Ndi Musanyufu Wadde nga Nfunye Ebizibu—Baibuli y’Ennyambye
Byayogerwa Enrique Caravaca Acosta
Nga Apuli 15, 1971, nnagenda okukyalira ab’eŋŋanda zange abaali babeera mu faamu yaffe. Olw’okuba nnali mazze bbanga ddene nga nvudde awaka, nnali nneesunga nnyo okubalaba bonna. Muli nnali nneebuuza obanga bonna nnandibasanzeewo awaka era n’ani ku bo gwe nnandisoose okulaba. Ng’atuuse awaka, n’afuna ekikangabwa bwe nnasanga abantu bana nga batemuddwa nga mw’otwalidde ne maama wange!
NNAFUNA ekikangabwa kya maanyi nnyo. Kiki ekyali kibaddewo? Kiki kye nnandikoze? Tewaaliwo muntu yenna awaka era nnawulira nga nsobeddwa. Nga si nnababuulira ebyaddirira, ka nsooke mbabuulire ebimu ku ebyo ebinkwatako. Awo mujja kutegeera bulungi engeri ekikangabwa kino gye kyampisaamu awamu n’ebizibu ebirala bye nnafuna mu bulamu.
Twazuula Amazima
Nnazaalibwa mu Quirimán, okumpi n’ekibuga Nicoya eky’omu Costa Rica. Mu 1953, bwe nnali nga mpeza emyaka 37 egy’obukulu, nnali mbeera ne bazadde bange mu faamu yaffe. Wadde nga twali Bakatuliki, tetwali bamativu n’enjigiriza ezimu ez’eddiini eyo era waaliwo ebibuuzo bingi bye twali twebuuza.
Lwali lumu ku makya, omusajja ayitibwa Anatolio Alfaro n’ajja awaka era n’atukubiriza okuyiga Baibuli. Yatusomera ebyawandiikibwa bingi era ne tukubaganya ebirowoozo ku njigiriza za Baibuli ezitali zimu. Taata ne maama, omu ku baganda bange, mwannyinaze ne mukwano gwe eyali abeera naffe, ffenna twatuula ne tuwuliriza. Twakubaganya naye ebirowoozo olunaku lwonna okutuukira ddala mu matumbi budde. Mu butuufu, twalina ebibuuzo bingi.
Ku olwo, Anatolio yasula era ne tusiiba naye enkeera. Twasiima nnyo ebyo bye yatuyigiriza era twasanyuka nnyo olw’okuba ebibuuzo byaffe byali biddiddwamu butereevu okuva mu Baibuli. Bye twakubaganyaako ebirowoozo byatukwatako nnyo. Twalowooza ku ebyo bye twali tuyize, era ne tukimanya nti twali tuzudde amazima. Anatolio yatulekera magazini awamu n’ebitabo ebirala ebinnyonnyola Baibuli. Mu biseera eby’akawungeezi, twasomeranga wamu ebitabo bino ng’amaka. Naye kino tekyali kyangu okuva bwe kiri nti tetwalina masannyalaze. Bwe twabanga tetunnatandika kuyiga, buli omu ku ffe yaddiranga ekutiya ya lumonde ne yeebikka ebigere aleme okulumwa ensiri.
Oluvannyuma lw’emyezi mukaaga, bataano ku ffe twabatizibwa nga mw’otwalidde ne bazadde bange. Kino kyatusanyusa nnyo era ne tutandika okubuulira abalala bye twali tuyize nga tuva nnyumba ku nnyumba. Twatambuzanga bigere okumala essaawa bbiri era oluusi twakozesanga mbalaasi okugenda mu kibuga ekiyitibwa Carrillo okusobola okukuŋŋaana awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa abaali babeera mu kitundu ekyo. Anatolio yeeyongera okujja awaka okutuyigiriza Baibuli. Ekiseera kyatuuka ne tutandika okukuŋŋaanira awaka era olukuŋŋaana olwo lwabeerangamu abantu nga munaana. Abantu abo bonna oluvannyuma baabatizibwa. Mu bbanga ttono, ekibinja ekyo kyakula ne kifuuka ekibiina ekitonotono eky’abantu nga 20.
Okukola Omulimu gwa Katonda Ekiseera Kyonna
Ekiseera kyatuuka, ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa ery’omu Costa Rica ne lisaba ab’oluganda abalina obusobozi okutandika okuweereza ng’ababuulizi ab’ekiseera kyonna. Mu 1957, nnatandika okuweereza ng’omubuulizi ow’ekiseera kyonna. Obuweereza obwo bwannyumira nnyo. Emirundi mingi nnatambulanga nzekka okugenda okubuulira abantu mu byalo. Oluusi tebanyanirizanga. Nzijjukirayo emirundi ng’esatu lwe nnasanga abasajja abaantiisatiisa n’ebiso nga baagala okummanya era n’okumanya ekyo kye nnali nkola mu kitundu ekyo.
