Obwakabaka bwa Katonda Buli Kumpi Okutununula!
“Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.”—MAT. 6:10.
1. Enjigiriza ya Yesu eyali esinga obukulu y’eruwa?
MU KUBUULIRA kwe okw’Oku Lusozi, Yesu Kristo yawa abagoberezi be essaala ey’okulabirako eyalaga mu bufunze ekintu ekyali kisinga obukulu mu kuyigiriza kwe. Yabayigiriza okusaba Katonda nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Mat. 6:9-13) Yesu ‘yatambula mu bibuga ne mu mbuga ng’abuulira ng’atenda enjiri ey’obwakabaka bwa Katonda.’ (Luk. 8:1) Kristo yakubiriza abagoberezi be nti: ‘Musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe.’ (Mat. 6:33) Ng’osoma ekitundu kino, weetegereze engeri gy’oyinza okukozesa ebikirimu mu buweereza bwo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri gy’oyinza okuddamu ebibuuzo bino: Obubaka bw’Obwakabaka bukulu kwenkana wa? Olulyo lw’omuntu lwetaaga kununulibwa kuva mu ki? Obwakabaka bwa Katonda bunaanunula butya abantu?
2. Obubaka bw’Obwakabaka bukulu kwenkana wa?
2 Yesu yalagula nti: “Enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.” (Mat. 24:14) Amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda makulu nnyo nnyini ddala. Awatali kubuusabuusa, bwe bubaka obusingayo okuba obukulu mu nsi yonna! Mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebisukka mu 100,000 okwetooloola ensi, abaweereza ba Katonda obukadde nga musanvu bakola omulimu gw’okubuulira ku kigero ekitabangawo, nga bategeeza abantu nti Obwakabaka bwatandika okufuga. Okuteekebwawo kwabwo mawulire malungi kubanga kitegeeza nti Katonda ataddewo gavumenti mu ggulu egenda okufuga ensi yonna. Wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka, Yakuwa by’ayagala bijja kukolebwa mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.
3, 4. Kiki ekinaabaawo nga Katonda by’ayagala bye bikolebwa mu nsi?
3 Abantu banaafuna mikisa ki nga Katonda by’ayagala bikolebwa mu nsi? Yakuwa “alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa.” (Kub. 21:4) Abantu bajja kuba tebalwala wadde okufa olw’ekibi ekisikire n’obutali butuukirivu. Abafu Katonda b’anaazuukiza bajja kufuna omukisa okubeera abalamu emirembe gyonna, kubanga Baibuli essuubiza nti: “Walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.” (Bik. 24:15) Tewajja kubaawo nate ntalo, bulwadde oba njala, era ensi ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda. N’ensolo enkambwe zijja kubeera mu mirembe n’abantu era n’ensolo zinnaazo.—Zab. 46:9; 72:16; Is. 11:6-9; 33:24; Luk. 23:43.
4 Olw’ebirungi ng’ebyo ebinaabaawo ng’Obwakabaka bufuga, obunnabbi bwa Baibuli bwogera bwe buti ku bulamu obulibaawo mu kiseera ekyo: “Abawombeefu balisikira ensi: era banaasanyukiranga emirembe emingi.” Ate kiki ekinaatuuka ku abo abaleetawo emitawaana? Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo.” Naye, “abalindirira Mukama abo be balisikira ensi.”—Zab. 37:9-11.
5. Kiki ekigenda okutuuka ku nteekateeka y’ebintu eno?
5 Ebyo byonna okusobola okubaawo, enteekateeka y’ebintu eno awamu ne gavumenti zaayo, amadiini, n’enteekateeka z’eby’obusuubuzi, byonna birina okuggibwawo. Ekyo kyennyini gavumenti eyo ey’omu ggulu ky’egenda okukola. Nnabbi Danyeri yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Mu mirembe gya bakabaka abo [abaliwo kaakano], Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka [mu ggulu], obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna [obuliwo kaakano], era bunaabeereranga emirembe gyonna.” (Dan. 2:44) Olwo nno, Obwakabaka bwa Katonda—gavumenti empya ey’omu ggulu—bujja kufuga abantu abalungi abaliba mu nsi empya. Walibaawo “eggulu eriggya n’ensi empya, obutuukirivu mwe butuula.”—2 Peet. 3:13.
