiki ekyafuula obuweereza bwe obulungi?

Yali Mwetegefu Okuweereza mu Kifo Ekipya

4-6. Bintu ki ebyakyuka mu bulamu bwa Yesu bwe yatumibwa ku nsi?

4 Abaminsani b’omu kiseera kyaffe n’Abakristaayo abamu abagenda mu bifo awali obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka kiyinza okubeetaagisa okugumira embeera y’obulamu eya wansi ku eyo gye bamanyidde. Naye obulamu Yesu bwe yalimu ku nsi kizibu okubugeraageranya ku obwo bwe yaleka mu ggulu gye yali abeera ne Kitaawe awamu ne bamalayika abaweereza Yakuwa n’obwesimbu. (Yobu 1:6; 2:1) Nga kyali kya njawulo nnyo okubeera mu bantu aboonoonyi mu nsi embi! (Mak. 7:20-23) Yesu yagumiikiriza n’okuvuganya okwaliwo mu bayigirizwa be. (Luk. 20:46; 22:24) Byonna bye yayolekagana nabyo ng’ali ku nsi yabyaŋŋanga mu ngeri etuukiridde.

5 Ennimi z’abantu Yesu teyaziyiga mu ngeri ya kyamagero; olulimi lwe yali ayogera yaluyiga mpolampola okuva mu muto. Ng’obulamu bwe bwali bukyuse nnyo naddala bw’olowooza ku ky’okuba nti ye yali akulira bamalayika mu ggulu! Yesu bwe yali ku nsi yaliko olulimi lw’ayogera ku ‘nnimi z’abantu.’ Lwali lwa njawulo nnyo ku ‘nnimi za bamalayika.’ (1 Kol. 13:1) Kyokka bwe kyatuuka ku nkozesa y’ebigambo, tewali muntu yali ayogedde bulungi nga Yesu.​—Luk. 4:22.

6 Lowooza ku birala ebyakyuka ennyo mu bulamu bw’Omwana wa Katonda bwe yali ku nsi. Wadde nga teyasikira kibi kuva ku Adamu, Yesu yafuuka omuntu, n’afaanana abo oluvannyuma abandifuuse “baganda be,” oba abagoberezi be abaafukibwako amafuta. (Soma Abaebbulaniya 2:17, 18.) Mu kiro ekyasembayo mu bulamu bwe ku nsi, Yesu teyasaba Kitaawe kumutumira ‘liigyoni kkumi na bbiri’ ez’abamalayika, so ng’ate ye yali Mikaeri Omukulu wa bamalayika. (Mat. 26:53; Yuda 9) Kituufu nti Yesu yakola ebyamagero, kyokka bye yakola ng’ali ku nsi tebyatuuka ku ebyo bye yali asobola okukola ng’ali mu ggulu.

7. Abayudaaya baalemwa batya okutuukiriza amateeka?

7 Bwe yali “Kigambo” nga tannafuuka muntu, Yesu ayinza okuba nga ye yali Omwogezi wa Katonda eyakulembera Abaisiraeri okubayisa mu ddungu. (Yok. 1:1; Kuv. 23:20-23) Kyokka, baali ‘baaweebwa Amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika, so ne batagakwata.’ (Bik. 7:53; Beb. 2:2, 3) Mu butuufu, abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya ab’omu kyasa ekyasooka baalemwa okutegeera ekigendererwa ky’Amateeka. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku tteeka lya Ssabbiiti. (Soma Makko 3:4-6.) Abawandiisi n’Abafalisaayo ‘baalekayo ebigambo ebikulu eby’Amateeka, obutalyanga nsonga, n’ekisa, n’okukkirizanga.’ (Mat. 23:23) Wadde kyali kityo, Yesu teyaggwamu maanyi n’alekera awo okubategeeza amazima.

8. Lwaki Yesu asobola okutuyamba?

8 Yesu yali mwetegefu okuyamba abalala. Okwagala kwe yalina eri abantu kwamuleetera okubayamba. Yasigala alina omwoyo gw’okubuulira. Era olw’okuba yali mwesigwa eri Yakuwa ng’ali ku nsi, Yesu ‘yafuuka oyo avunaanyizibwa ku bulokozi obutaggwawo eri abo abamugondera.’ Okugatta ku ekyo, ‘olw’okuba yabonyaabonyezebwa ye yennyini ng’akemebwa, ky’ava ayinza okuyamba abalinga ffe abakemebwa.’​—Beb. 2:18; 5:8, 9, NW.

Yali Muyigiriza Omutendeke Obulungi

9, 10. Yesu yatendekebwa mu ngeri ki nga tannatumibwa ku nsi?

9 Leero, Abakristaayo nga tebannasindikibwa kuweereza nga baminsani, Akakiiko Akafuzi kakola enteekateeka okubatendeka. Ne Yesu Kristo yatendekebwa? Yee, naye teyasooka kusomera mu masomero ga balabbi alyoke afukibweko amafuta okuba Masiya; era teyasomesebwa bakulu ba ddiini abatutumufu. (Yok. 7:15; geraageranya Bik. 22:3.) Kati olwo kijja kitya nti Yesu yali amanyi bulungi okuyigiriza?

