LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 4/15 lup. 24-28
  • Okutegeera Obulungi Oyo Asinga Musa Obukulu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okutegeera Obulungi Oyo Asinga Musa Obukulu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Abasajja Abeesigwa Abaasonga ku Kristo
  • Musa​—Yasonga ku Yesu
  • Yesu ne Musa Bye Bafaanaganya
  • Okutegeera Kristo nga Nnabbi
  • Siima Kristo ng’Omutabaganya
  • Siima Kristo ng’Omununuzi
  • Okutegeera Amakubo ga Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Yoleka Okukkiriza ng’Okwa Musa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Musa​—Omusajja Eyalina Okwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Amaaso Go Gatunudde Wa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 4/15 lup. 24-28

Okutegeera Obulungi Oyo Asinga Musa Obukulu

“Mukama Katonda alibayimiririza nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze; oyo mumuwuliranga byonna by’alibagamba.”​—BIK. 3:22.

1. Yesu Kristo yakyusa atya ebyafaayo by’olulyo ly’omuntu?

EMYAKA enkumi bbiri emabega, abasumba baawulira bamalayika mu ggulu nga batendereza Katonda olw’omwana ow’obulenzi eyali azaaliddwa. (Luk. 2:8-14) Nga wayise emyaka 30, omwana oyo eyali akuze yatandika obuweereza bwe obwamala emyaka esatu n’ekitundu gyokka, naye nga bwakyusa ebyafaayo by’olulyo lw’omuntu. Munnabyafaayo ow’omu kyasa 19 ayitibwa Philip Schaff yayogera bw’ati ku Yesu: “Wadde nga teyawandiika kintu kyonna, bangi baamuwandiikako ebitabo, baamwogerako, baasiiga ebifaananyi ebimukwatako, era baayimba ennyimba ezimutendeereza okusinga bwe kyali ku bantu abatutumufu bonna, ng’ogasse abaaliwo edda n’abaliwo kati.”

2. Omutume Yokaana yayogera ki ku Yesu ne ku buweereza Bwe?

2 Omutume Yokaana yawandiika ku buweereza bwa Yesu era yakomekkereza bw’ati: “Waliwo ebirala bingi Yesu bye yakola, nabyo bwe biwandiikibwa kinnakimu ndowooza nti n’ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.” (Yok. 21:25) Yokaana yali akimanyi nti ku bintu Yesu bye yakola ne bye yayogera mu kiseera eky’emyaka esatu n’ekitundu yali asobola kuwandiikako bitono nnyo. Naye era bye yawandiika bya mugaso nnyo.

3. Tuyinza tutya okwongera okutegeera ekifo Yesu ky’alina mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda?

3 Ng’oggyeko ebyo ebiri mu Njiri ennya, waliwo ebirala ebiri mu Baibuli ebikwata ku Yesu ebinyweza okukkiriza kwaffe. Ng’ekyokulabirako, tuyiga bingi ku kifo Yesu ky’alina mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda bwe tusoma ebikwata ku basajja abeesigwa aboogerwako mu Baibuli abaaliwo nga Yesu tannazaalibwa. Ka twetegereze abamu ku bo.

Abasajja Abeesigwa Abaasonga ku Kristo

4, 5. Baani abaasonga ku Yesu, era baakikola mu ngeri ki?

4 Yokaana n’abawandiisi b’Enjiri bali abalala abasatu balaga nti Musa, Dawudi, ne Sulemaani bonna baali basonga ku Yesu ng’oyo Katonda gwe yafukako amafuta, era eyandifuuse Kabaka. Mu ngeri ki abaweereza ba Katonda abo ab’edda gye baasonga ku Yesu, era kiki kye tubayigirako?

5 Baibuli etutegeeza nti Musa yali nnabbi, mutabaganya, era mununuzi. Ne Yesu bw’atyo bw’ali. Dawudi yali musumba era kabaka eyawangula abalabe ba Isiraeri. Yesu naye musumba era kabaka awangula abalabe be bonna. (Ez. 37:24, 25) Ng’akyali mwesigwa, Sulemaani yali mufuzi wa magezi, era mu bufuzi bwe Isiraeri yali mu mirembe. (1 Bassek. 4:25, 29) Yesu naye mugezi nnyo era ayitibwa “Omulangira ow’Emirembe.” (Is. 9:6, NW) Bwe kityo, ebintu Kristo Yesu by’akola mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda bifaananako eby’abasajja abo abeesigwa ab’edda, okuggyako nti ekifo ekikye kyo kya waggulu nnyo. Okusooka, ka tugeraageranye Yesu ne Musa era tulabe engeri kino gye kituyamba okwongera okutegeera ekifo Yesu ky’alina mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda.