Okununulibwa Kwetaagibwa Okusinga bwe Kyali Kibadde
6. Baibuli eyogera ki ku bubi obuli mu nsi eno embi?
6 Setaani, Adamu, ne Kaawa bwe bajeemera Katonda nga baagala beesalirewo ekituufu n’ekikyamu, okubonaabona kwayingira mu lulyo lw’omuntu. Nga wayiseewo emyaka egissuka mu 1,600 era ng’Amataba tegannajja, ‘obubi bw’omuntu bwali bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw’ebirowoozo eby’omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo.’ (Lub. 6:5) Nga wayise emyaka emirala nga 1,300, Sulemaani yakiraba nti embeera yali mbi nnyo, era n’awandiika nti: “Kyennava ntendereza abafu abaamala okufa okusinga abalamu abakyalaba; weewaawo ne ndowooza okusinga bombi oyo atannabaawo, atalabanga mulimu mubi ogukolebwa wansi w’enjuba.” (Mub. 4:2, 3) Mu kiseera kino nga wayise emyaka emirala nga 3,000, obubi bweyongera bungi.
7. Lwaki leero twetaaga nnyo okununulibwa Katonda?
7 Kituufu nti obubi bubaddewo okumala ebbanga ddene, naye mu kiseera kino okununulibwa Obwakabaka bwa Katonda kwetaagibwa okusinga bwe kyali kibadde. Ekiseera eky’emyaka 100 egiyise kibadde kibi nnyo, era embeera ekyeyongera okwonooneka. Ng’ekyokulabirako, ekitongole ekiyitibwa Worldwatch Institute kigamba nti: “Omuwendo gw’abantu abafiiridde mu ntalo mu kyasa [ekya 20] gukubisaamu emirundi esatu omuwendo gw’abantu abaafiira mu ntalo zonna ezaaliwo okuva mu kyasa ekyasooka AD okutuuka mu 1899.” Okuva mu 1914, abantu abassuka mu bukadde 100 be bafiiridde mu ntalo! Okusinziira ku kitabo ekimu, kiteeberezebwa nti abantu abawerera ddala obukadde 60 be baafiira mu Ssematalo II. Olw’okuba amawanga agamu kati galina eby’okulwanyisa ebya nukuliya, kisoboka okusaanyawo abantu mu bungi. Wadde nga wabaddewo enkulaakulana mu bya sayansi ne mu by’obujjanjabi, abaana obukadde nga butaano bafa buli mwaka olw’enjala n’obulwadde.—Laba essuula 9 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
8. Emyaka enkumi n’enkumi abantu gye bamaze nga beefuga giraze ki?
8 Wadde ng’abantu bafubye nnyo, tebasobodde kumalawo bubi. Eby’obufuzi by’ensi eno, eby’obusuubuzi, n’eddiini tebisobola kuleetawo mirembe na bulamu bulungi—ebintu abantu bye basinga okwetaaga. Mu kifo ky’okugonjoola ebizibu by’abantu, byongedde bwongezi ku bizibu ebyo. Mu butuufu, emyaka enkumi n’enkumi abantu gye bamaze nga beefuga giraze bulungi obutuufu bw’ebigambo bino: “Ekkubo ly’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamya ebigere bye.” (Yer. 10:23) Yee, ‘omuntu abadde n’obuyinza ku munne okumukola obubi.’ (Mub. 8:9) Ate era “ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu.”—Bar. 8:22.
9. Abakristaayo ab’amazima basuubira kulaba ki mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma’?
9 Baibuli yayogera bw’eti ku biseera bye tulimu: “Mu nnaku ez’oluvannyuma ebiro eby’okulaba ennaku birijja.” Obunnabbi obwo bwe bumala okulaga embeera ezandibaddewo mu nnaku ezisembayo ez’obufuzi bw’abantu, bugamba: “Abantu ababi n’abeetulinkirira balyeyongera okuyitirira mu bubi.” (Soma 2 Timoseewo 3:1-5, 13.) Abakristaayo bamanyi nti bwe kityo bwe kirina okuba kubanga ‘ensi yonna eri mu buyinza bwa mubi,’ Setaani. (1 Yok. 5:19) Kyokka era bakimanyi nti Katonda ajja kununula abo bonna abamwagala. Bajja kununulibwa okuva mu nsi eno egenda yeeyongera okwonooneka.
Ayinza Okutununula Ali Omu Yekka
10. Lwaki Yakuwa ye yekka asobola okutununula?
10 Bw’oba obuulira amawulire amalungi, kirage nti Yakuwa ye yekka asobola okutununula. Ye yekka alina obusobozi era ayagala okununula abaweereza be okuva mu mbeera embi zonna. (Bik. 4:24, 31; Kub. 4:11) Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kununula abantu be era atuukirize ebigendererwa bye kubanga yalayira nti: “Mazima nga bwe nnalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo.” Ekigambo kye “tekiridda [gy’ali] nga kyereere.”—Soma Isaaya 14:24, 25; 55:10, 11.
11, 12. Bukakafu ki Katonda bw’awa abaweereza be?