Mu myaka gya 1950, amakubo agasinga obungi bwalinga bukubokubo obwayitanga mu bibira, era nga kizibu nnyo okutuuka ku bantu. Okusobola okutuuka mu bitundu ebimu, twalinanga okukozesa embalaasi. Twayitanga mu migga, era oluusi twasulanga bweru. Twalumwanga nnyo ensiri era twalinanga okwegendereza emisota ne ggoonya. Wadde kyali kityo, nnanyumirwa nnyo okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Yakuwa Katonda. Buli lwe nnaddanga eka, nnaabanga musanyufu era nga ndi mumativu olw’okubuulira abantu amazima ga Baibuli. Bwe nneeyongera okubuulira era n’okwesomesa Baibuli buli lunaku, nneeyongera okwagala Yakuwa Katonda, era n’okuwulira nga nnina enkolagana ennungi naye.
Nga wayiseewo ekiseera, nnaweebwa enkizo endala. Okumala emyaka egisoba mu kkumi, nnaweereza ng’omulabirizi atambula nga buli wiiki mbaako ekibiina kye nkyalira okusobola okuzzaamu ab’oluganda amaanyi. Wadde ng’obulwadde bwannemesa okweyongera okuweereza mu ngeri eno, nneeyongera okunyumirwa okuweereza Katonda ekiseera kyonna.
Nfuna Ekikangabwa
Bwe nnali mu Nicoya mu 1971, nnaddayo okukyalira ab’eŋŋanda zange. Bwe nnaayingira mu nnyumba bw’enti, nnasanga maama wange ow’emyaka 80 egy’obukulu ng’agalamidde wansi. Yali akubiddwa amasasi era ng’afumittiddwa ekiso. We nnakutamira okumusitula, yali aky’assa. Waayita ekiseera kitono, n’anfiira mu ngalo. Bwe nnamagaamaga, ate ne ndaba omufumbi eyali olubuto lwa myezi munaana ng’agalamidde wansi mu ffumbiro. Naye yali mufu. Mba nkyali awo, ŋŋenda okulaba ng’omukyala omu ow’omu kibiina ekyali mu kitundu ekyo nga naye afiiridde mu lukuubo, era nga ne katabani k’omufumbi nako kaffiiridde mu kinaabiro. Bonna baali bafumitiddwa ebiso mu ngeri ey’obukambwe era nga bakubiddwa n’amasasi. Ani ayinza okuba nga ye yali akoze ekikolobero kino, era lwaki?
Bwe nnafuluma ebweru, ne nsanga taata. Yali akubiddwa essasi ku mutwe naye ng’akyali mulamu! Nnayanguwa mangu okugenda mu nnyumba ya muganda wange, eyali yessudde akatemerero ka ddakiika nga 15, naye bwe nnatuuka eyo, nnasanga omukyala omulala awamu ne mutabani we nga nabo battiddwa. Nga kyantiisa nnyo okukitegeera nti omutemu oyo yali kizibwe wange ow’emyaka 17 egy’obukulu, ataali Mujulirwa wa Yakuwa era eyali omutabufu w’omutwe! Yali adduse ku kitundu. Waaliwo ekikweekweeto ekya maanyi eky’okuyigga kizibwe wange ekyali kitabangawo mu byafaayo bya Costa Rica.
Kino kyayogerwako nnyo mu mawulire g’eggwanga eryo. Nga wayiseewo ennaku musanvu, poliisi yazuula omutemu ono ng’alina ekiso ekinene ne mundu ey’ekika kya bbasitoola omuntu gye yali amuguzizza wadde nga yali akimanyi nti mutabufu wa mutwe. Kizibwe wange yakubwa amasasi era n’attibwa nga bagezaako okumukwata.
Bwe baali bamuyigga, bangi baŋŋamba nve mu kitundu nga batya nti kizibwe wange ayinza okukomawo na nkolako akabi. Kino nnakitegeezaako Yakuwa mu kusaba olw’okuba nnali njagala nnyo okubeera awamu n’ab’eŋŋanda zange abaali bawonyeewo era n’ab’oluganda mu kibiina. N’olw’ensonga eyo, saava mu kitundu.
Njolekagana n’Ebizibu Eby’omuddiriŋŋanwa
Eky’ennaku, taata wange yafa oluvannyuma lw’omwaka gumu. Mu mwaka ogwaddirira, mwannyinaze, eyali omuweereza wa Yakuwa Katonda omwesigwa, naye yatemulwa. Nate ab’eŋŋanda zange baafuna entiisa ya maanyi olw’okufiirwa omuntu omulala mu maka. Sisobola kuttottola nnaku ey’amaanyi gye twalina nze n’emikwano gyange olw’okufiirwa abaagalwa baffe abo. Bwe nnali mu mbeera eyo enzibu ennyo, nneesigama nnyo ku Yakuwa era ne nneeyongera okumusaba ampe amaanyi.
