Osiima Enkuba?
ENKUBA! Twandikoze tutya w’eteri? Kyo kituufu nti enkuba bw’eyitirira ereeta amataba ne goonoona ebintu. Era n’abantu ababeera mu bitundu gy’etonnya ennyo bayinza okugyetamwa. (Ezera 10:9) Naye ate lowooza ku abo ababeera mu bitundu ebikalu era ebyakamu ennyo omusana. Nga bafuna obuweerero bwa maanyi ng’enkuba etonnye!
Embeera bw’etyo bwe yali mu bitundu by’omu Asiya Omutono, omutume Pawulo we yagenderayo ng’omuminsani. Ng’ali mu kitundu ekyo, Pawulo yagamba abantu b’omu Lukoniya eky’edda nti: “[Katonda] yakolanga bulungi, ng’abatonnyesezanga enkuba okuva mu ggulu n’ebiro eby’okubalirangamu emmere, ng’ajjuzanga emitima gyammwe emmere n’essanyu.” (Ebikolwa 14:17) Weetegereze nti wano Pawulo yasooka kwogera ku nkuba, kubanga w’eteri tewali kintu kisobola kukula, era tewayinza kubaawo ‘biro bya kubaliramu mmere.’
Enkuba eyogerwako nnyo mu Baibuli. Ekigambo ky’Olwebbulaniya n’eky’Oluyonaani ebitegeeza enkuba bisangibwa mu Baibuli emirundi egisoba mu kikumi. Wandyagadde okumanya ebisingawo ku nkuba, ekirabo kino eky’ekitalo? Era wandyagadde okunyweza obwesige bwo mu Baibuli nti by’eyogera ku sayansi bituufu?
Baibuli ky’Eyogera ku Nkuba
Yesu Kristo yayogera ku kintu ekikulu ennyo ekisobozesa enkuba okutonnya. Yagamba nti: ‘Kitammwe ali mu ggulu enjuba ye agyakiza ababi n’abalungi, era enkuba agitonnyeseza abatuukirivu n’abatali batuukirivu.’ (Matayo 5:45) Weetegerezza nti Yesu yasooka kwogera ku njuba nga tannayogera ku nkuba? Ekyo kituukirawo kubanga enjuba tekoma ku kusobozesa bimera kukula, naye era esobozesa n’amazzi okuyita mu mitendera egitali gimu ne gavaamu enkuba. Yee, olw’ebbugumu eriva ku njuba, amazzi mangi nnyo gambuka okuva mu gayanja ne gatuuka mu bire ne gavaamu enkuba. Eno ye nsonga lwaki Yakuwa Katonda eyatonda enjuba ayogerwako ng’oyo atwala amazzi waggulu agakola enkuba.
Baibuli eraga emitendera amazzi mwe gayita okufuuka enkuba ng’egamba nti: “Katonda . . . awalula waggulu amatondo g’amazzi, agatonnya enkuba eva mu mukka gwe; eggulu ge liyiwa ne [g]atonnya ku bantu mangi nnyo.” (Yobu 36:26-28) Olw’okuba ebigambo ebyo byawandiikibwa emyaka nkumi na nkumi emabega, abantu babadde n’ebiseera bingi nnyo okunoonyereza ku mitendera amazzi mwe gayita okufuuka enkuba. Naye ekitabo ekiyitibwa Water Science and Engineering ekyafulumizibwa mu 2003 kigamba nti: “N’okutuusa leero, engeri amatondo g’enkuba gye gakolebwamu tetegeerekeka bulungi.”
