LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 3/15 lup. 25-29
  • Otunuulira Abantu nga Yakuwa bw’Abatunuulira?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Otunuulira Abantu nga Yakuwa bw’Abatunuulira?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Engeri Yakuwa gy’Atunuuliramu Baganda Baffe
  • Tunuulira Baganda Bo nga Yakuwa bw’Abatunuulira
  • Okukoppa Yakuwa mu Buweereza Bwaffe
  • Abantu ba Katonda Abali Obumu
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Okukulaakulanya ‘Ekibala Ky’omwoyo’ Kigulumiza Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Kuuma Obumu mu Kibiina
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Obubaka Bwe Tulina Okubuulira
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 3/15 lup. 25-29

Otunuulira Abantu nga Yakuwa bw’Abatunuulira?

“Waleme kubaawo njawukana mu mubiri . . . buli kitundu kifeeyo ku kinnaakyo.”​—1 KOL. 12:25, NW.

1. Wawulira otya nga waakayingira mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo?

BWE twasalawo okweyawula ku nsi eno embi ne tutandika okukolagana n’abantu ba Yakuwa, tuteekwa okuba nga twasanyuka nnyo olw’okwagala n’okufaayo kwe baatulaga. Nga waaliwo enjawulo y’amaanyi wakati waabwe n’abantu abali wansi w’obuyinza bwa Setaani abajjudde obukyayi! Twayingira mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo olujjudde emirembe n’obumu.​—Is. 48:17, 18; 60:18; 65:25.

2. (a) Kiki ekiyinza okutuleetera okutunuulira abalala mu ngeri etali nnungi? (b) Tuba tulina kukola ki?

2 Kyokka ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, oboolyawo twatandika okutunuulira baganda baffe mu ngeri etali nnungi olw’okuba tetutuukiridde. Eky’okuba nti tetutuukiridde kiyinza okutuleetera okukuliriza ensobi za baganda baffe mu kifo ky’okulaba engeri zaabwe ennungi. Tulekera awo okubatunuulira nga Yakuwa bw’abatunuulira. Kino bwe kibaawo, tuba tulina okutereeza endowooza yaffe esobole okutuukana n’eya Yakuwa.​—Kuv. 33:13.

Engeri Yakuwa gy’Atunuuliramu Baganda Baffe

3. Ekibiina Ekikristaayo Baibuli ekigeraageranya ku ki?

3 Mu 1 Abakkolinso 12:2-26, omutume Pawulo yageraageranya ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta ku mubiri ogulina “ebitundu ebingi.” Ng’ebitundu by’omubiri bwe biri eby’enjawulo, n’obusobozi n’engeri z’abantu abali mu kibiina nabyo bya njawulo. Kyokka Yakuwa akkiriza abantu bano ab’enjawulo. Buli omu ku bo amwagala era amutwala nga wa muwendo. N’olwekyo Pawulo akubiriza abali mu kibiina ‘buli omu okufaayo ku munne.’ Kino kiyinza okuba ekizibu kubanga engeri z’abalala ziyinza okuba nga za njawulo nnyo ku zaffe.

4. Lwaki kiyinza okutwetaagisa okukyusa engeri gye tutunuuliramu baganda baffe?

4 Tuyinza okuba nga tutera kutunuulira nsobi za baganda baffe zokka. Mu kukola tutyo, tuba ng’abakozesa kamera erina eriiso eriraba awatono. Ate engeri ye Yakuwa gy’alabamu eringa eriiso lya kamera eraba awagazi, nga lisobola okulaba ekintu n’ebikyetoolodde. Ffe tuyinza okutunuulira akantu akatono ke tutayagala, so ng’ate Yakuwa ye atunuulira omuntu yenna, nga mw’otwalidde n’engeri ennungi zonna z’ayinza okuba nazo. Gye tukoma okukoppa Yakuwa, gye tukoma okutumbula omwoyo gw’okwagala n’obumu mu kibiina.​—Bef. 4:1-3; 5:1, 2.

5. Lwaki si kirungi kusalira balala musango?

5 Yesu yali akimanyi bulungi nti abantu abatatuukiridde batera okukuliriza ensobi z’abalala. Yagamba nti: “Mulekere awo okusalira abalala omusango, nammwe guleme okubasalirwa.” (Mat. 7:1, NW) Weetegereze, Yesu teyagamba nti: “Temusalanga musango”; wabula yagamba: “Mulekere awo okusalira abalala omusango.” Yali akimanyi nti bangi ku bamuwuliriza baali basalira abalala omusango. Kyandiba nti naffe bwe tutyo bwe tuli? Bwe kiba kityo, tulina okufuba okukyusaamu, naffe tuleme kusalirwa musango. Mazima ffe b’ani okusalira omusango omuntu Yakuwa gw’aba awadde obuvunaanyizibwa, oba okugamba nti tasaanidde kubeera mu kibiina kye? Ow’oluganda ayinza okuba n’obunafu obumu, naye Yakuwa bw’aba akyamukozesa, kiba kituufu ffe okumwesamba? (Yok. 6:44) Ddala tukkiriza nti Yakuwa y’akulembera ekibiina kye era nti bwe wabaawo enkyukakyuka ezeetaagisa ajja kuzikola mu kiseera kye ekigereke?​—Soma Abaruumi 14:1-4.

