LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 2/15 lup. 22-23
  • Abaminsani Bakubirizibwa Okuba nga Yeremiya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abaminsani Bakubirizibwa Okuba nga Yeremiya
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Similar Material
  • Abayizi ba Giriyadi Bakubirizibwa “Okutandika Okusima”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 2/15 lup. 22-23

Olufuluma lw’Abayizi b’Essomero lya Giriyadi Olwa 125

Abaminsani Bakubirizibwa Okuba nga Yeremiya

OW’OLUGANDA Geoffrey Jackson ali ku Kakiiko Akafuzi yagamba nti, “Omugigi guno ogw’Essomero lya Giriyadi gwa byafaayo.” Bino yabyogera eri abantu 6,156 abaaliwo ku lufulumya lw’abayizi ba Giriyadi ab’omugigi ogwa 125, nga Ssebutemba 13, 2008. Essomero lya Giriyadi liweerezza abaminsani abasukka mu 8,000, ng’otwaliddemu n’abo 56 ab’olufuluma luno, mu “bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala!”​—Bik. 1:8, NW.

Ow’oluganda Jackson, eyali ssentebe wa programu, yabuuza, “Munaalaga obwesigwa mu buweereza bwammwe kisikirize abantu okuwuliriza?” Yamenya ebintu bina ebiraga nti omuntu mwesigwa: okuba n’endowooza ennuŋŋamu, okuteekawo ekyokulabirako ekirungi, okwesigamya by’oyigiriza ku Kigambo kya Katonda, n’okunyiikira okumanyisa erinnya lya Katonda.

David Schafer, ali ku Kakiiko Akayigiriza, yawa emboozi eyalina omutwe “Munaategeera Buli Kimu?” Yategeeza abayizi ba Giriyadi abo nti bajja kusobola ‘okutegeera buli kimu’ kye beetaaga mu buweereza bwabwe ng’abaminsani bwe baneeyongera okunoonya Yakuwa n’okuwuliriza ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’​—Nge. 28:5; Mat. 24:45.

Okwo kwaddako John E. Barr, ali ku Kakiiko Akafuzi, n’awa emboozi eyalina omutwe “Temuleka Kintu Kyonna Kubaawukanya ku Kwagala kwa Katonda.” Okubuulirira kw’Ow’oluganda Barr kwayamba nnyo abayizi awamu ne bazadde baabwe okuggwamu okutya olw’ebyo abaminsani abo abapya bye baali bayinza okwolekagana nabyo mu bitundu gye baali basindikiddwa. Yagamba nti “Okubeera mu kwagala kwa Katonda kye kintu ekisingayo okuleetera omuntu obukuumi mu bulamu.” Tewali kintu kiyinza kwawukanya baminsani ku kwagala kwa Katonda, okuggyako nga bo bennyini be beeyawudde ku Katonda.

Sam Roberson ow’omu Kitongole ky’Amasomero g’Omulimu gwa Katonda yakubiriza abawuliriza okwambala “ekyambalo ekisinga ebyambalo byonna.” Okusoma ebyo Yesu bye yayigiriza n’okubikolerako kiyamba abayizi ‘okwambala Mukama waffe Yesu Kristo.’ (Bar. 13:14) Okwo kwaddako William Samuelson, omulabirizi w’Ekitongole ky’Amasomero g’Omulimu gwa Katonda, n’ayogera ku kiki ekifuula omuntu ow’ekitiibwa. Okuba ow’ekitiibwa tekisinziira ku ndaba ya bantu wabula kisinziira ku ndaba ya Katonda.

