Onookuuma Obugolokofu Bwo?
“Okutuusa lwe ndifa ssiryeggyako obugolokofu bwange.”—YOBU 27:5.
1, 2. Kuzimba kwa ngeri ki kwe twetaaga okwenyigiramu, era bibuuzo ki bye tujja okwetegereza?
KUBA akafaananyi ng’otunuulira pulaani y’ennyumba. Buli kimu ekiri ku pulaani eyo kiri nga bwe wandikyagadde. Era muli owulira essanyu bw’olowooza ku ngeri ggwe n’ab’omu maka go gye muyinza okunyumirwa obulamu nga muli mu nnyumba ng’eyo. Naye okulowooza obulowooza ku pulaani eyo tekiyamba, okuggyako ng’ennyumba ogizimbye, n’ogiyingira era n’ofuba okugirabirira.
2 Mu ngeri y’emu, tuyinza okukiraba nti obugolokofu ngeri nnungi era nti ejja kutuganyula wamu n’abo be tubeera nabo. Naye tekigasa kukiraba bulabi nti obugolokofu ngeri nnungi nga tetulina kye tukozeewo kukulaakulanya ngeri eyo ey’Ekikristaayo n’okuginywererako. Mu nsi ya leero, okuzimba ennyumba kitwala ssente nnyingi n’ebiseera. (Luk. 14:28, 29) Okukulaakulanya obugolokofu nakwo bwe kutyo kwetaagisa obunyiikivu n’ebiseera bingi, naye nga muvaamu emiganyulo mingi. Kati ka twekenneenye ebibuuzo bisatu: Tuyinza tutya okukulaakulanya obugolokofu? Tuyinza tutya okukuuma obugolokofu bwaffe? Kiki ekiyinza okukolebwa okuyamba omuntu addiridde mu kukuuma obugolokofu?
Tuyinza Tutya Okukulaakulanya Obugolokofu?
3, 4. (a) Yakuwa atuyamba atya okukulaakulanya obugolokofu? (b) Tuyinza tutya okukulaakulanya obugolokofu nga tulabira ku Yesu?
3 Mu kitundu ekyaggwa twalaba nti Yakuwa atuleka ne twesalirawo obanga twagala okukulaakulanya obugolokofu. Naye tatulekerera mu nsonga eno. Atulaga engeri gye tuyinza okukikolamu, era atuwa omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okussa mu nkola by’atuyigiriza. (Luk. 11:13) Atuwa n’obukuumi mu by’omwoyo nga tufuba okutambulira mu bugolokofu.—Nge. 2:7.
4 Yakuwa atuyigiriza okukulaakulanya obugolokofu? Okusinga atuyigiriza okuyitira mu kyokulabirako ky’Omwana we Yesu gwe yatuma ku nsi. Yesu yali muwulize mu ngeri etuukiridde. Yali “muwulize okutuusa okufa.” (Baf. 2:8) Yesu yagondera Kitaawe ow’omu ggulu mu buli kimu, ne bwe kyabanga kizibu kitya. Yagamba Yakuwa nti: “Si nga nze bwe njagala, naye ky’oyagala ggwe kikolebwe.” (Luk. 22:42) Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Nange nnina omutima omuwulize ng’ogwo?’ Bwe tuba abawulize era nga tulina ebiruubirirwa ebirungi, tuba bantu bagolokofu. Lowooza ku mbeera obuwulize mwe bwetaagisiza ennyo.
5, 6. (a) Dawudi yalaga atya obukulu bw’okutambulira mu bugolokofu ne bwe waba nga tewali muntu atulaba? (b) Buzibu ki Abakristaayo bwe boolekagana nabwo nga bali bokka?
5 Tulina okugondera Yakuwa, ne bwe kiba kirabika nti tewali atulaba. Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yalaga obukulu bw’okutambulira mu bugolokofu ne bwe yabanga yekka. (Soma Zabbuli 101:2.) Nga kabaka, Dawudi yabeeranga nnyo n’abantu. Emirundi mingi yabeeranga mu bifo awali abantu abangi ennyo. (Geraageranya Zabbuli 26:12.) Okukuuma obugolokofu mu biseera ng’ebyo kyali kikulu kubanga ye nga kabaka yalina okuteerawo abantu be ekyokulabirako ekirungi. (Ma. 17:18, 19) Kyokka, Dawudi yakiraba nti ne bwe yabanga ali yekka—‘mu nnyumba ye’—yalina okutambulira mu bugolokofu. Ate kiri kitya ku ffe?
