‘Katonda y’Akuza’!
“Asiga si kintu, newakubadde afukirira; wabula Katonda akuza.”—1 KOL. 3:7.
1. Mu ngeri ki gye ‘tukolera awamu ne Katonda’?
‘TUKOLERA wamu ne Katonda.’ Bw’atyo omutume Pawulo bwe yayogera ku nkizo buli omu ku ffe gy’asobola okufuna. (Soma 1 Abakkolinso 3:5-9.) Enkizo Pawulo gye yali ayogerako gwe mulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa. Yagugeraageranya ku kusiga ensigo n’okugifukirira. Bwe tuba ab’okufuna ebibala mu mulimu guno, twetaaga obuyambi bwa Yakuwa. Pawulo atujjukiza nti ensigo ‘Katonda y’agikuza.’
2. Okukimanya nti ‘Katonda y’akuza’ kituyamba kitya okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku buweereza bwaffe?
2 Okukimanya nti Katonda y’akuza ensigo kituyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku buweereza bwaffe. Kituufu nti tusobola okuba abanyiikivu mu kubuulira n’okuyigiriza, naye omuntu yenna bw’afuuka omuyigirizwa, Yakuwa y’alina okutenderezebwa. Lwaki? Kubanga ne bwe tufuba tutya, teri n’omu ku ffe ayinza kutegeera bulungi ngeri muntu gy’akulaakulanyamu nkolagana ye ne Katonda, era ekyo tetukirinaako buyinza. Kino kikwatagana bulungi ne Kabaka Sulemaani kye yagamba nti: ‘Tomanyi mulimu gwa Katonda akola byonna.’—Mub. 11:5.
3. Omulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa gufaananako gutya okusiga ensigo?
3 Eky’okuba nti tetusobola kutegeera bulungi ngeri muntu gy’akulaakulanyamu nkolagana ye ne Katonda kifuula omulimu gwaffe omuzibu? Nedda, tekigufuula muzibu, wabula kituyamba okulaba kye tulina okukola. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Enkya osiganga ensigo zo, n’akawungeezi toddirizanga mukono gwo: kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi.” (Mub. 11:6) Omulimi bw’aba asiga ensigo, tayinza kumanya ziruwa ku zo ezinaamera. Okumera kw’ensigo ezo kusinziira ku bintu bingi by’atalinaako buyinza. Omulimu gw’okufuula abalala abayigirizwa nagwo bwe gutyo bwe guli. Ng’ayogera ku nsonga eno, Yesu yakozesa engero bbiri ezisangibwa mu Njiri ya Makko mu ssuula ey’okuna. Ka tulabe kye tuyinza okuyiga mu ngero ezo ebbiri.
Ebika by’Ettaka eby’Enjawulo
4, 5. Wumbawumbako ebiri mu lugero lwa Yesu olw’omulimi amansa ensigo.
4 Mu Makko 4:1-9, Yesu ayogera ku mulimi asiga ensigo ne zigwa mu bifo ebitali bimu: “Muwulire; laba, omusizi yafuluma okusiga: awo olwatuuka bwe yali ng’asiga, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya. N’endala ne zigwa awali enjazi awatali ttaka lingi; amangu ago ne zimera, kubanga ettaka teryali ggwanvu: enjuba bwe yayaka, ne ziwotookerera; era kubanga tezaalina mmizi, ne zikala. Endala ne zigwa awali amaggwa, amaggwa ne galoka, ne gazizisa ne zitabala bibala. Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala ebibala ne bikula ne byeyongera; ne zizaala okutuusa amakumi asatu, era okutuusa enkaaga, era okutuusa ekikumi.”
5 Mu biseera bya Baibuli, ensigo zaasigibwanga nga zimansibwa mu nnimiro. Omulimi bwe yabanga asiga, ensigo yaziteekanga mu nsawo ey’olugoye oba mu kibya, n’agenda ng’azimansa. N’olwekyo, mu lugero luno oyo asiga aba tagenderera kusiga nsigo ku ttaka lya bika bya njawulo, wabula bw’azimansa zigwa mu bifo bya njawulo.
