LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 9/15 lup. 26-28
  • Koppa Yesu—Sinza Katonda mu Ngeri gy’Asiima

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Koppa Yesu—Sinza Katonda mu Ngeri gy’Asiima
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okusinza Kwe Kwali kwa Muwendo
  • Okusiimibwa Katonda Kyetaagisa Okufuba
  • Emikisa Egiva mu Kusinza Katonda kw’Asiima
  • Kusinza kw’Ani Katonda kw’Akkiriza?
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Okusinza okw’Amazima Kujja Kukuyamba Okweyongera Okuba Omusanyufu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Engeri Entuufu ey’Okusinzaamu Katonda
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • “Yakuwa Katonda Wo gw’Olina Okusinza”
    Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 9/15 lup. 26-28

Koppa Yesu​—Sinza Katonda mu Ngeri gy’Asiima

Katonda ayita abantu okuva “mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi” bamusinze. (Kub. 7:9, 10; 15:3, 4) Abo abakkiriza okumusinza basobola ‘okulaba obulungi bwa Yakuwa.’ (Zab. 27:4; 90:17) Okufaananako omuwandiisi wa zabbuli, boogerera waggulu nga batendereza Katonda nti: “Mujje, tusinze, tuvu[n]name; tufukamire mu maaso ga Mukama Omutonzi waffe.”—Zab. 95:6.

Okusinza Kwe Kwali kwa Muwendo

Ng’Omwana wa Katonda omu yekka, Yesu yafuna ekiseera ekimala okuyiga endowooza ya Kitaawe, emisingi gye era n’emitindo gye. Bwe kityo, Yesu yali asobola bulungi okuyigiriza abalala engeri y’okusinza entuufu. Yagamba nti: “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng’ayita mu nze.”—Yok. 1:14; 14:6.

Yesu yateekawo eky’okulabirako ekituukiridde mu kugondera Kitaawe. Yagamba nti: “Siriiko kye nkola ku bwange, naye nga Kitange bwe yanjigiriza, bwe njogera bwe ntyo.” Era yagamba nti: “Nkola bulijjo by’asiima.” (Yok. 8:28, 29) Bintu ki Yesu bye yakola Kitaawe by’asiima?

Ekimu ku byo kwe kuba nti yeemalira ku Kitaawe, nga kino kye kintu ekisingayo obukulu mu kusinza Katonda. Yesu yalaga nti ayagala nnyo Kitaawe ng’amugondera, era ng’akola by’ayagala, n’ebwekyabanga kyetaagisa okwefiiriza okw’amaanyi. (Baf. 2:7, 8) Ekintu ekyali ekikulu ennyo mu kusinza kwa Yesu kwe kuba nti yali munyiikivu mu mulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa, era bwe kityo abagoberezi be n’abantu abalala baali bamumanyi ng’Omuyigiriza. (Mat. 22:23, 24; Yok. 3:2) Ate era, Yesu yali yettanira nnyo okuyamba abalala. Wadde ng’omwoyo ogwo ogw’okwefiiriza gwali tegumuganya kufuna kaseera ka kuwummulamu, yali musanyufu okuweereza abalala. (Mat. 14:13, 14; 20:28) Yalina eby’okukola bingi, naye yafunanga ekiseera n’ayogera ne Kitaawe ow’omu ggulu mu kusaba. (Luk. 6:12) Ng’okusinza kwa Yesu kwali kwa muwendo nnyo eri Katonda!

Okusiimibwa Katonda Kyetaagisa Okufuba

Yakuwa yeetegereza engeri Omwana we gye yeeyisaamu era yagisiima. (Mat. 17:5) Kyokka, Setaani Omulyolyomi naye yakiraba nti Yesu yali mwesigwa mu bulamu bwe. Bw’atyo Setaani yamuggulako olutalo. Lwaki? Kubanga waali tewabangawo muntu yenna alaga buwulize butuukiridde eri Katonda, bw’atyo n’amusinziza ddala nga bw’ayagala. Omulyolyomi era yali ayagala alemese Yesu okusinza Yakuwa mu ngeri emugwanira.—Kub. 4:11.

Ng’agezaako okumukema, Setaani yasuubiza Yesu ekintu ekisikiriza ennyo. Yamutwala “ku lusozi oluwanvu ennyo, n’amulaga ensi za bakabaka bonna abali mu nsi, n’ekitiibwa kyazo.” Yamugamba nti: “Ebyo byonna naabikuwa bw’onoovuunama okunsinza.” Yesu yamuddamu atya? Yamugamba nti: “Vaawo genda, Setaani: kubanga kyawandiikibwa nti Osinzanga Mukama Katonda wo, era omuweerezanga yekka.” (Mat. 4:8-10) Yee, Yesu yakiraba nti okuvunnamira Setaani kyandibadde ng’okusinza ebifaananyi, ne bwe yandimusuubizza ebirungi ebyenkana wa. Yagaanira ddala okusinza omuntu omulala yenna okuggyako Yakuwa.

