LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 1/1 lup. 16-17
  • Otera Okukwatibwa Obuggya? Baganda ba Yusufu Baakwatibwa Obuggya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Otera Okukwatibwa Obuggya? Baganda ba Yusufu Baakwatibwa Obuggya
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Similar Material
  • Baganda ba Yusufu Bamukyawa
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • “Mbeegayiridde, Muwulire Ekirooto Kino”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • “Nze Ndi mu Kifo kya Katonda?”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Yakuwa Teyeerabira Yusufu
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 1/1 lup. 16-17

Yigiriza Abaana bo

Otera Okukwatibwa Obuggya? Baganda ba Yusufu Baakwatibwa Obuggya

KA TULABE kye kitegeeza okukwatibwa obuggya. Wali weesanze ng’olina omuntu gw’otoyagala olw’okuba abalala bagamba nti mulungi, alabika bulungi, oba ayambala bulungi?a— Bw’otyo bw’oyinza okuwulira ng’okwatiddwa omuntu obuggya.

Abaana bayinza okukwatibwa obuggya singa wabaawo munnaabwe bazadde baabwe gwe basinga okwagala. Baibuli eyogera ku maka agaagwamu ekizibu eky’amaanyi olw’obuggya. Ka tulabe emitawaana egyava mu kukwatibwa obuggya, n’ebyo bye tuyigamu.

Yusufu yali mutabani wa Yakobo owa 11, era baganda ba Yusufu baali bamukwatirwa obuggya. Omanyi ensonga lwaki?— Lwa kuba kitaabwe Yakobo yali amwagala okusinga banne. Ng’ekyokulabirako, Yakobo yamutungisiza olugoye olulungi. Yakobo yali ayagala nnyo Yusufu olw’okuba ye mwana “gwe yazaala ng’akaddiye,” era nga ye mwana eyali omuggulanda owa mukazi we omuganzi, Laakeeri.

Baibuli egamba nti ‘baganda ba Yusufu baamukyawa olw’okuba kitaabwe yali amwagala nnyo okubasinga.’ Lumu Yusufu yagamba ab’ewaabwe nti yali aloose nga bonna bamuvunnamidde, nga ne kitaawe mw’omutwalidde. Baibuli egamba nti, ‘baganda baamukwatirwa obuggya,’ era nti ne kitaawe yamunenya olw’okwogera ekirooto eky’engeri eyo.​—Olubereberye 37:1-11.

Lumu nga Yusufu wa myaka 17, baganda be baagenda mu kitundu eky’ewala okulunda endiga n’embuzi za kitaabwe. N’olwekyo, Yakobo yatuma Yusufu agende alabe bwe bali. Omanyi kiki baganda be abasinga obungi kye baali baagala okumukola bwe baamulaba ng’ajja?— Baali baagala kumutta! Naye babiri mu bo, Lewubeeni ne Yuda, tebaakisemba.

Yuda bwe yalaba abasuubuzi abaali bagenda e Misiri nga bayitawo n’agamba nti: ‘Tumutunde.’ Era bwe batyo bwe baakola. Batta embuzi ne bannyika ekyambalo kye mu musaayi gwayo. Oluvannyuma, ekyambalo kye bwe kitwalira kitaabwe yakaaba n’agamba nti: “Ensolo embi yamulya.”​—Olubereberye 37:12-36.

Ng’ali e Misiri, Yusufu yafuna omukisa n’aganja eri Falaawo, omufuzi wa Misiri. Kino kyava ku kuba nti Katonda yamuyamba n’annyonnyola ebirooto bya Falaawo bibiri. Ekisooka kyali kikwata ku nte musanvu ezirabika obulungi n’endala musanvu endwadde. Ekyokubiri kyali kikwata ku birimba by’eŋŋaano ebirungi musanvu n’ebirala musanvu ebirabika obubi. Yusufu yagamba nti ebirooto ebyo byombi byali bitegeeza nti wandibaddewo emyaka musanvu egy’ekyengera, ate n’emirala musanvu egy’enjala. Falaawo yawa Yusufu obuvunaanyizibwa obw’okutereka emmere mu myaka egy’ekyengera, basobole okwetegekera enjala eyali egenda okugwa.

Ekiseera ky’enjala bwe kyatuuka, ab’ewaabwe wa Yusufu abaali babeera ewala ennyo baggwebwako emmere. Bwe kityo, Yakobo yatuma bakulu ba Yusufu ekkumi bagende bagule emmere e Misiri. Baatwalibwa mu maaso ga Yusufu, naye tebaamutegeera. Yusufu yagezesa baganda be n’akizuula nti tebaali basanyufu olw’engeri embi gye baali bamuyisizzaamu. Oluvannyuma yabeeyanjulira. Baasanyuka nnyo era yabagwa mu bifuba!​—Olubereberye, essuula 40 okutuuka ku 45.

Ebyo byonna bikuyigiriza ki ku kuba n’obuggya?— Obuggya oluusi buvaamu emitawaana egy’amaanyi, era buyinza n’okuleetera omuntu okukola muganda we akabi! Ka tusome Ebikolwa 5:17, 18 ne Ebikolwa 7:54-59 tulabe abantu abaakwatibwa obuggya kye baakola abayigirizwa ba Yesu.— Kati nga bw’omaze okusoma ebyo, olaba ensonga lwaki tulina okwewala okukwatirwa abalala obuggya?—

Yusufu yawangaala emyaka 110. Yazaala abaana, era yafuna abazzukulu abasooka ne bannakabirye. Yusufu alina okuba nga yafuba okubayigiriza okwagalana n’okwewala okukwatibwa obuggya.​—Olubereberye 50:22, 23, 26.

[Obugambo obuli wansi]

a Bw’oba osoma n’omwana, akakoloboze kakujjukiza w’olina okuyimiriramu omuwe akakisa awe endowooza ye.

Ebibuuzo:

○ Okukwatibwa obuggya kitegeeza ki?

○ Baganda ba Yusufu obuggya bwabaleetera kukola ki?

○ Lwaki Yusufu yasonyiwa baganda be?

○ Ebyatuuka ku Yusufu bituyigiriza ki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share