Musa​—Yasonga ku Yesu

6. Omutume Peetero yalaga atya obukulu bw’okuwuliriza Yesu?

6 Nga Pentekoote ey’omu 33 Embala Eno (E.E.) yaakaggwa, omutume Peetero yajuliza obunnabbi bwa Musa obwatuukirizibwa mu Yesu Kristo. Peetero yali mu yeekaalu ng’ayogera eri Abayudaaya. Abantu “beewuunya nnyo” nga Peetero ne Yokaana bawonyezza omusajja eyali omulema okuva mu buto, era bonna bajja okulaba ekyali kibaddewo. Peetero yabannyonnyola nti baali basobodde okukola ekyamagero ekyo olw’omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gwe baafuna okuyitira mu Yesu Kristo. Ng’ajuliza mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, yagamba nti: “Musa yagamba nti Mukama Katonda alibayimiririza nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze; oyo mumuwuliranga byonna by’alibagamba.”​—Bik. 3:11, 22, 23; soma Ekyamateeka 18:15, 18, 19.

7. Lwaki abantu abaali bawuliriza Peetero baategeera bulungi bye yayogera ku nnabbi asinga Musa?

7 Abantu abaali bawuliriza Peetero bateekwa okuba nga baali bamanyi bulungi ebigambo bya Musa ebyo. Olw’okuba baali Bayudaaya, baali bakkiririza nnyo mu Musa. (Ma. 34:10) Bwe kityo baali beesunga nnyo okujja kwa nnabbi eyali asinga Musa. Nnabbi oyo teyandibadde bubeezi masiya, omuntu eyafukibwako amafuta nga Musa, wabula yandibadde Masiya, “Kristo wa Katonda, omulonde” wa Yakuwa.​—Luk. 23:35; Beb. 11:26.

Yesu ne Musa Bye Bafaanaganya

8. Bintu ki Musa ne Yesu bye bafaanaganya?

8 Ebintu ebimu ebyaliwo mu bulamu bwa Yesu ku nsi n’obwa Musa bifaanagana. Ng’ekyokulabirako, bombi nga bakyali bato Musa ne Yesu baawona okuttibwa abafuzi ababi. (Kuv. 1:22–2:10; Mat. 2:7-14) Okugatta ku ekyo, bombi ‘baayitibwa okuva e Misiri.’ Nnabbi Koseya agamba nti: “Isiraeri bwe yali omwana omuto, n[n]amwagala, ne mpita omwana wange okuva mu Misiri.” (Kos. 11:1) Kyo kituufu nti Koseya yali ayogera ku kiseera eggwanga lya Isiraeri lwe lyava mu Misiri nga likulembeddwa Musa eyali alondeddwa Katonda. (Kuv. 4:22, 23; 12:29-37) Naye era ebigambo bye byali biraga ekyo ekyali kigenda okubaawo mu kiseera eky’omu maaso. Ebigambo bye eby’obunnabbi byatuukirizibwa Yusufu ne Malyamu bwe baakomawo ne Yesu okuva e Misiri oluvannyuma lw’okufa kwa Kabaka Kerode.​—Mat. 2:15, 19-23.

9. (a) Byamagero ki Musa ne Yesu bye baakola? (b) Bintu ki ebirala Yesu ne Musa bye bafaanaganya? (Laba akasanduuko “Ebintu Ebirala Yesu ne Musa Bye Bafaanaganya,” ku lupapula 26.)

