LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 5/15 lup. 21-25
  • Kulaakulana mu by’Omwoyo ng’Okoppa Ekyokulabirako kya Pawulo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kulaakulana mu by’Omwoyo ng’Okoppa Ekyokulabirako kya Pawulo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Pawulo Yalina Enteekateeka ey’Okwesomesa
  • Sawulo Yayiga Okwagala Abantu
  • Obwetoowaze bwa Pawulo
  • ‘Tuddukenga n’Okugumiikiriza’ Embiro ez’Obulamu
  • “Sivunaanibwa Musaayi gwa Muntu Yenna”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Ekibiina “ne Kibeera mu Mirembe”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Ba Mugumu—Yakuwa Ye Muyambi Wo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • ‘Okuwa Obujulirwa mu Bujjuvu’
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 5/15 lup. 21-25

Kulaakulana mu by’Omwoyo ng’Okoppa Ekyokulabirako kya Pawulo

“Nnwanye okulwana okulungi, olugendo ndutuusizza, okukkiriza nkukuumye.”​—2 TIM. 4:7.

1, 2. Sawulo ow’e Talusiisi yakola nkyukakyuka ki mu bulamu bwe, era mulimu ki omukulu gwe yatandika okukola?

YALI musajja mugezi era ng’asalawo mangu ekintu. Naye, yali ‘atambulira mu kwegomba kwa mubiri gwe.’ (Bef. 2:3) Oluvannyuma yeeyogerako ng’eyali ‘omuvvoozi, ayigganya abalala, era atabawa kitiibwa.’ (1 Tim. 1:13, NW) Omusajja oyo ye yali Sawulo ow’e Talusiisi.

2 Bwe waayita ekiseera, Sawulo yakola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwe. Yalekera awo okweyisa obubi era n’afuba okukola ‘ebigasa abangi so si ebigasa ye.’ (1 Kol. 10:33, NW) Yafuuka mukwata mpola era yalaga okwagala eri abo be yali ayigganya mu kusooka. (Soma 1 Abasessaloniika 2:7, 8.) Yagamba nti: ‘Nnafuuka omuweereza.’ Era yayongerako nti: “Nze, omuto okusinga abato ab’omu batukuvu bonna, nnaweebwa ekisa kino, okubuuliranga ab’amawanga obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka.”​—Bef. 3:7, 8.

3. Okwekenneenya ebiri mu bbaluwa za Pawulo n’ebirala ebyogera ku buweereza bwe kinaatuyamba kitya?

3 Sawulo, amanyiddwa nga Pawulo, yakulaakulana nnyo mu by’omwoyo. (Bik. 13:9) Engeri emu gye tuyinza okukulaakulana mu by’omwoyo kwe kwekenneenya ebiri mu bbaluwa za Pawulo n’ebirala ebyogera ku buweereza bwe, wamu n’okukoppa ekyokulabirako kye eky’okukkiriza. (Soma 1 Abakkolinso 11:1; Abaebbulaniya 13:7.) Ka tulabe engeri ekyo gye kinaatukubirizaamu okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa, okuyiga okwagala abantu, n’okuba abeetoowaze.

Pawulo Yalina Enteekateeka ey’Okwesomesa

4, 5. Pawulo yaganyulwa atya mu kwesomesa?

4 Olw’okuba yali Mufalisaayo eyasomesebwa ‘Gamalyeri era eyayigirizibwa ennyo mu mpisa z’Amateeka ga bajjajja be,’ Pawulo yali alina ky’amaanyi ku Byawandiikibwa. (Bik. 22:1-3; Baf. 3:4-6) Olwamala okubatizibwa ‘n’agenda mu Buwalabu’​—mu ddungu ly’omu Busuuli oba mu kifo ekirala ekisirifu mu Buwalabu gye yali asobola okubeera n’afumiitiriza bulungi. (Bag. 1:17) Kirabika Pawulo yali ayagala kufumiitiriza ku byawandiikibwa ebikakasa nti Yesu ye yali Masiya. Okugatta ku ekyo, yali ayagala kwetegekera mulimu gwe yali agenda okukola. (Soma Ebikolwa 9:15, 16, 20, 22.) Pawulo yafuna ekiseera okufumiitiriza ku bintu by’omwoyo.

