Abajulirwa ba Yakuwa Baleetera Obufumbo Okusattulukuka?
ABANTU bangi bagamba nti “munno mu bufumbo bw’akyusa ezikkiriza ye, obufumbo busattulukuka.” Oluusi bwe batyo bwe bagamba omuntu omufumbo asazeewo okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Naye kye boogera ddala kituufu?
Kituufu nti omuntu omufumbo bw’atandika okwettanira eby’eddiini oba bw’akyusa enzikiriza mw’akulidde, munne tayinza buteewuunya. Kiyinza okumweraliikiriza, okumunyiiza, oluusi n’okumuleetera obusungu.
Emirundu mingi abakyala be basooka okwagala okukyusa enzikiriza yaabwe. Bwe kiba nti mukyala wo asoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, kino kiyinza kukwata kitya ku bufumbo bwammwe? Bw’oba oli mukyala mufumbo ng’osoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, oyinza kukola ki okulaba nti ekyo omwami wo tekimweraliikiriza?
Engeri Omwami gy’Atunuuliramu Ebintu
Mark abeera mu Australia yali yaakamala emyaka 12 mu bufumbo, mukyala we n’atandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Agamba nti: “Obufumbo bwaffe bwali bwa ssanyu era nnalina omulimu omulungi. Twalina obulamu obulungi. Kyokka mukyala wange n’atandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Nnawulira ng’ekyo kyali kigenda kukyusa obulamu bwange. Ekya mukyala wange okutandika okuyiga Baibuli tekyansanyusa, naye ate kyampitirirako bwe yaŋŋamba nti asazeewo okubatizibwa afuuke Omujulirwa wa Yakuwa.”
Mark yatandika okweraliikiriza nti obufumbo bwe buyinza okusattulukuka olwa mukyala we okugenda mu ddiini endala. Yayagala okumugaana okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa wadde okuddamu okwogera nabo. Mu kifo ky’okupakukira ensonga, Mark yasalawo okugira ng’alindako. Kiki ekyatuuka ku bufumbo bwe?
Mark agamba nti: “Kya ssanyu nti kati obufumbo bwaffe bunywevu okusinga ne bwe bwali mu kusooka. Okuva mukyala wange lye yabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa emyaka 15 emabega, obufumbo bwaffe bubadde bwongera kulongooka.” Kiki ekiyambye obufumbo bwabwe okulongooka? Mark agamba nti: “Okusingira ddala kivudde ku kuba nti mukyala wange assa mu nkola amagezi amalungi agali mu Baibuli. Agezaako nga bw’asobola okumpa ekitiibwa.”
Amagezi Agava eri Abakyala Abatuuse ku Buwanguzi
Bw’oba oli mukyala ayiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, oyinza kukola ki okulaba nti mwami wo tabaamu kweraliikirira? Lowooza ku bintu bino wammanga ebyayogerwa abakyala okuva mu bitundu by’ensi ebitali bimu.
Sakiko ow’omu Japan agamba: “Mmaze emyaka 31 mu bufumbo era nnina abaana basatu. Nnafuuka Omujulirwa wa Yakuwa emyaka 22 emabega. Okuba nti baze si wa nzikiriza yange oluusi kindeetera obuzibu. Naye nga Baibuli bw’egamba, nfuba okulaba nti ‘mbeera mwangu okuwulira, ndwawo okwogera, era ndwawo okusunguwala.’ (Yakobo 1:19) Ngezaako okuba ow’ekisa gy’ali n’obutaba mukakanyavu ng’alina ky’agamba, kasita kiba nga tekikontana na misingi gya Baibuli. Kino kituyambye nnyo mu bufumbo bwaffe.”
Nadezhda ow’omu Russia agamba: “Mmaze emyaka 28 mu bufumbo era nnabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa emyaka 16 emabega. Bwe nnali sinnayiga Baibuli, nnali sikkiriza nti omwami y’alina okuba omutwe gw’amaka. Nze nneesalirangawo bye njagala. Kyokka, oluvannyuma nnakizuula nti okukolera ku misingi gya Baibuli kyatuyamba okufuna essanyu n’emirembe mu maka gaffe. (1 Abakkolinso 11:3) Mpolampola, nnagenda njiga okugondera omwami wange, era kino naye kennyini yakiraba.”
Marli ow’omu Brazil agamba: “Nnina abaana babiri era mmaze emyaka 21 mu bufumbo. Nnafuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa emyaka 16 emabega. Nnayiga nti Yakuwa Katonda yeetaagisa abafumbo okubeera awamu awatali kwawukana. N’olwekyo, nfuba okweyisa mu ngeri esanyusa Yakuwa awamu n’omwami wange.”
