LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 3/15 lup. 7-11
  • Funa Essanyu mu Bufumbo Bwo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Funa Essanyu mu Bufumbo Bwo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okugondera Obulagirizi bwa Yakuwa
  • Kiki Ekifuula Obufumbo Obulungi?
  • Toba Mukakanyavu mu Bufumbo
  • Towa Setaani Mwagaanya
  • Okufuna Essanyu mu Bufumbo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Obufumbo—Kirabo Okuva eri Katonda
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Oluvannyuma lw’Okugattibwa
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Kuuma ‘Omuguwa ogw’Emiyondo Esatu’ ogw’Obufumbo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 3/15 lup. 7-11

Funa Essanyu mu Bufumbo Bwo

“Amagezi ge gazimbya ennyumba; n’okutegeera kwe kuginyweza.”​—NGE. 24:3.

1. Katonda yalaga atya amagezi ku bikwata ku muntu eyasooka?

KITAFFE ow’omu ggulu ow’amagezi amanyi ebisobola okutuleetera essanyu. Ng’ekyokulabirako, Katonda yakiraba nti ekigendererwa Kye okusobola okutuukirizibwa, tekyali “kirungi omuntu okubeeranga yekka” mu lusuku Adeni. Ekintu ekikulu mu kigendererwa ekyo kyali nti abafumbo bazaale abaana ‘bajjuze ensi.’​—Lub. 1:28; 2:18.

2. Nteekateeka ki Yakuwa gye yakola okuganyula olulyo lw’omuntu?

2 Yakuwa yagamba nti: ‘Ka mukolere omubeezi amusaanira.’ Katonda yaleetera omusajja eyasooka otulo tungi, ne yeebaka, n’ajja olubirizi mu mubiri gwe ogwali gutuukiridde. Olubiriizi olwo yalukolamu omukazi, Kaawa. Yakuwa bwe yaleeta omukazi ono atuukiridde eri Adamu, omusajja yagamba nti: “Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama evudde mu nnyama yange: naye anaayitibwanga mukazi, kubanga aggiddwa mu musajja.” Mu butuufu Kaawa yali mubeezi asaanira Adamu. Wadde nga bombi baali batuukiridde era nga baakolebwa mu kifaananyi kya Katonda, bandibadde n’engeri za njawulo. Bw’atyo Yakuwa yateekateeka obufumbo obwasooka. Adamu ne Kaawa bakkiriza enteekateeka eno eyali egenda okubasobozesa okuyambagana.​—Lub. 1:27; 2:21-23.

3. Abamu obufumbo babutwala batya, era kino kireetawo bibuuzo ki?

3 Eky’ennaku kiri nti omwoyo gw’obujeemu gusensedde ensi leero. Katonda si y’avunaanyizibwa ku bizibu bye guleetawo. Bangi banyooma ekirabo kya Katonda eky’obufumbo nga bagamba nti obufumbo bwava dda ku mulembe era nti buleetedde bangi ennaku n’ebizibu. Bangi ku bafumbiriganwa bamala ne bagattululwa. Abaana abamu tebafiibwako era abazadde babakozesa kufuna bye baagala nga wazzeewo obutategeeragana mu bufumbo. Abazadde abalala bakalambira ku kye baba baagala ne bwe kiba nga kitabangula emirembe n’obumu mu maka. (2 Tim. 3:3) Kati olwo abafumbo basobola batya okuba abasanyufu mu nnaku enzibu bwe ziti? Okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa kiyinza kitya okuyamba obufumbo obutasasika? Kiki kye tuyigira ku bafumbo abasobodde okusigala nga basanyufu mu kiseera kino?

Okugondera Obulagirizi bwa Yakuwa

4. (a) Bulagirizi ki Pawulo bwe yawa ku bufumbo? (b) Abakristaayo abawulize bagoberera batya obulagirizi Pawulo bwe yawa?