5 Okwesomesa kwayamba Paulo okumanya Ebyawandiikibwa n’okufuna okutegeera ebyamuyamba okuyigiriza obulungi amazima. Ng’ekyokulabirako, bwe yali mu kkuŋŋaaniro mu Antiyokiya eky’omu Pisidiya, Pawulo yajuliza butereevu Ebyawandiikibwa by’Olwebbulaniya emirundi egitakka wansi w’etaano okulaga nti Yesu ye yali Masiya. Era enfunda eziwera, Pawulo yakozesa ebyawandiikibwa ebitukuvu nga tabijuliza butereevu. Olw’okuba yannyonnyola Baibuli mu ngeri ematiza, ‘bangi ku Bayudaaya n’abakyufu baagoberera Pawulo ne Balunabba’ basobole okuyiga ebisingawo. (Bik. 13:14-44) Lumu Abayudaaya b’omu Ruumi bwe bagenda gy’asula, Pawulo yabannyonnyola ‘ne bategeera obwakabaka bwa Katonda, era ne bakkiriza ebigambo ebikwata ku Yesu mu mateeka ga Musa ne mu bya bannabbi.’​—Bik. 28:17, 22, 23.

6. Kiki ekyayamba Pawulo okusigala nga munywevu mu by’omwoyo ng’agezesebwa?

6 Bwe yayolekagananga n’okugezesebwa, Pawulo yeekenneenyanga Ebyawandiikibwa n’addamu amaanyi mu by’omwoyo. (Beb. 4:12) Bwe yali mu kkomera e Ruumi nga tannattibwa, Pawulo yasaba Timoseewo amuleetere “ebitabo” omuli n’ebyo “eby’amaliba.” (2 Tim. 4:13) Kirabika ebyo byali Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya Pawulo bye yakozesanga okwesomesa. Okutegeera Ebyawandiikibwa ng’ayitira mu kwesomesa Baibuli kyayamba nnyo Pawulo okusigala nga munywevu mu by’omwoyo.

7. Miganyulo ki gy’oyinza okufuna bwe weesomesa Baibuli obutayosa?

7 Okwesomesa Baibuli obutayosa n’okufumiitiriza ku bye tusoma kituyamba okukulaakulana mu by’omwoyo. (Beb. 5:12-14) Ng’ayogera ku muganyulo oguli mu Kigambo kya Katonda, omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Amateeka g’akamwa ko gampoomera nze okusinga ebitundu eby’ezaabu n’effeeza enkumu n’enkumi. Bye walagira bingeziwaza okusinga abalabe bange; kubanga [biri] wamu nange ennaku zonna. Naaziyizanga ebigere byange obutatambula mu kkubo ebbi lyonna, ndyoke nkwatenga ekigambo kyo.” (Zab. 119:72, 98, 101) Olina enteekateeka ey’okwesomesa Baibuli? Osoma Baibuli buli lunaku era n’ofumiitiriza ku by’osoma nga weetegekera okufuna enkizo mu kuweereza Katonda?

Sawulo Yayiga Okwagala Abantu

8. Sawulo yayisa atya abantu abataali ba ddiini ya Kiyudaaya?

8 Bwe yali tannafuuka Mukristaayo, Sawulo yali munyiikivu nnyo mu ddiini ye, naye nga abataali ba ddiini ya Kiyudaaya tabafaako. (Bik. 26:4, 5) Yaliwo era yawagira Abayudaaya nga batta Suteefano. Osanga Sawulo yalowooza nti ekibonerezo ekyo Suteefano kyali kimusaana, era okubaawo ng’attibwa kirabika kyamuleetera okulowooza nti yali mutuufu okuyigganya Abakristaayo. (Bik. 6:8-14; 7:54–8:1) Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Sawulo n’atandika okuyisa obubi ennyo ekibiina. N’ayingira mu buli nnyumba n’asikambulamu abasajja n’abakazi n’abatwala mu kkomera.” (Bik. 8:3, NW) Yatuuka ‘n’okubayigganya mu bibuga eby’ebweru.’​—Bik. 26:11.

