Abasomi Baffe Babuuza
Lwaki Essaala Ezimu Katonda Taziddamu?
KATONDA mwangu nnyo okutuukirira. Nga taata ow’ekisa bw’ayagala abaana be boogere naye, Yakuwa Katonda ayagala nnyo tumusabe. Naye ate era nga taata ow’amagezi, essaala ezimu Katonda taziddamu. Ensonga kw’asinziira okukola atyo azitukweka oba azitubuulira mu Baibuli?
Omutume Yokaana agamba nti: ‘Buno bwe bugumu bwe tulina eri ye, nti bwe tusaba ekintu nga bw’ayagala, atuwuulira.’ (1 Yokaana 5:14) Ebintu bye tusaba birina okuba nga bituukana ne Katonda by’ayagala. Abantu abamu basaba ebintu ebikontana ne Katonda by’ayagala, gamba ng’okuwangula ssente z’akalulu, oba ezisibiddwawo ku kintu. Abalala basaba nga balina ebigendererwa ebibi. Omuyigiriza Yakobo yayogera bw’ati ku nsonga eno: “Musaba ne mutaweebwa, kubanga musaba bubi, mulyoke mubikozese okwegomba kwammwe.”—Yakobo 4:3.
Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ttiimu bbiri nga zikwataganye mu muzannyo gw’omupiira era buli emu esaba ewangule. Katonda tayinza kuddamu ssaala za ngeri eyo ezikontana. Bwe kityo bwe kiri ne ku ntalo ezirwanibwa mu biseera bino, nga buli ludda lusaba lutuuke ku buwanguzi.
Essaala z’abo abatagondera mateeka ga Katonda teziyinza kuddibwamu. Lumu Yakuwa yagamba abantu abeefuula abamusinza nti: “Bwe munaasabanga ebigambo ebingi, siiwulirenga: emikono gyammwe gijjudde omusaayi.” (Isaaya 1:15) Baibuli egamba: “Akyusa okutu kwe obutawulira mateeka, n’okusaba kwe kwa muzizo.”—Engero 28:9.
Ku luuyi olulala, Yakuwa bulijjo ayanukula okusaba kw’abantu abamusinza era abafuba okukola by’ayagala. Naye, ekyo kitegeeza nti buli kye basaba akibawa? Nedda. Lowooza ku byokulabirako bino ebiri mu Byawandiikibwa.
Musa yalina enkolagana ey’oku mwanjo ne Katonda. Kyokka, naye yalina okusaba “nga [Katonda] bw’ayagala.” Lumu Musa yasaba Katonda amuddiremu amukkirize okuyingira mu nsi y’e Kanani: “Nsomoke, nkwegayirira, ndabe ensi ennungi eri emitala wa Yoludaani.” Kyokka Katonda yali amaze okumugamba nti tajja kuyingira mu nsi eyo olw’ekibi kye yali akoze. Bwe kityo, mu kifo ky’okukkiriza Musa kye yali asabye, Yakuwa yamugamba nti: “Kikumale: toyogera nate nange ku kigambo ekyo.”—Ekyamateeka 3:25, 26; 32:51.
Omutume Pawulo yasaba Katonda amuwonye ekintu kye yayita “eriggwa mu mubiri.” (2 Abakkolinso 12:7) “Eriggwa” eryo bwandiba nga bwali bulwadde bwa maaso obutawona, oba nga baali ‘ba luganda ob’obulimba’ abaali bamuyigganya olutata. (2 Abakkolinso 11:26; Abaggalatiya 4:14, 15) Pawulo yagamba: “Nneegayirira Mukama waffe emirungi esatu, kinveeko.” Kyokka, Katonda yali akimanyi nti Pawulo bwe yeeyongera okubuulira wadde ng’alina “eriggwa mu mubiri,” kijja kwoleka amaanyi ga Katonda n’obwesigwa Pawulo bw’amulinamu. N’olwekyo, mu kifo ky’okukola nga Pawulo bwe yali asabye, Katonda yamugamba: “Amaanyi gange gatuukirira mu bunafu.”—2 Abakkolinso 12:8, 9.
Yee, Katonda y’atusinga okumanya ddi lwe kiba ekirungi okutukolera bye tuba tumusabye. Yakuwa buli kimu akikola ku lwa bulungi bwaffe, ng’atuukana n’ebigendererwa bye ebisangibwa mu Baibuli.