Larisa ow’omu Russia agamba: “Bwe nnafuuka Omujulirwa wa Yakuwa emyaka nga 19 emabega, nnakizuula nti kyali kikulu nnyo okukola enkyukakyuka mu bulamu bwange. Mwami wange asobodde okukiraba nti Baibuli enyambye okufuuka omukyala omulungi n’okusiima ebirungi by’ankolera. Mu kusooka, twali tetukkiriziganya ku ngeri gye tulina kukuzaamu baana baffe, naye kati ekyo twakigonjoola. Kati mwami wange anzikiriza okugenda n’abaana baffe mu nkuŋŋaana zaffe kubanga akiraba nti bye bayigayo bibaganyula.”
Valquíria ow’omu Brazil agamba: “Nnina omwana omu era mmaze emyaka 19 mu bufumbo. Nnafuuka Omujulirwa wa Yakuwa emyaka 13 emabega. Mu kusooka, omwami wange yali tayagala nneenyigire mu mulimu gwa kubuulira bantu mawulire malungi. Naye nnayiga okumunnyonnyola mu bukkakkamu n’okumulaga nti Baibuli yali ennyambye okufuuka omuntu omulungi. Mpolampola, omwami wange yakiraba nti okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira kyali kintu kikulu nnyo gye ndi. Leero, akola buli ky’asobola okumpagira mu byonna bye nkola ebikwatagana n’enzikiriza yange. Bwe mba n’abantu be nsomesa Baibuli abali ewala, antwalako, era atuula mu mmotoka n’alinda okutuusa lwe mmala okubasomesa.”
Eyamba mu Kunyweza Obufumbo
Bwe kiba nti munno mu bufumbo asoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, tobaamu kutya nti ekyo kijja kuleetera obufumbo bwammwe okusattulukuka. Abafumbo bangi mu bitundu by’ensi ebitali bimu bakizudde nti Baibuli eyamba mu kunyweza obufumbo.
Omwami omu atali Mujulirwa wa Yakuwa yagamba nti: “Mukyala wange okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa mu kusooka kyambobbya omutwe, naye kati ndaba nga kyavaamu ebirungi bingi.” Omwami omulala yayogera bw’ati ku mukyala we: “Obwesigwa bwa mukyala wange n’obumalirivu bindeetedde okussa ennyo ekitiibwa mu Bajulirwa ba Yakuwa. Tuganyuddwa nnyo mu bufumbo bwaffe olw’enzikiriza ya mukyala wange. Buli omu akola ky’asobola okuwagira munne, era kati obufumbo bwaffe tubutwala nga bwa lubeerera.”
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Abajulirwa ba Yakuwa Batwala Batya Obufumbo?
Abajulirwa ba Yakuwa batwala Baibuli okuba Ekigambo kya Katonda. N’olwekyo, by’eyogera ku bufumbo babitwala nga bikulu nnyo. Weetegereze engeri Baibuli gy’eddamu ebibuuzo bino wammanga:
▪ Abajulirwa ba Yakuwa bakubiriza bakkiriza bannaabwe okwawukana ne bannaabwe mu bufumbo abatali Bajulirwa? Nedda. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ow’oluganda yenna bw’abanga n’omukazi atakkiriza, omukazi bw’atabagananga naye okubeera naye, tamulekangayo. N’omukazi bw’abeeranga n’omusajja atakkiriza, naye bw’atabagananga naye okubeera naye, tanobanga ku musajja we.” (1 Abakkolinso 7:12, 13) Abajulirwa ba Yakuwa bakolera ku kiragiro ekyo.
▪ Omukazi Omujulirwa wa Yakuwa akubirizibwa okusambajja ebiragiro bya bba bw’ataba Mujulirwa? Nedda. Omutume Peetero yawandiika nti: “Abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw’empisa z’abakazi baabwe; bwe balaba empisa zammwe ennongoofu ez’okutya.”—1 Peetero 3:1, 2.
▪ Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza nti obuyinza bw’omwami mu maka tebuliiko kkomo? Nedda. Omutume Pawulo yagamba nti: “Njagala mmwe okumanya ng’omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n’omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.” (1 Abakkolinso 11:3) Omukazi Omukristaayo akkiriza nti omwami we gwe mutwe gw’amaka. Naye, obuyinza bw’omwami buliko we bukoma. Avunaanyizibwa eri Katonda ne Kristo. N’olwekyo, omusajja bw’alagira omukazi we okukola ekintu ekikontana n’etteeka lya Katonda, omukazi Omukristaayo alina “okuwulira Katonda okusinga abantu.”—Ebikolwa 5:29.
▪ Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza nti okugattulula obufumbo tekikkirizibwa? Nedda. Yesu yagamba nti: ‘Buli anaagobanga mukazi we, wabula okumulanga ogw’obwenzi, n’awasa omulala, ng’ayenze.’ (Matayo 19:9) N’olwekyo, Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza ekyo Yesu kye yagamba nti obwenzi eba nsonga ntuufu okusinziirako okugattulula obufumbo. Naye era bakkiriza nti omuntu yenna talina kugattululwa mu bufumbo lwa ndala yonna. Bakubiriza bakkiriza bannaabwe okugondera ebigambo bya Yesu bino: “Omuntu ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, yeetabe ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu. . . . Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu.”—Matayo 19:5, 6.