Michael Burnett, omu ku basomesa, yasaba abayizi okwogera ku birungi bye baali bafunye mu buweereza bw’ennimiro. Wadde ng’ekitundu abayizi abasinga mwe baabuulira nga bali mu Ssomero lya Giriyadi e Patterson mu New York kitera okubuulirwamu, baasanga abantu abaagala okuyiga Baibuli. Gerald Grizzle akola mu Ofiisi Eteekateeka Enkuŋŋaana Ennene yabuuza ebibuuzo ab’oluganda basatu abaali mu Ssomero Eritendeka Abali ku Bukiiko bw’Amatabi. Bye baayogera byayamba nnyo abayizi okumanya ebifa mu bitundu gye baali bagenda okuweereza.

David Splane, ali ku Kakiiko Akafuzi era nga yali mu ssomero eryo mu mugigi ogwa 42, yawa emboozi eyalina omutwe “Beera nga Yeremiya.” Wadde nga Yeremiya yalowooza nti omulimu ogwamuweebwa yali tagusobola, Yakuwa yamugumya. (Yer. 1:7, 8) Katonda ajja kuyamba abaminsani abapya mu ngeri y’emu. Ow’oluganda Splane yagamba nti: “Bw’ofunanga obutategeeragana n’omuntu, tuula wansi owandiike ebintu ebirungi kkumi by’omumanyiko. Bwe bikulema okuweza, kiba kitegeeza nti omuntu oyo tomumanyi bulungi.”

Yeremiya yali muntu eyeefiiriza ennyo ku lw’abalala. Bwe yawulira ng’omulimu ogwamuweebwa ayagala kuguleka, yasaba Yakuwa n’amuyamba. (Yer. 20:11) Ow’oluganda Splane yagamba nti: “Bwe wabangawo ekikumazeemu amaanyi, kibuulire Yakuwa. Ojja kwewuunya engeri Yakuwa gy’ajja okukuyambamu.”

Ku nkomerero ya programu, ssentebe yajjukiza abawuliriza nti abayizi baali bayize ebintu ebiwerako ebijja okubayamba okuba abeesigwa. Bwe banaaba bawa obujulirwa mu bitundu gye basindikiddwa, okulaga nti beesigwa kijja kusikiriza abantu okuwuliriza obubaka bwabwe.​—Is. 43:8-12.

[Akasanduuko akali ku lupapula 22]

EBIKWATA KU BAYIZI

Omuwendo gw’Ensi mwe baava: 6

Omuwendo gw’Ensi mwe baasindikiddwa: 21

Omuwendo gw’abayizi bonna: 56

Okutwalira awamu buli omu ali mu myaka: 32.9

Emyaka gye bamaze mu mazima okutwalira awamu: 17.4

Emyaka gye bamaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna okutwalira awamu: 13

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Abayizi b’Essomero lya Giriyadi ab’Omugigi Ogwa 125

Mu lukalala luno wammanga, amannya agali mu layini eziragiddwa gasengekeddwa okuva ku kkono okudda ku ddyo.

(1) Hodgson, A.; Wall, A.; Beerens, K.; Hortelano, M.; Newman, L.; De Caso, A. (2) Jenkins, J.; Jarzemski, T.; Méndez, N.; Corona, V.; Canalita, L. (3) Fryer, H.; Savage, M.; Tidwell, K.; Erickson, N.; Dyck, E.; McBeath, R. (4) Perez, L.; Puse, L.; Skidmore, A.; Young, B.; McBride, N.; Rondón, P.; Goodman, E. (5) Beerens, M.; Ferguson, J.; Pearson, N.; Chapman, L.; Wardle, J.; Canalita, M. (6) Perez, P.; De Caso, D.; Young, T.; Rondón, D.; Goodman, G.; Jenkins, M.; Dyck, G. (7) Corona, M.; Wall, R.; Puse, S.; Méndez, F.; Jarzemski, S.; Savage, T. (8) Newman, C.; Ferguson, D.; Skidmore, D.; Erickson, T.; McBride, J.; Pearson, M.; Chapman, M. (9) Hodgson, K.; Wardle, A.; McBeath, A.; Tidwell, T.; Fryer, J.; Hortelano, J.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share