‘Luubirira Ebintu Ebireeta Emirembe’
OLUGUUDO bwe luba lwakakolebwa lulabika ng’olutasobola kwonooneka. Naye ekiseera bwe kigenda kiyitawo, lutandika okujjamu enjatika n’ebinnya. Okusobola okulukuumira mu mbeera ennungi, luba lwetaaga okuddaabiriza.
Mu ngeri y’emu, enkolagana yaffe n’abalala oluusi eyinza okujjamu obuzibu, kabekansinge n’okwonoonekera ddala. Omutume Pawulo yalaga nti Abakristaayo b’omu Ruumi baalina obutakkaanya. Bw’atyo yagamba nti: “Tuluubirire ebintu ebireeta emirembe era ebituleetera okuzimbagana.” (Bar. 14:13, 19, NW) Lwaki kyetaagisa ‘okuluubirira ebintu ebireeta emirembe’? Tuyinza tutya okuluubirira ebintu ebireeta emirembe?
Lwaki Twandiruubiridde Emirembe?
Oluguudo bwe lutafiibwako, enjatika entono ennyo ziyinza okufuuka ebinnya ebinene era eby’akabi. Mu ngeri y’emu, enjawukana ziyinza okuvaamu emitawaana egy’amaanyi bwe zitagonjoolwa mangu. Omutume Yokaana yagamba nti: “Omuntu bw’ayogera nti Njagala Katonda, n’akyawa muganda we, mulimba; kubanga atayagala muganda we gwe yali alabyeko, Katonda gw’atalabangako tayinza kumwagala.” (1 Yok. 4:20) Enjawukana wakati w’Abakristaayo bwe zitagonjoolwa ziyinza okuvaamu empalana.
Yesu Kristo yalaga nti Yakuwa tayinza kusiima kusinza kwaffe nga tulina obutategeeragana n’ab’oluganda. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Kale, bw’obanga oleese ssaddaaka yo ku kyoto, bw’oyima eyo n’omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo, leka awo ssaddaaka yo mu maaso g’ekyoto, oddeyo, osooke omale okutabagana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo.” (Mat. 5:23, 24) Yee, okwagala okusanyusa Yakuwa Katonda y’emu ku nsonga lwaki twandiruubiridde emirembe.a
Ensonga endala lwaki tulina okuluubirira emirembe yeeyolekera mu ekyo ekyaliwo mu kibiina ky’e Firipi. Waaliwo ekizibu wakati w’abakyala Abakristaayo babiri, Ewodiya ne Suntuke, ekirabika nga kyali kyolekedde okutabangula emirembe mu kibiina. (Baf. 4:2, 3) Obutategeeragana bwe butagonjoolwa mangu, kiba kyangu n’abalala okubumanya. N’olwekyo, tusaanidde okuluubirira emirembe ne bakkiriza bannaffe kiyambe okukuuma obumu n’okwagala mu kibiina.
Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abaleetawo emirembe.” (Mat. 5:9, NW) Okuluubirira emirembe kireeta essanyu n’obumativu. Ate era, omuntu bw’aba ow’emirembe kimuyamba okuba omulamu obulungi, kubanga “omutima [omukkakkamu] bwe bulamu obw’omubiri.” (Nge. 14:30) Ku luuyi olulala, okusiba ekiruyi kiyinza okuleetera omuntu okulwala.
Wadde Abakristaayo abasinga bakimanyi nti kirungi okuluubirira emirembe, abamu bayinza obutamanya ngeri ya kugonjoolamu butategeeragana. Ka tulabe emisingi gy’omu Byawandiikibwa egiyinza okutuyamba.
Okwogera n’Obukkakkamu Kizzaawo Emirembe
Enjatika eziba mu luguudo ziba nnyangu okuziba nga zikyali ntono. Lwaki naffe tetusonyiwa baganda baffe ne tubikka ku nsobi ezitali za maanyi ze baba bakoze? Kino kigonjoola obutategeeragana obusinga obungi kubanga omutume Peetero yagamba nti “okwagala kubikka ku bibi bingi.”—1 Peet. 4:8.
Kyokka, oluusi ekizibu kiyinza okulabika nga kya maanyi era nga tetusobola kukibuusa maaso. Lowooza ku ekyo ekyaliwo ng’Abaisiraeri baakayingira Ensi Ensuubize. Bwe baali tebannasomoka Mugga Yoludaani, “abaana ba Lewubeeni n’abaana ba Gaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase” baazimba “ekyoto ekinene.” Ab’ebika bya Isiraeri biri ebirala baalowooza nti ekyoto ekyo kyali kikozesebwa mu kusinza bakatonda balala, era ekyo baawulira nga tebasobola kukigumiikiriza. Baateekateeka okubalumba.—Yos. 22:9-12.
Abaisiraeri abamu bayinza okuba nga baali balaba nti ekyoto ekyo bwali bujulizi bwa nkukunala obulaga nti amateeka gaali gamenyeddwa, era nti okubazinduukiriza kyali kijja kubayamba obutafiirwa balwanyi bangi. Naye mu kifo ky’okupapa, ab’ebika ebyali ebugwanjuba wa Yoludaani baasalawo okutuma ababaka bagende eri baganda baabwe boogere nabo ku nsonga eyo. Baababuuza nti: “Kyonoono ki kino kye mwayonoona eri Katonda wa Isiraeri, okukyama leero obutagoberera Mukama?” Ekituufu kyali nti ab’ebika ebyazimba ekyoto baali tebalina kikyamu kyonna kye bakoze. Naye bandyeyisiza batya nga banenyezeddwa mu bukyamu? Bandiyombesezza abo ababanenya oba bandigaanye okwogera nabo? Baddamu na bukkakkamu ne babannyonnyola nti ekyoto baali bakizimbye lwa kwagala kuweereza Yakuwa. Okuddamu bwe batyo kyabayamba okukuuma enkolagana yaabwe ne Katonda era beewala okuyiwa omusaayi. Ate era, okwogera n’obukkakkamu kyayamba okumalawo obutakkaanya obwo n’okuzzaawo emirembe.—Yos. 22:13-34.
