LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 11/15 lup. 3-5
  • Wandyagadde Kuba Muntu wa Ngeri Ki?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Wandyagadde Kuba Muntu wa Ngeri Ki?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kiki ‘Ekimbeera Okumpi’?
  • Oyagala Kuba Muntu wa Ngeri Ki?
  • Tusobola Okukola Enkyukakyuka
  • Osobola ‘Okweyambulako Omuntu ow’Edda’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Weeyongere Okwambala “Omuntu Omuggya” n’Oluvannyuma lw’Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Engeri Gye Twambala Omuntu Omuggya era ne Tumukuuma
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • “Mukyusibwe nga Mufuna Endowooza Empya”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 11/15 lup. 3-5

Wandyagadde Kuba Muntu wa Ngeri Ki?

OMUKULU wa poliisi mu kibuga ekimu eky’omu Philippines yabuuza mwannyinaffe aweereza nga payoniya nti, “Wasobola otya okuyamba omusajja oyo okukyusa enneeyisa ye?” Nga bw’asonga ku entuumu y’empapula ezaali ku mmeeza ye, yagamba nti: “Okimanyi nti gino gyonna misango egyamuvunaanibwa? Otuwonyezza omu ku bantu ababadde batubobbya omutwe mu kibuga kino.” Omusajja gwe yali ayogerako emabegako yali mutamiivu era nga mulwanyi. Kiki ekyayamba omusajja oyo okukola enkyukakyuka ez’amaanyi bwe zityo mu bulamu bwe? Kyali Kigambo kya Katonda, Baibuli.

Abantu bangi bakolera ku kubuulirira kw’omutume Pawulo ne ‘beeyambulako omuntu omukadde akwatagana n’empisa zaabwe ez’edda, ne bambala omuntu omuggya eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala.’ (Bef. 4:22-24, NW) Enkyukakyuka ze tulina okukola ka zibe nnene oba ntono, tulina okwambala omuntu omuggya bwe tufuuka Abakristaayo.

Naye, okukola enkyukakyuka n’okukulaakulana ne tutuuka okubatizibwa eba ntandikwa butandikwa. Mu kiseera we tweweerayo okubatizibwa, tuba tufaananako ekintu ekitannaggwa bulungi kubajja. Omuntu bw’akitunuulira, aba asobola okutegeera kiki ekibajjibwa, naye waba wakyaliwo ebirala bingi ebyetaaga okukikolako. Omubazzi aba akyalina okukiyoyoota kisobole okulabikira ddala obulungi. Tugenda okutuuka okubatizibwa, nga tumaze okukulaakulanya ezimu ku ngeri ezeetaagisa mu kuweereza Katonda. Naye, tuba twakatandika butandisi okwambala omuntu omuggya. Tulina okwogera okukola enkyukakyuka tusobole okukulaakulanya omuntu oyo omuggya.

Pawulo naye yakiraba nti yalina okukola enkyukakyuka. Yagamba nti: “Bwe njagala okukola ekirungi, ekibi kimbeera kumpi.” (Bar. 7:21) Pawulo yali amanyi bulungi bwe yali ayimiridde n’enkukakyuka ze yalina okukola. Ate kiri kitya eri ffe? Naffe tusaanidde okwebuuza: ‘Kiki ekimbeera okumpi? Ndi muntu wa ngeri ki? Era nnandyagadde kuba muntu wa ngeri ki?’

Kiki ‘Ekimbeera Okumpi’?

Bwe tuba tuddaabiriza ennyumba, tekiyamba kugisiiga langi ku ngulu ng’ate embaawo eziri munda zivunze. Bwe wabaawo ekintu eky’amaanyi ekyetaagisa okuddaabiriza ne tukibuusa amaaso, tuba twongera kizibu ku kizibu. Mu ngeri y’emu, obutuukirivu obwo kungulu tebuyamba. Tulina okwekebera tumanyire ddala wa we twetaaga okulongoosaamu. Bwe tutakola tutyo, omuntu waffe omukadde kyangu okudda. N’olwekyo, kikulu nnyo okwekebera. (2 Kol. 13:5) Tulina okumanya engeri embi ze tulina era ne tufuba okuzeggyamu. Kino Yakuwa atuyamba okukikola.

Pawulo yawandiika: “Ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonna eky’obwogi obubiri, era kiyitamu n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo, ennyingo n’obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima.” (Beb. 4:12) Ekigambo kya Katonda, Baibuli, kirina kinene nnyo kye kikola mu bulamu bwaffe. Kituyingira mu magumba ne kituukira ddala ku busomyo, kwe kugamba, kitutuukira ddala munda mu mutima. Kyoleka bye tulowooza ne bye tuluubirira, ne kiraga obanga kye tuli ku ngulu kye tuli ne munda. Ng’Ekigambo kya Katonda kituyamba okulaba enkyukakyuka ze twetaaga okukola!

Ennyumba bw’eba eddaabirizibwa, okukyusa ebintu ebiba byonoonese kiyinza obutamala. Kyetaagisa okumanya ekyaviirako ebintu ebyo okwonooneka, tusobole okubirabirira obulungi. Mu ngeri y’emu, naffe twetaaga okumanya emize emibi gye tulina n’okutegeera kwe giva, tusobole okugirwanyisa. Engeri gye tweyisaamu eva ku bintu bingi. Mu ebyo mwe muli embeera yaffe ey’eby’enfuna, ekitundu mwe tubeera, obuwangwa bwaffe, bazadde baffe, mikwano gyaffe, n’eddiini yaffe. Ne firimu oba programu za ttivi ze tulaba, awamu n’engeri endala ez’okwesanyusaamu, birina kye bitukolako. Bwe tutegeera ebintu ebituleetera emize emibi tuba tusobola okubyewala.