Ffe Setaani tajja kutusuubiza bwakabaka bwonna obw’omu nsi n’ebitiibwa byabwo tusobole okumusinza. Naye era akyafuba okulaba nti alemesa Abakristaayo ab’amazima okusinza Katonda. Omulyolyomi ayagala tubeeko omuntu omulala oba ekintu ekirala kye tusinza.—2 Kol. 4:4.

Kristo Yesu yali mwesigwa okutuusizza ddala okufa. Mu kukuuma obwesigwa bwe eri Yakuwa bw’atyo, yamugulumiza mu ngeri eyali tebangawo ku nsi. Ng’Abakristaayo ab’amazima leero, tufuba okukoppa Yesu nga tulaga nti okusinza Omutonzi waffe kye kintu kye tusingayo okutwala ng’eky’omuwendo. Mu butuufu, okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda kye kisingayo okuba eky’omuwendo mu byonna bye tulina.

Emikisa Egiva mu Kusinza Katonda kw’Asiima

Okwenyigira mu ‘kusinza okulongoofu okutaliimu kko’ mu maaso ga Katonda kivaamu emikisa mingi. (Yak. 1:27) Ng’ekyokulabirako, mu kiseera kino abantu bangi nnyo ‘beeyagala bokka, baagala nnyo ebintu, beenyumiriza,’ era ‘tebaagala bulungi.’ (2 Tim. 3:1-5) Kyokka, ffe abali mu nnyumba ya Katonda tulina enkizo y’okuba n’abantu abayonjo, ab’empisa ennungi, era abafuba okusinza Katonda nga bw’ayagala. Ekyo tekituzzaamu nnyo amaanyi?

Ate era bwe twekuuma ne tutafuna mabala ga nsi eno, tuba n’omuntu ow’omunda omulungi. Tusobola okwekuuma nga tutambulira ku misingi gya Katonda era nga tugondera amateeka ga Kayisaali agatakontana na ga Katonda.—Mak. 12:17; Bik. 5:27-29.

Waliwo n’emikisa emirala egiva mu kusinza Katonda n’omutima gwaffe gwonna. Bwe tukulembeza okukola Katonda by’ayagala mu kifo ky’okukola ebyaffe ku bwaffe, tuba n’obulamu obw’amakulu era obumatiza. Mu kifo ky’okulowooza nti: “Tulye tunywe, kubanga tufa enkya,” tulina essuubi ekkakafu nti tujja kufuna obulamu obutaggwawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi.—1 Kol. 15:32.

Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti abo abanaakuuma enkolagana ennungi ne Yakuwa bajja ‘kuyita mu kibonyoobonyo ekinene.’ Baibuli egamba nti “Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka alibabikkako eweema ye.” (Kub. 7:13-15, NW) Atudde ku ntebe si mulala wabula Yakuwa Katonda, Oyo asingayo okuba ow’ekitiibwa mu butonde bwonna. Teeberezaamu essanyu ly’oliba nalyo ng’akusembezza ng’omugenyi mu weema ye, ng’akukuuma oleme kutuukibwako kabi konna! Ne kaakati waliwo engeri gy’atukuumamu era gy’atulabiriramu.

Okugatta ku ekyo, abo bonna abasinza Katonda nga bw’ayagala boogerwako ng’abaleetebwa “eri enzizi ez’amazzi ag’obulamu.” Enzizi zino zikiikirira ebintu byonna Yakuwa by’atuwadde ebinaatusobozesa okufuna obulamu obutaggwawo. Yee, okuyitira mu ssaddaaka ya Kristo, ‘Katonda ajja kusangula buli zziga mu maaso gaabwe.’ (Kub. 7:17) Abantu bajja kufuuka batuukirivu, era kino kijja kuleeta essanyu ery’ekitalo eri abo abalibeera ku nsi emirembe gyonna. Ne kaakati abasinza ba Yakuwa abasanyufu bamutendereza nga balaga okusiima kwabwe gy’ali era bamusinziza wamu n’abo abali mu ggulu abayimba nga bagamba nti: “Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow’emirembe n’emirembe. Ani atalitya, Mukama, n’ataliwa kitiibwa erinnya lyo? kubanga ggwe wekka ggwe mutukuvu; kubanga amawanga gonna galijja era galisinziza mu maaso go; kubanga ebikolwa byo eby’obutuukirivu birabise.”—Kub. 15:3, 4.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Setaani atuwa ki tusobole okumusinza?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share