Nga tebannabaako kya maanyi kye bakola, Abaisiraeri bali baakola kya magezi okutuukirira baganda baabwe eb’ekika kya Lewubeeni, Gaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase ne boogera nabo ku nsonga eyo. Baibuli egamba nti: “Toyanguyirizanga mu mwoyo gwo okusunguwala: kubanga obusungu bubeera mu kifuba ky’abasirusiru.” (Mub. 7:9) Okusinziira ku Byawandiikibwa, okwogera ky’olowooza mu bukkakkamu y’engeri entuufu ey’okugonjoolamu obutategeeragana obw’amaanyi. Ddala twandisuubidde Yakuwa okutuwa emikisa gye ng’omuntu gwe tulowooza nti yatukola ekikyamu tumusibidde obusungu era tumwewala?
Ate watya nga Mukristaayo munno akutuukiridde n’akugamba nti olina kye wamukola, oboolyawo nga ne ky’ayogera si kituufu? Baibuli egamba nti: “Okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi.” (Nge. 15:1) Ab’ebika bya Isiraeri abaali bazimbye ekyoto bennyonnyolako mu bukkakkamu, ekyo ne kireetera baganda baabwe okukkakkana. K’obe nga ggwe ogenze eri muganda wo nga waliwo obutategeeragana, oba nga ye y’azze gy’oli, kiba kirungi okwebuuza, ‘Okusobola okuzzaawo emirembe, njogere ntya ne muganda wange, nkozese bigambo ki, era mukwate ntya?’
Kozesa Bulungi Olulimi
Yakuwa amanyi bulungi nti twetaaga okubaako gwe tubuulira ebituluma. Naye bwe tufuna obutakaanya n’omuntu era ne tulemererwa okubugonjoola, emirundi egisinga tuwalirizibwa okubuulirako abalala. Bw’osibira omuntu obusungu, kiba kyangu okumwogerako obubi. Nga woogera ku kukozesa obubi olulimi, Engero 11:11 wagamba: ‘Akamwa k’ababi kasuula ekibuga.’ Mu ngeri y’emu, okwogera obubi ku Bakristaayo bannaffe kuyinza okutabangula emirembe mu kibiina.
Kyokka, okuluubirira emirembe tekitegeeza nti tetusobola kubaako kye twogera ku ba luganda. Omutume Pawulo yabuulirira bakkiriza banne nti: “Tokkirizanga bigambo bibi kuyita mu kamwa ko.” Naye yagattako nti: “Yogera ebyo byokka abantu bye beetaaga okuwulira, ebintu ebibaganyula. . . . Ba wa kisa eri munno, buli omu alage munne obusaasizi era musonyiwagane.” (Bef. 4:29-32, The New American Bible) Ow’oluganda bw’akutuukirira ng’olina kye wakoze oba kye wayogedde ne kimunyiiza, tekikwanguyira kumwetondera ne mutabagana bw’aba nga bulijjo akwogerako bulungi? Bwe kityo, bwe tuba tumanyiddwa ng’abantu aboogera obulungi ku Bakristaayo bannaffe, kitubeerera kyangu okuzzaawo emirembe nga wazzeewo obutategeeragana.—Luk. 6:31.
Tuweereze Katonda “n’Omwoyo Gumu”
Olw’okuba tetutuukiridde, tutera okwagala okwewala abantu abatunyiizizza. Naye ekyo tekiba kya magezi. (Nge. 18:1) Ng’abantu abali obumu era abakoowoola erinnya lya Yakuwa, tuli bamalirivu “okumuweereza n’omwoyo gumu.”—Zef. 3:9.
Abalala okwogera oba okweyisa obubi tekyandituleetedde kuddirira mu kusinza kwaffe okw’amazima. Ng’ebula ennaku ntono ssaddaaka ya Yesu edde mu kifo ky’ebyo ebyaweebwangayo mu yeekaalu, era nga Yesu yaakamala okuvumirira abawandiisi, Yesu yalaba nnamwandu omwavu ng’awaayo ‘byonna bye yali nabyo’ mu ggwanika lya yeekaalu. Yesu yagezaako okumuziyiza? Nedda. Mu kifo ky’okukola atyo, yamwogerako bulungi olw’okuwagira enteekateeka ya Yakuwa eyaliwo mu kiseera ekyo. (Luk. 21:1-4) Ebikolwa by’abalala ebibi tebyalobera nnamwandu oyo kukiraba nti alina okuwagira enteekateeka y’okusinza Yakuwa.
Tuyinza okuba nga tuwulira nti ow’oluganda atuyisizza bubi, oba mu ngeri eteri ya bwenkanya, naye ensonga eyo tunaagikwata tutya? Ekyo tunaakiganya okutulemesa okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna? Oba tunaafuba okumalawo obutategeeragana obwo tusobole okukuuma emirembe mu kibiina kya Katonda?
Ebyawandiikibwa bitukubiriza nti: “Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n’abantu bonna.” (Bar. 12:18) Ka tube bamalirivu okukola bwe tutyo tusobole okunywerera ku kkubo erituusa mu bulamu.
[[Obugambo obuli wansi]
a Ebikwata ku kubuulira kwa Yesu okuli mu Matayo 18:15-17, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 1, 1999, olupapula 14-19.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Ewodiya ne Suntuke baalina okuluubirira emirembe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Njogere ntya era nkozese bigambo ki okusobola okuleetawo emirembe?