4 Omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okubuulirira bannamwandu nti singa basalawo okuddamu okufumbirwa, balina kufumbirwa “mu Mukama waffe.” (1 Kol. 7:39) Kino tekyali kipya eri Abakristaayo abaali Abayudaaya. Amateeka Katonda ge yawa Abaisiraeri gaali tegabakkiriza ‘kufumbiriganwa’ na bantu ba mawanga amakaafiiri agaali gabeetoolodde. Yakuwa era yalaga akabi akali mu butagoberera musingi guno. “Kubanga [munnaggwanga] alikyusa mutabani wo obutangoberera, baweerezenga bakatonda abalala: obusungu bwa Mukama bulibuubuuka bwe butyo ku mmwe, era alibazikiriza mangu.” (Ma. 7:3, 4) Kiki Yakuwa kye yeetaagisa abaweereza be ab’omu kiseera kino bwe baba balonda ow’okufumbiriganwa naye? Kya lwatu nti omuweereza wa Katonda asaanidde okufumbiriganwa n’oyo ali “mu Mukama waffe,” eyeewaayo era nga mubatize. Kya magezi okugondera obulagirizi bwa Yakuwa mu nsonga eno.

5. Yakuwa era n’Abakristaayo abafumbo batwala batya obweyamo obukolebwa abafumbo?

5 Obweyamo obukolebwa mu bufumbo buba butukuvu mu maaso ga Katonda. Yesu, Omwana wa Katonda yayogera ku bufumbo obwasooka n’agamba nti: “Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu.” (Mat. 19:6) Omuwandiisi wa zabbuli atujjukiza nti obweyamo kintu kikulu: ‘Wanga Katonda ssaddaaka ey’okwebaza; sasulanga obweyamo bwo Ali Waggulu Ennyo.’ (Zab. 50:14) Wadde ng’abafumbo bayinza okwesunga okufuna essanyu lingi, balina okujjukira nti obweyamo bwe bakola ku lunaku lw’okufumbiriganwa bukulu nnyo era bubawa obuvunaanyizibwa.​—Ma. 23:21.

6. Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Yefusa?

6 Lowooza ku Yefusa eyali omulamuzi mu Isiraeri mu kyasa ekya 12 B.C.E. Yeeyama bw’ati mu maaso ga Yakuwa: “Oba ng’oligabulira ddala abaana ba Amoni mu mukono gwange, awo olulituuka, ekintu kyonna ekirifuluma mu nzigi z’ennyumba yange okunsisinkana, bwe ndikomawo emirembe okuva eri abaana ba Amoni, kiriba kya Mukama, nange ndikiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa.” Bwe yalaba nga muwala we, omwana omu yekka gwe yalina, yafulumye okumusisinkana ng’akomyewo okuva e Mizupe, Yefusa yagezaako okumenya obweyamo bwe? Nedda. Yagamba nti: “N[n]ayasama akamwa kange eri Mukama, so siyinza kuddirira.” (Balam. 11:30, 31, 35) Yefusa yatuukiriza obweyamo bwe eri Yakuwa, wadde nga kyali kitegeeza nti erinnya lye lyali lya kusaanawo olw’obutaba na muzzukulu. Obweyamo bwa Yefusa bwali bwa njawulo ku obwo obukolebwa abafumbo, naye okuba nti yabutuukiriza kiwa Abakristaayo abafumbo ekyokulabirako ekirungi mu kutuukiriza obweyamo bwabwe.

Kiki Ekifuula Obufumbo Obulungi?