9. Pawulo yajja atya okukyusa engeri gye yali ayisaamu abantu?

9 Sawulo bwe yali agenda e Damasiko okuyigganya abayigirizwa ba Kristo, Mukama waffe Yesu yamulabikira. Okumyansa kw’omwana wa Katonda okw’ekitalo kwaziba Sawulo amaaso era baalina kumukwata bukwasi ku mukono asobole okutambula. Yakuwa yagenda okutuma Ananiya okuzibula Sawulo amaaso, ng’endowooza Sawulo gy’alina ku bantu ekyuse. (Bik. 9:1-30) Bwe yafuuka omugoberezi wa Kristo, yafuba okukolagana n’abantu bonna nga Yesu bwe yakola. Kino kyali kimwetaagisa okuleka eby’ettemu era ayige ‘n’okutabagana n’abantu bonna.’​—Soma Abaruumi 12:17-21.

10, 11. Pawulo yalaga atya abantu okwagala okwa nnamaddala?

10 Pawulo teyakoma ku kutabagana na bantu kyokka, naye yayagala n’okubalaga okwagala okwa nnamaddala. Kino yakituukiriza ng’ayitira mu buweereza bw’Ekikristaayo. Ku lugendo lwe olw’obuminsani olwasooka, yabuulira amawulire amalungi mu Asiya Omutono. Wadde nga waaliwo okuziyizibwa okw’amaanyi, Pawulo ne banne baafuba okuyamba abantu abawombeefu okufuuka Abakristaayo. Baddamu okukyala mu Lusitula ne mu Ikonio, wadde ng’abalabe baabwe mu bibuga ebyo baali bagezezzaako okutta Pawulo.​—Bik. 13:1-3; 14:1-7, 19-23.

11 Oluvannyuma, Pawulo ne banne baagenda ne banoonya abantu ab’emitima emirungi mu kibuga Firipi eky’omu Makedoni. Omukyala omu omukyufu ayitibwa Ludiya yakkiriza amawulire amalungi era n’afuuka Omukristaayo. Ab’obuyinza baakuba Pawulo ne Siira kibooko era ne babaggalira mu kkomera. Naye Pawulo yabuulira omukuumi w’ekkomera era omusajja oyo n’ab’omu maka ge baabatizibwa ne baafuuka basinza ba Yakuwa.​—Bik. 16:11-34.

12. Kiki ekyaleetera Sawulo eyali omukambwe bw’atyo okufuuka omutume wa Yesu Kristo alina okwagala?

12 Sawulo yava ku ki okuyingira enzikiriza y’abantu be yali ayigganya? Kiki ekyaleetera omusajja oyo eyali omukambwe bw’atyo okufuuka omutume ow’ekisa, alina okwagala, era omwetegefu okuteeka obulamu bwe mu kabi olw’okuyamba abalala okuyiga amazima agakwata ku Katonda ne Kristo? Pawulo kennyini agamba nti: ‘Katonda yampita olw’ekisa kye, okubikkulira Omwana we mu nze.’ (Bag. 1:15, 16) Era yagamba Timoseewo nti: “Kyennava nsaasirwa Yesu Kristo alyoke alabisize mu nze ow’olubereberye okugumiikiriza kwe kwonna, okubeeranga ekyokulabirako eri abo abagenda okumukkiriza olw’obulamu obutaggwaawo.” (1 Tim. 1:16) Yakuwa yasonyiwa Pawulo, era ekisa ekyo n’obusaasizi ebyamulagibwa byamuleetera okulaga abalala okwagala ng’ababuulira amawulire amalungi.

13. Kiki ekyandituleetedde okulaga abalala okwagala, era tuyinza tutya okubalaga okwagala?

13 Naffe Yakuwa atusonyiwa ebibi n’ensobi zaffe. (Zab. 103:8-14) Omuwandiisi wa zabbuli yabuuza nti: “Mukama, bw’onoobalanga ebitali bya butuukirivu, Ai Mukama, aliyimirira aluwa?” (Zab. 130:3) Awatali Katonda kutusaasira, tewali n’omu ku ffe yandibadde na nkizo ya kumuweereza, era tetwandibadde na ssuubi lya kufuna bulamu butaggwaawo. Ffenna Katonda atulaze ekisa eky’ensusso. N’olwekyo, okufaananako Pawulo, naffe tusaanidde okulaga abalala okwagala nga tubabuulira, tubayigiriza amazima, era nga tuzzaamu basinza bannaffe amaanyi.​—Soma Ebikolwa 14:21-23.