9 Musa ne Yesu baakola ebyamagero, ekyalaga nti bombi baalina obuwagizi bwa Yakuwa. Mu butuufu, Musa ye muntu eyasooka okwogerwako nti yakola ebyamagero. (Kuv. 4:1-9) Ng’ekyokulabirako, Musa yakola ebyamagero ebyali bikwatagana n’amazzi bwe yafuula amazzi g’Omugga Nile omusaayi, bwe yayawulamu Ennyanja Emmyufu, era bwe yaggya amazzi mu lwazi olwali mu ddungu. (Kuv. 7:19-21; 14:21; 17:5-7) Yesu naye yakola ebyamagero ebyali bikwatagana n’amazzi. Ekyamagero kye yasooka okukola kwe kufuula mazzi omwenge ku mbaga. (Yok. 2:1-11) Nga wayise ekiseera, yakkakkanya omuyaga ku Nnyanja y’e Ggaliraaya. Ate omulundi omulala, yatambulira ku mazzi! (Mat. 8:23-27; 14:23-25) Ebintu ebirala Musa by’afaanaganya n’oyo amusinga obukulu, Yesu, biri mu kasanduuko akali ku lupapula 26.

Okutegeera Kristo nga Nnabbi

10. Nnabbi omutuufu y’aluwa, era lwaki Musa yali nnabbi ow’engeri eyo?

10 Abantu abasinga balowooza nti nnabbi ye muntu ayogera ebinaabaawo mu maaso, naye ekyo si kye kyokka nnabbi ky’akola. Nnabbi omutuufu aba mwogezi wa Yakuwa, oyo alangirira ebintu bya ‘Katonda eby’ekitalo.’ (Bik. 2:11, 16, 17) Nnabbi ayinza okulangirira ebinaabaawo mu maaso, okubikkula ebikwata ku kigendererwa kya Yakuwa, oba okulangirira emisango gya Katonda. Musa yali nnabbi ow’engeri eyo. Buli kimu ku Bibonyoobonyo Ekkumi ebyatuuka ku Misiri yakiragulako. Ye yaleeta endagaano y’Amateeka ey’oku Lusozi Sinaayi. Era ye yayigirizanga eggwanga lya Isiraeri okukola Katonda by’ayagala. Kyokka, waaliwo nnabbi asinga Musa obukulu eyali ow’okujja.

11. Mu ngeri ki Yesu gye yali nnabbi asinga Musa obukulu?

11 Mu kyasa ekyasooka, Zaakaliya yakola nga nnabbi bwe yamanyisa abalala ekigendererwa kya Katonda ekikwata ku mutabani we Yokaana. (Luk. 1:76) Omwana oyo ye yali Yokaana Omubatiza, eyalangirira okujja kwa nnabbi eyasuubizibwa eyali asinga Musa obukulu​—Yesu Kristo. (Yok. 1:23-36) Nga nnabbi, Yesu yalagula ku bintu bingi. Ng’ekyokulabirako, yalagula ku kufa kwe bwe yayogera engeri gye yandifuddemu, wa gye yandifiiridde, era n’abo abandimusse. (Mat. 20:17-19) Yesu yeewuunyisa abaali bamuwuliriza bwe yalagula nti Yerusaalemi kyali kigenda kuzikirizibwa awamu ne yeekaalu yaamu. (Mak. 13:1, 2) Obunnabbi bwe bwali buzingiramu n’ebyo ebyandibaddewo mu kiseera kyaffe.​—Mat. 24:3-41.

12. (a) Yesu yatandikawo atya omulimu gw’okubuulira okukolebwa mu nsi yonna? (b) Lwaki tugoberera ekyokulabirako kya Yesu leero?

12 Ng’oggyeko okuba nnabbi, Yesu yali mubuulizi era muyigiriza. Yabuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda, era yayogeza buvumu okusinga omuntu omulala yenna. (Luk. 4:16-21, 43) Ng’omuyigiriza, tewali muntu yenna yamwenkana. Abamu ku baamuwuliriza baagamba nti: “Tewali muntu eyali ayogedde bw’atyo.” (Yok. 7:46) Yesu yabuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu era ekyo kyakubiriza abagoberezi be nabo okukola kye kimu. Bw’atyo, yatandikawo omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza mu nsi yonna, ogukyakolebwa n’okutuusa kati. (Mat. 28:18-20; Bik. 5:42) Omwaka oguwedde, abagoberezi ba Kristo obukadde nga musanvu baamala essaawa nga 1,500,000,000 mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okuyigiriza abantu abaagala amazima ga Baibuli. Ofuba okwenyigira mu mulimu ogwo mu bujjuvu?