7. Abantu abaakafumbiriganwa balina kukola nkyukakyuka ki?

7 Abafumbo bangi kibawa essanyu bwe bejjukanya ekiseera kyabwe nga boogerezeganya. Nga kyali kirungi buli omu okutegeera munne! Gye baakoma okusisinkananga n’omukwano gwabwe gye gwakoma okweyongera. Naye omuntu k’abe nti gwe yafumbiriganwa naye yasooka kumwogereza oba baamulabira mulabire, bwe baafumbiriganwa baalina okukola enkyukakyuka. Omwami omu agamba nti: “Ekizibu eky’amaanyi kye twafuna nga twakafumbiriganwa kwe kuba nti twali tetukyasobola kweyisa ng’abali obwannamunigina. Okumala ekiseera, twazibuwalirwa okumanya enkolagana yaffe ne mikwano gyaffe era n’ab’eŋŋanda zaffe w’erina okukoma.” Omwami omulala amaze emyaka 30 mu bufumbo yakimanya nga yaakawasa nti okusobola obutagwa lubege yalina “okulowooza ku bantu babiri, so si omu.” Bw’aba tannabaako ky’asalawo, asooka kwebuuza ku mukazi we, awo n’alyoka asalawo ng’alowooza ku ekyo bombi kye baagala. Mu mbeera ng’eyo, kiyamba obutaba mukakanyavu.​—Nge. 13:10.

8, 9. (a) Lwaki kikulu okuba n’empuliziganya ennungi? (b) Obutaba mukakanyavu kiyamba mu ki, era lwaki?

8 Oluusi abafumbo bayinza okuba nga baakuzibwa mu mbeera za njawulo. Mu mbeera ng’eno kiba kyetaagisa nnyo okuba n’empuliziganya ennungi. Engeri buli omu gy’amanyisaamu munne ky’ayagala ya njawulo. Okwetegereza ngeri munno mu bufumbo gy’ayogeramu n’ab’eŋŋanda ze kiyinza okukuyamba okwongera okumutegeera. Emirundi egimu, omuntu engeri gy’ayogeramu ekintu y’eyoleka ky’alowooza, so si bigambo by’akozesa. Era waliwo bingi ebisobola okutegeerwa wadde nga tewali kyogeddwa. (Nge. 16:24; Bak. 4:6) Okutegeera ng’okwo kwetaagisa okusobola okufuna essanyu mu bufumbo.​—Soma Engero 24:3.

9 Bangi bakizudde nti obutaba mukakanyavu kikulu bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu. Nga temunnafumbiriganwa, munno ayinza okuba yanyumirwanga emizannyo oba ekintu ekirala. Kyandiba nti kati enkyukakyuka zeetaagisa? (1 Tim. 4:8) Era kiyinza okwetaagisa okukola enkyukakyuka bwe kituuka ku biseera omufumbo by’amala n’ab’eŋŋanda ze. Awatali kubuusabuusa abafumbo kibeetaagisa okufuna ebiseera okwesomesa Baibuli n’okubaako ebintu ebirala bye bakolerako awamu.​—Mat. 6:33.

10. Kiki ekisobola okuyamba okuleetawo enkolagana ennungi wakati w’abazadde n’abaana baabwe abafumbo?

10 Omusajja bw’awasa, aleka kitaawe ne nnyina, era n’omukazi bw’atyo bw’akola. (Soma Olubereberye 2:24.) Wadde kiri kityo, omuntu asigala alina okugondera ekiragiro kya Katonda eky’okuwa abazadde be ekitiibwa. N’olwekyo oluvannyuma lw’okufumbiriganwa abafumbo kiyinza okubeetaagisa okuwaayo ekiseera okubeerako ne bazadde baabwe. Omwami omu amaze emyaka 25 mu bufumbo agamba nti: “Oluusi kiba kizibu omufumbo okwewala okugwa olubege ng’akola ku byetaago bya munne mu bufumbo, ebya bazadde be, n’eby’ab’eŋŋanda ku njuuyi zombi. Naye Olubereberye 2:24 lunnyamba okumanya eky’okukola mu mbeera ng’eyo. Kituufu nti omuntu alina okufaayo ku b’eŋŋanda ze, naye olunyiriri olwo lwandaga nti mukyala wange gwe nnina okusooka okufaako.” Bwe kityo, abazadde Abakristaayo balina okukitegeera nti abaana baabwe abafumbo kati balina amaka agaabwe era nti omwami mu maka ago y’agalinako obuvunaanyizibwa.

