LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 7/1 lup. 13-15
  • Nfunye Essanyu Wadde nga Ndi Mulema

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Nfunye Essanyu Wadde nga Ndi Mulema
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Nnatandika Okwennyamira
  • Embeera Yange Yagenda Erongooka
  • Omulimu Omuggya
  • Nnina Amaanyi Wadde nga Ndi Mulwadde
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Kati Nsobola Okuyamba Abalala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 7/1 lup. 13-15

Nfunye Essanyu Wadde nga Ndi Mulema

Byayogerwa Paulette Gaspar

Wadde nga nnazaalibwa mpeza kilo ssatu, omusawo yakimanya nti nnalina ekizibu eky’amaanyi ku bulamu bwange. Nnazaalibwa, ng’agamu ku magumba gange mamenyefu. Nnina obulwadde bw’amagumba obuyitibwa osteogenesis imperfecta. Amangu ddala nga nnakazaalibwa bantwala okunnongoosa, naye abasawo baali tebasuubira nti nsobola okuwona. Baali balowooza nti sijja kusukka ssaawa 24 nga sinnafa.

NNAZAALIBWA nga Jjuuni 14, 1972, mu kibuga kya Australia ekikulu ekiyitibwa Canberra. Wadde nga kyali kisuubirwa nti nnyinza okufa, nnasobola okumalako olunaku olusooka. Naye ate oluvannyuma nnafuna obulwadde bw’amawuggwe obuyitibwa pneumonia. Olw’okuba abasawo baali balowooza nti nnyinza okufa, tebampa bujjanjabi bwonna naye era ssaafa.

Nkubamu akafaananyi ku ngeri ekiseera ekyo gye kyali ekizibu ennyo eri bazadde bange. Olw’okuba nnali sisuubirwa kuwona, abasawo baakuutira bazadde bange obutassaawo nkolagana ya ku lusegere nnyo nange. Mu butuufu, mu myezi essatu egyasooka nga ndi mu ddwaliro, bazadde bange baali tebakkirizibwa na kunkwatako. Kyali kyangu nnyo amagumba gange okweyongera okumenyeka nga waliwo ankutteko. Abasawo bwe baakitegeera nti nsobola okuwona, baawa bazadde bange amagezi bantwale mu kifo awalabirirwa abaana abalema.

Kyokka, bo bazadde bange baasalawo okuntwala eka. Kyali bwe kityo, kubanga maama wange yali atandise okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Bye yali ayize byamusobozesa okukitegeera nti y’alina okundabirira. Naye kiteekwa okuba nga tekyamwanguyira kussaawo nkolagana ey’oku lusegere nange, okuva bwe kiri nti yalinanga bingi eby’okukola okusobola okundabirira, era emirundi mingi nnatwalibwanga mu ddwaliro. Okunaazibwa obunaazibwa n’okwasimula obwasimuzi kyali kisobola okuviirako amagumba gange okumenyeka.

Nnatandika Okwennyamira

Bwe nnakula, buli kiseera nnabeeranga mu kagaali k’abalema. Nnali sisobola kutambula. Wadde nga nnali mu mbeera eyo, bazadde bange bandabiriranga bulungi.

Okugatta ku ekyo, maama wange yafubanga nnyo okunjigiriza amazima ga Baibuli agabudaabuda. Ng’ekyokulabirako, yanjigiriza nti mu biseera eby’omu maaso, Katonda ajja kufuula ensi yonna olusuku lwe abantu mwe bajja okweyagalira nga balamu bulungi mu by’omwoyo, mu birowoozo, ne mu mubiri. (Zabbuli 37:​10, 11; Isaaya 33:24) Wadde kyali kityo, maama wange yaŋŋamba kaati nti yali tasuubira nti nsobola okubeera mu bulamu obweyagaza okutuusizza ddala ng’ekiseera ekyo kituuse.