6 Mu Zabbuli 101:3, Dawudi agamba: “Siiteekenga kintu kyonna ekitasaana mu maaso gange.” Leero waliwo ebintu bingi nnyo ebitasaana bye tuyinza okuteeka mu maaso gaffe, naddala nga tuli ffekka. Ekimu ku bintu ebiwa ennyo abantu obuzibu ye Internet. Kyangu omuntu okusikirizibwa okulaba ebifaananyi ebitasaana oba eby’obugwenyufu. Naye okulaba ebintu ng’ebyo kiba kiraga okugondera Katonda eyaluŋŋamya Dawudi okuwandiika ebigambo ebyo? Ebintu eby’obugwenyufu bya kabi kubanga bireetera omuntu okwegomba okubi, byonoona omuntu we ow’omunda, bimumalamu ekitiibwa, era byonoona obufumbo.—Nge. 4:23; 2 Kol. 7:1; 1 Bas. 4:3-5.
7. Musingi ki oguyinza okutuyamba okukuuma obugolokofu nga tuli ffekka?
7 Kya lwatu nti tewali kiseera muweereza wa Yakuwa lw’ayinza kuba ng’ali yekka. Wonna we tuba, Kitaffe ow’okwagala aba atulaba. (Soma Zabbuli 11:4.) Nga Yakuwa asanyuka okukulaba ng’olwana oleme kugwa mu bikemo! Bw’okola bw’otyo, oba ogoberedde okulabula kwa Yesu okuli mu Matayo 5:28. N’olwekyo, ba mumalirivu okwewala okulaba ebifaananyi ebiyinza okukuleetera okukola ebintu ebikyamu. Tokkiriza kusuula bugolokofu bwo olw’okuba oyagala okulaba oba okusoma ebintu eby’obugwenyufu!
8, 9. (a) Obugolokofu bwa Danyeri ne banne bwagezesebwa butya? (b) Abavubuka Abakristaayo basanyusa batya Yakuwa ne Bakristaayo bannaabwe?
8 Era tulaga nti tutambulira mu bugolokofu bwe tugondera Yakuwa nga tuli mu bantu abatali bakkiriza. Lowooza ku Danyeri ne banne abasatu. Baatwalibwa mu buwambe e Babulooni nga bavubuka. Nga bali eyo mu bantu abatamanyi Yakuwa, Abebbulaniya abo abana baalagirwa okulya emmere eyali tekkirizibwa mu Mateeka ga Katonda. Abavubuka abo baali bayinza okufuna kye beekwasa ne balya emmere eyo. Ggwe ate oba bazadde baabwe, abakadde, awamu ne bakabona baali tebajja kulaba kye bakoze. Waliwo eyandikitegedde? Yee, Yakuwa yandikitegedde. N’olwekyo, baasalawo okunywerera ku kituufu basanyuse Yakuwa, wadde nga kyali kiyinza okubaleetera emitawaana.—Dan. 1:3-9.
9 Mu ngeri y’emu, abavubuka Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi banywerera ku mitindo gy’Ekikristaayo, ne batawuliriza abo ababapikiriza okukola ebintu ebikyamu. Abavubuka, bwe mwewala ebikolwa eby’ettemu, okuwemula, obukaba, okunywa enjaga, n’ebiri ng’ebyo, muba mugondedde Yakuwa. Bwe mukola mutyo, muba mukuuma obugolokofu bwammwe. Ekyo kibaganyula, era kisanyusa Yakuwa ne Bakristaayo bannammwe!—Zab. 110:3.
10. (a) Ndowooza ki enkyamu ezikwata ku kwetaba ezireetedde abavubuka abamu okusuula obugolokofu bwabwe? (b) Okukuuma obugolokofu kituyamba kitya okwewala obukaba?