11 Yakuwa yawa obukakafu nti ajja kununula abaweereza be bw’anaaba azikiriza ababi. Katonda bwe yali atuma nnabbi Yeremiya eri abantu abaali aboonoonyi ennyo, yamugamba nti: “Tobatyanga: kubanga nze ndi wamu naawe okukuwonya.” (Yer. 1:8) Mu ngeri y’emu, Yakuwa bwe yali anaatera okuzikiriza Sodoma ne Ggomola, ebibuga ebyali ebibi ennyo, yatuma bamalayika babiri okuyamba Lutti n’ab’omu maka okubifuluma. Awo “Mukama n’alyoka atonnyesa ku Sodoma ne Ggomola omuliro n’ekibiriiti.”—Lub. 19:15, 24, 25.
12 Yakuwa asobola okununula abantu abakola by’ayagala wadde nga bali mu bifo bya njawulo okwetooloola ensi. Bwe yaleeta Amataba agaazikiriza ensi embi ey’edda, ‘yawonya Nuuwa, omubuulizi w’obutuukirivu, ne banne musanvu.’ (2 Peet. 2:5) Yakuwa era ajja kununula abantu abagolokofu bw’anaaba azikiriza ensi eno embi. Eno ye nsonga lwaki Ekigambo kye kigamba nti: “Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi . . . Munoonye obutuukirivu, munoonye obuwombeefu: mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama.” (Zef. 2:3) Ababi bwe banaamala okuzikirizibwa mu nsi yonna, abantu ‘abagolokofu bajja kubeera mu nsi, naye abo abasala enkwe bajja kusimbulirwamu ddala.’—Nge. 2:21, 22.
13. Abaweereza ba Yakuwa abaafa banaanunulibwa batya?
13 Kyokka, abaweereza ba Katonda bangi bafudde olw’endwadde, okuyigganyizibwa, n’ebintu ebirala. (Mat. 24:9) Abo bo banaanunulibwa batya? Nga bwe kyayogeddwako emabega, ‘wajja kubaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.’ (Bik. 24:15) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti tewali kintu kyonna kiyinza kulemesa Yakuwa kununula baweereza be!
Gavumenti ey’Obutuukirivu
14. Lwaki tuli bakakafu nti Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya butuukirivu?
14 Bw’oba obuulira, tegeeza abantu nti Obwakabaka bwa Yakuwa obw’omu ggulu gavumenti ya butuukirivu. Ya butuukirivu kubanga eyoleka engeri za Katonda ez’ekitalo, gamba ng’obwenkanya, obutuukirivu, n’okwagala. (Ma. 32:4; 1 Yok. 4:8) Obwakabaka buno Katonda abukwasizza Yesu Kristo olw’okuba y’alina ebisaanyizo okufuga ensi. Era Yakuwa yateekateeka nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta 144,000 okuva mu nsi baakuzuukizibwa bafune obulamu obw’omu ggulu bafuge ensi nga bali wamu ne Kristo.—Kub. 14:1-5.
15. Njawulo ki eri wakati w’obufuzi bw’abantu n’obw’Obwakabaka bwa Katonda.
15 Ng’enjawulo ejja kuba y’amaanyi wakati w’obufuzi bw’abantu abatatuukiridde n’obwa Yesu ng’ali wamu ne bali 144,000! Abafuzi b’enteekateeka eno ey’ebintu bangi babadde babi era baleetedde abo be bafuga okulwana entalo eziviiriddeko abantu nkuyanja okuttibwa. Ebyawandiikibwa kye biva bitukubiriza obutateeka bwesige bwaffe mu bantu, “omutali buyambi bwonna.” (Zab. 146:3) Naye Kristo ye ajja kufuga mu ngeri ennungi era ey’okwagala. Yesu yagamba nti: “Mujje gyendi mmwe mwenna abakooye era abazitooweereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’omu myoyo gyammwe. Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n’omugugu gwange mwangu.”—Mat. 11:28-30.
Ennaku ez’Oluvannyuma Zinaatera Okukoma!
16. Ennaku zino ez’oluvannyuma zinaggwa zitya?
16 Okuva mu 1914, ensi eno embi ebadde mu nnaku zaayo ez’oluvannyuma, oba “amafundikira g’enteekateeka ey’ebintu eno.” (Mat. 24:3, NW) Mu bbanga eritali lya wala, “ekibonyoobonyo ekinene” Yesu kye yayogerako kijja kutandika. (Soma Matayo 24:21.) Ekibonyoobonyo ekyo ekinene kijja kumalirawo ddala ensi ya Setaani yonna. Naye kinaatandika kitya era kinaggwa kitya?
