LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 10/1 lup. 4-9
  • Okugumira Ennaku

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okugumira Ennaku
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okunakuwala Kye Ki?
  • Okugumira Ennaku
  • Semberera Katonda
  • Essuubi ly’Okuzuukira
  • Nnyinza Ntya Okugumira Ennaku Yange?
    Omwagalwa Wo bw’Afa
  • “Mukaabire Wamu n’Abo Abakaaba”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Ebisobola Okuyamba Abo Abafiiriddwa Abantu Baabwe
    Zuukuka!—2018
  • Ennyanjula
    Zuukuka!—2018
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 10/1 lup. 4-9

Okugumira Ennaku

“Batabani [ba Yakobo] bonna ne bawala be bonna ne bagolokola okumusanyusa; naye n’agaana okusanyusibwa; n’ayogera nti Kubanga ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba. Kitaawe n’amulirira amaziga.” —OLUBEREBERYE 37:35.

OMUSAJJA ow’edda Yakobo yanakuwala nnyo bwe yafiirwa mutabani we. Yagamba nti yali ajja kumukungubagira okutuusa lw’alifa. Okufaananako Yakobo, oyinza okuba ng’owulira nti obulumi bw’okufiirwa omwagalwa wo bw’amaanyi nnyo era nti si bwa kukendeera. Okulumwa ennyo bw’otyo kiba kiraga nti tokkiririza mu Katonda? Nedda!

Baibuli eraga nti Yakobo yali musajja mukkiriza. Yakobo, jjajjaawe Ibulayimu ne kitaawe Isaaka bonna boogerwako ng’abasajja abakkiriza. (Abaebbulaniya 11:8, 9, 13) Lumu Yakobo yatuuka n’okumeggana ne malayika ekiro kyonna asobole okufuna omukisa gwa Katonda! (Olubereberye 32:24-30) Kyeyoleka bulungi nti Yakobo yali ayagala ennyo eby’omwoyo. Kati olwo kiki kye tuyiga mu kuba nti Yakobo yanakuwala nnyo ng’afiiriddwa? Omuntu asobola okunakuwala ennyo wadde ng’alina okukkiriza okw’amaanyi mu Katonda. Okunakuwala ng’omwagalwa wo afudde kya mu butonde era kya bulijjo.

Okunakuwala Kye Ki?

Buli omu anakuwala mu ngeri ya njawulo, naye abasinga bafuna ennyiike etegambika. Ng’ekyokulabirako, Leonardo yali aweza emyaka 14, kitaawe n’afa obulwadde obw’omutima. Leonardo tagenda kwerabira lunaku maama we omuto lwe yamubuulira mawulire ago. Mu kusooka, teyakikkiriza. Yaliwo mu kukungubaga era omulambo gwa kitaawe yagulaba, naye muli yawulira ng’aloota obuloosi. Leonardo yalemererwa okukaaba okumalira ddala emyezi nga mukaaga. Emirundi mingi yeesanga ng’asuubira nti kitaawe ajja kudda okuva ku mulimu. Kyamutwalira omwaka nga mulamba okukikkiriza nti ddala kitaawe yafa. Bwe yakikkiriza, yawulira ekiwuubaalo eky’amaanyi. N’ebintu ebitono ennyo, gamba ng’okudda awaka nga tewali muntu, byamuleeteranga okujjukira okufa kwa kitaawe. Mu biseera ng’ebyo, yatulikanga n’akaaba. Nga yalumwa nnyo olw’okufiirwa kitaawe!

Ng’ekyokulabirako kya Leonardo bwe kiraga, okufiirwa kiyinza okutuleetera ennaku etegambika. Ekirungi kiri nti ennaku eyo tusobola okugigumira. Naye, ekyo kiyinza okutwala ekiseera ekiwera. Ng’ekiwundu eky’amaanyi bwe kirwawo okuwona, n’ennaku omuntu gy’aba nayo ng’afiiriddwa erwawo okugenda. Okugumira ennaku eyo kiyinza okutwala emyezi nga gigyo oba emyaka egiwerako. Naye ekiseera bwe kigenda kiyitawo, obulumi obungi bw’oba owulira mu kusooka bugenda bukendeera, era mpolampola embeera egenda edda mu nteeko.