13. Kiki ekinaatuyamba ‘okusigala nga tutunula’?

13 Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa yatuukiriza obunnabbi obukwata ku kuyimusaawo nnabbi alinga Musa. Kino okukimanya kikukwatako kitya? Tekikwongera okukakasa nti obunnabbi obukwata ku biseera eby’omu maaso nabwo bujja kutuukirizibwa? Yee, okufumiitiriza ku kyokulabirako ky’oyo asinga Musa obukulu kituyamba ‘okusigala nga tutunula,’ nga tulindirira ebyo Katonda by’anaatera okukola.​—1 Bas. 5:2, 6.

Siima Kristo ng’Omutabaganya

14. Mu ngeri ki Musa gye yali omutabaganya wakati w’Abaisiraeri ne Katonda?

14 Okufaananako Musa, Yesu yali mutabaganya. Musa ye yali omutabaganya w’endagaano y’Amateeka eyakolebwa wakati wa Yakuwa n’eggwanga lya Isiraeri. Singa abaana ba Yakobo baali bagondedde amateeka ga Katonda ago, bandisigadde nga kintu kya Katonda ekiganzi, ekibiina kye. (Kuv. 19:3-8) Endagaano eyo yakola okuva mu 1513 ng’Embala Eno Tennatandika (E.E.T.) okutuuka mu kyasa ekyasooka E.E.

15. Mu ngeri ki Yesu gy’ali omutabaganya asinga obukulu?

15 Mu 33 E.E., Yakuwa yakola endagaano esingako awo ne “Isiraeri wa Katonda,” eyafuuka ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta ekiri mu nsi yonna. (Bag. 6:16) Wadde nga mu ndagaano Musa gye yatabaganya amateeka agamu Katonda yagawandiika ku mayinja, endagaano Yesu gye yatabaganya egisingira wala. Amateeka gaayo Katonda agawandiika ku mitima gya bantu. (Soma 1 Timoseewo 2:5; Abaebbulaniya 8:10.) Bwe kityo, “Isiraeri wa Katonda” kati kye kintu kya Katonda ekiganzi, “eggwanga eribala ebibala” eby’Obwakabaka bwa Masiya. (Mat. 21:43) Abo abali mu ggwanga eryo ery’omwoyo be bali mu ndagaano eyo empya. Kyokka si be bagiganyulwamu bokka. Abantu abalala bangi, omuli n’abo abaafa, bajja kufuna emikisa egy’olubeerera okuyitira mu ndagaano eyo.

Siima Kristo ng’Omununuzi

16. (a) Yakuwa yakozesa atya Musa okununula Isiraeri? (b) Okusinziira ku Okuva 14:13, ani Nsibuko y’obulokozi?

16 Mu kiro ekyasembayo balyoke bave e Misiri, abamu ku baana b’Abaisiraeri baali mu kabi ka maanyi. Malayika wa Katonda yali agenda kuyita mu nsi y’e Misiri atte abaana bonna abaggulanda. Yakuwa yagamba Musa nti abaggulanda b’Abaisiraeri bandiwonyeewo bwe bandimansidde omusaayi gw’endiga ku mifuubeeto gy’enzigi zaabwe. (Kuv. 12:1-13, 21-23) Era bwe batyo bwe baakola. Ate oluvannyuma, eggwanga lyonna lyesanga mu kabi ak’amaanyi. Gye baali balaga waaliyo Ennyanja Emmyufu ate ng’emabega eggye ly’Abamisiri libawondera. Yakuwa era yabanunula okuyitira mu Musa ng’ayawulamu amazzi g’ennyanja mu ngeri ey’ekyamagero.​—Kuv. 14:13, 21.

17, 18. Mu ngeri ki Yesu gy’ali omununuzi asinga Musa?

17 Wadde ng’ebikolwa ebyo eby’okununula Yakuwa bye yakola byali bya maanyi nnyo, ebyo by’akola okuyitira mu Yesu bibisingira wala. Okuyitira mu Yesu abantu abawulize banunulibwa okuva mu buddu bw’ekibi. (Bar. 5:12, 18) Ate okununulibwa okwo ‘kwa lubeerera.’ (Beb. 9:11, 12, NW) Erinnya Yesu litegeeza “Yakuwa bwe Bulokozi.” Yesu, ng’Omununuzi waffe, oba Omulokozi waffe, takoma ku kutununula kuva mu bibi bye twakola, naye era atuggulirawo ekkubo ery’okuba n’ebiseera eby’omu maaso eby’essanyu. Mu kununula abagoberezi be okuva mu buddu bw’ekibi, Yesu aba abawonya obusungu bwa Katonda era n’abasobozesa okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa.​—Mat. 1:21.