11, 12. Lwaki kikulu abafumbo okusoma n’okusabira awamu ng’amaka?

11 Kikulu okuba n’enteekateeka nnungi ey’okusomera awamu ng’amaka. Ebibaddewo mu maka Amakristaayo mangi biraga obutuufu bw’ensonga eno. Kiyinza obutaba kyangu kuteekawo nteekateeka ng’eyo oba okuginywererako. Ssemaka omu agamba nti: “Singa kisoboka okuddayo ku ntandikwa y’obufumbo bwaffe, ekintu kye twandisoose okukola kwe kukakasa nti tunywerera ku nteekateeka ey’okusomera awamu ng’amaka.” Ayongerako nti: “Kinsanyusa nnyo okulaba essanyu mukyala wange ly’aba nalyo bw’abaako ky’ayize ne kimukwatako nga tusoma ng’amaka.”

12 Ekintu ekirala ekikulu kwe kusabira awamu. (Bar. 12:12) Omwami n’omukyala bwe baba bumu mu kusinza Yakuwa, enkolagana yaabwe ey’okulusegere ne Katonda enyweza obufumbo bwabwe. (Yak. 4:8) Omwami omu Omukristaayo agamba nti: “Okwanguwa okwetonda ng’okoze ensobi ne bw’eba ntono n’okujoogerako nga musabira wamu y’emu ku ngeri y’okulaga nti kye wakoze toyagala kukiddamu.”​—Bef. 6:18.

Toba Mukakanyavu mu Bufumbo

13. Magezi ki Pawulo ge yawa ku kwetaba mu bufumbo?

13 Abakristaayo abafumbo balina okwewala okukola ebintu ebimalamu ekitiibwa okwetaba mu bufumbo gamba ng’ebyo ebicaase mu nsi y’akakyo kano erowooleza ennyo mu by’obugwenyufu. Ku nsonga eno Pawulo yagamba nti: “Omusajja asasulenga mukazi we ekyo ekimugwanira: era n’omukazi asasulenga bw’atyo omusajja. Omukazi tafuga mubiri gwe ye, wabula musajja we: era n’omusajja bw’atyo tafuga mubiri gwe ye, wabula mukazi we.” Era Pawulo yakyogera kaati nti: “Temummaŋŋananga, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera.” Lwaki? “Mulyoke mubeerenga n’ebbanga ery’okusabiramu, ate mulyoke mubeerenga wamu, Setaani alemenga okubakema olw’obuteeziyiza bwammwe.” (1 Kol. 7:3-5) Mu kwogera ku kusaba, Pawulo aba alaga ekisinga obukulu mu bulamu bw’Omukristaayo. Naye era yakiraga bulungi nti buli Mukristaayo omufumbo alina okufaayo ku nneewulira ya munne n’ebyetaago bye eby’omubiri.

14. Emisingi gy’omu Byawandiikibwa giyamba gitya ku nsonga y’okwetaba mu bufumbo?

14 Ku nsonga y’okwetaba, abafumbo balina okukimanya nti buli omu bw’atafa ku munne kiyinza okuvaamu obuzibu. (Soma Abafiripi 2:3, 4; geraageranya Matayo 7:12.) Kino kibaddewo mu maka agamu omuli abafumbo ng’omu si mukkiriza. Kyokka ne bwe wabaawo obutategeeragana, embeera eyinza okulongooka singa Omukristaayo ayoleka empisa ennungi, aba wa kisa eri munne era n’akolagana bulungi naye. (Soma 1 Peetero 3:1, 2.) Okwagala Yakuwa ne munno mu bufumbo era n’obutaba mukakanyavu kijja kuyamba abafumbo mu nsonga y’okwetaba.