Kigambibwa nti okukungubaga kiyamba omuntu okuyiga okugumira ennaku n’okwolekagana n’embeera empya. Omuntu bw’afa atulekera eddibu lya maanyi, era kiba kitwetaagisa okumanyira obulamu nga taliiwo. Okukungubaga kiyinza okutuyamba okukkakkanya ku birowoozo. Kya lwatu nti buli muntu akungubaga mu ngeri ya njawulo. Naye, ekituufu kiri nti omuntu obutakungubaga ng’afiiriddwa kiyinza okuba eky’akabi eri obulamu bwe. Kati olwo omuntu ayinza atya okukungubaga mu ngeri esaanira? Baibuli ewa amagezi amalungi ku nsonga eno.a

Okugumira Ennaku

Abantu abafiiriddwa bangi bakizudde nti okwogera kibayamba okukkakkanya ku birowoozo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo by’omusajja Yobu ayogerwako mu Baibuli, eyafiirwa abaana ekkumi n’afuna n’ebizibu ebirala bingi. Yagamba nti: “Emmeeme yange enyiye obulamu bwange; n[n]aafukumula okwemulugunya kwange; n[n]aayogeza kkabyo lya mmeeme yange!” (Yobu 1:2, 18, 19; 10:1) Weetegereze nti Yobu yawulira ng’alina ‘okufukumula’ ennaku ye. Kino yakikola atya? Yakikola ‘ng’ayogera.’

Paulo eyafiirwa nnyina agamba nti: “Ekimu ku bintu ebinnyambye nnyo kwe kwogera ku maama wange.” N’olwekyo, bw’oyogerako ne mikwano gyo ku ngeri gy’owuliramu, kiyinza okukuyamba okufuna obuweerero. (Engero 17:17) Bwe yafiirwa nnyina, Yone yasaba Bakristaayo banne bongere okumukyalira. Agamba nti: “Okwogera nabo kyannyamba okukendeeza ku bulumi bwe nnali mpulira.” Naawe ojja kukisanga nti okwogerako ne mikwano gyo, n’okubabuulira bw’owulira kijja kukuyamba okugumira ennaku.

Okuwandiika nakyo kiyamba okukendeeza ku nnaku. Abantu abamu abazibuwalirwa okwogera ebibali ku mutima bayinza okukisanga nga kyangu okubiwandiika. Sawulo ne Yonasaani bwe baafa, omusajja omwesigwa Dawudi yawandiika oluyimba olwoleka ennaku eyali ku mutima gwe. Oluyimba luno olw’okukungubaga oluvannyuma lwateekebwa mu kitabo kya Baibuli ekiyitibwa Samwiri eky’Okubiri.—2 Samwiri 1:17–27.

Okukaaba nakwo kuyinza okukuyamba okukendeeza ku nnaku. Baibuli egamba nti: ‘Buli kintu kiriko ekiseera kyakyo, waliwo n’ekiseera eky’okukaabiramu amaziga.’ (Omubuulizi 3:1, 4) Awatali kubuusabuusa, bwe tuba tufiiriddwa omwagalwa waffe, kiba ‘kiseera kya kukaaba.’ Si kya buswavu okukaaba bwe tuba tufiiriddwa. Baibuli erimu ebyokulabirako bingi eby’abasajja n’abakazi abeesigwa abaakaba nga bafiiriddwa. (Olubereberye 23:2; 2 Samwiri 1:11, 12) Yesu Kristo ‘yakaaba’ bwe yali anaatera okutuuka ku ntaana mwe baali baziise mukwano gwe Lazaalo.—Yokaana 11:33, 35.