10 Wadde nga Yesu alina bye yayigira ku nnyina Malyamu ne kitaawe ow’oku nsi Yusufu, okusingira ddala Yakuwa ye yamutendeka okubuulira. Yesu yayogera bw’ati ku nsonga eno: “[Ssoogera byange] ku bwange; naye Kitange eyantuma, ye yandagira bwe ŋŋamba, era bwe njogera.” (Yok. 12:49) Weetegereze nti Omwana yaweebwa ebyo byennyini bye yalina okuyigiriza. Awatali kubuusabuusa, Yesu bwe yali tannajja ku nsi, yali amaze ekiseera kiwanvu nnyo nga Kitaawe amuyigiriza. Waliyo okutendeka okusinga okwo?

11. Yesu yayoleka atya endowooza Kitaawe gy’alina ku lulyo lw’omuntu?

11 Okuva lwe yatondebwa, Omwana ono yalina enkolagana ey’okulusegere ne Kitaawe. Nga tannajja ku nsi, Yesu yeetegereza engeri Yakuwa gye yakolaganangamu n’abantu era n’ategeera endowooza gy’alina ku bo. Omwana yalaga okwagala ng’okwa Katonda eri abantu n’atuuka n’okugamba nti: “Essanyu lyange lyali n’abaana ba bantu.”​—Nge. 8:22, 31.

12, 13. (a) Kiki Yesu kye yayiga bwe yeetegereza engeri Kitaawe gye yakwatamu Abaisiraeri? (b) Yesu yassa atya mu nkola bye yayiga?

12 Okutendeka Omwana oyo kwazingiramu n’okwetegereza engeri Kitaawe gye yakwatangamu embeera enzibu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Yakuwa gye yakwatangamu Abaisiraeri abajeemu. Nekkemiya 9:28 wagamba nti: “Bwe baamala okuwummula, ne beeyongeranga okukola obubi mu maaso go [Yakuwa]: kyewava obalekanga mu mukono gw’abalabe baabwe n’okufuga ne babafuga: naye bwe baakomangawo ne bakukaabirira, n’owulira, ng’oyima mu ggulu; n’obawonyanga emirundi mingi ng’okusaasira kwo bwe kwali.” Okukolera awamu ne Yakuwa n’okumwetegereza kyayamba Yesu okulaga obusaasizi bwe bumu eri abantu mu bitundu gye yabuuliranga.​—Yok. 5:19.

13 Yesu yassa mu nkola bye yayiga ng’akolagana n’abayigirizwa be mu ngeri ey’ekisa. Mu kiro ekyasembayo nga tannafa, abatume be bonna be yali ayagala ennyo ‘baamwabulira ne badduka.’ (Mat. 26:56; Yok. 13:1) Omutume Peetero yatuuka n’okwegaana Yesu emirundi essatu! Wadde kyali kityo, Yesu yabalekera akakisa okudda gy’ali. Yagamba Peetero nti: “Nze nkusabidde, okukkiriza kwo kuleme okuddirira: naawe bw’omalanga okukyuka, onywezanga baganda bo.” (Luk. 22:32) Isiraeri ow’omwoyo azimbiddwa ku ‘batume ne bannabbi,’ era amayinja g’omusingi gw’ekisenge kya Yerusaalemi Ekiggya galiko amanya g’abatume 12 abeesigwa ab’Omwana gw’Endiga, Yesu Kristo. Okutuusa leero, Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ‘ab’endiga endala,’ ng’ekibiina, beeyongera mu maaso okubuulira Obwakabaka wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi n’obukulembeze bw’Omwana we omwagalwa.​—Bef. 2:20; Yok. 10:16; Kub. 21:14.

Engeri Yesu gye Yayigirizaamu

14, 15. Engeri Yesu gye yayigirizaamu yayawukana etya ku y’abawandiisi n’Abafalisaayo?

14 Okutendekebwa kwa Yesu kwamuyamba kutya ng’ayigiriza abagoberezi be? Engeri Yesu gye yayigirizangamu bwe tugigeraageranya ku y’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya, tukiraba bulungi nti enjigiriza ya Yesu yali ya waggulu nnyo. Abawandiisi n’Abafalisaayo ‘baadibya ekigambo kya Katonda olw’obulombolombo bwabwe.’ Kyokka ye Yesu bye yayogeranga tebyali bibye ku bubwe; yanywerera ku Kigambo kya Katonda oba obubaka obwamuweebwa. (Mat. 15:6; Yok. 14:10) Ekyo naffe kye tulina okukola.

15 Waliwo ekintu ekirala ekyafuula Yesu ow’enjawulo ku bakulembeze b’eddiini. Ng’ayogera ku bawandiisi n’Abafalisaayo, yagamba nti: “Ebigambo byonna bye babagamba, mubikole mubikwate: naye temukola nga bo bwe bakola; kubanga boogera naye tabakola.” (Mat. 23:3) Yesu bye yayigirizanga nga naye by’akolerako. Ka twetegereze ekyokulabirako ekiraga nti ddala bwe kityo bwe kyali.