Oluvannyuma lw’okwekebera, muli tuyinza okugamba nti, ‘Nze bwe ntyo bwe nnakula.’ Eyo eba ndowooza nkyamu. Ng’ayogera ku b’omu kibiina ky’e Kkolinso abaaliko abenzi, abalyi b’ebisiyaga, abatamiivu, n’abalala abalinga abo, Pawulo yagamba nti: ‘Abamu ku mmwe mwali ng’abo, naye mwanaazibwa, era mwatukuzibwa olw’omwoyo gwa Katonda waffe.’ (1 Kol. 6:9-11) Naffe tusobola okukola enkyukakyuka eziba zeetaagisa nga tuyambibwako omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu.

Lowooza ku musajja ayitibwa Marcos,a abeera mu Philippines. Ng’ayogera ku maka mwe yakulira, Marcos agamba: “Bazadde bange baabanga mu kukaayana buli kiseera. Ekyo kyandeetera okwewaggula nga ndi wa myaka 19.” Marcos yatandika okukuba zzaala, okubba, n’okukola obwa kkondo. Lumu, ye ne banne baali bateekateeka n’okuwamba ennyonyi, wadde ng’ekyo tebaasobola kukikola. Ne bwe yali ng’amaze okuwasa, Marcos teyakyusaako. Gye byaggwera, ng’ebintu bye byonna abikubyemu zzaala. Waayita ekiseera kitono Marcos ne yeegatta ku mukyala we mu kusoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Mu kusooka, yawulira nga tasaanira kufuuka Mujulirwa. Kyokka, okukolera ku bye yali ayiga n’okugenda mu nkuŋŋaana byamuyamba okuleka emize gye emibi. Kati Mukristaayo omubatize, era ayamba abalala nabo okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe.

Oyagala Kuba Muntu wa Ngeri Ki?

Nkyukakyuka ki ze tulina okukola okusobola okuba n’engeri z’Ekikristaayo? Pawulo akubiriza Abakristaayo nti: “Muggyewo byonna, obusungu, ekiruyi, ettima, okuvuma, okunyumya eby’ensonyi mu kamwa kammwe: temulimbagananga mwekka na mwekka; kubanga mwamweyambulako omuntu ow’edda wamu n’ebikolwa bye.” Ayongerako nti: ‘Mwambale omuntu omuggya, afuulibwa omuggya olw’okutegeera mu kifaananyi ky’Oyo eyamutonda.’​—Bak. 3:8-10.

Ekiruubirirwa kyaffe ekikulu kyandibadde kweyambulako muntu omukadde, twambale omuggya. Kiki ekinaatuyamba okukikola? Pawulo agamba nti: “Mwambalenga . . . omwoyo ogw’ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza; nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw’abeeranga n’ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo: ku ebyo byonna era mwambale okwagalana, kye kintu [ekinywereza ddala obumu].” (Bak. 3:12-14) Bwe tufuba okukulaakulanya engeri ezo, tujja ‘kuganja eri Katonda n’eri abantu.’ (1 Sam. 2:26) Bwe yali ku nsi, Yesu yayoleka engeri ennungi. Bwe tusoma ebimukwatako era ne tumukoppa, kituyamba okuba n’engeri ng’ezize, era mu kukola tutyo, tuba ‘tukoppye Katonda.’​—Bef. 5:1, 2.

Engeri endala gye tuyinza okumanya enkyukakyuka ze twetaaga okukola kwe kusoma ku bantu aboogerwako mu Baibuli, nga twetegereza engeri zaabwe ennungi n’embi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Yusufu mutabani wa Yakobo. Eky’okuba nti yayisibwa mu ngeri eteri ya bwenkanya tekyamuleetamu mutima mubi. (Lub. 45:1-15) Ku luuyi olulala, Abusaalomu mutabani wa Kabaka Dawudi yeefuula alumirirwa ennyo abantu era baamuwaananga olw’obulungi bwe. Naye ekituufu kyali nti, yali muntu mukyamu era mutemu. (2 Sam. 13:28, 29; 14:25; 15:1-12) Omuntu ne bwe yeefuula omulungi era ng’alabika bulungi, tekitegeeza nti ddala aba mulungi.

Tusobola Okukola Enkyukakyuka

Okusobola okulongoosa engeri zaffe n’okuba abalungi mu maaso ga Katonda, tulina okwekebera bwe tufaanana munda. (1 Peet. 3:3, 4) Okukola enkyukakyuka kitwetaagisa okumanya emize gyaffe emibi, okutegeera kwe giva, n’okukulaakulanya engeri ng’eza Katonda. Tusobola okutuuka ku buwanguzi bwe tufuba okukola enkyukakyuka ng’ezo?

Yee, tusobola okuzikola nga tuyambibwako Yakuwa. Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, tusaba nti: “Ontondemu omutima omulongoofu, ai Katonda; onzizeemu omwoyo omulungi mu nda yange.” (Zab. 51:10) Tusobola okusaba Katonda atuwe omwoyo gwe gutuyambe okukola by’ayagala. Yee, tusobola okufuuka abantu abalungi mu maaso ga Katonda!

[[Obugambo obuli wansi]

a Erinnya lye likyusiddwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Okusiiga obusiizi langi ku nnyumba eno eyayonoonebwa omuyaga kimala?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Engeri zo zifaananako eza Kristo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share