Okuyiga okugumira ennaku kitwala ekiseera kubanga oluusi ebirowoozo bigira ne bikomawo. Kijjukire nti okukaaba si kya buswavu. Abantu abeesigwa bangi bakizudde nti okukaaba ng’ofiiriddwa kintu kya bulijjo era kiyamba nnyo mu kugumira ennaku.

Semberera Katonda

Baibuli etugamba nti: “Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mwe.” (Yakobo 4:8) Emu ku ngeri gy’oyinza okusembereramu Katonda kwe kusaba. Kino kikulu nnyo! Baibuli etukakasa nti: “Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.” (Zabbuli 34:18) Era egamba nti: “Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga.” (Zabbuli 55:22) Ekyo kirowoozeeko. Nga bwe tulabye, bangi bakizudde nti kibayamba bwe boogera ku nnaku yaabwe nga bali ne mikwano gyabwe. Tekiba kya muganyulo n’okusingawo bwe tutegeeza Katonda ennaku yaffe, oyo asuubiza okutubudaabuda?—2 Abasessaloniika 2:16, 17.

Paulo eyayogeddwako waggulu yagamba nti: “Buli lwe nnawuliranga ennaku ng’empitiriddeko, nnafukamiranga ne nsaba Katonda. Nnamulaajaniranga annyambe.” Paulo agamba nti okusaba kwamuyamba nnyo. Naawe bw’onoolaajanira “Katonda ow’okubudaabuda kwonna,” ajja kuddamu okusaba kwo akuwe amaanyi osobole okugumira ennaku.—2 Abakkolinso 1:3, 4, NW; Abaruumi 12:12.

Essuubi ly’Okuzuukira

Yesu yagamba nti: “Nze kuzuukira, n’obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng’afudde, aliba mulamu.” (Yokaana 11:25) Baibuli egamba nti abafu bajja kuddamu okuba abalamu.b Yesu bwe yali ku nsi, yakiraga nti asobola okuzuukiza abafu. Lumu yazuukiza omuwala ow’emyaka 12. Bazadde be baawulira batya? ‘Baasanyuka nnyo.’ (Makko 5:42, NW) Mu bufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda, Yesu Kristo Kabaka ow’omu ggulu ajja kuzuukiza abantu bangi wano ku nsi—naye nga bali mu mbeera za mirembe era za butuukirivu. (Ebikolwa 24:15; 2 Peetero 3:13) Nga kiriba kya ssanyu ng’abantu bibinja na bibinja bazuukizibwa ku nsi okuddamu okubeera n’abaagalwa baabwe!

Claudete eyafiirwa mutabani we mu kabenje k’ennyonyi yatimba ekifaananyi kya mutabani we Renato ku firiiji ye. Bw’agira n’atunula ku kifaananyi ekyo n’agamba, “Tujja kusisinkana nate mu kuzuukira.” Leonardo akuba akafaananyi nga kitaawe azuukiziddwa mu nsi empya Katonda gye yasuubiza. Yee, essuubi ly’okuzuukira ligumizza nnyo abantu abo, n’abalala bangi abafiiriddwa abaagalwa baabwe. Naawe lisobola okukugumya!

[Obugambo obuli wansi]

a Ku ngeri y’okuyambamu abaana okugumira ennaku nga bafiiriddwa abaagalwa baabwe, laba ekitundu “Yamba Omwana Wo Okugumira Ennaku,” ku lupapula 10-12 mu magazini eno.

b Ebisingawo ku ssuubi lya Baibuli ery’okuzuukira, laba essuula 7 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

“Katonda ow’Okubudaabuda Kwonna”

“Atenderezebwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna.”—2 Abakkolinso 1:3, NW.

Olunyiriri luno lulaga nti Katonda asobola okuyamba abaweereza be abeesigwa okugumira ekizibu kyonna kye bayinza okwolekagana nakyo. Emu ku ngeri Yakuwa gy’atuyambamu kwe kuyitira mu baganda baffe Abakristaayo.