6. Yesu yannyonnyola atya olugero lw’omulimi asiga ensigo?
6 Yesu yannyonnyola amakulu agali mu lugero luno. Mu Makko 4:14-20 yagamba nti: “Omusizi asiga kigambo. Bano be b’oku mabbali g’ekkubo, ekigambo we kisigibwa; awo bwe bawulira, amangu ago Setaani n’ajja n’aggyamu ekigambo ekyasigibwa mu bo. Ne bano bwe batyo be bali abasigibwa awali enjazi, abo, bwe bawulira ekigambo, amangu ago bakikkiriza n’essanyu; ne bataba na mmizi mu bo, naye bamala ekiseera kitono; awo bwe wabaawo okulaba ennaku oba kuyigganyizibwa olw’ekigambo, amangu ago beesittala. N’abalala be bali abasigibwa awali amaggwa; abo, bwe bawulira ekigambo, awo emitawaana gy’ensi n’obulimba bw’obugagga, n’okwegomba kw’ebirala byonna bwe biyingira bizisa ekigambo, ne kitabala: n’abo be bali abasigibwa awali ettaka eddungi; abawulira ekigambo, abakikkiriza, ababala ebibala amakumi asatu, n’enkaaga, n’ekikumi.”
7. Ensigo n’ebika by’ettaka eby’enjawulo bikiikirira ki?
7 Weetegereze nti Yesu tagamba nti ensigo ezisigibwa za bika bya njawulo. Ayogera ku nsigo za kika kimu naye nga zigwa ku ttaka lya bika bya njawulo, era nga buli kika kya ttaka ebikivaamu bya njawulo. Ettaka erisooka likaluba; ery’okubiri lya lwazi; ery’okusatu lijjudde amaggwa; ate ery’okuna ddungi era libala bulungi. (Luk. 8:8) Ensingo kye kiki? Bwe bubaka bw’Obwakabaka obuli mu Kigambo kya Katonda. (Mat. 13:19) Ebika by’ettaka bino eby’enjawulo bikiikirira ki? Bikiikirira abantu ab’emitima egiri mu mbeera ey’enjawulo.—Soma Lukka 8:12, 15.
8. (a) Omulimi asiga akiikirira ani? (b) Lwaki obubaka bw’Obwakabaka abantu babutwala mu ngeri za njawulo?
8 Omulimi asiga ensigo akiikirira ani? Akiikirira abo abakolera awamu ne Katonda nga balangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Okufaananako Pawulo ne Apolo, basiga era ne bafukirira. Kyokka ne bwe bafuba batya, ebiva mu ntuuyo zaabwe biba bya njawulo. Lwaki? Kubanga emitima gy’abo abawuliriza obubaka giri mu mbeera ya njawulo. Mu lugero olwo, omulimi asiga taba na buyinza ku kiki kivaamu. Nga kino kizzaamu nnyo amaanyi, naddala eri baganda baffe abeesigwa abaweerezza okumala emyaka emingi, naye nga bafunye ebibala bitono!a Lwaki kizzaamu amaanyi?
9. Pawulo ne Yesu bombi baayogera ki ekizzaamu amaanyi?
9 Ebibala omulimi by’afuna mu buweereza bwe si bye biraga obwesigwa bwe. Kino Pawulo yakikoonako bwe yagamba nti: ‘Buli muntu aliweebwa empeera ye ye ng’omulimu gwe ye bwe guliba.’ (1 Kol. 3:8) Empeera esinziira ku mulimu ogukoleddwa, so si ku biki ebiguvaamu. Yesu naye lumu yaggumiza ensonga eno abayigirizwa be bwe baali bakomyewo okuva mu kubuulira. Abayigirizwa baali basanyufu olw’okuba baali bagobye dayimooni mu linnya lya Yesu. Wadde ng’ekyo kyali kibasanyusizza, Yesu yabagamba nti: “Ekyo temukisanyukira, kubanga badayimooni babawulira; naye musanyuke kubanga amannya gammwe gawandiikiddwa mu ggulu.” (Luk. 10:17-20) Omulimi ne bw’aba yasiga ensingo ne mutavaamu bibala bingi tekitegeeza nti si munyiikivu oba nti si mwesigwa. Omuntu okukkiriza obubaka kisinziira nnyo ku mbeera y’omutima gwe. Naye mu nkomerero ya byonna, Katonda y’akuza!
Obuvunaanyizibwa bw’Abo Abawulira Ekigambo
10. Kiva ku ki omuntu awulidde amawulire amalungi okuba ng’ettaka eddungi oba ebbi?
10 Ate kiri kitya kw’abo abawulira ekigambo? Katonda yamala dda okusalawo kye banaakola nga bawulidde obubaka bwe? Nedda. Kiri eri buli omu okuba ng’ettaka eddungi oba ebbi. Omutima gw’omuntu gusobola okulongooka oba okwonooneka. (Bar. 6:17) Mu lugero lwe Yesu yagamba nti, abantu abamu ‘bwe bawulira ekigambo, amangu ago’ Setaani akibaggyamu. Naye Yakobo 4:7 walaga nti Abakristaayo bwe ‘balwanyisa Setaani,’ ajja kubadduka. Yesu agamba nti abantu abalala bakkiriza ekigambo n’essanyu mu kusooka naye beesittala olw’okuba ‘tebalina mmizi mu bo.’ Kyokka, abaweereza ba Katonda bakubirizibwa ‘okuba n’emmizi n’okunywezebwa,’ basobole okutegeera “obugazi n’obuwanvu n’obugulumivu n’okugenda wansi, n’okutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okutegeera.”—Bef. 3:17-19; Bak. 2:6, 7.