17. Okusinziira ku Baibuli ekibonyoobonyo ekinene kinaatandika kitya?
17 Ekibonyoobonyo ekinene kijja kutandika mbagirawo. Yee, “olunaku lwa Mukama waffe” lugenda kujja mu kiseera we lutasuubirwa, “bwe baliba nga boogera nti Mirembe, siwali kabi.” (Soma 1 Abasessaloniika 5:2, 3.) Ekibonyoobonyo ekyo kijja kutandika mu kiseera ng’amawanga gasuubira nti ganaatera okugonjoola ebimu ku bizibu byago eby’amaanyi. Okuzikirizibwa kwa “Babulooni Ekinene,” amadiini ag’obulimba mu nsi yonna, kujja kwewuunyisa nnyo ensi. Bakabaka n’abantu abalala bajja kuwuniikirira okulaba nga Babulooni Ekinene kizikirizibwa.—Kub. 17:1-6, 18; 18:9, 10, 15, 16, 19.
18. Yakuwa akolawo ki nga Setaani alumbye abantu be?
18 Ekiseera kijja kutuuka wabeewo “obubonero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye,” ‘n’akabonero k’omwana w’omuntu kalirabika mu ggulu.’ Mu kiseera ekyo tujja kuba tusobola ‘okuyimusa emitwe gyaffe kubanga okununulibwa kwaffe kuliba kunaatera okutuuka.’ (Luk. 21:25-28; Mat. 24:29, 30) Setaani, oba Googi, ajja kuleetera abawagizi be okulumba abantu ba Katonda. Naye Yakuwa ayogera bw’ati ku abo abalumba abaweereza be abeesigwa: “Abakomako mmwe akoma mu [mmunye] y’eriiso lyange.” (Zek. 2:8) Bw’atyo Setaani ajja kulemererwa okubazikiriza. Lwaki? Kubanga Yakuwa ajja kusitukiramu anunule abaweereza be.—Ez. 38:9, 18.
19. Lwaki tuli bakakafu nti eggye lya Katonda lijja kuzikiriza enteekateeka ya Setaani?
19 Katonda bw’anaaba azikiriza amawanga, ‘gajja kumanya nti ye Yakuwa.’ (Ez. 36:23, NW) Ajja kutuma eggye lye—enkumi n’enkumi z’ebitonde eby’omwoyo nga bikulemberwa Kristo Yesu—lizikirize enteekateeka ya Setaani eneeba ekyasigaddewo ku nsi. (Kub. 19:11-19) Bwe tujjukira nti lumu malayika omu yekka ‘yatta emitwalo kumi na munaana n’ekitundu’ ku balabe ba Katonda mu kiro kimu, tuba bakakafu nti kijja kwanguyira eggye ly’omu ggulu okuzikiriza enteekateeka ya Setaani yonna eri ku nsi mu lutalo Kalumagedoni ng’ekibonyoobonyo ekinene kituuse ku ntikko yaakyo. (2 Bassek. 19:35; Kub. 16:14, 16) Setaani ne badayimooni bajja kusibibwa okumala emyaka lukumi. Oluvannyuma bajja kuzikirizibwa.—Kub. 20:1-3.
20. Yakuwa agenda kukola ki ng’ayitira mu Bwakabaka?
20 Bwe kityo, obubi bujja kuba bumaliddwawo mu nsi, era abantu abatuukirivu bajja kubeera ku nsi eno emirembe gyonna. Yakuwa ajja kuba akiraze nti ye Mununuzi Omukulu. (Zab. 145:20) Okuyitira mu Bwakabaka, ajja kulaga nti ye mufuzi w’obutonde bwonna omutuufu, ajja kutukuza erinnya lye, era atuukirize ekigendererwa kye eri ensi. Ka ffenna tufune essanyu mu buweereza bwaffe nga tulangirira amawulire gano amalungi era nga tuyamba abo ‘abaterekeddwa obulamu obutaggwaawo’ okutegeera nti Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi okutununula!—Bik. 13:48.
Okyajjukira?
• Yesu yalaga atya nti Obwakabaka bukulu nnyo?
• Lwaki okununulibwa kwetaagibwa nnyo leero okusinga bwe kyali kibadde?
• Biki bye tusuubira okubaawo mu kibonyoobonyo ekinene?
• Yakuwa alaga atya nti ye Mununuzi Omukulu?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 12, 13]
Ekigambo kya Katonda kyalagula nti mu kiseera kyaffe omulimu gw’okubuulira gujja kukolebwa ku kigero ekitabangawo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Nga Yakuwa bwe yanunula Nuuwa n’ab’omu maka ge, naffe ajja kutununula
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Yakuwa “alisangula buli zziga . . . ; era okufa tekulibaawo nate.”—Kub. 21:4