Mu 1985, nnagenda mu ssomero ery’ennaku essatu eritendeka abakadde abatwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo eryali mu kibuga ekikulu ekiyitibwa San José. Ku nkomerero y’okutendekebwa okwo, nnawulira nga nzizzeemu nnyo amaanyi mu by’omwoyo. Ku Bbalaza, nnakeera nnyo okugenda okulinnya bbaasi nzireyo eka. Naye mba nkyatambula okwolekera siteegi ya bbaasi, abazigu ne banzinda ne bantuga era ne bannyagako n’ebintu byange. Kino kyaliwo mbagirawo ne kiba nti saasobola na kubeetegereza. Olw’ekyo ekyantuukako, sikyasobola kwogera mu ngeri y’emu ng’abantu ab’omu Costa Rica. Mu kitundu kino ekya Guanacaste, abasajja boogerera waggulu nga basisinkanye bannaabwe, nga balamusigana oba nga baagala okumanyisa abalala nti weebali. Ng’ekyo tekinnantuukako, nnali nsobola bulungi okwogerera waggulu, naye kati sikyasobola.
Mu 1979, nnawasa Celia, mukkiriza munnange okuva mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa eky’oku mulirwaano. Celia yali ayagala nnyo Baibuli. Buli lunaku twayigiranga wamu Baibuli. Eky’ennaku, yafa kookolo mu Jjulaayi 2001. Oluusi mpulira ekiwuubaalo, naye essuubi ery’okuzuukira linzizzaamu nnyo amaanyi.—Yokaana 5:28, 29.
Ndi Musanyufu Wadde nga Njolekaganye n’Ebizibu
Wadde nga nnyinza okuba nga nfunye ebizibu eby’amaanyi bingi mu bulamu bwange okusinga ku bantu abalala, mbitwala ng’akakisa ke mba nfunye okulaga okukkiriza n’obwesigwa bye nnina mu Yakuwa. (Yakobo 1:13) Ekinnyambye okusigala nga nnina endowooza ennuŋŋamu ku bizibu bye njolekagana nabyo, kwe kubeera nga nnejjukanya buli kiseera nti ffenna tutuukibwako ebintu ‘ebigwawo obugwi.’ (Omubuulizi 9:11) Era nkimanyi bulungi nti bino bye ‘biseera ebizibu’ kubanga abantu bakambwe, batemu, era tebeefuga. (2 Timoseewo 3:1-5) Ate era, nzijukira bulungi ekyokulabirako kya Yobu. Newakubadde nga yafuna ebizibu bingi—obulwadde, okufiirwa ab’omu maka ge, n’eby’obugagga bwe—Yobu yagamba nti: “Erinnya lya Mukama lye bazibwe.” Era Yakuwa yawa Yobu emikisa mingi olw’okukuuma obugolokofu bwe. (Yobu 1:13-22; 42:12-15) Ebintu bino byonna bye nsoma okuva mu Baibuli binnyambye okusigala nga ndi musanyufu wadde nga njolekaganye n’ebizibu bingi.
Bulijjo Yakuwa annyamba okweyongera okumukulembeza mu bulamu bwange. Okusoma Baibuli buli lunaku kye kinnyambye okufuna okubudaabudibwa okw’amaanyi era n’okweyongera okugumira ebizibu. Okusaba Yakuwa, kinsobozesezza okufuna “emirembe gya Katonda egisingira ewala ebirowoozo byonna.” (Abafiripi 4:6, 7) Kino kindeetera emirembe mu mutima. Mu ngeri yemu, okugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo era n’okuzeenyigiramu kinywezezza nnyo okukkiriza kwange.—Abebbulaniya 10:24, 25.
Wadde nga nkaddiye, nsiima nnyo Yakuwa olw’okuba nkyalina amaanyi okukolera awamu ne Bakristaayo bannange, okuyigiriza abalala Baibuli, era n’okwenyigira mu buweereza. Okuweereza abalala mu ngeri zino kinyambye obutaba mwennyamivu. Nsiima nnyo Yakuwa okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwange wadde nga njolekaganye n’ebizibu bingi nnyo mu bulamu bwange.a
[Obugambo obuli wansi]
a Nga wayiseewo emyaka ebiri oluvannyuma lw’okwogera ebyo, Enrique Caravaca Acosta yafa ng’aweza emyaka 90 egy’obukulu.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 30]
Okusoma Baibuli buli lunaku kye kinnyambye okufuna okubudaabudibwa okw’amaanyi era n’okweyongera okugumira ebizibu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Bwe nnali nga mpa emu ku mboozi zange ezaasooka ezeesigamiziddwa ku Baibuli
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Nga ndi mu buweereza bw’ennimiro nga sinnakaddiwa