10 Era tulina okuba abawulize mu nkolagana yaffe n’abo bwe tutafaananya kikula. Tukimanyi nti Ekigambo kya Katonda kivumirira obukaba. Kyokka, kyangu omuntu abadde omuwulize okutandika okukola ebintu ebitasaana. Ng’ekyokulabirako, abavubuka abamu beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu gamba ng’okukomberera oba okutigaatiga ebitundu by’abalala eby’ekyama, oba beegatta mu ngeri etali ya buzaaliranwa nga beerimba nti ebikolwa ebyo si bibi nnyo olw’okuba bakitwala nti okwo tekuba okwetaba kwennyini. Abavubuka ng’abo baba beerabidde nti ekigambo kya Baibuli ekyavvuunulwa obwenzi kizingiramu ebikolwa ng’ebyo byonna ebibi ebiyinza n’okuviirako omuntu okugobebwa mu kibiina.a N’ekisinga obubi, baba tebakuumye bugolokofu bwabwe. Olw’okuba tufuba okukuuma obugolokofu bwaffe, tetwandyagadde kukola bitasaana nga twekwasa obusongasonga. Tetusaanidde kukola bitasaana olw’okuba tumanyi nti tebijja kutuviirako kubonerezebwa. Engeri gye tuyinza okukangavvulwa nga tukoze ekikyamu si kye kyokka kye tulina okussaako ebirowoozo. Kye tulina okutwala ng’ekikulu kwe kusanyusa Yakuwa nga twewala okukola ebimunyiiza. Mu kifo ky’okukola ebintu eby’obugwenyufu, tusaanidde okubyewalira ddala, mu ngeri eyo ‘tudduke obwenzi.’ (1 Kol. 6:18) Bwe tukola tutyo, tuba tulaga nti ddala tuli bantu bagolokofu.
Tuyinza Tutya Okukuuma Obugolokofu Bwaffe?
11. Lwaki buli kikolwa eky’obuwulize kikulu? Waayo ekyokulabirako.
11 Olw’okuba obugolokofu buva mu kuba bawulize, bwe tufuba okuba abawulize kituyamba okukuuma obugolokofu. Ekikolwa ekimu eky’obuwulize kiyinza okulabika ng’ekintu ekitono. Naye bwe bigenda biwera bitufuula abantu abakuuma obugolokofu. Ng’ekyokulabirako: Ettoffaali erimu liyinza okulabika ng’eritalina mugaso, naye bwe gaba amangi tusobola okugazimbamu ennyumba. Mu ngeri y’emu, bwe tweyongera okukola ebikolwa eby’obuwulize kituyamba okukuuma obugolokofu bwaffe.—Luk. 16:10.
12. Dawudi yassaawo kyakulabirako ki mu kukuuma obugolokofu, bwe yali ayisibwa mu ngeri eteri ya bwenkanya?
12 Obugolokofu bwaffe naddala bweyoleka bwe tugumiikiriza nga tulina ebizibu oba nga tuyisibwa mu ngeri eteri ya bwenkanya. Lowooza ku kyokulabirako kya Dawudi. Bwe yali omuvubuka, Dawudi yagumiikiriza ng’ayigganyizibwa kabaka eyali alondeddwa Yakuwa. Olw’okuba Kabaka Sawulo yali takyasiimibwa mu maaso ga Yakuwa, yakwatirwa Dawudi obuggya. Kyokka, Sawulo yeeyongera okufuga okumala ekiseera era yakozesa eggye lya Isiraeri okuyigganya Dawudi. Yakuwa yaleka Dawudi mu mbeera eyo okumala emyaka egiwera. Naye Dawudi yanyiigira Katonda? Yatuuka ekiseera eby’okugumiikiriza n’abivaako? Nedda. Yeeyongera okuwa Sawulo ekitiibwa olw’okuba Katonda gwe yali yafukako amafuta, era yagaana okumutta wadde nga yafuna akakisa okukikola.—1 Sam. 24:2-7.
13. Tuyinza tutya okukuuma obugolokofu nga waliwo atunyiizizza oba akoze ebitasaana?
13 Nga Dawudi yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi! Olw’okuba ffenna abali mu kibiina Ekikristaayo tetutuukiridde, buli omu ku ffe asobola okukola ekintu ekinyiiza omulala oba okufuuka atali mwesigwa. Kya lwatu nti mu kiseera kino, abantu ba Yakuwa bonna ng’ekibiina tebayinza kufuuka batali beesigwa. (Is. 54:17) Naye tuneeyisa tutya nga waliwo omuntu atunyiizizza oba akoze ebitasaana? Singa ekyo kituleetera okusibira musinza munnaffe obusungu, tuyinza okwesanga nga tusudde obugolokofu bwaffe. Tetulina kunyiigira Katonda oba kulekera awo kumuweereza olw’okuba abamu beeyisa mu ngeri etesaana. (Zab. 119:165) Bwe tugumiikiriza nga twolekaganye n’ebizibu kituyamba okukuuma obugolokofu bwaffe.