14. Tuyinza tutya okugaziya obuweereza bwaffe?

14 Pawulo yali ayagala okweyongera okufuna obumanyirivu ng’omubuulizi w’amawulire amalungi, era ekyokulabirako kya Yesu kyamuyamba nnyo. Omulimu gwe ogw’okubuulira kye kimu ku bintu Omwana wa Katonda bye yakola okulaga abantu okwagala okutenkanika. Yesu yagamba nti: “Eby’okukungula bye bingi, naye abakozi be batono. Kale musabe Omwami w’eby’okukungula, asindike abakozi mu by’okukungula bye.” (Mat. 9:35-38) Bwe kiba nti Pawulo yasaba Yakuwa okusindika abakozi abasingako mu nnimiro, ye kennyini yakolera ku kusaba okwo ng’abuulira n’obunyiikivu. Ate ggwe? Osobola okulongoosa mu ngeri gy’obuuliramu? Osobola okwongera ku biseera by’omala mu kubuulira Obwakabaka, oboolyawo n’okufuuka payoniya? Ka tulage abalala okwagala okwa nnamaddala nga tubayamba ‘okunywerera ku kigambo ky’obulamu.’​—Baf. 2:16, NW.

Obwetoowaze bwa Pawulo

15. Pawulo yalaga atya obwetoowaze?

15 Pawulo yatuteerawo ekyokulabirako ekirala ekirungi mu buweereza bw’Ekikristaayo. Wadde nga yafuna enkizo nnyingi mu kibiina Ekikristaayo, Pawulo yali akimanyi bulungi nti ekyo tekyava mu kufuba kwe oba ku busobozi bwe. Yakitegeera nti emikisa gye yafuna gyali gyoleka ekisa kya Katonda ekingi. Pawulo yali akimanyi nti n’Abakristaayo abalala baali basobola bulungi okubuulira amawulire amalungi. Wadde nga yalina ekifo eky’obuvunaanyizibwa ennyo mu bantu ba Katonda, Pawulo yasigala mwetoowaze.​—Soma 1 Abakkolinso 15:9-11.

16. Pawulo yalaga atya obwetoowaze, bwe wajjawo obutakkaanya ku nsonga y’okukomola?

16 Lowooza ku ngeri Pawulo gye yakwatamu ekizibu ekyajjawo mu kibuga Antiyokiya ekya Busuuli. Wajjawo obutakkaanya mu kibiina Ekikristaayo ku nsonga y’okukomola. (Bik. 14:26–15:2) Olw’okuba Pawulo yali yalondebwa okuwoma omutwe mu kubuulira ab’Amawanga abataali bakomole, yali ayinza okwetwala nti amanyi buli ekibakwatako era nti alina obusobozi okugonjoola ekizibu ekyo. (Soma Abaggalatiya 2:8, 9.) Kyokka bwe yagezaako okugonjoola ensonga eyo n’egaana, yalaga obwetoowaze bwe yakkiriza etwalibwe mu kakiiko akafuzi e Yerusaalemi. Yakolagana bulungi n’ab’oku kakiiko akafuzi bwe baatuula ne basalawo ku nsonga eyo era ne bamutuma ng’omu ku babaka baabwe. (Bik. 15:22-31) Bw’atyo Pawulo ‘yawanga banne ekitiibwa.’​—Bar. 12:10b.

17, 18. (a) Pawulo yali atwala atya ab’oluganda mu bibiina? (b) Ebyo ebyaliwo ng’abakadde b’omu Efeso basiibula Pawulo bituyigiriza ki ku mutume oyo?