Leonardo eyafiirwa kitaawe ajjukira ekintu ekyamuzzaamu ennyo amaanyi. Lumu amaziga gaamuyiika bwe yadda awaka n’ajjukira nti tewaali muntu. Yagenda mu paaka eyali okumpi awo n’atuula omwo ne yeeyongera okukaaba. Ng’eno bw’akaaba, yalaajanira Katonda amuyambe. Amangu ago yagenda okuwulira ng’emmotoka eyimirira okumpi ne we yali, era yagenda okwetegereza ng’agivuga Mukristaayo munne. Ow’oluganda oyo yali alina w’atwala ebintu naye ng’ekkubo ly’aweseemu kyamu. Okulaba obulabi ku muganda we oyo kyayamba Leonardo okuddamu amaanyi.

Lumu, ssemwandu omu yali awulira ekiwuubaalo era nga mwennyamivu nnyo. Yali mu maziga amayitirivu ng’awulira obulamu bumusobedde. Yalaajanira Katonda amuyambe. Yali akyasaba essimu n’evuga. Essimu yali evudde wa muzzukulu we omuwala. Agamba nti: “Twayogerera akaseera katono naye nnawulira nga nzizeemu amaanyi. Ssaalimu kubuusabuusa kwonna nti essimu eyo kwe kwali okwanukula okusaba kwange.”

[Akasanduuko akali ku lupapula  9]

Okubudaabuda Abalala

“[Katonda] atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna, naffe tusobole okubudaabuda abo abali mu kubonaabona okwa buli ngeri nga tuyitira mu kubudaabuda kwe tufuna okuva eri Katonda.”—2 Abakkolinso 1:4, NW.

Abakristaayo ab’amazima bangi balabye obutuufu bw’ebigambo ebyo mu bulamu bwabwe. Basobola bulungi okubudaabuda abalala olw’engeri bo bennyini gye babudaabudibwamu nga bafiiriddwa abaagalwa waabwe.

Lowooza ku Claudete, atera okukyalira abantu n’ababuulira ku nzikiriza ye eyeesigamiziddwa ku Baibuli. Bwe yali atannafiirwa mutabani we, alina omukyala gwe yakyaliranga nga mutabani we yali yafa kkansa. Wadde ng’omukyala oyo yali ayagala nnyo Claudete amukyalire, yali awulira nti mwannyinaffe oyo yali tategeera bulungi bulumi bwe yalina mu mutima. Kyokka, Claudete bwe yafiirwa mutabani we, omukyala oyo yakyalira Claudete n’amugamba nti yali azze kulaba obanga yali akyanyweredde ku nzikiriza ye oluvannyuma lw’okufiirwa mutabani we. Yeewuunya nnyo okusanga Claudete ng’akyali munywevu mu nzikiriza ye. Kati omukyala oyo ayiga Baibuli ne Claudete era Ekigambo kya Katonda kimubudaabuda.

Oluvannyuma lw’okufiirwa kitaawe, Leonardo yasalawo okuyiga olulimi lwa bakiggala asobole okuyamba bakiggala okufuna obubaka bwa Baibuli obubudaabuda. Leonardo aganyuddwa nnyo mu kuyamba bakiggala. Agamba nti: “Okwagala ennyo okuyamba bakiggala okuyiga ebikwata ku Katonda kye kimu ku bintu ebinnyambye okugumira ennaku. Nfubye nnyo okulaba nti mbayamba. Okulaba omuyizi wange owa Baibuli eyasooka ng’abatizibwa kyammalako ennaku! Mu butuufu, okuva lwe nnafiirwa kitange, ku olwo lwe nnasooka okufuna essanyu erya nnamaddala.”—Ebikolwa 20:35.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Okwogera ku ngeri gy’owuliramu kiyamba okukkakkanya ku birowoozo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Okusoma ku ssuubi ly’okuzuukira kisobola okukubudaabuda

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Okuwandiika ku ngeri gy’owuliramu kiyamba okukendeeza ku nnaku

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8, 9]

Yesu yasuubiza okuzuukiza abo abamukkiririzaamu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share