14. Tulina kukola ki nga wabaddewo enkyukakyuka mu nnyinyonnyola y’ebyawandiikibwa oba mu ngeri ebintu gye bikolebwamu mu kibiina?
14 Era tusobola okukuuma obugolokofu nga twewala omuze gw’okukolokota abalala n’okubanoonyaamu ensobi. Ekyo kitegeeza nti tulina okukuuma obwesigwa bwaffe eri Yakuwa. Awa abantu be emikisa leero okusinga bwe kyali kibadde. Era okusinza okw’amazima tekugulumizibwangako ku nsi nga bwe kiri leero. (Is. 2:2-4) Bwe wabaawo enkyukakyuka mu nnyinyonnyola y’ebyawandiikibwa oba mu ngeri ebintu gye bikolebwamu mu kibiina, tusaanidde okugikkiriza. Tuli basanyufu okulaba nti ekitangaala eky’eby’omwoyo kikyeyongerayongera. (Nge. 4:18) Bwe wabaawo enkyukakyuka yonna etuzibuwalidde okutegeera, tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okugitegeera. Nga bwe tulindirira ekyo, tulina okusigala nga tuli bawulize, tukuume obugolokofu bwaffe.
Watya ng’Omuntu Takuumye Bugolokofu?
15. Omuntu yekka ayinza okukusuuza obugolokofu bwo y’ani?
15 Kino kibuuzo buli muntu ky’asaanidde okwebuuza? Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, obugolokofu kintu kikulu nnyo. Bwe tutaba bagolokofu, tetuyinza kuba na nkolagana na Yakuwa wadde okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso. Jjukira nti omuntu ayinza okukusuuza obugolokofu bwo ali omu yekka mu nsi yonna. Omuntu oyo ye ggwe. Ekyo Yobu yali akimanyi bulungi. Yagamba: “Okutuusa lwe ndifa ssiryeggyako obugolokofu bwange.” (Yobu 27:5) Naawe bw’onooba omumalirivu bw’otyo era n’obeera kumpi ne Yakuwa, tojja kusuula bugolokofu bwo.—Yak. 4:8.
16, 17. (a) Kiki omuntu ky’alina okwewala ng’akoze ekibi eky’amaanyi? (b) Omuntu ng’oyo asaanidde kukola ki?
16 Kyokka, Abakristaayo abamu basuula obugolokofu bwabwe. Batandika okukola ebibi eby’amaanyi, era nga bwe kyali mu kiseera ky’abatume. Bwe weesanga mu mbeera ng’eyo, kiba kitegeeza nti ebibyo bikomye? Nedda. Oyinza kukola ki? Ka tusooke tulabe ky’osaanidde okwewala. Bwe tukola ekikyamu, tutera okwagala okukikweka bazadde baffe, Bakristaayo bannaffe, oba abakadde. Naye Baibuli etujjukiza nti: “Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: naye buli akwatula n’akuleka alifuna okusaasirwa.” (Nge. 28:13) Abo abagezaako okukweka ebibi byabwe bakola ensobi ya maanyi kubanga Katonda tetusobola kumukweka kintu kyonna. (Soma Abaebbulaniya 4:13.) Abamu bawa ekifaananyi nti baweereza Yakuwa kyokka nga bakola ebibi eby’amaanyi. Abantu abakola batyo baba tebakuumye bugolokofu n’akatono. Yakuwa tasanyukira bantu bamusinza ng’ate bakola ebibi eby’amaanyi mu nkukutu. Mu butuufu, ekyo kimunyiiza nnyo.—Nge. 21:27; Is. 1:11-16.
17 Omukristaayo bw’akola ekibi eky’amaanyi, eky’okukola kimanyiddwa bulungi. Alina okutuukirira abakadde bamuyambe. Yakuwa yassaawo enteekateeka omuyitirwa okuyamba abalwadde mu by’omwoyo. (Soma Yakobo 5:14.) Eky’okutya okukangavvulwa tokikkiriza kukulemesa kufuna buyambi osobole okuba omulamu mu by’omwoyo. Ggwe ate omuntu ayinza okusirikira obulwadde obuyinza okumutta olw’okutya okukubibwa empiso oba okulongoosebwa?—Beb. 12:11.
