LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 7/15 lup. 29-32
  • Weeteerewo Ebiruubirirwa by’Osobola Okutuukako, era Beera Musanyufu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weeteerewo Ebiruubirirwa by’Osobola Okutuukako, era Beera Musanyufu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Weeteerewo Ebiruubirirwa by’Osobola Okutuukako
  • Manya by’Osobola Okukola
  • Kola Enkyukakyuka bwe Kiba Kyetaagisa
  • Ebiruubirirwa by’Osobola Okutuukako Bivaamu Essanyu
  • Sanyuka olw’Ebyo by’Okola!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Funa Essanyu mu Kuwa Yakuwa Ekisingayo Obulungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Engeri y’Okweteerawo Ebiruubirirwa eby’Omwoyo n’Okubituukako
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Abavubuka Mukulaakulana mu by’Omwoyo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 7/15 lup. 29-32

Weeteerewo Ebiruubirirwa by’Osobola Okutuukako, era Beera Musanyufu

“NNEMEREDDWA nate!” Mirundi emeka gye wali oyogedde ebigambo ng’ebyo ng’olemereddwa okutuuka ku kiruubirira kyo? Omukyala Omukristaayo ayinza okuwulira bw’atyo olw’okuba okulabirira omwana we omuwere kimukooya nnyo ne kiba nti takyamala biseera biweera ku bintu eby’omwoyo. Omukristaayo omulala ayinza okuwulira nti waliwo ebintu by’atasobola kukola bulungi mu kibiina olw’engeri gye yakuzibwamu. Omujulirwa akaddiye ayinza okuwulira obubi olw’okuba takyasobola kwenyigira mu bujjuvu mu mirimu gy’Ekikristaayo nga bwe kyabanga edda ng’akyalina amaanyi. Omukristaayo omu ayitibwa Christiane atasobola kugaziya ku buweereza bwe eri Yakuwa agamba nti: “Okuwuliriza emboozi ekubiriza ab’oluganda okuweereza nga ba payoniya oluusi kindeetera okuyunguka amaziga.”

Tuyinza kukola ki bwe tubeera mu mbeera ng’ezo? Abakristaayo abamu basobodde batya okweteerawo ebiruubirirwa bye basobola okutuukako? Miganyulo ki egiri mu kuba n’ebiruubirirwa by’osobola okutuukako?

Weeteerewo Ebiruubirirwa by’Osobola Okutuukako

Omutume Pawulo atubuulira ekintu ekisobola okutuyamba okusigala nga tuli basanyufu bw’agamba nti: “Musanyukirenga mu Mukama waffe. Nziramu nate okugamba nti, Musanyuke! Obutali bukakanyavu bwammwe bweyoleke eri abantu bonna.” (Baf. 4:4, 5, NW) Okusobola okufuna essanyu mu buweereza bwaffe eri Katonda, tulina okweteerawo ebiruubirirwa nga tusinziira ku mbeera yaffe n’obusobozi bwaffe. Bwe tweteerawo ebiruubirirwa bye tutasobola kutuukako, tujja kwemalako essanyu. Ku luuyi olulala, tusaanidde okwegendereza obutakkiriza mbeera zaffe ze tulowooza nti zitulemesa okukola ekisingawo okutuleetera okuddirira mu buweereza bwaffe obw’Ekikristaayo.

Ka tube mu mbeera ki, Yakuwa atusuubira okumuwa ekisingayo okuba ekirungi​—okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna. (Bak. 3:23, 24) Singa tetufuba kuwa Yakuwa kisingayo bulungi, tuba tetutuukiriza kwewaayo kwaffe. (Bar. 12:1) Okugatta ku ekyo, tetujja kufuna ssanyu lya nnamaddala, n’emikisa emirala emingi egiva mu kuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna.​—Nge. 10:22.

Mu Baibuli, ekigambo ekivvuunulwa “obutali bukakanyavu” kizingiramu okumanya obusobozi bwaffe we bukoma. Bwe kiba kivvuunuddwa butereevu kitegeeza “obutaguguba.” Ekigambo ekyo era kisobola okutegeeza obuteeteerawo biruubirirwa bizibu nnyo. Bwe kityo, omuntu atali mukakanyavu akola ebintu ng’asinziira ku mbeera ye. Ekyo kizibu okukola? Abamu bayinza okukisanga nga kizibu, wadde nga bayinza okukwatirwa ekisa abalala abali mu mbeera efaananako n’eyo gye balimu. Ng’ekyokulabirako, singa tulaba mukwano gwaffe ennyo ng’ebiseera ebisinga aba mukoowu olw’okukakalukana ennyo, tugezaako okumuyamba okulaba nti kya magezi okukyusakyusa mu ngeri gy’akolamu emirimu gye. Mu ngeri y’emu, twetaaga okukola enkyukakyuka singa tuwulira nti bye tukola bisukkiridde ku busobozi bwaffe.​—Nge. 11:17.