6. Yakuwa atunuulira atya abaweereza be?

6 Ekirungi kiri nti Yakuwa alaba ekyo buli Mukristaayo ky’asobola okufuuka mu nsi empya bw’aliba ng’atuukiridde. Era amanyi engeri gye bafubyemu okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo. N’olwekyo tatunuulira buli nsobi omuntu gy’akola. Mu Zabbuli 103:12 tusoma nti: “Ebuvanjuba n’ebugwanjuba bwe biri ewala, bw’atyo bw’atutadde ewala ebyonoono byaffe.” Nga kino kizzaamu buli omu amaanyi!​—Zab. 130:3.

7. Tuyiga ki ku ngeri Yakuwa gye yatunuuliramu Dawudi?

7 Mu Byawandiikibwa mulimu ebyokulabirako ebiraga nti Yakuwa alaba engeri ennungi omuntu z’aba nazo. Katonda yayita Dawudi “omuddu wange Dawudi eyakwatanga ebiragiro byange era eyangoberera n’omutima gwe gwonna okukola ekyo ekyali mu maaso gange ekirungi.” (1 Bassek. 14:8) Tukimanyi bulungi nti Dawudi alina ebintu ebibi bye yakola. Kyokka, Yakuwa yasalawo okutunuulira ebirungi Dawudi bye yakola kubanga yali akimanyi nti Dawudi yalina omutima omulungi.​—1 Byom. 29:17.

Tunuulira Baganda Bo nga Yakuwa bw’Abatunuulira

8, 9. (a) Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa? (b) Waayo ekyokulabirako ku nsonga eno, era kiki kye tuyigamu?

8 Yakuwa asobola okulaba ekiri mu mutima, so ng’ate ffe tetusobola. Eno y’ensonga lwaki tetusaanidde kusalira balala musango. Omuntu bw’akola ekintu, tetuyinza kumanyira ddala nsonga kw’avudde. Bwe kityo, tulina okufuba okukoppa Yakuwa nga twewala okutunuulira obutali butuukirivu bw’abalala kubanga ekiseera kijja kutuuka buggwewo. Tekyandibadde kirungi singa tukifuula kiruubirirwa kyaffe okumukoppa mu ngeri eno? Okukola bwe tutyo kijja kutuyamba okubeera n’enkolagana ennungi n’ab’oluganda.​—Bef. 4:23, 24.

9 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku nnyumba eyayonooneka​—ng’amadirisa gaamenyeka, engogo zonna zaata dda era nga yonna etonnya. Olw’okuba erabika bubi nnyo, abantu abasinga bayinza okuba nga balaba esaanidde kumenyebwawo. Naye wayinza okubaawo omuntu omulala nga ye agitunuulira mu ngeri ya njawulo. Wadde ng’ennyumba eyo erabika bubi kungulu, ayinza okukiraba nti ekyali ŋŋumu, era nti esobola okuddaabirizibwa. Agigula n’agiddaabiriza n’eddawo bulungi. Bw’eggwa, abagiraba bagiwaana nga bw’eri ennungi. Lwaki tetukola ng’omuntu oyo addaabiriza ennyumba? Mu kifo ky’okutunuulira ensobi za baganda baffe, lwaki tetutunuulira ngeri ennungi ze balina era ne tubeesiga nti bajja kweyongera okukula mu by’omwoyo? Bwe tukola tutyo, tujja kweyongera okubaagala olw’engeri zaabwe ennungi, nga Yakuwa bw’akola.​—Soma Abaebbulaniya 6:10.

10. Ebiri mu Abafiripi 2:3, 4 biyinza bitya okutuyamba?

10 Omutume Pawulo yawa amagezi agayinza okutuyamba okukolagana obulungi na buli omu mu kibiina. Yakubiriza Abakristaayo nti: “Temukolanga kintu kyonna olw’okuyomba newakubadde olw’ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka; temutunuuliranga buli muntu ebibye yekka, era naye buli muntu n’eby’abalala.” (Baf. 2:3, 4) Obwetoowaze bujja kutuyamba okutunuulira abalala mu ngeri ennuŋŋamu. Okubafaako n’okubanoonyamu ebirungi kijja kutuyamba okubatunuulira nga Yakuwa bw’abatunuulira.