18 Okununulibwa okuva mu kibi kwe tujja okufuna okuyitira mu Yesu kujja kumalawo byonna ebyava mu kibi​—obulwadde n’okufa. Kino okusobola okukitegeera obulungi, lowooza ku ekyo ekyaliwo Yesu bwe yagenda mu maka g’omusajja eyali ayitibwa Yayiro eyali afiiriddwa muwala we ow’emyaka 12. Yesu yakakasa Yayiro nti: “Totya: kkiriza bukkiriza, anaaba mulamu.” (Luk. 8:41, 42, 49, 50) Ebigambo bye byatuukirira kubanga omuwala oyo yazuukira! Osobola okuteeberezaamu essanyu bazadde be lye baawulira? Bwe kiba bwe kityo, osobola okutegeera essanyu lye tuliba nalyo nga ‘bonna abali mu ntaana bawulidde eddoboozi lya Yesu ne bavaamu.’ (Yok. 5:28, 29) Mazima ddala, Yesu Mulokozi era Omununuzi waffe!​—Soma Ebikolwa 5:31; Tito 1:4; Kub. 7:10.

19, 20. (a) Okufumiitiriza ku kifo kya Yesu ng’oyo asinga Musa obukulu kikukwatako kitya? (b) Kiki kye tujja okwetegereza mu kitundu ekiddako?

19 Okukimanya nti tusobola okuyamba abantu okuganyulwa mu bikolwa bya Yesu eby’obulokozi kitukubiriza okwenyigira ennyo mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza. (Is. 61:1-3) Okugatta ku ekyo, okufumiitiriza ku kifo kya Yesu ng’oyo asinga Musa obukulu kyongera okutukakasa nti ajja kununula abagoberezi be bw’anaaba azikiriza ababi.​—Mat. 25:31-34, 41, 46; Kub. 7:9, 14.

20 Yee, Yesu y’oyo asinga Musa obukulu. Yakola ebintu bingi Musa bye yali tasobola kukola. Ebyo Yesu bye yayogera nga nnabbi n’ebyo bye byakola ng’omutabaganya bikwata ku lulyo lw’omuntu lyonna. Ng’Omununuzi, obulokozi Yesu bw’atuwa bwa mirembe na mirembe. Kyokka, abasajja ab’edda balina ebirala bingi bye batuyigiriza ku Yesu. Ekitundu ekiddako kijja kutulaga engeri gye yali asinga Dawudi ne Sulemaani obukulu.

Osobola Okunnyonnyola?

Mu ngeri ki Yesu gy’asinga Musa obukulu nga

• nnabbi?

• omutabaganya?

• omununuzi?

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

EBINTU EBIRALA Yesu ne Musa Bye Bafaanaganya

◻ Bombi baaleka ebifo ebya waggulu okusobola okuweereza Yakuwa awamu n’abantu baabwe.​—2 Kol. 8:9; Baf. 2:5-8; Beb. 11:24-26.

◻ Bombi baaweereza ng’abaafukibwako amafuta, oba ‘bakristo.’​—Mak. 14:61, 62; Yok. 4:25, 26; Beb. 11:26.

◻ Bombi bajjira mu linnya lya Yakuwa.​—Kuv. 3:13-16; Yok. 5:43; 17:4, 6, 26.

◻ Bombi baayoleka obuwombeefu.​—Kubal. 12:3; Mat. 11:28-30.

◻ Bombi baaliisa ebibiina.​—Kuv. 16:12; Yok. 6:48-51.

◻ Bombi baaweereza ng’abalamuzi era abawi b’amateeka.​—Kuv. 18:13; Mal. 4:4; Yok. 5:22, 23; 15:10.

◻ Bombi baakwasibwa obuvunaanyizibwa okukulembera ennyumba ya Katonda.​—Kubal. 12:7; Beb. 3:2-6.

◻ Bombi boogerwako ng’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa.​—Beb. 11:24-29; 12:1; Kub. 1:5.

◻ Musa ne Yesu bombi bwe baafa, Katonda yabuzaawo emibiri gyabwe.​—Ma. 34:5, 6; Luk. 24:1-3; Bik. 2:31; 1 Kol. 15:50; Yuda 9.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share