LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 7/1 lup. 20-22
  • Okuyamba Abatiini Okufuuka Abantu Abakulu ab’Obuvunaanyizibwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuyamba Abatiini Okufuuka Abantu Abakulu ab’Obuvunaanyizibwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekiseera kya Kabuvubuka Kikulu Nnyo mu Kukula kw’Omuntu
  • Ebisobola Okukuyamba
  • Okwogera n’Abatiini
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Yamba Abaana Bo Abatiini Okuweereza Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Mu Maka Mulimu Omujeemu?
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
  • Yamba Omwana Wo Avubuse Okukula Obulungi
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 7/1 lup. 20-22

Engeri y’Okufuna Essanyu mu Maka

Okuyamba Abatiini Okufuuka Abantu Abakulu ab’Obuvunaanyizibwa

“Nnanyumirwanga nnyo okwogera ne batabani bange. Baawulirizanga ebyo bye nnabagambanga, era nga babikolerako mu bwangu. Naye kati olw’okuba bali mu myaka egy’obutiini, tebakyakkiriziganya nange mu buli kye mbagamba. Tebakyayagala bya mwoyo. Batubuuza nti: ‘Ddala kitwetaagisa okwogera ebikwata ku Baibuli?’ Batabani bange bwe baali nga tebannatuuka mu myaka egy’obutiini, nnali sikirowoozangako nti embeera eyo eyinza okubaawo mu maka gange​​—⁠wadde nga nnagirabanga mu maka amalala.”​—Reggie.a

OLINA omwana ali mu myaka egy’obutiini? Bwe kiba bwe kityo, oteekwa okuba ng’olaba enkyukakyuka ez’amaanyi omwana wo z’ayitamu ng’agenda akula. Era kino kiyinza okuba nga kye kimu ku bintu ebikweraliikiriza ennyo. Abaana bo batera okweyisa mu ngeri nga zino eziragiddwa wammanga?

▪ Omwana wo bwe yali ng’akyali muto, yali ng’eryato erisibiddwa ku nkondo​—nga ye ggwe. Naye kati bw’atuuse mu myaka egy’obutiini okiraba nti ayagala okukwettakuluzaako.

▪ Muwala wo bwe yali akyali muto, yakubuuliranga buli kimu. Naye kati bw’atuuse mu myaka egy’obutiini yeemalira nnyo ku mikwano gye era muli owulira nti takyakuliko.

Bwe kiba nti omwana wo yeeyisa bw’atyo, toyanguyiriza kugamba nti afuuse kyewaggula era nti tasobola kukyuka. Kati olwo kiki ekimutuuseeko? Okuddamu ekibuuzo ekyo, ka twekenneenye engeri ekiseera ekya kabuvubuka gye kiri ekikulu ennyo mu kukula kw’omwana wo.

Ekiseera kya Kabuvubuka Kikulu Nnyo mu Kukula kw’Omuntu

Okuviira ddala ng’omwana yakazaalibwa waliwo ebintu bingi ebibaawo mu bulamu bwe omulundi ogusookera ddala, gamba ng’okutandika okutambula, okutandika okwogera, okutandika okugenda ku ssomero n’ebirala bingi. Abazadde basanyuka nnyo bwe balaba omwana waabwe ng’atandise okukola ebintu ebyo. Ebyo byonna biraga nti omwana waabwe atandise okukula.

Emyaka egya kabuvubuka nagyo giraga nti omuntu agenda akula​​—⁠wadde ng’ekiseera ekyo kiyinza okuba ekizibu ennyo eri abazadde abamu. Kitegeerekeka bulungi abazadde bwe bawulira obubi olw’omwana waabwe abadde omuwulize bw’aba nga kati takyabagondera. Wadde kiri kityo, emyaka gya kabuvubuka kiba kiseera kikulu nnyo mu kukula kw’omuntu. Mu ngeri ki?

Baibuli egamba nti ekiseera kituuka ‘omusajja n’aleka kitaawe ne nnyina.’ (Olubereberye 2:​24) Emyaka gya kabuvubuka giyamba omuntu okwetegekera ekiseera ekyo eky’essanyu ate nga kya nnaku. Mu kiseera ekyo, omwana wo asobola okwogera ng’omutume Pawulo eyagamba nti: “Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng’omuto, nnalowoozanga ng’omuto, nnategeeranga ng’omuto; naye olw’okuba kaakano nkuze, ndeseeyo engeri z’ekito.”​—1 Abakkolinso 13:⁠11.