11. Omuntu ayinza atya okwewala okutwalirizibwa emitawaana gy’ensi eno n’eby’obugagga byayo?
11 Abalala bawulira ekigambo, naye ne kizika olw’okutwalirizibwa ‘emitawaana gy’ensi eno n’obulimba bw’obugagga.’ (1 Tim. 6:9, 10) Kino basobola batya okukyewala? Omutume Pawulo agamba nti: “Mubeerenga n’empisa ey’obutaagalanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga ye yennyini yagamba nti Sirikuleka n’akatono, so sirikwabulira n’akatono.”—Beb. 13:5.
12. Lwaki abalinga ettaka eddungi babala ebibala bya njawulo?
12 Ensigo Yesu ze yasembayo okwogerako z’ezo ezisigibwa ku ttaka eddungi ne zibala “ebibala amakumi asatu, n’enkaaga, n’ekikumi.” Wadde ng’abamu abakkiriza ekigambo ba mitima mirungi era babala ebibala, tebasobola kukola kinene mu kulangirira mawulire malungi. Ng’ekyokulabirako, abamu bakaddiye oba banafuye olw’obulwadde era bakola kitono mu mulimu gw’okubuulira. (Geraageranya Makko 12:43, 44.) Omuntu asiga kino nakyo takirinaako buyinza, wabula asanyuka okulaba nga Yakuwa azikuza.—Soma Zabbuli 126:5, 6.
Omulimi Asiga ne Yeebaka
13, 14. (a) Wumbawumbako olugero lwa Yesu olukwata ku mulimi eyamansa ensigo. (b) Omulimi asiga akiikirira b’ani, ate yo ensigo kye ki?
13 Mu Makko 4:26-29 mulimu olugero olulala olwogera ku mulimi asiga: ‘Obwakabaka bwa Katonda bwe buti, ng’omuntu bw’amansa ensigo ku ttaka; ne yeebaka ekiro n’agolokoka emisana, n’ensigo n’emeruka n’ekula, ye nga tamanyi bw’emeruse. Ensi ebala yokka, okusooka kalagala, ate kirimba, ate ŋŋaano enkulu mu kirimba. Naye emmere bw’eyengera, amangu ago asaako ekiwabyo, kubanga okukungula kutuuse.’
14 Omulimi ono asiga y’ani? Abamu mu Kristendomu bagamba nti ono ye Yesu kennyini. Naye kisoboka Yesu okwebaka era n’aba nga tamanyi ngeri nsigo gy’ekulamu? Yesu ateekwa okuba ng’amaanyi bulungi engeri ensigo gy’ekulamu! N’olwekyo okufaananako omulimi asiga eyayogeddwako emabega, n’ono naye akiikirira ababuulizi abasiga ensigo y’Obwakabaka nga babuulira n’obunyiikivu. Ensigo emansibwa ku ttaka kye kigambo kye babuulira.b
15, 16. Mu lugero lwe olw’omulimi eyasiga, Yesu yayigiriza ki ku kukula kw’ensigo n’okukula mu by’omwoyo?
15 Yesu agamba nti oyo asiga ‘yeebaka ekiro n’agolokoka emisana.’ Kino tekitegeeza nti oyo asiga mulagajjavu. Kiraga bulazi obulamu obwa bulijjo abantu bwe bayitamu. Ebigambo ebyakozesebwa mu lunyiriri luno biraga nti okwebaka ekiro n’okugolokoka emisana bintu ebikolebwa bulijjo. Yesu yalaga ekyabangawo omulimi asize bwe yabanga yeebase. Yagamba nti: ‘Ensigo emeruka n’ekula naye tamanya nsigo bwe yameruse.’ Essira yaliteeka ku kya kuba nti ensigo “ebala yokka.”c
16 Yesu yali ategeeza ki? Weetegereze nti essira yalissa ku ngeri ensigo gy’egenda ng’ekula mpolampola. “Ettaka likuza mpolampola ebibala; ebikoola bye bisooka, ne kuddako ebirimba ebito, ate oluvannyuma ebirimba ebirimu empeke ezikuze obulungi.” (Mak. 4:28, NW) Ensigo tekula mangu ago. Egenda ekula mpola era tewali kiyinza kukolebwa kugireetera kukula mangu. N’okukula mu by’omwoyo bwe kutyo bwe kuli. Yakuwa y’ayamba omuntu ow’omutima omulungi okutegeera amazima n’okukula mu by’omwoyo.—Bik. 13:48; Beb. 6:1.