18, 19. (a) Ekyokulabirako kya Dawudi kiraga kitya nti omuntu bw’akwata ekkubo enkyamu asobola okuddamu okutambulira mu bugolokofu? (b) Ku bikwata ku bugolokofu, omaliridde kukola ki?
18 Omuntu bw’akwata ekkubo enkyamu aba asobola okuddamu okutambulira mu bugolokofu? Lowooza ku kyokulabirako kya Dawudi. Yakola ebibi eby’amaanyi. Yeegomba omukazi omufumbo, yayenda naye, era yakola olukwe bba w’omukazi oyo n’attibwa. Kizibu okulowooza ku Dawudi ng’omusajja omugolokofu oluvannyuma lw’okukola ebibi ebyo. Naye tekitegeeza nti ebibye byali bikomye. Dawudi yali yeetaaga okukangavvulwa n’amaanyi, era bwe kityo bwe kyali. Yeenenya mu bwesimbu era Yakuwa yamusonyiwa. Dawudi yaganyulwa mu kukangavvulwa okwo era yaddamu n’agondera Katonda bw’atyo n’atambulira mu kkubo ery’obugolokofu. Obulamu bwa Dawudi butuukana bulungi n’ebyo bye tusoma mu Engero 24:16 (NW): “Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, ayimuka.” Kiki ekyavaamu? Weetegereze Yakuwa kye yagamba Sulemaani nga Dawudi afudde. (Soma 1 Bassekabaka 9:4.) Okusinziira ku Katonda, Dawudi yatambulira mu kkubo ery’obugolokofu. Yee, Yakuwa asobola okulongoosa abantu abeenenya ebibi byabwe, ne bwe biba bya maanyi bitya.—Is. 1:18.
19 Tewali kubuusabuusa nti bw’onooba omuwulize eri Katonda, ojja kusobola okukuuma obugolokofu bwo. Beera mugumiikiriza era mwesigwa, era singa okola ekibi eky’amaanyi, weenenye mu bwesimbu. Ng’okukuuma obugolokofu kintu kya muwendo nnyo! Ka ffenna tube bamalirivu nga Dawudi eyagamba nti: “Naye nze naatambuliranga mu [bugolokofu] bwange.”—Zab. 26:11.
[Obugambo obuli wansi]
Wandizzeemu Otya?
• Oyinza otya okukulaakulanya obugolokofu?
• Mbeera ki mw’oyinza okwetaagira okukuuma obugolokofu?
• Kiyinzika kitya omuntu okuddamu okutambulira mu bugolokofu?
[Akasanduuko akali ku lupapula 8]
‘KIKOLWA KIYITIRIVU OBULUNGI’
Omukazi eyali olubuto olw’emyezi etaano ye yayogera ebigambo ebyo olw’obugolokofu n’ekisa omuntu omu bye yali alaze. Omukazi oyo yali agenzeeko mu kawooteeri ne yeerabirayo akasawo ke, naye nga yakimanya wayise essaawa eziwerako. Mu kasawo ako mwalimu doola 2,000, era nga ssente nnyingi bwe zityo yali tatera kutambula nazo. Bwe yali ayogeramu n’omusasi w’olupapula lw’amawulire olw’omu kitundu ekyo, yagamba: “Nnawulidde nga nzenna sikyategeera.” Kyokka, waliwo omuwala eyalaba akasawo ako era n’afuba okunoonya nnyiniko. Bwe yamubulwa, yakatwala ku poliisi, yo poliisi n’enoonya omukazi oyo era n’emulaba. Nga yenna ajjudde essanyu, omukazi oyo yagamba: “Ekyo kibadde kikolwa kiyitirivu obulungi.” Lwaki omuwala oyo yafuba nga bw’asobola okuzuula nnyini ssente ezo? Okusinziira ku lupapula lw’amawulire olwo, omuwala yagamba nti ye ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, “enzikiriza ye yamuyigiriza okutambulira mu bugolokofu okuviira ddala mu buto.”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Abavubuka basobola okukuuma obugolokofu nga bagezesebwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Waliwo ekiseera Dawudi lwe yaddirira mu kukuuma obugolokofu, naye yamala n’atereera