Awatali kubuusabuusa, ekyo omwana wo ky’akola kati ng’ali mu myaka egy’obutiini​​—⁠alekayo okweyisa ng’omwana omuto era nnatandika okuyiga okweyisa ng’omuntu omukulu ow’obuvunaanyizibwa eyeetongodde era atuuse okuva awaka. Mu butuufu, ekitabo ekimu kyogera ku myaka gya kabuvubuka ng’ekiseera omwana mwe yeetegekera okuva ku bazadde be.

Mu butuufu, eky’okuba nti omwana wo yeetegekera okuva awaka kiyinza okukuleetera okwebuuza ebibuuzo nga bino:

▪ “Bwe kiba nti mutabani wange tasobola kuyonja kisenge kye, anaasobola atya okulabirira ennyumba eyiye ku bubwe?”

▪ “Bwe kiba nti muwala wange tasobola kukuuma biseera bye nnamuteerawo okuddiirangako awaka, anaasobola atya okukuuma omulimu gwe?”

Bwe kiba nti bino bye bikweraliikiriza, jjukira kino: Kyetaagisa ekiseera kiwanvu omwana okuyiga okwemalirira. Okusinziira ku ebyo by’olaba, kati okitegeera bulungi nti “obusirusiru busibibwa mu mutima gw’omwana omuto.”​—Engero 22:⁠15.

Wadde kiri kityo, omwana wo bw’onoomuwa obulagirizi obulungi ayinza okuva mu kiseera ekya kabuvubuka n’afuuka omuntu omukulu ow’obuvunaanyizibwa ‘akozesa obusobozi bwe obw’okutegeera na butendeka okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.’​—Abaebbulaniya 5:​14.

Ebisobola Okukuyamba

Bw’oba ow’okuyamba omwana wo okufuuka omuntu omukulu ow’obuvunaanyizibwa olina okumuyamba ‘okukozesa amagezi ge’ asobole okwesalirawo obulungi ku lulwe.b (Abaruumi 12:​1, 2) Emisingi gya Baibuli gino wammanga gijja kukuyamba okukola ekyo.

Abafiripi 4:5: “Obutali bukakanyavu bwammwe bweyoleke eri abantu bonna.” Oboolyawo, omwana wo omutiini akusaba okudda awaka ng’obudde bususse ku bwa bulijjo. Amangu ago ogaanirawo ekyo ky’akusabye. Omwana wo yeemulugunya nti, “Ompisiza ddala ng’akaana akato!” Nga tonnamwanukula nti, “Bw’otyo bw’oli,” Lowooza ku bino: Abatiini batera okwagala okuweebwa eddembe eriyitiridde, naye bo abazadde bayinza okubawa eddembe ttono nnyo n’okusinga ku eryo lye basaanidde okubawa. Kyandiba nti kikwetaagisa okugenda ng’oyongera ku ddembe ly’owa omwana wo buli luvannyuma lwa kiseera? Lwaki teweeteeka mu bigere by’omwana wo?

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Baako w’owandiika ekintu kimu oba bibiri mwoyinza okuweera omwana wo omutiini eddembe erisingawoko. Munnyonnyole nti omuwadde eddembe eryo okulaba oba ng’anaalikozesa bulungi. Bw’alikozesa obulungi, oyinza okugenda ng’oyongera ku ddembe ly’omuwa. Naye bw’atalikozesa bulungi eddembe erimuweereddwa liyinza okumuggibwako.​—Matayo 25:⁠21.

Abakkolosaayi 3:​21: “Bataata, temunyiizanga baana bammwe, baleme okuggwaamu amaanyi.” Abazadde abamu bakugira nnyo abaana baabwe. Okusobola okutegeera mikwano gy’abaana baabwe era n’ebyo bye bakola, abazadde abo babakugira okuva awaka. Babalondera emikwano era bebbirira ne bawuliriza bye boogera ku ssimu. Naye bino tebivaamu kalungi konna. Okubakugira okuva awaka kiyinza okubaleetera okwagala okutoloka; okuvumirira ennyo mikwano gyabwe kiyinza okubaleetera okubaagalira ddala; okuwuliriza bye boogera ku ssimu kiyinza okubaleetera okutandika okwogera nabo mu bubba. Gy’okoma okubakugira ennyo, gy’okoma okulemererwa. Omwana wo omutiini bw’atayiga kwesalirawo ng’akyali waka, anaasobola atya okwesalirawo ng’avuddewo?