Kiyinza okutuzibuwalira okumanya obusobozi bwaffe we bukoma singa tuba twakuzibwa abazadde abatabalirira baana baabwe. Abamu bwe baali bakyali bato baalina okufubanga okukola ekisingayo obulungi okusobola okusanyusa bazadde baabwe. Bwe kiba nti embeera yaffe bw’etyo bwe yali, tuyinza okulowooza nti ne Yakuwa tatubalirira. Yakuwa atwagala olw’okumuweereza n’omutima gwaffe gwonna. Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti Yakuwa “amanyi omubiri gwaffe; ajjukira nga ffe tuli nfuufu.” (Zab. 103:14) Amanyi obusobozi bwaffe we bukoma era asanyuka bwe tumuweereza n’obunyiikivu wadde nga tulina ebitukugira. Okukijjukira nti Katonda waffe tatusuubira kukola kye tutasobola kijja kutuyamba okweteerawo ebiruubirirwa bye tusobola okutuukako.​—Mi. 6:8.

Wadde kiri kityo, abamu bakisanga nga kizibu okuba n’endowooza etagudde lubege. Bwe kiba nti bw’otyo bw’oli, lwaki tosaba Mukristaayo munno alina obumanyirivu era akumanyi obulungi okukuyamba? (Nge. 27:9) Ng’ekyokulabirako, oyagala okuweereza nga payoniya owa bulijjo? Ekyo kiruubirirwa kirungi nnyo! Ofubye okukituukako naye n’olemererwa? Oboolyawo weetaaga okukola enkyukakyuka osobole okuba n’obulamu obwangu. Oba, mukwano gwo Omukristaayo ayinza okukuyamba okulaba obanga obuvunaanyizibwa bw’amaka bw’olina bukusobozesa okutuuka ku kiruubirirwa ky’okuweereza nga payoniya owa bulijjo kati. Ayinza okukuyamba okulaba obanga obuvunaanyizibwa obulala bw’oyagala okwettika onoobusobola oba ayinza okukuyamba okulaba enkyukakyuka ze weetaaga okukola osobole okugaziya ku buweereza bwo. Omusajja naye asobola bulungi okuyamba mukazi we okweteerawo ebiruubirirwa ng’asinziira ku busobozi bwa mukazi we. Ng’ekyokulabirako, ayinza okuwa mukazi we amagezi okuwummula ekimala ng’omwezi mw’ayagala okugiziyiza obuweereza bwe tegunnatandika. Kino kiyinza okumuyamba okufuna amaanyi n’asobola okusigala nga musanyufu mu buweereza.

Manya by’Osobola Okukola

Obukadde oba obulwadde buyinza okutulemesa okuweereza Yakuwa nga bwe twandyagadde. Bw’oba oli muzadde, oyinza okuwulira nti toganyulwa bulungi mu kwesomesa oba mu nkuŋŋaana z’ekibiina olw’okuba ebiseera ebisinga oba olabirira baana bo. Kyandiba nti okulowooza ennyo ku bintu ng’ebyo kikulemesa okulaba ky’oyinza okukola okwongera ku buweereza bwo?

Edda ennyo waaliyo Omuleevi eyali yeegomba ekintu ekitasoboka. Yalina enkizo okuweereza mu yeekaalu wiiki bbiri buli mwaka. Kyokka, ye yali ayagala okusuula okumpi n’ekyoto obulamu bwe bwonna. (Zab. 84:1-3) Kiki ekyayamba omusajja ono omwesigwa okuba omumativu n’enkizo gye yalina? Yakitegeera nti n’okumala olunaku olumu lwokka mu luggya lwa yeekaalu yali nkizo ya maanyi nnyo. (Zab. 84:4, 5, 10) Mu ngeri y’emu, naffe tusaanidde okulaba ebyo bye tusobola okukola ng’obusozi bwaffe bwe buli, mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byaffe ku bintu bye tutasobola kutuukako.

Lowooza ku Nerlande, mwannyinaffe ow’omu Canada atambulira mu kagaali k’abalema. Olw’embeera gy’alimu, yali awulira nti takyasobola kuweereza nga bwe kyali emabega. Kyokka, yakyusa endowooza ye n’atandika okubuulira mu kizimbe ekimu ekirimu amaduuka amangi. Agamba nti: “Ntuula mu kagaali kange kumpi n’ekifo abantu we batuula okuwummulamu mu kizimbe ekyo. Nfuna essanyu mu kubuulira abo ababa batudde okuwummulamu.” Engeri eno ey’okubuulira eyambye Nerlande okufuna essanyu lingi mu buweereza.