17. Baani abasanyuka ensigo y’amazima bw’ebala ebibala?
17 Omulimi eyasiga yeenyigira atya mu kukungula ‘amangu ddala ng’emmere eyengedde’? Yakuwa bw’ayamba abayigirizwa abapya ne bagenda nga bategeera amazima g’Obwakabaka, batuuka ekiseera ne beewaayo gy’ali olw’okuba bamwagala. Balaga nti beewaddeyo gy’ali nga babatizibwa. Ab’oluganda abeeyongera okukula mu by’omwoyo baatuuka ekiseera ne baba nga basobola okuweebwa obuvunaanyizibwa mu kibiina. Oyo eyasiga wamu n’ababuulizi abalala abataaliwo ng’ensigo omuvudde omuyigirizwa oyo esigibwa, bonna bakungula ebibala by’Obwakabaka. (Soma Yokaana 4:36-38.) Bwe kityo, oyo ‘asiga n’oyo akungula basanyukira wamu.’
Bye Tuyigamu
18, 19. (a) Oganyuddwa otya mu kwetegereza engero za Yesu? (b) Tugenda kwetegereza ki mu kitundu ekiddako?
18 Tuyize ki mu ngero zino ebbiri ezisangibwa mu ssuula 4 ey’ekitabo kya Makko? Tuyize nti tulina omulimu ogw’okukola—okusiga ensigo. Tetusaanidde kwekwasa kintu kyonna oba kuleka bizibu kutuleetera kulagajjalira mulimu guno. (Mub. 11:4) Era kikulu okukijjukira nti tulina enkizo ey’okukolera awamu ne Katonda. Yakuwa y’ayamba abantu okufuuka abayigirizwa, ng’awa omukisa abo abayiga amazima, naffe ababayigiriza. Tukimanyi bulungi nti tetuyinza kuwaliriza muntu yenna kukulaakulana mu bya mwoyo. N’olwekyo, tetusaanidde kuggwamu maanyi olw’okuba omuntu gwe tusomesa takola nkyukakyuka, oba azikola mpola nnyo. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa ky’atunuulira bwe bwesigwa bwaffe gy’ali n’eri omulimu gwe yatuwa ogw’okubuulira ‘enjiri ey’Obwakabaka okuba omujulirwa mu mawanga gonna.’—Mat. 24:14.
19 Kiki ekirala Yesu kye yayigiriza ku mulimu gw’Obwakabaka ne ku bayigirizwa okukulaakulana mu by’omwoyo? Ekibuuzo ekyo kiddibwamu mu ngero endala ezisangibwa mu bitabo by’Enjiri. Tujja kwetegereza ezimu ku ngero zino mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obwa wansi]
a Lowooza ku buweereza bw’Ow’oluganda Georg Fjölnir Lindal mu Iceland obwawandiikibwako mu 2005 Yearbook of Jehovah’s Witnesses, olupapula 210-211, ne ku byokulabirako by’abantu ba Katonda abaaweereza n’obwesigwa mu Ireland okumala emyaka mingi naye nga tebaafunirawo bibala ebiri mu kitabo 1988 Yearbook of Jehovah’s Witnesses, olupapula 82-99.
b Emabegako, magazini eno yannyonnyola nti ensigo ekiikirira engeri z’Ekikristaayo omuntu z’alina okufuba okwoleka, ng’okuzooleka kisinziira nnyo ku mikwano gy’aba nagyo. Kyokka, kikulu okukijjukira nti mu lugero lwa Yesu ensigo emera, ekula era n’eyeengera, so teyonooneka era tevunda.—Laba Watchtower eya Jjuuni 15, 1980, olupapula 17-19.
c Ebikolwa by’Abatume 12:10 we walala wokka ebigambo bino we bikozesebwa. Woogera ku luggi olw’ekyuma ‘olweggula lwokka.’
Ojjukira?
• Mu ngeri ki okubuulira obubaka bw’Obwakabaka gye kufaananako okusiga ensigo?
• Yakuwa alabira ku ki obwesigwa bw’omubuulizi w’Obwakabaka?
• Okusinziira ku Yesu bye yayogera, okukula kw’ensigo kufaanana kutya n’okukula mu by’omwoyo?
• Mu ngeri ki ‘oyo asiga n’oyo akungula gye basanyukira a
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 13]
Lwaki Yesu yageraageranya omubuulizi w’Obwakabaka bwa Katonda ku mulimi asiga ensigo?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]
Abantu abalinga ettaka eddungi bafuba nga bwe basobola okwenyigira mu kulangirira Obwakabaka
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
Katonda y’akuza ensigo