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Bw’onooba ozzeemu okwogera n’omwana wo ku nsonga emu enkulu, muyambe okulowooza ku ebyo ebiyinza okuva mu kusalawo kwe. Ng’ekyokulabirako, mu kifo ky’okuvumirira mikwano gye, mubuuze ebibuuzo nga bino: “Watya singa [erinnya] akwatibwa ng’amenye etteeka? Abantu banaakutwala batya?” Yamba omwana wo omutiini okulaba engeri ebyo by’asalawo okukola gye biyinza okumusobozesa okuba n’erinnya eddungi oba okulyonoona.​—Engero 11:​17, 22; 20:⁠11.

Abeefeso 6:4: “Temunyiizanga baana bammwe, naye mubakuze mu kukangavvula kwa Yakuwa era mubateekemu endowooza ye.” Ebigambo “mu kukangavvula” birimu amakulu agasingawo ku kubuulira obubuulizi omwana ekituufu. Kitegeeza okubuulirira omwana n’ategeera bulungi obukulu bw’okweyisa obulungi. Kino kikulu nnyo naddala omwana wo bw’atuuka mu myaka egya kabuvubuka. Omuzadde omu ayitibwa Andre agamba nti, “omwana wo gy’akoma okweyongera okukula, gy’okoma okweyongera okukyusakyusa mu ngeri gy’oyogeramu naye era n’engeri gy’okubaganyaamu naye ebirowoozo.”​—2 Timoseewo 3:​14.

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Bwe wabaawo ensonga yonna eba ezzeewo, buuza omwana wo amagezi ge yandikuwadde singa ye y’abadde omuzadde. Oyinza okumuleka anoonyereze ensonga z’ayinza okukozesa okuwagira endowooza ye. Muddemu okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eyo mu wiiki eyo yennyini.

Abaggalatiya 6:7: “Ekintu kyonna omuntu ky’asiga era ky’alikungula.” Ebibonerezo nabyo biyinza okuyigiriza omwana​​—⁠oboolyawo ayinza okugambibwa okugenda mu kisenge kye oba okugaanibwa okukola ekintu ky’ayagala ennyo. Omwana wo bw’aba ng’ali mu myaka egya kabuvubuka, kyandibadde kirungi n’olowooza nnyo ku ebyo ebiyinza okuvaamu.​—Engero 6:​27.

GEZAAKO OKUKOLA BW’OTI: Tomununula ng’omusasulira amabanja ge oba okumuwolereza eri omusomesa we olw’okugwa ebigezo. Muleke ayolekagane n’ebyo ebivaamu, ajja kufuna eky’okuyiga eky’amaanyi.

Ng’omuzadde, kirabika nga wandyagadde omwana wo aleme kukaluubirirwa ekiseera ekya kabuvubuka era akule mangu afuuke omuntu ow’obuvunaanyizibwa. Naye, si bwe kitera okuba. Wadde kiri kityo, omwana wo bw’abeera mu kiseera ekya kabuvubuka kikuwa akakisa ‘okumutendeka mu ngeri gy’agwanidde okutambulamu.’ (Engero 22:⁠6) Emisingi gya Baibuli gye gisobozesa amaka okubaamu essanyu.

[Obugambo obuli wansi]

a Erinnya likyusiddwa.

b Wadde nga tujja kuba twogera ku mwana mulenzi, emisingi eginaayogerwako gikwata ku baana bombi, omulenzi n’omuwala.

WEEBUUZE . . .

Omwana wange omutiini w’anaaviira awaka, anaaba asobola okukola ebintu bino?

▪ okuba n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo

▪ okusalawo obulungi

▪ okwogera obulungi n’abalala

▪ okwerabirira

▪ okukozesa obulungi ssente ze

▪ okuyonja n’okulabirira obulungi ennyumba ye

▪ okwekubiriza

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Bwe kiba nti omwana wo omutiini alaze nti muntu wa buvunaanyizibwa, oyinza okwongera ku ddembe ly’omuwa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share