16. Lwaki wandigambye nti Yesu yakolera ku bigambo bye ebiri mu Matayo 6:19-21?

16 Yesu yakubiriza abayigirizwa be ‘okweterekeranga ebintu mu ggulu.’ (Soma Matayo 6:19-21.) Yesu naye bw’atyo bwe yakola? Yee, kubanga yali asobola n’okugamba nti: “Ebibe birina obunnya, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirina ebisu, naye Omwana w’omuntu talina w’assa mutwe gwe.” (Luk. 9:58) Yesu teyakalubya bulamu bwe. Yeemalira ku kulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka era yalaga obulungi obuli mu kwewala okweterekera eby’obugagga ku nsi. Yesu yalaga nti ekisinga obulungi kwe kutereka eby’obugagga mu ggulu “gye bitayonoonekera n’ennyenje newakubadde obutalagge, so n’ababbi gye batasimira, so gye batabbira.” Okolera ku kubuulira kwa Yesu nga weeterekera eby’obugagga mu ggulu?

Engeri Ezaaleetera Yesu Okwagalibwa Abantu

17. Ngeri ki ezaafuula Yesu omubuulizi ow’ekitalo?

17 Ngeri ki ezaafuula Yesu omubuulizi ow’ekitalo? Emu ku zo y’endowooza gye yalina ku bantu be yayambanga. Ezimu ku ngeri za Yakuwa Yesu ze yakoppa mwe mwali obwetoowaze, okwagala, n’obusaasizi. Weetegereze lwaki engeri zino zaaleetera bangi okwagala Yesu.

18. Lwaki tuyinza okugamba nti Yesu yali mwetoowaze?

18 Bwe yakkiriza okujja ku nsi, Yesu “yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y’omuddu, n’abeera mu kifaananyi ky’abantu.” (Baf. 2:7) Ekyo kyali kikolwa kya bwetoowaze. Ate era, Yesu teyayisangamu bantu maaso. Teyaliimu ndowooza egamba nti, ‘Nnava mu ggulu n’olwekyo mulina okumpuliriza.’ Obutafaananako bamasiya ab’obulimba, Yesu teyagenda nga yeerangirira nti ye yali Masiya ow’amazima. Oluusi ng’agaana n’abantu okubuulira abalala bye yabanga akoze oba ebimukwatako. (Mat. 12:15-21) Yesu yali ayagala abantu beesalirewo bokka okumugoberera ng’abasinziira ku ebyo bo kennyini bye baali balabye. Ng’abayigirizwa be baayisibwa bulungi olw’okuba Mukama waabwe yali tabasuubira kuba nga bamalayika abatuukiridde be yali abadde nabo mu ggulu!

19, 20. Okwagala n’obusaasizi byaleetera bitya Yesu okuyamba abantu?

19 Yesu Kristo era yalaga okwagala​—engeri enkulu ennyo eya Kitaawe ow’omu ggulu. (1 Yok. 4:8) Yesu yayigiriza abantu olw’okuba yali abaagala. Ng’ekyokulabirako, weetegereze engeri gye yawuliramu ng’omufuzi omu azze gy’ali. (Soma Makko 10:17-22.) Yesu ‘y’amwagala’ era n’ayagala okumuyamba, naye omufuzi ono yagaana okweggyako ebintu bye ebingi asobole okufuuka omugoberezi we.

20 Obusaasizi y’emu ku ngeri ezaaleetera abantu okwagala ennyo Yesu. Okufaananako abantu bonna abatatuukiridde, abo abajja okuwuliriza Yesu baalina ebizibu. Olw’okuba kino Yesu yali akimanyi, yabayigiriza n’obusaasizi. Ng’ekyokulabirako: Lumu, Yesu n’abatume be baalina eby’okukola bingi nnyo nga tebalina na kaseera ka kulya mmere. Naye Yesu yakola ki bwe yalaba ng’ekibiina ky’abantu kikuŋŋaanye? ‘Yabasaasira, kubanga baali ng’endiga ezitalina musumba; n’atanula okubayigiriza ebigambo bingi.’ (Mak. 6:34) Yesu yalaba embeera y’abantu abo embi era n’afuba okubayigiriza n’okubakolera ebyamagero. Abamu baasikirizibwa olw’engeri ze ennungi, baawuliriza ebigambo bye, era ne bafuuka abayigirizwa be.

21. Kiki kye tujja okwetegereza mu kitundu ekiddako?

21 Waliwo ebirala bingi bye tuyinza okuyiga ku buweereza bwa Yesu obw’oku nsi, ng’ekitundu ekiddako bwe kijja okulaga. Ngeri ki endala ze tuyinza okukoppa ku Yesu Kristo, Omuminsani eyasinga bonna?

Wandizzeemu Otya?

• Yesu yatendekebwa atya nga tannajja ku nsi?

• Engeri Yesu gye yayigirizaamu yasinga etya ey’abawandiisi n’Abafalisaayo?

• Ngeri ki ezaaleetera abantu okwagala ennyo Yesu?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Yesu yayigiriza atya ebibiina by’abantu?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share