11. Nkyukakyuka ki ezizzeewo mu bibiina ebimu?

11 Mu nnaku zino, embeera y’ensi ereetedde abantu bangi okusengukira mu bitundu ebirala. Ebibuga ebimu kati bisangibwamu abantu abava mu nsi ezitali zimu. Abamu ku bantu abagwira abali mu bitundu mwe tubeera bayize amazima ga Baibuli, era ne batwegattako mu kusinza Yakuwa. Bano bava “mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi.” (Kub. 7:9) N’ekivuddemu, mu bibiina bingi kati mulimu abantu ab’amawanga ag’enjawulo.

12. Ngeri ki gye tusaanidde okutunuuliramu abalala bulijjo, era lwaki kino kiyinza okuba ekizibu?

12 Mu bibiina byaffe, kiyinza okutwetaagisa okuyiga okutunuulira abalala mu ngeri ennuŋŋamu. Okusobola okukikola, tulina okujjukira ebigambo by’omutume Peetero ebitukubiriza okubeera ‘n’okwagala kw’ab’oluganda okutaliimu bunnanfuusi n’okufuba okwoleka okwagala okuviira ddala ku mutima.’ (1 Peet. 1:22) Kiyinza obutaba kyangu okwoleka okwagala okwa nnamaddala mu kibiina omuli abantu ab’amawanga ag’enjawulo. Obuyigirize bwaffe, obuwangwa, embeera, n’ennyimirira yaffe mu by’enfuna biyinza okuba nga bya njawulo ku bya bakkiriza bannaffe. Ozibuwalirwa okutegeera abantu ab’amawanga amalala? N’abo bayinza okuba nga bazibuwalirwa okukutegeera. Wadde kiri kityo, ffenna tukubirizibwa nti: “Mwagalenga oluganda lwonna.”​—1 Peet. 2:17, NW.

13. Nkyukakyuka ki eziyinza okutwetaagisa okukola mu ndowooza yaffe?

13 Kiyinza okutwetaagisa okukyusa mu ndowooza yaffe okusobola okuyiga okwagala ab’oluganda bonna. (Soma 2 Abakkolinso 6:12, 13.) Oluusi twesanga nga twogedde nti “Siri musosoze, naye . . . ” olwo ne tubaako kye twogera nga kikolokota abantu ab’eggwanga eddala? Ekyo kiyinza okulaga nti twetaaga okweggyamu omuze gw’obusosoze. Weebuuze, ‘Nfuba okumanya abantu ab’amawanga amalala?’ Okwekebera mu ngeri eyo kiyinza okutuyamba okwagala ab’oluganda abava mu bitundu byonna eby’ensi.

14, 15. (a) Waayo ebyokulabirako by’abo abaakyusa endowooza gye baalina ku balala? (b) Tusobola tutya okubakoppa?

14 Baibuli erimu ebyokulabirako by’abantu abaakyusa mu ndowooza gye baalina ku bantu abalala, era ng’omu ku bo yali mutume Peetero. Olw’okuba yali Muyudaaya, Peetero yali yeewala okugenda mu maka g’ab’Amawanga. Teeberezamu bwe yawulira ng’alagiddwa okugenda ewa Koluneeriyo Munnaggwanga ataali mukomole! Olw’okuba Peetero yakitegeera nti Katonda yali ayagala abantu ab’amawanga gonna beegatte ku kibiina Ekikristaayo, yakyusa endowooza ye. (Bik. 10:9-35) Sawulo, eyafuuka omutume Pawulo, naye yalina okweggyamu obusosoze. Yagamba nti yali yakyawa Abakristaayo era nti ‘yayigganya nnyo ekibiina kya Katonda ng’ayagala okukizikiriza.’ Naye, Mukama waffe Yesu bwe yatereeza endowooza ya Pawulo, Pawulo yakola enkyukakyuka ez’amaanyi era n’akkiriza obulagirizi obuva eri abo be yayigganyanga.​—Bag. 1:13-20, NW.

15 Awatali kubuusabuusa, omwoyo gwa Yakuwa gusobola okutuyamba okukyusa endowooza yaffe. Singa tukizuula nti tukyalinamu obusosoze, twandifubye okubweggyamu tusobole ‘okukuuma obumu bw’omwoyo mu mirembe eginyweza obumu.’ (Bef. 4:3-6, NW) Baibuli etukubiriza ‘okwambala okwagalana ekintu ekinyweza okutuukirira.’​—Bak. 3:14.