Nnasooka kusomera mu ssomero ly’abalema. Abasomesa bange tebanteerawo kiruubirirwa kyonna, era nange ne sseteerawo kiruubirirwa kyonna mu bulamu bwange. Mu butuufu, nnaazibuwalirwa nnyo okusomera mu ssomero eryo. Abaana bangi mu ssomero eryo bampisanga bubi. Oluvannyuma, nnagenda mu ssomero eritali lya balema. Kyaneetaagisa okufuba ennyo okusobola okuyiga okukolagana n’abaana abalala. Wadde kyali kityo, nnali mumalirivu okumalako omusomo gwange ogw’emyaka 12.

Naddala bwe nnatuuka mu siniya, nnalowooza ku ngeri obulamu bwa bayizi bannange gye butaalina kigendererwa n’akamu. Era nnalowooza ne ku ebyo maama wange bye yali anjigiriza okuva mu Baibuli. Nnali nkimanyi bulungi nti ebyo bye yanjigiriza ge gaali amazima. Naye mu kiseera ekyo, byali tebintuukanga ku mutima. Okumala akabanga, nnagezzaako okufuna ebintu ebiyinza okunsanyusa nga seefiirayo ku biseera bya mu maaso.

Bwe nnaweza emyaka 18 egy’obukulu, nnava mu maka g’abazadde bange ne ntandika okubeera awamu n’abantu abalala abalema. Kino kyansanyusa nnyo ate ku luuyi olulala kyaneeraliikiriza. Okuva mu maka g’abazadde bange era n’okubeera awamu n’emikwano gyange kyansanyusa nnyo. Bangi ku mikwano gyange baafumbirwa. Nange muli nnawulira nga njagala kufumbirwa. Naye, olw’obulema bwange, nnalaba nga sisobola kufuna ampasa. Kino kyanakuwaza nnyo.

Naye, ssaanenya Katonda olw’embeera yange. Nnali njize bingi ebikwata ku Katonda era nga kimanyi nti tasobola kukola kintu kyonna ekitali kya bwenkanya. (Yobu 34:10) Nnagezzaako okuggumira embeera y’obulamu bwange, wadde ng’oluusi nnennyamiranga.

Embeera Yange Yagenda Erongooka

Ekirungi kiri nti maama wange yategeera embeera gye nnalimu era nnatuukirira omu ku bakadde mu kibiina eyali abeera okumpi ne waffe. Yankubira essimu n’ansaba mbeerewo mu nkuŋŋaana z’ekibiina mu Kizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa ekiri mu kitundu kyaffe. Okugatta ku ekyo, muganda waffe omu okuva mu kibiina ekyo yatandika okuyiga nange Baibuli buli wiiki.

Bwe nnajjukizibwa amazima ga Baibuli maama wange ge yali anjigiriza emabegako, nnatandika okutunuulira obulamu mu ngeri ey’enjawulo. Nnanyumirwanga nnyo okubeera awamu ne Bakristaayo bannange. Naye, nnewalanga nnyo okwogera ku mbeera yange kubanga nnali ntya nti kisobola okunviirako okukosebwa mu nneewulira zange. Ndowooza kino kye kyanamesa okuba n’okwagala okw’amaanyi eri Katonda. Wadde kyali kityo, nnali nkimanyi nti okuwaayo obulamu bwange eri Katonda kye kintu ekituufu okukola. N’olwekyo, mu Ddesemba 1991, nneewaayo eri Katonda era ne mbatizibwa.

Nnava mu nnyumba gye nnali mbeeramu n’emikwano gyange abalema ne ntandika okubeera nzekka. Enkyukakyuka eno yavaamu emiganyulo era n’ebizibu. Ng’ekyokulabirako, nnawuubaalanga nnyo. Era nnali ntya nti wayinza okubaawo abasajja abannyingirira. Mu bbanga ttono nnaddamu okwennyamira. Wadde nga nnassangako akamwenyumwenyu, muli ssaalinga musanyufu. Nnali njagala nnyo okufuna ow’omukwano omulungi.

Muli mpulira nti Yakuwa Katonda yansobozesa okufuna ow’omukwano yennyini gwe nnali nneetaaga. Abakadde mu kibiina kyange baakola enteekateeka ne nneeyongera okusoma Baibuli ne Suzie, omukyala Omujulirwa wa Yakuwa omufumbo. Suzie teyali bubeezi musomesa wange, naye yafuuka mukwano gwange ow’oku lusegere era gwe njagala ennyo.