Bannasayansi bamanyi nti amatondo g’enkuba mu kusooka buba butundutundu obusirikitu, oluvannyuma ne bufuuka obutondotondo bw’amazzi obutono ennyo nga buli mu bire. Okusobola okukola ettondo ly’enkuba erimu, buli kamu ku butondotondo obwo kalina okweyongera obunene emirundi oluusi egisoba mu kakadde. Ekyo kiyinza okutwala essaawa eziwerako. Ekitabo ekiyitibwa Hydrology in Practice kigamba nti: “Waliwo ennyinnyonnyola eziwerako ku ngeri obutondotondo bw’amazzi obutono ennyo gye bugejjamu ne bufuuka amatondo g’enkuba, era ezimu ku zo bannasayansi bakyazinoonyerezaako.”
Omutonzi w’enkuba yabuuza omuweereza we Yobu nti: “Enkuba erina kitaawe waayo? Oba ani eyazaala amatondo ag’omusulo? Ani eyateeka amagezi mu bitundu [by’ebire] eby’omunda? . . . Ani ayinza okubala ebire olw’amagezi? Oba ani ayinza okuttulula amaliba ag’omu ggulu?” (Yobu 38:28, 36, 37) Ebibuuzo ebyo ebizibu ennyo ebyabuuzibwa emyaka nga 3,500 emabega, na buli kati bikyabobbya bannasayansi emitwe.
Emitendera Amazzi mwe Gayita Okufuuka Enkuba
Abafirosoofo Abayonaani baayigirizanga nti amazzi agakulukuta mu migga tegava mu nkuba, wabula gava mu nnyanja ne gambuka mu nsozi ewava emigga nga gayita wansi mu ttaka. Ekitabo ekimu ekyogera ku Baibuli kigamba nti Sulemaani naye bw’atyo bwe yali alowooza. Lowooza ku bigambo bye bino: “Emigga gyonna gigenda mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; mu kifo emigga gye gigenda eyo gye gigenda nate.” (Omubuulizi 1:7) Ddala Sulemaani yali ategeeza nti amazzi gava mu nnyanja ne gayita wansi mu ttaka ne gambuka waggulu mu nsozi, olwo ne gafuuka emigga? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tulabe ebyo Abaisiraeri abalala bye baayogera ku mitendera amazzi mwe gayita okufuuka enkuba. Kyandiba nti nabo baalina endowooza enkyamu?
Nga tewannayita na myaka giwera kikumi bukya Sulemaani afa, nnabbi wa Katonda Eriya yalaga nti amanyi bulungi enkuba gy’eva. Ekiseera Eriya we yabeererawo, mu nsi mwagwamu ekyeya ekyamala emyaka egisukka mu esatu. (Yakobo 5:17) Kino kyali kibonerezo Yakuwa Katonda kye yaleeta ku bantu be olw’okumuvaako ne batandika okusinza Baali, katonda w’Abakanani ow’enkuba. Naye Eriya yasobola okuyamba Abaisiraeri okwenenya, era oluvannyuma yasaba enkuba eddemu okutonnya. Bwe yali asaba, Eriya yagamba omuweereza we atunule ku ludda “awali ennyanja.” Omuweereza oyo bwe yamutegeeza nti yali alengeddeyo ‘ekire ekirinnya nga kiva mu nnyanja ekyali kyenkana omukono gw’omuntu,’ Eriya yamanyirawo nti okusaba kwe kwali kuddiddwamu. Mu kiseera kitono, ‘eggulu lyabindabinda; wajjawo ebire n’embuyaga, era enkuba yatonnya nnyingi.’ (1 Bassekabaka 18:43-45) Bw’atyo Eriya yalaga nti yali amanyi emitendera amazzi mwe gayita okufuuka enkuba. Yali akimanyi nti ebire byandisoose kukwata waggulu wa nnyanja, oluvannyuma empewo n’ebifuuwa ng’ebizza ebuvanjuba ewaali Ensi Ensuubize. Na buli kati, enkuba etonnya mu kitundu ekyo bw’etyo bw’ejja.