17 Olw’okuba yali mwetoowaze, Pawulo teyassaawo lukonko wakati we n’ab’oluganda mu bibiina, era bw’atyo yafuuka mukwano gwabwe nnyo. Bwe yali afundikira ebbaluwa ye eri Abaruumi, yatumira abantu abasoba mu 20. Abasinga ku bo teboogerwako walala wonna mu Byawandiikibwa, era batono nnyo ku bo abaalina enkizo ez’amaanyi mu kibiina. Naye baali baweereza ba Yakuwa beesigwa, era Pawulo yali abaagala nnyo.​—Bar. 16:1-16.

18 Obwetoowaze bwa Pawulo n’okwala kwe yalina eri ab’oluganda byayamba okunyweza ekibiina. Bwe yamala okwogera n’abakadde b’omu Efeso omulundi ogusembayo, ‘baakaaba nnyo bonna, ne bagwa Pawulo mu kifuba ne bamunywegera, nga banakuwala okusinga byonna olw’ekigambo kye yayogera nti tebakyaddayo kumulaba.’ Tekyandibadde kityo singa Pawulo yali musajja mwewulize.​—Bik. 20:37, 38, NW.

19. Tuyinza tutya okulaga ‘obuwombeefu’ nga tukolagana ne Bakristaayo bannaffe?

19 Abo bonna abaagala okukulaakulana mu by’omwoyo bateekwa okuba abeetoowaze nga Pawulo. Yakubiriza Bakristaayo banne ‘obutakolanga kintu kyonna olw’okuyomba newakubadde olw’ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu okugulumizanga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka.’ (Baf. 2:3) Ebigambo ebyo tuyinza tutya okubissa mu nkola? Tuyinza okubissa mu nkola nga tukolagana bulungi n’abakadde mu kibiina, nga tugoberera obulagirizi bwe batuwa, era nga tukkaanya n’ebyo bye baba basazeewo ku nsonga ekwata ku w’oluganda yenna. (Soma Abaebbulaniya 13:17.) Era tuyinza okubissa mu nkola nga tulaga baganda baffe bonna mu kibiina nti ba muwendo. Mu bibiina by’abantu ba Yakuwa ebimu mulimu abantu abava mu mawanga ag’enjawulo. Okufaananako Pawulo, bonna tusaanidde okubalaga okwagala awatali kusosola. (Bik. 17:26; Bar. 12:10a) Tukubirizibwa ‘okusembezaganyanga, nga Kristo bwe yatusembeza, olw’ekitiibwa kya Katonda.’​—Bar. 15:7.

‘Tuddukenga n’Okugumiikiriza’ Embiro ez’Obulamu

20, 21. Kiki ekinaatuyamba okuwangula embiro ez’obulamu?

20 Obulamu bw’Omukristaayo bufaananako empaka z’embiro empanvu. Pawulo yagamba nti: ‘Nnwanye okulwana okulungi, olugendo ndutuusizza, okukkiriza nkukuumye: ekisigaddeyo, enterekeddwa engule ey’obutuukirivu, Mukama waffe asala emisango egy’ensonga gy’alimpeera ku lunaku luli: so si nze nzekka, naye ne bonna abaagala okulabika kwe.’​—2 Tim. 4:7, 8.

21 Okukoppa ekyokulabirako kya Pawulo kijja kutuyamba okuwangula embiro z’obulamu obutaggwaawo. (Beb. 12:1) N’olwekyo, ka ffenna tweyongere okukulaakulana mu by’omwoyo nga tuteekawo enteekateeka ennungi ey’okwesomesa, nga tufuba okwagala ennyo abantu n’okuba abawombeefu.

Wandizzeemu Otya?

• Pawulo yaganyulwa atya mu kuba n’enteekateeka y’okwesomesa Ebyawandiikibwa?

• Lwaki Abakristaayo balina okwagala ennyo abantu?

• Ngeri ki ezinaakuyamba okwewala okusosola mu bantu?

• Ekyokulabirako kya Pawulo kiyinza kitya okukuyamba okukolagana obulungi n’abakadde mu kibiina kyo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Weekenneenye Ebyawandiikibwa nga Pawulo bwe yakola, oddemu amaanyi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Laga abalala okwagala ng’obabuulira amawulire amalungi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Omanyi ekyaleetera ab’oluganda okwagala ennyo Pawulo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share