15. Okuwaŋŋana ekitiibwa kiyamba kitya obufumbo okuba obw’essanyu?

15 Waliwo n’embeera endala omwami mw’alina okulagira mukyala we ekisa. Ng’ekyokulabirako, afaayo ku ndowooza ya mukazi we ne mu buntu obutono. Omwami omu amaze emyaka 47 mu bufumbo agamba nti: “Nkyalina eby’okuyiga bingi ku nsonga eno.” Abakazi Abakristaayo bakubirizibwa okuwa babbaabwe ekitiibwa. (Bef. 5:33) Okwogera ku nsobi z’abaami baabwe mu lujjudde, tekiraga kubawa kitiibwa n’akatono. Engero 14:1 lutujjukiza nti: “Buli mukazi ow’amagezi azimba ennyumba ye, naye omusirusiru agyabya n’emikono gye ye.”

Towa Setaani Mwagaanya

16. Abafumbo bayinza batya okukolera ku bigambo ebiri Abaefeso 4:26, 27?

16 “Musunguwalenga so temwonoonanga: enjuba eremenga okugwa ku busungu bwammwe: so temuwanga bbanga Setaani.” (Bef. 4:26, 27) Ebigambo bino bwe bissibwa mu nkola, biyinza okutuyamba okugonjoola oba okwewala obutategeeragana mu bufumbo. Mwannyinaffe omu agamba nti: “Sijjukira lunaku lwe twafuna butakkaanya na mwami wange ne tutabugonjoola, ne bwe kyatwalanga essaawa eziwerako.” Bwe baali baakafumbiriganwa, baasalawo obutaleka lunaku na lumu kuyitawo nga tebagonjodde butategeeragana bwabwe. “Twasalawo nti ka wabeewo kizibu ki, tulina okusonyiwagana era buli lunaku lutandike buggya.” Mu kukola batyo baagaana okuwa ‘Setaani ebbanga.’

17. Ne bwe kirabika nti abafumbo tebakwatagana bulungi, kiki ekiyinza okubayamba?

17 Ate watya ng’owulira nti omuntu gwe wafumbiriganwa naye takusaanira? Oyinza okwesanga mu bufumbo obulabika nga tebukyalimu kwagala bw’obugeraageranya ku bw’abalala. Wadde kiri kityo, okujjukira endowooza y’Omutonzi ku bufumbo kijja kukuyamba okubunyweza. Pawulo yaluŋŋamizibwa okubuulirira Abakristaayo nti: “Okufumbiriganwa kwa kitiibwa eri bonna, n’ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango.” (Beb. 13:4) Ebigambo bino nabyo bikulu: “Omugwa ogw’emiyondo esatu tegutera kukutuka.” (Mub. 4:12) Omwami n’omukyala bwe baba nga bombi bafaayo nnyo ku kutukuzibwa kw’erinnya lya Yakuwa, banywerera buli omu ku munne, era ne ku Katonda. Basaanidde okufuba okufuula obufumbo bwabwe obw’essanyu, nga bamanyi bulungi nti kino kijja kuweesa Yakuwa ekitiibwa, oyo eyatandikawo obufumbo.​—1 Peet. 3:11.

18. Oyinza kuba mukakafu ku ki ku bikwata ku bufumbo?

18 Abakristaayo basobola bulungi okufuna essanyu mu bufumbo. Okusobola okulifuna, kyetaagisa okufuba okwoleka engeri z’Ekikristaayo, ng’emu ku zo bwe butaba mukakanyavu. Leero mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi, mulimu abafumbo bangi abalaga nti kino kisoboka.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki kisoboka okufuna essanyu mu bufumbo?

• Kiki ekiyinza okuyamba obufumbo okuba obulungi?

• Ngeri ki abafumbo ze beetaaga okuba nazo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Kya magezi omufumbo okusooka okwebuuza ku munne nga tannabaako ky’asalawo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Mufube okugonjoola obutategeeragana ku lunaku olwo lwennyini ‘muleme kuwa Setaani bbanga’

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share