Kola Enkyukakyuka bwe Kiba Kyetaagisa

Eryato liyinza okuddukira ku sipiidi ey’amaanyi empewo bwe zifuuwa amatanga gaalyo. Kyokka, bwe lisanga omuyaga ogw’amaanyi, omugoba waalyo awalirizibwa okukyusakyusa amatanga gaalyo. Talina ky’asobola kukolera muyaga, naye bw’okukola enkyukakyuka, asobola okweyongera okuvuga eryato lye. Mu ngeri y’emu, naffe tetulina kye tusobola kukolera bizibu ebiringa omuyaga bye twolekagana nabyo mu bulamu. Naye tusobola okweyongera okubaako bye tukola singa tukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe. Bwe tufumiitiriza ku mbeera yaffe, kijja kutuyamba okusigala nga tuli bamativu era nga tuli basanyufu mu buweereza bwaffe eri Katonda.​—Nge. 11:2.

Lowooza ku byokulabirako bino. Bwe tuba tetulina bulungi maanyi, kiba kirungi emisana ne twewala okukola emirimu egikooya ennyo kitusobozese okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo olw’eggulo. Kino kituyamba okubeerako awamu ne Bakristaayo bannaffe. Oba singa omuzadde tasobola kwenyigira mu kubuulira nnyumba ku nnyumba olw’okuba omwana we mulwadde, kiyinza okuba eky’amagezi okusaba muganda we Omukristaayo aleete omuyizi we awaka basomere wamu ng’omwana omulwadde yeebase.

Ate kiri kitya ng’embeera yo tekusobozesa kweteekerateekera nkuŋŋaana z’ekibiina? Fuba okulaba nti obaako ky’oteekateeka era okiteeketeeke bulungi. Okukola enkyukakyuka mu biruubirirwa byaffe kituyamba okusigala nga tuli basanyufu.

Kino kiyinza okwetaagisa obumalirivu n’okufuba okw’amaanyi. Sergene ne Agnès, abafumbo ab’omu Bufalansa, baalina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu biruubirirwa byabwe. Serge agamba nti: “Bwe twakitegeera nti Agnès ali lubuto, twakimanya nti tetukyasobola kutuuka ku kiruubirirwa kyaffe eky’okubeera abaminsani.” Kati Serge alina abaana abawala babiri era annyonnyola engeri ye ne mukyala we gye beeteerawo ekiruubirirwa ekirala. Agamba nti: “Bwe twalemererwa okuweereza mu nsi endala, twasalawo okufuuka ‘abaminsani’ mu nsi yaffe. Twegatta ku kibiina ekyogera olulimi olugwira.” Waliwo ebirungi byonna bye baafuna mu kweteerawo ekiruubirirwa ekyo? Serge agamba nti: “Tuwulira nti tuli ba mugaso nnyo mu ekibiina.”

Odile, mwannyinaffe ow’emyaka 70 abeera mu Bufalansa alina obulwadde mu maviivi obuyitibwa osteoarthritis n’olwekyo tasobola kuyimirira kumala kiseera kiwanvu. Yawuliranga bubi olw’okuba yali takyasobola kubuulira nnyumba ku nnyumba. Kyokka, kino teyakikkiriza kumumalamu maanyi. Yakola ekyukakyuka n’atandika okubuulira ng’akozesa essimu. Agamba nti: “[Okubuulira ku ssimu] nkisanze nga kyangu okusinga bwe nnali ndowooza era kindeetera essanyu lingi nnyo!” Okubuulira mu ngeri eno kyamuyamba okuddamu okufuna essanyu mu buweereza.

Ebiruubirirwa by’Osobola Okutuukako Bivaamu Essanyu

Okumanya obusobozi bwaffe we bukoma kijja kutuyamba okwewala okuggwamu amaanyi. Okweteerawo ebiruubirirwa bye tusobola okutuukako kituleetera okuwulira nti tulina kye tutuuseeko wadde nga waliwo ebitulemesa. Bwe kityo tufuna essanyu olw’ekyo kye tuba tukoze, ka kibe kitono kitya.​—Bag. 6:4.

Okumanya obusobozi bwaffe we bukoma kituyamba okufaayo ku mbeera za Bakristaayo bannaffe. Bwe tutegeera obusobozi bwabwe we bukoma, bulijjo tujja kusiima ebyo bye batukolera. Bwe tusiima buli kye batukolera, kituyamba okuba n’enkolagana ennungi nabo. (1 Peet. 3:8) Jjukira nti Yakuwa, Kitaffe ow’okwagala, tatusuubira kukola kisukka ku busobozi bwaffe. Ate era bwe tumanya obusobozi bwaffe we bukoma era ne tweteerawo ebiruubirirwa bye tusobola okutuukako, tujja kufuna essanyu n’obumativu mu buweereza.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 29]

Okusobola okufuna essanyu mu buweereza bwaffe eri Katonda, tulina okweteerawo ebiruubirirwa ebituukana n’embeera yaffe n’obusobozi bwaffe.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Nerlande afuna essanyu mu kukola ekyo ky’asobola mu buweereza

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Yiga “okukyusakyusa amatanga”

[Ensibuko y’ekifaananyi]

© Wave Royalty Free/age fotostock

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Serge ne Agnès baaganyulwa nnyo okweteerawo ebiruubirirwa ebirala

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share