Okukoppa Yakuwa mu Buweereza Bwaffe

16. Katonda alina kigendererwa ki eri abantu?

16 Omutume Pawulo yawandiika nti: “Katonda tasosola mu bantu.” (Bar. 2:11) Katonda ayagala abantu abava mu mawanga gonna okumusinza. (Soma 1 Timoseewo 2:3, 4.) Ekyo okusobola okukituukiriza, akoze enteekateeka “enjiri ey’emirembe n’emirembe” ebuulirwe mu “buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.” (Kub. 14:6) Yesu yagamba nti: “Ennimiro ye nsi.” (Mat. 13:38) Kino kitegeeza ki gy’oli n’eri ab’eŋŋanda zo?

17. Tuyinza tutya okuyamba abantu aba buli ngeri?

17 Si bonna nti basobola okugenda mu bitundu by’ensi eby’ewala okubuulira abalala amawulire g’Obwakabaka. Naye, tuyinza okuba nga tusobola okutuusa amawulire gano ku bantu b’amawanga amalala ababeera mu kitundu kyaffe. Tufuba okubuulira abantu aba buli ngeri, so si abo bokka be tubadde tubuulira okumala ebbanga? Lwaki tofuba kutuukirira abo abatannafuna bulungi bujulirwa?​—Bar. 15:20, 21.

18. Yesu yalaga atya nti afaayo ku bantu?

18 Yesu yali ayagala nnyo okuyamba abantu bonna. Yabuulira mu bifo ebitali bimu. Baibuli etugamba nti ‘yayita mu bibuga byonna, n’embuga zonna.’ Era ‘bwe yalaba ebibiina, n’abasaasira’ era n’ayagala okubayamba.​—Mat. 9:35-37.

19, 20. Tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku bantu aba buli ngeri nga Yakuwa ne Yesu bwe bakola?

19 Oyinza otya okulaga endowooza ng’eyo? Abamu bafubye okubuulira mu kitundu byabwe ebitatera kubuulirwamu. Bino biyinza okuzingiramu ebifo omukolerwa bizineesi, paaka, siteegi z’ebidduka, oba ebifo ebisulwamu ebikuumibwa obutiribiri. Abalala bafubye okuyiga olulimi olulala basobole okubuulira abantu ababeera mu kitundu kyabwe aboogera olulimi olwo abatatera kubuulirwa. Okuyiga okubuuza abantu bano mu lulimi lwabwe kiyinza okubalaga nti obafaako. Bwe tuba tetusobola kuyiga lulimi lulala, tuyinza okuzzaamu amaanyi abo abakikola? Tetwagala kumalamu maanyi oba kubuusabuusa kigendererwa ky’abo abagezaako okubuulira abantu ab’amawanga amalala. Abantu bonna ba muwendo mu maaso ga Katonda, era naffe twagala okuba n’endowooza y’emu.​—Bak. 3:10, 11.

20 Okutunuulira abantu nga Katonda bw’abatunuulira kitwaliramu okubuulira bonna, ka babe mu mbeera ki. Abamu bayinza okuba nga tebalina we basula, nga bajama oba nga benzi. Omuntu bw’atuyisa obubi tekitegeeza nti ab’eggwanga lye bonna bwe bafaanana. Pawulo yayisibwa bubi abantu abamu, naye ekyo tekyamugaana kubuulira bantu abaali bava mu kitundu ekyo. (Bik. 14:5-7, 19-22) Yasigala asuubira nti abantu abamu bayinza okusiima obubaka bwe.

21. Okuba n’endowooza Yakuwa gy’alina ku balala kinaakuyamba kitya?

21 Kati kyeyoleka bulungi nti twetaaga okuba n’endowooza ennuŋŋamu​—endowooza ya Yakuwa​—nga tukolagana n’ab’oluganda mu kibiina gye tukuŋŋaanira, n’ab’oluganda mu nsi yonna, era n’abantu be tusanga mu nnimiro. Gye tukoma okuba n’endowooza ya Yakuwa, gye tukoma okubeera mu mirembe n’obumu. Era tujja kuba tusobola bulungi okuyamba abalala okwagala Yakuwa, Katonda ‘atasosola’ era alaga bonna okwagala, “kubanga bonna mulimu gwa mikono gye.”​—Yobu 34:19, NW.

Osobola Okuddamu?

• Kiki kye tulina okwewala okutunuulira mu b’oluganda?

• Tuyinza tutya okutunuulira ab’oluganda nga Yakuwa bw’abatunuulira?

• Biki by’oyize ku ngeri gye tulina okutunuuliramu ab’oluganda mu nsi yonna?

• Tuyinza tutya okukoppa endowooza Yakuwa gy’alina ku bantu nga tuli mu buweereza bw’ennimiro?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Oyinza otya okufuna enkolagana n’abantu abatali ba ggwanga lyo?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 28]

Osobola otya okutuusa amawulire amalungi ku bantu abangi okusingawo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share