Nga wayise emyaka nga kikumi okuva Eriya lwe yasaba enkuba okutonnya, omusajja ayitibwa Amosi eyali omulimi alina ekintu ekikulu kye yayogera ku mitendera amazzi mwe gayita okufuuka. Katonda yatuma Amosi eri Abaisiraeri okubanenya olw’okunyigiriza abaavu n’okusinza bakatonda ab’obulimba. Okusobola okuwona okuzikirizibwa, Amosi yabakubiriza ‘okunoonya Mukama, basigale nga balamu.’ Era Amosi yabagamba nti Yakuwa yekka y’agwanidde okusinzibwa kubanga ye Mutonzi, oyo “ayita amazzi ag’omu nnyanja n’agafuka ku maaso g’olukalu.” (Amosi 5:6, 8) Ebigambo ebyo ebiraga emitendera amazzi mwe gayita okufuuka enkuba, Amosi yaddamu n’abyogera nate. (Amosi 9:6) Bw’atyo yakiraga bulungi nti amazzi agakola enkuba okusinga gava mu nnyanja.
Kino munnasayansi ayitibwa Edmond Halley yakinoonyerezaako n’akifunako obukakafu mu 1687. Naye obukakafu obwo abalala baalwawo okubukkiriza. Ekitabo ekiyitibwa Encyclopædia Britannica Online kigamba nti “Okutuukira ddala mu kyasa 18, abantu baalina endowooza nti amazzi agava mu nsozi ne gakulukuta mu migga gava mu nnyanja ne gambuka mu nsozi nga gayitira wansi mu ttaka.” Leero, emitendera amazzi mwe gayita okufuuka enkuba gimanyiddwa bulungi. Ekitabo ekyo era kigamba nti: “Amazzi g’ennyanja gafuuka omukka ne gambuka mu bbanga, era eyo gye gafuukira amatondo agatonnya ku Nsi ng’enkuba, oluvannyuma ne gakulukutira mu migga ne gaddayo mu nnyanja.” N’olwekyo, mu bigambo bye ebiri mu Omubuulizi 1:7, Sulemaani yali ayogera ku ngeri amazzi gye gambukamu ne gatuuka mu bire, ne gavaamu enkuba.
Kino Kyandikuleetedde Kukola Ki?
Eky’okuba nti ebyo abawandiisi ba Baibuli abatali bamu bye baayogera ku ngeri enkuba gy’ejjamu okutonnya bituufu kiwa obukakafu nti Baibuli yaluŋŋamizibwa Oyo eyatonda abantu, Yakuwa Katonda. (2 Timoseewo 3:16) Kituufu nti abantu okwonoona obutonde bw’ensi kireeseewo enkyukakyuka mu mbeera z’obudde, ekiviiriddeko ebitundu ebimu okukubwa ennyo amataba, ate ebirala ne bibaamu ekyeya. Naye Omutonzi w’enkuba, Yakuwa Katonda, yasuubiza dda nti ajja ‘kuzikiriza abo aboonoona ensi.’—Okubikkulirwa 11:18.
Kati olwo oyinza otya okulaga nti osiima ebirabo Katonda by’atuwa, gamba ng’enkuba? Osobola okukikola ng’osoma Ekigambo kye, Baibuli, era ng’ebyo by’oyiga obikolerako mu bulamu bwo. Bw’onookola bw’otyo, ojja kufuna essuubi ery’okuba mu nsi ya Katonda empya, osobole okweyagalira mu birabo bya Katonda byonna emirembe n’emirembe. Yee, “buli kirabo ekirungi, na buli kitone kituukirivu” kiva eri Oyo asobozesa enkuba okutonnya, Yakuwa Katonda.—Yakobo 1:17.
[Ekipande/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
← ← OMUKKA GUFUUKA AMATONDO ←
↓ ↑ ↑
ENKUBA ETONNYA EBIMERA BIVAAMU OMUKKA AMAZZI GAFUUKA OMUKKA
↓ AMAZZI GAKULUKUTA ↑
EREETA AMAZZI ↓
↓ → →
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24]
Eriya bwe yali asaba, omuweereza we yatunula ku ludda “awali ennyanja”