Suzie yantendeka okubuulira abalala nnyumba ku nnyumba n’okubuulira embagirawo. Mu kiseera ekyo, nnatandika okutegeera obulungi engeri za Katonda. Kyokka, wadde nga nnali mmaze okubatizibwa, nnali sifunanga kwagala kwa maanyi eri Katonda. Lumu, nnalowooza ne ku ky’okulekerawo okumuweereza. Embeera eno nnagitegezaako Suzie, era n’annyamba okugiyitamu.

Suzie era yannyamba okukitegeera nti obutaba musanyufu kyali kisinga kuva ku kukolagana n’abantu abaali bataagala nnyo Yakuwa. N’olwekyo, nnatandika okukola emikwano n’abantu abakulu mu by’omwoyo​​—⁠naddala abo abakulu mu myaka. Era enkolagana yange ne maama awamu ne mwannyinaze yali eyonoonese; naye nnatandika okugizzaawo. Kyanneewuunyisa okufuna essanyu lye nnali sifunangako. Ab’oluganda mu kibiina, ab’omu maka gange, n’okusingira ddala Yakuwa, bannyamba okufuna essanyu era banzizaamu nnyo amaanyi.​—Zabbuli 28:⁠7.

Omulimu Omuggya

Bwe nnava mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwalimu emboozi eyali ekwata ku ssanyu erifunibwa Abakristaayo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, nnalowooza nti, ‘Nange ekyo nsobola okukikola!’ Kya lwatu, kino nnakiraba nga kyali tekijja kuba kyangu gye ndi. Naye, oluvannyuma lw’okulowooza ennyo ku nsonga eno era n’okusaba Yakuwa annyambe, nnasalawo okuwaayo okusaba kwange okw’okuweereza ng’omubuulizi ow’ekiseera kyonna, era mu Apuli 1998, nnatandika okukola omulimu ogwo.

Kiki ekinsobozesa okubuulira ng’ate ndi mulema? Ndi muntu ayagala ennyo okwemalirira era ssaagala kukaluubiriza bantu nga mbasaba okuntwalako oba okumpa obuyambi obulala bwonna. N’olwekyo, Suzie ne baawe, Michael, bampa amagezi nti nguleyo kapikipiki. Naye nnandisobodde ntya okukavuga? Nga bw’olaba mu kifaananyi, kapikipiki ako baakakolera nze nzekka. Wadde nga mpeza kilo 19 zokka sisobola na kwesitula kukavaamu!

Kapikipiki kange ako ak’enjawulo kansobozesa okukyalira abantu era ne njiga nabo Baibuli mu biseera ebitwanguyira. Awatali kubuusabuusa, nnyumirwa nnyo okuvuga kapikipiki kange ako​—kye kimu ku bindeetera essanyu mu bulamu bwange!

Nnyumirwa okubuulira embagirawo abantu be nsanga ku nguudo, era ng’okutwalira awamu, abantu abo baba bawombeefu era banzisaamu ekitiibwa. Kinsanyusa nnyo okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Baibuli. Mpulira essanyu bwe nzijukira ekiseera bwe nnali nga mbuulira nnyumba ku nnyumba nga ndi wamu ne mwannyinaze omu omuwanvu. Yabuuza nnyinimu, naye nnyinimu mu kifo ky’okumuddamu yeewuunya bwewuunya ng’andabye era n’amubuuza nti, “Oyo asobola okwogera?” Ffembi twatulika butulisi ne tuseka. Bwe nnamala okumubuulira, awo omukyala n’alyoka akitegeerera ddala nti nsobola okwogera!

Kati nnyumirwa nnyo obulamu era njize okwagala Yakuwa Katonda. Nneebaza nnyo maama wange olw’okunjigiriza amazima ga Baibuli, era nneesunga nnyo ekiseera ekinaatera okutuuka Katonda ‘lw’annazza ebintu byonna obuggya’ nga mw’otwalidde n’omubiri gwange omutono.​—Okubikkulirwa 21:​4, 5.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 14]

“Nnagezaako okuggumira embeera y’obulamu bwange, wadde ng’oluusi nneennyamiranga.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share